Obukristaayo Busaasaana mu Bifo Ebirala
Obukristaayo Busaasaana mu Bifo Ebirala
’ALI ku Lusozi Zeyituuni okumpi ne Bessaniya, Yesu yatandikawo omulimu ogw’okubuulira ogwandikyusizza ebyafaayo by’ensi. Gwali gwa kutandikira bugwanjuba mu Yerusaalemi mayilo nga bbiri okuva ku Lusozi Zeyituuni. Obubaka bwali bwa kulangirirwa mu bitundu ebiriraanyeewo ebya Buyudaaya ne Samaliya, oluvanyuma butuuke ku ‘nkomerero y’ensi.’—Bik 1:4, 8, 12.
Nga wayiseewo akaseera katono oluvannyuma lwa Yesu okwogera ebigambo ebyo, Embaga ya Pentekoote yasomba Abayudaaya n’abakyufu okuva mu Bwakabaka bwonna obwa Rooma, ne mu bifo ebiragibwa ku mmaapu eri wansi. Okubuulira kw’omutume Peetero ku lunaku olwo kwasobozesa Obukristaayo okusaasaana amangu.—Bik 2:9-11.
Mangu ddala okuyigganyizibwa mu Yerusaalemi kwasaasaanya abagoberezi ba Kristo. Peetero ne Yokaana baayamba Abasamaliya okuwulira n’okukkiriza amawulire amalungi. (Bik 8:1, 4, 14-16) Oluvannyuma lwa Firipo okuwa obujulirwa eri Omwesiyopiya mu kkubo ly’e ddungu ‘eriva e Yerusaalemi okutuuka e Gaaza,’ Obukristaayo bwatuuka mu Afirika. (Bik 8:26-39) Mu kiseera kye kimu, obubaka buno bwavaamu ebibala mu Luda, mu nsenyi za Saloni, ne ku mwalo gwa Yopa. (Bik 9:35, 42) Peetero bwe yava wano yagenda e Kayisaliya n’ayamba omuduumizi w’eggye Omuruumi ayitibwa Koluneeriyo, ab’eŋŋanda ze ne mikwano gye okufuuka Abakristaayo abaafukibwako amafuta.—Bik 10:1-48.
Pawulo eyayigganyanga Abakristaayo, yafuuka omutume eri ab’amawanga. Yayitira ku lukalu era n’akozesa n’emmeeri mu ŋŋendo ze essatu ez’obuminsani, era olugendo lwe lwamutuusa mu Rooma. Omutume ono era n’abalala baasaasaanya amawulire amalungi mu bitundu bingi eby’Obwakabaka Laba olupapula 2.), ate Peetero ye yatuuka mu Babulooni ekyali ebuvanjuba. (1Peet 5:13) Mazima ddala, wansi w’obukulembeze bwa Kristo, abagoberezi Be baasaasaanya Obukristaayo mu bitundu ebirala. Omwaka 60/61 C.E., we gwatuukira, ‘amawulire amalungi gaali gamaze okubuulirwa mu butonde bwonna obuli wansi w’eggulu.’ (Bak 1: 6, 23) Okuva olwo, amawulire gano amalungi gatuukidde ddala ‘mu bitundu byonna eby’ensi.’
bwa Rooma. Pawulo yali ayagala nnyo okutuuka mu Sipeyini ([Akasanduuko akali ku lupapula 32]
BANO BAAVA . . .
Abayudaaya n’abakyufu abaawulira amawulire amalungi ku Pentekoote 33 C.E., baali bava mu Bupaazi, Bumeedi, Eramu, Mesopotamiya, Buyudaaya, Kapadokiya, Ponto, Asiya, Fulugiya, Panfuliya, Misiri, Libiya, Rooma, Kuleete, ne Buwalabu. Bangi baabatizibwa. Olowooza baakola ki bwe baddayo ewaabwe?
[Akasanduuko akali ku lupapula 33]
EBIBIINA OMUSANVU
Yesu yasindika obubaka eri ebibiina omusanvu mu Asiya Omutono. Weetegereze we bisangibwa ku mmaapu: Efeso ne Sumuna biri ku lubalama; Perugamo, Firaderufiya ne Lawodikiya biri ku lukalu; Ludda ne Suwatira biri kumpi n’omugga; ne Saadi, kiri ku kkubo ekkulu ery’abasuubuzi. Ebyo ebisimiddwa mu ttaka mu bibuga bino bikakasa nti Baibuli eyogera ku bifo ebyaliwo ddala.
[Mmaapu eri ku lupapula 32]
(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu katabo)
Okusaasaana Obukristaayo
Ebifo Amawulire Amalungi Gye Gaatuuka Amangu
B1 IRULIKO
B1 ITALIYA
B1 Rooma
C1 MAKEDONI
C2 BUYONAANI
C2 Asene
C2 KULEETE
C3 Kuleene
C3 LIBIYA
D1 BISUNIYA
D2 GGALATIYA
D2 ASIYA
D2 FULUGIYA
D2 PANFULIYA
D2 KUPULO
D3 MISIRI
D4 BUWESIYOPYA
E1 PONTO
E2 KAPADOKIYA
E2 KIRUKIYA
E2 MESOPOTAMIYA
E2 BUSUULI
E3 SAMALIYA
E3 Yerusaalemi
E3 BUYUDAAYA
F2 BUMEDI
F3 Babulooni
F3 ERAMU
F4 BUWALABU
G2 BUPAAZI
[Ennyanja]
C2 Ennyanja Meditereniyani
D1 Ennyanja Enzirugavu
E4 Ennyanja Emmyufu
F3 Ekyondo kya Buperusi
[Mmaapu eri ku lupapula 32, 33]
(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu katabo)
EŊŊENDO ZA PAWULO
Olugendo lw’Obuminsani Olwasooka (Bik 13:1–14:28)
H3 Antiyokiya (eky’e Busuuli)
H3 Serukiya
G4 kupulo
G3 Salamini
G4 Pafo
G3 PANFULIYA
F3 Peruga
F3 PISIDIYA
F2 Antiyokiya (eky’e Pisidiya)
G2 IIkoniyo
G2 ILUKAONIYA
G2 ILusitul
G3 Derube
G2 Lusitul
G2 Ikoniyo
F2 Antiyokiya (eky’e Pisidiya)
F2 Ikoniyo
F3 PISIDIYA
G3 PANFULIYA
F3 Peruga
F3 Ataliya
H3 Antiyokiya (eky’e Pisidiya)
Olugendo lw’Obuminsani Olw’okubiri (Bik 15:36–18:22)
H3 Antiyokiya (eky’e Busuuli
H3 BUSUUI
H3 KIRUKIYA
H3 Taluso
G3 Derube
G2 Lusitula
G2 Ikoniyo
F2 Antiyokiya (eky’e Pisidiya)
F2 FULUGIYA
G2 GGALATIYA
E2 MUSIYA
E2 Tulowa
E1 SAMOSERAKIYA
D1 Neyapoli
D1 Firipi
C1 MAKEDONI
D1 Anfipoli
D1 Ssessaloniika
D1 Beroya
C2 BUYONAANI
D2 Asene
D2 Kkolinso
D3 AKAYA
E2 Efeso
G4 Kayisaliya
H5 Yerusaalemi
H3 Antiyokiya (eky’e Busuuli)
Olugendo lw’Obuminsani Olw’okusatu (Bik 18:22–21:19)
H3 BUSUULI
H3 Antiyokiya (eky’e Busuuli)
G2 GGALATIYA
F2 FULUGIYA
H3 KIRUKIYA
H3 Taluso
G3 Derube
G2 Lusitula
G2 Ikoniyo
F2 Antiyokiya (eky’e Pisidiya)
E2 Efeso
E2 ASIYA
E2 Tulowa
D1 Firipi
C1 MAKEDONI
D1 Anfipoli
D1 Ssessaloniika
D1 Beroya
C2 BUYONAANI
D2 Asene
D2 Kkolinso
D1 Beroya
D1 Ssessaloniika
D1 Anfipoli
D1 Firipi
E2 Tulowa
E2 Aso
E2 Mituleene
E2 KIYO
E2 SAMO
E3 Mireeto
E3 Koosi
E3 RODO
F3 Patala
H4 Ttuulo
H4 Potolemaayi
G4 CKayisaliya
H5 Yerusaalemi
Olugendo lw’e Rooma (Bik 23:11–28:31)
H5Yerusaalemi
G4 Kayisaliya
H4 Sidoni
F3 Mula
F3 LUKIYA
E3 Kunido
D3 KULEETE
D4 KAWUDA
A3 MERITA
A3 SISIRI
A3 Sulakusa
A1 ITALIYA
B2 Regio
A1 Putiyooli
A1 Rooma
Enguudo Enkulu (Laba katobo)
[Ebibiina Musanvu]
E2 Perugamo
E2 Suwatira
E2 Saadi
E2 Sumuna
E2 Efeso
F2 Firaderufiya
F2 Lawodikiya
[Ebifo Ebirala]
E3 PATUMO
F2 Kkolosaayi
F5 Alegezandereya
F5 MISIRI
G1 BISUNIYA
G5 Yopa
G5 Luda
G5 Gaaza
H1 PONTO
H2 KAPADOKIYA
H4 Ddamasiko
H4 Pella
[Ennyanja]
D4 Ennyanja Meditereniyani
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 33]
Ebisaawe by’emizannyo mu Mireeto, ekibuga Pawulo mwe yasisinkanira abakadde abaava mu Efeso
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 33]
Ekyoto kya Zewu mu Perugamo. Abakristaayo mu kibuga kino baabeeranga awali “entebe ya Setaani”—Kub 2:13