Abantu ba Katonda Baddayo mu Nsi Yaabwe
Abantu ba Katonda Baddayo mu Nsi Yaabwe
ENSI kati eyitibwa Iran yeetooloddwa ensozi bbiri ezimanyiddwa obulungi. Olumu oluyitibwa Eribazi (lusangibwa ebukiika ddyo bw’Ennyanja Kasipiyani) ate oluyitibwa Zagulosi (lusangibwa ebuvanjuba w’ebukiika kkono bw’Ekyondo kya Buperusi). Ensozi ezo zirina ebiwonvu ebigimu ennyo n’obusozisozi obujjuddeko emiti. Embeera y’obudde mu biwonvu ebyo nnungi, naye ate waggulu ku busozi, obunnyogovu bwa maanyi nnyo. Okumpi awo waliwo eddungu eririmu abantu ba muswaba. Mu kitundu kino, ekiri ebuvanjuba bwa Mesopotamiya, Obwakabaka bwa Bumeedi ne Buperusi we bwatandikira.
Abameedi baali babeera mu kitundu eky’ebukiika kkono, wadde ng’oluvannyuma baasaasaana ne babuna mu Ameniya ne Kirukiya. Ate bo Abaperusi baali babeera mu kitundu eky’ebukiika ddyo, ebuvanjuba bw’Omugga Tiguli. Mu kiseera ky’obufuzi bwa Kuulo mu makkati g’ekyasa eky’omukaaga B.C.E., obwakabaka buno bwombiriri bwegatta ne bufuuka Obufuzi Kirimaanyi Obwa Bumeedi ne Buperusi.
Kuulo yawamba Babulooni mu 539 B.C.E. Obwakabaka bwe bwagaziwa okudda ebuvanjuba nga bwolekera Buyindi. Ate ku luuyi olw’ebugwanjuba bwazingiramu Misiri n’ensi kaakati emanyiddwa nga Turkey. Nga kituukirawo, Danyeri yayita Obwakabaka bwa Bumeedi ne Buperusi ‘eddubu eryalya ennyama ennyingi.’ (Dan 7:5) Enfuga ya Kuulo yali nnungi. Obwakabaka yabwawulamu amasaza. Buli ssaza lyafugibwanga omukulu w’essazza, ng’ono yateranga kuba Muperusi, kyokka abafuzi b’omu kitundu nabo baalinanga obuyinza, naye nga bavunaanyizibwa eri abakulu b’amasaza. Abantu abaali mu bwakabaka baakubirizibwa okusigaza obulombolombo bwabwe n’amadiini.
Nga agoberera enkola eyo, Kuulo yakkiriza Abayudaaya okuddayo ewaabwe bazzeewo okusinza okw’amazima era baddemu n’okuzimba Yerusaalemi, nga Ezera ne Nekkemiya bwe baagamba. Olowooza ekibiina kino ekinene eky’abantu baayita mu kkubo lye limu Ibulayimu lye yayitamu ne bagoberera omugga Fulaati nga boolekera Kalukemisi, oba baakwata kkubo ery’okumpi eriyita e Tadumoli ne Ddamasiko? Baibuli terina kye kyogerako. (Laba empapula 6-7.) Oluvannyuma lw’ekiseera, Abayudaaya bakkalira mu bitundu ebirala eby’obwakabaka, gamba okumpi n’Omugga Nile mu Misiri era n’ebifo ebirala ebiri mu bukiika ddyo. Abayudaaya abamu beeyongera okubeera mu Babulooni, era oboolyawo eyo ye nsonga lwaki omutume Peetero yagendayo oluvannyuma lw’ebyasa bingi. (1 Peet 5:13) Yee, Obwakabaka bwa Bumeedi ne Buperusi bwaviirako Abayudaaya okusangibwa mu bifo bingi mu bwakabaka obwaddawo obwa Buyonaani ne Rooma.
Oluvannyuma lw’okuwamba Babulooni, Abameedi n’Abaperusi baakozesa ekibuga ekyo, ekyalimu ebbugumu ery’amaanyi ng’ekitebe kyabwe ekikulu eky’obufuzi. Susani, ekyali ekibuga ekikulu ekya Eramu, nakyo kyali kimu ku bibuga mwe baasinziiranga okufuga. Oluvannyuma, eyo Kabaka Akaswero (kirabika Zaakisisi I) gye yafuulira Eseza kaddulubaale we era n’alinnya eggere mu lukwe olw’okusaanyawo abantu ba Katonda mu bwakabaka obwo obugazi. Ebibuga ebirala ebikulu ebya Bumeedi ne Buperusi byali Ekibatana (ekisangibwa ku bugulumivu bwa ffuuti ezisukka mu 6,200, waggulu w’agayanja aganene) ne Pasagade (ekiri ku bugulumivu bwe bumu, nga kisangibwa mayiro 400 mu bukiika ddyo).
Obwakabaka buno kirimaanyi bwakoma butya? Ku ntikko y’obuyinza bwayo, Bumeedi ne Buperusi zaagezaako okukomya obwegugungo obwatandikibwawo Buyonaani ku nsalo eziri mu bugwanjuba bw’ebukiika kkono bw’ettwale lya Buperusi. Buyonaani yeeyawulamu amasaza agaalwananga, kyokka gano geegata wamu okusobola okuwangula amagye ga Buperusi mu ntalo eza nsalesale e Malasoni ne Salamini. Kino kye kyaviirako Buyonaani okulinnya Bumeedi ne Buperusi ku nfeete.
[Akasanduuko akali ku lupapula 25]
Mu bufuzi bwa Zerubbaberi, abasajja Abaisiraeri nga 50,000 baatambula olugendo lwa mayiro eziri wakati wa 500 ne 1,000 (nga kino kisinziira ku kkubo lye baakwata) okuddayo e Yerusaalemi. Baalina obuzibu bwa maanyi nnyo mu by’enfuna. Ensi yaabwe yali matongo okumala emyaka nsanvu. Abo abaddayo, baatandika okuzzaawo okusinza okw’amazima nga baddamu okuzimba ekyoto era ne bawaayo ebiweebwayo eri Yakuwa. Ng’omwaka 537 B.C.E. guggwaako, baakuza Embaga ey’Ensiisira. (Yer 25:11; 29:10) Mu kiseera ekyo, abaakomawo baasima omusingi gw’ennyumba ya Yakuwa.
[Akasanduuko akali ku lupapula 25]
EBITABO BYA BAIBULI EBYAWANDIIKIBWA OKUVA MU KISEERA KINO:
Danyeri
Kaggayi
Zekkaliya
Eseza
Zabbuli (ekitundu)
Ebyomumirembe 1 ne 2
Ezera
Nekkemiya
Malaki
[Mmaapu eri ku lupapula 24]
(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu katabo)
Obwakabaka bwa Bumeedi ne Buperusi
A2 MALEDDONI
A2 TULASI
A4 Kuleene
A4 LIBIYA
B2 Bayizantiyamu
B2 LUDIYA
B3 Saadi
B4 Menfisi (Noofu)
B4 MISIRI
B5 Nowamoni (Sebusi)
B5 Sevene
C3 KIRUKIYA
C3 Talusiisi
C3 Yisusi
C3 Kalukemisi
C3 Tadumoli
C3 BUSUULI
C3 Sidoni
C3 Ddamasiko
C3 Ttuulo
C4 Yerusaalemi
D2 Fasisi
D2 AMENYA
D3 BWASULI
D3 Nineeve
D4 Babulooni
E3 BUMEEDI
E3 Ekibatana (Yakumesa)
E3 KIRIKANIYA
E4 Susani (Susa)
E4 ERAMU
E4 Pasagade
E4 Perusepolisi
E4 BUPERUSI
F3 PASIYA
F4 DULANGIYANA
G2 Malakanda (Samakandi)
G3 SOGUDIYANA
G3 BAKUTULUYA
G3 ALIYA
G4 ALAKOSIYA
G4 GEDULOSIYA
H5 BUYINDI
[Ebifo Ebirala]
A2 BUYONAANI
A3 Malasoni
A3 Asene
A3 Salamini
C1 SISIYA
C4 Erasi (Erosi)
C4 Teema
D4 BUWALABU
[Ensozi]
E3 ENSOZI EZIBAZI.
E4 ENSOZI ZAGULOSI.
[Ennyanja]
B3 Ennyanja Meditereniyani (Ennyanja Ennene)
C2 Ennyanja Enzirugavu
C5 Ennyanja Emmyufu
E2 Ennyanja Kasipiyani
E4 Ekyondo kya Buperusi
[Emigga]
B4 Nile
C3 Fulaati
D3 Tiguli
H4 Indusi
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]
Amagye ga Kuulo gaalina okuyita mu Nsozi Zagulosi okusobola okutuuka mu Babulooni
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 25]
Waggulu: Oluggi lw’Amawanga, e Perusepolisi
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 25]
Akatono: Entaana ya Kuulo, e Pasagade