Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Engeri Gyetulilokolebwaamu Okuva mu Kibi n’Okufa

Engeri Gyetulilokolebwaamu Okuva mu Kibi n’Okufa

Engeri Gyetulilokolebwaamu Okuva mu Kibi n’Okufa

35 Ojjukira nga Adamu, omuntu eyasooka, yayonoona? Yafiirwa obulamu n’olusuku olulungi, naffe ffenna tuffa, kubanga tuli baana be.—Abaruumi 5:12; 3:23

36 Twalisobodde okufuna nate obulamu obutukirivu, singa omuntu omulala omutukirivu yaliwaddeyo obulamu bwe ku waffe, oba yatununula okuva mu kibi.—1 Abakkolenso 15:45; Abaruumi 5:19, 21

37 Yesu yali mwaana wa Katonda. Yali muntu mutukirivu. Teyayonoona.—Abaebbulaniya 5:9; 7:26

38 Yakiriza attibwe abantu abaali batagala Katonda.—Ebikolwa By’Abatume 2:23

Kuni kwaali kwewayo kwe nga ekiwebwaayo ku lwaffe.—1 Timoseewo 2:6

39 Yesu yazikibwa mu ntaana efananako nga empuku. Yamala ennaku ssatu nga mufu. Olwo Katonda namuzukiza.—Ebikolwa By’Abatume 2:24

40 Yaddayo mu ggulu. Kakano asobola okusaba Katonda okuyamba abo abagondera Katonda.—Abaebbulaniya 9:24; 1 Yokaana 2:1, 2