Isiraeri mu Biseera bya Dawudi ne Sulemaani
Isiraeri mu Biseera bya Dawudi ne Sulemaani
KATONDA yasuubiza okuwa ezzadde lya Ibulaamu ensi ‘okuva ku mugga ogw’e Misiri okutuuka ku mugga Fulaati.’ (Lub 15:18; Kuv 23:31; Ma 1:7, 8; 11:24) Oluvannyuma lwa Yoswa okuyingira Kanani, waayitawo emyaka 400 Ensi Ensuubize n’eryoka etuuka ku nsalo eyo.
Kabaka Dawudi yawamba obwakabaka obw’Abeeramu obw’e Zoba, obwali butuukira ddala ku Fulaati mu bukiika kkono bwa Busuuli. * Obuwanguzi bwa Dawudi ku Bafirisuuti okwolekera ebukiika kkono, bwamusobozesa okugaziya obufuzi bwe okutuuka ku nsalo ya Misiri.—2Sam 8:3; 1Byom 18:1-3; 20:4-8; 2Byom 9:26.
Bwe kityo nno, Sulemaani yafuga “okuva ku Mugga [Fulaati] okutuuka ku nsi ey’Abafirisuuti, n’okutuuka ku nsalo ey’e Misiri,” nga kiraga ekinaabaawo mu bufuzi bwa Masiya obw’emirembe. (1Bassek 4:21-25; 8:65; 1Byom 13:5; Zab 72:8; Zek 9:10) Wadde kyali kityo, kigambibwa nti ekitundu Isiraeri kye yalimu kyali “okuva ku Ddaani okutuuka e Beeruseba.”—2Sam 3:10; 2Byom 30:5.
Kabaka Sulemaani yajeemera Katonda n’akuŋŋaanya embalaasi n’amagaali bingi. (Ma 17:16; 2Byom 9:25) Yali asobola okubikozesa okuyita mu nguudo ennene n’entono. (Yos 2:22; 1Bassek 11:29; Is 7:3; Mat 8:28) Tumanyi ebikwata ku zimu ku nguudo ezo, gamba nga, “oluguudo oluva e Beseri okutuuka e Sekemu ku luuyi olw’obukiika ddyo olw’e Lebanooni.”—Balam 5:6; 21:19.
Ekitabo The Roads and Highways of Ancient Israel (Enguudo z’Omu Isiraeri ey’Edda) kigamba: “Ekizibu ekiri mu kunoonyereza ebikwata ku nguudo za Isiraeri ey’edda, kiri nti, tewali kiraga nguudo ezoogerwako mu Ndagaano Enkadde, kubanga enguudo [z’omu kiseera ekyo] tezaazimbibwa na mayinja.” Kyokka, engeri ensi gy’efaananamu n’ebyo ebyasigalawo ku bibuga ebyasimibwa mu ttaka biraga enguudo we zaayitanga.
Emirundi egisinga enguudo ze zaasinzirwangako okumanya engeri amagye gye ganditambuddemu okuva mu kitundu ekimu okutuuka mu kirala. (1Sam 13:17, 18; 2Bassek 3:5-8) Okusobola okulumba Isiraeri, Abafirisuuti baatambula okuva e Ekuloni ne Gaasi okutuuka mu kifo ekyali “wakati w’e Soko ne Azeka.” Eggye lya Sawulo lyabasisinkana mu ‘kiwonvu ky’e Era.’ Oluvannyuma lwa Dawudi okutta Goliyaasi, Abafirisuuti badduka ne baddayo e Gaasi ne Ekuloni, ate ye Dawudi n’ayambuka e Yerusaalemi.—1Sam 17:1-54.
Lakisi (D10), Azeka (D9), ne Besusemesi (D9) byali bisangibwa ku nguudo ezaali ziyita mu nsi ey’ensenyi okwolekera ensozi za Yuda. N’olwekyo, ebibuga bino byayamba nnyo mu kutangira abalabe okuyita mu Kkubo eriyita ku Nnyanja (Via Maris) okutuuka mu nsi ya Isiraeri.—1Sam 6:9, 12; 2Bassek 18:13-17.
[Obugambo obuli wansi]
^ lup. 3 Ettwale ly’Abalewubeeni lyatuukira ddala ebuvanjuba bw’Eddungu lya Busuuli, awaali Omugga Fulaati.—1Byom 5:9, 10.
[Akasanduuko akali ku lupapula 16]
EBITABO BYA BAIBULI EBYAWANDIIKIBWA OKUVA MU KISEERA KINO:
Samwiri 1 ne 2
Zabbuli (ekitundu)
Engero (ekitundu)
Oluyimba
Omubuulizi
[Mmaapu eri ku lupapula 17]
(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu katabo)
Ebitundu n’Enguudo ng’Obwakabaka Bukyali Wamu
Ensalo (Ekiseera kya Sulemaani)
Tifusa
Kamasi
Tadumoli
Berosayi (Kuni)
Sidoni
Ddamasiko
Tuulo
Ddaani
Yerusaalemi
Gaza
Aloweri
Beeruseba
Tamali
Eziyonigeba
Erasi (Erosi)
[Ebitundu N’enguudo]
Fulaati
Ekiwonvu ky’e Misiri
Dawudi ne Sulemaani (Enguudo)
Gaza
Yafo
Asudodi
Asukulooni
Zikulagi
EDDUNGU LYA PALANI
D5 Doli
D6 Keferi
D8 Afeki
D8 Laama
D9 Saalubimu
D9 Gezeri
D9 Makazi
D9 Ekuloni
D9 Besusemesi
D9 Gaasi
D9 Azeka
D10 Soko
D10 Adulamu
D10 Keira
D10 Lakisi
D11 Yattiri
D12 Beeruseba
E2 Tuulo
E4 Kabu
E5 Yakuneamu (Yakumeamu)
E5 Megiddo
E6 Taanaki
E6 Alubbosi
E7 Parasoni
E8 Lebona
E8 Zereda
E8 Beseri
E9 Besukoloni eky’Emmanga
E9 Besukuloni Ekya Waggulu
E9 Geba
E9 Gibyoni
E9 Gibea
E9 Kiriyasuyalimu
E9 Nobu
E9 Baaluperazimu
E9 Yerusaalemi
E9 Besirekemu
E10 Tekowa
E10 Kebbulooni
E11 Zifu
E11 Kerosi?
E11 Kalumeri
E11 Mowani
E11 Esutemoa
F5 Endoli
F5 Sunemu
F5 Yezuleeri
F6 Besuseani
F7 Tiruza
F7 Sekemu
F8 Zalesani
F8 Siiro
F8 Ofula?
F9 Yeriko
F11 Engedi
G2 Aberubesumaaka
G2 Daani
G3 Kazoli
G3 MAAKA
G5 Lodebali (Debiri)
G5 Logerimu
G6 Aberumekola
G7 Sukkosi
G7 Makanayimu
H1 BUSUULI
H4 GESULI
H6 Lamosugireyaadi
H8 Labba
H9 Medeba
H11 Aloweri
H12 MOWAABU
I4 Keramu?
I9 AMONI
[Enguudo Enkulu]
C10 Via Maris
H6 Oluguudo lwa Kabaka
[Ensozi]
F5 Olusozi Girubowa
[Ennyanja]
C8 Ennyanja Meditereniyani (Ennyanja Ennene)
F10 Ennyanja ey’Omunnyo (Ennyanja Enfu)
G4 Ennyanja ey’e Ggaliraaya
[Emigga]
E9 Enerogeri
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 16]
Ku ddyo: Ekiwonvu ky’e Era, ng’otunuulidde ebuvanjuba eri ensozi za Yuda
Wansi: Enguudo ezaakozesebwa mu Nsi Ensuubize