Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Isiraeri n’Ebifo eby’Omuliraano

Isiraeri n’Ebifo eby’Omuliraano

Isiraeri n’Ebifo eby’Omuliraano

YAKUWA yagamba Ibulayimu: ‘Va mu Uli eky’omu Mesopotamiya ogende mu nsi gye ndikulaga.’ Ensi eyo yalimu abantu era nga yeetooloddwa amawanga amalala.​—Lub 12:1-3; 15:17-21.

Abantu ba Katonda bwe baali bava mu Misiri, baali bamanyi nti bayinza okuziyizibwa abalabe, gamba nga, ‘Abamowaabu ab’amaanyi.’ (Kuv 15:14, 15) Abamaleki, Abamowaabu, Abaamoni, n’Abaamoli baali babeera mu kitundu Abaisiraeri mwe bandiyise nga bagenda mu Nsi Ensuubize. (Kubal 21:11-13; Ma 2:17-33; 23:3, 4) Ate era, Abaisiraeri bandisanze amawanga amalala ag’obulabe mu nsi Katonda gye yali abasuubizza.

Katonda yagamba nti Isiraeri ‘yandizikirizza amawanga’ musanvu ‘agaalimu abantu bangi,’ kwe kugamba, Abakiiti, Abagirugaasi, Abaamoli, Abakanani, Abaperizi, Abakiivi, n’Abayebusi​—agaali gagwanira okuzikirizibwa. Empisa zaabwe zaali mbi nnyo ate nga n’amadiini gaabwe ga bulimba. Mu bakatonda be baasinzanga mwe mwali Baali (eyakiikirirwanga empagi ez’amayinja ag’omuwendo), Moleki (gwe baawanga abaana nga ssaddaaka), ne katonda ayaza ebintu, Asutaloosi.​—Ma 7:1-4; 12:31; Kuv 23:23; Leev 18:21-25; 20:2-5; Balam 2:11-14; Zab. 106:37, 38.

Emirundi egimu, ensi Katonda gye yasuubiza okuwa Abaisiraeri, yayitibwanga “Kanani,” ng’eva e Sidoni okutuuka ku “Kiwonvu eky’e Misiri.” (Kubal 13:2, 21; 34:2-12; Lub 10:19) Emirundi emirala Baibuli emenya amawanga ag’enjawulo, ebibuga, oba abantu abaali mu nsi eyo. Amawanga agamu gaali gabeera mu bifo eby’enkalakkalira, gamba ng’Abafirisuuti abaabeeranga ku lubalama lw’Ennyanja Meditereniyani n’Abayebusi mu nsozi ezaali ziriraanye Yerusaalemi. (Kubal 13:29; Yos 13:3) Amalala gaakyusanga ebifo buli luvannyuma lw’akaseera.​—Lub 34:1, 2; 49:30; Yos 1:4; 11:3; Balam 1:16, 23-26.

Ekiseera Abaisiraeri we baaviira e Misiri, kirabika Abaamoli lye ggwanga eryali lisinga amaanyi mu Kanani. * (Ma 1:19-21; Yos 24:15) Baali bamaze okuwamba ensi ey’Abamowaabu okutuukira ddala ku kiwonvu kya Alunoni mu bukiika ddyo, wadde ng’ekifo ekyali emitala w’Omugga Yoludaani okuva e Yeriko kyali kikyayitibwa “ensenyi za Mowaabu.” Ate era bakabaka b’Abaamoli be baali bafuga Basani ne Gireyaadi.​—Kubal 21:21-23, 33-35; 22:1; 33:46-51.

Wadde nga baalina obuwagizi bwa Katonda, Abaisiraeri tebaamalirawo ddala mawanga ago gonna agaali gagwanidde okuzikirizibwa, era oluvannyuma gaabasendasenda okukola ebikyamu. (Kubal 33:55; Yos 23:13; Balam 2:3; 3:5, 6; 2Bassek 21:11) Yee, Abaisiraeri baawaba wadde nga baali balabuddwa nti: “Temugobereranga bakatonda balala, ku bakatonda ab’amawanga agabeetoolodde.”​—Ma 6:14; 13:7.

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 6 Okufaananako ‘Abakanani,’ ekigambo “Omwamoli” kyali kiyinza okutegeeza abantu b’omu nsi eyo oba eggwanga eryetongodde.​—Lub 15:16; 48:22.

[Mmaapu eri ku lupapula 11]

(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu katabo)

Amawanga Agaalina Okuggibwawo Mu Nsi Ensuubize

ABAPERIZI (D8)

C8 Asekuloni

C9 Gaza

D8 Asudodi

C9 Gaasi

D8 Gerali

KANANI (D8)

B10 ABAMALEKI

C12 Kazaladali (Adaali?)

C12 Kadesi (Kadesubanea)

D8 Lakisi

D9 Beeruseba

D10 ABAAMOLI

D11 NEGEBU

E4 Doli

E5 Megiddo

E5 Taanaki

E6 Afeki

E6 ABAKIIVI

E7 ABAYEBUSI

E8 Besusemesi

E8 Kebbulooni (Kiriasualaba)

E9 ABAKIITI

E9 Debiri

E10 Yaladi (Omukanani)

E10 ABAKEENI

E11 Akulabbimu

F4 ABAGIRUGAASI

F6 Sekemu

F7 ABAPERIZI

F7 Girugaali

F7 Yeriko

F8 Yerusaalemi

G2 ABAKIIVI

G2 Ddaani (Lesemu)

G3 Kazoli

BUFOYINIIKI (F2)

E2 Ttuulo

F1 Sidoni

EDOMU (F12)

F11 SEYIRI

G11 Bozula

AMONI (SIKONI) (G8)

G6 GIREYAADI

G7 Sittimu

G7 Kesuboni

G9 Aloweri

BUSUULI (H1)

G1 Baalugadi

G2 Abakiivi

I1 Ddamasiko

MOWAABU (H10)

ABAAMOLI (OG) (I5)

G6 GIREYAADI

H3 BESUSEANI

H4 Asutaloosi

H4 Ederei

AMOLI (I7)

H7 Labba

[Amalungu]

H12 EDDUNGU LYA BUWALABU

[Ensozi]

E4 Olusozi Kalumeeri

E11 Olusozi Koola

G1 Olusozi Kerumooni

G8 Olusozi Nebo

[Ennyanja]

C6 Ennyanja Meditereniyani (Ennyanja Ennene)

F9 Ennyanja ey’Omunnyo

G4 Ennyanja ey’e Ggaliraaya

[Emigga]

B11 Ekiwonvu kya Misiri

F6 Omugga Yoludaani

G6 Ekiwonvu Yaboki

G9 Ekiwonvu Alunoni

G11 Ekiwonvu Zeredi

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]

Ku Ddyo: Kabaka Ogi Omwamoli yafuga Basani ekifo ekyali kimanyiddwa ennyo olw’ente n’endiga

Wansi: Mowaabu, ng’otunuulira emitala w’Ennyanja ey’Omunnyo okutuuka ku ddungu lya Yuda

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 11]

Yakuwa yalagira Abaisiraeri okusiguukulula amawanga agaali gasinza bakatonda ab’obulimba nga Baali, Moleki, ne katonda omukazi ayaza ebintu, Asutaloosi (alagiddwa)