Kifuule Kiruubirirwa Kyo Okuweereza Katonda Emirembe Gyonna
Essuula 18
Kifuule Kiruubirirwa Kyo Okuweereza Katonda Emirembe Gyonna
1, 2. Ng’oggyeeko okufuna okumanya okukwata ku Katonda kiki ekirala ekyetaagibwa?
KITEEBEREZE ng’oyimiridde mu maaso g’omulyango omuggale oguyingira mu kisenge omuli eby’obugagga bingi. Ka tugambe nti omuntu alina obuyinza ku by’obugagga ebyo akuwadde ekisumuluzo era n’akugamba oyingire weeronderemu by’oyagala byonna. Ekisumuluzo ekyo tekijja kuba na mugaso gwonna gy’oli okuggyako ng’okikozesezza. Mu ngeri y’emu, okumanya okusobola okuba okw’omugaso gy’oli, oteekwa okukukozesa.
2 Kino kya mazima nnyo naddala ku kumanya okukwata ku Katonda. Ddala ddala, okumanya okutuufu okukwata ku Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo kutegeeza bulamu butaggwaawo. (Yokaana 17:3) Kyokka, essuubi eryo terisobola kutuukibwako olw’okubeera obubeezi n’okumanya. Era nga bwe wandikozesezza ekisumuluzo eky’omugaso, weetaaga okukozesa okumanya okukwata ku Katonda mu bulamu bwo. Yesu yagamba nti abo abakola Katonda by’ayagala be ‘baliyingira mu bwakabaka.’ Abantu ng’abo baliba n’enkizo ey’okuweereza Katonda emirembe gyonna!—Matayo 7:21; 1 Yokaana 2:17.
3. Kiki Katonda ky’ayagala tukole?
3 Oluvannyuma lw’okuyiga Katonda ky’ayagala, kyetaagisa okukikola. Olowooza Katonda kiki ky’ayagala okole? Kiyinza okuwumbibwawumbibwa mu bigambo bino: Koppa Yesu. Peetero Ekisooka 2:21 lutugamba: “Ekyo kye mwayitirwa, kubanga era Kristo yabonyaabonyezebwa ku lwammwe, ng’abalekera ekyokulabirako mulyoke mutambulirenga mu bigere bye.” N’olwekyo, okukola Katonda ky’ayagala, weetaaga okugoberera
ekyokulabirako kya Yesu mu bujjuvu ddala nga bwe kisoboka. Eyo ye ngeri gy’oteekamu mu nkola okumanya okukwata ku Katonda.ENGERI YESU GYE YAKOZESAAMU OKUMANYA OKUKWATA KU KATONDA
4. Lwaki Yesu amanyi bingi nnyo ku Yakuwa, era akozesezza atya okumanya kuno?
4 Yesu Kristo amanyi bingi nnyo ku Katonda okusinga abalala bonna. Yabeera wamu ne Yakuwa Katonda mu ggulu era n’akolera wamu naye okumala ebbanga ddene nnyo nga tannajja ku nsi. (Abakkolosaayi 1:15, 16) Okumanya okwo kwonna Yesu yakukozesa atya? Teyamatira kubeera bubeezi n’okumanya okwo. Yesu yakutambulizaako obulamu bwe. Eyo ye nsonga lwaki yali wa kisa nnyo, mugumiikiriza, era wa kwagala kungi ng’akolagana ne bantu banne. Mu ngeri eyo, Yesu yali akoppa Kitaawe ali mu ggulu era ng’akolera ku kumanya kwe yalina okukwata ku makubo ga Yakuwa n’engeri ze.—Yokaana 8:23, 28, 29, 38; 1 Yokaana 4:8.
5. Lwaki Yesu yabatizibwa, era yatuukiriza atya amakulu g’okubatizibwa kwe?
5 Okumanya Yesu kwe yalina era kwamuleetera okukola ekintu ekirala ekikulu ennyo. Yava e Ggaliraaya n’ajja ku Mugga Yoludaani, Yokaana gye yamubatiriza. (Matayo 3:13-15) Okubatizibwa kwa Yesu kwalina makulu ki? Ng’Omuyudaaya, yazaalibwa mu ggwanga eryali lyewaddeyo eri Katonda. N’olw’ensonga eyo, Yesu okuviira ddala ku kuzaalibwa kwe yali yeewaddeyo. (Okuva 19:5, 6) Bwe yabatizibwa, yali yeeyanjula eri Yakuwa okukola Katonda kye yali ayagala akole mu kiseera ekyo. (Abaebbulaniya 10:5, 7) Era Yesu yatuukiriza amakulu g’okubatizibwa kwe. Yeemalira mu kuweereza Yakuwa, ng’atuusa ku bantu okumanya okukwata ku Katonda buli kakisa konna ke yafuna. Yesu yafuna essanyu mu kukola Katonda by’ayagala, n’atuuka n’okugamba nti kino kyalinga mmere gy’ali.—Yokaana 4:34.
6. Mu ngeri ki Yesu gye yeefiiriza ebibye ku bubwe?
6 Yesu yakitegeerera ddala bulungi nti okukola Yakuwa ky’ayagala kyali kimwetaagisa okwefiiriza ennyo—nti kyandimutuusizza n’okufiirwa obulamu bwe. Kyokka, Yesu
yeefiiriza, n’ateeka ebyetaago ebibye ku bubwe mu kifo eky’okubiri. Okukola Katonda ky’ayagala kye kyalinga kikulembera bulijjo. Mu nsonga eno, tuyinza tutya okugoberera ekyokulabirako kya Yesu ekituukiridde?EBIRINA OKUKOLEBWA OKUSOBOLA OKUTUUKA MU BULAMU OBUTAGGWAAWO
7. Bintu ki omuntu by’ateekwa okukola okusobola okutuukiriza ebisaanyizo by’okubatizibwa?
7 Obutafaananako Yesu, ffe tetutuukiridde era okusobola okutuuka ku ddaala ekkulu ery’okubatizibwa tulina ebintu ebirala ebikulu ennyo bye twetaaga okusooka okukola. Kitandikira ku kufuna okumanya okutuufu okukwata ku Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo ne tukuyingiza mu mutima gwaffe. Okukola bwe tuti kituleetera okuba n’okukkiriza era n’okwagala kungi eri Katonda. (Matayo 22:37-40; Abaruumi 10:17; Abaebbulaniya 11:6) Okugondera amateeka ga Katonda, emisingi gye, n’emitindo gye kujja kutuleetera okwenenya, okunakuwalira ebibi bye twakola mu biseera ebyayita. Kino kitutuusa ku kukyuka, kwe kugamba, okukuba amabega n’okuleka ekkubo lyonna ebbi lye twatambulirangamu nga tetunnafuna kumanya okukwata ku Katonda. (Ebikolwa 3:19) Kya lwatu, bwe tuba tukyalina ekibi kyonna kye tukola mu nkukutu mu kifo ky’okukola eby’obutuukirivu, awo tuba tetukyukidde ddala, era tuba tetubuzaabuzizza Katonda. Yakuwa alaba obunnanfuusi bwonna.—Lukka 12:2, 3.
8. Osaanidde kukola otya bw’oba oyagala okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka?
8 Kati nga bw’obadde ofuna okumanya okukwata ku Katonda, si kye kisaanira okutunuulira ensonga ez’eby’omwoyo mu ngeri gy’okwatibwako ggwe wennyini? Oboolyawo oyagala okubuulira ab’eŋŋanda zo, mikwano gyo, n’abalala ku by’obadde oyiga. Mu butuufu, oyinza okuba watandika dda okukikola, okufaananako ne Yesu bwe yabuulira abalala amawulire amalungi mu ngeri ey’embagirawo. (Lukka 10:38, 39; Yokaana 4:6-15) Kati oyinza okuba ng’oyagala okukola ekisingawo. Abakadde Abakristaayo bajja kusanyuka okwogerako naawe balabe obanga otuukiriza ebisaanyizo okusobola okwetaba mu mulimu ogukolebwa Abajulirwa ba Yakuwa ogw’okubuulira Obwakabaka. Bw’oba obituukiriza, abakadde bajja kukola enteekateeka owerekereko Omujulirwa omu mu buweereza obwo. Abayigirizwa ba Yesu baagobereranga ebiragiro bye okusobola okutuukiriza obuweereza bwabwe mu ngeri entegeke obulungi. (Makko 6:7, 30; Lukka 10:1) Ojja kuganyulwa mu buyambi obufaananako bwe butyo nga wenyigira mu kubunyisa obubaka bw’Obwakabaka nnyumba ku nnyumba era ne mu ngeri endala.—Ebikolwa 20:20, 21.
9. Omuntu yeewaayo atya eri Katonda, era okwewaayo kukwata kutya ku bulamu bw’omuntu?
9 Okubuulira amawulire amalungi eri abantu aba buli ngeri abali mu kitundu ekikolebwamu ekibiina ye ngeri y’okuzuulamu abo abaagala obutuukirivu era gwe gumu ku mirimu emirungi egikakasa nti olina okukkiriza. (Ebikolwa 10:34, 35; Yakobo 2:17, 18, 26) Okubeerawo bulijjo mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo era n’okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira nazo ngeri mw’oyolekera nti wenenyezza n’okyuka era nga kati omaliridde okutambuliza obulamu bwo ku kumanya okukwata ku Katonda. Kiki ekyandiddiridde? Kwewaayo eri Yakuwa Katonda. Kino kitegeeza nti okuyitira mu kusaba okuviira ddala mu mutima gwo, otegeeza Katonda nti owaayo obulamu bwo gy’ali kyeyagalire era awatali kwerekamu kwonna okukola by’ayagala. Eno ye ngeri gye weewaayo eri Yakuwa era n’okkiriza ekikoligo kya Yesu Kristo ekitali kizibu.—Matayo 11:29, 30.
OKUBATIZIBWA—KYE KUTEGEEZA GY’OLI
10. Lwaki osaanidde okubatizibwa oluvannyuma lw’okwewaayo eri Yakuwa?
10 Okusinziira ku Yesu, abo bonna abafuuka abayigirizwa be bateekwa okubatizibwa. (Matayo 28:19, 20) Lwaki kino kyetaagisa ng’omaze okwewaayo eri Katonda? Okuva bw’oba weewaddeyo eri Yakuwa, aba amanyi nti omwagala. Naye awatali kubuusabuusa ojja kwagala okubaako ekikolwa ekirala ky’okolawo abalala basobole okumanya nti oyagala Katonda. Okubatizibwa kukusobozesa okwoleka mu lwatu nti weewaddeyo eri Yakuwa Katonda.—Abaruumi 10:9, 10.
11. Okubatizibwa kulina makulu ki?
11 Okubatizibwa kulina amakulu manene ag’akabonero. 1 Peetero 3:21.
Bw’onnyikibwa, oba bwe “oziikibwa,” wansi w’amazzi, oba ng’afudde ku bikwata ku bulamu bwo obw’edda. Bw’obbulukuka, oba ng’azze mu bulamu obuppya, obulamu obufugibwa Katonda by’ayagala, so si by’oyagala. Kya lwatu, kino tekitegeeza nti tojja kuddamu kusobya, kubanga ffenna tetutuukiridde era n’olw’ensonga eyo twonoona buli lunaku. Kyokka, ng’omuweereza wa Yakuwa eyeewaddeyo era omubatize, ojja kuba ofunye enkolagana ey’enjawulo naye. Olw’okwenenya kwo n’okubatizibwa, Yakuwa aba mweteefuteefu okusonyiwa ebibi byo ng’asinziira ku ssaddaaka ya Yesu ey’ekinunulo. Bwe kityo okubatizibwa kukusobozesa okuba n’omuntu ow’omunda omulungi mu maaso ga Katonda.—12. Kitegeeza ki okubatizibwa (a) “mu linnya lya Kitaffe”? (b) ‘mu linnya ly’Omwana’? (c) ‘mu linnya ly’omwoyo omutukuvu’?
12 Yesu yalagira abagoberezi be okubatiza abayigirizwa abappya “mu linnya lya Kitaffe n’Omwana n’omwoyo omutukuvu.” (Matayo 28:19, NW ) Yesu yali ategeeza ki? Okubatizibwa “mu linnya lya Kitaffe” kiraga nti omuntu abatizibwa akkiriza n’omutima gwe gwonna nti Yakuwa Katonda ye Mutonzi era ye Mufuzi omutuufu ow’obutonde bwonna. (Zabbuli 36:9; 83:18; Omubuulizi 12:1) Okubatizibwa mu ‘linnya ly’Omwana’ kitegeeza nti omuntu oyo akkiriza Yesu Kristo—naddala ssaddaaka Ye ey’ekinunulo—ng’engeri yokka ey’obulokozi Katonda gye yateekawo. (Ebikolwa 4:12) Okubatizibwa ‘mu linnya ly’omwoyo omutukuvu’ kiraga nti oyo agenda okubatizibwa akkiriza omwoyo gwa Yakuwa omutukuvu, oba amaanyi ge agakola, nga geego Katonda g’akozesa okutuukirizaamu ebigendererwa Bye n’okuwa abaweereza Be amaanyi okukola by’Ayagala eby’obutuukirivu nga bali wamu n’entegeka Ye eragirirwa omwoyo gwe.—Olubereberye 1:2; Zabbuli 104:30; Yokaana 14:26; 2 Peetero 1:21.
OLI MWETEEFUTEEFU OKUBATIZIBWA?
13, 14. Lwaki tetwanditidde kulondawo kuweereza Yakuwa Katonda?
13 Okuva okubatizibwa bwe kuli okw’amakulu ennyo era nga lye ddaala erisingirayo ddala obukulu mu bulamu bw’omuntu,
wandibadde n’okulonzalonza kwonna? N’akatono! Wadde ng’okusalawo okubatizibwa si kwa kutwalibwa ng’ekintu ekitono, okusalawo okwo kwe kusingirayo ddala okuba okw’amagezi kw’osobola okukola.14 Okubatizibwa kulaga nti olonzeewo okuweereza Yakuwa Katonda. Lowooza ku bantu b’omanyi. Mu ngeri emu oba endala, si bwe kiri nti buli omu alina gw’aweereza? Abamu baweereza bya bugagga. (Matayo 6:24) Abalala baluubirira kututumuka oba beenoonyeza byabwe ku bwabwe nga batwala eky’okufuna bye beegomba okuba ekisingira ddala obukulu mu bulamu bwabwe. Ate abalala baweereza bakatonda ba bulimba. Naye, ggwe, olonzeewo okuweereza Katonda ow’amazima, Yakuwa. Tewali mulala alina kisa, busaasizi, n’okwagala okwenkana awo. Katonda awadde abantu ekitiibwa ng’abawa omulimu ogw’ekigendererwa ogubakulembera okubatuusa ku bulokozi. Awa abaweereza be ekirabo eky’obulamu obutaggwaawo. Ddala ddala, okugoberera ekyokulabirako kya Yesu n’okuwaayo obulamu bwo eri Yakuwa si kye kintu ekisaanidde okukweraliikiriza. Mu butuufu, lye kkubo lyokka ery’okusanyusamu Katonda era ery’amagezi ddala.—1 Bassekabaka 18:21.
15. Biki ebitera okuba enkonge eziremesa abamu okubatizibwa?
15 Kyokka, okubatizibwa si kye kintu ekikolebwa olw’okuwalirizibwa. Eba nsonga yiyo ku bubwo ne Yakuwa. (Abaggalatiya 6:4) Nga bw’ogenze okulaakulana mu by’omwoyo, wandiba nga weebuuzizza: “Kiki ekindobera okubatizibwa?” (Ebikolwa 8:35, 36) Oyinza okwebuuza, ‘Okuziyizibwa ab’omu maka kwe kundobera? Nkyevuluze mu mbeera emu ekontana n’ebyawandiikibwa oba ebikolwa eby’ekibi? Kiyinza okuba nti ntya okukyayibwa ab’omu kitundu we mbeera?’ Zino ze zimu ku nsonga z’oyinza okulowoozaako, naye zipimepime mu ngeri ey’amagezi.
16. Onooganyulwa otya mu kuweereza Yakuwa?
16 Tekiba kya magezi kutunuulira bizibu byokka nga tolowoozezza ku miganyulo egiri mu kuweereza Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, twala ensonga y’okuziyizibwa ab’omu maka go. Yesu yasuubiza nti abayigirizwa be ne bwe bandyabuliddwa ab’eŋŋanda zaabwe olw’okumugoberera, bandifunye Makko 10:29, 30) Bakkiriza banno bajja kukulaga okwagala okw’ab’oluganda, bajja kukuyamba okugumira okuyigganyizibwa, era n’okukuwagira mu kkubo ery’obulamu. (1 Peetero 5:9) Naddala abakadde b’omu kibiina bajja kukuyamba okugumira ebizibu n’okwaŋŋanga okusoomooza okw’engeri endala n’osobola okutuuka ku buwanguzi. (Yakobo 5:14-16) Ku bikwata ku kukyayibwa ab’ensi eno, wandyebuuzizza, ‘Kiki ekiyinza okugeraageranyizibwa n’okufuna okusiimibwa kw’Omutonzi w’obutonde bwonna, nga mmuleetera essanyu olw’ekkubo ly’obulamu lye nnonzeewo?’—Engero 27:11.
amaka ag’eby’omwoyo agasingawo obunene. (OKUTUUKIRIZA OKWEWAAYO KWO N’OKUBATIZIBWA
17. Lwaki okubatizibwa osaanidde kukutwala nga ntandikwa so si nkomerero?
17 Kikulu okukijjukira nti okubatizibwa si ye nkomerero y’okukulaakulana kwo okw’eby’omwoyo. Eba ntandikwa ya kuweereza kwo eri Katonda obulamu bwo bwonna ng’omuweereza atongozeddwa era omu ku Bajulirwa ba Yakuwa. Newakubadde okubatizibwa kukulu nnyo era kwetaagisa, si kakalu akakakasa obulokozi. Yesu teyagamba nti: ‘Buli abatizibwa alirokolebwa.’ Wabula, yagamba nti: “Agumiikiriza okutuuka ku nkomerero ye alirokolebwa.” (Matayo 24:13) N’olwekyo, kikwetaagisa okunoonyanga Obwakabaka bwa Katonda okusooka ng’obutwala nti bwe busingira ddala obukulu mu bulamu bwo.—Matayo 6:25-34.
18. Oluvannyuma lw’okubatizibwa, biruubirirwa ki ebiyinza okuteekebwawo?
18 Okusobola okugumiikiriza mu kuweereza kwo eri Yakuwa, ojja kwagala okweteerawo ebiruubirirwa eby’eby’omwoyo. Ekiruubirirwa ekimu ekisaana kwe kwongera ku kumanya kw’olina okukwata ku Katonda ng’oyitira mu kwesomesa Ekigambo kye obutayosa. Teekateeka okusoma Baibuli buli lunaku. (Zabbuli 1:1, 2) Gendanga mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo obutayosa, kubanga abo b’onoosangayo bajja kukuyamba okufuna amaanyi mu by’omwoyo. Lwaki tokifuula kiruubirirwa kyo okuddangamu ebibuuzo mu nkuŋŋaana z’ekibiina era mu ngeri eyo otendereze Yakuwa era ozzeemu abalala amaanyi? (Abaruumi 1:11, 12) Ekiruubirirwa ekirala kiyinza okuba okwongera okulongoosa okusaba kwo.—Lukka 11:2-4.
19. Ngeri ki omwoyo omutukuvu ze guyinza okukuyamba okwoleka?
19 Okusobola okutuukiriza amakulu g’okubatizibwa kwo, weetaaga okufaayo buli kiseera ku by’okola, okuleka omwoyo gwa Katonda omutukuvu gukuteekemu engeri ezo, gamba ng’okwagala, essanyu, emirembe, okugumiikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza, obuteefu, n’okwefuga. (Abaggalatiya 5:22, 23; 2 Peetero 3:11) Jjukira, Yakuwa awa omwoyo gwe omutukuvu eri abo bonna abagumusaba era abamugondera ng’abaweereza be abeesigwa. (Lukka 11:13; Ebikolwa 5:32) N’olwekyo, saba Katonda akuwe omwoyo gwe era musabe akuyambe okwoleka engeri ezo ezimusanyusa. Engeri ng’ezo zijja kweyongera okweyoleka mu njogera yo n’enneeyisa yo bw’onookolera ku bulagirizi bw’omwoyo gwa Katonda. Kyo kituufu, buli muntu mu kibiina Ekikristaayo afuba okukulaakulanya “omuntu omuggya” asobole okweyongera okufaanana Kristo. (Abakkolosaayi 3:9-14) Buli omu ku ffe ayolekana n’obuzibu bwa njawulo mu kukola kino kubanga ffenna tuli ku mitendera gya njawulo egy’okukulaakulana mu by’omwoyo. Okuva bw’otali mutuukirivu, oteekwa okufuba ennyo okusobola okufuna engeri ezifaananako n’eza Kristo. Naye toterebukanga mu nsonga eno, kubanga kisoboka awamu n’obuyambi bwa Katonda.
20. Oyinza otya okukoppa Yesu mu buweereza bwo?
20 Mu biruubirirwa byo eby’eby’omwoyo mwandibaddemu eky’okukoppa ekyokulabirako kya Yesu eky’essanyu mu ngeri esingawo. (Abaebbulaniya 12:1-3) Yayagala nnyo obuweereza. N’olwekyo, bw’oba olina enkizo ey’okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka, omulimu guno togukola lwa kutuusa butuusa luwalo. Funa okumatira mu kuyigiriza abalala ku Bwakabaka bwa Katonda nga Yesu. Teeka mu nkola okuyigirizibwa ekibiina kwe kikuwa okukuyamba okuba omusomesa omulungi. Era ba mukakafu nti Yakuwa asobola okukuwa amaanyi okutuukiriza obuweereza bwo.—1 Abakkolinso 9:19-23.
21. (a) Tumanyi tutya nti Yakuwa atwala abantu ababatize abeesigwa okuba nga ba muwendo? (b) Kiki ekiraga nga okubatizibwa kukulu olw’okuwonawo kwaffe nga Katonda azikiriza embeera zino embi ez’ebintu?
Kaggayi 2:7) Obunnabbi bwa Baibuli bulaga nti abantu ng’abo Katonda abatwala okuba nga bateekeddwako akabonero ak’okuwonawo ku kuzikirizibwa kw’anaatera okuleeta ku mbeera zino embi ez’ebintu. (Ezeekyeri 9:1-6; Malaki 3:16, 18) ‘Oyagala obulamu obutaggwaawo’? (Ebikolwa 13:48, NW ) Oyagala okuteekebwako akabonero ng’omuntu aweereza Katonda? Okwewaayo n’okubatizibwa bye bimu ku ebyo ebikola akabonero ako, era byetaagisa okusobola okuwonawo.
21 Omuntu eyeewaayo, era eyabatizibwa afuba okugoberera Yesu n’obwesigwa wa muwendo eri Katonda. Yakuwa akebera emitima gy’obuwumbi n’obuwumbi bw’abantu era akimanyi ng’abantu ng’abo tebasangikasangika. Abatwala nga ba muwendo nnyo, ebintu “ebyegombebwa.” (22. Aba “ekibiina ekinene” bayinza kwesunga ki?
22 Oluvannyuma lw’Amataba agaabuna ensi yonna, Nuuwa n’ab’omu maka ge baafuluma eryato ne babeera mu nsi eyali erongooseddwa. Mu ngeri y’emu leero, aba “ekibiina ekinene” abakozesa okumanya okukwata ku Katonda mu bulamu bwabwe ne bafuna okusiimibwa kwa Yakuwa balina essuubi ery’okuwonawo ku nkomerero y’embeera zino embi ez’ebintu banyumirwe obulamu obutaggwaawo ku nsi eriba erongoosereddwa ddala. (Okubikkulirwa 7:9, 14) Obulamu obwo bulifaanana butya?
GEZESA OKUMANYA KWO
Yakuwa ayagala okozese otya okumanya kw’ofunye okumukwatako?
Ebimu ku ebyo by’olina okukola okusobola okutuuka ku kubatizibwa bye biruwa?
Lwaki okubatizibwa ntandikwa so si nkomerero?
Tuyinza tutya okutuukiriza okwewaayo kwaffe n’okubatizibwa?
[Ebibuuzo]
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 172]
Omaze okwewaayo eri Katonda mu kusaba?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 174]
Kiki ekikulobera okubatizibwa?