Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ziyiza Emyoyo Emibi

Ziyiza Emyoyo Emibi

Essuula 12

Ziyiza Emyoyo Emibi

1. Yesu yakolanga atya ng’ayolekaganye n’emyoyo emibi?

AMANGU ddala nga yaakabatizibwa, Yesu Kristo yagenda mu ddungu lya Buyudaaya okusaba n’okufumiitiriza. Ng’ali eyo Setaani Omulyolyomi yagezaako okumumenyesa etteeka lya Katonda. Kyokka, Yesu yagaana ebikemo by’Omulyolyomi era teyagwa mu mutego gwe. Yesu yayolekagana n’emyoyo emirala emibi mu kuweereza kwe okw’oku nsi. Naye era, enfunda n’enfunda, yagiboggoleranga era yagiziyizanga.—Lukka 4:1-13; 8:26-34; 9:37-43.

2. Tugenda kwekenneenya bibuuzo ki?

2 Baibuli by’eyogera ng’ennyonnyola ku kwolekagana okwo byanditukakasizza nti emyoyo emibi gyegiri. Gigezaako okukyamya abantu. Kyokka, emyoyo gino emibi tusobola okugiziyiza. Naye emyoyo emibi giva wa? Lwaki gigezaako okulimba abantu? Era bukodyo ki bwe gikozesa okutuukiriza ebiruubirirwa byagyo? Okumanya eby’okuddamu eri ebibuuzo ng’ebyo kujja kukuyamba okuziyiza emyoyo emibi.

EMYOYO EMIBI—ENSIBUKO YAAGYO N’EKIRUUBIRIRWA KYAGYO

3. Setaani Omulyolyomi yabaawo atya?

3 Yakuwa Katonda yakola ebitonde eby’omwoyo bingi nnyo nga tannatonda bantu. (Yobu 38:4, 7) Nga bwe kinnyonnyolwa mu Ssuula 6, omu ku bamalayika bano yeegomba okusinzibwa abantu mu kifo ky’okuba nti basinza Yakuwa. Ng’alina ekiruubirirwa ekyo, malayika ono omubi yaziyiza Omutonzi era n’amuwaayiriza, n’atuuka n’okugamba omukazi omubereberye nti Katonda yali mulimba. Bwe kityo, ekitonde kino eky’omwoyo ekijeemu ne kituuka okumanyibwa nga Setaani (omuziyiza) Omulyolyomi (omuwaayiriza).—Olubereberye 3:1-5; Yobu 1:6.

4. Bamalayika abamu baayonoona batya mu biseera bya Nuuwa?

4 Oluvannyuma, bamalayika abalala beegatta ku Setaani Omulyolyomi. Mu nnaku za Nuuwa omusajja omutuukirivu, abamu ku bo baaleka okuweereza kwabwe mu ggulu ne bambala emibiri egy’ennyama basobole okukkusa okwegomba kwabwe okw’okwetaba n’abakazi ku nsi. Awatali kubuusabuusa, Setaani ye yakubiriza bamalayika abo okukwata ekkubo eryo ery’obujeemu. Kyabaviiramu okuzaala ebikulekule by’abaana abaayitibwa Abanefuli, abaafuuka abayigganya ab’ettemu. Yakuwa bwe yaleeta Amataba, gaasaanyawo abantu abaali boonoonese n’abaana bano abataali ba bulijjo abaazaalibwa bamalayika abajeemu. Bamalayika abajeemu baawona okuzikirizibwa bwe beeyambulako emibiri egy’ennyama ne baddayo mu ttwale ery’emyoyo. Naye Katonda yakoma ku balubaale bano bwe yababoola babeerenga mu kizikiza eky’eby’omwoyo. (Olubereberye 6:1-7, 17; Yuda 6) Kyokka, Setaani, “omufuzi wa balubaale,” ne bamalayika be ababi beeyongedde mu maaso n’obujeemu bwabwe. (Lukka 11:15, NW ) Balina kiruubirirwa ki?

5. Setaani ne balubaale be balina kiruubirirwa ki, era bakozesa ki okusuula abantu mu mutego?

5 Ekiruubirirwa ekibi ekya Setaani ne balubaale kwe kukyamya abantu okuva ku Yakuwa Katonda. N’olw’ensonga eyo, bamalayika bano ababi babadde babuzaabuza, batiisatiisa, era nga batulugunya abantu mu byafaayo by’omuntu byonna. (Okubikkulirwa 12:9) Ebyokulabirako eby’omu nnaku zino bikakasa nti okulumba kwa balubaale kweyongedde okuba okw’akabi ennyo okusinga bwe kyali kibadde. Balubaale batera okukozesa eby’obusamize ebya buli ngeri okutega abantu. Balubaale bakozesa batya akatego kano, era oyinza kwekuuma otya?

ENGERI EMYOYO EMIBI GYE GIGEZAAKO OKUKUKYAMYA

6. Obusamize kye ki, era ezimu ku ngeri zaabwo ze ziruwa?

6 Obusamize kye ki? Kwe kukolagana ne balubaale, oba emyoyo emibi, obutereevu oba okuyitira mu mulubaale. Balubaale bakozesa nnyo obusamize ng’abayizzi bwe bakozesa eby’okulya ebisikiriza: Bisikiriza ensolo. Era ng’omuyizzi bw’akozesa eby’okulya eby’enjawulo asikirize ensolo okugwa mu mutego gwe, ne balubaale bakubiriza eby’obusamize ebitali bimu basobole okuteeka abantu wansi w’obuyinza bwabwe. (Geraageranya Zabbuli 119:110.) Ezimu ku ngeri zino bwe bulaguzi, obufumu, okunoonyereza obubonero, obulogo, okwebuuza ku balubaale, n’okwogera n’abafu.

7. Obusamize bucaase kyenkana wa, era lwaki bweyongedde ne mu nsi ezo eziyitibwa Enkristaayo?

7 Omutego guno gukoze, kubanga obusamize busikiriza abantu okwetooloola ensi yonna. Ababeera mu byalo beebuuza ku basawo, bannakibuga beebuuza ku abo abalaguzisa emmunyeenye. Obusamize bucaase nnyo ne mu nsi ezo ezitwalibwa okuba Enkristaayo. Okunoonyereza kulaga nti mu United States yokka, magazini nga 30, ng’omuwendo gwazo ogusaasaanyizibwa gusukka mu 10,000,000, zikwata ku ngeri ezitali zimu ez’obusamize. Abantu b’omu Brazil basaasaanya doola ezisukka obukadde 500 buli mwaka ku buntuntu obukozesebwa mu by’obusamize. Kyokka, abantu nga 80 ku buli kikumi ku abo abeeyuna ebifo omukolerwa eby’obusamize mu nsi eyo Bakatoliki babatize era bagenda mu Misa. Okuva abakadde b’amakanisa bwe benyingira mu busamize, abantu bangi bannaddiini balowooza nti okubwenyigiramu kikkirizibwa Katonda. Naye bwe kiri?

ENSONGA LWAKI BAIBULI EVUMIRIRA OKWENYINGIRA MU BY’OBUSAMIZE

8. Ebyawandiikibwa bitunuulira bitya obusamize?

8 Bw’oba obadde oyigirizibwa nti engeri ezimu ez’obusamize kubeera kwogera na myoyo mirungi, kiyinza okukwewuunyisa okuyiga Baibuli ky’eyogera ku busamize. Abantu ba Yakuwa baalabulwa nti: “Temukyukiranga abo abasamira emizimu, newakubadde abalogo; temubanoonyanga, okwonooneka olw’abo.” (Eby’Abaleevi 19:31, italiki zaffe; 20:6, 27.) Ekitabo kya Baibuli eky’Okubikkulirwa kirabula nti “abo abenyigira mu by’obusamize” bajja kusuulibwa mu “nnyanja eyaka n’omuliro n’ekibiriiti. Kino kitegeeza okufa okw’okubiri [okw’emirembe n’emirembe].” (Okubikkulirwa 21:8, NW; 22:15, NW ) Engeri zonna ez’obusamize Yakuwa Katonda tazikkiriza. (Ekyamateeka 18:10-12) Lwaki kiri bwe kityo?

9. Lwaki tuyinza okugamba nti obubaka obw’ennaku zino obuva mu nsi ey’emyoyo tebuva eri Yakuwa?

9 Yakuwa yatumanga emyoyo emirungi, oba bamalayika abatukuvu, okwogera n’abantu abamu nga Baibuli tennamalirizibwa. Kasookedde Ekigambo kya Katonda kimalirizibwa, kiwadde abantu obulagirizi bwe beetaaga okusobola okuweereza Yakuwa mu ngeri ekkirizibwa. (2 Timoseewo 3:16, 17; Abaebbulaniya 1:1, 2) Tava ku Kigambo kye kitukuvu kuyisiza mu balubaale bubaka. Obubaka obw’engeri eyo bwonna leero obuva mu nsi ey’emyoyo buva eri emyoyo mibi. Okwenyigira mu by’obusamize kuyinza okuleetera omuntu okutawaanyizibwa balubaale oba n’okufugibwa emyoyo emibi. N’olwekyo, mu kwagala kwe Katonda atulabula obutenyigira mu kikolwa kyonna kya busamize. (Ekyamateeka 18:14; Abaggalatiya 5:19-21) Ate era, singa tweyongera okwenyigira mu by’obusamize nga tumaze okutegeera engeri Yakuwa gy’abutunuuliramu, tujja kuba tuli ku ludda lwe lumu n’emyoyo emibi emijeemu era tujja kuba balabe ba Katonda.—1 Samwiri 15:23; 1 Ebyomumirembe 10:13, 14; Zabbuli 5:4.

10. Obulaguzi kye ki, era lwaki twandibwewaze?

10 Emu ku ngeri ezicaase ennyo bwe bulaguzi—okugezaako okumanya eby’omu maaso oba ebitamanyiddwa ng’oyambibwako emyoyo. Ezimu ku ngeri z’obulaguzi kwe kulaguzisa emmunyeenye okumanya ebinaabaawo, okutunula mu ndabirwamu eziragula, okuvvuunula ebirooto, okusoma ebibatu, n’okulaguzisa bukaada. Bangi batunuulira obusamize nga eky’okwesanyusa obwesanyusa omutali kabi konna, naye Baibuli eraga nti bakolaganira ddala butereevu n’emyoyo emibi. Ng’ekyokulabirako, Ebikolwa 16:16-19 woogera ku ‘lubaale alagula’ eyasobozesanga omuwala omu “okulagula.” Kyokka, obusobozi bw’okulagula bwamuvaako nga lubaale oyo agobeddwa. Kya lwatu, balubaale bakozesa obulaguzi okusikiriza abantu bagwe mu mutego gwabwe.

11. Okugezaako okuwuliziganya n’abafu kusuula kutya omuntu mu mutego?

11 Bw’oba mu bulumi obw’okufiirwa omwagalwa ow’omu maka oba mukwano gwo ow’oku lusegere, oyinza okusendebwasendebwa amangu omutego omulala. Omulubaale ayinza okukuwa amawulire ag’enjawulo oba ayinza okwogera mu ddoboozi erifaanana ng’ery’omufu. Weegendereze! Okugezaako okuwuliziganya n’abafu kusuula mu mutego. Lwaki? Kubanga abafu tebasobola kwogera. Nga bw’oyinza okujjukira, Ekigambo kya Katonda kyogera lwatu nti omuntu bw’afa “adda mu ttaka lye; ku lunaku olwo ebirowoozo bye ne bibula.” Abafu “tebaliiko kye bamanyi.” (Zabbuli 146:4; Omubuulizi 9:5, 10) Ate era, balubaale bamanyiddwa okuba nga bageegeenya eddoboozi ly’abafu era be bamanyisa omulubaale ebifa ku mufu. (1 Samwiri 28:3-19) N’olwekyo “abuuza abafu” aba akwatiddwa mu mutego gw’emyoyo emibi era aba akontanye n’ekyo Yakuwa Katonda ky’ayagala.—Ekyamateeka 18:11, 12; Isaaya 8:19.

BAVA KU KUSIKIRIZA NE BADDA KU KULUMBA

12, 13. Bujulizi ki obulaga nti balubaale tebalekera awo kukema na kutawaanya bantu?

12 Bw’ogoberera okubuulirira kw’Ekigambo kya Katonda okukwata ku by’obusamize, oba weesambye omutego gwa balubaale. (Geraageranya Zabbuli 141:9, 10; Abaruumi 12:9.) Kino kitegeeza nti emyoyo emibi ginaalekera awo okugezaako okukukwasa? N’akatono! Oluvannyuma lw’okukema Yesu emirundi esatu, Setaani ‘yamuleka okutuusa akaseera akalala.’ (Lukka 4:13, NW ) Mu ngeri y’emu, emyoyo egyo egy’amawaggali tegikoma ku kusikiriza busikiriza bantu naye era gibalumba.

13 Jjukira kye twekenneenya emabegako ekikwata ku ngeri Setaani gye yalumbamu omuweereza wa Katonda, Yobu. Omulyolyomi yamuleetera okufiirwa ebisolo bye era yatta abaweereza be abasinga obungi. Setaani yatta n’abaana ba Yobu. Oluvannyuma, yakuba Yobu endwadde ey’obulumi ennyo. Naye Yobu yakuuma obugolokofu bwe eri Katonda era yaweebwa emikisa mingi. (Yobu 1:7-19; 2:7, 8; 42:12) Okuva mu biseera ebyo, balubaale bazibye abantu abamu emimwa oba amaaso, era beeyongedde okufuna essanyu okuva mu kubonyaabonya abantu. (Matayo 9:32, 33; 12:22; Makko 5:2-5) Leero, ebiriwo biraga nti balubaale batawaanya abantu abamu mu bikwata ku by’okwetaba era basuula n’abamu eddalu. Bakubiriza okutta oba okwetta, byonna nga bibi mu maaso ga Katonda. (Ekyamateeka 5:17; 1 Yokaana 3:15) Wadde kiri bwe kityo, abantu nkumi na nkumi abaali bakwatiddwa mu mitego gy’emyoyo gino emibi basobodde okwetakuluza. Basobodde batya? Nga bakola ebyo ebyetaagibwa.

ENGERI Y’OKUZIYIZAAMU EMYOYO EMIBI

14. Okutuukagana n’ekyokulabirako ky’Abakristaayo ab’omu Efeso, oyinza otya okuziyiza emyoyo emibi?

14 Emu ku ngeri gy’oyinza okuziyizaamu emyoyo emibi n’okwekuuma emitego gyabwe gwe wennyini n’ab’omu maka go yeruwa? Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka abaali mu Efeso abaakolanga eby’obusamize nga tebannafuuka bakkiriza balina ebintu ebikulu bye baakola. Tusoma nti “bangi ku bo abaakolanga eby’obufumu ne bakuŋŋaanya ebitabo byabwe, ne babyokera mu maaso gaabwe.” (Ebikolwa 19:19) Ne bw’oba nga tewenyigirangako mu bya busamize, weggyeko ekintu kyonna eky’obusamize oba ekyekuusa ku busamize. Muno mutwaliramu ebitabo, magazini, vidiyo, ebipande, entambi z’ennyimba, n’ebintu ebirala ebikozesebwa mu by’obusamize. Era mutwaliramu ebifaananyi ebisinzibwa, ensiriba n’obuntuntu obulala obwambalwa olw’okwekuumisa, era n’ebirabo ebifuniddwa okuva eri abo abenyigira mu by’obusamize. (Ekyamateeka 7:25, 26; 1 Abakkolinso 10:21) Okuwa ekyokulabirako: Omwami n’omukyala omu abafumbo mu Thailand baali bamaze ebbanga ddene nga batawaanyizibwa balubaale. Ekiseera kyatuuka ne beggyako ebintu byonna ebikwatagana n’eby’obusamize. Kiki ekyavaamu? Tebaddamu kulumbibwa balubaale era bwe batyo ne basobola okukulaakulana mu by’omwoyo.

15. Mu kuziyiza emyoyo emibi, kiki ekirala ekyetaagisa?

15 Okusobola okuziyiza emyoyo emibi, ekintu ekirala ekikulu ekyetaagisa kwe kugoberera okubuulirira kw’omutume Pawulo okwambala eby’okulwanyisa byonna eby’omwoyo Katonda bye yatuwa. (Abeefeso 6:11-17) Abakristaayo bateekwa okwenywereza ddala okusobola okuziyiza emyoyo emibi. Kino kitwaliramu ki? “Ku ebyo byonna,” bwe yagamba Pawulo, “nga mukwatiddeko engabo ey’okukkiriza, eneebayinzisanga okuzikiza obusaale bwonna obw’omuliro obw’omubi.” Ddala ddala, okukkiriza kwo gye kukoma okuba okw’amaanyi, n’obusobozi bwo obw’okuziyiza emyoyo emibi gye bukoma okweyongera.—Matayo 17:14-20.

16. Oyinza otya okunyweza okukkiriza kwo?

16 Okukkiriza kwo oyinza kukunyweza otya? Nga weeyongera okuyiga Baibuli n’okukozesa mu bulamu bwo okubuulirira kwayo. Obunywevu bw’okukkiriza omuntu kw’alina okusingira ddala bwesigama ku bunywevu bw’omusingi gwakwo—okumanya okukwata ku Katonda. Tokikkiriza nti okumanya okutuufu kw’ofunye era kwe weekenneenyezza olw’okuyiga Baibuli kuzimbye okukkiriza kwo? (Abaruumi 10:10, 17) Tewali kubuusabuusa, bw’onneeyongera mu maaso n’okuyiga kuno era n’okifuula mpisa yo okugendanga mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa, okukkiriza kwo kujja kweyongera okunywera. (Abaruumi 1:11, 12; Abakkolosaayi 2:6, 7) Kujja kuba bbuggwe munywevu ddala eri okulumba kwa balubaale.—1 Yokaana 5:5.

17. Biki ebirala ebiyinza okwetaagisa mu kuziyiza emyoyo emibi?

17 Omuntu amaliridde okuziyiza emyoyo emibi ayinza kukola bintu ki ebirala? Abakristaayo ab’omu Efeso baali beetaaga obukuumi kubanga baali mu kibuga ekijjudde eby’obulubaale. N’olw’ensonga eyo, Pawulo yabagamba: “Musabenga buli kiseera mu mwoyo.” (Abeefeso 6:18, NW ) Okuva bwe tuli mu nsi ejjudde balubaale, twetaaga okusaba ennyo okufuna obukuumi bwa Katonda tusobole okuziyiza emyoyo emibi. (Matayo 6:13) Era obuyambi obw’eby’omwoyo n’okusaba kw’abakadde mu kibiina Ekikristaayo bya mugaso nnyo mu nsonga eno.—Yakobo 5:13-15.

WEEYONGERE OKULWANYISA EMYOYO EMIBI

18, 19. Kiki ekiyinza okukolebwa singa balubaale baddamu okutawaanya omuntu?

18 Kyokka, wadde nga bamaze okukola ebintu bino ebikulu, abamu era batawaanyiziddwa emyoyo emibi. Ng’ekyokulabirako, omusajja omu mu Côte d’Ivoire yasoma Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa era n’azikiriza ensiriba ze yalina zonna. Awo, n’akulaakulana bulungi, n’awaayo obulamu bwe eri Yakuwa, era n’abatizibwa. Naye wiiki emu nga yaakamala okubatizibwa, balubaale baddamu okumutawaanya, n’awulira amaloboozi agamugamba asuule okukkiriza kwe yali yaakafuna. Singa bino byatuuka ku ggwe, kyandibadde kitegeeza nti tokyalina bukuumi bwa Yakuwa? Nedda, si bwe kyanditegeezezza.

19 Newakubadde omusajja atuukiridde Yesu Kristo yalina obukuumi bwa Katonda, yawulira eddoboozi ly’ekitonde eky’omwoyo ekyayonooneka, Setaani Omulyolyomi. Yesu yatulaga kye tulina okukola mu mbeera efaanana bw’etyo. Yagamba Omulyolyomi: “Vaawo genda Setaani.” (Matayo 4:3-10) Bwe kityo, naawe wandigaanye okuwuliriza amaloboozi agava mu nsi ey’emyoyo. Ziyiza emyoyo emibi ng’okoowoola Yakuwa akuyambe. Yee, saba mu ddoboozi eriwulikika ng’okozesa erinnya lya Katonda. Engero 18:10 lugamba: “Erinnya lya Mukama [“Yakuwa,” NW ] kigo kya maanyi: omutuukirivu addukira omwo n’aba mirembe.” Omusajja oli Omukristaayo mu Côte d’Ivoire bw’atyo bwe yakola, era emyoyo emibi gyalekera awo okumutawaanya.—Zabbuli 124:8; 145:18.

20. Mu kuwumbawumba, biki by’oyinza okukola okuziyiza emyoyo emibi?

20 Yakuwa alese emyoyo emibi okubeerawo, naye alaga amaanyi ge, naddala ku lw’abantu be, era erinnya lye lirangirirwa mu nsi yonna. (Okuva 9:16) Singa weekuumira kumpi ne Katonda, tojja kutya myoyo mibi. (Okubala 23:21, 23; Yakobo 4:7, 8; 2 Peetero 2:9) Amaanyi gaagyo galiko we gakoma. Gyabonerezebwa mu kiseera kya Nuuwa, gyasuulibwa okuva mu ggulu ebiseera gye bivuddeko awo, era kati girindiridde omusango ogw’enkomerero. (Yuda 6; Okubikkulirwa 12:9; 20:1-3, 7-10, 14) Mu butuufu, myeraliikirivu nnyo olw’okuzikirizibwa kwe gyolekedde. (Yakobo 2:19) N’olwekyo, emyoyo emibi ka gibe nga gigezaako okukusikiriza nga gikozesa okusendasenda oba okukulumba mu ngeri yonna, osobola okugiziyiza. (2 Abakkolinso 2:11) Weesambire ddala buli ngeri yonna ey’obusamize, goberera okubuulirira kw’Ekigambo kya Katonda, era noonyanga kusiimibwa kwa Yakuwa. Kikole awatali kulwa kwonna, kuba obulamu bwo bwesigamidde ddala ku kuziyiza emyoyo emibi!

GEZESA OKUMANYA KWO

Emyoyo emibi gigezaako gitya okukyamya abantu?

Lwaki Baibuli evumirira obusamize?

Omuntu asobola atya okwetakuluza ku myoyo emibi?

Lwaki osaanidde okweyongera okuziyiza emyoyo emibi?

[Ebibuuzo]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 110]

Obusamize mu ngeri zaabwo zonna obutunuulira otya?