Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Obwakabaka bwa Katonda Bufuga

Obwakabaka bwa Katonda Bufuga

Essuula 10

Obwakabaka bwa Katonda Bufuga

1, 2. Gavumenti z’abantu ziremereddwa zitya?

OBOOLYAWO wali oguzeeko ekyuma kyonna ekikozesebwa, naye oluvannyuma n’okizuula nti tekikola. Ka tugambe wayita ffundi. Kyokka, nga yaakamala “okukola” ekyuma ekyo, kyaddamu ne kifa. Nga kyali kimalamu nnyo amaanyi!

2 Ne gavumenti z’abantu bwe zifaanana. Abantu bulijjo babadde baagala gavumenti eyinza okuteekawo emirembe n’essanyu. Kyokka, kaweefube yenna akoleddwa okutereeza ebisobu ebiriwo agudde butaka. Endagaano nnyingi nnyo zikoleddwa—ate ne zimenyebwa. Ye ate, gavumenti ki esobodde okumalawo obwavu, kyekubiira, obumenyi bw’amateeka, endwadde, n’okwonoonebwa kw’obutonde bw’ensi? Obufuzi bw’omuntu butuuse we buba nga tebukyasobola kuddaabirizibwa. Ne Sulemaani Kabaka wa Isiraeri eyali ow’amagezi ennyo yabuuza: “Kale nno, omuntu ayinza okutegeera ekkubo lye?”—Engero 20:24.

3. (a) Kiki ekyali omutwe gw’okubuulira kwa Yesu? (b) Abantu abamu Obwakabaka bwa Katonda babunnyonnyola batya?

3 Toggwaamu ssuubi! Gavumenti ey’ensi yonna eri ku musingi omunywevu si kirooto bulooto. Gwe gwali omutwe gw’okubuulira kwa Yesu. Yagiyita “obwakabaka bwa Katonda,” era n’ayigiriza abagoberezi be bagisabenga. (Lukka 11:2; 21:31) Kya lwatu, Obwakabaka bwa Katonda oluusi bwogerwako bannaddiini. Mu butuufu, bukadde na bukadde babusaba buli lunaku nga baddiŋŋana Essaala ya Mukama waffe (era eyitibwa eya Kitaffe oba essaala ey’okulabirako). Naye abantu baddamu mu ngeri za njawulo bwe babuuzibwa nti, “Obwakabaka bwa Katonda kye ki?” Abamu bagamba nti, “Buli mu mutima gwo.” Abalala bagamba nti lye ggulu. Baibuli ewa eky’okuddamu ekitegeerekeka obulungi, nga bwe tujja okulaba.

OBWAKABAKA OBULINA EKIGENDERERWA

4, 5. Lwaki Yakuwa yalondawo okuteekawo enneeyoleka empya ey’obufuzi bwe, era kiki ky’ejja okutuukiriza?

4 Yakuwa Katonda bulijjo abadde Kabaka, oba Omufuzi Asingiridde, ow’obutonde bwonna. Olw’okuba ye yatonda ebintu byonna kino kimussa mu kifo ekyo ekya waggulu ennyo. (1 Ebyomumirembe 29:11; Zabbuli 103:19; Ebikolwa 4:24) Naye Obwakabaka Yesu bwe yabuuliranga buli wansi wa bufuzi bwa Katonda obw’obutonde bwonna. Obwakabaka bwa Masiya obwo bulina ekigendererwa ekikakafu, naye kye kiruwa?

5 Nga bwe kinnyonnyolwa mu Ssuula 6, abantu ababiri abaasooka baajeemera obuyinza bwa Katonda. Olw’ensonga ezo ezaaleetebwawo, Yakuwa yalondawo okussaawo enneeyoleka empya ey’obufuzi bwe. Katonda yalangirira ekigendererwa kye eky’okuleeta “ezzadde” ery’okubetenta Omusota, Setaani, era aggyewo byonna ebyava mu kibi abantu kye baasikira. “Ezzadde” ekkulu ye Yesu Kristo, ate “obwakabaka bwa Katonda” bwebwo bw’agenda okukozesa okuwangulira ddala Setaani. Okuyitira mu Bwakabaka buno, Yesu Kristo ajja kuzzaawo ku nsi obufuzi obufugira mu linnya lya Yakuwa era ajja kulagira ddala obutuufu bw’obufuzi bwa Katonda.—Olubereberye 3:15; Zabbuli 2:2-9.

6, 7. (a) Obwakabaka buli ludda wa, Kabaka ne bafuzi banne be baani? (b) Baani abafugibwa Obwakabaka?

6 Okusinziira ku nkyusa emu ey’ebigambo Yesu bye yayogera eri Abafalisaayo abaali ababi ennyo, Yesu yagamba: “Obwakabaka bwa Katonda buli munda yammwe.” (Lukka 17:21, King James Version) Yesu yali ategeeza nti Obwakabaka bwali mu mitima gy’abasajja abo ababi ennyo? Nedda. Enkyusa esinga okuba entuufu ey’ebigambo by’Oluyonaani olwasooka esoma: “Obwakabaka bwa Katonda buli wakati mu mmwe.” (New World Translation) Yesu, eyali wakati mu bo, yeeyogerako bw’atyo ng’oyo eyali ajja okuba Kabaka. Obwakabaka bwa Katonda gavumenti ya ddala, erina omufuzi n’abo abafugibwa, so si kintu ekibeera mu mutima gw’omuntu. Gavumenti ya mu ggulu, kuba buyitibwa “obwakabaka obw’omu ggulu” era “obwakabaka bwa Katonda.” (Matayo 13:11; Lukka 8:10) Mu kwolesebwa, nnabbi Danyeri yalaba Omufuzi waabwo “eyafaanana ng’omwana w’omuntu” ng’asembezebwa mu maaso ga Katonda Omuyinza w’ebintu byonna, n’aweebwa “okufuga, n’ekitiibwa, n’obwakabaka, abantu bonna, amawanga n’ennimi, bamuweerezenga.” (Danyeri 7:13, 14) Kabaka oyo y’ani? Baibuli eyita Yesu Kristo “Omwana w’omuntu.” (Matayo 12:40; Lukka 17:26) Yee, Yakuwa yalonda Omwana we, Yesu Kristo, okuba Kabaka.

7 Yesu tafuga yekka. Ali ne 144,000 ‘abaguliddwa okuva mu nsi’ okubeera bakabaka era bakabona banne. (Okubikkulirwa 5:9, 10; 14:1, 3; Lukka 22:28-30) Abo abafugibwa Obwakabaka bwa Katonda bajja kubeera amaka agabunye ensi yonna ag’abantu abagondera obukulembeze bwa Kristo. (Zabbuli 72:7, 8) Naye, tuyinza tutya okubeera abakakafu nti Obwakabaka bujja kulagira ddala obutuufu bw’obufuzi bwa Katonda era buzzeewo embeera ez’olusuku lwa Katonda mu nsi?

OBWAKABAKA BWA KATONDA BWA DDALA

8, 9. (a) Tuyinza kukozesa kyakulabirako ki okulaga nti ebisuubizo by’Obwakabaka bwa Katonda byesigika? (b) Lwaki tuyinza okuba abakakafu nti Obwakabaka bwa ddala?

8 Kuba ekifaananyi ng’omuliro gusaanyizzaawo ennyumba yo. Kati ow’omukwano alina obusobozi n’akusuubiza nti ajja kuyamba okuzzaawo ennyumba yo n’okufuniranga ab’omu maka go eky’okulya. Singa mukwano gwo oyo bulijjo abadde akubuulira mazima, tewandimukkirizza? Teeberezaamu olunaku oluddirira okukomawo okuva ku mulimu n’osanga abakozi nga batandise okuggyawo ebyo byonna ebyayonoonebwa omuliro era nga n’ab’omu maka go baaweereddwa emmere. Awatali kubuusabuusa wandibadde mugumu ddala nti oluvannyuma lw’ekiseera, ebintu bijja kutereezebwa bisinge ne bwe byali okusooka.

9 Mu ngeri y’emu, Yakuwa atuwa obukakafu nti Obwakabaka bwe bwa ddala. Nga bwe kiragibwa mu Baibuli mu kitabo kya Abaebbulaniya, ebitundu bingi eby’Amateeka byali bisonga ku nteekateeka y’Obwakabaka. (Abaebbulaniya 10:1) Obwakabaka bwa Isiraeri obwali ku nsi nabwo bwali butulengezaako mu ngeri ey’obunnabbi ku Bwakabaka bwa Katonda. Tebwali gavumenti ya bulijjo, kubanga abafuzi baabwo baatuulanga ku ‘ntebe ya Yakuwa.’ (1 Ebyomumirembe 29:23) Ate era, kyali kirangiriddwa nti: “Effumu lya kabaka teriivenga ku Yuda, newakubadde omuggo gw’oyo afuga teguuvenga wakati mu bigere bye, okutuusa Siiro lw’alijja; n’oyo abantu gwe banaawuliranga.” (Olubereberye 49:10) * Yee, Yesu, Kabaka ow’enkalakkalira owa gavumenti ya Katonda yali wa kuzaalibwa mu lunyiriri lwa bakabaka ba Yuda.—Lukka 1:32, 33.

10. (a) Omusingi gw’Obwakabaka bwa Katonda obufugibwa Masiya gwateekebwawo ddi? (b) Mulimu ki omukulu abo abagenda okufugira awamu ne Yesu gwe bandikulembedde ku nsi?

10 Omusingi gw’Obwakabaka bwa Katonda obufugibwa Masiya gwateekebwawo abatume ba Yesu bwe baalondebwa. (Abeefeso 2:19, 20; Okubikkulirwa 21:14) Bano be baasookera ddala ku 144,000 abajja okufugira mu ggulu nga bakabaka awamu ne Yesu Kristo. Nga bakyali ku nsi, bano ab’okubeera abafuzi bandibadde basaale mu kaweefube ow’okubuulira, nga bagoberera ekiragiro kya Yesu: “Mugende, mufuule amawanga gonna abayigirizwa, nga mubabatiza okuyingira mu linnya lya Kitaffe n’Omwana n’Omwoyo Omutukuvu.”—Matayo 28:19.

11. Omulimu gw’okubuulira Obwakabaka gukolebwa gutya mu kiseera kino, era gutuukiriza ki?

11 Ekiragiro eky’okufuula abayigirizwa kigobererwa kati ku kigero ekitabangawo. Abajulirwa ba Yakuwa balangirira amawulire amalungi ag’Obwakabaka okwetooloola ensi yonna, nga batuukana n’ebigambo bya Yesu eby’obunnabbi: “N’enjiri eno ey’obwakabaka eribuulirwa mu nsi zonna, okuba omujulirwa mu mawanga gonna; awo enkomerero n’eryoka ejja.” (Matayo 24:14) Ng’ekimu ku ebyo ebigendera mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka, entegeka ennene ey’eby’enjigiriza eri mu nkola. Abo abagondera amateeka n’emisingi eby’Obwakabaka bwa Katonda balina emirembe n’obumu gavumenti z’abantu bye zitayinza kutuukako. Bino byonna biwa obujulizi obulagira ddala nti Obwakabaka bwa Katonda bwa ddala!

12. (a) Lwaki kisaanira okuyita abalangirizi b’Obwakabaka Abajulirwa ba Yakuwa? (b) Obwakabaka bwa Katonda bwawuka butya ku gavumenti z’abantu?

12 Yakuwa yagamba Abaisiraeri: “Muli bajulirwa bange, . . . n’omuweereza wange gwe nnalonda.” (Isaaya 43:10-12) Yesu, “Omujulirwa Omwesigwa,” yabuulira n’obunyiikivu amawulire amalungi ag’Obwakabaka. (Okubikkulirwa 1:5, NW; Matayo 4:17) Bwe kityo kisaanira okuba nti abalangirizi b’Obwakabaka aba kaakano bayitibwa erinnya eryava eri Katonda ery’Abajulirwa ba Yakuwa. Naye lwaki Abajulirwa bamala ebiseera bingi nnyo n’amaanyi gaabwe nga boogera n’abalala ku Bwakabaka bwa Katonda? Bakikola kubanga Obwakabaka lye ssuubi lya bantu lyokka. Gavumenti z’abantu zimala ne zivaawo, naye Obwakabaka bwa Katonda tebulivaawo. Isaaya 9:6, 7 (NW ) eyita Omufuzi waabwo, Yesu, “Omulangira ow’Emirembe” n’egattako: “Obufuzi bwe n’emirembe tebirikoma kweyongeranga.” Obwakabaka bwa Katonda tebulinga gavumenti z’abantu—ezibaawo leero enkya ne ziggibwako. Ddala ddala, Danyeri 2:44 lugamba: “Katonda ow’eggulu alissaawo obwakabaka, obutalizikirizibwa emirembe gyonna, so n’okufuga kwabwo tekulirekerwa ggwanga ddala . . . bunaabeereranga emirembe gyonna.”

13. (a) Ebimu ku bizibu Obwakabaka bwa Katonda bye bujja okumalirawo ddala bye biruwa? (b) Lwaki tuyinza okuba abakakafu nti ebisuubizo bya Katonda bijja kutuukirizibwa?

13 Kabaka ki ow’oku nsi eyandisobodde okuggyawo entalo, obumenyi bw’amateeka, endwadde, enjala, n’obutaba na wa kusula? Ate era, mufuzi ki ow’oku nsi eyandisobodde okuzuukiza abantu abafudde? Obwakabaka bwa Katonda ne Kabaka waabwo bujja kukola ku nsonga zino. Obwakabaka obwo tebujja kulemererwa, ng’ekyuma ekitakola bulungi ekyetaaga okuddaabirizibwa buli kiseera. Wabula, Obwakabaka bwa Katonda, bujja kuwangula, kuba Yakuwa asuubiza: “Ekigambo . . . ekiva mu kamwa kange: tekiridda gye ndi nga kyereere, naye kirikola ekyo kye njagala, era kiraba omukisa mu ekyo kye nnakitumirira.” (Isaaya 55:11) Ekigendererwa kya Katonda tekijja kulemererwa, naye okufuga kw’Obwakabaka kwali kwa kutandika ddi?

OKUFUGA KW’OBWAKABAKA—DDI?

14. Ndowooza ki enkyamu abayigirizwa ba Yesu gye baalina ku Bwakabaka, naye kiki ye Yesu kye yali amanyi ku bikwata ku bufuzi bwe?

14 “Mukama waffe, mu biro bino mw’onookemezaawo obwakabaka eri Isiraeri?” Ekibuuzo kino ekyabuuzibwa abayigirizwa ba Yesu kyalaga nti mu kiseera ekyo baali tebannamanya kigendererwa kya Bwakabaka bwa Katonda na kiseera ekitegeke we bulitandikira okufuga. Ng’abalabula baleme kudda awo kuteebereza ku nsonga eyo, Yesu yagamba: “Si kwammwe okumanya entuuko newakubadde ebiro, Kitaffe bye yateeka mu buyinza bwe.” Yesu yali amanyi nti obufuzi obw’okufuga ensi yonna bwali bwa kubeerawo mu biseera bya mu maaso, ebbanga ddene oluvannyuma lw’okuzuukira kwe n’okulinnya mu ggulu. (Ebikolwa 1:6-11; Lukka 19:11, 12, 15) Ebyawandiikibwa byali byakyogerako. Mu ngeri ki?

15. Zabbuli 110:1 ewa kitangaala ki ku bikwata ku kiseera obufuzi bwa Yesu we butandikira?

15 Ng’ayogera mu bunnabbi ku Yesu nga “mukama,” Kabaka Dawudi yagamba: “Mukama agamba mukama wange nti Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo, okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebe y’ebigere byo.” (Zabbuli 110:1; geraageranya Ebikolwa 2:34-36.) Obunnabbi buno bulaga nti obufuzi bwa Yesu tebwali bwa kutandikirawo nga yaakalinnya mu ggulu. Wabula, yali wa kulindirira ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda. (Abaebbulaniya 10:12, 13) Okulindirira kuno kwandimaze bbanga ki? Obufuzi bwe bwanditandise ddi? Baibuli etuyamba okuzuula eby’okuddamu.

16. Kiki ekyaliwo mu 607 B.C.E., era kyali kikwatagana kitya n’Obwakabaka bwa Katonda?

16 Ekibuga kyokka mu nsi yonna Yakuwa kwe yali atadde erinnya lye kyali Yerusaalemi. (1 Bassekabaka 11:36) Era kye kyali ekibuga ekikulu eky’obwakabaka obw’oku nsi obwali busiimibwa Katonda nga bukiikirira Obwakabaka bwa Katonda obw’omu ggulu. N’olwekyo, okuzikirizibwa kwa Yerusaalemi okwakolebwa Abababulooni mu 607 B.C.E. kwali kwa makulu nnyo. Okuzikiriza okwo kwalamba entandikwa y’ekiseera ekiwanvuko ng’obufuzi bwa Katonda ku nsi obufuga abantu be obutereevu buyingiriddwa. Nga wayiseewo ebyasa nga mukaaga, Yesu yalaga nti ekiseera kino ng’obufuzi obwo buyingiriddwa kyali kikyagenda mu maaso, kuba yagamba: “Yerusaalemi kiririnnyirirwa ab’amawanga okutuusa ebiro by’ab’amawanga lwe birituukirira.”—Lukka 21:24.

17. (a) “Ebiro by’ab’amawanga” bye biruwa, era byali bya kumala bbanga ki? (b) “Ebiro by’ab’amawanga” byatandika ddi era byakoma ddi?

17 Mu ‘biro by’ab’amawanga,’ gavumenti z’ensi zaali za kulekebwa okuyingirira obufuzi obusiimibwa Katonda. Ekiseera ekyo kyatandikira ku kuzikirizibwa kwa Yerusaalemi mu 607 B.C.E., era Danyeri yalaga nti kyandimaze “ebiseera musanvu.” (Danyeri 4:23-25) Byenkana wa? Baibuli eraga nti “ebiseera” bisatu n’ekitundu byenkanankana n’ennaku 1,260. (Okubikkulirwa 12:6, 14) Ebbanga eryo nga likubisiddwamu emirundi ebiri, bye biseera musanvu, kiba ennaku 2,520. Naye tewali kya nkukunala kyonna kyaliwo ku nkomerero y’ebbanga eryo ettono. Kyokka, bwe tutwala “buli lunaku [okuba] mwaka” mu bunnabbi bwa Danyeri era ne tubala emyaka 2,520 okuva mu 607 B.C.E., tutuuka ku mwaka 1914 C.E.—Okubala 14:34; Ezeekyeri 4:6.

18. Kiki Yesu kye yakola nga yaakamala okufuna obuyinza bw’Obwakabaka, era ensi yakwatibwako etya?

18 Yesu yatandika okufuga mu ggulu mu kiseera ekyo? Ensonga ezikakasa ekyo okuva mu Byawandiikibwa zijja kwogerwako mu ssuula eddako. Kituufu, entandikwa y’okufuga kwa Yesu teyanditegeezezza mirembe gya mbagirawo ku nsi. Okubikkulirwa 12:7-12 walaga nti Yesu nga yaakamala okuweebwa Obwakabaka, yandigobye Setaani ne balubaale okuva mu ggulu. Kino kyandiviiriddemu ensi emitawaana, naye kizzaamu nnyo amaanyi okusoma nti Omulyolyomi asigazza “akaseera katono.” Mu bbanga ttono, tujja kusobola okujaguza si lwa kuba nti Obwakabaka bwa Katonda bujja kuba bufuga kyokka, naye era olw’okuba bujja kuba buleese emikisa ku nsi n’eri abantu abawulize. (Zabbuli 72:7, 8) Tumanya tutya ng’ebyo binaatera okubaawo?

[Obugambo obwa wansi]

^ lup. 9 Erinnya Siiro litegeeza “Oyo Akirinako Obwannanyini; Nnyini Kyo.” Kyatuuka okutegeerebwa oluvannyuma nti “Siiro” ye Yesu Kristo, “Empologoma ow’omu kika kya Yuda.” (Okubikkulirwa 5:5) Enkyusa ezimu ez’Ekiyudaaya mu kifo awaali ekigambo “Siiro” zaateekawo “Masiya” oba “kabaka Masiya.”

GEZESA OKUMANYA KWO

Obwakabaka bwa Katonda kye ki, era bufugira wa?

Ani afuga mu Bwakabaka, era baani abafugibwa?

Yakuwa atukakasizza atya nti Obwakabaka bwe bwa ddala?

“Ebiro by’ab’amawanga” byatandika ddi era byakoma ddi?

[Ebibuuzo]

[Akasanduuko akali ku lupapula 94]

EBIMU KU BIKULU EBIBADDEWO EBIKWATAGANA N’OBWAKABAKA BWA KATONDA

• Yakuwa alangirira ekigendererwa kye eky’okuteekawo “ezzadde” ery’okubetenta omutwe gw’Omusota, Setaani Omulyolyomi.—Olubereberye 3:15.

• Mu 1943 B.C.E., Yakuwa akiraga nti “ezzadde” lino lyali lya kuba muzzukulu wa Ibulayimu.—Olubereberye 12:1-3, 7; 22:18.

• Endagaano y’Amateeka eyaweebwa Isiraeri mu 1513 B.C.E. ewa “ekisiikirize eky’ebirungi ebyali bigenda okujja.”—Okuva 24:6-8; Abebbulaniya 10:1.

• Obwakabaka bwa Isiraeri butandika mu 1117 B.C.E., era oluvannyuma ne bweyongerera mu lunyiriri lwa Dawudi.—1 Samwiri 11:15; 2 Samwiri 7:8, 16.

• Yerusaalemi kizikirizibwa mu 607 B.C.E., era “ebiro by’ab’amawanga” bitandika.—2 Bassekabaka 25:8-10, 25, 26; Lukka 21:24.

• Mu 29 C.E., Yesu afukibwako amafuta ng’Oyo ajja Okubeera Kabaka era n’atandika obuweereza bwe obw’oku nsi.—Matayo 3:16, 17; 4:17; 21:9-11.

• Mu 33 C.E., Yesu alinnya mu ggulu, n’alindirira ku mukono gwa Katonda ogwa ddyo okutuusa okufuga kwe lwe kulitandika.—Ebikolwa 5:30, 31; Abaebbulaniya 10:12, 13.

• Yesu atuuzibwa ku nnamulondo mu Bwakabaka obw’omu ggulu mu 1914 C.E. nga “ebiro by’ab’amawanga” biweddeko.—Okubikkulirwa 11:15.

• Setaani ne balubaale be basuulibwa ku muliraano n’ensi ne baleeta emitawaana egisingawo eri abantu.—Okubikkulirwa 12:9-12.

• Yesu alabirira omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda mu nsi yonna.—Matayo 24:14; 28:19, 20.