Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Osobola Okuba n’Ebiseera eby’Omu Maaso eby’Essanyu!

Osobola Okuba n’Ebiseera eby’Omu Maaso eby’Essanyu!

Essuula 1

Osobola Okuba n’Ebiseera eby’Omu Maaso eby’Essanyu!

1, 2. Kiki Omutonzi wo ky’ayagala ofune?

OMUNTU gw’oyagala ng’akugudde mu kifuba. Okusekera awamu ne mikwano gyo nga muli ku kijjulo. Essanyu ery’okutunuulira abaana bo nga bazannya. Ebiseera nga bino biba bya ssanyu nnyo mu bulamu. Kyokka, eri abantu bangi obulamu bulabika nga bubaleetera ebizibu eby’amaanyi eby’omuddiŋŋanwa. Bwe kiba nga bwe kibadde gy’oli, ba mugumu.

2 Katonda ayagala onyumirwe essanyu ery’olubeerera ng’oli mu mbeera ezisingayo obulungi. Kino si kirooto bulooto, kubanga mu butuufu Katonda akuwa ekisumuluzo ekiyinza okukuggulirawo ebiseera eby’omu maaso eby’essanyu bwe bityo. Ekisumuluzo ekyo kwe kumanya.

3. Kumanya ki okuyinza okukuviiramu essanyu, era lwaki tuyinza okuba abakakafu nti Katonda ayinza okutuwa okumanya okwo?

3 Twogera ku ngeri ey’enjawulo ey’okumanya esingira ewala ennyo amagezi ag’obuntu. Kwe ‘kumanya kwennyini okukwata ku Katonda.’ (Engero 2:5, NW ) Emyaka nga 2,000 egiyiseewo, omuwandiisi omu owa Baibuli yagamba: “Buli nnyumba wabaawo agizimba; naye eyazimba byonna ye Katonda.” (Abaebbulaniya 3:4) Lowooza ku kumanya okwo Eyakola ebintu byonna kw’alina! Baibuli egamba nti Katonda abala emmunyeenye zonna era amanyi amannya gaazo. Nga kya kyewuunyo nnyo, okuva bwe waliwo obuwumbi n’obuwumbi bw’emmunyeenye mu kibinja ky’emmunyeenye kye tulimu, era ng’abakugu mu by’emmunyeenye bagamba nti waliwo ebibinja by’emmunyeenye ebirala ng’obuwumbi kikumi! (Zabbuli 147:4) Katonda era amanyi byonna ebitukwatako ffe, kale ani omulala eyandituwadde eby’okuddamu ebisingako obulungi ebikwata ku bibuuzo ebikulu ennyo mu bulamu?—Matayo 10:30.

4. Lwaki twandisuubidde Katonda okutuwa obulagirizi, era kitabo ki ekikkusa obwetaavu buno?

4 Kuba akafaananyi nga abasajja babiri bagezaako okuddaabiriza emmotoka zaabwe. Omusajja omu bw’alaba nti by’akola bimulemye, asuula ebyuma bye wansi. Mu bukkakkamu, oli omulala agonjoola ekizibu ekibaddewo, akubamu ekisumuluzo, era n’akamwenyumwenyu ne kajja ku matama ng’emmotoka eyase era ng’etokota bulungi. Tojja kukisangamu buzibu bwonna okuteeba ani ku basajja abo bombi abadde n’ekitabo ekirimu obulagirizi okuva eri omukozi w’emmotoka eyo. Si bwe twandisuubidde nti Katonda yandituwadde obulagirizi okutuluŋŋamya mu bulamu? Nga bw’oyinza okuba nti okimanyi, Baibuli yeeyogerako okuba nga ddala bw’eri bw’etyo—ekitabo ekirimu okuyigiriza n’obulagirizi ebiva eri Omutonzi waffe, ekyakolebwa okutuwa okumanya okukwata ku Katonda.—2 Timoseewo 3:16.

5. Okumanya okuli mu Baibuli kwa muwendo kwenkana wa?

5 Baibuli ky’egamba bwe kiba nga kituufu, lowooza ku by’obugagga eby’okumanya ebiri mu kitabo ekyo! Mu Engero 2:1-5, etukubiriza okunoonya amagezi, okusima wansi nga bwe twandikoze nga tunoonya eky’obugagga ekikusike—si mu ttaka ery’okulowooza okw’omuntu, naye mu Kigambo kya Katonda kyennyini. Singa tunoonya omwo, tujja ‘kuvumbula okumanya kwennyini okukwata ku Katonda.’ Olw’okuba Katonda ategeera bye tutasobola n’ebyetaago byaffe, atuwa okuyigirizibwa okujja okutuyamba okubeera mu bulamu obw’emirembe era obw’essanyu. (Zabbuli 103:14; Isaaya 48:17) Ate era, okumanya okukwata ku Katonda kutuwa amawulire amalungi agasanyusa.

OBULAMU OBUTAGGWAAWO!

6. Yesu Kristo yatukakasa ki ku bikwata ku kumanya okukwata ku Katonda?

6 Yesu Kristo, amanyiddwa obulungi ennyo mu byafaayo, yayogera ku muganyulo guno ogw’okumanya okukwata ku Katonda mu bigambo ebitegeerekeka obulungi. Yagamba: “Kino kitegeeza bulamu obutaggwaawo, okukumanya ggwe, Katonda omu ow’amazima, n’oyo gwe watuma, Yesu Kristo.” (Yokaana 17:3, NW ) Teebereza ekyo—okumanya okukulembera okutuuka mu bulamu obutaggwaawo!

7. Bujulizi ki obulaga nga Katonda teyakigenderera tufe?

7 Toyanguwa kugaana bulamu butaggwaawo ng’obutwala ng’ekirooto obulooto. Mu kifo ky’okukola otyo, tunuulira engeri omubiri gw’omuntu gye gwakolebwamu. Gwakolebwa mu ngeri ey’ekitalo ennyo okusobola okulega, okuwuliriza, okuwunyiriza, okulaba, era n’okuwulira. Waliwo ebintu bingi nnyo ku nsi ebisanyusa obusobozi bwaffe obwo—emmere ewooma, okuyimba kw’ebinyonyi okusanyusa, ebimuli ebiwunya obulungi, ebifo ebirabika obulungi, emikwano egisanyusa! Ate obwongo bwaffe obw’ekyewuunyo busingira wala nnyo kompyuta esingayo obulungi, kubanga butusobozesa okusiima n’okunyumirwa ebintu ng’ebyo byonna. Ggwe olowooza Omutonzi waffe ayagala tufe tufiirwe ebyo byonna? Si kwe kwandibadde okulowooza okutuufu okusalawo nti ayagala tube basanyufu era tunyumirwe obulamu emirembe gyonna? Kyekyo kyennyini okumanya okukwata ku Katonda kye kuyinza okukutuusaako.

OBULAMU MU LUSUKU LWA KATONDA

8. Baibuli eyogera ki ku biseera by’olulyo lw’omuntu eby’omu maaso?

8 Baibuli ky’eyogera ku biseera eby’omu maaso eby’ensi n’olulyo lw’omuntu kiyinza okuwumbibwawumbibwa mu kigambo kimu—Olusuku lwa Katonda! Yesu Kristo yalwogerako bwe yagamba omusajja eyali afa nti: “Oliba nange mu Lusuku lwa Katonda.” (Lukka 23:43, NW ) Awatali kubuusabuusa okuwulira ebigambo Olusuku lwa Katonda kwaleetera omusajja oyo okulowooza ku mbeera ey’essanyu bazadde baffe abaasooka, Adamu ne Kaawa, gye baalimu. Katonda bwe yabatonda, baali batuukiridde era baali mu lusuku oluyooyoote nga paaka Omutonzi lwe yateekateeka era lwe yasimba. Lwayitibwa erinnya erisaanira, olusuku Adeni, eritegeeza okwesiima.

9. Obulamu bwali butya mu Lusuku lwa Katonda olwasooka?

9 Olusuku olwo nga lwali lulungi nnyo! Lwali lusuku lwa Katonda lwennyini. Mu miti emirungi egyalulimu, mwalimu egyo egibala ebibala ebiwooma ennyo. Adamu ne Kaawa bwe baatambulatambulanga mu maka gaabwe gano, bwe banywanga ku mazzi gaamu amalungi, era bwe banoganga ku bibala eby’emiti egyalulimu, baali tebalina nsonga yonna ebaleetera kweraliikirira oba kutya. N’ensolo tezaalina kabi konna, kuba Katonda zonna yali azikwasizza omusajja ne mukazi we bazifugenga mu ngeri ey’okwagala. Okugatta ku ebyo, abantu ababiri abaasooka baali balina obulamu obulungi. Bwe bandisigadde nga bawulize eri Katonda, ebiseera eby’omu maaso eby’essanyu, eby’emirembe gyonna byali bibalindiridde. Baaweebwa omulimu ogumatiza ogw’okulabirira amaka gaabwe amalungi ennyo ag’omu Lusuku lwa Katonda. Ate era, Katonda yawa Adamu ne Kaawa ekiragiro ‘eky’okujjuza ensi bagirye.’ Bo n’ezzadde lyabwe baali ba kugaziya ensalo z’Olusuku lwa Katonda okutuusa ensi yonna kwe tuli lwe yandifuuse ekifo ekirabika obulungi ennyo era ekisanyusa.—Olubereberye 1:28.

10. Yesu bwe yayogera ku Lusuku lwa Katonda, kiki kye yali ategeeza?

10 Kyokka nno, Yesu bwe yayogera ku Lusuku lwa Katonda, yali tasaba musajja oyo eyali afa kulowooza ku byaliwo edda ennyo. Nedda, Yesu yali ayogera ku bya mu maaso! Yali akimanyi nti amaka gaffe gano agali ku nsi gajja kufuuka olusuku lwa Katonda. Bwe kityo Katonda ajja kutuukiriza ekigendererwa kye eky’olubereberye ekikwata ku bantu n’ensi kwe tuli. (Isaaya 55:10, 11) Yee, Olusuku lwa Katonda lujja kuzzibwawo! Lunaafaanana lutya? Leka Ekigambo kya Katonda, Baibuli Entukuvu, kituddemu.

OBULAMU MU LUSUKU LWA KATONDA OLUZZIDDWAWO

11. Mu Lusuku lwa Katonda olunazzibwawo, kiki ekijja okutuuka ku bulwadde, okukaddiwa, n’okufa?

11 Obulwadde, okukaddiwa, n’okufa tebiribeerawo nate. “Awo amaaso g’omuzibe w’amaaso ne galyoka gazibuka, n’amatu g’omuggavu w’amatu galigguka. Awo awenyera n’alyoka abuuka ng’ennangaazi, n’olulimi lwa kasiru luliyimba.” (Isaaya 35:5, 6) “Katonda yennyini anaabeeranga wamu [n’abantu], Katonda waabwe: naye alisangula buli zziga mu maaso gaabwe; era okufa tekulibaawo nate; so tewaabengawo nate nnaku newakubadde okukaaba, newakubadde okulumwa: eby’olubereberye biweddewo.”—Okubikkulirwa 21:3, 4.

12. Lwaki tuyinza okuba abakakafu nti tejja kubeerayo bumenyi bwa mateeka, ttemu, na bubi mu Lusuku lwa Katonda olugenda okubeerawo?

12 Obumenyi bw’amateeka, ettemu, n’obubi bijja kuba biviiriddewo ddala. “Abakola obubi balizikirizibwa . . . Waliba akaseera katono, n’omubi talibeerawo. . . . Naye abawombeefu balisikira ensi.” (Zabbuli 37:9-11) “Naye ababi balimalibwawo okuva mu nsi, n’abo abasala enkwe balisimbulwamu ddala.”—Engero 2:22.

13. Katonda anaaleetawo atya emirembe?

13 Emirembe gijja kubaawo mu nsi yonna. “[Katonda] aggyawo entalo okutuusa ku nkomerero y’ensi; Amenya omutego, n’effumu alikutula.” (Zabbuli 46:9) “Abatuukirivu banaalabanga omukisa, era wanaabangawo emirembe emingi, okutuusa omwezi lwe guliggwaawo.”—Zabbuli 72:7.

14, 15. Kiki Baibuli ky’eyogera ku mayumba, emirimu, n’emmere mu Lusuku lwa Katonda olunazzibwawo?

14 Amayumba gajja kubaawo n’emirimu gijja kuba nga gimatiza. “Balizimba ennyumba ne basulamu . . . Tebalizimba omulala n’asulamu; tebalisimba omulala n’alya: kubanga ng’ennaku ez’omuti bwe ziba, bwe zityo bwe ziriba ennaku ez’abantu bange, n’abalonde bange balirwawo nga balya omulimu ogw’engalo zaabwe. Tebalikolera bwereere mirimu so tebalizaala ba kulaba nnaku.”—Isaaya 65:21-23.

15 Emmere egasa ejja kubaawo mu bungi. “Wanaabangawo emmere enkalu nnyingi mu nsi ku ntikko y’ensozi.” (Zabbuli 72:16) “Ensi ereese ekyengera kyayo: Katonda, ye Katonda waffe anaatuwanga omukisa.”—Zabbuli 67:6.

16. Lwaki obulamu mu Lusuku lwa Katonda bujja kuba bwa ssanyu?

16 Obulamu obutaggwaawo mu lusuku lwa Katonda ku nsi bujja kuba bwa ssanyu. “Abatuukirivu balisikira ensi, banaagibeerangamu emirembe gyonna.” (Zabbuli 37:29) “Olukoola n’amatongo birijaguza; n’eddungu lirisanyuka, lirisansula ng’ekiyirikiti.”—Isaaya 35:1.

OKUMANYA N’EBISEERA BYO EBY’OMU MAASO

17. (a) Bw’oba ng’oyagala obulamu mu Lusuku lwa Katonda osaanidde kukola ki? (b) Tumanya tutya nga Katonda ajja kuleeta enkyukakyuka ez’amaanyi ku nsi?

17 Bw’oba ng’oyagala obulamu mu Lusuku lwa Katonda, tokkiriza kintu kyonna kukulemesa kufuna kumanya okukwata ku Katonda. Ayagala abantu era ajja kuleeta enkyukakyuka ezo ezeetaagibwa okufuula ensi olusuku lwa Katonda. Abaffe, singa walina obuyinza okukomya obuyinike n’obutali bwenkanya ebibunye wonna mu nsi, tewandikikoze? Katonda gwe twandisuubidde obutakikola? Mu butuufu, mu bigambo ebitegeerekeka obulungi Baibuli eyogera ku kiseera Katonda w’anaggirawo embeera zino ezijjudde obukuubagano azzeewo obufuzi obutuukiridde era obw’obutuukirivu. (Danyeri 2:44) Naye Baibuli tekoma ku kutubuulira bubuulizi bintu ebyo. Etulaga engeri gye tuyinza okuwonawo okuyingira mu nsi empya Katonda gye yasuubiza.—2 Peetero 3:13; 1 Yokaana 2:17.

18. Okumanya okukwata ku Katonda kuyinza kukukolera ki kati?

18 Okumanya okukwata ku Katonda era kuyinza okukugasa mu kiseera kino. Ebibuuzo ebikulu ennyo mu bulamu era ebizibu okutegeera biddibwamu mu Baibuli. Okukkiriza obulagirizi bwayo kujja kukuyamba okukulaakulanya omukwano ne Katonda. Nga nkizo ya maanyi nnyo! Era nga kino kijja kukusobozesa okufuna emirembe Katonda yekka gy’asobola okuwa. (Abaruumi 15:13, 33) Bw’otandika okufuna okumanya kuno okwetaagibwa, oba otandise okukola ekintu ekisingayo obukulu era eky’omuganyulo ennyo mu bulamu bwo. Tolyejusa kufuna kumanya okukwata ku Katonda okukulembera okutuuka mu bulamu obutwaggwaawo.

19. Kibuuzo ki kye tujja okwekenneenya mu ssuula eddako?

19 Tujulizza Baibuli ng’ekitabo ekirimu okumanya okukwata ku Katonda. Naye, tumanya tutya nti Baibuli si kitabo kya magezi ga buntu, wabula ekisingawo ennyo ku ekyo? Tujja kwekenneenya ekibuuzo kino mu ssuula eddako.

GEZESA OKUMANYA KWO

Lwaki okumanya okukwata ku Katonda kuyinza okukutuusa mu ssanyu eritaliggwaawo?

Obulamu bulibeera butya mu Lusuku lwa Katonda olugenda okubeera ku nsi?

Lwaki ojja kuganyulwa mu kufuna okumanya okukwata ku Katonda kati?

[Ebibuuzo]