Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Katonda ky’Akoze Okulokola Olulyo lw’Omuntu

Katonda ky’Akoze Okulokola Olulyo lw’Omuntu

Essuula 7

Katonda ky’Akoze Okulokola Olulyo lw’Omuntu

1, 2. (a) Omuserikale Omuruumi yatuuka atya okutegeera Omwana wa Katonda? (b) Lwaki Yakuwa yaleka Yesu okufa?

EMYAKA nga 2,000 egiyiseewo, obudde bwali bwa lwaggulo, omuserikale Omuruumi yatunuulira abasajja basatu nga bafa mu ngeri ey’obulumi ennyo. Omuserikale oyo yeetegereza nnyo omu ku bo—Yesu Kristo. Yesu yali akomereddwa ku kikondo ky’omuti. Eggulu lyaddugala obudde obwo obw’emisana ttuku ng’akaseera ak’okufa kwe kasembedde. Bwe yafa, ensi yakkankana nnyo, era omuserikale oyo n’agamba: “Mazima omuntu ono abadde Mwana wa Katonda.”—Makko 15:39.

2 Mwana wa Katonda! Omuserikale oyo yali mutuufu. Yali yeerabiddeko n’agage ekintu ekisingira ddala obukulu ekyali kibadde ku nsi. Emabegako, Katonda kennyini yayita Yesu Omwana we omwagalwa. (Matayo 3:17; 17:5) Lwaki Yakuwa yaleka Omwana we okufa? Kubanga eno ye yali engeri ya Katonda ey’okulokolamu olulyo lw’omuntu okuva mu kibi n’okufa.

YALONDEBWA OLW’EKIGENDERERWA EKY’ENJAWULO

3. Lwaki kyali kisaanira Omwana wa Katonda eyazaalibwa omu yekka okulondebwa olw’ekigendererwa eky’enjawulo ekikwata ku muntu?

3 Nga bwe tuyize emabegako mu kitabo kino, Yesu yali yabeerawo dda nga tannafuuka muntu. Ayitibwa Omwana wa Katonda “eyazaalibwa omu yekka” kubanga Yakuwa yamutonda butereevu. Oluvannyuma Katonda yakozesa Yesu mu kutonda ebintu ebirala byonna. (Yokaana 3:18; Abakkolosaayi 1:16) Yesu yayagala nnyo olulyo lw’omuntu. (Engero 8:30, 31) Tekyewuunyisa nti Yakuwa yalonda Omwana we ono eyazaalibwa omu yekka okutuukiriza ekigendererwa eky’enjawulo ng’olulyo lw’omuntu lumaze okusalirwa ogw’okufa!

4, 5. Nga Yesu tannajja ku nsi, kiki Baibuli kye yali etegeezezza ku Zzadde lya Masiya?

4 Bwe yali asalira Adamu, Kaawa ne Setaani omusango mu Lusuku Adeni, Katonda yayogera ku Mununuzi eyali ow’okujja mu biseera eby’omu maaso nga “ezzadde.” Ezzadde lino, oba omwana, lyali lya kujjulula emitawaana Setaani Omulyolyomi, “omusota ogw’edda,” gye yaleetawo. Mu butuufu, Ezzadde Essuubize lyali lya kubetenta Setaani n’abo bonna abamugoberera.—Olubereberye 3:15; 1 Yokaana 3:8; Okubikkulirwa 12:9.

5 Mu byasa by’emyaka ebyagenda biyitawo, Katonda yeeyongera okubikkula mpolampola ebikwata ku Zzadde, era eriyitibwa Masiya. Nga bwe kiragibwa mu kipande ekiri ku lupapula 37, obunnabbi bungi nnyo bwamenya ebintu bingi ebikwata ku bulamu bwe ku nsi. Ng’ekyokulabirako, yalina okugumira okubonyaabonyezebwa kwa maanyi asobole okutuukiriza omulimu gwe mu kigendererwa kya Katonda.—Isaaya 53:3-5.

LWAKI MASIYA YALI WA KUFA

6. Okusinziira ku Danyeri 9:24-26, kiki Masiya kye yali ajja okutuukiriza, era atya?

6 Obunnabbi obuli mu Danyeri 9:24-26 bwalagula nti Masiya—Oyo Katonda gwe Yafukako Amafuta—yali wa kutuukiriza ekigendererwa ekikulu. Yali wa kujja ku nsi “okukomya okwonoona, n’okumalawo okusobya, n’okutabaganya olw’obutali butuukirivu, n’okuyingiza obutuukirivu” emirembe gyonna. Masiya yali wa kuggya ku bantu abeesigwa omusango ogw’okufa. Naye kino yandikikoze atya? Obunnabbi bulaga nti yali wa ‘kusalibwako,’ oba okuttibwa.

7. Lwaki Abayudaaya baawangayo ssaddaaka ez’ebisolo, era zino zaali zisonga ku ki?

7 Abaisiraeri ab’edda baali bamanyi bulungi ebikwata ku kutangirira ekibi. Mu kusinza kwabwe wansi w’Amateeka Katonda ge yabawa okuyitira mu Musa, baawangayo ssaddaaka ez’ensolo. Zajjukizanga ab’eggwanga lya Isiraeri nti abantu baali beetaaga ekintu eky’okutangirira ebibi byabwe oba okubibikkako. Omutume Pawulo yawumbawumba bw’ati omusingi guno: “Awataba kuyiwa musaayi tewabaawo kusonyiyibwa.” (Abaebbulaniya 9:22) Abakristaayo tebali wansi w’Amateeka ga Musa n’ebyo bye geetaagisanga, gamba ng’okuwaayo ssaddaaka. (Abaruumi 10:4; Abakkolosaayi 2:16, 17) Era bamanyi nti ssaddaaka ez’ensolo teziyinza kuleetawo kusonyiyibwa kwa bibi okutuukiridde era okw’olubeerera. Wabula, ssaddaaka zino ezaaweebwangayo zaali zisonga ku ssaddaaka ey’omuwendo ennyo okusingawo—eya Masiya, oba Kristo. (Abaebbulaniya 10:4, 10; geraageranya Abaggalatiya 3:24.) Kyokka, oyinza okubuuza, ‘Ddala kyali kyetaagisa Masiya okufa?’

8, 9. Bintu ki eby’omuwendo Adamu ne Kaawa bye baafiirwa, era ebikolwa byabwe byakwata bitya ku baana baabwe?

8 Yee, Masiya yalina okufa olulyo lw’omuntu lusobole okulokolebwa. Okutegeera ensonga, tuteekwa okujjukira ekyaliwo mu lusuku Adeni n’okugezaako okutegeera obugazi bw’ekyo Adamu ne Kaawa kye baafiirwa bwe baajeemera Katonda. Obulamu obutaggwaawo bwali buteekeddwa mu maaso gaabwe! Ng’abaana ba Katonda, era baalina enkolagana ey’oku lusegere naye. Naye bwe baagaana obufuzi bwa Yakuwa, baafiirwa ebyo byonna era ne baleeta ekibi n’okufa ku lulyo lw’omuntu.—Abaruumi 5:12.

9 Bazadde baffe abo abaasooka baalinga abajaajaamizza eby’obugagga ebingi, ne beesuula mu bbanja eddene ennyo. Adamu ne Kaawa baalekera abaana baabwe ebbanja eryo. Olw’okuba twazaalibwa nga tetutuukiridde era nga tulina ekibi, ffenna tuli boonoonyi era tufa. Bwe tulwala oba bwe twogera ekintu ekirumya abalala ne twejjusa oluvannyuma, ekyo kitubaako lwa bbanja liri lye twasikira—ery’okubeera abantu abatatuukiridde. (Abaruumi 7:21-25) Essuubi lyokka lye tulina liri mu kuddamu kufuna ekyo Adamu kye yabuza. Kyokka, tetulina kye tuyinza kukola kugwanira bulamu butuukiridde. Olw’okuba abantu abatatuukiridde bonna boonoona, ffenna tugwanidde kufa, so si bulamu.—Abaruumi 6:23.

10. Kiki ekyali kyetaagibwa okuddamu okufuna ekyo Adamu kye yabuza?

10 Kyokka, waaliwo ekiyinza okuweebwayo okufuna obulamu Adamu bwe yabuza? Omutindo gwa Katonda ogw’obwenkanya gwetaagisa ekyenkanankana, “obulamu olw’obulamu.” (Okuva 21:23) Bwe kityo obulamu bwali bulina okuweebwayo okusasulira obulamu obwabuzibwa. Ate si bulamu bwa ngeri yonna bwe bwandimaze. Zabbuli 49:7, 8 woogera bwe wati ku bantu abatatuukiridde: “Mu abo siwali ayinza okununula muganda we n’akatono, newakubadde okuwa Katonda omuwendo gwe: (kubanga ekinunulo eky’emmeeme yaabwe kizibu, era ekigwanira okulekebwanga emirembe gyonna.” Olwo teri ssuubi lyonna? Nedda, si bwe kiri.

11. (a) Ekigambo “ekinunulo” kirina makulu ki mu Lwebbulaniya? (b) Ani yekka eyandisobodde okununula abantu, era lwaki?

11 Mu lulimi Olwebbulaniya, ekigambo “ekinunulo” kitegeeza omuwendo ogusasulwa okununula omuwambe era kitegeeza okwenkankana. Omuntu alina obulamu obutuukiridde ye yekka eyandisobodde okuwaayo ekyenkanankana n’ekyo Adamu kye yabuza. Oluvannyuma lwa Adamu, omuntu yekka eyali atuukiridde eyazaalibwa ku nsi yali Yesu Kristo. N’olwekyo, Baibuli eyita Yesu “Adamu ow’oluvannyuma” era etukakasa nti Kristo ‘yeewaayo abe ekinunulo ekyenkanankana olwa bonna.’ (1 Abakkolinso 15:45; 1 Timoseewo 2:5, 6) Wadde nga Adamu yaleetera abaana be okufa, Yesu ye, yaleeta bulamu butaggwaawo. Abakkolinso Ekisooka 15:22 lunnyonnyola nti: “Kuba bonna nga bwe baafiira mu Adamu, era bwe batyo mu Kristo bonna mwe bafuukira abalamu.” Nga kituukirawo bulungi ddala, Yesu ayitibwa “Kitaffe ataggwaawo.”—Isaaya 9:6, 7.

ENGERI EKINUNULO GYE KYASASULWAMU

12. Ddi Yesu lwe yafuuka Masiya, era oluvannyuma lw’ekyo yagoberera kkubo ki ery’obulamu?

12 Mu ddumbi w’omwaka 29 C.E., Yesu yagenda eri Yokaana gwe yalinako oluganda okubatizibwa era mu ngeri eyo yeeyanjule okukola Katonda by’ayagala. Ku olwo Yakuwa yafuka omwoyo omutukuvu ku Yesu. Yesu n’afuuka Masiya, oba Kristo, oyo Katonda gw’afuseeko amafuta. (Matayo 3:16, 17) Awo Yesu n’atandika obuweereza bwe obwamala emyaka esatu n’ekitundu. Yatalaaga ensi ye yonna, ng’abuulira ku Bwakabaka bwa Katonda era ng’akuŋŋaanya abagoberezi abeesigwa. Kyokka, nga bwe kyalagulwa, mu bbanga ttono yafuna okuziyizibwa.—Zabbuli 118:22; Ebikolwa 4:8-11.

13. Biki ebyaliwo okutuuka ku kufa kwa Yesu ng’omukuumi w’obugolokofu?

13 N’obuvumu Yesu yayatuukiriza obunnanfuusi bw’abakulembeze b’eddiini, era ne banoonya okumutta. Mu nkomerero baakola olukwe olubi ennyo omwali okumuwaayo, okumukwata mu ngeri etaali ntuufu, okumuwozesa mu ngeri emenya amateeka, era n’okumujwetekako omusango ogw’okupikiriza abantu okujeemera ab’obuyinza. Yesu yakubibwa, yawandulirwa amalusu, yavumibwa, era yakubibwa n’embooko eyuzaayuza ennyama. Gavana Omuruumi Pontiyo Piraato n’amusalira ekibonerezo eky’okuttibwa ng’awanikibwa ku muti ogw’okubonaabona. Yakomererwa ku kikondo ky’omuti era n’awanikibwa okwo busimba. Buli lussa lwa mukka lwali lwa bulumi bungi nnyo ddala, ate kyamutwalira essaawa eziwera okufa. Mu bulumi obwo bwonna, Yesu yakuuma obugolokofu obutuukiridde eri Katonda.

14. Lwaki Katonda yaleka Omwana we okubonaabona n’okufa?

14 Bwe kityo, nga Nisani 14, 33 C.E., Yesu yawaayo obulamu bwe “okununula abangi.” (Makko 10:45; 1 Timoseewo 2:5, 6) Ng’ayima mu ggulu, Yakuwa yalaba Omwana we omwagalwa ng’abonaabona era ng’afa. Lwaki Katonda yakkiriza ekikangabwa bwe kityo okubaawo? Yakikkiriza olw’okuba yali ayagala olulyo lw’omuntu. Yesu yagamba: “Katonda bwe yayagala ensi bw’ati, n’okuwaayo n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme okubula [“okuzikirira,” NW ], naye abeere n’obulamu obutaggwaawo.” (Yokaana 3:16) Okufa kwa Yesu era kutuyigiriza nti Yakuwa Katonda wa bwenkanya obutuukiridde. (Ekyamateeka 32:4) Abamu bayinza okwewuunya lwaki Katonda teyajjulula ku misingi gye egy’obwenkanya egyali gyetaagisa obulamu okuweebwayo olw’obulamu ne yeerabira engassi eyali yeetaagibwa okusasulwa olw’ekibi kya Adamu. Ensonga eri nti Yakuwa buli kiseera anywerera ku mateeka ge era agassaamu ekitiibwa, ne bwe kiba kimwetaagisa ye kennyini okwefiiriza okw’amaanyi.

15. Okuva bwe kitandibadde kya bwenkanya okuleka obulamu bwa Yesu okukoma olubeerera, kiki Yakuwa kye yakola?

15 Era obwenkanya bwa Yakuwa bwali bwetaagisa okufa kwa Yesu kuveemu eky’essanyu. Bwe kitandibadde kityo, wandibaddewo obwenkanya bwonna okuleka Yesu omwesigwa okusigala emagombe emirembe gyonna? Ddala nedda! Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya byali biragudde nti ono eyanywerera ku Katonda teyali wa kusigala magombe. (Zabbuli 16:10; Ebikolwa 13:35) Yeebakayo ebitundu bya nnaku ssatu, Yakuwa Katonda n’alyoka amuzuukiza ng’ekiramu eky’omwoyo eky’amaanyi.—1 Peetero 3:18.

16. Kiki Yesu kye yakola ng’azzeeyo mu ggulu?

16 Mu kufa kwe, Yesu yawaayo obulamu bwe obw’omuntu. Bwe yazuukizibwa okufuna obulamu obw’omu ggulu, yafuuka omwoyo ogugaba obulamu. Ate era, Yesu bwe yalinnya mu kifo ekyo ekisingirayo ddala obutukuvu mu butonde bwonna, yaddamu okuba ne Kitaawe omwagalwa era n’amukwasa mu butongole omuwendo gw’obulamu bwe obw’omuntu obutuukiridde. (Abaebbulaniya 9:23-28) Omuwendo gw’obulamu obwo obw’omuwendo ennyo kati gwali gusobola okukozesebwa ku lw’abantu abawulize. Kino kitegeeza ki gy’oli?

GGWE N’EKINUNULO KYA KRISTO

17. Tuyinza tutya okufuna okusonyiyibwa okusinziira ku ssaddaaka ey’ekinunulo kya Kristo?

17 Lowooza ku ngeri ssatu ssaddaaka ya Kristo ey’ekinunulo z’ekuganyulamu wadde kati. Okusooka, esobozesa okusonyiyibwa kw’ebibi. Bwe tukkiririza mu musaayi gwa Yesu ogwayiibwa, tuba tufunye “okununulibwa” yee, “okusonyiyibwa ebyonoono byaffe.” (Abeefeso 1:7) Ne bwe tuba nga tukoze ekibi eky’amaanyi, tuyinza okusaba Katonda okutusonyiwa mu linnya lya Yesu. Bwe tuba twenenyezza ddala, Yakuwa atuyamba ng’akozesa omuganyulo gwa ssaddaaka ey’ekinunulo ky’Omwana we. Katonda atusonyiwa, ng’atuwa omukisa ogw’okuba n’omuntu ow’omunda omulungi, mu kifo ky’okutusalira ekibonerezo eky’okufa ekitugwanira olw’okwonoona.—Ebikolwa 3:19; 1 Peetero 3:21.

18. Mu ngeri ki ssaddaaka ya Yesu gy’etuwa essuubi?

18 Ey’okubiri, ssaddaaka ey’ekinunulo kya Kristo etuteerawo omusingi ogw’okuba n’essuubi ery’ebiseera eby’omu maaso. Mu kwolesebwa, omutume Yokaana yalaba nti “ekibiina ekinene omuntu yenna ky’atayinza kubala” kijja kuwonawo ku nkomerero y’embeera zino ez’ebintu. Lwaki banaawonawo nga Katonda azikiriza abantu abalala bangi? Malayika yagamba Yokaana nti ekibiina ekinene ekyo ‘baayoza ebyambalo byabwe ne babitukuza mu musaayi gw’Omwana gw’endiga,’ Yesu Kristo. (Okubikkulirwa 7:9, 14) Bwe tukkiririza mu musaayi gwa Yesu Kristo ogwayiibwa era ne tugoberera ebyo Katonda by’atwetaagisa, tujja kubeera balongoofu mu maaso ga Katonda era tujja kuba n’essuubi ery’obulamu obutaggwaawo.

19. Ssaddaaka ya Kristo ekakasa etya nti ye ne Kitaawe bakwagala?

19 Ey’okusatu, ssaddaaka ey’ekinunulo bwe bukakafu obusingirayo ddala obulaga okwagala kwa Yakuwa. Okufa kwa Kristo kwayoleka mu ngeri etegeerekeka obulungi ebikolwa ebibiri ebisingirayo ddala okuba eby’okwagala mu byafaayo by’obutonde bwonna: (1) Okwagala kwa Katonda mu kusindika Omwana we okutufiirira; (2) Okwagala kwa Yesu mu kwewaayo kyeyagalire okuba ekinunulo. (Yokaana 15:13; Abaruumi 5:8) Ddala singa tulaga okukkiriza, okwagala kuno kutuzingiramu ffenna. Omutume Pawulo yagamba nti: ‘Omwana wa Katonda yanjagala ne yeewaayo ku lwange.’—Abaggalatiya 2:20; Abaebbulaniya 2:9; 1 Yokaana 4:9, 10.

20. Lwaki tusaanidde okukkiririza mu ssaddaaka ey’ekinunulo kya Yesu?

20 N’olwekyo, ka tulage okusiima kwaffe olw’okwagala okwatulagibwa Katonda ne Kristo nga tukkiririza mu ssaddaaka ey’ekinunulo kya Yesu. Okukola ekyo kututuusa mu bulamu obutaggwaawo. (Yokaana 3:36) Naye era, okulokolebwa kwaffe si ye nsonga esingira ddala obukulu eyaleeta Yesu okubeera ku nsi n’okufa. Nedda, okusingira ddala yali alowooza ku nsonga esinga n’eyo obukulu, etwaliramu obutonde bwonna. Nga bwe tujja okulaba mu ssuula eddako, ensonga eyo etukwatako ffenna kubanga eraga ensonga lwaki Katonda akyaleseewo obubi n’okubonaabona okumala ebbanga eddene bwe lityo mu nsi eno.

GEZESA OKUMANYA KWO

Lwaki Yesu yalina okufa okusobola okulokola abantu?

Ekinunulo kyasasulwa kitya?

Ekinunulo okiganyulwamu mu ngeri ki?

[Ebibuuzo]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 67]