Ggwe Walisaanye Kukola Ki?
Ggwe Walisaanye Kukola Ki?
50 Ggwe oyagala okubaawo emirembe gyonna mu lusuku olulungi -paradaize?
Kale yiga ebisinga wo Katonda byagamba. Gezaako okuyiga okusoma Baibuli.—Yokaana 17:3; Okubikkulirwa 1:3
51 Yiga ebisingawo ku Yesu.—Ekyamateeka Olw’okubiri 18:18, 19; Yokaana 3:16; Ebikolwa By’Abatume 3:19-23
52 Gezaako okole birungi byerere era ogondere Yakuwa.—Abaruumi 6:17, 18, 22
Okuva 20:13; 1 Yokaana 3:11, 12
53 Jjukira, Yakuwa agamba nti tetuteekwa kutta bantu.—54 Tetuteekwa kutwaala bintu byabalala.—Okuva 20:15; Abeefeso 4:28
55 Omusajja tasanidde kuba oba kusula namukazi atali wuwe.—Okuva 20:14, 17; 1 Abasessalonika 4:3
56 Ojjukira abakazi Katonda bakkiriza omusajja omu okuwasa? Banga
ki omusajja lyateekwa okumala ne mukaziwe?—Olubereberye 2:22, 24;
Matayo 19:5, 6; 1 Abakkolinso 7:2, 10, 11
Matayo 4:10; 1 Abakkolinso 8:6
57 Era jjukira, nga tusaanide kusinza Yakuwa yekka.—58 Ebifananyi tebiyinza kutuyamba. Lwaki?—1 Abakkolinso 8:4
Kirungi okuba n’ebifananyi?—Ekyamateeka Olw’okubiri 27:15; 1 Yokaana 5:21
59 Lwaki kibi okuba nensiriba nokukozesa emandwa?—Ekyamateeka Olw’okubiri 18:10-13; Okubikkulirwa 21:8
60 Ba malaika ababi oba balubaale bafeemera Katonda. Bakozesa abalaguzi okukyaamya abantu.—Ebikolwa By’Abatume 16:16
61 Tusaana okusaba Katonda. Okusaba kuba kwogera na Katonda, okumutegeeza nti twagala tumuwereze era nga tumusaba atuyambe.—62 Tusanidde okugondera Yesu era nokumwesiga.—Abaebbulaniya 5:9; Yokaana 3:16
63 Jjukira nga yafa kulokola ffe.—Abaruumi 5:8
Abafiripi 2:9-11; Okubikkulirwa 19:16
64 Jukira nga Yesu ye Kabaka waffe atalabika. Tusaana okumugondera.—Matayo 28:19, 20; Yokaana 4:7-15
65 Yesu yagamba nti osaana okutegeeza abantu abalala ebigambo ebirungi byoyiga era nti abo abagala okuwereza Katonda basaanidde okubatizibwa.—66 Kale oyinza okwogera ku bintu bino ebirungi ne mikwanogyo.—Matayo 10:32
67 Bwoyiga okusoma obulungi, oyinza okuyiga bingi ebisingawo era
nosobola okuyamba abalala obulungi.—2 Timoseewo 2:15
68 Yesu yayigiriza n’abaana abato okugondera Katonda. Nga tabulwa biseera kwogerako nabo.—69 Abazadde basanidde okuyigirizanga abaana babwe bulijjo okugondera Katonda n’okumwagala.—Ekyamateeka Olw’okubiri 6:6, 7; Engero 6:20-22; Abaefeso 6:4
70 Waliwo amakanisa mangi agenjawulo. Bingi kubyebayigiriza nga tebiva mu Baibuli. Yakuwa atugamba tuve mu ddiini ezitayigiriza mazima.—Okubikkulirwa 18:4; Yokaana 4:23, 24
71 Yakuwa alina abantu ku nsi abayinza okukuyigiriza ebimufaako ebisingawo. Obamanyi?—Ebikolwa By’Abatume 15:14;72 Be Bajulizi ba Yakuwa. Ba ddembe. Omanyi lwaki? Olwokuba nga bagalana bokka na bokka.—Isaaya 43:10-12; Yokaana 13:34, 35
73 Olwokuba nate baagala Katonda, babatizibwa. Nga eno yengeri gyebalagamu mu lwaatu nti balese amakubo gaabwe amabi era nga bagala bakozese obulamu bwabwe nga bawereza Katonda.—Ebikolwa Bw’Abatume 2:41
74 Abajulizi ba Yakuwa balina esuubi ery’okubeera mu lusuku olulungi (paradaizi).—Ggwe oyinza kukolaki osobole okuba nabo awamu?—Yakobo 1:22, 25;
75 Begatteko mu kuyiga okuwereza Yakuwa. Bagala era bagondera Yakuwa ne Yesu Kristo. Obagala? Walyagadde okuyamba abalala okumanya Katonda?—Yokaana 6:45-47
76 Yakuwa ne Yesu Kristo bakwagala era bakwagaliza obere omulamu emirembe gyonna mu paradaizi.—Byoyize nga olowooza ku bifananyi nebygedwa mu katabo kano bikwagazisiza okunyumira obulamu ku nsi emirembe gyonna. Bwoba oyagala okuyiga ebisinga wo, tukuwa amagezi oyogere n’abajulizi ba Yakuwa abawano. Oba wandika, oba omuntu akuwandiikire, eri ofisi yabwe eri okumpi ne wooli, nga endagiriro bweri ku muko ogwokubiri ogwa katabo kano.