Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Katonda ow’Amazima y’Ani?

Katonda ow’Amazima y’Ani?

Essuula 3

Katonda ow’Amazima y’Ani?

1. Lwaki bangi bakkiriziganya n’ebigambo ebyo ebisookera ddala mu Baibuli?

BW’OTUNUULIRA eggulu obudde obw’ekiro nga teriiyo bire, tekikusamaaliriza okulaba emmunyeenye ennyingi ennyo? Olowooza zaabaawo zitya? Ate byo ebiramu byonna ebiri ku nsi—ebimuli eby’erangi ennyingi, ebinyonyi ebiyimba obulungi, zirukwata ezeeyagalira mu gayanja aganene? Olukalala terusobola kuggwaayo. Bino byonna tebisobola kuba nga byabaawo mu butanwa. Tekyewuunyisa nti abantu bangi bakkiriziganya n’ebigambo ebyo ebisookera ddala mu Baibuli: “Olubereberye Katonda yatonda eggulu n’ensi”!—Olubereberye 1:1.

2. Kiki Baibuli ky’eyogera ku Katonda, era etukubiriza kukola ki?

2 Abantu balina endowooza za njawulo ku bikwata ku Katonda. Abamu balowooza nti Katonda maanyi bwanyi. Bukadde na bukadde basinza bajjajjaabwe abaafa, nga balowooza nti Katonda ali wala nnyo tasobola kutuukirirwa. Naye Baibuli eraga nti Katonda ow’amazima muntu wa ddala atufaako ennyo ng’abantu kinnoomu. Kyeva etukubiriza ‘tunoonye Katonda,’ ng’egamba nti: “Tali wala wa buli omu ku ffe.”—Ebikolwa 17:27.

3. Lwaki tekisoboka kukola kifaananyi kya Katonda?

3 Katonda afaanana atya? Abaweereza be abatonotono baayolesebwako ku kitiibwa kye. Mu kwolesebwa okwo yeeyoleka ng’atudde ku ntebe, ng’avaako okumasamasa okw’amaanyi ennyo. Kyokka, abo abaafuna okwolesebwa ng’okwo tebannyonnyola ngeri gy’afaananamu mu maaso. (Danyeri 7:9, 10; Okubikkulirwa 4:2, 3) Kino kiri bwe kityo kubanga “Katonda Mwoyo”; talina mubiri gulabika. (Yokaana 4:24, NW ) Mu butuufu, tekisoboka kufaananyiriza Mutonzi waffe ngeri yonna erabika, kubanga “tewali eyali alabye ku Katonda wonna wonna.” (Yokaana 1:18; Okuva 33:20) Naye, Baibuli etuyigiriza bingi nnyo ku Katonda.

KATONDA OW’AMAZIMA ALINA ERINNYA

4. Ebimu ku bitiibwa ebijjudde amakulu Baibuli by’ekozesa ku Katonda bye biruwa?

4 Mu Baibuli, Katonda ow’amazima ayogerwako n’ebigambo nga bino “Katonda Omuyinza w’ebintu byonna,” “Ali Waggulu Ennyo,” “Omutonzi ow’Ekitalo,” “Omuyigiriza ow’Ekitalo,” “Mukama Afuga Byonna,” era “Kabaka ow’emirembe n’emirembe.” (Olubereberye 17:1; Zabbuli 50:14, NW; Omubuulizi 12:1, NW; Isaaya 30:20, NW; Ebikolwa 4:24, NW; 1 Timoseewo 1:17) Okufumiitiriza ku bitiibwa ebyo kuyinza okutuyamba okukulaakulana mu kumanya Katonda.

5. Erinnya lya Katonda lye liruwa, era lirabika emirundi emeka mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya?

5 Kyokka, Katonda alina erinnya ery’enjawulo ennyo erirabika emirundi nga 7,000 mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya mwokka—emirundi mingi okusinga buli kitiibwa ky’alina. Emyaka nga 1,900 egiyiseewo, Abayudaaya baalekera awo okwatula erinnya lya Katonda olw’obulombolombo bwabwe obukyamu. Olwebbulaniya olwa Baibuli lwawandiikibwa nga tebateekamu nnukuta mpeerezi. N’olwekyo, tewali bwe tuyinza kumanya na bukakafu ngeri Musa, Dawudi, oba abantu abalala ab’omu biseera eby’edda gye baayatulangamu ennukuta zino ennya ensirifu (יהוה) ezikola erinnya lya Katonda. Abeekenneenya abamu bagamba nti erinnya lya Katonda liyinza okuba nga lyayatulwanga “Yahweh,” naye tebasobola kuba bakakafu. Enjatula ey’Olungereza “Jehovah” ebadde ekozesebwa okumala ebyasa bingi, era n’enjatula ezifaananako bwe zityo zikozesebwa mu nnimi nnyingi ennaku zino.—Laba Okuva 6:3 ne Isaaya 26:4.

LWAKI OSAANIDDE OKUKOZESA ERINNYA LYA KATONDA

6. Zabbuli 83:18 eyogera ki ku Yakuwa, era lwaki tusaanidde okukozesa erinnya lye?

6 Erinnya lya Katonda, Yakuwa, limwawula okuva ku bakatonda abalala bonna. Ye nsonga lwaki erinnya eryo lirabika emirundi mingi nnyo mu Baibuli, naddala mu byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya. Abavvuunuzi bangi tebakozesa linnya lya Katonda, naye Zabbuli 83:18 ekyasanguza bulungi: “Ggwe wekka, erinnya lyo YAKUWA, oli waggulu nnyo ng’ofuga ensi yonna.” N’olwekyo, tusaanidde okukozesa erinnya lya Katonda nga tumwogerako.

7. Amakulu g’erinnya lya Yakuwa gatuyigiriza ki ku Katonda?

7 Erinnya Yakuwa liri mu ngeri y’ekigambo ky’Olwebbulaniya ekitegeeza “okuba.” Bwe kityo, erinnya lya Katonda litegeeza “Ky’Ayagala Ky’Aba.” Mu ngeri eyo Yakuwa Katonda yemanyisa nga bw’ali Omuteesiteesi Omukulu ow’ebigendererwa. Bulijjo atuukiriza ebigendererwa bye. Katonda ow’amazima yekka y’ayinza okuba n’erinnya lino, kubanga abantu tebayinza kukakasa nti entegeka zaabwe ziyinza okutuukirira. (Yakobo 4:13, 14) Yakuwa yekka y’ayinza okugamba: “Bwe kityo bwe kinaabanga ekigambo kyange ekiva mu kamwa kange . . . kiriraba omukisa mu ekyo kye nnakitumirira.”—Isaaya 55:11.

8. Kigendererwa ki Yakuwa kye yalangirira okuyitira mu Musa?

8 Bajjajja Abebbulaniya, Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo bonna ‘baakoowoolanga erinnya lya Yakuwa,’ naye tebaamanya mu bujjuvu makulu ga linnya lya Katonda. (Olubereberye 21:33; 26:25; 32:9; Okuva 6:3) Oluvannyuma Yakuwa bwe yabikkula ekigendererwa kye eky’okununula bazzukulu baabwe, Abaisiraeri, okuva mu buddu e Misiri abawe ‘ensi ejjudde amata n’omubisi gw’enjuki,’ kino kiyinza okuba nga kyalabika ng’ekitasoboka. (Okuva 3:17) Wadde kyali bwe kityo, Katonda yaggumiza amakulu g’erinnya lye ag’olubeerera ng’agamba nnabbi we Musa nti: “Bw’otyo bw’olibagamba abaana ba Isiraeri nti Mukama [“Yakuwa,” NW ] Katonda wa bajjajja bammwe, Katonda wa Ibulayimu, Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo antumye eri mmwe: eryo lye linnya lyange ebiro ebitaggwaawo, n’ekyo kye kijjukizo kyange emirembe gyonna.”—Okuva 3:15.

9. Falaawo yatunuulira atya Yakuwa?

9 Musa yasaba Falaawo, kabaka w’e Misiri, okuleka Abaisiraeri bagende basinze Yakuwa mu ddungu. Naye Falaawo, eyatwalibwanga okuba katonda era eyasinzanga bakatonda abalala ab’e Misiri, yaddamu: “Mukama [“Yakuwa,” NW ] y’ani, mmuwulire eddoboozi lye okuleka Isiraeri? Simanyi nze Mukama [“Yakuwa,” NW ], era nate sirireka Isiraeri.”—Okuva 5:1, 2.

10. Mu Misiri ey’edda, Yakuwa yakola ki okutuukiriza ekigendererwa kye ku bikwata ku Baisiraeri?

10 Awo Yakuwa yalina bye yakola okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye, ng’atuukanira ddala n’amakulu g’erinnya lye. Yaleeta ebibonyoobonyo kkumi ku Bamisiri ab’edda. Ekibonyoobonyo ekyasembayo kyatta ababereberye ba Misiri bonna, nga mw’otwalidde ne mutabani wa Falaawo oyo ow’amalala. Olwo Abamisiri baali baagala Abaisiraeri bagende. Kyokka, Abamisiri abamu baawuniikirira nnyo olw’amaanyi ga Yakuwa era ne beegatta ku Baisiraeri nga bava mu Misiri.—Okuva 12:35-38.

11. Kya magero ki Yakuwa kye yakola ku Nnyanja Emmyufu, era kiki abalabe be kye baawalirizibwa okukkiriza?

11 Falaawo omukakanyavu n’eggye lye, awamu n’ebikumi n’ebikumi by’amagaali ag’olutalo, baawondera baddemu okukwata abaddu be. Abamisiri bwe baasembera, Katonda yayawulamu amazzi g’Ennyanja Emmyufu mu ngeri ey’ekyamagero Abaisiraeri basobole okuyita awakalu wakati mu nnyanja. Abaali babawondera bwe baayingira mu nnyanja, Yakuwa “[y]aggyako bannamuziga ab’amagaali gaabwe, ne bagagoba nga gazitowa.” Abalwanyi ba Misiri baakaaba: “Tudduke mu maaso ga Isiraeri; kubanga Mukama [“Yakuwa,” NW ] abalwanirira ku Bamisiri.” Naye kyali tekikyasoboka. Ebisenge by’amazzi ebigulumivu byabagwira “ne gasaanikira amagaali, n’abeebagazi, era n’eggye lya Falaawo lyonna.” (Okuva 14:22-25, 28) Bw’atyo Yakuwa yeekolera erinnya ekkulu, era ekyaliwo ekyo tekyerabirwanga n’okutuusa kati.—Yoswa 2:9-11.

12, 13. (a) Erinnya lya Katonda lirina makulu ki gye tuli leero? (b) Kiki abantu kye beetaaga okuyiga mu bwangu ddala, era lwaki?

12 Erinnya Katonda lye yeekoledde lya makulu nnyo gye tuli leero. Erinnya lye, Yakuwa, liriwo ng’akakalu nti byonna by’ategese okukola ajja kubituukiriza. Ekyo kitwaliramu okutuukiriza ekigendererwa kye eky’olubereberye eky’ensi okufuuka olusuku lwa Katonda. (Olubereberye 1:28; 2:8) N’olw’ensonga eyo, Katonda ajja kuggyawo abo bonna abawakanya obufuzi bwe leero, kubanga yagamba: “Balimanya nga nze Yakuwa.” (Ezeekyeri 38:23, NW ) Olwo Katonda ajja kutuukiriza ekisuubizo kye eky’okununula abamusinza okubatuusa mu nsi empya ey’obutuukirivu.—2 Peetero 3:13.

13 Abo bonna abaagala okusiimibwa Katonda bateekwa okuyiga okukoowoola erinnya lye mu kukkiriza. Baibuli esuubiza: “Buli akoowoola erinnya lya Yakuwa alirokolebwa.” (Abaruumi 10:13, NW ) Yee, erinnya Yakuwa lya makulu nnyo ddala. Okukoowoola Yakuwa nga Katonda wo era Omununuzi wo kuyinza okukutuusa mu ssanyu eritaliggwaawo.

ENGERI ZA KATONDA OW’AMAZIMA

14. Ngeri ki enkulu eza Katonda Baibuli z’eyoleka?

14 Okwekenneenya okununulwa kwa Isiraeri okuva e Misiri kwoleka engeri nnya enkulu Katonda z’alina mu kipimo ekituukiridde. Engeri gye yakolaganamu ne Falaawo yayoleka amaanyi g’alina amayitirivu. (Okuva 9:16) Engeri ey’amagezi ennyo Katonda gye yakwatamu embeera eyo enzibu yalaga amagezi ge agatenkanika. (Abaruumi 11:33) Yalaga obwenkanya bwe ng’abonereza abawakanyi abo ab’emputtu era abaali babonyaabonya abantu be. (Ekyamateeka 32:4) Engeri ya Katonda esingira ddala obukulu kwe kwagala. Yakuwa yalaga okwagala kwa maanyi bwe yatuukiriza ekisuubizo kye ekikwata ku bazzukulu ba Ibulayimu. (Ekyamateeka 7:8) Era yalaga okwagala bwe yakkiriza Abamisiri abamu okuva ku bakatonda ab’obulimba bafune emiganyulo egy’ekitalo nga baweereza Katonda omu yekka ow’amazima.

15, 16. Ngeri ki Katonda z’alazemu okwagala kwe?

15 Mu kusoma kwo okwa Baibuli, ojja kulaba nti okwagala ye ngeri ya Katonda esingira ddala obukulu, era akulaga mu ngeri nnyingi. Ng’ekyokulabirako, olw’okwagala yafuuka Omutonzi era essanyu ery’obulamu yasooka kuligabanyizaako ebitonde eby’omwoyo. Bamalayika abo ebikumi by’obukadde baagala Katonda era bamutendereza. (Yobu 38:4, 7; Danyeri 7:10) Era Katonda yalaga okwagala bwe yatonda ensi n’agiteekerateekera abantu bagibeereko mu ssanyu.—Olubereberye 1:1, 26-28; Zabbuli 115:16.

16 Tuganyulwa mu kwagala kwa Katonda mu ngeri nnyingi nnyo ze tutayinza kwogera ne tuzimalayo. Ng’ekyokulabirako, Katonda yakola emibiri gyaffe mu ngeri ey’ekitalo ennyo tusobole okunyumirwa obulamu. (Zabbuli 139:14) Okwagala kwe kulagibwa mu kuba nti ‘atutonnyeseza enkuba okuva mu ggulu n’atuwa ebiro eby’okubaliramu emmere, n’ajjuza emitima gyaffe emmere n’essanyu.’ (Ebikolwa 14:17) Katonda ‘enjuba ye agyakiza ababi n’abalungi, abatuukirivu n’abatali batuukirivu abatonnyeseza enkuba.’ (Matayo 5:45) Era okwagala kuleetera Omutonzi waffe okutuyamba okufuna okumanya okukwata ku Katonda tumuweereze n’essanyu ng’abasinza be. Ddala, “Katonda kwagala.” (1 Yokaana 4:8) Naye alina n’engeri endala nnyingi nnyo.

“KATONDA AJJUDDE OKUSAASIRA ERA OW’EKISA”

17. Tuyiga ki ku Katonda mu Okuva 34:6, 7?

17 Abaisiraeri nga bamaze okusomoka Ennyanja Emmyufu, baali beetaaga okumanya Katonda ekisingawo. Musa yamanya obwetaavu buno era yasaba: “Nkwegayiridde bwe mba nga nalaba ekisa mu maaso go, ondage amakubo go, nkumanye, ndyoke ndabe ekisa mu maaso go.” (Okuva 33:13) Musa yeeyongera okumanya Katonda ekisingawo bwe yawulira Katonda kennyini ng’agamba: “Mukama, Mukama [“Yakuwa, Yakuwa,” NW ], Katonda ajjudde okusaasira era ow’ekisa, alwawo okusunguwala, era alina okusaasira okungi n’amazima amangi; ajjudde okusaasira eri abantu enkumi n’enkumi, asonyiwa obutali butuukirivu n’okwonoona n’ekibi: era atalimuggyako omusango n’akatono oyo aligubaako.” (Okuva 34:6, 7) Katonda okwagala kwe akugattako obwenkanya, n’atazibira abo aboonoona mu bugenderevu baleme kutuukibwako ebiva mu kwonoona kwabwe.

18. Yakuwa alaze atya nti musaasizi?

18 Nga Musa bwe yayiga, Yakuwa musaasizi. Omuntu omusaasizi akwatirwa ekisa abo ababonaabona era agezaako okubafunira obuweerero. Bw’atyo Katonda alaze obusaasizi eri olulyo lw’omuntu ng’alutegekera obuweerero obw’enkalakkalira okuva mu kubonaabona, obulwadde, n’okufa. (Okubikkulirwa 21:3-5) Abasinza ba Katonda bayinza okutuukibwako emitawaana olw’embeera eziriwo mu nsi eno embi, oba bayinza okukola ebitali bya magezi ne beesanga mu mitawaana. Naye bwe bakyukira Yakuwa okufuna obuyambi, ajja kubabudaabuda era ajja kubayamba. Lwaki? Kubanga afaayo nnyo ku baweereza be olw’obusaasizi bw’alina.—Zabbuli 86:15; 1 Peetero 5:6, 7.

19. Lwaki tuyinza okugamba nti Katonda wa kisa nnyo?

19 Abantu bangi abali mu buyinza bayisa bubi nnyo abalala. Obutafaanana n’abo, Yakuwa nga wa kisa nnyo eri abaweereza be abatalina na bwe bali! Wadde nga y’asingirayo ddala obuyinza, alaga ekisa kya nsusso eri olulyo lw’omuntu lwonna okutwalira awamu. (Zabbuli 8:3, 4; Lukka 6:35) Yakuwa era alaga ekisa eri abantu kinnoomu, ng’addamu okusaba kwabwe. (Okuva 22:26, 27; Lukka 18:13, 14) Kyo kituufu, Katonda tateekeddwa kulaga kisa oba busaasizi eri omuntu yenna. (Okuva 33:19) N’olwekyo, twetaaga okulaga okusiima kungi olw’obusaasizi n’ekisa Katonda by’atulaga.—Zabbuli 145:1, 8.

ALWAWO OKUSUNGUWALA, TASALIRIZA, ATE MUTUUKIRIVU

20. Kiki ekiraga nga Yakuwa alwawo okusunguwala era tasaliriza?

20 Yakuwa alwawo okusunguwala. Kyokka, kino tekitegeeza nti tabaako ky’akolawo, kubanga yasitukiramu n’azikiriza Falaawo omukakanyavu n’eggye lye mu Nnyanja Emmyufu. Yakuwa era tasaliriza. Bwe kityo, abantu be yali asiima, Abaisiraeri, ekiseera kyatuuka ne baba nga tebakyasiimibwa gy’ali olw’okukolanga ebibi olutatadde. Katonda akkiriza abantu okuva mu mawanga gonna okubeera abasinza be, naye ng’akkirizaako abo bokka abagondera emitindo gye egy’obutuukirivu.—Ebikolwa 10:34, 35.

21. (a) Okubikkulirwa 15:2-4 watuyigiriza ki ku Katonda? (b) Kiki ekijja okukifuula ekyangu gye tuli okukola ekyo Katonda ky’agamba okuba ekituufu?

21 Ekitabo ky’Okubikkulirwa mu Baibuli kiraga obukulu bw’okuyiga ku ‘bikolwa bya Katonda eby’obutuukirivu.’ Kitubuulira nti ebitonde eby’omu ggulu biyimba: “Bikulu era bya kitalo ebikolwa byo, Mukama Katonda, Omuyinza w’ebintu byonna; ga butuukirivu era ga mazima amakubo go, ggwe Kabaka ow’emirembe n’emirembe. Ani atalitya, Mukama, n’ataliwa kitiibwa erinnya lyo? kubanga ggwe wekka ggwe mutukuvu; kubanga amawanga gonna galijja era galisinzizza mu maaso go; kubanga ebikolwa byo eby’obutuukirivu birabise.” (Okubikkulirwa 15:2-4) Tulaga nti tutya Yakuwa, oba nti tumuwa ekitiibwa eky’okusinza, nga tugoberera ekyo ky’agamba okuba ekituufu. Kino kiba kyangu bwe tujjukira amagezi ga Katonda n’okwagala kwe. Ebiragiro bye byonna biriwo ku lwa bulungi bwaffe.—Isaaya 48:17, 18.

‘YAKUWA KATONDA WAFFE ALI OMU’

22. Lwaki abo abakkiriza Baibuli tebasinza Tiriniti?

22 Abamisiri ab’edda baasinzanga bakatonda bangi, naye Yakuwa ye ‘Katonda atayagala kumugattako balala.’ (Okuva 20:5, NW ) Musa yajjukiza Abaisiraeri nti “Yakuwa Katonda waffe ye Yakuwa omu.” (Ekyamateeka 6:4, NW ) Yesu Kristo yaddamu ebigambo ebyo. (Makko 12:28, 29) N’olwekyo, abo abakkiriza Baibuli ng’Ekigambo kya Katonda tebasinza Tiriniti erimu abantu abasatu oba bakatonda abasatu mu omu. Mu butuufu, n’ekigambo “Tiriniti” mu Baibuli tekiriimu. Katonda ow’amazima Muntu omu, nga mwawufu okuva ku Yesu Kristo. (Yokaana 14:28; 1 Abakkolinso 15:28) Omwoyo omutukuvu ogwa Katonda si muntu. Ge maanyi ga Yakuwa agakola, Omuyinza w’ebintu byonna g’akozesa okutuukiriza ebigendererwa bye.—Olubereberye 1:2; Ebikolwa 2:1-4, 32, 33; 2 Peetero 1:20, 21.

23. (a) Okwagala kwo eri Katonda kunneeyongera kutya? (b) Yesu yayogera ki ku kwagala Katonda, era lwaki twetaaga okuyiga ebikwata ku Kristo?

23 Ng’omaze okutegeera Yakuwa bw’ali ow’ekitalo ennyo, tokkiriza nti ogwanidde okumusinza? Nga weeyongera okuyiga Ekigambo kye, Baibuli, ojja kweyongera okumumanya obulungi era ojja kuyiga by’akwetaagisa okukola osobole okubeera mu bulamu obulungi era obw’essanyu emirembe gyonna. (Matayo 5:3, 6) Okugatta ku ebyo, okwagala kw’olina eri Katonda kujja kweyongera. Ekyo kirungi, kuba Yesu yagamba: “Yagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna, n’amaanyi go gonna.” (Makko 12:30) Kya lwatu, Yesu yalina okwagala ng’okwo eri Katonda. Naye Baibuli etutegeeza ki ku Yesu Kristo? Alina kifo ki mu kigendererwa kya Yakuwa?

GEZESA OKUMANYA KWO

Erinnya lya Katonda lye liruwa, era likozesebwa emirundi emeka mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya?

Lwaki osaanidde okukozesa erinnya lya Katonda?

Ngeri ki eza Yakuwa Katonda ezisingira ddala okukusikiriza?

[Ebibuuzo]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]

Omutonzi w’ebintu byonna omumanyi kwenkana wa?