Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okuva e Misiri Okutuuka mu Nsi Ensuubize

Okuva e Misiri Okutuuka mu Nsi Ensuubize

Okuva e Misiri Okutuuka mu Nsi Ensuubize

MU NSI yonna abantu bamanyi okununulibwa kw’Abaisiraeri okuva e Misiri. Naye kiki ekyali kirindiridde Musa n’abantu ba Katonda nga bamaze okusomoka Ennyanja Emmyufu? Baagenda wa era baatuuka batya ku Mugga Yoludaani okusobola okuyingira mu Nsi Ensuubize?

Ekigendererwa kyali kutuuka mu nsi ya Kanani, naye Musa teyakwata kkubo erisingayo okuba ery’okumpi erya mayilo nga 250 eriyitira ku lubalama lw’Ennyanja Meditereniyani era eryandibayisizza mu Bufirisuuti, ekitundu ky’omulabe. Era teyayita mu Mugomo gwa Sinaayi, ekifo ekyalimu akasana ak’amaanyi ennyo. Wabula, Musa yakulembera abantu okuyita ebukiika ddyo, ku lubalama lw’ennyanja. Okusooka baasiisira e Malayi, Yakuwa we yafuulira amazzi agakaawa agawoomerera. * Bwe baamala okuva Erimu, abantu beemulugunya olw’emmere; Katonda yabawa obugubi n’emmaanu. Bwe baatuuka e Lefidimu, baddamu nate okwemulugunya olw’amazzi, Abamaleki abaali balumbye baawangulwa, era ssezzaala wa Musa n’amukubiriza okufuna obuyambi bwa basajja abaalina obusobozi.​—Kuv sul. 15-18.

Oluvannyuma Musa n’akulembera abaana ba Isiraeri ne boolekera ensozi z’omu bukiika ddyo, ne basiisira ku Lusozi Sinaayi. Awo abantu ba Katonda baaweebwa Amateeka, baazimba eweema, era ne bawaayo ne ssaddaaka. Mu mwaka ogw’okubiri, baayolekera bukiika kkono ne bayita mu ‘ddungu ery’entiisa ennyo,’ era kirabika kyabatwalira ennaku 11 okutuuka e Kadesi (Kadesubaneya). (Ma 1:1, 2, 19; 8:15) Olw’okutya lipoota embi eyaleetebwa abakessi ekkumi, abantu baabundabunda okumala emyaka 38. (Kubal 13:1-14:34) Ebimu ku bifo bye baayimiriramu byali Yabulona ne Eziyonigeba, oluvanyuma ne baddayo e Kadesi.​—Kubal 33:33-36.

Ekiseera eky’okuyingira mu Nsi Ensuubize bwe kyatuuka, Abaisiraeri tebaayitira mu bukiika kkono. Ekkubo lye baakwata lyabeetoolooza Edomu okukkakkana nga bagudde mu “luguudo lwa Kabaka.” (Kubal 21:22; Ma 2:1-8) Tekyali kyangu eri eggwanga lyonna eryalimu abaana, ebisolo, n’eweema okuyita mu kkubo lino. Lyalina okwetooloola, okukka era n’okwambuka okuva mu kiwonvu ekya Zeredi ne Alunoni (obuwanvu bwakyo bwali nga ffuuti 1,700).​—Ma 2:13, 14, 24.

Mu nkomerero Abaisiraeri baatuuka ku Lusozi Nebo. Miryamu yali amaze okufiira e Kadesi, Alooni ku Lusozi Koola; kati awo Musa n’afa nga amaze okulengera ensi gye yali yeegomba ennyo okuyingiramu. (Ma 32:48-52; 34:1-5) Obuvunaanyizibwa bwali busigalidde Yoswa okukulembera Isiraeri okutuuka mu Nsi Ensuubize, ne kikomekkereza olugendo olwatandika emyaka 40 emabega.​—Yos 1:1-4.

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 3 Ebifo byennyini we baasiisiranga tebimanyiddwa.

[Akasanduuko akali ku lupapula 8]

EBITABO BYA BAIBULI EBYAWANDIIKIBWA OKUVA MU KISEERA KINO:

Olubereberye

Okuva

Eby’Abaleevi

Okubala

Ekyamateeka

Yobu

Zabbuli (ekitundu)

[Mmaapu eri ku lupapula 9]

(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu katabo)

Enguudo Enkulu

Ekkubo Abasuubuzi lye Baayitangamu

A7 MISIRI

A5 Lamesesi?

B5 Sukkosi?

C5 Yesamu?

C5 Pikakirosi

D6 Mala

D6 Erimu

E6 EDDUNGU LYA ZINI

E7 Dofuka

F8 Lefidimu

F8 Olusozi Sinaayi (Kolebu)

F8 EDDUNGU LYA SINAAYI

F7 Kibero-sukataavu

Gf Kazerosi

G6 Limoniperezi

G5 Lisa

G3 Kadesi

G3 Beneyakani

G5 Kolukagidugadi

H5 Yotubasa

H5 Yabulona

H6 Eziyonigeba

G3 Kadesi

G3 EDDUNGU LYA ZINI

H3 Lusozi Koola

H3 Zalumona

I3 Punoni

I3 Iyeabalimu

I2 MOWAABU

I1 Diboni

I1 Yalumonu-dibulasaimu

H1 Yeriko

[Ebifo Ebirala]

A3 GOSENI

A4 Oni

A5 Menfisi (Noofu)

B3 Zowani

B3 Tapanesi

C5 Migudooli

D3 SSUULI

D5 EDDUNGU ERY’E ETHAMI

F5 EDDUNGU ERY’E PALANI

G1 BUFIRISUUTI

G1 Asudodi

G2 Gaza

G2 Beeruseba

G3 Yazimoni

G3 NEGEBU

H1 Yerusaalemi

H1 Kebbulooni (Kiriasualaba)

H2 Yaladi (Omukanani)

H4 SEYIRI

H4 EDOMU

I7 MIDIYAANI

Enguudo Enkulu

Ekkubo Erigenda mu Nsi y’Abafirisuuti

Ekkubo Erigenda e Ssuuli

Oluguudo lwa Kabaka

Ekubo Abasuubuzi lye bakozesanga

Ekkubo Erigenda El Haj

[Ensozi]

F8 Olusozi Sinaayi (Kolebu)

H3 Lusozi Koola

I1Oluzozi Nebo

[Ennyanja]

E2 Ennyanja Meditereniyani (Ennyanja Ennene)

D7/G7 Ennyanja Emmyufu

I1 Ennyanja y’Omunnyo

[Emigga]

A6 Omugga Nile

F3 Ekiwonvu kya Misiri

I2 Alunoni

I3 Zeredi

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 8]

Abasuubuzi baasomokeranga mu Mugomo gwa Sinaayi

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 8]

Isiraeri yasiisira mu maaso g’Olusozi Sinaayi

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula  9]

Amazzi gaafunibwa okuva mu nsulo okumpi ne Kadesi

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula  9]

Isiraeri yonna yalina okuyitira mu kiwonvu kya Alunoni