Ekitabo Ekibikkula Okumanya Okukwata ku Katonda
Essuula 2
Ekitabo Ekibikkula Okumanya Okukwata ku Katonda
1, 2. Lwaki twetaaga obulagirizi obuva eri Omutonzi waffe?
TWANDISUUBIDDE Omutonzi waffe omwagazi okuwa abantu ekitabo ekirimu okuyigiriza n’obulagirizi. Ggwe tokikkiriza nti abantu beetaaga obulagirizi?
2 Emyaka egisukka mu 2,500 egiyiseewo, nnabbi omu era nga munnabyafaayo yawandiika: “Tekiri mu muntu atambula okuluŋŋamyanga ebigere bye.” (Yeremiya 10:23) Leero, obutuufu bw’ebigambo ebyo bweyolekedde ddala okusinga bwe kyali kibadde. Bwe kityo, munnabyafaayo William H. McNeill, yagamba: “Ebiseera omuntu by’ayiseemu ng’ali ku nsi kuno bibadde bizibu nnyo era bya butabanguko obw’omuddiŋŋanwa mu mbeera z’abantu.”
3, 4. (a) Baibuli twandigisomye tutya? (b) Ngeri ki gye tugenda okwekenneenyamu Baibuli?
3 Baibuli ekkusa obwetaavu bwonna bwe tulina obw’okufuna obulagirizi obw’amagezi. Kituufu, bangi bawuniikirira nga baakatandika okwekebejja Baibuli. Kitabo kinene nnyo, era ebitundu ebimu ebirimu si byangu bya kutegeera. Naye singa oweebwa ekiwandiiko ky’amateeka ekikunnyonnyola ky’olina okukola osobole okufuna obusika obw’omuwendo, tewanditutte kiseera okukisoma n’obwegendereza? Bwe wandisanze ng’ebitundu ebimu eby’ekiwandiiko ekyo bizibu okutegeera, oboolyawo wandinoonyezza obuyambi okuva eri omuntu alina obumanyirivu mu nsonga ng’ezo. Lwaki tokola kye kimu ku bikwata ku Baibuli? (Ebikolwa 17:11) Waliwo ky’oyinza okufuna ekisinga obusika obw’ebintu obuntu. Nga bwe twayiga mu ssuula evuddeko, okumanya okukwata ku Katonda kuyinza okukulembera okutuuka mu bulamu obutaggwaawo.
4 Ka twekenneenye ekitabo ekyo ekibikkula okumanya okukwata ku Katonda. Tujja kusooka kumenya mu bimpimpi ebyo ebiri mu Baibuli yonna. Ate oluvannyuma twogere ku nsonga lwaki abantu bangi abategeevu bakkiriza nti kye Kigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa.
EBIRI MU BAIBULI
5. (a) Biki ebiri mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya? (b) Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani birimu ki?
5 Baibuli erimu ebitabo 66 nga biri mu bitundu bibiri, ebitera okuyitibwa Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya. Ebitabo bya Baibuli 39 okusingira ddala byawandiikibwa mu Lwebbulaniya ate 27 mu Luyonaani. Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya, ebirimu Olubereberye okutuuka ku Malaki, mulimu ebikwata ku kutondebwa era n’emyaka 3,500 egisooka egy’ebyafaayo by’omuntu. Bwe twetegereza ekitundu kino ekya Baibuli, tuyiga ku nkolagana ya Katonda n’Abaisiraeri—okuva ku kiseera lwe baazaalibwa ng’eggwanga mu kyasa 16 B.C.E. okutuukira ddala mu kyasa 5 B.C.E. * Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani, omuli ebitabo Matayo okutuukira ddala ku Okubikkulirwa, bissa essira ku njigiriza za Yesu Kristo n’abayigirizwa be era n’omulimu gwe baakola mu kyasa ekyasooka C.E.
6. Lwaki tusaanidde okusoma Baibuli yonna?
6 Abamu bagamba nti “Endagaano Enkadde” ya Bayudaaya ate “Endagaano Empya” ya Bakristaayo. Naye okusinziira ku 2 Timoseewo 3:16, “buli ekyawandiikibwa kirina okuluŋŋamya kwa Katonda, era kigasa.” (Italiki zaffe.) N’olwekyo, okuyiga okutuufu okw’Ebyawandiikibwa kuteekwa kuba kwa Baibuli yonna. Mu butuufu, ebitundu ebyo byombi ebya Baibuli bijjuuliriziganya, nga bikwatagana bulungi nnyo mu kukulaakulanya omutwe gumu ogwogerwako.
7. Omutwe gwa Baibuli gwe guluwa?
7 Oboolyawo okumala emyaka obadde ogenda mu masinzizo era wali owuliddeko Baibuli ng’esomebwa. Oba ggwe
kennyini oyinza okuba wali osomyeko ku bitundu ebisimbuliddwa mu Baibuli. Wali okimanyi nti Baibuli erina omutwe gumu gw’ekulaakulanya okuva mu Olubereberye okutuuka mu Okubikkulirwa? Yee, omutwe gumu ogukwatagana gwogerwako mu Baibuli yonna. Omutwe ogwo gwe guluwa? Kwe kukakasibwa kw’obwannannyini bwa Katonda okufuga olulyo lw’omuntu era n’okutuukirizibwa kw’ekigendererwa kye eky’okwagala ng’ayitira mu Bwakabaka bwe. Oluvannyuma, tujja kulaba engeri Katonda gy’ajja okutuukirizaamu ekigendererwa kino.8. Baibuli etubuulira ki ku ngeri za Katonda?
8 Awamu n’okunnyonnyola ekigendererwa kya Katonda, Baibuli etumanyisa engeri ze. Ng’ekyokulabirako, tuyiga okuva mu Baibuli nti Katonda alina enneewulira era nti bye tusalawo bimukwatako. (Zabbuli 78:40, 41; Engero 27:11; Ezeekyeri 33:11) Zabbuli 103:8-14 wagamba nti Katonda “ajudde okusaasira n’ekisa, alwawo okusunguwala, alina okusonyiwa okungi.” Atukwata mu ngeri ya busaasizi, ‘ng’ajjukira nti twakolebwa mu nfuufu bufuufu,’ era nga gye tudda mu kufa. (Olubereberye 2:7; 3:19) Nga ngeri za kitalo z’ayoleka! Oyo si ye Katonda gwe wandyagadde okusinza?
9. Baibuli etulaga etya obulungi emitindo gya Katonda, era tuyinza tutya okuganyulwa mu kumanya okwo?
9 Baibuli etulagira ddala bulungi emitindo gya Katonda. Oluusi giweebwa nga mateeka. Kyokka, emirundi egisinga gyolesebwa mu misingi egiyigirizibwa okuyitira mu byokulabirako ebyaliwo. Katonda yawandiisa ebintu ebimu ebyaliwo mu byafaayo bya Isiraeri ow’edda tusobole okuganyulwa. Obuwandiike obwo obw’amazima bulaga ekibaawo abantu bwe bagendera awamu n’ekigendererwa kya Katonda, era n’eby’ennaku ebivaamu bwe bagoberera ekkubo eryabwe ku bwabwe. (1 Bassekabaka 5:4; 11:4-6; 2 Ebyomumirembe 15:8-15) Awatali kubuusabuusa, okusoma ku bintu ng’ebyo ebyaliwo ddala kujja kubaako kye kukola ku mitima gyaffe. Singa tugezaako okukubira ddala ekifaananyi ebintu ebyo nga bwe byali, tuyinza okweteeka mu mbeera yennyini abantu aboogerwako gye baalimu. Mu ngeri eyo, tuyinza okuganyulwa mu byokulabirako ebirungi era tuyinza okwewala emitego egyasuula abo abaakola obubi. Kyokka, ekibuuzo kino ekikulu kyetaaga okuddibwamu: Tusobola tutya okukakasa nti ddala bye tusoma mu Baibuli byaluŋŋamizibwa Katonda?
OSOBOLA OKWESIGA BAIBULI?
10. (a) Lwaki abamu balowooza nti Baibuli evudde ku mulembe? (b) Timoseewo Eky’okubiri 3:16, 17 watutegeeza ki ku Baibuli?
10 Oboolyawo weetegerezza nti ebitabo bingi ebiwa amagezi biva ku mulembe oluvannyuma lw’emyaka mitono nnyo. Ate Baibuli? Nkadde nnyo, era waakayitawo emyaka nga 2,000 kasookedde eggwa kuwandiikibwa. N’olw’ensonga eyo abamu balowooza nti tekyakola mu mulembe guno gwe tulimu. Naye Baibuli bw’eba nga yaluŋŋamizibwa Katonda, amagezi g’ewa gandibadde ku mulembe buli kiseera wadde nga nkadde nnyo. Ebyawandiikibwa ebirimu byandibadde bikyagasa “olw’okuyigirizanga, olw’okunenyanga, olw’okutereezanga, olw’okubuulirira okuli mu butuukirivu: omuntu wa Katonda alemenga okubulwa kyonna kyonna, ng’alina ddala byonna olwa buli mulimu omulungi.”—2 Timoseewo 3:16, 17.
11-13. Lwaki tuyinza okugamba nti Baibuli ya mugaso mu kiseera kyaffe?
Matayo, essuula 5 okutuuka ku 7. Okubuulira kuno kwawuniikiriza nnyo omugenzi Mohandas K. Gandhi, eyaliko omukulembeze wa Buyindi, era kigambibwa nti yagamba omukungu wa Bungereza omu nti: “Ensi yo n’eyange bwe zirigoberera enjigiriza Kristo ze yateekawo mu Kubuulira kuno okw’Oku Lusozi, tuliba tumaze okugonjoola ebizibu, si bya nsi zaffe zokka, naye n’eby’ensi yonna.”
11 Okwekenneenya obulungi kulaga nti emisingi gya Baibuli gikyakolera ddala nnyo leero nga bwe gyali gikola nga gyakawandiikibwa. Ng’ekyokulabirako, ku bikwata ku mbeera ez’obuntu, Baibuli eraga okutegeera okw’ekika ekya waggulu okutuukana obulungi na buli mulembe gw’abantu ogubaawo. Kino tuyinza okukirabira obulungi mu Kubuulira kwa Yesu okw’Oku Lusozi, okusangibwa mu kitabo kya12 Tekyewuunyisa kuba nti abantu bawuniikirizibwa enjigiriza za Yesu! Mu Kubuulira okw’Oku Lusozi, yatulaga ekkubo erivaamu essanyu ery’amazima. Yannyonnyola engeri y’okumalawo obutategeeragana. Yesu yayigiriza ebikwata ku kusaba. Yalaga endowooza esingayo okuba ey’amagezi gye tulina okuba nayo ku bikwata ku byetaago eby’omubiri era yawa Etteeka ery’Omugaso Ennyo ku kubeera n’enkolagana ennungi n’abalala. Engeri y’okuzuulamu obulimba bw’eddiini era n’engeri y’okufunamu ebiseera eby’omu maaso ebirungi nabyo yabyogerako mu kubuulira kuno.
13 Mu Kubuulira okwo okw’Oku Lusozi era ne mu byawandiikibwa ebirala, Baibuli etulaga bulungi bye tulina okukola ne bye tulina okwewala okusobola okulongoosa embeera y’obulamu bwaffe. Okubuulirira kwayo kwa mugaso nnyo ne kiba nti omuyigiriza omu yawalirizibwa okugamba nti: “Newakubadde nnali musomesa eyeebuuzibwako alina diguli esooka n’ey’okubiri era nga nnali nsomye ebitabo bingi nnyo ebikwata ku bwongo n’enneeyisa y’abantu, nnakizuula nti okubuulirira kwa Baibuli ku bintu ng’okukola obulamu bw’amaka obulungi, okukuuma abaana obutoonooneka mpisa era n’okukola emikwano awamu n’okugikuuma kwa waggulu nnyo okusinga ekintu kyonna kye nnali nsomyeko oba kye
nnali njizeeko mu masomero.” Ng’oggyeeko okubeera nti ya mugaso nnyo era eri ku mulembe, Baibuli era yeesigika.NTUUFU ERA YEESIGIKA
14. Kiki ekiraga nti Baibuli ntuufu nnyo ku bya sayansi?
14 Wadde nga Baibuli si kitabo kya sayansi, ntuufu nnyo ku bya sayansi. Ng’ekyokulabirako, mu kiseera ekyo ng’abantu abasinga obungi bakkiriza nti ensi ya museetwe, nnabbi Isaaya yagamba nti ‘nneekulungirivu’ (Olwebbulaniya, chugh, ekiwa ekirowoozo eky’ekintu ekiringa “omupiira”). (Isaaya 40:22) Myaka nkumi na nkumi gyamala kuyitawo okuva ku kiseera kya Isaaya, ekirowoozo ky’ensi okuba enneekulungirivu ne kiryoka kikkirizibwa wonna. Ate era, Yobu 26:7—olwawandiikibwa emyaka egisukka mu 3,000 egiyise—lugamba nti Katonda “awanika ensi awatali kintu.” Omwekenneenya wa Baibuli omu agamba: “Engeri Yobu gye yamanyamu amazima nti ensi eri mu bbanga jjereere, ekikakasiddwa n’okusoma eby’emmunyeenye, kye kibuuzo ekitayinza kuddibwamu mangu abo abagaana nti Ebyawandiikibwa Ebitukuvu byaluŋŋamizibwa.”
15. Engeri ebiri mu Baibuli gye bitegeezebwamu enyweza etya obwesige?
15 Engeri ebiri mu Baibuli gye bitegeezebwamu nayo enyweza obwesige bwe tulina mu kitabo kino ekikadde ennyo. Obutafaananako nfumo, ebyaliwo ebyogerwako mu Baibuli bikwata ku bantu bennyini abaaliwo n’ebiseera byennyini bye baaliwo. (1 Bassekabaka 14:25; Isaaya 36:1; Lukka 3:1, 2) Era wadde nga bannabyafaayo ab’edda kumpi buli kiseera baasavuwazanga nga boogera ku buwanguzi bw’abafuzi baabwe era nga tebaabikkulanga bikwata ku kuwangulibwa kwabwe na nsobi zaabwe, bo, abawandiisi ba Baibuli baali beesimbu era ba mazima—wadde ku bikwata ku byonoono byabwe eby’amaanyi.—Okubala 20:7-13; 2 Samwiri 12:7-14; 24:10.
EKITABO EKY’OBUNNABBI
16. Obujulizi obusingira ddala amaanyi obulaga nti Baibuli yaluŋŋamizibwa Katonda bwe buluwa?
16 Obunnabbi obutuukiriziddwa buwa obukakafu obw’enkukunala nti Baibuli yaluŋŋamizibwa Katonda. Baibuli 2 Peetero 1:21) Lowooza ku byokulabirako bino.
erimu obunnabbi bungi obutuukiriziddwa mu bulambalamba. Kya lwatu nti abantu obuntu tebandisobodde kukola kino. Kati olwo, kiki ekiri emabega w’obunnabbi buno? Baibuli yennyini ennyonnyola: “Siwali kigambo kya bannabbi ekyali kireeteddwa mu kwagala kw’abantu: naye abantu baayogeranga ebyava eri Katonda, nga bakwatiddwa Omwoyo Omutukuvu,” oba amaanyi ga Katonda agakola. (17. Bunnabbi ki obwalagula okugwa kwa Babulooni, era bwatuukirizibwa butya?
17 Okugwa kwa Babulooni. Bombi Isaaya ne Yeremiya baalagula okugwa kwa Babulooni eri Abameedi n’Abaperusi. Ekyewuunyisa, obunnabbi bwa Isaaya obwogera ku kintu kino bwawandiikibwa ng’ebulayo emyaka nga 200 Babulooni kiwangulibwe! Eby’obunnabbi ebiddako wammanga byaliwo ddala mu byafaayo: okukalira kw’Omugga Fulaati ng’amazzi gaagwo gawunjulwa okudda mu nnyanja eyasimibwa abantu (Isaaya 44:27; Yeremiya 50:38); obulagajjavu mu kukuuma enzigi za Babulooni ez’oku mugga (Isaaya 45:1); n’okuwangulibwa omufuzi ayitibwa Kuulo.—Isaaya 44:28.
18. Obunnabbi bwa Baibuli bwatuukirizibwa butya ku bikwata ku kuyimuka n’okugwa kwa “kabaka w’e Buyonaani”?
18 Okuyimuka n’okugwa kwa “kabaka w’e Buyonaani.” Mu kwolesebwa, Danyeri yalaba embuzi ennume ng’ekuba wansi endiga ennume, n’emenya amayembe gaayo abiri. Awo, ejjembe eddene ery’embuzi ne limenyeka, era mu kifo kyalwo ne waddawo amayembe ana. (Danyeri 8:1-8) Danyeri yannyonnyolwa nti: “Endiga ensajja gy’olabye ebadde n’amayembe abiri be bakabaka ab’Obumeedi n’Obuperusi. N’embuzi ensajja ey’ekikuzzi ye kabaka w’e Buyonaani: n’ejjembe eddene eriri wakati w’amaaso gaayo ye kabaka ow’olubereberye. N’eryo erimenyese ne mu kifo kyalyo ne muyimirira ana, obwakabaka buna buliva mu ggwanga, buliyimirira, naye nga tebulina buyinza bw’oyo.” (Danyeri 8:20-22) Ddala ng’obunnabbi buno bwe bwagamba, nga wayiseewo ebyasa bibiri, “kabaka w’e Buyonaani,” Alexander the Great, yawangula Obwakabaka obw’amayembe abiri obwa Bumeedi ne Buperusi. Alexander yafa mu 323 B.C.E., era oluvannyuma abagabe be bana badda mu kifo kye. Kyokka, obwakabaka obwo obwaddawo tebwasobola kwenkana bwa Alexander maanyi.
19. Bunnabbi ki obwatuukirizibwa mu Yesu Kristo?
19 Obulamu bwa Yesu Kristo. Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya birimu obunnabbi nkumu obwatuukirizibwa mu kuzaalibwa kwa Yesu, obuweereza bwe, okufa kwe, ne ku kuzuukira kwe. Ng’ekyokulabirako, ng’ekyabulayo emyaka nga 700, Mikka yalagula nti Masiya, oba Kristo, yali ajja kuzaalibwa mu Besirekemu. (Mikka 5:2; Lukka 2:4-7) Isaaya eyaliwo mu kiseera kye kimu ne Mikka yalagula nti Masiya yali ajja kukubibwa era awandirwe amalusu. (Isaaya 50:6; Matayo 26:67) Ng’ekyabulayo emyaka 500, Zekkaliya yalagula nti Masiya yali wa kuliibwamu olukwe olw’ebitundu bya ffeeza 30. (Zekkaliya 11:12; Matayo 26:15) Ng’ekyabulayo emyaka egisukka mu lukumi, Dawudi yalagula ebyandibaddewo ku kufa kwa Yesu nga Masiya. (Zabbuli 22:7, 8, 18; Matayo 27:35, 39-43) Era ng’ebulayo ebyasa nga bitaano, obunnabbi bwa Danyeri bwalaga ddi Masiya lwe yandirabise era n’ebbanga ery’okuweereza kwe n’ekiseera eky’okufa kwe. (Danyeri 9:24-27) Kuno kuwaako buwi byakulabirako bitonotono eby’obunnabbi obwatuukirizibwa mu Yesu Kristo. Ojja kukisangamu omuganyulo okusoma ebisingawo ebimukwatako.
20. Okutuukirizibwa kw’obunnabbi bwa Baibuli kwandituwadde bwesige ki?
20 Obunnabbi obulala bungi obw’omu Baibuli obwaweebwa edda ennyo bumaze okutuukirira. ‘Naye,’ oyinza okubuuza, ‘kino kikwata kitya ku bulamu bwange?’ Abaffe, singa omuntu abadde akubuulira amazima okumala emyaka mingi, wandimubuusabuusizza singa akubuulirayo ekintu ekippya? Nedda! Katonda ayogedde mazima mu Baibuli yonna. Kino tekyandinywezezza bwesige bwo mu ebyo Baibuli by’esuubiza, gamba ng’obunnabbi obulimu obukwata ku lusuku lwa Katonda olujja okubeera ku nsi? Ddala, tuyinza okuba n’obwesige nga Pawulo bwe yalina, omu ku bayigirizwa ba Yesu ab’omu kyasa ekyasooka, eyawandiika nti ‘Katonda tayinza kulimba.’ (Tito 1:2) N’ekirala, bwe tusoma Ebyawandiikibwa era ne tuteeka mu nkola okubuulirira okulimu, tuba tukozesa amagezi abantu ge batayinza kufuna ku lwabwe, kubanga Baibuli kye kitabo ekibikkula okumanya okukwata ku Katonda okukulembera okutuuka mu bulamu obutaggwaawo.
‘WEEGOMBENGA’ OKUMANYA OKUKWATA KU KATONDA
21. Kiki ky’osaanidde okukola singa ebintu ebimu by’oyiga mu Baibuli bifaanana ng’ebikusukkiriddeko?
21 Mu kusoma Baibuli, osobola okuyiga ebintu ebyawukana ku ebyo by’obadde oyigirizibwa. Oyinza n’okukisanga nti obumu ku bulombolombo bw’eddiini bw’obadde otwala ng’obw’omuwendo ennyo tebusanyusa Katonda. Ojja kuyiga nti Katonda alina emitindo egikwata ku kituufu n’ekikyamu egya waggulu ennyo okusinga egyo egy’ensi eno engwenyufu. Mu kusooka, bino biyinza okukulabikira ng’ebikusukkiriddeko. Naye ba mugumiikiriza! Weekenneenye Ebyawandiikibwa ozuule okumanya okukwata ku Katonda. Ba mwetegefu okukikkiriza nti okubuulirira kwa Baibuli kuyinza okukwetaagisa okukola enkyukakyuka mu ndowooza yo era ne mu bikolwa byo.
22. Lwaki osoma Baibuli, era oyinza otya okuyamba abalala okutegeera kino?
Matayo 10:32, 33) Abamu bayinza okweraliikirira nti ojja kuyingira akadiinidiini oba okugwa eddalu. Naye, mu mazima, oba ofuba kufuna kumanya okutuufu okukwata ku Katonda n’amazima ge. (1 Timoseewo 2:3, 4) Okusobola okuyamba abalala okutegeera kino, ba mukkakkamu ng’oyogera n’abalala ku ebyo by’oyiga, so si kukuba mpaka. (Abafiripi 4:5) Jjukira nti bangi ‘bafunibwa awatali kigambo kyonna’ bwe balaba obujulizi obulaga nti okumanya kwa Baibuli ddala kuganyula abantu.—1 Peetero 3:1, 2.
22 Mikwano gyo n’ab’eŋŋanda zo bayinza okuwakanya okusoma kwo okwa Baibuli, naye Yesu yagamba: “Kale buli muntu yenna alinjatulira mu maaso g’abantu, nange ndimwatulira mu maaso ga Kitange ali mu ggulu. Naye yenna alinneegaanira mu maaso g’abantu, nange ndimwegaanira mu maaso ga Kitange ali mu ggulu.” (23. Oyinza otya ‘okukulaakulanya okwegomba’ okufuna okumanya okukwata ku Katonda?
23 Baibuli etukubiriza: “Ng’abaana abawere abaakajja bazaalibwe, mwegombenga amata ag’omwoyo agataliimu bulimba.” (1 Peetero 2:2) Omwana yeesigama ku maama we okufuna eby’okulya era aba ayagala bimuweebwe. Mu ngeri y’emu, twesigama ku kumanya Katonda kw’atuwa. ‘Kulaakulanya okwegomba’ okuyiga Ekigambo kye nga weeyongera mu maaso n’okuyiga kwo. Ddala ddala, kifuule kiruubirirwa kyo okusomanga Baibuli buli lunaku. (Zabbuli 1:1-3) Kino kijja kukuleetera emikisa mingi, kuba Zabbuli 19:11 eyogera bw’eti ku mateeka ga Katonda: ‘Mu kugeekuuma mulimu empeera ennene.’
[Obugambo obwa wansi]
^ lup. 5 B.C.E. kitegeeza “ng’Embala Yaffe Tennaba,” era kituufu okusinga B.C. (“nga Kristo tannabaawo”). C.E. kitegeeza “Mu Mbala Eno,” ekitera okuyitibwa A.D., anno Domini, ekitegeeza “mu mwaka gwa Mukama waffe.”
GEZESA OKUMANYA KWO
Mu ngeri ki Baibuli gy’eri ey’enjawulo ennyo ku bitabo ebirala?
Lwaki osobola okwesiga Baibuli?
Kiki ekikukakasa nti Baibuli kye Kigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa?
[Ebibuuzo]
[Akasanduuko akali ku lupapula 14]
MANYA BAIBULI YO
Okumanya Baibuli si kizibu. Kozesa olupapula olulaga ebigirimu okuyiga enziriŋŋana y’ebitabo bya Baibuli ne we bisangibwa.
Ebitabo bya Baibuli birina essuula n’ennyiriri ebigifuula ennyangu okujulizamu. Essuula zaateekebwamu mu kyasa 13, era Omufalansa omukubi w’ebitabo mu kyasa 16 alabika nga ye yagabanyamu Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani ennyiriri nga bwe tuziraba leero. Baibuli ennamba eyasooka okubaamu essuula n’ennyiriri yali ya Kifalansa, yakubibwa mu 1553.
Ebyawandiikibwa bwe bijulizibwa mu kitabo kino, ennamba esooka eraga essuula, eddako eraga olunyiriri. Ng’ekyokulabirako, bwe kigamba “Engero 2:5” kitegeeza kitabo ky’Engero, essuula 2, olunyiriri 5. Bw’obikkula ebyawandiikibwa ebijuliziddwa, mu bbanga ttono ojja kuba nga tokyasanga buzibu bwonna mu kubikkula Baibuli.
Engeri esinga obulungi okumanyamu Baibuli kwe kugisomanga buli lunaku. Okusooka, kino kiyinza okulabika ng’ekizibu. Naye singa osoma wakati w’essuula essatu n’ettaano olunaku, nga kisinziira ku buwanvu bwazo, ojja kumalako Baibuli yonna mu mwaka gumu. Lwaki totandika leero?
[Akasanduuko akali ku lupapula 19]
BAIBULI—KITABO KYA NJAWULO
• Baibuli ‘yaluŋŋamizibwa Katonda.’ (2 Timoseewo 3:16) Newakubadde abantu be baawandiika, Katonda yakulembera ebirowoozo byabwe, ne kiba nti Baibuli ddala ‘kigambo kya Katonda.’—1 Abassesaloniika 2:13.
• Baibuli yawandiikibwa abawandiisi 40 abaava mu mbeera z’obulamu ez’enjawulo, mu bbanga erisukka mu byasa 16. Kyokka, ekitabo kyonna kikwatagana bulungi okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero.
• Baibuli eyolekaganye n’okuwakanyizibwa kungi nnyo okusinga ekitabo ekirala kyonna. Mu byasa ebiyitibwa Eby’omu Makkati, abantu bangi baayokerwanga ku miti olw’okubeera obubeezi n’Ebyawandiikibwa.
• Baibuli kye kitabo ekisingira ddala okutunda mu nsi yonna. Kikyusiddwa, mu bulamba oba ekitundu, mu nnimi ezisukka mu 2,000. Baibuli bukadde na bukadde zikubiddwa, era kumpi tewali kifo ku nsi w’otayinza kugisanga.
• Ekitundu kya Baibuli ekisingayo obukadde kya mu kyasa 16 B.C.E. Nga Rig-Veda eky’Abahindu tekinnabaawo (awo nga mu 1300 B.C.E.), oba “Ebiwandiiko eby’Ebisero Ebisatu” eby’Aba Buddha (ekyasa eky’okutaano B.C.E.), oba Kuraani y’Abasiraamu (ekyasa eky’omusanvu C.E.), ne Nihongi ey’Abasinto (720 C.E.).
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]