Kusinza kw’Ani Katonda kw’Akkiriza?
Essuula 5
Kusinza kw’Ani Katonda kw’Akkiriza?
1. Kiki omukazi Omusamaliya kye yali ayagala okumanya ku bikwata ku kusinza?
WALI weebuuzizzaako, ‘Kusinza kw’ani Katonda kw’akkiriza?’ Omukazi omu ayinza okuba yeebuuza ekibuuzo eky’engeri eyo bwe yali ng’ayogera ne Yesu Kristo okumpi n’Olusozi Gerizimu mu Samaliya. Ng’ayogera ku njawulo eyaliwo wakati w’ensinza y’Abasamaliya n’ey’Abayudaaya, omukazi oyo yagamba: “Bajjajjaffe baasinzanga ku lusozi luno; nammwe [“naye mmwe,” NW ] mugamba nti Yerusaalemi kye kifo ekigwana okusinzizangamu.” (Yokaana 4:20) Yesu yagamba omukazi oyo Omusamaliya nti Katonda akkiriza ensinza zonna? Oba yamugamba nti waliwo ebintu ebyetaagibwa okusobola okusanyusa Katonda?
2. Mu kwanukula omukazi Omusamaliya, Yesu yagamba atya?
2 Okuddamu kwa Yesu okw’ekyewuunyo kwali nti: “Ekiseera kijja kye batalisinzizangamu Kitaffe ku lusozi luno newakubadde mu Yerusaalemi.” (Yokaana 4:21) Abasamaliya baali bamaze ekiseera kiwanvu nga batya Yakuwa era nga basinza ne bakatonda abalala ku Lusozi Gerizimu. (2 Bassekabaka 17:33) Yesu Kristo yagamba nti ekifo ekyo oba Yerusaalemi si bye byali eby’okuba ebikulu mu kusinza okw’amazima.
SINZA MU MWOYO N’AMAZIMA
3. (a) Lwaki Abasamaliya ddala baali tebamanyi Katonda? (b) Abayudaaya abeesigwa n’abalala bandisobodde batya okumanya Katonda?
3 Yesu yagamba omukazi Omusamaliya nti: “Mmwe Yokaana 4:22) Abasamaliya baalina endowooza enkyamu ez’eby’eddiini era baali bakkiriza nti ebitabo ebitaano ebisooka mu Baibuli bye byokka ebyaluŋŋamizibwa—ebyo byokka ebyali mu nkyusa yaabwe emanyiddwa ng’Ebitabo Ebitaano eby’Abasamaliya. N’olwekyo, Katonda baali tebamumanyi. Kyokka, bo, Abayudaaya baali baweereddwa okumanya kw’Ebyawandiikibwa. (Abaruumi 3:1, 2) Ebyawandiikibwa byawa Abayudaaya abeesigwa n’abalala bonna abandiwulirizza, bye baali beetaaga okusobola okumanya Katonda.
musinza kye mutamanyi; ffe tusinza kye tumanyi; kubanga obulokozi buva mu Buyudaaya.” (4. Okusinziira ku Yesu, kiki Abayudaaya n’Abasamaliya kye bandibadde beetaaga okukola okusinza kwabwe kusobole okukkirizibwa Katonda?
4 Mu butuufu, Yesu yalaga nti Abayudaaya n’Abasamaliya baalina okukyusa mu ngeri gye baali basinzaamu basobole okusanyusa Katonda. Yagamba nti: “Ekiseera kijja, era kituuse, abasinza amazima lwe banaasinzanga Kitaffe mu mwoyo n’amazima: kubanga Kitaffe anoonya abali ng’abo okubeera ab’okumusinzanga. Katonda gwe Mwoyo: n’abo abamusinza kibagwanira okusinzanga mu mwoyo n’amazima.” (Yokaana 4:23, 24) Twetaaga okusinza Katonda “mu mwoyo,” nga tukubirizibwa emitima egijjudde okukkiriza n’okwagala. Kisoboka okusinza Katonda ‘mu mazima’ bwe tuyiga Ekigambo kye, Baibuli, era bwe tumusinza okusinziira ku mazima ge yabikkula. Oli mwetegefu okukola ekyo?
5. (a) “Okusinza” kitegeeza ki? (b) Kiki kye tuteekwa okukola bwe tuba twagala Katonda akkirize okusinza kwaffe?
5 Yesu yaggumiza nti Katonda ayagala okusinza okw’amazima. Kino kiraga nti waliwo ensinza Yakuwa z’atakkiriza. Okusinza Katonda kitegeeza okumuwa ekitiibwa eky’okusinza era n’okumuweereza. Singa obadde oyagala okuwa omufuzi ow’amaanyi ekitiibwa, ddala wandibadde mwetegefu okumuweereza era n’okukola ebimusanyusa. N’olwekyo, twagala okusanyusa Katonda. Mu kifo ky’okugamba obugambi nti, ‘Eddiini yange ensanyusa,’
twetaaga okukakasa nti okusinza kwaffe kutuukiriza Katonda by’atwetaagisa.OKUKOLA KITAFFE BY’AYAGALA
6, 7. Lwaki Yesu yeegaana abamu abeegamba okuba abayigirizwa be?
6 Ka tusome Matayo 7:21-23 tulabe obanga tusobola okusongera ddala ku kintu ekikulu ekisalawo obanga ensinza zonna Katonda azikkiriza. Yesu yagamba nti: “Buli muntu aŋŋamba nti Mukama wange, Mukama wange, si ye aliyingira mu bwakabaka obw’omu ggulu, wabula akola Kitange ali mu ggulu by’ayagala. Bangi abaliŋŋamba ku lunaku luli nti Mukama waffe, Mukama waffe, tetwalagulanga mu linnya lyo, tetwagobanga dayimooni [ebitonde eby’omwoyo ebibi] mu linnya lyo, tetwakolanga bya magero bingi mu linnya lyo? Ne ndyoka mbaatulira nti Sibamanyangako mmwe: muve we ndi mwenna abakola eby’obujeemu.”
7 Okukkiriza Yesu Kristo nga Mukama waffe kyetaagibwa mu kusinza okw’amazima. Naye era okusinza kw’abantu bangi abeegamba okuba abayigirizwa ba Yesu kulina ekikubulako. Yagamba nti abamu bandikoze ‘eby’amagero bingi,’ gamba ng’ebyo ebitwalibwa ng’okuwonyezebwa okw’ebyamagero. Kyokka, ne batakola ekyo Yesu kye yagamba nti kyetaagisa nnyo. Nga ‘tebakola Kitaawe by’ayagala.’ Bwe tuba twagala okusanyusa Katonda, tuteekwa okuyiga Kitaffe by’ayagala ate tubikole.
OKUMANYA OKUTUUFU —BUKUUMI
8. Okusobola okukola Katonda by’ayagala, twetaaga ki, era ndowooza ki enkyamu ze tuteekwa okwewala?
8 Okusobola okukola Katonda by’ayagala twetaaga okufuna okumanya okutuufu okukwata ku Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo. Okumanya okwo kutukulembera okutuuka mu bulamu obutaggwaawo. Awatali kubuusabuusa, Abeefeso 4:13; Abafiripi 1:9; Abakkolosaayi 1:9.
ensonga ey’okufuna okumanya okutuufu okw’Ekigambo kya Katonda, Baibuli, ffenna tujja kugitwala nga nkulu nnyo ddala. Abamu bagamba nti tetwetaaga kufaayo ku ekyo kasita tuba nga tuli beesimbu era banyiikivu mu kusinza kwaffe. Abalala bagamba, ‘Bw’oba omanyi bitono, ebikwetaagibwako nabyo biba bitono.’ Naye, Baibuli etukubiriza okweyongera okumanya Katonda n’ebigendererwa bye.—9. Okumanya okutuufu kutukuuma kutya, era lwaki twetaaga obukuumi ng’obwo?
9 Okumanya ng’okwo kuwa okusinza kwaffe obukuumi ne kutayonoonebwa. Omutume Pawulo yayogera ku kitonde ekimu eky’omwoyo ekyefuula okuba “malayika ow’omusana.” (2 Abakkolinso 11:14) Nga kyefuusafuusizza bwe kityo, ekitonde kino eky’omwoyo—Setaani—kigezaako okutubuzaabuza tukole ebintu ebikontana n’ebyo Katonda by’ayagala. Ebitonde ebirala eby’omwoyo ebiri ne Setaani nabyo bibadde byonoona okusinza kw’abantu, kuba Pawulo yagamba: “Ab’amawanga bye bawaayo bawa eri balubaale, so si eri Katonda.” (1 Abakkolinso 10:20) Kirabika bangi babadde balowooza nti basinza mu ngeri entuufu, wadde nga babadde tebakola Katonda ky’ayagala. Babadde bakyamizibbwa mu kusinza okutali kulongoofu. Tujja kuyiga ebisingawo ku Setaani ne balubaale oluvannyuma, naye abalabe ba Katonda bano ddala ddala babadde boonoona okusinza kw’abantu.
10. Kiki kye wandikoze singa omuntu akuteera obutwa awava amazzi g’onywa, era okumanya okutuufu okw’Ekigambo kya Katonda kutuyamba kukola ki?
10 Singa okimanya nti omuntu yakuteeredde obutwa awava amazzi g’onywa, wandyeyongedde okunywa amazzi ago? Mazima ddala, wandisitukiddemu amangu ago okuzuula awali amazzi amalungi, agataliiko kikyamu kyonna. Okumanya okutuufu okw’Ekigambo kya Katonda kutuyamba okwawulawo eddiini ey’amazima era n’okugaana obutali bulongoofu bwonna obufuula okusinza okuba okutakkirizibwa eri Katonda.
AMATEEKA G’ABANTU NG’EBY’OKUKWATA
11. Kikyamu ki ekyali ku kusinza kw’Abayudaaya bangi?
11 Yesu bwe yali ku nsi, Abayudaaya bangi baali tebakolera ku kumanya okutuufu okukwata ku Katonda. N’olwekyo, baafiirwa omukisa ogw’okubeera abakkirizibwa mu maaso ga Yakuwa. Ng’ayogera ku bo, Pawulo yawandiika: “Mbawaako obujulirwa nga banyiikirira Katonda; naye si mu kumanya okutuufu.” (Abaruumi 10:2, NW ) Beesalirawo engeri y’okusinzaamu Katonda mu kifo ky’okuwuliriza kye yabagamba.
12. Kiki ekyayonoona okusinza kw’Abaisiraeri, era kiki ekyavaamu?
12 Okusooka Abaisiraeri baali bagoberera eddiini ennongoofu eyabaweebwa Katonda, naye bagyonoona nga batabikamu enjigiriza n’amagezi g’abantu. (Yeremiya 8:8, 9; Malaki 2:8, 9; Lukka 11:52) Wadde nga abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya abaali bamanyiddwa ng’Abafalisaayo baali balowooza nti okusinza kwabwe kwali kukkirizibwa Katonda, Yesu yabagamba: “Isaaya yalagula bulungi ku mmwe bannanfuusi, nga bwe kyawandiikibwa nti Abantu bano banzisaamu ekitiibwa kya ku mimwa, naye emitima gyabwe gindi wala. Naye bansinziza bwereere, nga bayigiriza amateeka g’abantu nga bye by’okukwata.”—Makko 7:6, 7.
13. Tuyinza tutya okukola ng’Abafalisaayo bwe baakola?
13 Kisoboka okuba nti tukola ng’Abafalisaayo bwe baakola? Kino kisobola okubaawo singa tugoberera obulombolombo bw’eddiini obwatuyigirizibwa mu kifo ky’okwekenneenya ekyo Katonda ky’ayogera ku bikwata ku kusinza. Ng’alabula ku kabi kano kennyini, Pawulo yawandiika: “Omwoyo ayogera lwatu nti mu nnaku ez’oluvannyuma walibaawo abaliva mu kukkiriza, nga bawulira emyoyo egikyamya n’okuyigiriza kwa basetaani.” (1 Timoseewo 4:1) N’olwekyo tekimala okulowooza obulowooza nti okusinza kwaffe kusanyusa Katonda. Okufaananako omukazi Omusamaliya eyasisinkana Yesu, ensinza gye tulimu tuyinza okuba nga twagisikira busikizi okuva ku bazadde baffe. Naye twetaaga okukakasa nti tukola ebintu Katonda by’asiima.
WEEGENDEREZE OBUTANYIIZA KATONDA
14, 15. Wadde nga tumanyi ebimu ebikwata ku Katonda by’ayagala, lwaki twetaaga okwegendereza?
14 Bwe tuba tetwegenderezza, tuyinza okukola ekintu Katonda ky’atakkiriza. Ng’ekyokulabirako, omutume Yokaana yavunnama ku bigere bya malayika “okumusinza.” Naye malayika yamulabula nti: “Tokola bw’otyo: ndi muddu munno era ow’omu baganda bo abalina okutegeeza kwa Yesu: sinza Katonda.” (Okubikkulirwa 19:10) N’olwekyo, olaba obwetaavu obw’okukakasa nti okusinza kwo tekutabuddwamu ngeri yonna ey’okusinza ebifaananyi?—1 Abakkolinso 10:14.
15 Abakristaayo abamu bwe baatandika okugoberera obulombolombo bw’eddiini obutasanyusa Katonda, Pawulo yabuuza: “Mukyuka mutya ennyuma mu bigambo eby’olubereberye ebitalina maanyi ebinafu, ate bye mwagala okufugibwa omulundi ogw’okubiri? Mukwata ennaku n’emyezi n’ebiro n’emyaka. Mbakeŋŋentererwa okutegana kwange gye muli okuba okw’obwereere.” (Abaggalatiya 4:8-11) Abantu abo baali bamaze okufuna okumanya okukwata ku Katonda naye ne bakola ensobi oluvannyuma nga bakwata obulombolombo bw’eddiini n’ennaku entukuvu ebyali bitakkirizibwa Yakuwa. Nga Pawulo bwe yagamba, twetaaga ‘okukakasanga ekikkirizibwa eri Mukama waffe.’—Abeefeso 5:10, NW.
16. Yokaana 17:16 ne 1 Peetero 4:3 zituyamba zitya okusalawo obanga ennaku z’okuwummula n’empisa bisanyusa Katonda?
16 Tuteekwa okukakasa nti twewala ennaku ez’okuwummula n’obulombolombo bw’amadiini obulala obumenya emisingi gya Katonda. (1 Abasessalonika 5:21) Ng’ekyokulabirako, Yesu yayogera ku bagoberezi be nti: “Si ba nsi, nga nze bwe siri wa nsi.” (Yokaana 17:16) Eddiini yo yenyigira mu mikolo n’ennaku ezimenya omusingi ogw’obutabaako ludda lwonna mu nsonga z’ensi? Oba abagoberezi b’eddiini yo oluusi beetaba mu mpisa n’embaga ebirimu enneeyisa efaananako eyo omutume Peetero gye yayogerako? Yawandiika: “Ebiro ebyayita byayinza okutumala okukolanga ab’amawanga bye baagala, n’okutambuliranga mu bwenzi, okwegomba, okwekamirira omwenge, ebinyumu, obutamiivu, n’okusinza ebifaananyi okw’omuzizo.”—1 Peetero 4:3.
17. Lwaki tusaanidde okwewala ekintu kyonna ekyolesa omwoyo gw’ensi?
17 Omutume Yokaana yaggumiza obwetaavu bw’okwewala ebikolwa byonna ebyolesa omwoyo gw’ensi eno etwetoolodde etetya Katonda. Yokaana yawandiika: “Temwagalanga nsi newakubadde ebiri mu nsi. Omuntu yenna bw’ayagala ensi, okwagala kwa Kitaffe tekuba mu ye. Kubanga buli ekiri mu nsi, okwegomba kw’omubiri, n’okwegomba kw’amaaso, n’okwegulumiza kw’obulamu okutaliimu tebiva eri Kitaffe, naye biva eri ensi. Era ensi eggwaawo, n’okwegomba kwayo; naye akola Katonda by’ayagala abeerera emirembe egitaggwaawo.” (1 Yokaana 2:15-17) Weetegerezza nti abo ‘abakola Katonda by’ayagala’ bajja kubeerawo emirembe gyonna? Yee, singa tukola Katonda by’ayagala ne twewala ebikolwa ebyolesa omwoyo gw’ensi eno, tuyinza okuba n’essuubi ery’obulamu obutaggwaawo!
GOBERERA EMITINDO GYA KATONDA EGYA WAGGULU
18. Mu ngeri ki Abakkolinso abamu gye baali abakyamu ku bikwata ku mpisa, era twandiyizeewo ki mu kino?
18 Katonda ayagala abamusinza babe nga bagoberera emitindo gye egya waggulu egy’eby’empisa. Abamu mu Kkolinso eky’edda baalowooza mu bukyamu nti Katonda yali ajja kugumiikiriza empisa zaabwe ez’obugwenyufu. Tuyinza okukiraba nti baali bakyamu nnyo bwe tusoma 1 Abakkolinso 6:9, 10. Bwe tuba ab’okusinza Katonda mu ngeri ekkirizibwa, tuteekwa okumusanyusa mu bye twogera ne bye tukola. Ensinza gy’ogoberera ekusobozesa okukola ekyo?—Matayo 15:8; 23:1-3.
19. Okusinza okw’amazima kukwata kutya ku ngeri gye tuyisaamu abalala?
Matayo 7:12) Weetegereze kye yayogera ku kulaga okwagalana okw’ab’oluganda: “Bonna kwe banaategeereranga nga muli bayigirizwa bange, bwe munaabanga n’okwagalana mwekka na mwekka.” (Yokaana 13:35) Abayigirizwa ba Yesu bateekwa okwagalana era n’okukoleranga basinza bannaabwe n’abantu abalala ebintu ebirungi.—Abaggalatiya 6:10.
19 Engeri gye tukolaganamu n’abantu abalala nayo esaanidde okwolesa emitindo gya Katonda. Yesu Kristo yatukubiriza okuyisanga abalala nga bwe twandyagadde batuyise, kubanga kino kitundu kya kusinza okw’amazima. (OKUSINZA N’EMMEEME YO YONNA
20, 21. (a) Kusinza kwa ngeri ki Katonda kw’ayagala? (b) Lwaki Yakuwa yagaana okusinza kwa Isiraeri mu nnaku za Malaki?
20 Mu mutima gwo, oyinza okuba oyagala okusinza Katonda mu ngeri ekkirizibwa. Obanga bwe kiri, oteekwa okuba n’endowooza ya Yakuwa ku bikwata ku kusinza. Omuyigirizwa Yakobo yaggumiza nti endowooza ya Katonda y’esinga obukulu, so si eyaffe. Yakobo yagamba: “Eddiini ennongoofu eteriimu kko mu maaso ga Katonda Kitaffe ye eno, okulambulanga abafuuzi ne bannamwandu mu bunaku bwabwe, n’okwekuumanga obutaba na mabala ag’omu nsi.” (Yakobo 1:27) Nga twagala okusanyusa Katonda, buli omu ku ffe yeetaaga okukebera ensinza ye okukakasa nti teyonooneddwa bikolwa bya butatya Katonda oba okuba nti waliwo ekintu kyonna kye tuleseeyo ky’atwala okuba ekikulu.—Yakobo 1:26.
21 Okusinza okuyonjo, okukolebwa n’emmeeme yonna kwe kwokka okusanyusa Yakuwa. (Matayo 22:37; Abakkolosaayi 3:23) Eggwanga lya Isiraeri bwe lyalemwa okukola ekyo, Katonda yagamba: “Omwana assaamu ekitiibwa kitaawe, n’omuddu mukama we: kale oba nga ndi kitammwe, ekitiibwa kyange kiri ludda wa? era oba nga ndi mukama wammwe, okutiibwa kwange kuli ludda wa?” Baali banyiiza Katonda nga bamuwa ensolo enzibe z’amaaso, ennema, era n’endwadde ng’ebiweebwayo, era yagaana ebikolwa eby’okusinza eby’engeri eyo. (Malaki 1:6-8) Yakuwa agwanidde okusinzibwa mu ngeri esingirayo ddala obulongoofu era ayagala kumusinza ye yekka.—Okuva 20:5; Engero 3:9; Okubikkulirwa 4:11.
22. Singa twagala Katonda okukkiriza okusinza kwaffe, biki bye tujja okwewala, era kiki kye tujja okukola?
22 Omukazi Omusamaliya eyayogera ne Yesu kirabika yali ayagala okusinza Katonda mu ngeri Katonda gy’asiima. Bwe kiba ng’ekyo naffe kye twagala, tujja kwewala enjigiriza n’ebikolwa byonna ebyonoona. (2 Abakkolinso 6:14-18) Mu kifo ky’ekyo, tujja kufuba okufuna okumanya okutuufu okukwata ku Katonda tukole by’ayagala. Tujja kunywerera ddala ku ebyo bye yeetaaga mu kusinza okukkirizibwa. (1 Timoseewo 2:3, 4) Abajulirwa ba Yakuwa bagezaako kukola ekyo kyennyini, era bakukubiriza weetabe wamu nabo mu kusinza Katonda “mu mwoyo n’amazima.” (Yokaana 4:24) Yesu yagamba: “Kitaffe anoonya abali ng’abo okubeera ab’okumusinzanga.” (Yokaana 4:23) Kisuubirwa nti naawe oli muntu wa ngeri eyo. Awatali kubuusabuusa, okufaananako omukazi oyo Omusamaliya, oyagala okufuna obulamu obutaggwaawo. (Yokaana 4:13-15) Naye olaba abantu nga bakaddiwa ne bafa. Essuula eddako ennyonnyola lwaki kiri bwe kityo.
GEZESA OKUMANYA KWO
Nga bwe kiragibwa mu Yokaana 4:23, 24, kusinza ki Katonda kw’akkiriza?
Tusobola tutya okumanya obanga Katonda asanyukira empisa n’embaga ezimu?
Ebimu ku ebyo ebyetaagibwa mu kusinza okukkirizibwa bye biruwa?
[Ebibuuzo]
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 44]