Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Lwaki Katonda Aleseewo Okubonaabona?

Lwaki Katonda Aleseewo Okubonaabona?

Essuula 8

Lwaki Katonda Aleseewo Okubonaabona?

1, 2. Abantu batera kuba na ndowooza ki ku bikwata ku kubonaabona kw’omuntu?

OBUTYABAGA bwe bugwawo, ne bwonoona ebintu era n’obulamu bw’abantu ne bulugenderamu, bangi tebasobola kutegeera lwaki ebikangabwa ng’ebyo bibaawo. Abalala banakuwavu nnyo olw’ebikolwa eby’obumenyi bw’amateeka n’ettemu ebibunye ennyo. Naawe oyinza okuba nga weebuuza, ‘Lwaki Katonda aleseewo okubonaabona?’

2 Olw’okuba tebannazuula kya kuddamu kimatiza mu kibuuzo kino, bangi tebakyakkiririza mu Katonda. Muli bawulira nti tafaayo ku lulyo lw’omuntu. Abalala abatwala okubonaabona ng’ekintu ekirina okubaawo balumwa nnyo era ne banenya Katonda olw’obubi bwonna obuliwo mu bantu. Bw’oba nga naawe obadde n’enneewulira ng’eyo, kyandiba nga wandyagadde okumanya Baibuli ky’eyogera ku nsonga zino.

OKUBONAABONA TEKUVA ERI KATONDA

3, 4. Lwaki tuyinza okuba abakakafu nti obubi n’okubonaabona tebiva eri Yakuwa?

3 Baibuli etukakasa nti okubonaabona kwe tulaba wonna okutwetooloola Yakuwa Katonda si ye akuleeta. Ng’ekyokulabirako, omuyigirizwa Omukristaayo Yakobo yawandiika: “Omuntu yenna bw’akemebwanga, tayogeranga nti Katonda ye ankema: kubanga Katonda takemeka na bubi, era ye yennyini takema muntu yenna.” (Yakobo 1:13) Obanga kiri bwe kityo, Katonda tayinza kuba nga ye aleese ebizibu enfaafa ebyolekedde olulyo lw’omuntu. Taleeta bigezo ku bantu basobole okugwanira obulamu obw’omu ggulu, era tabonyaabonya bantu olw’ebikolwa ebibi bye baakola nga bakyali balamu.—Abaruumi 6:7.

4 Okugatta ku ekyo, wadde nga wabaddewo ebintu ebibi bingi nnyo ebikoleddwa mu linnya lya Katonda oba erya Kristo, mu Baibuli temuli kintu kyonna kiwa ndowooza nti basiima ebikolwa ng’ebyo. Katonda ne Kristo tebalina kakwate konna n’abo abeegamba okuba nti babaweereza naye ne balyazaamaanya ne bakumpanya, ne batta ne banyaga, era ne bakola ebintu ebirala bingi ebireetera abantu okubonaabona. Mu butuufu, “ekkubo ery’omubi lya muzizo eri Mukama.” Katonda “aba wala ababi.”—Engero 15:9, 29.

5. Ezimu ku ngeri za Yakuwa ze ziruwa, era awulira atya ku bikwata ku bitonde bye?

5 Baibuli ennyonnyola nti Yakuwa “wa kisa kingi n’okusaasira.” (Yakobo 5:11) Etegeeza nti “Yakuwa mwagazi wa bwenkanya.” (Zabbuli 37:28, NW; Isaaya 61:8) Si wa ttima. Mu busaasizi afaayo ku bitonde bye era byonna abiwa ekisinga obulungi bisobole okubeera obulungi. (Ebikolwa 14:16, 17) Yakuwa abadde akola ekyo okuviira ddala ku ntandikwa y’obulamu ku nsi.

ENTANDIKWA ETUUKIRIDDE

6. Enfumo ezimu zoogera ki ku byafaayo by’omuntu eby’edda ennyo?

6 Ffenna tutera okulaba oba okuwulira obulumi n’okubonaabona. N’olwekyo kiyinza okuba ekizibu okuteebereza ekiseera ekitalibaamu kubonaabona, naye nga bwe kityo bwe kyali ku ntandikwa y’ebyafaayo by’omuntu. N’enfumo z’amawanga agamu zoogera ku ntandikwa bw’etyo ey’essanyu. Mu nfumo z’Abayonaani, omulembe ogusooka mu “Mirembe Etaano egy’Omuntu” gwayitibwa “Omulembe ogw’Okwesiima.” Mu gwo, abantu baali mu bulamu obw’essanyu, nga tebatawaanyizibwa, tebalumizibwa, wadde okukaddiwa. Abachina bagamba nti mu mulembe gwa Empura owa Kyenvu (Huang-Ti) ow’omu lugero, abantu baabeeranga mu mirembe, nga bassa kimu n’embeera y’obudde era n’ensolo. Abaperusi, Abamisiri, Abatibeti, Bannaperu, n’Abamekisiko bonna balina enfumo ezikwata ku kiseera eky’essanyu n’obutuukirivu ku ntandikwa y’ebyafaayo by’olulyo lw’omuntu.

7. Lwaki Katonda yatonda ensi era n’olulyo lw’omuntu?

7 Enfumo z’amawanga ziba ziddamu buzzi ekyo ekiri mu kiwandiiko ekisingayo obukadde eky’ebyafaayo by’omuntu, Baibuli. Etutegeeza nti Katonda yateeka abantu ababiri abaasooka, Adamu ne Kaawa mu Lusuku Adeni n’abalagira nti: “Mweyongerenga mwalenga mujjuze ensi mugirye.” (Olubereberye 1:28) Bazadde baffe abaasooka baali batuukiridde era baalina essuubi ery’okulaba ensi yonna ng’efuuka olusuku lwa Katonda omuli olulyo lw’omuntu olutuukiridde nga luli mu mirembe n’essanyu eby’enkalakkalira. Kino kye kyali ekigendererwa kya Katonda mu kutonda ensi n’olulyo lw’omuntu.—Isaaya 45:18.

OKUSOOMOOZA OKW’ETTIMA

8. Adamu ne Kaawa baali basuubirwa kugondera kiragiro ki, naye kiki ekyaliwo?

8 Okusobola okusigala nga basiimibwa Katonda, Adamu ne Kaawa baali balina obutalya ku ‘muti ogw’okumanya obulungi n’obubi.’ (Olubereberye 2:16, 17) Singa baagondera etteeka lya Yakuwa, tewandibaddewo kubonaabona okwonoona obulamu bw’omuntu. Bwe bandigondedde ekiragiro kya Katonda, ekyo kyandiraze nga baagala Yakuwa era bamunywereddeko. (1 Yokaana 5:3) Naye nga bwe twayiga mu Ssuula 6, ebintu tebyagenda bwe bityo. Ng’akubirizibwa Setaani, Kaawa yalya ekibala okuva ku muti ogwo. Oluvannyuma, Adamu naye yalya ku kibala ekyo ekyagaanibwa.

9. Nsonga ki ezingiramu Yakuwa Setaani gye yaleetawo?

9 Olaba omutawaana ogwali mu ekyo? Setaani yayogera ebigambo eby’obulabe ku kifo kya Yakuwa ng’Oyo Ali Waggulu Ennyo. Bwe yagamba nti, “Okufa temulifa,” Omulyolyomi yawakanya ebigambo Katonda bye yayogera nti, “Tolirema kufa.” Ebigambo Setaani bye yeeyongera okwogera byawa amakulu nti Yakuwa yali tayagala Adamu ne Kaawa bamanye ngeri ya kufaananamu nga Katonda, mu ngeri eyo babe nga tebakyamwetaaga mu kusalawo ekirungi n’ekibi. N’olwekyo, okusoomooza kwa Setaani kwaleetawo okubuusabuusa ku bwannannyini era n’obutuufu bw’ekifo kya Yakuwa ng’Omufuzi w’Obutonde Bwonna.—Olubereberye 2:17; 3:1-6.

10. Setaani yalumiriza ki ku bikwata ku bantu?

10 Setaani Omulyolyomi era yalumiriza nti abantu bandibadde beesigwa eri Yakuwa kasita baba nga balina kye bafuna mu kugondera Katonda. Mu ngeri endala, obugolokofu bw’abantu bwabuusibwabuusibwa. Setaani yalumiriza nti tewali muntu yandinyweredde ku Katonda kyeyagalire. Okulumiriza kuno okw’ettima Setaani kwe yakola kulagibwa bulungi mu biwandiiko bya Baibuli ebikwata ku Yobu, omuweereza wa Yakuwa omwesigwa eyatuusibwako ekigezo eky’amaanyi ennyo ng’omwaka 1600 B.C.E. tegunnatuuka. Bw’osoma essuula ebbiri ezisooka ez’ekitabo kya Yobu, osobola okutegeera ensonga lwaki abantu babonaabona era ne lwaki Katonda akyakuleseewo.

11. Yobu yali musajja wa ngeri ki, naye kiki Setaani kye yalumiriza?

11 Yobu, “omusajja eyatuukirira era ow’amazima,” yalumbibwa Setaani. Okusooka, Setaani yalimbika ku Yobu ebiruubirirwa ebibi ng’abuuza ekibuuzo, “Yobu atiira bwereere Katonda?” Awo, Omulyolyomi mu bukujjukujju n’akonjera Katonda ne Yobu ng’alumiriza nti Yakuwa yali aguze obwesigwa bwa Yobu ng’amukuuma era ng’amuwa emikisa. “Naye kaakano,” bw’atyo Setaani bwe yasoomooza Yakuwa, “golola omukono gwo okome ku byonna by’alina, kale alikwegaanira mu maaso go.”—Yobu 1:8-11.

12. (a) Bibuuzo ki ebyandisobodde okuddibwamu Katonda bwe yandirese Setaani okugezesa Yobu? (b) Okugezesebwa kwa Yobu kwavaamu ki?

12 Yobu yali aweereza Yakuwa lwa birungi byokka bye yali afuna okuva eri Katonda? Obugolokofu bwa Yobu bwali busobola okusigalawo singa bugezesebwa? Ye ate, Yakuwa yalina obwesige obumala mu muweereza we okukkiriza agezesebwe? Ebibuuzo bino byali bisobola okuddibwamu Yakuwa bwe yandirese Setaani okuleeta ku Yobu ekigezo eky’amaanyi ennyo. Obwesigwa Yobu bwe yalaga ng’ali wansi w’ekigezo Katonda kye yaleka okumutuusibwako, nga bwe kittottolwa mu kitabo kya Yobu, bwamalawo okubuusabuusa kwonna okwali kuteekeddwa ku butuukirivu bwa Yakuwa n’obugolokofu bw’omuntu.—Yobu 42:1, 2, 12.

13. Tukwatibwako tutya ebyo ebyaliwo mu Adeni ate n’ebyo ebyatuuka ku Yobu?

13 Kyokka, ebyo ebyaliwo mu lusuku Adeni era n’ebyo ebyatuuka ku musajja Yobu, birina amakulu agagenda ewala. Ensonga Setaani ze yaleetawo zikwata ku lulyo lw’omuntu lwonna, nga mw’otwalidde naffe abaliwo leero. Erinnya lya Katonda lyasiigibwa enziro, era n’obufuzi bwe bwasoomezebwa. Obugolokofu bw’ekitonde kya Katonda, omuntu, bwabuusibwabuusibwa. Ensonga zino zaali zirina okusonjolebwa.

ENGERI Y’OKUSONJOLAMU ENSONGA

14. Omuntu bw’alumirizibwa mu ngeri ey’ettima, kiki ky’ayinza okukola?

14 Okuwaayo ekyokulabirako, ka tugambe nti oli muzadde mwagazi alina abaana abawerako mu maka amasanyufu. Ka tugambe omu ku baliraanwa bo abunyisa obulimba, ng’alumiriza nti oli muzadde mubi. Kitya singa muliraanwa oyo agamba nti abaana bo tebakwagala, nti babeera naawe lwa kuba tebamanyi mbeera esinga ku ezo ze balimu, era nga bandikuvuddeko singa wabaawo abalaga eky’okukola. ‘Ekyo kiba kya busiru nnyo!’ bw’oyinza okugamba. Yee, naye wandikikakasizza otya? Abazadde abamu bayinza okubaako kye bakolawo mu busungu. Ng’oggyeeko okuba nti ekyo kireetawo ebizibu ebirala, okwanukula mu ngeri ey’obukambwe ng’eyo kyandiwagidde buwagizi bulimba buli. Engeri ematiza ey’okukwatamu ekizibu ekyo kwe kuwa oyo akulumiriza omukisa akakase ekyo ky’alumiriza era n’abaana bo bawe obujulirwa nti bakwagalira ddala mu bwesimbu.

15. Yakuwa yasalawo kwanukula atya okusoomooza kwa Setaani?

15 Yakuwa alinga omuzadde oyo omwagazi. Adamu ne Kaawa bayinza okufaananyizibwa abaana, ate Setaani afaananira ddala bulungi muliraanwa oyo omulimba. Olw’amagezi ge, Katonda teyazikiririzaawo Setaani, Adamu, ne Kaawa naye yaleka aboonoonyi bano okweyongera okubeerawo akabanga. Kino kyasobozesa bazadde baffe abaasooka okuzaala abaana era mu ngeri eyo ne batandikawo olulyo lw’omuntu, era kiwadde Omulyolyomi akakisa okukakasa obanga ekyo kye yali alumiriza kyali kya mazima ensonga zisobole okusonjoka. Kyokka, okuviira ddala ku ntandikwa, Katonda yakimanya nti abantu abamu bandimunywereddeko era bwe batyo ne bakakasa nga Setaani mulimba. Nga tusiima nnyo okuba nti Yakuwa yeeyongedde okuwa emikisa n’obuyambi eri abo abamwagala!—2 Ebyomumirembe 16:9; Engero 15:3.

BIKI EBIKAKASIDDWA?

16. Ensi yatuuka etya okuba wansi w’obuyinza bwa Setaani?

16 Mu byafaayo by’omuntu kumpi okubimalayo, Setaani abadde n’ebbeetu okutwala mu maaso olukwe lwe olw’okufuga olulyo lw’omuntu. Mu bingi by’akoze, akozesezza obusobozi bw’alina ku b’obuyinza ab’eby’obufuzi era atumbudde eddiini ezimusinza mu ngeri enneekusifu mu kifo ky’okusinza Yakuwa. Bw’atyo Omulyolyomi afuuse “katonda w’emirembe gino,” era ayitibwa “omufuzi w’ensi eno.” (2 Abakkolinso 4:4; Yokaana 12:31, NW ) Ddala ddala, “ensi yonna eri mu buyinza bw’omubi.” (1 Yokaana 5:19, NW ) Kino kitegeeza nti Setaani akakasizza ekyo kye yagamba nti asobola okuggya olulyo lw’omuntu lwonna ku Yakuwa Katonda? N’akatono! Wadde akyalese Setaani okubeerawo, Yakuwa abadde atwala mu maaso ekigendererwa kye. Olwo, kiki Baibuli ky’ebikkula ku bikwata ku Katonda okulekawo obubi?

17. Kiki kye tusaanidde okujjukira ku bikwata ku nsibuko y’obubi n’okubonaabona?

17 Obubi n’okubonaabona Yakuwa si ye abireeta. Okuva Setaani bw’ali nga ye mufuzi w’ensi eno era nga ye katonda w’embeera zino ez’ebintu, ye n’abo abamuwagira be bavunaanyizibwa olw’embeera abantu gye balimu kati era n’obuyinike bwonna abantu bwe bayiseemu. Tewali aba mutuufu okugamba nti Katonda ye aleeta emitawaana ng’egyo.—Abaruumi 9:14.

18. Yakuwa okuba nti akyaleseewo obubi n’okubonaabona kikakasizza ki ku bikwata ku kirowoozo ky’obwetwaze okuva ku Katonda?

18 Yakuwa okuba nti akyaleseewo obubi n’okubonaabona kikakasizza nti obwetwaze okuva ku Katonda tebuleeseewo nsi esingako obulungi. Awatali kubuusabuusa, ebyafaayo bibaddemu obutyabaga obw’omuddiŋŋanwa. Ensonga evuddeko kino eri nti abantu balonzeewo okugoberera ekkubo erya kyetwala era tebafiiriddeyo ddala ku kigambo kya Katonda oba ku by’ayagala. Abantu ba Yakuwa ab’edda awamu n’abakulembeze baabwe bwe baagoberera ‘olugendo lwabwe’ ne bagaana ekigambo kye, ebyavaamu byali bya mutawaana. Ng’ayitira mu nnabbi we Yeremiya, Katonda yabagamba: “Abagezigezi bakwatiddwa ensonyi, bakeŋŋentererwa, bawambiddwa: laba, bagaanyi ekigambo kya Mukama; era magezi ki agali mu bo?” (Yeremiya 8:5, 6, 9) Olw’okulemwa okugoberera emitindo gya Yakuwa, olulyo lw’omuntu okutwalira awamu lufuuse ng’eryato eritalina nkasi, erisuukundibwa mu nnyanja esiikuuse.

19. Bukakafu ki obuliwo obulaga nti Setaani tasobola kuggya bantu bonna ku Katonda?

19 Katonda okuba nti akyaleseewo obubi n’okubonaabona era kikakasizza nti Setaani tasobodde kuwugula bantu bonna kubaggya ku Yakuwa. Ebyafaayo biraga nti bulijjo wabaddewo abantu abasigadde nga beesigwa eri Katonda, ka bibe bikemo ki oba mitawaana ki egyabatuusibwako. Mu byasa by’emyaka ebizze biyitawo, amaanyi ga Yakuwa gayoleseddwa ku lw’abaweereza be, n’erinnya lye libuuliddwa mu nsi yonna. (Okuva 9:16; 1 Samwiri 12:22) Abaebbulaniya essuula 11 etutegeeza ku lunyiriri oluwanvu olw’abantu abeesigwa, olulimu Abeeri, Enoka, Nuuwa, Ibulayimu, ne Musa. Abaebbulaniya 12:1 ebayita ‘olufu olunene olw’abajulirwa.’ Baali byakulabirako eby’abantu abaalina okukkiriza okunywevu ennyo mu Yakuwa. Ne mu biseera bino, bangi bawaddeyo obulamu bwabwe olw’okukuuma obugolokofu obutajjulukuka eri Katonda. Olw’okukkiriza kwabwe n’okwagala, abali ng’abo bakakasa mu bujjuvu ddala nti Setaani tasobola kuggya bantu bonna ku Katonda.

20. Yakuwa okuba nti akyaleseewo obubi n’okubonaabona kikakasizza ki ku bikwata ku Katonda n’olulyo lw’omuntu?

20 N’ekisembayo, Yakuwa okuba nti akyaleseewo obubi n’okubonaabona kiwadde obukakafu nti Yakuwa yekka, Omutonzi, y’alina obusobozi era n’obwannannyini okufuga olulyo lw’omuntu ne babeera mu mbeera ennungi era ey’essanyu emirembe gyonna. Okumala ebyasa by’emyaka, abantu bagezezzaako ebika bya gavumenti bingi. Naye biki ebivuddemu? Ebizibu n’emitawaana egy’amaanyi ennyo egyolekedde amawanga leero bujulizi obumala obulaga nti ddala, nga Baibuli bw’egamba, “omuntu abadde n’obuyinza ku munne olw’okumulumya.” (Omubuulizi 8:9, NW ) Yakuwa yekka ye asobola okutudduukirira atuukirize ekigendererwa kye eky’olubereberye. Anaakikola atya, era ddi?

21. Setaani anaakolebwa ki, era ani ajja okukozesebwa okutuukiriza kino?

21 Amangu ddala nga Adamu ne Kaawa baakatwalirizibwa olukwe lwa Setaani, Katonda yalangirira ekigendererwa Kye ekikwata ku ngeri gy’anaaleetamu obulokozi. Bw’ati Yakuwa bwe yalangirira eri Setaani: “Obulabe n’abuteekanga wakati wo n’omukazi, era ne wakati w’ezzadde lyo n’ezzadde ly’omukazi: (ezzadde ly’omukazi) lirikubetenta omutwe, naawe oliribetenta ekisinziiro.” (Olubereberye 3:15) Ekirangiriro ekyo kyakakasa nti Omulyolyomi tajja kulekebwa kukola bikolwa bye ebibi emirembe gyonna. Nga Kabaka w’Obwakabaka bwa Masiya, Ezzadde essuubize, Yesu Kristo, ajja ‘kubetenta omutwe gwa Setaani.’ Yee, “mangu,” Yesu ajja kusaanyizaawo ddala kyewaggula Setaani!—Abaruumi 16:20.

ONOOKOLA KI?

22. (a) Bibuuzo ki by’olina okwolekagana nabyo? (b) Wadde nga Setaani obusungu bwe abumalira ku abo abeesigwa eri Katonda, bo bayinza kuba na bwesige ki?

22 Ng’omaze okumanya ensonga ezikwatibwako, onooyimirira ku ludda lw’ani? Onookakasa n’ebikolwa byo nti oli muwagizi wa Yakuwa omunywevu? Okuva Setaani bw’amanyi nti ekiseera kye kiyimpawadde, ajja kukola kyonna ky’asobola okumalira essungu lyonna ly’alina ku abo abaagala okukuuma obugolokofu bwabwe eri Katonda. (Okubikkulirwa 12:12) Naye oyinza okwesigama ku Katonda okufuna obuyambi kubanga “Yakuwa amanyi okununula abantu abamwemaliddeko okuva mu kigezo.” (2 Peetero 2:9, NW ) Tajja kukuleka kukemebwa okusinga ku ekyo ky’oyinza okugumira, era ajja kussaawo ekkubo osobole okugumira ebikemo.—1 Abakkolinso 10:13.

23. Kiki kye tuyinza okwesunga n’obwesige?

23 Nga tulina obwesige obw’amaanyi, ka twesunge ekiseera ekyo Kabaka Yesu Kristo lw’anaasitukiramu okuggyawo Setaani n’abo bonna abamugoberera. (Okubikkulirwa 20:1-3) Yesu ajja kuggyawo abo bonna abavunaanyizibwa olw’obuyinike era n’emitawaana abantu bye boolekaganye nabyo. Nga tukyalindirira ekiseera ekyo, ekimu ku bitubonyaabonya eky’obulumi ennyo kwe kufiirwa abaagalwa baffe. Soma essuula eddako okuzuula ekibatuukako.

GEZESA OKUMANYA KWO

Tumanya tutya nga Yakuwa si ye aleetera abantu okubonaabona?

Nsonga ki Setaani ze yaleetawo mu Adeni era ezaayolesebwa kaati mu kiseera kya Yobu?

Katonda okuba nti akyaleseewo okubonaabona kikakasizza ki?

[Ebibuuzo]