Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Buyonaani ne Rooma Kye Zaakola ku Bayudaaya

Buyonaani ne Rooma Kye Zaakola ku Bayudaaya

Buyonaani ne Rooma Kye Zaakola ku Bayudaaya

TETTWALE eryamanyibwa ng’erya Buyonaani lyatandikira mu nsozi za Makedoni. Bwe yali atemera mu myaka 20, Alekizanda yafuna ekirowoozo ky’okuwamba ebitundu eby’ebuvanjuba. Mu 334 B.C.E., yakulembera amagye ge okuyita e Keresiponti (kati ekiyitibwa Dardanelles), ekitundu ekyawulamu Bulaaya ne Asiya. Okufaananako ‘engo’ eddukira ku sipiidi, Buyonaani ng’ekulemberwa Alekizanda yawamba ebitundu ebitali bimu ku sipiidi ey’amaanyi. (Dan 7:6) Alekizanda yalwana n’Abaperusi mu kifo ekiri okumpi ne Tuloyi, mu nsenyi z’Omugga Gulanikasi era n’abafuntulira ddala e Yisusi.

Wansi w’obulagirizi bwa Alekizanda, Abayonaani baalumba Busuuli ne Bufoyiniiki era ne bawamba Ttuulo oluvannyuma lw’okukizingiza okumala emyezi musanvu. (Ezer 26:4, 12) Alekizanda teyalumba kibuga kya Yerusaalemi, kyokka yawamba ekibuga Gaza. (Zek 9:5) Ng’atuuse e Misiri, yazimba ekibuga Alegezandereya, ekyafuuka ekitebe ekikulu eky’eby’obusuubuzi n’eby’obuyigirize. Ng’addamu okuyita mu Nsi Ensuubize, yafuntulira ddala Abaperusi mu kifo ekiyitibwa Gawugamela ekiri okumpi n’amatongo ga Nineeve.

Alekizanda yayolekera obukiika kkono okuwamba Babulooni, Susani (Susa) ne Perusepolisi​—ebifo ebikulu Abaperusi gye baasinziiranga okufuga. Ng’ali ku sipiidi ey’amaanyi yayita mu ttwale lya Buperusi, n’atuuka ku Mugga Indusi, ekifo kati ekiyitibwa Pakisitan. Mu myaka munaana gyokka, Alekizanda yawamba ekitundu ekisinga obunene eky’ensi eyali emanyiddwa mu kiseera ekyo. Mu 323 B.C.E., ng’aweza emyaka 32, yafa omusujja ng’ali e Babulooni.​—Dan 8:8.

Abayonaani baalina kinene nnyo kye baakola ku Nsi Ensuubize. Abamu ku baserikale ba Alekizanda baasenga mu kitundu ekyo. Ekyasa ekyasooka we kyatuukira, ebibuga ebyali byogera Oluyonaani (Dekapoli) byegatta. (Mat 4:25; Mak 7:31) Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya byatandika okukyusibwa mu Luyonaani. Oluyonaani olwa bulijjo lwe lwakozesebwa wonna mu kubunyisa enjigiriza z’Ekikristaayo.

Obwakabaka bwa Rooma

Kiki ekyali kigenda mu maaso ebugwanjuba? Rooma, mu kusooka eyalimu ebyalo bitono ebyali ku Mugga Tiberi​—yafuuka ya maanyi. Oluvannyuma, amagye ga Rooma ag’amaanyi agaali gategekeddwa obulungi mu by’ekijaasi ne mu by’obufuzi gaasobola okuwamba ebitundu ebyali bifugibwa abagabe ba Alekizanda. Omwaka 30 B.C.E., we gwatuukira, Rooma yali efuuse Obufuzi Kirimaanyi, mu ngeri eyo ne yeeyoleka okuba ensolo ey’entiisa Danyeri gye yalaba mu kwolesebwa.​—Dan 7:7.

Obufuzi bwa Rooma bwava e Bungereza ne butuuka mu bukiika kkono bwa Afirika, ate ne buva ku Nnyanja Atalantika okutuuka ku Kyondo kya Buperusi. Olw’okuba ettwale lino lyali lyetooloddwa Ennyanja Meditereniyani, Abaruumi baaliyitanga Mare Nostrum, ekitegeeza “Ennyanja Yaffe.”

Era Rooma erina kye yakola ku Bayudaaya abaali mu ttwale ly’obufuzi bwayo. (Mat 8:5-13; Bik 10:1, 2) Yesu yabatizibwa era n’afa ku mulembe gw’obufuzi bwa Empula Tiberiyo. Abamu ku bafuzi ba Rooma baayigganya nnyo Abakristaayo, naye tebaasobola kuwangula kusinza okw’amazima. Oluvannyuma lw’emyaka 1,300, ettwale lino lyawambibwa Abagirimaani ab’omu bukiika ddyo n’abalunzi ab’omu buvanjuba.

[Mmaapu eri ku lupapula 26]

(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu katabo)

Obwakabaka bwa Buyonaani

Oluvannyuma lw’okufa kwa Alekizanda, abagabe be bana beddiza ettwale eryo eddene

Kasanda

Liisimaka

Ttolemi I

Serewuko I

A2 ▪ BUYONANI

A2 ▪ Asene

A2 ▪ AKAYA

A3 ○ Kulene

A3 ○ LIBIYA

B2 ▫ Baizantiyamu

B3 ○ KULUPO

B4 ○ Nowamoni (Sebbesi)

C3 Palumayira (Tamali)

C3 ○ Gerasa

C3 ○ Firaderufiya

C3 ○ Yerusaalemi

C5 ○ Sevene

G2 • Alegezandereya Marjana

Ekubbo Alekizanda lye Yayitamu

A2 ▪ MAKEDONI

A2 ▪ Pella

A2 ▫ TULASI

B2 ▫ Tuloyi

B2 ▫ Saadi

B2 ▫ Efeso

B2 ▫ Goludiyamu

C2 ▫ Ankara

C3 • Talusiisi

C3 • Yisusi

C3 • Antiyokia (eky’omu Busuuli)

C3 ○ Ttuulo

C4 ○ Gaza

B4 ○ MISIRI

B4 ○ Menfisi

B4 ○ Alegezandereya

A4 ○ Ekidiba kya Amoni

B4 ○ Menfisi

C4 ○ Gaza

C3 ○ Ttuulo

C3 ○ Damasiko

C3 • Aleppo

D3 • Nisibisi

D3 • Gawugamela

D3 • Babulooni

E3 • Susani

E4 • BUPERUSI

E4 • Perusepolisi

E4 • Pasagade

E3 • BUMEDI

E3 • Yakumesa

E3 • Lajeji

E3 • Kekitompulosi

F3 • BUPAAZI

G3 • ALEYO

G3 • Alegezandereya Ariyoni

G3 • Alegezandereya Fulosasi

F4 • DULANGIYANA

G4 • ALAKOSIYA

G4 • Alegezandereya Alakotoni

H3 • Kabul

G3 • Dulapusaka

H3 • Alegezandereya Okisiyani

G3 • Dulapusaka

G3 • BAKITULIYA

G3 • Bakitula

G2 • Derubenti

G2 • SODIYANA

G2 • Malakanda

G2 • Bukala

G2 • Malakanda

H2 • Alegezandereya Esikate

G2 • Malakanda

G2 • Derubenti

G3 • Bakitula

G3 • BAKITULIYA

G3 • Dulapusaka

H3 • Kabul

H3 • Takisira

H5 • BUYINDI

H4 • Alegesandereya

G4 • GEDULOSIYA

F4 • Pyula

E4 • BUPERUSI

F4 • Alegezandereya

F4 • KAMANIYA

E4 • Pasagade

E4 • Perusepolisi

E3 • Susani

D3 • Babulooni

[Ebifo Ebirala]

A3 KULEETE

D4 ARABIA

[Ennyanja]

B3 Ennyanja Meditereniya

C5 Ennyanja emmyufu

E4 Ekyondo kya Buperusi

G5 Ennyanja ya Buwalabu

[Emigga]

B4 Nile

D3 Fulaati

D3 Tiguli

G4 Indusi

[Mmaapu eri ku lupapula 27]

(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu katabo)

Obwakabaka bwa Rooma

A1 BUNGEREZA

A3 SIPEYINI

B1 BUGIRIMAANI

B2 GAWULO

B2 ITALIYA

B2 Rooma

B3 Kaseggi

C2 ILURIKO

C3 BUYONAANI

C3 Akitiyamu

C3 Kuleene

D2 Baizantiyamu (Konsitantinopo)

D3 ASIYA OMUTONO

D3 Efeso

D3 Aleppo

D3 Antiyokiya (eky’omu Busuuli)

D3 Damasiko

D3 Gerasa (Jalasi)

D3 Yerusaalemi

D3 Alegezandereya

D4 MISRI

[Ennyanja]

A2 Ennyanja Atlantic

C3 Ennyanja Meditereniyani

D2 Ennyanja Enzirugavu

D4 Ennyanja Emmyufu

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]

Bwe yaddamu okuzimba Labba, Ttolemi II yakituuma Firaderufiya. Ebyasigalawo ku kizimbe ekimu omwalabirwanga emizannyo mu Rooma

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]

Dekapoli ekibuga eky’e Gerasa (Yalasi)

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 27]

Enguudo za Rooma, gamba nga luno oluli okumpi ne Aleppo lwatuuka mu Bulaaya, Afirika ow’omu bukiika kkono, ne mu Buwalabu. Abakristaayo ze baayitirangamu okusobola okusaasaanya amazima ga Baibuli