Yesu “mu Nsi y’Abayudaaya”
Yesu “mu Nsi y’Abayudaaya”
NG’AWA obujulirwa eri Koluneeriyo, omutume Pawulo yamenya ebintu Yesu bye yakolera “mu nsi y’Abayudaaya ne mu Yerusaalemi.” (Bik 10:39) Olowooza bifo ki bye yagendamu ng’ali mu buweereza bwe obwali obukulu ennyo mu byafaayo by’abantu?
‘Ensi y’Abayudaaya’ yali ezingiramu Buyudaaya, Yesu gye yakolera egimu ku mirimu gya Katonda. (Luk 4:44) Oluvannyuma lw’okubatizibwa, Yesu yamala ennaku 40 mu ddungu lya Yuda, (oba, Buyudaaya), ekifo ekyali ekikalu era ekyesudde, omwateranga okubeera abayeekera n’ababbi. (Luk 10:30) Nga wayiseewo akaseera katono, Yesu bwe yali ayolekera ebukiika kkono ng’ava e Buyudaaya, yabuulira omukazi Omusamaliya okumpi n’e Sukali.—Yok 4:3-7.
Bwe twekenneenya Enjiri tulaba nga Yesu yasinga kubuulira mu Ggaliraaya. Wadde nga yagendanga mu bukiika ddyo e Yerusaalemi ku mbaga ezaabangawo buli mwaka, kumpi emyaka ebiri egyasooka egy’obuweereza bwe yagimalira mu kitundu eky’omu bukiika kkono obw’Ensi Ensuubize. (Yok 7:2-10; 10:22, 23) Ng’ekyokulabirako, yabategeeza enjigiriza enkulu nnyingi nnyo n’akola n’eby’amagero eby’ekyewuunyo ng’ali ku lubalama ne ku nnyanja kwennyini ey’e Ggaliraaya. Jjukira nti yakkakkanya omuyaga gw’oku nnyanja eyo era n’atambulira nako. Yabuuliranga ebibinja by’abantu ebyali ku lukalu lw’ennyanja ng’atudde mu lyato. Abagoberezi be abasooka baava mu bavubi n’abalimi ab’omu kitundu ekyo.—Mak 3:7-12; 4:35-41; Luk 5:1-11; Yok 6:16-21; 21:1-19.
Mu buweereza bwe obw’omu Ggaliraaya Yesu yalinga ku lubalama e Kaperunawumu, mu “kibuga ky’ewaabwe.” (Mat 9:1) Ng’ali ku lusozi okumpi n’ekibuga ekyo yawa okubuulira okw’Oku ku Lusozi okumanyiddwa ennyo. Ebiseera ebimu yasaabaliranga mu lyato okuva e Kaperunawumu okutuuka e Magadani, Besusayida, oba mu bifo ebiriraanyewo.
Weetegereze nti “[e]kibuga ky’ewaabwe” tekyali wala na Nazaleesi, gye yakulira; tekyali wala na Kaana, gye yafuulira amazzi omwenge; tekyali wala na Nayini, gye yazuukiriza mutabani wa nnamwandu; era tekyali wala na Besusayida, gye yaliisiza abasajja 5,000 era n’azibula n’omusajja omuzibe w’amaaso mu ngeri ey’eky’amagero.
Oluvannyuma lw’embaga ey’Okuyitako nga 32 C.E., Yesu yagenda mu bukiika kkono e Ttuulo n’e Sidoni, emyalo gy’Abafoyiniiki. Okuva awo yagaziya obuweereza bwe okutuuka mu bibuga 10 eby’Abayonaani ebiyitibwa Dekapoli. Yesu yali kumpi ne Kayisaliya ekya Firipo (F2) Peetero gye yamutegeerera okuba Masiya, era amangu ddala oluvannyuma lw’ekyo, n’afuusibwa ku Lusozi Kerumooni. Nga wayiseewo akaseera, Yesu yabuulira mu kitundu ky’e Pereya, ebuvanjuba w’omugga Yoludaani.—Mak 7:24-37; 8:27–9:2; 10:1; Luk 13:22, 33.
Yesu yamala wiiki ye eyasembayo ku nsi ng’ali n’abayigirizwa be munda mu Yerusaalemi, “ekibuga kya Kabaka omukulu,” era n’okumpi waakyo. (Mat 5:35) Osobola okuzuula ku mmaapu eno ebifo ebiriraanyewo by’osomyeko mu Njiri, nga Emawo, Bessaniya, Besufaage ne Besirekemu.—Luk 2:4; 19:29; 24:13; laba “Ekitundu kya Yerusaalemi,” ku lupapula 18.
[Mmaapu eri ku lupapula 29]
(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu katabo)
Ensi Ensuubize (mu Biseera bya Yesu)
Ensi mu biseera bya Yesu
Ebibuga bya Dekapoli
E5 Hippo
E6 Pella
E6 Sikopolisi
F5 Gadala
F7 Gerasa
G5 Diyoni
G9 Firaderufiya
H1 Ddamasiko
H4 Lafanayo
I5 Kanasa
Enguudo Enkulo (Laba akatabo)
Ekkubo Ekkulu Eriva e Ggaliraaya Okutuuka e Yerusaalemi (Laba katabo)
Ekkubo Eddala Eriva e Ggaliraaya Okutuuka e Yerusaalemi, Eriyitira mu Pereya (Laba katabo)
A11 Gaaza
B6 Kayisaliya
B8 Yopa
B9 Luda
B12 Beeruseba
C4 Potolemaayi
C8 SAMALIYA
C8 Antipatuli
C8 Alimasaya
C9 Emawo
C10 BUYUDAAYA
C11 Kebbuloni
C12 IDUMAYA
D1 Sidoni
D2 Ttuulo
D3 BUFOYINIIKI
D4 GGALITAAYA
D4 Kaana
D5 Ssefolisi
D5 Nazaleesi
D5 Nayini
D7 Samaliya
D7 Sukali
D9 Efulayimu
D9 Besufaage
D9 Yerusaalemi
D9 Bessaniya
D10 Besirekemu
D10 Kerodiyamu
D10 EDDUNGU LYA YUDA
D12 Masada
E4 Kolaziini
E4 Besusayida
E4 Kaperunawumu
E4 Magadani
E5 Tiberiya
E5 Hippo
E6 Bessaniya? (emitala wa Yoludaani)
E6 Sikopolisi
E6 Pella
E6 Salimu
E6 Enoni
E9 Yeriko
F1 ABIREENE
F2 Kayisaliya Ekya Filipo
F4 Gamala
F5 Abira
F5 Gadara
F7 PEREYA
F7 Gerasa
G3 ITULIYA
G5 Diyoni
G6 DEKAPOLI
G9 Firaderufiya
H1 Ddamasiko
H3 TIRAKONITI
H4 Lafanayo
H12 BUWALABU
I5 Kanasa
[Ensozi]
D7 Olusozi Ebali
D7 Olusozi Gerizimu
F2 Olusozi Kerumooni
[Ennyanja]
B6 Ennyanja Meditereniyani (Ennyanja Ennene)
E4 Ennyanja Ggaliraaya
E10 Ennyanja ey’Omunnyo (Ennyanja Enfu)
[Emigga]
E7 Omugga Yoludaani
[Emigga]
D7 Oluzzi lwa Yakobo
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 28]
Ennyanja ey’e Ggaliraaya. Kaperunawumu kiri ku kkono mu maaso. Wano we tulaba wasangibwa bukiika ddyo w’ebugwanjuba ng’oyisiza Olusenyi lwa Genesaleeti
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 28]
Abasamaliya baasinzizanga ku Lusozi Gerizimu. Olusozi Ebali luli mabega