‘Yakuwa Bwe Yayimusaawo Abalamuzi’
‘Yakuwa Bwe Yayimusaawo Abalamuzi’
OSOBOLA okuzuula mu bwangu Olusozi Taboli (F4) ku mmaapu—obukiika ddyo w’ebugwanjuba w’Ennyanja Ggaliraaya, mu Kiwonvu kya Yezureeri. Gezaako okukuba ekifaananyi ng’eggye ery’abantu 10,000 likuŋŋaanidde waggulu ku lusozi. Yakuwa yakozesa Omulamuzi Balaki ne nnabbi omukazi Debola okukunga Isiraeri okulwanyisa Kabaka Yabini eyali anyigirizza abantu okumala emyaka 20. Wansi w’omugabe w’eggye Sisera, amagaali ga Yabini 900 agaaliko ebissi eby’ekyuma gaava e Kalosesi ne gatuuka ku Mugga Kisoni ogwali gukalidde, oguli mu makkati ga Megiddo n’Olusozi Taboli.
Omulamuzi Balaki yakulembera Abaisiraeli okutuuka mu kiwonvu okwaŋŋanga amagye ga Sisera. Yakuwa yasobozesa Abaisiraeri okutuuka ku buwanguzi ng’asindika amataba agaaleetera amagaali ga Sisera okutubira; kino kyatiisa nnyo Abakanani. (Balam 4:1–5:31) Buno bwe bumu ku buwanguzi Katonda bwe yawa Abaisiraeri mu kiseera ky’Abalamuzi.
Nga bamaze okuwamba Kanani, ensi yagabanyizibwamu eri ebika bya Isiraeri. Weetegereze ebifo ebika ebitali bya Baleevi gye byasenga. Ekika ekitono ekya Simyoni kyafuna ebibuga mu kitundu kya Yuda. Yoswa bwe yamala okufa, eggwanga lyaddirira mu by’omwoyo ne mu mpisa. Abaisiraeri ‘beeraliikirira nnyo,’ nga banyigirizibwa abalabe baabwe. Ng’akwatiddwa ekisa, ‘Yakuwa yayimusaawo abalamuzi—abasajja 12 abaalina okukkiriza n’obuvumu—abaanunula Isiraeri okumala emyaka bisatu egyaddirira.—Balam 2:15, 16, 19.
Omulamuzi Gidiyoni, yakozesa abaserikale 300 abataalina byakulwanyisa bingi kyokka nga ba maanyi nnyo okuwangula abalwanyi nnamige Abamidiyani abaali bawera 135,000. Eddwaniro lyali wakati w’Olusozi Girubowa ne Mmoole. Oluvannyuma lw’obuwanguzi obwasooka, Gidiyoni yawondera abalabe okwolekera ebuvanjuba yogaayoga mu ddungu.—Balam 6:1–8:32.
Yefusa, Omugireyaadi ow’ekika kya Manase, yanunula ebibuga bya Isiraeri ebyali ebuvanjuba bwa Yoludaani, ebyali biwambiddwa Abaamoni. Okusobola okugenda mu maaso n’obuwanguzi okuva e Lamosugireyaadi okutuuka Aloweri n’okweyongerayo, kirabika Yefusa yakozesa Oluguudo lwa Kabaka.—Balam 11:1–12:7.
Obuwanguzi bwa Samusooni ku Bafirisuuti okusingira ddala bwali mu kitundu ky’olubalama okumpi ne Gaaza ne Asekuloni. Gaaza kisangibwa mu kifo ekyalimu emigga n’ensulo ekyali kimanyiddwa olw’obulimi. Samusooni yakozesa ebibe 300 okukuma omuliro mu nnimiro awamu n’ensuku z’emizayituuni ez’Abafirisuuti.—Balam 15:4, 5.
Okusinziira ku Baibuli era ne ku bika bye baavangamu, abalamuzi baaweereza mu bitundu ebitali bimu mu Nsi yonna Ensuubize. Yonna abantu be gye baabeeranga, Yakuwa yabalabiriranga bulungi nnyo mu biseera ebizibu.
[Mmaapu eri ku lupapula 15]
(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu katabo)
Ebika n’Abalamuzi
Abalamuzi
1. Osunieri (Ekika kya Manase)
2. Ekudi (Ekika Yuda)
3. Samugali (Ekika Yuda)
4. Balaki (Ekika Nafutaali)
5. Gidiyoni (Ekika Isakaali)
6. Toola (Ekika Manase)
7. Yayiri (Ekika Manase)
8. Yefusa (Ekika Gaadi)
9. Ibuzaani (Ekika Asa)
10. Eroni (Ekika Zebbulooni)
11. Abudoni (Ekika Efulayimu)
12. Samusooni (Ekika Yuda)
Emigabo gy’Ebika (Laba akatabo)
Ebibuga Ebyaterekerwa Manase
E4 Doli
E5 Megiddo
E5 Taanaki
F4 Endoli
F5 Besuseani (Besusani)
F5 Ibuleamu (Gesulimmoni)
Ebibuga Ebyaterekerwa Simyoni
C9 Salukeni (Saalayimu) (Sirukimu)
C10 Besuleboasi (Besubiri)
D8 Eseri (Tokeni)
D9 Zikulagi
D9 Ayini
D9 Kazalususa?
D9 Asani
D9 Beeruseba
D10 Kazalusuali
E9 Ezemu
E9 Besu-malukabosi
E9 Besweri? (Kyesiri)
E9 Seba? (Yesuwa)
E10 Baalasubeeri (Baali)
E10 Etamu
Ebibuga bya Leevi eby’Okuddukiramu
E8 Kebbulooni
F3 Kedesi
F6 Sekemu
H4 Golani
H5 Lamosugireyaadi
H8 Bezeri
Enguudo Enkulu
B10 Via Maris
G10 Oluguudo lwa Kabaka
Ebika Bya Isiraeri
DDAANI (D7)
D7 Yafo
E8 Zola
YUDA (D9)
C8 Asukulooni
C9 Gaza
C9 Salukeni (Saalayimu) (Sirukimu)
C10 Besuleboasi (Besubiri)
C12 Azumoni
C12 Kadesi
D7 Yabuneeri
D8 Eseri (Tokeni)
D9 Zikulagi
D9 Ayini
D9 Kazalususa?
D9 Asani
D9 Beeruseba
D10 Kazalusuali
E8 Leki
E8 Besirekemu
E8 Kesuboni
E9 Ezemu
E9 Besu-malukabosi
E9 Besweri? (Kyesiri)
E9 Seba? (Yesuwa)
E10 Baalasubeeri (Baali)
E10 Ezemi
F8 Yerusaalemi
ASA (E3)
E2 Ttuulo
E4 Kalosesi
E4 Doli
F1 Sidoni
MANASE (E5)
E6 Samiri (Samaliya)
E6 Pirasoni
F6 Sekemu
G5 Aberumekola
EFULAYIMU (E7)
E7 Timunasuseera
F6 Tappua
F6 Siiro
F7 Beseri (Luzi)
NAFUTAALI (F3)
F2 Besuanasi
F3 Kedesi
G3 Kazoli
ZEBBULOONI (F40)
E4 Besirekemu
ISAKAALI (F5)
E5 Megiddo
E5 Kadesi (Kisioni)
E5 Taanaki
F4 Endoli
F5 Besusiita
F5 Besuseani (Besusani)
F5 Ibuleamu (Gesulimmoni)
BENYAMINI (F7)
F7 Girugaali
DDAANI (G2)
G2 Ddaani (Layisi)
MANASE (H3)
H4 Golani
LEWUBEENI (H8)
G7 Kesuboni
G9 Aloweri
H7 Minnisi
H8 Beseri
GAADI (H6)
G6 Sukkosi
G6 Penueri
G6 Mizupa (Mizupe)
G7 Yogubeka
H5 Lamosugireyaadi
H7 Labba
H7 Aberukeramimu
[Ebifo Ebirala]
I1 Ddamasiko
[Ensozi]
F4 Olusozi Taboli
F4 Moliya
F5 Olusozi Girubowa
F5 Olusozi Ebali
F6 Olusozi Gerizimu
[Ennyanja]
C5 Ennyanja Meditereniyani (Ennyanja Ennene)
F6 Ennyanja ey’Omunnyo
G4 Ennyanja ey’e Ggaliraaya
[Emigga]
B11 Ekiwonvu ky’e Misiri
F6 Omugga Yoludaani
G6 Ekiwonvu kya Yaboki
G9 Ekiwonvu ky’Alunoni
G11 Ekiwonvu kya Zeredi
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 14]
Olusozi Taboli, mu kitundu kya Isaaka, luli waggulu w’Ekiwonvu kya Yezureeri
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 14]
Omugga Kisoni gwayanjaala ne gutubiza amagaali ga Sisera