Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Amaanyi Agali mu Ssuubi ery’Okuzuukira

Amaanyi Agali mu Ssuubi ery’Okuzuukira

Essuula Eyomwenda

Amaanyi Agali mu Ssuubi ery’Okuzuukira

1. Awatali kuzuukira, abafu bandibadde na ssuubi ki?

WALI ofiiriddwako abaagalwa bo? Awatali kuzuukira, tewandibaddewo ssuubi lya kubalaba nate. Bandisigadde mu mbeera Baibuli gy’eyogerako bw’eti: “Abafu tebaliiko kye bamanyi, . . . kubanga tewali mulimu newakubadde okuteesa newakubadde okumanya newakubadde amagezi mu magombe gy’ogenda.”​—Omubuulizi 9:5, 10.

2. Kiki ekisoboka okubaawo okuyitira mu kuzuukira?

2 Olw’obusaasizi bwe, Yakuwa agguliddewo nnamungi w’abantu abaafa omukisa ogw’okufuna obulamu obutaggwaawo ng’abazuukiza. Kino kitegeeza nti oyinza okuba n’essuubi nti lumu, mu nsi ya Katonda empya, ojja kuddamu okubeera n’abaagalwa bo abaafa.​—Makko 5:35, 41, 42; Ebikolwa 9:36-41.

3. (a) Okuzuukira kubadde na kifo ki ekikulu mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Yakuwa? (b) Ddi essuubi ly’okuzuukira lwe lisingira ddala okutuzzaamu amaanyi?

3 Olw’okuba tulina essuubi ery’okuzuukira, tetusaanidde kutya kufa ekisukkiridde. Wadde nga Yakuwa tayinza kukkiriza Setaani kutuusa ku baweereza be kabi ka lubeerera, ayinza okumuleka n’abaleetera ebizibu eby’amaanyi ennyo ng’agezaako okulaga obutuufu bw’ebyo bye yayogera nti “byonna omuntu by’alina alibiwaayo olw’obulamu bwe.” (Yobu 2:4) Yesu yali mwesigwa eri Katonda okutuusa ku kufa, era n’olwekyo Katonda yamuzuukiza mu bulamu obw’omu ggulu. Bwe kityo, Yesu yasobola okuwaayo omuwendo gwa ssaddaaka y’obulamu bwe obutuukiridde eri Kitaawe mu ggulu, tusobole okufuna obulamu. Okuyitira mu kuzuukira, ‘ab’ekisibo ekitono,’ abanaafugira awamu ne Kristo balina essuubi ery’okumwegattako mu Bwakabaka obw’omu ggulu. (Lukka 12:32) Abalala balina essuubi ery’okuzuukira babeere mu lusuku lwa Katonda ku nsi emirembe gyonna. (Zabbuli 37:11, 29) Essuubi ery’okuzuukira liwa Abakristaayo bonna amaanyi ‘agasinga ku ga bulijjo’ bwe boolekagana n’okugezesebwa okuyinza okubaviirako okufa.​—2 Abakkolinso 4:7.

Ensonga Lwaki Okuzuukira Kukulu Nnyo mu Nzikiriza y’Ekikristaayo

4. (a) Mu ngeri ki okuzuukira gye kuli ‘enjigiriza esookerwako’? (b) Abasinga obungi okuzuukira bakutwala batya?

4 Okuzuukira y’emu ku ‘njigiriza ezisookerwako’ nga bwe kiragibwa mu Abaebbulaniya 6:1, 2. Era y’emu ku njigiriza etunyweza mu kukkiriza gye tuteekwa okumanya bwe tuba ab’okufuuka Abakristaayo abakulu mu by’omwoyo. (1 Abakkolinso 15:16-19) Kyokka, okutwalira awamu abantu abasinga obungi mu nsi tebamanyi njigiriza ya Baibuli ekwata ku kuzuukira. Olw’okuba tebafaayo ku bya mwoyo, abantu bangi balowooza nti obulamu buno bwe tulina, bwe bwokka obuliyo. Bwe kityo, beemalira ku masanyu gokka. Ate waliwo abali mu madiini ga Kristendomu oba amalala abalowooza nti tulina emmeeme etafa. Naye endowooza eyo ekontana n’enjigiriza ya Baibuli ey’okuzuukira, kubanga okuzuukira kwandibadde tekwetaagisa singa abantu balina emmeeme etafa. Okugezaako okukwataganya ebintu bino ebibiri kibuzaabuza omuntu mu kifo ky’okumuwa essuubi. Tuyinza tutya okuyamba ab’emitima emyesigwa abaagala okuyiga amazima?

5. (a) Omuntu okusobola okutegeera okuzuukira, kiki kye yeetaaga okumanya? (b) Byawandiikibwa ki bye wandikozesezza okunnyonnyola abalala emmeeme n’embeera y’abafu? (c) Kiki ekiyinza okukolebwa singa omuntu akozesa enzivuunula ya Baibuli ekweka amazima?

5 Abalinga abo okusobola okutegeera enteekateeka ey’ekitalo ey’okuzuukira, balina okutegeera obulungi ebikwata ku mmeeme n’embeera y’abafu. Emirundi mingi, ebyawandiikibwa ebitono bisobola okuyamba omuntu ayagala amazima ga Baibuli okutegeera ensonga eno. (Olubereberye 2:7, NW; Zabbuli 146:3, 4; Ezeekyeri 18:4) Kyokka, enzivuunula za Baibuli ezimu zikweka amazima agakwata ku mmeeme. N’olwekyo, kiyinza okwetaagisa okwekkaanya ebigambo ebyakozesebwa mu nnimi Baibuli mwe yasooka okuwandiikibwa.

6. Oyinza otya okuyamba omuntu okutegeera emmeeme?

6 Enkyusa ya New World Translation ya muganyulo nnyo mu nsonga eno kubanga evvuunula ekigambo ky’Olwebbulaniya neʹphesh ne kinnaakyo eky’Oluyonaani psy·kheʹ nga “emmeeme,” buli we bisangibwa. Mu kawaayiro akali ku mpapula ezisembayo mu nkyusa eno, mulimu ebyawandiikibwa bingi ebiraga ebigambo bino we bisangibwa. Kyokka, zo enkyusa za Baibuli endala tezikozesa kigambo kimu “emmeeme” nga zivvuunula ebigambo ebyo, naye era zibivvuunula nga “ekitonde,” “omuntu,” ne “obulamu”; ebigambo “neʹphesh yange” biyinza okuvvuunulwa nga “nze,” ate “neʹphesh yo,ne kiba “ggwe.” Okugeraageranya enkyusa za Baibuli endala ne New World Translation kisobola okuyamba omuyizi omwesimbu okutegeera nti ebigambo eby’ennimi ezaasooka ebivvuunulwa “emmeeme” bitegeeza abantu oba ensolo. Naye, ebigambo ebyo tebitegeeza n’akamu nti emmeeme kintu ekitalabika ekiyinza okuva mu mubiri ng’omuntu afudde ne kyeyongera okubaawo nga kiramu mu kifo ekirala.

7. Wandinnyonnyodde otya okuva mu Baibuli embeera y’abo abali mu Sheol, Hades ne Ggeyeena?

7 Era enkyusa ya New World Translation ekozesa ekigambo “Sheol” ng’evvuunula ekigambo ky’Olwebbulaniya sheohlʹ n’ekigambo “Hades” okuvvuunula haiʹdes eky’Oluyonaani awamu n’ekigambo “Ggeyeena” ng’evvuunula eky’Oluyonaani geʹen·na. “Sheol” ne “Hades” bitegeeza kye kimu. (Zabbuli 16:10, NW; Ebikolwa 2:27, NW) Baibuli ekiraga bulungi nti ebigambo byombi Sheol ne Hades bitegeeza magombe, era bikwataganyizibwa na kufa, so si bulamu. (Zabbuli 89:48, NW; Okubikkulirwa 20:13, NW) Era Ebyawandiikibwa byogera ku ssuubi ery’okuzuukira okuva mu magombe. (Yobu 14:13; Ebikolwa 2:31) Okwawukana ku ekyo, abo abali mu Ggeyeena tebalina ssuubi lya kuddamu kufuna bulamu, era emmeeme teyogerwako nti eba nnamu mu kifo ekyo.​—Matayo 10:28.

8. Okutegeera obulungi okuzuukira kiyinza kukola ki ku ndowooza n’ebikolwa by’omuntu?

8 Oluvannyuma lw’okunnyonnyoka obulungi ensonga ezo, omuntu ayinza okuyambibwa okutegeera okuzuukira kye kutegeeza. Ayinza okutandika okusiima okwagala kwa Yakuwa mu kukola enteekateeka eyo ey’ekitalo. Ennaku y’abo ababa bafiiriddwa abaagalwa baabwe eyinza okukendeerako olw’okuba n’essuubi ery’okuddamu okubeera nabo mu nsi ya Katonda empya. Era kikulu nnyo okutegeera ensonga zino bwe tuba ab’okutegeera amakulu g’okufa kwa Kristo. Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baakitegeera nti okuzuukira kwa Yesu Kristo kintu kikulu nnyo mu nzikiriza y’Ekikristaayo, era nti kwaggulirawo abalala ekkubo ery’okuzuukira. Baanyiikira okubuulira abalala ku kuzuukira kwa Yesu n’essuubi lye kutuwa. Mu ngeri y’emu, n’abo leero abategeera era ne basiima okuzuukira baba baagala nnyo okubuulira abalala amazima gano ag’omuwendo.​—Ebikolwa 5:30-32; 10:42, 43.

Okukozesa ‘Ebisumuluzo by’Emagombe’

9. Yesu asooka kukozesa atya “ebisumuluzo eby’okufa n’eby’Emagombe”?

9 Bonna abanaafugira awamu ne Kristo mu Bwakabaka bwe obw’omu ggulu bateekwa okufa. Naye bamanyi ebigambo bye yayogera ebizzaamu amaanyi nti: “Nnali nfudde, era, laba, ndi mulamu emirembe n’emirembe, era nnina ebisumuluzo eby’okufa n’eby’Emagombe.” (Okubikkulirwa 1:18) Yali ategeeza ki? Yali ayogera ku ekyo ekyamutuukako, kubanga naye yafa. Kyokka, Katonda teyamuleka magombe. Ku lunaku olw’okusatu, Yakuwa kennyini yamuzuukiza mu bulamu obw’omwoyo era n’amuwa obulamu obutayinza kuzikirizibwa. (Ebikolwa 2:32, 33; 10:40) Okugatta ku ekyo, Katonda yamuwa “ebisumuluzo by’okufa n’eby’Emagombe” eby’okukozesa okusumulula abalala okuva mu ntaana n’okuva mu kibi kya Adamu. Olw’okuba alina ebisumuluzo ebyo, Yesu asobola okuzuukiza abagoberezi be abeesigwa okuva mu bafu. Asooka kuzuukiza abaafukibwako amafuta ab’ekibiina kye n’abawa ekirabo eky’obulamu obutayinza kuzikirizibwa nga babeera mu ggulu, nga Kitaawe bwe yamuwa.​—Abaruumi 6:5; Abafiripi 3:20, 21.

10. Okuzuukira kw’Abakristaayo abeesigwa abaafukibwako amafuta kubaawo ddi?

10 Abakristaayo abeesigwa abaafukibwako amafuta banaazuukizibwa ddi mu bulamu obwo obw’omu ggulu? Baibuli eraga nti baatandika dda okuzuukizibwa. Omutume Pawulo yagamba nti bandizuukiziddwa ‘mu kubeerawo kwa Kristo,’ okwatandika mu 1914. (1 Abakkolinso 15:23, NW) Abeesigwa abaafukibwako amafuta bwe bafa mu kiseera kino eky’okubeerawo kwe, tekibeetaagisa kwebaka mu magombe okutuusa Mukama waabwe lw’alidda. Amangu ddala nga baakafa, bazuukizibwa mu mwoyo, ne ‘bafuusibwa mangu ago nga kutemya kikowe.’ Nga bafuna essanyu ppitirivu, kubanga ebikolwa byabwe ebirungi ‘bigenda nabo’!​—1 Abakkolinso 15:51, 52; Okubikkulirwa 14:13.

11. Kuzuukira kwa bantu ki abalala okunaabaawo, era kulitandika ddi?

11 Okuzuukira kw’abo abanaasikira Obwakabaka mu bulamu obw’omu ggulu si kwe kwokka okunaabaawo. Olw’okuba kuyitibwa ‘okuzuukira okw’olubereberye’ mu Okubikkulirwa 20:6, kiraga nti waliwo okulala okuteekwa okukuddirira. Abo abaganyulwa mu kuzuukira okukuddirira bajja kufuna omukisa ogw’okubeera mu lusuku lwa Katonda ku nsi emirembe gyonna. Okuzuukira okwo kunaabaawo ddi? Ekitabo ky’Okubikkulirwa kiraga nti oluvannyuma lw’okuggyawo ‘ensi n’eggulu’ ebiriwo, kwe kugamba embeera z’ebintu embi eziriwo awamu n’abafuzi baazo. Enkomerero eyo ey’embeera zino enkadde eri kumpi nnyo. Oluvannyuma lw’ekyo, mu kiseera kya Katonda ekigere, okuzuukira okw’oku nsi kujja kutandika.​—Okubikkulirwa 20:11, 12.

12. Baani abanaabeera mu bantu abeesigwa abanaazuukizibwa okubeera ku nsi, era lwaki ekyo kya ssanyu nnyo?

12 Baani abanaazuukizibwa mu kuzuukira okwo okw’oku nsi? Mujja kubeeramu abaweereza ba Yakuwa abeesigwa okuviira ddala mu biseera ebyayita, abasajja n’abakazi ‘abatakkiriza kununulibwa,’ olw’okukkiriza okw’amaanyi kwe baalina mu kuzuukira. Kwe kugamba, tebekkiriranya beewale okuttibwa mu ngeri ey’obukambwe. Nga kiriba kya ssanyu okubamanya n’okuwulira nga battottola ebyogerwako mu bufunze mu Baibuli! Era mu balala abalizuukizibwa mu bulamu obw’oku nsi mwe mulibeera Abeeri, omujulirwa wa Yakuwa omwesigwa eyasooka; Enoka ne Nuuwa, abaalangirira n’obuvumu obubaka bwa Katonda ng’Amataba tegannabaawo; Ibulayimu ne Saala, abaakyaza bamalayika; Musa, eyaweebwa Amateeka ku Lusozi Sinaayi; bannabbi abavumu, gamba nga Yeremiya eyalaba okuzikirizibwa kwa Yerusaalemi mu 607 B.C.E.; ne Yokaana Omubatiza, eyawulira Katonda kennyini ng’ayogera nti Yesu Mwana We. Era mujja kubeeramu abasajja n’abakazi bangi abeesigwa abafudde mu nnaku zino ez’oluvannyuma ez’embeera z’ebintu bino.​—Abaebbulaniya 11:4-38; Matayo 11:11.

13, 14. (a) Kiki ekirituuka ku magombe n’abafu abalimu? (b) Baani abalala abalizuukizibwa, era lwaki?

13 Ekiseera bwe kirigenda kiyitawo, abalala ng’oggyeko abaweereza ba Katonda abeesigwa nabo bajja kuzuukizibwa mu bafu, waleme kusigalayo muntu n’omu mu ntaana. Obunene bw’omulimu gw’okuzuukiza abafu bulabikira ku ngeri Yesu gy’alikozesaamu ‘ekisumuluzo ky’Emagombe’ ku lw’abantu. Kino kirabikira mu kwolesebwa okwaweebwa omutume Yokaana, mwe yalabira nga Amagombe ‘gasuuliddwa mu nnyanja ey’omuliro.’ (Okubikkulirwa 20:14) Ekyo kitegeeza ki? Kitegeeza nti Amagombe gaggibwawo ddala. Ng’abafu bonna baggiddwamu, gaba tegakyaliwo, kubanga ng’oggyeko okuzuukiza abasinza ba Yakuwa abeesigwa, Yesu ajja kukomyawo n’abatali batuukirivu. Ekigambo kya Katonda kitukakasa: “Walibaawo okuzuukira kw’abatuukirivu era n’abatali batuukirivu.”​—Ebikolwa 24:15.

14 Tewali n’omu ku batali batuukirivu bano azuukizibwa ate n’asalirwa omusango ogw’okufa. Mu mbeera ey’obutuukirivu eribaawo ku nsi wansi w’Obwakabaka bwa Katonda, bajja kuyambibwa okutuukanya obulamu bwabwe n’amakubo ga Yakuwa. Okwolesebwa kwalaga nti ‘ekitabo ky’obulamu’ kijja kubikkulwa. Bwe kityo, omukisa gujja kubaawo amannya gaabwe okuwandiikibwamu. ‘Bajja kusalirwa omusango kinnoomu ng’ebikolwa byabwe bwe biriba’ oluvannyuma lw’okuzuukizibwa kwabwe. (Okubikkulirwa 20:12, 13) Bwe kityo, okusinziira ku birivaamu ku nkomerero, okuzuukira kwabwe kuyinza okubeera ‘okuzuukira okw’obulamu,’ so si ‘okuzuukirira okw’omusango.’​—Yokaana 5:28, 29.

15. (a) Baani abatajja kuzuukizibwa? (b) Okumanya ekituufu ku kuzuukira kyanditukozeeko ki?

15 Kyokka, si bonna abaali babaddewo ne bafa abalizuukizibwa. Abamu baakola ebibi ebitayinza kusonyiyibwa. Abalinga abo tebali mu Magombe (Hades) wabula mu Ggeyeena gye bazikirizibwa ddala. Mu abo mwe muliba abalizikirizibwa mu ‘kibonyoobonyo ekinene,’ ekiri okumpi okutuuka. (Matayo 12:31, 32; 23:33; 24:21, 22; 25:41, 46; 2 Abasessalonika 1:6-9) N’olwekyo, wadde Yakuwa alaga obusaasizi bwa nsusso ng’asumulula abafu okuva mu Magombe, essuubi ly’okuzuukira terituwa bbeetu butafaayo ku ngeri gye tutambuzaamu obulamu bwaffe kati. Abo abajeemera obufuzi bwa Yakuwa mu bugenderevu tebajja kuzuukizibwa. Okumanya ekyo kyanditukubirizza okulaga nti tusiima nnyo ekisa kya Katonda nga tukola by’ayagala.

Tunywezebwa Essuubi ly’Okuzuukira

16. Essuubi ery’okuzuukira liyinza litya okutuzzaamu amaanyi?

16 Ffe abakkiririza mu kuzuukira, essuubi eryo lituzzaamu nnyo amaanyi. Bwe tuba tuli bakadde nnyo mu kiseera kino, tukimanyi nti tetuyinza kuziyiza kufa, ka tube nga tufunye bujjanjabi ki. (Omubuulizi 8:8) Bwe tuba nga tuweerezza Yakuwa n’obwesigwa, tuyinza okwesunga ebiseera eby’omu maaso. Tukimanyi nti tujja kuzuukizibwa tube balamu nate mu kiseera kya Katonda ekigereke. Nga buliba bulamu bwa kitalo! Omutume Pawulo yabuyita ‘obulamu obwa nnamaddala.’​—1 Timoseewo 6:19; Abaebbulaniya 6:10-12.

17. Kiki ekiyinza okutuyamba okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa?

17 Okumanya nti eriyo okuzuukira era n’okumanya ensibuko yaakwo kitusobozesa okubeera abanywevu mu kukkiriza. Ekyo kitusobozesa okubeera abeesigwa eri Katonda ne bwe wabaawo abatuyigganya abaagala okututta. Okumala ebbanga ggwanvu, Setaani akozesezza okutya okufa okukuumira abantu mu buddu. Naye Yesu teyatya kufa. Yali mwesigwa eri Yakuwa okutuusa okufa. Okuyitira mu ssaddaaka y’ekinunulo kye, Yesu yasumulula abalala okuva mu kutya okufa.​—Abaebbulaniya 2:14, 15.

18. Kiki ekiyambye abaweereza ba Yakuwa okusigala nga bagolokofu?

18 Olw’okukkiririza mu ssaddaaka ya Kristo n’okuzuukira, abaweereza ba Yakuwa basigadde nga bagolokofu. Bwe bagezeseddwa ennyo, balaze nti baagala nnyo Yakuwa okusinga ‘obulamu bwabwe.’ (Okubikkulirwa 12:11) Tebasuula muguluka misingi gya Kikristaayo okusobola okuwonyawo obulamu bwabwe obwa kaakano. (Lukka 9:24, 25) Bakimanyi nti wadde bafiirwa obulamu bwabwe kati olw’okuwagira obufuzi bwa Yakuwa, ajja kubazuukiza. Olina okukkiriza ng’okwo? Osobola okuba nakwo singa ddala oyagala Yakuwa era ng’essuubi ery’okuzuukira olitwala nga lya muwendo.

Eby’Okwejjukanya

• Lwaki omuntu kimwetaagisa okumanya ebikwata ku mmeeme n’embeera y’abafu okusobola okutegeera okuzuukira?

• Baani abalizuukizibwa, era okumanya ekyo kyanditukutteko kitya?

• Essuubi ly’okuzuukira litunyweza litya?

[Ebibuuzo]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 84 85]

Yakuwa asuubiza nti wajja kubaawo okuzuukira kw’abatuukirivu n’abatali batuukirivu