Amawanga Galumba Ensi Ensuubize
Amawanga Galumba Ensi Ensuubize
SAMALIYA, ekibuga ekikulu mu bukiika kkono bw’obwakabaka bwa Isiraeri, kyawambibwa Bwasuli mu 740 B.C.E. Okuva olwo Abaisiraeri baatandika okufugibwa eggwanga lya Bwasuli eryali ekkambwe. Bwasuli yali esangibwa mu bukiika kkono bw’ensenyi z’e Mesopotamiya okumpi ne Tiguli, ogumu ku migga eminene egisangibwa mu Kitundu Ekigimu. Nimuloodi ye yali azimbye ebibuga byamu ebikulu, Nineeve ne Kala. (Lub 10:8-12) Mu mirembe gya Kabaka Salumanaseri III, Bwasuli yayolekera ebugwanjuba n’awamba Busuuli ne Isiraeri ow’omu bukiika kkono, ebitundu ebyali ebigimu ennyo.
Mu bufuzi bwa Kabaka Tigulasupireseri III (Puli), ayogerwako mu Baibuli, Bwasuli yatandika okuyisa obubi Isiraeri. Amagye ge gaawamba n’ebitundu bya Yuda ebiri mu bukiika ddyo. (2Bassek 15:19; 16:5-18) Nga wayise akaseera, “amazzi,” agakiikirira amagye ga Bwasuli, gaayanjaala mu Yuda ne gatuuka mu kibuga kyakyo ekikulu, Yerusaalemi.—Is 8:5-8.
Ssenakeribu Kabaka w’e Bwasuli yalumba Yuda mu 732 B.C.E. (2Bassek 18:13, 14) Yawamba era n’anyaga ebibuga byamu 46 nga mw’otwalidde ne Lakisi, ekiri mu nsi ey’ensozi. Nga bwe kiragibwa ku mmaapu, amagye gaayolekera ebukiika ddyo w’ebugwanjuba bwa Yerusaalemi ne geetooloola ekibuga ekyo ekikulu ekya Yuda. Mu biwandiiko bye, Ssenakeribu yeewaana nnyo olw’okuba yasiba Keezeekiya “ng’ekinyonyi ekiri mu katimba.” Kyokka, ebyafaayo bya Bwasuli tebiraga nti malayika wa Katonda yazikiriza amagye ga Ssenakeribu.—2Bassek 18:17-36; 19:35-37.
Waali wabula ennaku mbale Obufuzi bwa Bwasuli okukoma. Abameedi abaasimba amakanda mu kitundu eky’ensozi kati ekiyitibwa Iran, baatandika okulwanyisa amagye ga Bwasuli agaali gasigaddewo. Kino kyaletera Bwasuli okulekerera ettwale lyayo ery’ebuvanjuba n’ekyavaamu nalyo lyewaggula. Mu kiseera kye kimu, Abababulooni baali beeyongedde amaanyi era ne bawamba n’ekibuga ky’e Asuli. Mu 632 B.C.E., Nineeve “ekibuga eky’omusaayi” kyawambibwa amagye ag’omukago ag’Abababulooni, Abameedi n’Abasisiya abaali bamanyiddwa ennyo ng’abalwanyi mu bukiika kkono bw’Ennyanja Enzirugavu. Kino kyatuukiriza obunnabbi bwa Nakkumu ne Zeffaniya.—Nak 3:1; Zef 2:13.
Bwasuli yawanikira e Kalani. Bwe yalumbibwa eggye ly’Abababulooni abamalirivu, Bwasuli yagezaako okufunvubira okutuusa ng’eggye eddwanyi ery’omukago okuva e Misiri lituuse. Naye, ng’ayolekera ebukiika kkono, Falaawo Neko, yaziyizibwa Kabaka Yosiya owa Yuda e Megiddo. (2Byom 35:20) Mu nkomerero, Neko we yatuukira e Kalani, kyali tekikyayinza kumuyamba—obufuzi bwa Bwasuli bwali bumaze okuwambibwa.
Obufuzi bw’Abababulooni
Kibuga ki ekikujjira mu birowoozo bwe twogera ku “nnimiro z’ebimuli”? Awatali kubuusabuusa olowooza ku kibuga Babulooni, ekibuga ekikulu eky’obufuzi kirimaanyi obwa Babulooni obwayogerwako mu bunnabbi ng’empologoma ey’ebiwaawaatiro. (Dan 7:4) Ekibuga kino kyali kimanyiddwa nnyo olw’obugagga bwakyo, eby’obusuubuzi, era n’olw’abantu baamu okunyiikirira eby’eddiini n’okulaguza emmunyeenye. Obufuzi bwakyo bwali busimbye amakanda mu kitundu eky’entobazi mu bukiika ddyo bwa Mesopotamiya, ekiri wakati w’Emigga Tiguli ne Fulaati. Ekibuga kino kyali ku njuyi zombi ez’omugga Fulaati era nga kirabika ng’ekitasobola kuwangulwa olwa buggwe waakyo omugulumivu.
Abababulooni baatandikawo enguudo ez’eby’obusuubuzi nga ziyita mu ddungu ery’ensozi erisangibwa mu bukiika kkono bwa Buwalabu. Ekiseera Nabonidasi we yabeerera e Teema, yaleka Berusazza okufuga Babulooni.
Babulooni yalumba Kanani emirundi essatu mirambirira. Nga Nebukadduneeza alinnye Abamisiri ku nfeete e Kalukemisi mu 625 B.C.E., Abababulooni baayolekera bukiika kkono e Kamasi ne baddamu okufuntula Abamisiri abaali bataddeko kakokola tondeka nnyuma. Awo Abababulooni ne bayitira ku lubalama okutuuka mu kiwonvu kya Misiri, era ne bazikiriza Asukulooni nga bagenda. (2Bassek 24:7; Yer 47:5-7) Mu kiseera kino, Yuda yatandika okufugibwa ku biragiro bya Babulooni.—2Bassek 24:1.
Yekoyakimu kabaka wa Yuda bwe yajeema mu 618 B.C.E., Abababulooni baasindika amagye okulumba Yuda. Wadde ng’amagye ge baasindika gaalondebwa okuva mu mawanga agaliraanyewo, abaserikale ba Babulooni bennyini be baazingiza era ne bawamba Yerusaalemi. Nga wayiseewo akaseera katono, kabaka Zeddekiya yakola omukago ne Misiri, ekyaviirako Babulooni okunyiigira ennyo Yuda. Abababulooni baddamu okulumba Yuda era ne bazikiriza ebibuga byakyo. (Yer 34:7) Mu nkomerero, Nebukadduneeza yalumba Yerusaalemi era n’akizikiriza mu 607 B.C.E.—2Byom 36:17-21; Yer 39:10.
[Akasanduuko akali ku lupapula 23]
EBITABO BYA BAIBULI EBYAWANDIIKIBWA OKUVA MU KISEERA KINO:
Koseya
Isaaya
Mikka
Engero (ekitundu)
Zeffaniya
Nakkumu
Kaabakuuku
Okukungubaga
Obadiya
Ezeekyeri
Bassekabaka 1 ne 2
Yeremiya
[Mmaapu eri ku lupapula 23]
(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu katabo)
Obufuzi bwa Babulooni/Obufuzi bwa Bwasuli
Obufuzi bwa bwasuli
B4 Menfisi (Noofu)
B4 Sowali
B5 MISIRI
C2 KUPULO (KITTIMU)
C3 Sidoni
C3 Ttuulo
C3 Megiddo
C3 Samaliya
C4 Yerusaalemi
C4 Asukulooni
C4 Lakisi
D2 Kalani
D2 Kalukemisi
D2 Alupadi
D2 Kamasi
D3 Libuna
D3 BUSUULI
D3 Ddamasiko
E2 Gozani
E2 MESOPOTAMIYA
F2 MINI
F2 BWASULI
F2 Kolusabaadi
F2 Nineeve
F2 Kala
F2 Asuli
F3 BABULOONI
F3 Babulooni
F4 BUKALUDAAYA
F4 Ereki
F4 Uli
G3 Susani
G4 ERAMU
Obufuzi bwa Babulooni
C3 Sidoni
C3 Ttuulo
C3 Megiddo
C3 Samaliya
C4 Yerusaalemi
C4 Asukuloni
C4 Lkisi
D2 Kalani
D2 Kalukemisi
D2 Alupadi
D2 Kamsi
D3 Libuna
D3 BUSUULI
D3 Ddamasiko
D5 Teema
E2 Gozani
E2 MESOPOTAMIYA
E4 BUWALABU
F2 MINI
F2 BWASULI
F2 Kolusabaadi
F2 Nineeve
F2 Kala
F2 Asuli
F3 BABULOONI
F3 Babulooni
F4 BUKALUDAAYA
F4 Ereki
F4 Uli
G3 Susani
G4 ERAMU
[Ebifo Ebirala]
G2 BUMEDI
Enguudo Enkulu (Laba katabo)
[Ennyanja]
B3 Ennyanja Meditereniyani (Ennyanja Ennene)
C5 Ennyanja Emmyufu
H1 Ennyanja Kasipiyani
H5 Ennyanja kya Buperusi
[Emigga]
B5 Nile
E2 Fulaati
F3 Tiguli
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 22]
Olusozi Lakisi
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 22]
Engeri Megiddo eky’edda gye kyali kifaananamu
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]
Ennimiro z’ebimuli eza Babulooni bwe ziyiza okuba nga bwe zaali zifaanana