Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yerusaalemi ne Yeekaalu ya Sulemaani

Yerusaalemi ne Yeekaalu ya Sulemaani

Yerusaalemi ne Yeekaalu ya Sulemaani

YERUSAALEMI kyali kiyitibwa “obulungi obutuukiridde” era “ekibuga ekya Kabaka omukulu.” (Zab 48:2; 50:2; Kung 2:15) Yerusaalemi kye kyali ekibuga ekikulu eky’eggwanga lya Katonda. (Zab 76:2) Oluvannyuma lwa Dawudi okukiwamba okuva ku Bayebusi era n’akifuula ekibuga kye ekikulu, kyayitibwa “Ekibuga kya Dawudi,” oba “Sayuuni.”​—2Sam 5:7.

Wadde nga tekyali mu kifo kirungi nnyo, Yerusaalemi kyatutumuka olw’okuba kyali kikwataganyizibwa n’erinnya lya Katonda. (Ma 26:2) Kye kyali ekitebe ekikulu eky’eddiini era eky’obufuzi mu eggwanga eryo.

Yerusaalemi kiri ku bugulumivu bwa ffuuti 2,500 mu nsozi ez’omu masekkati ga Buyudaaya. Baibuli eyogera ku ‘bugulumivu’ bwakyo, era eyogera ku basinza nga “balinnya waggulu” okukituukako. (Zab 48:2; 122:3, 4) Ekibuga kino eky’edda kyali kyetooloddwa ebiwonvu: Ekiwonvu kya Kinomu mu bugwanjuba n’ebukiika ddyo ate ekiwonvu kya Kidulooni mu buvanjuba. (2Bassek 23:10; Yer 31:40) Ensulo ya Gikoni * mu Kiwonvu kya Kidulooni ne Enerogeri ebyali mu bukiika ddyo, mwe mwavanga amazzi amalungi agaali ag’omugaso naddala mu kiseera nga balumbiddwa abalabe.​—2Sam 17:17.

Ku kifaananyi ekiri ku lupapula 21, Ekibuga kya Dawudi kiri mu langi mmyufu. Mu kiseera ky’obufuzi bwa Dawudi ne Sulemaani, ekibuga kino kyagaziwa ne kituuka mu bukiika ddyo ne kizingiramu Oferi (langi eya kiragala) n’Olusozi Moliya (mu langi eya bbululu). (2Sam 5:7-9; 24:16-25) Sulemaani yazimbira Yakuwa yeekaalu etemagana ku lusozi olwo. Kuba ekifaananyi nga abasinza bangi beekulumulula eri ‘olusozi lwa Yakuwa’ ku mbaga ezaabangawo buli mwaka! (Zek 8:3) Amakubo agalagibwa ku lupapula 17 ge baakozesanga.

Yeekaalu ya Sulemaani eyali etonaatoneddwa ne zaabu awamu n’amayinja ag’omuwendo, yali emu ku bizimbe ebyatwala ssente ennyingi ebyali bizimbiddwa. Ekisinga obukulu, Yakuwa ye yakola pulaani yaayo. Nga bw’olaba mu kifaananyi, yeekaalu yali yeetooloddwa oluggya n’ebizimbe omwatuulanga abakungu. Ebirala ebisingawo wandifubye okubisoma.​—1Bassek 6:1–7:51; 1Byom 28:11-19; Beb 9:23, 24.

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 4 Kabaka Keezeekiya yawunjula oluzzi luno era n’azimba omwala ogwali gugenda ku kidiba ekiri ku ludda lw’ebugwanjuba.​—2Byom 32:4, 30.

[Akasanduuko akali ku lupapula 21]

Ekiseera bwe kyayitawo, Yerusaalemi yagaziwa okutuuka mu bugwanjuba ne mu bukiika kkono. Bakabaka ba Buyudaaya abaddawo oluvannyuma lwa Sulemaani baakizimbako bbuggwe ne wankaaki. Okunoonyereza okw’abo abayiikuula eby’edda kuyinza okututangaaza ku kifo ekituufu bbuggwe we yali azimbiddwa. Ekibuga kino kyazikirizibwa mu 607 B.C.E., ne kisigala nga kiri matongo okumala emyaka 70. Oluvannyuma lw’emyaka 80 ng’Abayudaaya bakomyewo mu nsi yaabwe, Nekkemiya yawoma omutwe mu kaweefube ow’okuddamu okuzimba bbuggwe wa Yerusaalemi.

[Ekipande/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 21]

(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu katabo)

YEEKAALU WE YALI MU KISEERA KYA SULEMAANI

Ebiri mu Yeekaalu

1. Awasinga Obutukuvu

. Awatukuvu

3. Ekisasi

4. Bowaazi

5. Yakini

6. Ekyoto eky’Ekikomo

7. Ennyanja Ensaanuuse

8. Entebe

9. Ebisenge eby’Oku Bbali

10. Ebisenge aw’Okuliira

11. Oluggya olw’Omunda

EKIFO KYA YEEKAALU

Olusozi Moliya

Ebisenge aw’Okuliira

Entebe

 

Ebisenge eby’Oku Bbali

Awasinga Bowaazi

Obutukuvu Obutukuvu Porch Ekyoto Oluggya Yakini eky’Ekikomo olw’Omunda

 

Entebe Ennyanja

Ensaanuuse

 

Oferi

Ekifo kya Lukale?

Omulyango ogw’Amazzi?

EKIBUGA KYA DAWUDI

Olusozi Sayuuni

Olubiri lwa Dawudi

Omulyango gw’Oluzzi

Bbuggwe wa Manase?

Ekigo kya Kananeri

Ekigo kya Kammeya

Omulyango ogw’Endiga

Omulyango ogw’Abakuumi

Omulyango gwa Kammifudaaki

Omulyango ogw’Embalaasi

EKIWONVU KYA KIDULOONI

Bbugwe owa Wansi?

Gikoni

Omwala gw’Amazzi ogw’Oluvannyuma

EKIWONVU KYA WAKATI

Omulyango Ogwokeddwa Omuliro (Obusa)

Enerogeri

Oluggya Olukulu

EKIWONVU KYA KINOMU

Omulyango gw’Oku Nsonda

Ekigo eky’Ebikoomi

Bbuggwe Omuggazi

Omulyango gwa Efulayimu

Ekifo kya Lukale

Omulyango gw’Ekibuga ogw’Edda

Bbugwe w’omu Bukiika Kkono Eyasooka

OLUUYI OLW’OKUBIRI

Omulyango ogw’Ebyennyanja

[Ekifaananyi]

Oferi

Ennyumba ya Muwala wa Falaawo

Olubiri lwa Sulemaani

Ennyumba ey’Ekibira kya Lebanooni

Ekisasi n’Empagi

Ekisasi ky’Entebe

Olusozi Moliya

Omulyango gw’Omu Kiwonvu

Yeekaalu

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]

Mu Maaso: “Ekibuga kya Dawudi” we kyali kisangibwa. Yeekaalu yali mu kitundu eky’omuseetwe (wansi ku ddyo)

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]

Enfaanana ‘y’Ekibuga kya Dawudi’ eky’edda ne yeekaalu ya Sulemaani