Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yerusaalemi ne Yeekaalu Yesu Bye Yali Amanyi

Yerusaalemi ne Yeekaalu Yesu Bye Yali Amanyi

Yerusaalemi ne Yeekaalu Yesu Bye Yali Amanyi

YESU bwe yazaalibwa, Yusufu ne Maliyamu baamutwala mu kibuga Yerusaalemi, ekyali kikwataganyizibwa n’erinnya lya Kitaawe ow’omu ggulu. (Luk 2:22-39) Ku myaka 12, Yesu yaliwo mu kibuga ekyo ku mbaga ey’Okuyitako. Yawuniikiriza abasomesa mu yeekaalu olw’okutegeera kwe. (Luk 2:41-51) Omulimu ogwakolebwa ku yeekaalu, gwali kitundu kya nteekateeka ey’okuzimba eya Kerode Omukulu. Enteekateeka eyo yatwala “emyaka amakumi ana mu mukaaga.”​—Yok 2:20.

Mu kiseera eky’obuweereza bwe, Yesu yabangawo ku mbaga mu Yerusaalemi, era yateranga okuyigiriza ebibiina by’abantu ebyabangawo. Emirundi ebiri yagoba abaali bawaanyisa ffeeza n’abasuubuzi okuva mu luggya lwa yeekaalu.​—Mat 21:12; Yok 2:13-16.

Mu bukiika kkono bwa yeekaalu, ku kidiba kya Besuseba, Yesu yawonya omusajja eyali alwadde okumala emyaka 38. Era Omwana wa Katonda yazibula amaaso ga muzibe ng’amugamba okunaaba mu kidiba kya Sirowamu ekyali mu kitundu ky’omu bukiika ddyo bw’ekibuga.​—Yok 5:1-15; 9:1, 7, 11.

Yesu yateranga okukyalira mikwano gye Lazaalo, Maliyamu, ne Maliza e Bessaniya, “ekyali mayilo nga bbiri” mu buvanjuba bwa Yerusaalemi. (Yok 11:1, 18; 12:1-11; Luk 10:38-42; 19:29; laba “Ekitundu kya Yerusaalemi,” olupapula 18.) Ng’ebulayo ennaku ntono afe, Yesu yagenda e Yerusaalemi ng’ayitira ku Lusozi Zeyituuni. Kuba ekifaananyi ng’ayimiridde atunula ebugwanjuba w’ekibuga era ng’akaaba olw’ekyo ekyali kigenda okukituukako. (Luk 19:37-44) Bye yalaba biyinza okuba bifaananako ebyo by’olaba waggulu ku lupapula oluddako. Awo oluvannyuuma n’ayingira mu Yerusaalemi ng’atudde ku ndogoyi, kirabika ng’ayitira mu mulyango ogw’ebuvanjuba. Ebibiina by’abantu byamutendereza nga Kabaka wa Isiraeri ow’omu kiseera eky’omu maaso.​—Mat 21:9-12.

Ebintu ebikulu ebyaliwo nga Yesu tannafa, byali kumpi ne Yerusaalemi oba munda waakyo: mu lusuku lwa Gesusemane, Yesu gye yasabira; ekisenge ky’Olukiiko Olukulu; ennyumba ya Kayaafa; Olubiri lwa Gavana Piraato ne Gologoosa.​—Mak 14:32, 53–15:1, 16, 22; Yok 18:1, 13, 24, 28.

Oluvannyuma lw’okuzuukizibwa, Yesu yalabibwa mu Yerusaalemi n’ebitundu ebiriraanyewo. (Luk 24:1-49) Oluvannyuma n’alinnya mu ggulu ng’ali ku Lusozi Zeyituuni.​—Bik 1:6-12.

[Ekipande ekiri ku lupapula 31]

Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu katabo)

Yerusaalemi/Yeekaalu ya Kerode

Ebiri mu Yeekaalu

1. Awasinga Obutukuvu

2. Awatukuvu

3. Ekyoto ky’Ebiweebwayo Ebyokye

4. Ennyanja Ensaanuuse

5. Oluggya lwa Bakabona

6. Oluggya lwa Isiraeri

7. Oluggya lw’Abakazi

8. Oluggya lwa Bannaggwanga

9. Ekisenge (Soregi)

10. Empagi za Kabaka

11. Empagi za Suleemani

YEEKALU

Wankaaki

 

Oluggya lwa Bakabona

Gate

Awasinga Ekyoto ky’

Obutukuvu Obutukuvu Ebiweebwayo Oluggya lwa Oluggya lwa

Ebyokye Isiraeri Abakazi

Ennyanja

Ensaanuusa

 

 

Wankaaki Sulemaani

Ekisenge (Soregi) Empagi

 

Oluggya lwa Bannaggwanga

 

Wankaaki

Empagi za Kabaka

 

Wankaaki

Omunaala gwa Antoniyo

Olutindo

Ekisimbe ky’Olukiiki Olukulu?

EKIWONVU KYA TULOPIYONI

Ekidiba kya Siromu

Omwala

Ennyuba ya Kayaafa?

Oluggya lwa Gavana

Gologoosa?

Gologosa?

Ekidiba kya Besesuda

ekitundi wa Yerusaalemi?

OLUSUKU LYA GESUSEMANE

EKIWONVU KYA KIDULOONI

Oluzzi lwa Gikoni

Enerogeri

EKIWONVU KYA KINOMU (GGEYEENA)

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 30]

Ebirabibwa ng’otunudde ebuvanjuba wa Yerusaalemi eky’omu kiseera kyaffe: (A) ekitundu kya yeekaalu, (B) olusuku lwa Gesusemane, (C) Olusozi Zeyituuni, (D) eddungu lya Yuda, (E) Ennyanja Enfu

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]

Ebyalabibwa ng’otunudde ebugwanjuba okuva ku Lusozi Zeyituuni mu kiseera kya Yesu