Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Lwaki Okutambulira mu Bulamu obw’Okutya Katonda Kuleeta Essanyu

Lwaki Okutambulira mu Bulamu obw’Okutya Katonda Kuleeta Essanyu

Essuula 13

Lwaki Okutambulira mu Bulamu obw’Okutya Katonda Kuleeta Essanyu

1. Lwaki tuyinza okugamba nti ekkubo lya Yakuwa lireeta essanyu?

YAKUWA ye “Katonda omusanyufu,” era ayagala onyumirwe obulamu. (1 Timoseewo 1:11, NW ) Bw’otambulira mu kkubo lye, osobola okuganyulwa ggwe kennyini n’ofuna obutebenkevu obwa nnamaddala era obw’olubeerera, obulinga omugga ogukulukuta buli kiseera. Okutambulira mu kkubo lya Katonda era kuleetera omuntu okukolanga ebikolwa eby’obutuukirivu, “ng’amayengo g’ennyanja.” Kino kireeta essanyu ery’amazima.—Isaaya 48:17, 18.

2. Abakristaayo bayinza batya okuba abasanyufu wadde ng’oluusi bayisibwa bubi?

2 Abamu bayinza okukiwakanya ne bagamba nti, ‘Abantu oluusi babonaabona olw’okukola ekituufu.’ Kya mazima, era kino kye kyatuuka ku batume ba Yesu. Kyokka, newakubadde baayigganyizibwa, baasanyuka era beeyongera “okubuulira amawulire amalungi agakwata ku Kristo.” (Ebikolwa 5:40-42, NW ) Tuyinza okufuna eby’okuyiga ebikulu okuva mu kino. Ekimu ku byo kiri nti bwe tutambulira mu bulamu obw’okutya Katonda tekitegeeza nti buli kiseera tujja kuyisibwa bulungi. “Naye,” bw’atyo bwe yawandiika omutume Pawulo, “bonna abaagala mu Kristo Yesu okukwatanga empisa ez’okutya Katonda banaayigganyizibwanga.” (2 Timoseewo 3:12) Ensonga ekireetera okuba bwe kityo eri nti Setaani n’ensi ye baziyiza abo abatambulira mu kkubo ery’okutya Katonda. (Yokaana 15:18, 19; 1 Peetero 5:8) Naye essanyu erya nnamaddala teryesigama ku bintu ebitwetoolodde. Wabula, lisibuka mu bumativu bwe tulina nti tukola ekituufu era nga n’olw’ensonga eyo tusiimibwa Katonda.—Matayo 5:10-12; Yakobo 1:2, 3; 1 Peetero 4:13, 14.

3. Okusinza Yakuwa kwandikoze kutya obulamu bw’omuntu?

3 Waliwo abantu abalowooza nti basobola okufuna okusiimibwa kwa Katonda nga bakola ebikolwa eby’okutya Katonda olumu n’olumu naye ne bamwerabira ebiseera ebirala. Okusinza Yakuwa Katonda okw’amazima si bwe kuba bwe kutyo. Kukwata ku nneeyisa y’omuntu ebiseera byonna by’abeera ng’atunula, buli lunaku olukya, buli mwaka oguddawo. Era kyekuva kuyitibwa “Ekkubo.” (Ebikolwa 19:9; Isaaya 30:21) Lye kkubo ery’obulamu obw’okutya Katonda eritwetaagisa okwogeranga n’okweyisanga mu ngeri etuukagana n’Ekigambo kya Katonda.

4. Lwaki kya muganyulo okukola enkyukakyuka okusobola okutuukana n’amakubo ga Katonda?

4 Abayizi ba Baibuli abappya bwe balaba nti beetaaga okukola enkyukakyuka basobole okusanyusa Yakuwa, bayinza okwebuuza nti, ‘Ddala kya mugaso okutambulira mu bulamu obw’okutya Katonda?’ Oyinza okuba omukakafu nti kya mugaso. Lwaki? Kubanga “Katonda kwagala,” n’olw’ensonga eyo amakubo ge gatuganyula. (1 Yokaana 4:8) Era Katonda wa magezi ate era amanyi ekisinga okuba ekirungi gye tuli. Olw’okuba Yakuwa Katonda ye muyinza w’ebintu byonna, asobola okutuwa amaanyi ne tusobola okutuukiriza okwegomba kwaffe okumusanyusa nga tulekayo omuze omubi. (Abafiripi 4:13) Ka twekenneenye egimu ku misingi egitambulirwako mu bulamu obw’okutya Katonda tulabe n’engeri gye kireetamu essanyu okugigoberera.

OBWESIGWA BUVAAMU ESSANYU

5. Baibuli eyogera ki ku kulimba n’okubba?

5 Yakuwa ye “Katonda ow’amazima.” (Zabbuli 31:5) Awatali kubuusabuusa, oyagala okugoberera ekyokulabirako kye omanyibwe ng’omuntu ow’amazima. Obwesigwa bukuleetera okwewa ekitiibwa era n’okubeera n’enneewulira ennungi munda yo. Kyokka, olw’okuba obutali bwesigwa bucaase nnyo mu nsi eno ennyonoonyi, Abakristaayo beetaaga okujjukizibwa kuno: “Mwogerenga amazima buli muntu ne munne . . . Eyabbanga alemenga okubba nate: naye waakiri afubenga, ng’akola ebirungi n’emikono gye . . . abeerenga n’eky’okumuwa eyeetaaga.” (Abeefeso 4:25, 28) Abakristaayo abakozesebwa ku mirimu bakola omulimu gw’olunaku omujjuvu. Okuggyako nga mukama waabwe y’abawadde olukusa, tebatwala bintu bye. Ka kibe ku mulimu, ku ssomero, oba waka, omusinza wa Yakuwa ateekwa okuba ‘omwesigwa mu byonna.’ (Abaebbulaniya 13:18, NW ) Omuntu yenna alina empisa ey’okulimba oba okubba tasobola kusiimibwa Katonda.—Ekyamateeka 5:19; Okubikkulirwa 21:8.

6. Obwesigwa bw’omuntu atya Katonda buyinza butya okutenderezesa Yakuwa?

6 Okubeera omwesigwa kuvaamu emikisa mingi. Selina ng’abeera mu Afirika, nnamwandu ali mu bwetaavu era ayagala Yakuwa Katonda n’emitindo gye egy’obutuukirivu. Lumu, yalonda ensawo eyalimu akatabo ka banka n’akavangata ka ssente. Ng’akozesa ekitabo ky’essimu, yasobola okuzuula nnyini nsawo eyo—omutunzi w’edduuka eyali anyagiddwa. Omusajja oyo yali tayinza kukikkiriza, Selina, eyali mulwadde, bwe yamukyalira era n’amuddiza byonna ebyali mu nsawo. “Obwesigwa ng’obwo buteekwa okusasulwa,” omusajja oyo bwe yagamba era n’amuwa ssente. Ekisingira ddala obukulu, omusajja ono yatendereza eddiini ya Selina. Yee, ebikolwa eby’obwesigwa biyooyootera ddala bulungi enjigiriza za Baibuli, bitenderezesa Yakuwa Katonda, era bireetera abasinza be abeesigwa essanyu.—Tito 2:10; 1 Peetero 2:12.

OKUGABA KULEETA ESSANYU

7. Kikyamu ki ekiri mu kukuba zzaala?

7 Mu kugaba mulimu essanyu, songa abantu ab’omululu “tebalisikira bwakabaka bwa Katonda.” (1 Abakkolinso 6:10) Engeri y’omululu ecaase ennyo kwe kukuba zzaala, nga kuno kwe kugezaako okwefunira ssente okuyitira mu kufiiriza abalala. Yakuwa tasiima bantu ‘balulunkanira magoba ga bukuusa.’ (1 Timoseewo 3:8, NW ) Ne mu bifo okukuba zzaala gye kukkirizibwa mu mateeka era ng’eyo omuntu akuba zzaala lwa kwesanyusamu, omuntu oyo ayinza okutwalirizibwa ne kimufuukira muze n’aba ng’awagira ekikolwa ekyonoonye obulamu bw’abantu bangi. Emirundi mingi okukuba zzaala kuleeta ebizibu mu maka g’omukubi wa zzaala, era ayinza n’okwesanga ng’asigazza obusente butono nnyo okugula ebintu ebyetaagisa gamba ng’emmere n’eby’okwambala.—1 Timoseewo 6:10.

8. Yesu yateekawo atya ekyokulabirako ekirungi mu kugaba, era tuyinza tutya okuba abagabi?

8 Olw’omwoyo ogw’okugaba gwe balina, Abakristaayo bafuna essanyu mu kuyamba abalala, naddala bakkiriza bannaabwe abali mu bwetaavu. (Yakobo 2:15, 16) Yesu nga tannajja ku nsi, yalaba obugabi bwa Katonda eri abantu. (Ebikolwa 14:16, 17) Yesu kennyini yawaayo ebiseera bye, obusobozi bwe, era n’obulamu bwe bwennyini ku lw’abantu. N’olw’ensonga eyo, yasobola okugamba: “Okugaba kulimu essanyu lingi okusinga okufuna.” (Ebikolwa 20:35, NW ) Era Yesu yatendereza nnamwandu omwavu eyateeka obusente obubiri obutono ennyo mu ggwanika lya yeekaalu, kubanga ‘yawaayo byonna bye yalina.’ (Makko 12:41-44) Abaisiraeri ab’edda n’Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baatuteerawo ekyokulabirako mu kugaba n’essanyu nga bawaayo ebintu ebikalu okuwagira ekibiina n’omulimu gw’Obwakabaka. (1 Ebyomumirembe 29:9; 2 Abakkolinso 9:11-14) Okugatta ku kuwaayo ebintu ebikalu ku lw’ebigendererwa ebyo, Abakristaayo ab’omu kiseera kino bawulira essanyu okutendereza Katonda n’okukozesa obulamu bwabwe mu buweereza bwe. (Abaruumi 12:1; Abaebbulaniya 13:15) Yakuwa abawa emikisa olw’okukozesa ebiseera byabwe, amaanyi, n’ebirala bye balina, nga mw’otwalidde n’ensimbi zaabwe, okuwagira okusinza okw’amazima n’okutwala mu maaso omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka mu nsi yonna.—Engero 3:9, 10.

EBIRALA EBIREETA ESSANYU

9. Kikyamu ki ekiri mu kunywa omwenge ekiyitiridde?

9 Okusobola okuba abasanyufu, Abakristaayo bateekwa ‘okukuuma ebirowoozo byabwe.’ (Engero 5:1, 2) Kino kibeetaagisa okusomanga n’okufumiitirizanga ku Kigambo kya Katonda era n’ebitabo ebirungi ebinnyonnyola Baibuli. Naye waliwo ebintu ebirina okwewalibwa. Ng’ekyokulabirako, okunywa omwenge ekiyitiridde kiyinza okuleetera omuntu obutasobola kufuga birowoozo bye. Nga bali mu mbeera efaananako bw’etyo, abantu bangi benyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu, ebikolwa eby’ettemu, era baviirako n’obubenje obw’amaanyi. Tekyewuunyisa Baibuli bw’egamba nti abatamiivu tebalisikira Bwakabaka bwa Katonda! (1 Abakkolinso 6:10) Nga bamaliridde okusigala nga balina “ebirowoozo ebiruŋŋamu,” Abakristaayo ab’amazima beewala obutamiivu, era kino kibayamba okubeera abasanyufu.—Tito 2:2-6, NW.

10. (a) Lwaki Abakristaayo tebakozesa ttaaba? (b) Miganyulo ki egiva mu kulekayo emize egy’okukozesa ebintu eby’akabi?

10 Omubiri omuyonjo gwongera ku ssanyu. Kyokka, bangi bakozesa ebintu eby’akabi. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ky’okukozesa ttaaba. Ekibiina Ekikola ku by’Obulamu mu Nsi Yonna kigamba nti okunywa ttaaba “kutta abantu obukadde busatu buli mwaka.” Okulekayo omuze gw’okunywa ttaaba kiyinza okuba ekizibu olw’okuyoya okw’amaanyi omuntu oyo kw’aba nakwo nga yaakamuleka. Ku luuyi olulala, bangi abaali banywa ttaaba bakizudde nti obulamu bwabwe bulongoose nnyo era balina n’essente ezisingako ez’okukozesa ku byetaago by’ab’omu maka gaabwe. Yee, okuvvuunuka omuze gw’okunywa ttaaba oba ogw’okukozesa ebintu ebirala eby’akabi kikuleetera okuba n’omubiri omuyonjo, omuntu ow’omunda omulungi, n’essanyu erya nnamaddala.—2 Abakkolinso 7:1.

ESSANYU MU BUFUMBO

11. Kiki ekyetaagibwa okusobola okuba n’obufumbo obw’ekitiibwa obukkirizibwa mu mateeka era obuwangaazi?

11 Abo ababeera awamu ng’omwami n’omukyala balina okukakasa nti obufumbo bwabwe bwawandiisibwa mu b’obuyinza. (Makko 12:17) Era balina okutunuulira obufumbo ng’obuvunaanyizibwa obukulu ennyo. Kituufu, okwawukana kuyinza okwetaagisa singa omuntu taweebwa buyambi bwonna mu bugenderere, atuntuzibwa ekiyitiridde, oba embeera ye ey’eby’omwoyo bw’eba ng’eteekeddwa mu kabi akanene. (1 Timoseewo 5:8; Abaggalatiya 5:19-21) Naye ebigambo by’omutume Pawulo ebiri mu 1 Abakkolinso 7:10-17 bikubiriza abafumbo okusigala awamu. Era kituufu nti okusobola okufuna essanyu ery’amazima bateekwa okubeera abeesigwa buli omu eri munne. Pawulo yawandiika: “Obufumbo bube bwa kitiibwa eri bonna, era n’ekitanda eky’obufumbo kibe kirongoofu, kubanga abakaba n’abenzi Katonda alibasalira omusango.” (Abaebbulaniya 13:4, NW ) Ebigambo ebyo “ekitanda eky’obufumbo” bitegeeza okwetaba awamu kw’omusajja n’omukazi abali mu bufumbo obukkirizibwa mu mateeka. Tewali nkolagana ndala yonna ey’okwetaba kw’omusajja n’omukazi, gamba ng’okuwasa abakazi abasukka mu omu, eyinza kuyitibwa ‘ya kitiibwa eri bonna.’ Ate era, Baibuli evumirira okwetaba kw’abatannafumbiriganwa n’okulya ebisiyaga.—Abaruumi 1:26, 27; 1 Abakkolinso 6:18.

12. Ebimu ku bibala ebibi ebiva mu bwenzi bye biruwa?

12 Obwenzi buyinza okuleetawo okusanyuka okw’akaseera, naye tebuleeta ssanyu lya nnamaddala. Katonda tabusanyukira era busobola okuteeka enkovu ku muntu ow’omunda. (1 Abasessalonika 4:3-5) Eby’ennaku ebiva mu kwetaba okutakkirizibwa biyinza okuba AIDS, n’endwadde endala ezisaasaanira mu kwetaba. “Kiteeberezebwa nti abantu abasukka mu bukadde 250 mu nsi yonna be bakwatibwa enziku buli mwaka, ate abalala ng’obukadde 50 ne bakwatibwa kabootongo,” lipoota emu ey’ekisawo bw’etyo bw’egamba. Era waliwo n’ekizibu ky’embuto eziteetaagibwa. Ekitongole eky’Ensi Yonna eky’Entegeka z’Obuzadde kigamba nti, okwetooloola ensi yonna, abawala abasukka mu bukadde 15 abali wakati w’emyaka 15 ne 19 bafuna embuto buli mwaka, ate kimu kya kusatu ku bo baggyamu embuto. Okunoonyereza okumu kwalaga nti mu nsi emu ey’omu Afirika, ebizibu ebiva ku kuggyamu embuto biviirako abawala 72 ku buli kikumi okufa. Abakaba abamu bayinza obutakwatibwa ndwadde oba obutafuna mbuto, naye tebasobola kwebalama kukosebwa mu nneewulira yaabwe ey’omunda. Bangi baggweeramu ddala ekitiibwa era ne beekyawa n’okwekyawa.

13. Bizibu ki ebirala ebireetebwa obwenzi, era kiki ekirindiridde abo abeeyongera okukola eby’obukaba n’obwenzi?

13 Wadde ng’obwenzi buyinza okusonyiyibwa, buba nsonga ntuufu okusinziira mu Byawandiikibwa oyo ataliiko musango gy’ayinza okwesigamako okunoonya okugattululwa. (Matayo 5:32; geraageranya Koseya 3:1-5.) Obugwenyufu ng’obwo bwe buleetera obufumbo okusattulukuka, kino kiyinza okuleka enkovu ennene ennyo ku nneewulira y’oyo ataliiko musango era n’ey’abaana. Ku lw’obulungi bw’amaka g’abantu, Ekigambo kya Katonda kiraga nti ajja kusalira omusango abakaba n’abenzi abateenenya. Ate era, kiraga lwatu nti abo abenyigira mu bukaba “tebalisikira bwakabaka bwa Katonda.”—Abaggalatiya 5:19, 21.

“SI BA NSI”

14. (a) Ngeri ki ezimu ez’okusinza ebifaananyi ezeewalibwa omuntu atya Katonda? (b) Bulagirizi ki obutuweebwa mu Yokaana 17:14 ne Isaaya 2:4?

14 Abo abaagala okusanyusa Yakuwa n’okunyumirwa emikisa gy’Obwakabaka beewala okusinza ebifaananyi okw’engeri yonna. Baibuli eraga nti kikyamu okukola ebifaananyi n’okubisinza, nga mw’otwalidde n’ebya Kristo, oba ebya nnyina wa Yesu, Malyamu. (Okuva 20:4, 5; 1 Yokaana 5:21) N’olwekyo, Abakristaayo ab’amazima tebawa kitiibwa kya kusinza eri bibumbe, misalabba, oba ebifaananyi. Era beewala engeri z’okusinza ebifaananyi enneekusifu, gamba ng’ebikolwa ebiwa ekitiibwa eky’okusinza eri zibendera n’okuyimba ennyimba ezigulumiza amawanga. Bwe baba bakakibwa okukola ebikolwa ng’ebyo, bajjukira ebigambo Yesu bye yagamba Setaani: “Osinzanga Mukama Katonda wo, era omuweerezanga yekka.” (Matayo 4:8-10) Yesu yagamba nti abagoberezi be “si ba nsi.” (Yokaana 17:14) Kino kitegeeza obutabaako ludda lw’owagira mu nsonga z’eby’obufuzi era n’okubeera n’abalala mu mirembe nga kituukagana ne Isaaya 2:4, olugamba: “[Yakuwa Katonda] aliramula mu mawanga, era alinenya abantu bangi: era baliweesa ebitala byabwe okubifuula enkumbi, n’amafumu gaabwe okugafuula ebiwabyo: eggwanga teririyimusa kitala eri eggwanga linaalyo, so tebaliyiga kulwana nate.”

15. Babulooni Ekinene kye ki, era abayizi ba Baibuli abappya abasinga obungi bakola batya okukifulumamu?

15 ‘Obutaba ba nsi’ era kitegeeza okwekutulira ddala ku “Babulooni Ekinene,” obwakabaka obw’ensi yonna obw’eddiini ez’obulimba. Okusinza okutali kulongoofu kwasaasaana okuva mu Babulooni eky’edda ne kuba n’obuyinza obw’akabi obw’eby’omwoyo ku bantu okwetooloola ensi yonna. “Babulooni Ekinene” kizingiramu eddiini zonna ezirina enjigiriza n’ebikolwa ebikontana n’okumanya okukwata ku Katonda. (Okubikkulirwa 17:1, 5, 15) Tewali musinza wa Yakuwa mwesigwa ajja kwenyigira mu bikolwa ebigattika enzikiriza nga yeetaba mu kusinza okw’eddiini ez’enjawulo oba ng’assa kimu mu by’omwoyo n’ekitundu kyonna ekya Babulooni Ekinene. (Okubala 25:1-9; 2 Abakkolinso 6:14) N’olw’ensonga eyo, abayizi ba Baibuli abappya bangi baweereza ebbaluwa eraga nti bavudde mu kibiina ky’eddiini kye baalimu. Kino kyongedde okubasembeza eri Katonda ow’amazima, nga bwe kyasuubizibwa nti: “Muve wakati w’abo, mweyawule, bw’ayogera Mukama, so temukomanga ku kintu ekitali kirongoofu; nange ndibasembeza.” (2 Abakkolinso 6:17; Okubikkulirwa 18:4, 5) Okukkirizibwa Kitaffe ow’omu ggulu mu ngeri ng’eyo si ky’oyagala?

OKWEKENNEENYA EMIKOLO EGIKWATIBWA BULI MWAKA

16. Lwaki Abakristaayo ab’amazima tebakuza Ssekukkulu?

16 Obulamu obw’okutya Katonda bututeewuluzaako eggugu ery’okukuza ennaku ez’okuwummula ez’ensi. Ng’ekyokulabirako, Baibuli tetubuulira lunaku lwennyini Yesu lwe yazaalibwako. ‘Mbadde Yesu yazaalibwa nga Ddesemba 25!’ abamu bayinza okugamba bwe batyo. Kino tekisoboka kubanga yafa mu ttogo w’omwaka 33 C.E. ng’alina emyaka 33 1/2 egy’obukulu. Ate era, mu kiseera ekyo we yazaalirwa, abasumba baali “ku ttale, nga bakuuma ekisibo kyabwe ekiro mu mpalo.” (Lukka 2:8) Mu nsi ya Isiraeri, Ddesemba ng’anaatera okuggwaako biba biseera binyoggovu era bya nkuba ng’endiga zikuumirwa munda obudde obw’ekiro olw’obunyoggovu. Mu butuufu, Ddesemba 25 Abaruumi baalukulizangako amazaalibwa ga katonda waabwe ow’enjuba. Oluvannyuma lw’ebyasa ebiwerako okuva ku kiseera Yesu we yabeerera ku nsi, Abakristaayo abeewaggula baatandika okukuza amazaalibwa ga Kristo ku lunaku olwo. N’olwekyo, Abakristaayo ab’amazima tebakuza Ssekukkulu oba olunaku olulala lwonna olw’okuwummula olwesigamiziddwa ku njigiriza z’eddiini ez’obulimba. Olw’okuba basinza Yakuwa yekka, era tebakuza nnaku za kuwummula eziwa abantu aboonoonyi oba amawanga ekitiibwa eky’okusinza.

17. Lwaki abantu abatya Katonda tebakuza mazaalibwa, era lwaki abaana Abakristaayo basanyufu?

17 Baibuli eyogera ku mikolo ebiri gyokka egy’okukuza amazaalibwa, nga gyombi gyali gya bantu abaali bataweereza Katonda. (Olubereberye 40:20-22; Matayo 14:6-11) Okuva Ebyawandiikibwa bwe bitatutegeeza lunaku omuntu atuukiridde Yesu Kristo lwe yazaalibwako, lwaki ate twandikuzizza amazaalibwa g’abantu abatatuukiridde? (Omubuulizi 7:1) Kya lwatu, abazadde abatya Katonda tebalinda lunaku lwa njawulo kumala kutuuka ne balyoka balaga abaana baabwe okwagala. Omuwala Omukristaayo ow’emyaka 13 yagamba: “Nze n’ab’eka tulina essanyu lingi nnyo. . . . Nze ne bazadde bange tuli ba mukwano nnyo, era abaana abalala bwe bambuuza lwaki sikuza bijaguzo bya nnaku za kuwummula, mbagamba nti buli lunaku nze mbeera njaguza.” Omuvubuka omu Omukristaayo ow’emyaka 17 yagamba: “Ewaffe, okugaba ebirabo kubaawo ebbanga lyonna mu mwaka.” Wabaawo essanyu lingi nnyo ebirabo bwe bigabibwa mu ngeri ey’embagirawo.

18. Mukolo ki ogukwatibwa buli mwaka Yesu gwe yalagira abagoberezi be okukuumanga, era gutujjukiza ki?

18 Eri abo abagoberera obulamu obw’okutya Katonda, waliwo olunaku lumu buli mwaka olulina okukuzibwa. Kye ky’Ekiro kya Mukama waffe, ekitera okuyitibwa Ekijjukizo ky’okufa kwa Kristo. Ku bikwata ku kijjukizo ekyo, Yesu yalagira abagoberezi be: “Mukolenga bwe mutyo okunjijukiranga nze.” (Lukka 22:19, 20; 1 Abakkolinso 11:23-25) Yesu bwe yatandikawo ekijjulo kino ekiro kya Nisani 14, 33 C.E., yakozesa omugaati ogutali muzimbulukuse n’enviinyo emmyufu, ebikiikirira omubiri gwe ogw’omuntu ogutaalina kibi era n’omusaayi gwe ogwali gutuukiridde. (Matayo 26:26-29) Obubonero buno buliibwa Abakristaayo abaafukibwako omwoyo gwa Katonda omutukuvu. Bayingiziddwa mu ndagaano empya n’endagaano y’Obwakabaka, era balina essuubi ery’okugenda mu ggulu. (Lukka 12:32; 22:20, 28-30; Abaruumi 8:16, 17; Okubikkulirwa 14:1-5) Kyokka, bonna ababeerawo akawungeezi ako aka Nisani 14 ku kalenda y’Ekiyudaaya ey’edda bafuna emiganyulo. Bajjukizibwa okwagala okwabalagibwa Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo mu ssaddaaka ey’ekinunulo ekitangirira ebibi esobozesa abo abasiimibwa Katonda okufuna obulamu obutaggwaawo.—Matayo 20:28; Yokaana 3:16.

EBY’EMIRIMU N’EBY’OKWESANYUSAMU

19. Kizibu ki Abakristaayo kye boolekana nakyo mu bikwata ku by’emirimu?

19 Abakristaayo ab’amazima bateekeddwa okukola n’amaanyi basobole okulabirira ebyetaago byabwe. Abakulu b’amaka bafuna okumatira bwe batuukiriza kino. (1 Abasessalonika 4:11, 12) Kya lwatu, singa omulimu gw’Omukristaayo guba gukontana ne Baibuli, kino kijja kumumalako essanyu. Naye, oluusi kibeera kizibu Omukristaayo okuzuula omulimu ogutuukagana n’emitindo gya Baibuli. Ng’ekyokulabirako, abakozi abamu balagirwa bakama baabwe okulimba bakasitoma. Ku luuyi olulala, abakozesa bangi bajja kukkiriza ekyo omuntu w’omunda ow’omukozi waabwe omwesigwa ky’amulagira okukola, nga tebaagala kufiirwa mukozi mwesigwa. Kale, ka kibe ki ekibaawo, oyinza okuba omukakafu nti Katonda ajja kuwa okufuba kwo emikisa osobole okuzuula omulimu ogunaakulekera omuntu w’omunda omuyonjo.—2 Abakkolinso 4:2.

20. Lwaki tusaanidde okweroboza ennyo mu by’okwesanyusamu?

20 Okuva Katonda bw’ayagala abaweereza be okubeera abasanyufu, twetaaga okufuna ebiseera eby’okuwummula n’okwesanyusamu tusobole okwezza obuggya oluvannyuma lw’okukola ennyo. (Makko 6:31; Omubuulizi 3:12, 13) Ensi ya Setaani eteekawo eby’okwesanyusa ebikontana n’ebyo Katonda by’ayagala. Naye okusobola okusanyusa Katonda, tuteekwa okwerobozamu mu bitabo bye tusoma, programu za rediyo n’ennyimba ze tuwuliriza, wamu ne zikonsati, firimu, emizannyo, programu z’oku ttivi, ne vidiyo ze tulaba. Bwe kiba nti eby’okwesanyusamu bye tubadde tulondawo bikontana n’okulabula okuli mu byawandiikibwa nga Ekyamateeka 18:10-12, Zabbuli 11:5, ne Abeefeso 5:3-5, tujja kusanyusa Yakuwa era tube basanyufu ekisingawo bwe tunaakolawo enkyukakyuka.

OKUSSA EKITIIBWA MU BULAMU N’OMUSAAYI

21. Okussa ekitiibwa mu bulamu kyandikoze ki ku ndowooza gye tulina ku kuggyamu embuto, ebikolwa byaffe, n’enneeyisa?

21 Okusobola okufuna essanyu erya nnamaddala, twetaaga okutwala obulamu bw’omuntu nga bwa muwendo nnyo, nga ne Yakuwa bw’akola. Ekigambo kye kitugaana okutta. (Matayo 19:16-18) Mu butuufu, Amateeka Katonda ge yawa Isiraeri galaga nti atwala omwana ali mu lubuto ng’obulamu obw’omuwendo—so si ng’ekintu eky’okuzikiriza. (Okuva 21:22, 23) N’olw’ensonga eyo, tetulina kugalabanja bulamu nga tukozesa ttaaba, nga twekamirira amalagala oba omwenge, oba nga tuteeka obulamu bwaffe mu kabi. Era tetusaanidde kwenyigira mu kintu kyonna ekiteeka obulamu bwaffe mu kabi oba okulagajjalira ebyandikoleddwa okukuuma obulamu bwaffe, ekiyinza okutuleetera okuvunaanibwa omusaayi.—Ekyamateeka 22:8.

22. (a) Endowooza ey’okutya Katonda ku bikwata ku musaayi n’enkozesa yaagwo yeruwa? (b) Musaayi gw’ani gwokka oguwonya obulamu?

22 Yakuwa yagamba Nuuwa n’ab’omu maka ge nti omusaayi gukiikirira mmeeme, oba bulamu. N’olwekyo, Katonda yabagaana okulya omusaayi gwonna gwonna. (Olubereberye 9:3, 4) Olw’okuba ffe tuli bazzukulu baabwe, etteeka eryo litutwaliramu ffenna. Yakuwa yagamba Abaisiraeri nti omusaayi gwali gwa kufukibwanga ku ttaka era omuntu teyali wa kugukozesa mu ngeri yonna gy’ayagala. (Ekyamateeka 12:15, 16) Era etteeka lya Katonda erikwata ku musaayi lyaddibwamu Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka bwe baalagirwa: “Okwewalanga . . . omusaayi.” (Ebikolwa 15:28, 29) Olw’okuba bassa ekitiibwa mu butukuvu bw’obulamu, abantu abatya Katonda tebakkiriza kuyingizibwamu musaayi, wadde ng’abalala bakiggumiza nti enkola eyo eyinza okuwonya obulamu. Obujjanjabi obulala bungi obutakozesa musaayi Abajulirwa ba Yakuwa bwe bakkiriza bukolera ddala bulungi era tebuleetera muntu bizibu ebikwataganyizibwa n’okuyingizibwamu omusaayi. Abakristaayo bakimanyi nti musaayi gwa Yesu ogwayiibwa gwe gwokka oguwonya obulamu. Bwe tugukkiririzaamu tufuna okusonyiyibwa n’essuubi ery’obulamu obutaggwaawo.—Abeefeso 1:7.

23. Egimu ku miganyulo egiri mu kkubo ery’okutya Katonda gye giruwa?

23 Kya lwatu, okutambulira mu bulamu obw’okutya Katonda kyetaagisa okufuba. Kiyinza okukuviiramu okusekererwa ab’omu maka go oba mikwano gyo. (Matayo 10:32-39; 1 Peetero 4:4) Naye emiganyulo egiri mu kutambulira mu bulamu obw’engeri eyo gisingira wala nnyo okugezesebwa kwonna. Kikuviiramu omuntu w’omunda omuyonjo era ne kikuwa emikwano emirungi mu basinza banno aba Yakuwa. (Matayo 19:27, 29) Ate era, teebereza okuba omulamu emirembe gyonna mu nsi ya Katonda empya ey’obutuukirivu. (Isaaya 65:17, 18) Era nga ssanyu lya maanyi nnyo eriri mu kugoberera okubuulirira kwa Baibuli mu ngeri eyo n’osanyusa omutima gwa Yakuwa! (Engero 27:11) Tekyewuunyisa nti okutambulira mu bulamu obw’okutya Katonda kuleeta essanyu!—Zabbuli 128:1, 2.

GEZESA OKUMANYA KWO

Ezimu ku nsonga lwaki okutambulira mu bulamu obw’okutya Katonda kuleeta essanyu ze ziruwa?

Okusobola okutambulira mu bulamu obw’okutya Katonda kiyinza kwetaagisa nkyukakyuka ki?

Lwaki oyagala okutambulira mu bulamu obw’okutya Katonda?

[Ebibuuzo]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 124, 125]

Ebikolebwa eby’eby’omwoyo awamu n’ebiseera ebirungi eby’okuwummulamu bireeta essanyu eri abo abatambulira mu bulamu obw’okutya Katonda