Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Kiki Ekituuka ku Baagalwa Baffe Abafa?

Kiki Ekituuka ku Baagalwa Baffe Abafa?

Essuula 9

Kiki Ekituuka ku Baagalwa Baffe Abafa?

1. Abantu bawulira batya bwe bafiirwa omwagalwa waabwe?

“OMUNTU anyolwa nnyo ng’omwagalwa we afudde olw’okuba okufa kuba kututte omuntu we gy’atasobola kutegeera.” Bw’atyo bwe yayogera omwana omu omulenzi kitaawe bwe yafa ate ne wayita ebbanga ttono ne nnyina n’afa. Obulumi n’obuyinike bye yalina byamuleetera okuwulirira ddala “ng’ebirowoozo bijula kumutta.” Oboolyawo naawe kyali kikutuuseko. Kyandiba nga weebuuza abaagalwa bo gye bali era obanga oliddamu okubalaba.

2. Bibuuzo ki ebyebuuzibwa ku kufa?

2 Abazadde abamu abakungubaga bagambiddwa nti, “Katonda alondamu ebimuli ebisingamu okulabika obulungi n’abitwala gy’ali mu ggulu.” Mazima bwe kiri? Abaagalwa baffe abafa baba bagenze mu ttwale ery’emyoyo? Bali mu ekyo abamu kye bayita Nirvana, eyogerwako okuba embeera ey’okwesiima eteriimu kulumwa kwonna yadde okwetaaga? Abaagalwa baffe abo baba bayise mu mulyango ogubatuusa mu bulamu obutayinza kukomezebwa obw’omu lusuku lwa Katonda? Oba ng’abalala bwe bagamba, okufa kwe kukkirira mu bibonyoobonyo ebitalikoma eri abo abanyiizizza Katonda? Abafu bayinza okubaako kye bakola ku bulamu bwaffe? Okufuna eby’okuddamu eby’amazima eri ebibuuzo ebyo, twetaaga okwebuuza ku Kigambo kya Katonda, Baibuli.

“OMWOYO” OGULI MU BANTU KYE KI?

3. Socrates ne Plato baalina ndowooza ki ku kufa, era ekoze ki ku bantu leero?

3 Abayonaani abagezigezi ab’edda Socrates ne Plato baagamba nti wateekwa okubaawo ekintu ekitafa ekiri munda mu basajja n’abakazi—emmeeme esigala nga nnamu era nga yo, tefiira ddala. Okwetooloola ensi, bukadde na bukadde bakkiriza kino. Enzikiriza eno emirundi egisinga ereetera abantu okutya abafu n’okweraliikirira ennyo embeera abaagalwa baabwe gye balimu. Baibuli erina ky’etuyigiriza eky’enjawulo ennyo ekikwata ku bafu.

4. (a) Olubereberye kitutegeeza ki ku bikwata ku mmeeme? (b) Kiki Katonda kye yateeka mu Adamu okumufuula omulamu?

4 Nga twekenneenya ebikwata ku mbeera y’abafu, tuteekwa okujjukira nti kitaffe omubereberye, Adamu, teyalina mmeeme. Yali mmeeme. Mu kikolwa eky’ekitalo eky’obutonzi, Katonda yabumba omuntu—emmeeme—okuva mu ttaka n’amufuuwamu “omukka ogw’obulamu.” Olubereberye 2:7 (NW ) lutugamba nti: “Yakuwa Katonda n’abumba omuntu okuva mu nfuufu y’ettaka, n’amufuuwa mu nnyindo omukka ogw’obulamu, omuntu n’afuuka emmeeme ennamu.” Obulamu bwa Adamu bwali bukuumirwa ku kussa mukka. Kyokka, Katonda bwe yafuuwa omukka ogw’obulamu mu Adamu, yali tamufuuwamu mpewo yokka. Baibuli eyogera ku ‘maanyi ag’obulamu’ agakolera mu bitonde ebiramu eby’oku nsi.—Olubereberye 7:22, NW.

5, 6. (a) ‘Amaanyi ag’obulamu’ kye ki? (b) Kiki ekibaawo “omwoyo” ogwogerwako mu Zabbuli 146:4 bwe gulekera awo okuwanirira obulamu bw’omubiri?

5 ‘Amaanyi ag’obulamu’ ge galuwa? Kyekyo ekikoleeza obulamu era ekibuwanirira Katonda kye yateeka mu mubiri gwa Adamu ogutaalimu bulamu. Amaanyi gano gaali gakuumirwa ku kussa mukka. Kati olwo “omwoyo” ogwogerwako mu Zabbuli 146:4 (NW ) kye ki? Olunyiriri olwo lwogera bwe luti ku oyo aba afudde: “Omwoyo gwe gumuvaamu, adda mu ttaka lye; ku lunaku olwo ebirowoozo bye ne bizikirira.” Abawandiisi ba Baibuli bwe baakozesa ekigambo “omwoyo” mu ngeri eno, baali tebategeeza mmeeme eyeeyawudde ku mubiri ne yeeyongera okubaawo ng’omubiri gufudde.

6 “Omwoyo” oguva mu bantu ku kufa ge maanyi ag’obulamu agaava eri Omutonzi waffe. (Zabbuli 36:9; Ebikolwa 17:28) Amaanyi gano ag’obulamu tegaba na ngeri za kitonde ekyo mwe gaba, nga n’amasannyalaze bwe gatafaanana kyuma ekyo ekigakozesa. Omuntu bw’afa, omwoyo (amaanyi ag’obulamu) gaalekera awo okuwanirira obulamu mu butofaali bw’omubiri, nga n’ettaala bw’evaako ng’amasannyalaze gaggiddwaako. Amaanyi ag’obulamu bwe galekera awo okuwanirira obulamu mu mubiri gw’omuntu, omuntu oyo—emmeeme—afa.—Zabbuli 104:29; Omubuulizi 12:1, 7.

“MU NFUUFU MW’OLIDDA”

7. Kiki ekyandituuse ku Adamu bwe yandijeemedde Katonda?

7 Yakuwa yannyonnyola mu ngeri etegeerekekera ddala okufa kye kwanditegeezezza eri omwonoonyi Adamu. Katonda yagamba: “Mu ntuuyo ez’omu maaso go mw’onooliiranga emmere okutuusa lw’olidda mu ttaka; kubanga omwo mwe waggibwa; kubanga oli nfuufu ggwe, ne mu nfuufu mw’olidda.” (Olubereberye 3:19) Adamu yali wa kudda wa? Mu ttaka, mu nfuufu gye yatondebwamu. Mu kufa Adamu yandibadde takyaliwo n’akatono ddala!

8. Ng’emmeeme, mu ngeri ki abantu gye batasinga nsolo?

8 Mu ngeri eno, okufa kw’abantu tekulina bwe kwawuka okuva ku kufa kw’ensolo. Nazo mmeeme, era ziwanirirwa omwoyo gwe gumu, oba amaanyi ag’obulamu. (Olubereberye 1:24) Mu Omubuulizi 3:19, 20, omusajja ow’amagezi ennyo Sulemaani atugamba: “Ng’eyo bw’efa, n’oyo bw’afa bw’atyo; weewaawo, bonna balina omukka [“omwoyo,” NW ] gumu; so abantu tebaliiko bwe basinga nsolo [nga bafudde] . . . bonna baava mu nfuufu, era bonna badda mu nfuufu nate.” Omuntu yali wa waggulu ku nsolo olw’okuba yatondebwa mu kifaananyi kya Katonda, ng’ayolesa engeri za Yakuwa. (Olubereberye 1:26, 27) Kyokka, mu kufa abantu n’ensolo bonna badda mu ttaka.

9. Abafu bali mu mbeera ki, era bagenda wa?

9 Sulemaani era yeeyongera okunnyonnyola okufa kye kutegeeza, ng’agamba: “Abalamu bamanyi nga balifa: naye abafu tebaliiko kye bamanyi.” Yee, abafu tebalina kintu kyonna kye bamanyi. N’olw’ensonga eyo, Sulemaani n’akubiriza: “Buli kyonna omukono gwo kye gulaba okukola, okikolanga n’amaanyi go; kubanga tewali mulimu newakubadde okuteesa newakubadde okumanya newakubadde amagezi mu magombe gy’ogenda.” (Omubuulizi 9:5, 10) Abafu bagenda wa? Mu Sheol (Olwebbulaniya, sheʼohlʹ), emagombe. Abaagalwa baffe abaafa tebalina kye bamanyi kyonna. Tebali mu kubonaabona, era tebalina kye bayinza kutukola.

10. Lwaki tusobola okugamba nti okufa si y’eba enkomerero?

10 Ffe n’abaagalwa baffe tulina kubeera balamu myaka mitono ne tufa obutaddira ddala? Baibuli si bw’egamba. Mu kiseera ekyo Adamu we yajeemera, amangu ago Yakuwa Katonda yakola enteekateeka ez’okujjulula emitawaana egyandivudde mu kibi ky’omuntu. Okufa tekwali mu nteekateeka ya Katonda eri olulyo lw’omuntu. (Ezeekyeri 33:11; 2 Peetero 3:9) N’olwekyo, okufa si y’eba enkomerero yaffe oba ey’abaagalwa baffe.

“YEEBASE”

11. Yesu yannyonnyola atya embeera ya mukwano gwe Lazaalo eyali afudde?

11 Yakuwa alina ekigendererwa eky’okutununula n’abaagalwa baffe abaafa okuva mu kufa kwa Adamu. N’olwekyo, Ekigambo kya Katonda kyogera ku bafu ng’ababa beebase. Ng’ekyokulabirako, Yesu Kristo bwe yategeera nti mukwano gwe Lazaalo yali afudde, yagamba abayigirizwa Be nti: “Mukwano gwaffe Lazaalo yeebase; naye ŋŋenda okumuzuukusa.” Olw’okuba abayigirizwa be tebaategeererawo makulu ga kigambo ekyo, Yesu yayogera butereevu nti: “Lazaalo afudde.” (Yokaana 11:11, 14) Yesu n’agenda mu kabuga k’e Bessaniya, bannyina ba Lazaalo, Maliza ne Maliyamu, gye baali bakungubagira okufa kwa mwannyinaabwe. Yesu bwe yagamba Maliza nti, “Mwannyoko ajja kuzuukira,” Maliza yalaga ng’akkiririza mu kigendererwa kya Katonda eky’okujjulula ebyo okufa bye kukoze ku lulyo lw’omuntu. Maliza yagamba: “Mmanyi nti alizuukira ku kuzuukira kw’olunaku olw’enkomerero.”—Yokaana 11:23, 24.

12. Ssuubi ki Maliza eyali afiiriddwa lye yalina ku bikwata ku bafu?

12 Maliza talina kye yayogera ku mmeeme etefa eyeeyongera okubeera awantu awalala oluvannyuma lw’okufa. Teyakitwala nti Lazaalo yali agenze mu ttwale ery’emyoyo okubeera eyo. Maliza yali akkiririza mu ssuubi ery’ekitalo ery’okuzuukira kw’abafu. Yakitegeera nti mwannyina eyali afudde yali takyaliwo, so si nti emmeeme etefa yali eyawukanye n’omubiri gwa Lazaalo. Ekyandigonjodde omutawaana ogwo kwandibadde kuzuukiza mwannyina.

13. Maanyi ki agaamuweebwa Katonda Yesu g’alina, era yayolesa atya amaanyi gano?

13 Obuyinza obw’okununula olulyo lw’omuntu Yakuwa Katonda abuwadde Yesu Kristo. (Koseya 13:14) N’olw’ensonga eyo, bwe yali addamu Maliza, Yesu yagamba: “Nze kuzuukira, n’obulamu: akkiriza nze, newakubadde ng’afudde, aliba mulamu.” (Yokaana 11:25) Yesu yayolesa amaanyi ago agaamuweebwa Katonda bwe yagenda ku ntaana ya Lazaalo, eyali afudde okumala ennaku nnya, n’amukomyawo mu bulamu. (Yokaana 11:38-44) Teeberezamu essanyu ly’abo abaalaba okuzuukira kuno n’okulala okwakolebwanga Yesu Kristo!—Makko 5:35-42; Lukka 7:12-16.

14. Lwaki okuzuukizibwa n’endowooza nti emmeeme tefa tebisobola kukwatagana n’akamu?

14 Fumiitiriza kino: Tewali yandyetaaze kuzuukizibwa, oba kukomezebwawo mu bulamu, singa emmeeme esigala ekyali nnamu mu kufa. Mu butuufu, tekyandibadde kikolwa kya kisa n’akamu okuzuukiza omuntu nga Lazaalo okukomawo mu bulamu obutatuukiridde obw’oku nsi singa yali yamala dda okufuna ekirabo eky’ekitalo eky’omu ggulu. Mu butuufu, Baibuli tekozesa n’omulundi n’ogumu kigambo “mmeeme etefa.” Wabula, Ebyawandiikibwa bigamba nti emmeeme y’omuntu eyonoona efa. (Ezeekyeri 18:4, 20) N’olwekyo Baibuli esonga ku nteekateeka y’okuzuukira okuba nga yeeyo yennyini eneegonjoola ensonga y’okufa.

“BONNA ABALI MU NTAANA”

15. (a) Ekigambo “okuzuukiza” kitegeeza ki? (b) Lwaki okuzuukiza abantu tekijja kubaamu buzibu bwonna eri Yakuwa Katonda?

15 Ekigambo abayigirizwa ba Yesu kye baakozesa ekivvuunulwa “okuzuukiza,” obutereevu kitegeeza “okuyimusa” oba “okuyimirira.” Kuno kuba kuyimusa okuva mu mbeera ey’okufa etebaamu bulamu bwonna, okuyimirira okuva emagombe. Yakuwa Katonda asobola bulungi nnyo okuzuukiza omuntu. Lwaki? Kubanga Yakuwa ye Nsibuko y’obulamu. Ennaku zino, abantu basobola okukwata ku ntambi za vidiyo amaloboozi n’ebifaananyi by’abasajja n’abakazi era basobola okubiteekako ng’abantu abo bafudde. Awatali kubuusabuusa, Omutonzi waffe omuyinza w’ebintu byonna asobola okujjukira kalonda akwata ku muntu yenna era n’azuukiza omuntu y’omu oyo, n’amuwa omubiri omuppya.

16. (a) Kisuubizo ki Yesu kye yawa ku bikwata ku abo bonna abali mu ntaana? (b) Kiki ekirisalawo omuntu ky’aliba azuukiridde?

16 Yesu Kristo yagamba: “Ekiseera kijja bonna abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi lye [erya Yesu], ne bavaamu; abo abaakolanga ebirungi balizuukirira obulamu; n’abo abaakolanga ebitasaana balizuukirira omusango.” (Yokaana 5:28, 29) Abo bonna Yakuwa b’ajjukira balizuukizibwa bayigirizibwe amakubo ge. Abo abalikolera ku kumanya okukwata ku Katonda, baliba bazuukiridde bulamu. Kyokka, abo abaligaana okuyigiriza kwa Katonda n’obufuzi bwe baliba bazuukiridde musango.

17. Baani abalizuukizibwa?

17 Mazima, abo ababadde bagoberera ekkubo ery’obutuukirivu ng’abaweereza ba Yakuwa balizuukizibwa. Mu butuufu, essuubi ery’okuzuukizibwa lyawa bangi amaanyi nga boolekaganye n’okufa, n’abo abaali bayigganyizibwa mu ngeri ey’obukambwe ennyo. Baakimanya nti Katonda asobola okubakomyawo mu bulamu. (Matayo 10:28) Naye abantu bukadde na bukadde bafudde nga tebalaze obanga bandigoberedde emitindo gya Katonda egy’obutuukirivu. Nabo balizuukizibwa. Ng’alina obwesige mu nteekateeka ya Yakuwa eno, omutume Pawulo yagamba: “Nnina essuubi eri Katonda . . . nti walibaawo okuzuukira kw’abatuukirivu n’abatali batuukirivu.”—Ebikolwa 24:15.

18. (a) Omutume Yokaana yafuna kwolesebwa ki okukwata ku kuzuukizibwa? (b) Kiki ekizikirizibwa mu “nnyanja ey’omuliro,” era “ennyanja” eno ekiikirira ki?

18 Omutume Yokaana yafuna okwolesebwa okw’ekitalo n’alaba abo abazuukiziddwa nga bayimiridde mu maaso g’entebe ya Katonda. Yokaana n’alyoka awandiika: “Ennyanja n’ereeta abafu abalimu, n’okufa n’Amagombe ne bireeta abafu abalimu: ne basalirwa omusango buli muntu ng’ebikolwa byabwe bwe byali. N’okufa n’Amagombe ne bisuulibwa mu nnyanja ey’omuliro. Eyo kwe kufa okw’okubiri, ennyanja ey’omuliro.” (Okubikkulirwa 20:12-14) Kirowooze! Abafu bonna abo Katonda b’ajjukira balina essuubi ery’okusumululwa mu Hades (Oluyonaani, haiʹdes), oba Sheol, amagombe. (Zabbuli 16:10; Ebikolwa 2:31) Bajja kuba n’omukisa okulagira ddala okusinziira ku bikolwa byabwe obanga banaaweereza Katonda. Olwo “okufa n’Amagombe” bijja kusuulibwa mu “nnyanja ey’omuliro,” ekiikirira okuzikirizibwa mu bujjuvu ddala, era nga n’ekigambo “Ggeyeena” bwe kitegeeza. (Lukka 12:5) Amagombe nago gajja kuba gasigadde meereere era gajja kuviirawo ddala ng’okuzuukizibwa kuwedde. Nga kizzaamu nnyo amaanyi okuyiga okuva mu Baibuli nti Katonda tabonyaabonya muntu yenna!—Yeremiya 7:30, 31.

BAZUUKIZIBWA KUBEERA WA?

19. Lwaki abantu abamu bajja kuzuukizibwa bagende mu ggulu, era mubiri gwa ngeri ki Katonda gw’ajja okubawa?

19 Omuwendo omugere ogw’abasajja n’abakazi bajja kuzuukizibwa okubeera mu bulamu obw’omu ggulu. Nga bakabaka era bakabona awamu ne Yesu, bajja kwenyigira mu mulimu gw’okujjulula byonna ebivudde mu kufa okwasikirwa olulyo lw’omuntu okuva ku muntu omubereberye, Adamu. (Abaruumi 5:12; Okubikkulirwa 5:9, 10) Bameka Katonda b’ajja okutwala mu ggulu okufuga ne Kristo? Okusinziira ku Baibuli, bali 144,000 bokka. (Okubikkulirwa 7:4; 14:1) Yakuwa aliwa buli omu ku bano b’alizuukiza omubiri ogw’omwoyo basobole okubeera mu ggulu.—1 Abakkolinso 15:35, 38, 42-45; 1 Peetero 3:18.

20. Kiki ekijja okutuuka ku bantu abawulize, nga mw’otwalidde n’abo abalizuukizibwa?

20 Abasinga obungi ku abo abaafa bajja kuzuukizibwa kubeera mu lusuku lwa Katonda ku nsi. (Zabbuli 37:11, 29; Matayo 6:10) Emu ku nsonga abamu kyebava bazuukizibwa okugenda mu ggulu kwe kutuukiriza ekigendererwa kya Katonda eri ensi. Yesu Kristo n’abo 144,000 abaliba mu ggulu bajja kukomyawo mpolampola abantu abawulize ku butuukirivu bazadde baffe abaasooka bwe baasuula. Kino kijja kutwaliramu n’abo abajja okuzuukizibwa, nga Yesu bwe yakiraga ng’agamba omusajja eyali afa ng’akomereddwa okumpi naye: “Oliba nange mu Lusuku lwa Katonda.”—Lukka 23:42, 43, NW.

21. Okusinziira ku nnabbi Isaaya n’omutume Yokaana, kiki ekijja okutuuka ku kufa?

21 Mu Lusuku lwa Katonda ku nsi, okufa, okuleese obuzibu obunene ennyo leero, kujja kuggibwawo. (Abaruumi 8:19-21) Nnabbi Isaaya yagamba nti Yakuwa Katonda “alimirira ddala okufa emirembe gyonna.” (Isaaya 25:8, NW ) Omutume Yokaana yaweebwa okwolesebwa okukwata ku kiseera ekyo abantu abawulize lwe baliba nga bafunye eddembe okuva mu bulumi n’okufa. Yee, “Katonda yennyini anaabeeranga wamu nabo, Katonda waabwe: naye alisangula buli zziga mu maaso gaabwe; era okufa tekulibaawo nate; so tewaabengawo nate nnaku newakubadde okukaaba newakubadde okulumwa: eby’olubereberye biweddewo.”—Okubikkulirwa 21:1-4.

22. Okumanya ebikwata ku kuzuukira kukukolako ki?

22 Enjigiriza za Baibuli ezitegeerekeka obulungi zimalawo obutabufutabufu bwonna obuliwo ku bikwata ku ekyo ekituuka ku bafu. Ebyawandiikibwa biraga bulungi nti okufa ye ‘mulabe ow’enkomerero’ aliggibwawo. (1 Abakkolinso 15:26) Ng’okumanya ku ssuubi ery’okuzuukira kutuwa amaanyi n’okubudaabudibwa kunene! Era nga kisanyusa nnyo okuba nti abaagalwa baffe abaafa Katonda b’ajjukira bajja kusisimuka mu tulo otw’okufa banyumirwe ebirungi byonna by’ategekedde abo abamwagala! (Zabbuli 145:16) Emikisa ng’egyo gijja kuyitira mu Bwakabaka bwa Katonda. Naye obufuzi bwabwo bwali bwa kutandika ddi? Ka tulabe.

GEZESA OKUMANYA KWO

Omwoyo oguli mu bantu kye ki?

Wandinnyonnyodde otya embeera y’abafu?

Baani abajja okuzuukizibwa?

[Ebibuuzo]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 85]

Nga Yesu bwe yakoowoola Lazaalo okuva mu ntaana, n’obukadde n’obukadde bw’abantu bwe batyo bwe bajja okuzuukizibwa

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 86]

Essanyu lijja kubuna wonna ‘Katonda bw’anaamira okufa emirembe gyonna’