Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yakuwa Atuwa Omulokozi

Yakuwa Atuwa Omulokozi

Yakuwa Atuwa Omulokozi

29 Omuntu w’omwooyo Katonda gweyasooka okutonda yalinga mutabani we omugulanda gyali.

Katonda amwagala nnyo era ajja okumukozesa okuzikiriza abantu ababi n’okulokola abawulize.—Yokaana 3:16, 36

30 Yakuwa yatuma omwaanawe azalibwe ku nsi. Natuumibwa erinya Yesu. Erinya lya nyina ye Malyamu.—Lukka 1:30-35

31 Yesu bweyakula yayigiriza ebintu ebirungi bingi. Yayigiriza nti Yakuwa ye Katonda yekka ow’amazima.—Makko 12:29, 30

Yesu yagamba nti tusanidde kusinza Yakuwa yekka..Matayo 4:10; Yokaana 4:23, 24

Era yayigiriza abantu ebifa ku bwakabaka bwa Yakuwa.Lukka 17:20, 21

32 Yesu yawonya abalwadde nakola nebintu ebirungi bingi. Talina bibi byeyakola.—Ebikolwa By’Abatume 10:38; 1 Peetero 2:21, 22

Naye yali tulokodde atya okuva mu kibi n’okufa?

33 Yalina okuwa ekiwebwaayo eri Katonda okulokola abantu abalungi. Mu biseera ebyayita, Katonda yalagira abantu okuwayo ebisolo ku bw’ebibi byaabwe.—Abaebbulaniya 7:25, 27

34 Yesu teyawaayo bisolo. Yewayo nga ekiwebwaayo ku lwaffe.

Matayo 20:28; Abaebbulaniya 10:12

Omanyi lwaki?