Buuka ogende ku bubaka obulimu

Olina Omwoyo Ogutafa?

Olina Omwoyo Ogutafa?

Olina Omwoyo Ogutafa?

WALIWO obulamu oluvannyuma lw’okufa? Ekibuuzo ekyo kitawaanyizza abantu bangi okumala enkumi n’enkumi z’emyaka. Okumala ebbanga ddene, abantu mu buli kitundu bafumiitirizza ku nsonga eyo era bafunye enzikiriza ezitali zimu.

Abantu bangi bakkiriza nti “omwoyo” guwonawo omuntu bw’afa. Mazima ddala, waliwo ekiri munda mu muntu ekimuvaamu bw’afa ne kyeyongera okubeerawo? Omwoyo kye kiki mu muntu omulamu? Kiki ekigutuukako bwe tufa? Ekigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa, Baibuli, kiwa eby’okuddamu ebituufu era ebimatiza mu bibuuzo ebyo.

Omwoyo Kye Ki?

Mu Baibuli, ebigambo ebivvuunulwa “omwoyo” bitegeeza “omukka.” Naye kino kisingawo ku kussa obussa omukka. Ng’ekyokulabirako, omuwandiisi wa Baibuli Yakobo agamba: “Omubiri ogutalina mwoyo guba gufudde.” (Yakobo 2:26, New World Translation) N’olwekyo, omwoyo gwe guwa omubiri obulamu.

Amaanyi gano ag’obulamu tegayinza kuba mukka ogussibwa oba empewo eyita obuyisi mu mawuggwe. Lwaki? Kubanga oluvannyuma lw’okulekera awo okussa, obulamu busigala mu butoffaali bw’omubiri okumala akabanga katono​—“okumala eddakiika eziwerako,” okusinziira ku kitabo The World Book Encyclopedia. N’olw’ensonga eyo, okufuba okukolebwa okuzza omuntu azirise engulu kuyinza okuvaamu ebibala, era n’ebitundu by’omubiri biyinza okuggibwa mu muntu omu ne biteekebwa mu mulala. Naye singa amaanyi g’obulamu gaggwaamu mu butoffaali bw’omubiri, okufuba kwonna okuzzaawo obulamu kugwa butaka. Omukka ka gube nga gwenkana wa, tegusobola wadde okuzza obulamu mu katoffaali akamu. N’olwekyo, omwoyo ge maanyi g’obulamu agakola agatalabika​—agasobozesa obutoffaali bw’omubiri okuba obulamu. Amaanyi gano ag’obulamu gawanirirwa okussa omukka.​—Yobu 34:14, 15.

Omwoyo ogwo gukola mu bantu bokka? Baibuli etuyamba okutuuka ku kusalawo okutuufu mu nsonga eno. Kabaka Sulemaani ow’amagezi yawandiika: “Ani amanyi omwoyo gw’abantu oba nga gulinnya mu ggulu, n’omwoyo gw’ensolo oba gukka wansi mu ttaka?” (Omubuulizi 3:21) Bwe kityo, ensolo n’abantu byogerwako ng’ebirina omwoyo. Ekyo kisoboka kitya?

Omwoyo, oba amaanyi g’obulamu, biyinza okugeraageranyizibwa ku masannyalaze agayita mu kyuma. Amasannyalaze gano agatalabika gayinza okweyambisibwa okukola ebintu ebitali bimu okusinziira ku kyuma kye gawa amaanyi. Ng’ekyokulabirako, gayinza okusobozesa wooveni okufulumya omuliro, kompyuta okukola ku biwandiiko n’okubalirira, ate ttivi ne gagisobozesa okulaga ebifaananyi n’okufulumya amaloboozi. Kyokka, amasannyalaze tegafuna ngeri za kyuma ekyo kye gawa amaanyi. Gasigala nga maanyi bwanyi. Mu ngeri y’emu, amaanyi g’obulamu agakola tegafuna ngeri za kitonde kye gawa amaanyi. Tegalina ngeri za buntu, n’obusobozi obw’okulowooza. Bonna abantu n’ensolo “balina omwoyo gumu.” (Omubuulizi 3:19, NW) N’olw’ensonga eyo, omuntu bw’afa, omwoyo gwe tegweyongera kubeerawo mu kifo ekirala ng’ekitonde eky’omwoyo.

Kati olwo, abafu bali mu mbeera ki? Era kiki ekituuka ku mwoyo omuntu bw’afa?

“Mu Nfuufu mw’Olidda”

Omuntu eyasooka, Adamu, bwe yajeemera etteeka lya Katonda mu bugenderevu, Yakuwa yamugamba: “Mu ntuuyo ez’omu maaso go mw’onooliiranga emmere, okutuusa lw’olidda mu ttaka; kubanga omwo mwe waggibwa; kubanga oli nfuufu ggwe, ne mu nfuufu mw’olidda.” (Olubereberye 3:19) Adamu yali ludda wa nga Yakuwa tannamutonda okuva mu nfuufu? Teyalina we yali! Teyaliiwo. N’olwekyo, Yakuwa Katonda bwe yagamba nti Adamu ‘alidda mu ttaka,’ yali ategeeza nti Adamu yandifudde. Adamu teyandigenze mu ttwale ery’emwoyo. Ku kufa yandizzeemu obutabeera na bulamu nate, nga taliiwo. Ekibonerezo kye yasalirwa kyali kufa​—obutaba na bulamu​—so si okutwalibwa mu kifo ekirala.​—Abaruumi 6:23.

Ate kiri kitya eri abalala abafudde? Embeera y’abafu eragibwa kaati mu Omubuulizi 9:5, 10, we tusoma: “Abafu tebaliiko kye bamanyi . . . Tewali mulimu newakubadde okuteesa newakubadde okumanya newakubadde amagezi mu magombe.” N’olwekyo, okufa mbeera ey’obutabeerawo. Omuwandiisi wa Zabbuli yawandiika nti omuntu bw’afa “omukka [“omwoyo,” NW] gwe gumuvaamu, n’adda mu ttaka lye; ku lunaku olwo ebirowoozo bye ne bibula.”​—Zabbuli 146:4.

Kya lwatu, abafu tebategeera, tebalina kye bayinza kukola. Tebamanyi kintu kyonna. Tebasobola kukulaba, okukuwulira, oba okwogera naawe. Tebasobola kukuyamba oba okukulumya. N’olwekyo, teweetaaga kutya bafu. Naye kibaawo kitya nti omwoyo ‘guva’ mu muntu ng’afudde?

Omwoyo “Gudda Eri Katonda”

Baibuli egamba nti omuntu bw’afa, “omwoyo . . . gudda eri Katonda eyagugaba.” (Omubuulizi 12:7) Kino kitegeeza nti omwoyo guyita mu bbanga ne gugenda mu maaso ga Katonda? N’akatono! Engeri Baibuli gy’ekozesaamu ekigambo ‘okudda’ teyeetaaza okuva mu kifo ekimu okudda mu kirala. Ng’ekyokulabirako, Abaisiraeri abataali beesigwa baagambibwa: “Mudde gye ndi, nange [n]nadda gye muli, bw’ayogera Mukama w’eggye.” (Malaki 3:7) Abaisiraeri ‘okudda’ eri Yakuwa kwategeeza okukyuka okuva ku kkubo ekkyamu ne bakwata ekkubo lya Katonda ery’obutuukirivu. Era Yakuwa ‘okudda’ eri Abaisiraeri kyategeeza okuddamu okufaayo ku bantu be. Mu ngeri zombi ‘okudda’ kyatwaliramu endowooza, so si okuva mu kitundu ekimu okudda mu kirala mu ngeri erabika.

Mu ngeri y’emu, omwoyo bwe “gudda” eri Katonda ng’omuntu afudde, teguva ku nsi ne gugenda mu ggulu mu ngeri eya ddala. Jjukira omwoyo ge maanyi ag’obulamu. Amaanyi ago bwe gava mu muntu, Katonda yekka y’asobola okugamuzzaamu. N’olwekyo, omwoyo “gudda eri Katonda” mu ngeri nti essuubi lyonna ery’omuntu oyo okuba omulamu mu biseera eby’omu maaso, lyesigamye ku Katonda yekka.

Ng’ekyokulabirako, weetegereze Ebyawandiikibwa kye byogera ku kufa kwa Yesu. Omuwandiisi w’enjiri Lukka annyonnyola: “Yesu n’ayogera n’eddoboozi ddene, n’agamba nti Kitange, nteeka omwoyo gwange mu mikono gyo: bwe yamala okwogera ekyo, n’awaayo obulamu.” (Lukka 23:46) Ng’omwoyo gwa Yesu gumuvaamu, tekyali nti ye kennyini yali alinnya mu ggulu. Yesu teyazuukizibwa mu bafu okutuusa nga wayiseewo ennaku ssatu. Era wayitawo ennaku endala 40 n’alyoka alinnya mu ggulu. (Ebikolwa 1:3, 9) Kyokka, mu kiseera eky’okufa kwe, Yesu yawaayo omwoyo gwe mu mikono gya Kitaawe, nga yeesiga obusobozi bwa Yakuwa okumukomyawo mu bulamu.

Yee, Katonda yekka y’asobola okukomyawo omuntu mu bulamu. (Zabbuli 104:30) Nga kino kiggulawo emikisa egy’ekitalo!

Essuubi Ekkakafu

Baibuli egamba: “Ekiseera kijja bonna abali mu ntaana ezijjukirwa lwe baliwulira eddoboozi [lya Yesu], ne bavaamu.” (Yokaana 5:28, 29, NW) Yee, Yesu Kristo yasuubiza nti abo bonna Yakuwa bajjukira bajja kuzuukizibwa, oba okukomezebwawo mu bulamu. Mu kifo ky’okuwulira ebirango eby’ennaku nti abantu bafudde, wajja kubaawo lipoota ez’essanyu ezikwata ku abo abakomezeddwawo mu bulamu. Nga kijja kuba kya ssanyu nnyo okwaniriza abaagalwa baffe okuva mu ntaana!

Wandyagadde okumanya ebisingawo ku ngeri gy’oyinza okuganyulwa mu ssuubi lino erituweebwa Katonda? Tukusaba owandiike ng’okozesa emu ku ndagiriro ezo eziri wammanga ofune brocuwa Emyoyo gy’Abafu​Giyinza Okukuyamba oba Okukulumya? Ddala Gye Giri?

Okuggyako nga kiragiddwa obulala, ebijuliziddwa byonna mu Baibuli biggiddwa mu Baibuli y’Oluganda eya 1968