Engeri gy’Oyinza Okusembereramu Katonda
Essuula 16
Engeri gy’Oyinza Okusembereramu Katonda
1. Kufaanagana ki okuliwo mu ddiini nnyingi?
EMIKOLO gy’eddiini omulambuzi omu gye yalaba mu yeekaalu y’aba Budda bwe yali akyaddeko mu ggwanga erimu ery’e Buvanjuba gyamwewuunyisa nnyo. Newakubadde ng’ebifaananyi ebyalimu tebyali bya Malyamu oba Kristo, emikolo egisinga obungi gyali gifaanana n’egy’omu kkanisa y’ewaabwe. Ng’ekyokulabirako, yalabayo okusoma ssapuli n’okuddiŋŋana essaala. Waliwo n’abantu abalala abakoze okugeraageranya ng’okwo. Buvanjuba oba Bugwanjuba, engeri abantu abajjumbira eby’eddiini gye bagezaako okusemberera Katonda oba ebyo bye basinza zirina kinene kye zifaanaganamu.
2. Okusaba kunnyonnyoleddwa kutya, era lwaki abantu bangi basaba?
2 Bangi bagezaako okusemberera Katonda naddala nga bayitira mu kusaba. Okusaba kunnyonnyolebwa okuba “ekikolwa eky’omuntu okwogera n’ekyo ky’asinza oba ky’atwala okuba ekitukuvu—Katonda, bakatonda, ettwale eritategeerekeka eri omuntu oba obuyinza obusukkiridde obw’omuntu.” (The New Encyclopædia Britannica) Kyokka abamu, bwe baba batuukirira Katonda mu kusaba, balowooza ku ebyo byokka bye bayinza okufuna. Ng’ekyokulabirako, lumu omusajja yabuuza omu ku Bajulirwa ba Yakuwa: “Singa munsabira, ebizibu bye nnina mu maka gange, ku mulimu, era n’eby’okulwalalwala binaagonjoolebwa?” Kirabika ng’omusajja ono bw’atyo bwe yali asuubira, naye bangi basaba kyokka ebizibu byabwe ne bisigala nga bikyaliwo. Kale tuyinza okubuuza nti, ‘Lwaki tusaanidde okusemberera Katonda?’
LWAKI TUSAANIDDE OKUSEMBERERA KATONDA
3. Okusaba kwandyolekezeddwa ani, era lwaki?
3 Okusaba si mukolo bukolo ogutalina makulu, era si kkubo lya kufuniramu bufunizi ekintu ky’oyagala. Ensonga enkulu eyandituleetedde okutuukiriranga Katonda kwe kuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye. N’olwekyo, okusaba kwaffe kwandyolekezeddwa Yakuwa Katonda. “Mukama aba kumpi abo bonna abamukaabira,” bw’atyo bwe yayogera Dawudi omuwandiisi wa Zabbuli. (Zabbuli 145:18) Yakuwa atuyita tube n’enkolagana ey’emirembe naye. (Isaaya 1:18) Abo abaanukula okuyitibwa kuno bakkiriziganya n’omuwandiisi wa Zabbuli eyagamba nti: “Kirungi nze nsemberere Katonda.” Lwaki? Kubanga abo abasemberera Yakuwa Katonda bafuna essanyu erya nnamaddala era n’emirembe mu birowoozo byabwe.—Zabbuli 73:28.
4, 5. (a) Lwaki kikulu okusaba Katonda? (b) Nkolagana ya ngeri ki gye tuyinza okufuna ne Katonda okuyitira mu kusaba?
4 Lwaki tusaba Katonda obuyambi bw’aba nga ‘amanyi bye twetaaga nga tetunnamusaba’? (Matayo 6:8; Zabbuli 139:4) Okusaba kwaffe kulaga nti tukkiririza mu Katonda era tumutwala ng’Ensibuko ya “buli kirabo kirungi, na buli kitone kituukirivu.” (Yakobo 1:17; Abaebbulaniya 11:6) Yakuwa asanyukira okusaba kwaffe. (Engero 15:8) Asanyuka okuwulira ebigambo byaffe ebyoleka okusiima n’okutendereza, era nga taata bw’asanyuka okuwulira omwana we omuto ng’ayogera ebigambo eby’obwesimbu ebimwebaza. (Zabbuli 119:108) Awaba enkolagana ennungi wakati w’omwana ne taata we, wabaawo empuliziganya ennungi. Omwana ayagalibwa aba ayagala okwogera ne taata we. Bwe kiri ne ku nkolagana yaffe ne Katonda. Bwe tuba nga ddala tusiima bye tuyiga ku Yakuwa era n’okwagala kw’atulaze, tujja kwagala nnyo okwogera naye mu kusaba.—1 Yokaana 4:16-18.
5 Bwe tuba tutuukirira Katonda Oyo Ali Waggulu Ennyo mu kusaba, tusaanidde okukikola mu ngeri emuwa ekitiibwa, wadde nga twandibadde tetweraliikirira nnyo bigambo Zabbuli 62:8) Okusiima Yakuwa kutuleetera okuba n’enkolagana ey’omukwano naye, efaananako n’eyo Ibulayimu omusajja omwesigwa gye yalina nga mukwano gwa Katonda. (Yakobo 2:23) Naye bwe tuba tusaba Mukama Afuga Byonna mu butonde bwonna, tuteekwa okutuukiriza bye yeetaaga okusobola okumutuukirira.
ki bye tunaakozesa. (Abaebbulaniya 4:16) Tusobola okutuukirira Yakuwa ekiseera kyonna. Era nga tulina enkizo ya maanyi nnyo okuba nti tusobola ‘okufuka ebiri ku mitima gyaffe’ eri Katonda nga tuyitira mu kusaba! (EBYETAAGIBWA OKUSOBOLA OKUSEMBERERA KATONDA
6, 7. Wadde nga Katonda tatusaba ssente okuwulira okusaba kwaffe, kiki ky’atwetaagisa nga tumusaba?
6 Essente zeetaagibwa okusobola okutuukirira Katonda? Abantu bangi bawa abakulu b’amadiini ssente okubasabira. Abamu bakkiriza n’okukkiriza nti essaala zaabwe zijja kuwulirwa okusinziira ku mutemwa gwe bawaayo. Kyokka, Ekigambo kya Katonda tekigamba nti twetaaga okuwaayo ssente okusobola okutuukirira Yakuwa mu kusaba. Enteekateeka ez’eby’omwoyo z’ataddewo era n’emikisa egy’okukolagana naye nga tuyitira mu kusaba tebigulwa ssente yonna.—Isaaya 55:1, 2.
7 Olwo kati, kiki ekyetaagibwa? Endowooza entuufu ey’omu mutima kye kimu ku ebyo ebyetaagibwa. (2 Ebyomumirembe 6:29, 30; Engero 15:11) Tuteekwa okukkiririza mu Yakuwa Katonda mu mitima gyaffe okuba nga y’Oyo “awulira okusaba” era nga “ye mugabi w’empeera eri abo abamunoonya.” (Zabbuli 65:2; Abaebbulaniya 11:6) Era tuteekwa okuba n’omutima omuwombeefu. (2 Bassekabaka 22:19; Zabbuli 51:17) Mu lumu ku ngero ze, Yesu Kristo yalaga nti omuwooza omuwombeefu eyalina omutima omwetoowaze bwe yali atuukirira Katonda, yali mutuukirivu nnyo okusinga Omufalisaayo ow’amalala. (Lukka 18:10-14) Nga tutuukirira Katonda mu kusaba, tukijjukirenga nti “buli muntu alina omutima ogw’amalala wa muzizo eri Mukama.”—Engero 16:5.
8. Bwe tuba twagala Katonda awulire okusaba kwaffe, tuteekwa kwenaazaako ki?
Yakobo 4:8) N’abakozi b’obubi bayinza okufuna enkolagana ey’emirembe ne Yakuwa singa beenenya era ne baleka enneeyisa yaabwe ey’emabega. (Engero 28:13) Okusaba kwaffe tekusobola kuwulirwa Yakuwa singa tulaga bulazi kungulu nti tumaze okwerongoosa mu maaso ge. “Amaaso ga Yakuwa gali ku batuukirivu, n’amatu ge gali eri okusaba kwabwe: naye obwenyi bwa Mukama buli ku abo abakola obubi,” bwe kityo bwe kigamba Ekigambo kya Katonda.—1 Peetero 3:12.
8 Singa twagala Katonda okuddamu okusaba kwaffe, tulina okwenaazaako ebikolwa ebibi. Omuyigiriza Yakobo bwe yali akubiriza abalala okusemberera Katonda, yagattako nti: “Munaabenga mu ngalo, abalina ebibi; era mutukuzenga emitima gyammwe, mmwe abalina emmeeme ebbiri.” (9. Tusaanidde kuyitira mu ani okutuukirira Yakuwa, era lwaki?
9 Baibuli egamba: “Tewali muntu mutuukirivu ku nsi akola ebirungi n’atayonoona.” (Omubuulizi 7:20) N’olwekyo, oyinza okubuuza: ‘Kati, olwo, tusobola tutya okutuukirira Yakuwa Katonda?’ Baibuli eddamu: “Omuntu yenna bw’akola ekibi, tulina Omuwolereza eri Kitaffe, Yesu Kristo omutuukirivu.” (1 Yokaana 2:1) Wadde tuli boonoonyi, tusobola okutuukirira Katonda nga tulina eddembe ery’okwogera okuyitira mu Yesu Kristo, eyatufiirira abe ekinunulo kyaffe. (Matayo 20:28) Ye yekka gwe tuyinza okuyitiramu okutuukirira Yakuwa Katonda. (Yokaana 14:6) Tetuteekwa kukitwala nti omuganyulo gwa ssaddaaka y’ekinunulo kya Yesu gujja kubikka ku bibi byaffe byonna ne bwe twonoona mu bugenderevu. (Abaebbulaniya 10:26) Naye, bwe tuba tukola kye tusobola okwewala ekibi kyokka ne twonoona ebiseera ebimu, tusobola okwenenya ne tusaba Katonda okutusonyiwa. Bwe tumutuukirira n’omutima omuwombeefu, ajja kutuwulira.—Lukka 11:4.
EMIKISA GY’OKWOGERA NE KATONDA
10. Ku bikwata ku kusaba, tuyinza tutya okukoppa Yesu, era ddi lwe tuyinza okusaba ffekka?
10 Yesu Kristo enkolagana ye ne Yakuwa yagitwala okuba Makko 1:35; Lukka 22:40-46) Tusaanidde okukoppa ekyokulabirako kya Yesu ne tusabanga Katonda obutayosa. (Abaruumi 12:12) Kiba kisaanira okutandika olunaku n’okusaba, era nga tetunneebaka, tusobola okwebaza Yakuwa olw’ebyo ebibadde mu lunaku. Emisana lyonna, malirira okutuukirira Katonda “buli kiseera.” (Abeefeso 6:18) Tuyinza n’okusaba akasirise mu mutima gwaffe, nga tukimanyi nti Yakuwa asobola okutuwulira. Okusaba Katonda nga tuli ffekka kutuyamba okunywereza ddala enkolagana yaffe naye, era okusaba Yakuwa buli lunaku kutuyamba okwongera okumusemberera.
nga ya muwendo nnyo. N’olw’ensonga eyo, Yesu yeetegekeranga ekiseera okwogera ne Katonda mu kusaba okukwe yekka. (11. (a) Lwaki amaka gasaanidde okusabira awamu? (b) Bw’ogamba nti “Amiina” ku nkomerero y’okusaba kiba kitegeeza ki?
11 Era Yakuwa awulira okusaba okukolebwa ku lw’abantu abalala. (1 Bassekabaka 8:22-53) Tuyinza okutuukirira Katonda mu kusaba ng’amaka, ng’omutwe gw’amaka y’akulembera okusaba okwo. Kino kinyweza obumu bw’amaka, era Yakuwa abeera wa ddala eri abato bwe bawulira bazadde baabwe nga basaba Katonda n’obuwombeefu. Ate kiba kitya ng’omuntu akiikirira abalala mu kusaba, gamba nga ku lukuŋŋaana lw’Abajulirwa ba Yakuwa? Bwe tuba mu abo abawuliriza, ka tusseeyo omwoyo, ku nkomerero y’okusaba okwo, tulyoke tusobole okugamba okuviira ddala mu mitima gyaffe nti “Amiina,” ekitegeeza nti “Kibe bwe kityo.”—1 Abakkolinso 14:16.
OKUSABA YAKUWA KW’AWULIRA
12. (a) Lwaki okusaba okumu Katonda takuddamu? (b) Lwaki tetwandyemalidde ku byetaago byaffe byokka nga tusaba?
12 Abamu bawulira nti Katonda taddamu kusaba kwabwe newakubadde bamusaba nga bayitira mu Kristo. Kyokka, omutume Yokaana yagamba: “Bwe tusaba ekintu nga [Katonda] bw’ayagala, atuwulira.” (1 Yokaana 5:14) N’olwekyo, twetaaga okusaba nga Katonda bw’ayagala. Okuva bw’afaayo ennyo ku nnyimirira yaffe ey’eby’omwoyo, ekintu kyonna ekikwata ku mbeera yaffe ey’eby’omwoyo kiba kirungi okukiteeka mu kusaba kwaffe. Tetuteekwa kukkiriza kikemo eky’okuteeka essira ku byetaago byaffe eby’omubiri. Ng’ekyokulabirako, wadde kiba kisaanira okusaba amagezi n’obunywevu tusobole okugumira obulwadde, obweraliikirivu ku bikwata ku bulamu bwaffe tebusaanidde kubuutikira nsonga za bya mwoyo. (Zabbuli 41:1-3) Oluvannyuma lw’okukitegeera nti yali yeeraliikiridde nnyo eby’obulamu bwe, omukazi omu Omukristaayo yasaba Yakuwa amuyambe okuba n’endowooza entuufu ku bikwata ku bulwadde bwe. Era ekyavaamu, yalekera awo okweraliikirira ennyo eby’obulamu bwe, era yawulira ng’aweereddwa “amaanyi agasinga ku ga bulijjo.” (2 Abakkolinso 4:7, NW ) Okwagala kwe yalina okuyamba abalala mu by’omwoyo kweyongera amaanyi, era yafuuka omulangirizi w’Obwakabaka ow’ekiseera kyonna.
13. Nga bwe kiragibwa mu Matayo 6:9-13, bintu ki ebisaanira bye tuyinza okuteeka mu kusaba kwaffe?
13 Biki bye tuyinza okuteeka mu kusaba kwaffe ebinaasanyusa Yakuwa? Yesu Kristo yayigiriza abayigirizwa be okusaba. Mu ssaala ey’okulabirako eri mu Matayo 6:9-13, yateekawo ekyokulabirako eky’ebintu bye tuyinza okuteeka mu kusaba kwaffe. Kiki kye twandikulembezza mu kusaba kwaffe? Erinnya lya Yakuwa Katonda n’Obwakabaka bwe bye biteekwa okukulembezebwa. Okusaba ebyetaago byaffe eby’omubiri kisaanira. Era kikulu okusaba okusonyiyibwa kw’ebibi byaffe n’okutukuuma eri ebikemo n’omubi, Setaani Omulyolyomi. Yesu teyayagala tuyimbenga buyimbi ssaala eno oba okugiddiŋŋana emirundi n’emirundi ng’ekikwate, awatali kulowooza ku makulu agagirimu. (Matayo 6:7) Nkolagana ya ngeri ki eyandibaddewo singa omwana addiŋŋana ebigambo bye bimu buli lw’aba ayogera ne kitaawe?
14. Ng’oggyeeko okwegayirira, kusaba ki okulala kwe tusaanidde okukozesa?
14 Ng’oggyeeko okwegayirira n’okusaba okulala okw’amaanyi okuviira ddala mu mitima gyaffe, twandisabye mu ngeri ey’okutendereza era n’ey’okwebaza. (Zabbuli 34:1; 92:1; 1 Abasessalonika 5:18) Era tuyinza n’okusabira abalala. Okusabira baganda baffe ne bannyinaffe ababonaabona oba abayigganyizibwa kulaga nti tubafaako, era Yakuwa asanyuka okutuwulira nga twoleka okufaayo okw’engeri eyo. (Lukka 22:32; Yokaana 17:20; 1 Abasessalonika 5:25) Mu butuufu, omutume Pawulo yawandiika: “Temweraliikiriranga kigambo kyonna kyonna; naye mu kigambo kyonna mu kusabanga n’okwegayiriranga awamu n’okwebazanga bye mwagala bitegeezebwenga eri Katonda. N’emirembe gya Katonda, egisinga okutegeerwa kwonna, ginaabakuumanga emitima gyammwe n’ebirowoozo byammwe mu Kristo Yesu.”—Abafiripi 4:6, 7.
NYIIKIRIRA OKUSABA
15. Kiki kye tusaanidde okujjukira singa okusaba kwaffe kulabika ng’okutaddiddwamu?
15 Wadde nga weeyongedde okufuna okumanya okukwata ku Katonda, oyinza okuwulira nti okusaba kwo oluusi tekuddibwamu. Kisobola okuba bwe kityo olw’okuba kiyinza okuba nga si kye kiseera Katonda okuddamu okusaba okwo. (Omubuulizi 3:1-9) Yakuwa ayinza okuleka embeera eyo okubaawo okumala akaseera, naye addamu okusaba era amanyi ekiseera ekisingira ddala obulungi okukuddamu.—2 Abakkolinso 12:7-9.
16. Lwaki tusaanidde okunyiikirira okusaba, era okukola bwe tuti kiyinza kukolawo ki ku nkolagana yaffe ne Katonda?
16 Bwe tunyiikirira okusaba kyoleka nti tufaayo nnyo ku ekyo kye tuba tusaba Katonda okuva mu mitima gyaffe. (Lukka 18:1-8) Ng’ekyokulabirako, tuyinza okusaba Yakuwa atuyambe okuvvuunuka obunafu bwe tulina. Bwe tunyiikirira okusaba era ne tukolera ku bye tusabye, tulaga nga tuli beesimbu. Mu kusaba kwaffe, twandibadde beesimbu era ne twogereranga ddala ekyo kyennyini kye twagala. Kikulu okusaba ennyo naddala nga tutuukiddwako okukemebwa. (Matayo 6:13) Bwe tweyongera okusaba ng’eno bwe tugezaako okufuga okwegomba kwaffe, tujja kulaba Yakuwa bw’atuyamba. Kino kijja kukulaakulanya okukkiriza kwaffe era n’okunyweza enkolagana yaffe naye.—1 Abakkolinso 10:13; Abafiripi 4:13.
17. Tunaaganyulwa tutya singa tukulaakulanya omwoyo ogw’okusaba nga tuweereza Katonda?
1 Abakkolinso 4:7) Okumanya kino kijja kutuyamba okubeera abeetoowaze era kijja kwongera okunyweza enkolagana yaffe naye. (1 Peetero 5:5, 6) Yee, tulina ensonga ennywevu ezandituleetedde okunyiikirira okusaba. Okusaba kwaffe okw’obwesimbu era n’okumanya okw’omuwendo kwe tulina ku ngeri y’okusembereramu Kitaffe omwagazi ali mu ggulu bijja kuleeta essanyu erya nnamaddala mu bulamu bwaffe.
17 Bwe tukulaakulanya omwoyo ogw’okusaba mu kuweereza Yakuwa Katonda, tujja kusobola okukitegeera nti tetumuweereza mu maanyi gaffe. Yakuwa y’atuwa amaanyi ago. (EMPULIZIGANYA NE YAKUWA TEBA YA LUDDA LUMU
18. Tuyinza tutya okuwuliriza Katonda?
18 Bwe tuba twagala Katonda okuwulira okusaba kwaffe, tuteekwa okuwuliriza ky’agamba. (Zekkaliya 7:13) Takyaweereza bubaka ng’ayitira mu bannabbi, era mazima ddala takozesa bya busamize. (Ekyamateeka 18:10-12) Naye tuyinza okuwuliriza Katonda nga tusoma Ekigambo kye, Baibuli. (Abaruumi 15:4; 2 Timoseewo 3:16, 17) Nga bwe tuyinza okwegomba okulya emmere ey’omugaso gye tuli, tukubirizibwa ‘okwegomba amata ag’omwoyo agataliimu bulimba.’ Kulaakulanya okwegomba emmere ey’eby’omwoyo ng’osoma Ekigambo kya Katonda buli lunaku.—1 Peetero 2:2, 3; Ebikolwa 17:11.
19. Okufumiitiriza ku by’osomye mu Baibuli kya muganyulo ki?
19 Fumiitirizanga ku by’osoma mu Baibuli. (Zabbuli 1:1-3; 77:11, 12) Ekyo kitegeeza okulowoolereza ku by’oba osomye. Oyinza okukigeraageranya n’engeri olubuto gye lusa emmere gye tuba tulidde. Osobola okusa emmere ey’eby’omwoyo ng’okwataganya by’osomye n’ebyo by’omanyi. Lowooza ku ngeri by’osomye gye bikwata ku bulamu bwo, oba fumiitiriza ku kye bikutegeeza ku ngeri za Yakuwa n’enkolagana ze. Bwe kityo okuyitira mu kwesomesa wekka, osobola okulya emmere ey’eby’omwoyo Yakuwa gy’atuwa. Kino kijja kukusembeza eri Katonda era n’okukuyamba okwaŋŋanga ebizibu ebibaawo bulijjo.
20. Okubeerawo mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo kituyamba kitya okusemberera Katonda?
20 Era osobola okusemberera Katonda ng’owuliriza Ekigambo kye nga kikubaganyizibwako ebirowoozo mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo, nga Abaisiraeri bwe bassangayo omwoyo nga bakuŋŋaanye okuwulira Amateeka ga Katonda nga gasomebwa. Abayigiriza ab’omu kiseera ekyo baasomanga Amateeka mu ngeri etegeerekeka, mu ngeri eyo ne bayambanga abaabawulirizanga okutegeera era n’okwagala okuteeka mu nkola bye baawuliranga. Kino kyavaamu essanyu lingi nnyo. (Nekkemiya 8:8, 12) N’olwekyo, kifuule mpisa yo okubangawo mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa. (Abaebbulaniya 10:24, 25) Kino kijja kukuyamba okutegeera n’okukozesa okumanya okukwata ku Katonda mu bulamu bwo era kijja kukuleetera essanyu. Okuba ng’oli kitundu ky’oluganda olw’Ekikristaayo olw’ensi yonna kijja kukuyamba okusigala okumpi ne Yakuwa. Era nga bwe tujja okulaba, osobola okufuna obukuumi obwa nnamaddala mu bantu ba Katonda.
GEZESA OKUMANYA KWO
Lwaki osaanidde okusemberera Yakuwa?
Ebimu ku ebyo ebyetaagibwa okusobola okusemberera Katonda bye biruwa?
Biki by’oyinza okuteeka mu kusaba kwo?
Lwaki osaanidde okunyiikirira mu kusaba?
Osobola otya okuwuliriza Yakuwa leero?
[Ebibuuzo]
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 157]