Amakulu g’Okubatizibwa Kwo
Essuula Ey’ekkumi N’ebbiri
Amakulu g’Okubatizibwa Kwo
1. Lwaki buli omu ku ffe yandikitutte nga kikulu okubatizibwa mu mazzi?
MU MWAKA 29 C.E., Yokaana Omubatiza yabatiza Yesu, ng’amunnyika mu Mugga Yoludaani. Yakuwa yali alaba ekyo ekyakolebwa era n’akisiima. (Matayo 3:16, 17) Bwe kityo, Yesu yassaawo ekyokulabirako abayigirizwa be bonna kye bandigoberedde. Oluvannyuma lw’emyaka esatu n’ekitundu, Yesu yawa abayigirizwa be ebiragiro bino: “Mpeereddwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi. Kale mugende, mufuule amawanga gonna abayigirizwa, nga mubabatiza okuyingira mu linnya lya Kitaffe n’Omwana n’[o]mwoyo [o]mutukuvu.” (Matayo 28:18, 19) Wabatizibwa nga Yesu bwe yalagira? Bw’oba tobatizibwanga, oteekateeka okukikola?
2. Ku bikwata ku kubatizibwa, bibuuzo ki ebisaanidde okuddibwamu?
2 Mu buli ngeri, kikulu nnyo buli muntu ayagala okuweereza Yakuwa n’okubeera mu nsi empya ey’obutuukirivu, okutegeera obulungi amakulu g’okubatizibwa. Mu bibuuzo ebigwanidde okuddibwamu mwe muli bino: Okubatizibwa okw’Ekikristaayo leero kulina amakulu ge gamu n’okubatizibwa kwa Yesu? Kitegeeza ki okubatizibwa “mu linnya lya Kitaffe n’Omwana n’[o]mwoyo [o]mutukuvu”? Okutuukana n’amakulu g’okubatizibwa okw’Ekikristaayo kizingiramu ki?
Okubatiza kwa Yokaana
3. Okubatiza kwa Yokaana kwali kwa baani?
3 Ng’ebulayo emyezi nga mukaaga Yesu abatizibwe, Matayo 3:2) Abantu baawulira ebyo Yokaana bye yayogera era ne babigoberera. Baayatula ebibi byabwe, ne beenenya, era ne bajja eri Yokaana ababatize mu Mugga Yoludaani. Okubatiza okwo kwali kwa Bayudaaya bokka.—Lukka 1:13-16; Ebikolwa 13:23, 24.
Yokaana Omubatiza yatalaaga eddungu lya Buyudaaya, ng’abuulira nti: “Mwenenye; kubanga obwakabaka obw’omu ggulu bunaatera okutuuka.” (4. Lwaki Abayudaaya mu kyasa ekyasooka baali beetaaga okwenenya mu bwangu ddala?
4 Abayudaaya abo baali beetaaga okwenenya mu bwangu ddala. Ku lusozi Sinaayi mu mwaka 1513 B.C.E., bajjajjaabwe baakola endagaano ne Yakuwa Katonda. Naye olw’ebibi byabwe eby’amaanyi, tebatuukiriza buvunaanyizibwa bwabwe wansi w’endagaano eyo, era n’olwekyo baali balina omusango. Yesu we yabeerera ku nsi, embeera yaabwe mu by’omwoyo yali mbi nnyo. ‘Olunaku lwa Yakuwa olukulu era olw’entiisa,’ Malaki lwe yalagula lwali luli kumpi kutuuka. Mu 70 C.E., ‘olunaku’ olwo lwatuuka amagye g’Abaruumi bwe gaazikiriza Yerusaalemi, ne yeekaalu yaakyo, awamu n’Abayudaaya abasukka mu kakadde. Yokaana Omubatiza eyali omunyiikivu mu kusinza okw’amazima, yatumibwa ‘okuteekerateekera Yakuwa abantu’ ng’okuzikiriza okwo tekunnatuuka. Baali beetaaga okwenenya olw’obutatuukiriza ndagaano y’Amateeka ga Musa era n’okuba abeetegefu okukkiriza Yesu, Omwana wa Katonda, Yakuwa gwe yali agenda okubatumira.—Malaki 4:4-6; Lukka 1:17; Ebikolwa 19:4.
5. (a) Yesu bwe yajja okubatizibwa, lwaki Yokaana yalonzalonza? (b) Okubatizibwa kwa Yesu kwali kulaga ki?
5 Mu bantu abajja eri Yokaana okubatizibwa, ne Yesu kennyini yalimu. Lwaki naye yajja? Ng’akimanyi nti Yesu teyalina bibi bya kwenenya, Yokaana yagamba: “Nze Matayo 3:13-15) Okuva Yesu bw’ataalina kibi, okubatizibwa kwe kwali tekutegeeza nti yalina ebibi eby’okwenenya; era yali teyeetaaga kwewaayo eri Katonda, okuva bwe yali mu ggwanga eryali lyewaayo edda eri Yakuwa. Wabula, okubatizibwa kwe ku myaka 30 egy’obukulu kwali kwa njawulo, era kwali kulaga nti yeeyanjudde eri Kitaawe ow’omu ggulu okukola ebirala by’ayagala.
nneetaaga ggwe okumbatiza, [ate ggwe] ojja gye ndi?” Naye okubatizibwa kwa Yesu kwali kugenda kukiikirira kintu kirala. N’olwekyo, Yesu yaddamu: “Kkiriza kaakano: kubanga kitugwanira bwe tutyo okutuukiriza obutuukirivu bwonna.” (6. Okukola Katonda by’ayagala Yesu Kristo yakitwala nga kikulu kwenkana wa?
6 Katonda bye yali ayagala Kristo Yesu akole byali bizingiramu omulimu ogukwata ku Bwakabaka. (Lukka 8:1) Era byali bizingiramu okuwaayo obulamu bwe obutuukiridde ng’ekinunulo era n’okusobozesa endagaano empya okubaawo. (Matayo 20:28; 26:26-28; Abaebbulaniya 10:5-10) Yesu yalaga nti yategeerera ddala amakulu g’okubatizibwa kwe. Teyakkiriza kuwugulibwa. Okutuuka ku nkomerero y’obulamu bwe ku nsi, yanywerera ku kukola Katonda by’ayagala, n’akulembeza okubuulira abalala Obwakabaka bwa Katonda.—Yokaana 4:34.
Okubatizibwa mu Mazzi okw’Abayigirizwa Abakristaayo
7. Okuva Pentekoote 33 C.E., Abakristaayo baagambibwa kukola ki ku bikwata ku kubatizibwa?
7 Abayigirizwa ba Yesu abaasooka Yokaana ye yababatiza mu mazzi era n’abakubiriza okugenda eri Yesu basobole okuyingira mu Bwakabaka obw’omu ggulu. (Yokaana 3:25-30) Wansi w’obulagirizi bwa Yesu, abayigirizwa bano nabo baabatizanga, era okubatiza okwo kwalina amakulu ge gamu n’okwa Yokaana. (Yokaana 4:1, 2) Kyokka, okutandika ne Pentekoote 33 C.E., baatandika okutuukiriza ekiragiro eky’okubatiza ‘mu linnya lya Kitaffe n’Omwana n’omwoyo omutukuvu.’ (Matayo 28:19) Ojja kuganyulwa nnyo singa weekenneenya amakulu g’ebigambo ebyo.
8. Kitegeeza ki okubatizibwa “mu linnya lwa Kitaffe”?
8 Kitegeeza ki okubatizibwa “mu linnya lya Kitaffe”? Kitegeeza okukkiriza erinnya lye, ekifo kye, obuyinza bwe, ebigendererwa bye, era n’amateeka ge. Lowooza ku bizingirwa mu ekyo. (1) Ku bikwata ku linnya lye, Zabbuli 83:18 egamba: “Ggwe wekka, erinnya lyo Yakuwa, oli waggulu nnyo ng’ofuga ensi yonna.” (2) Ku bikwata ku kifo kye, 2 Bassekabaka 19:15 (NW) lugamba: ‘Ai Yakuwa, ggwe wekka Katonda ow’amazima.’ (3) Ate ku bikwata ku buyinza bwe, Okubikkulirwa 4:11 lutugamba: “Osaanidde ggwe, Mukama waffe, Katonda waffe, okuweebwanga ekitiibwa n’ettendo n’obuyinza: kubanga ggwe wabitonda byonna, era byabaawo lwa kusiima kwo, era byatondebwa.” (4) Era tulina okukikkiriza nti Yakuwa y’Agaba Obulamu, era nti alina ekigendererwa eky’okutulokola okuva mu kibi n’okufa: “Obulokozi buli eri Mukama.” (Zabbuli 3:8; 36:9) Tulina okukkiriza nti Yakuwa ye Muteesi w’Amateeka ow’Oku Ntikko: “Mukama ye mulamuzi waffe, Mukama ye muteesi w’amateeka gye tuli, Mukama ye kabaka waffe.” (Isaaya 33:22) Olw’okuba alina ebifo ebyo byonna, tukubirizibwa: “Yagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna.”—Matayo 22:37.
9. Kitegeeza ki okubatizibwa ‘mu linnya ly’Omwana’?
9 Okubatizibwa ‘mu linnya ly’Omwana’ kitegeeza ki? Kitegeeza okukkiriza erinnya lya Yesu Kristo, ekifo kye, n’obuyinza bwe. Erinnya lye, Yesu, litegeeza “Yakuwa Bwe Matayo 16:16; Abakkolosaayi 1:15, 16) Yokaana 3:16 lutugamba bwe luti ku Mwana ono: “Katonda bwe yayagala ensi [y’abantu abayinza okununulibwa] bw’ati, n’okuwaayo n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme okubula, naye abeere n’obulamu obutaggwaawo.” Olw’okuba Yesu yafa nga mwesigwa, Katonda yamuzuukiza okuva mu bafu n’amuwa obuyinza obusingawo. Okusinziira ku mutume Pawulo, Katonda ‘yagulumiza nnyo Yesu’ mu butonde bwonna, ne kiba nti Yakuwa yekka y’amusinga ekitiibwa. Eyo ye nsonga lwaki “buli vviivi [lisaanidde] lifukaamirirenga erinnya lya Yesu . . . era buli lulimi lwatulenga nga Yesu Kristo ye Mukama waffe, Katonda Kitaffe aweebwe ekitiibwa.” (Abafiripi 2:9-11) Ekyo kitegeeza okugondera ebiragiro bya Yesu, ebiva eri Yakuwa kennyini.—Yokaana 15:10.
Bulokozi.” Ali mu kifo ekyo olw’okuba ye Mwana wa Katonda eyazaalibwa omu yekka, omubereberye mu bitonde bya Katonda. (10. Kitegeeza ki okubatizibwa ‘mu linnya ly’omwoyo omutukuvu’?
10 Kitegeeza ki okubatizibwa ‘mu linnya ly’omwoyo omutukuvu’? Kitegeeza okukkiriza ekifo n’omulimu gw’omwoyo omutukuvu. Omwoyo omutukuvu kye ki? Ge maanyi ga Yakuwa agakola, g’akozesa okutuukiriza ebigendererwa bye. Yesu yagamba abagoberezi be: ‘Ndisaba Kitange, naye alibawa omubeezi omulala, abeerenga nammwe emirembe n’emirembe, omwoyo ow’amazima.’ (Yokaana 14:16, 17) Gwandibasobozesezza kukola ki? Yesu yayongera n’abagamba: “Muliweebwa amaanyi [o]mwoyo [o]mutukuvu [bwe gulijja] ku mmwe, nammwe munaabanga bajulirwa bange mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya bwonna ne mu Samaliya, n’okutuusa ku nkomerero y’ensi.” (Ebikolwa 1:8) Era okuyitira mu mwoyo omutukuvu, Yakuwa yaluŋŋamya okuwandiikibwa kwa Baibuli: “Siwali kigambo kya bannabbi ekyali kireeteddwa mu kwagala kw’abantu: naye abantu baayogeranga ebyava eri Katonda, nga bakwatiddwa [o]mwoyo [o]mutukuvu.” (2 Peetero 1:21) N’olwekyo, tukkiriza ekifo ky’omwoyo omutukuvu bwe tuyiga Baibuli. Engeri endala gye tukirizzaamu omwoyo omutukuvu kwe kusaba Yakuwa okutuyamba okufuna ‘ebibala by’omwoyo,’ nga bino kwe ‘kwagala, essanyu, emirembe, obugumiikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza, obuwombeefu, okwefuga.’—Abaggalatiya 5:22, 23.
11. (a) Amakulu g’okubatizibwa mu kiseera kyaffe ge galuwa? (b) Mu ngeri ki okubatizibwa gye kugeraageranyizibwa ku kufa n’okuzuukizibwa?
11 Abaasooka okubatizibwa mu ngeri etuukagana n’ebiragiro bya Yesu baali Abayudaaya n’Abayudaaya abakyufu, okuva mu 33 C.E. Nga wayiseewo ebbanga ttono, enkizo ey’okufuuka abayigirizwa Abakristaayo yaweebwa Abasamaliya. Ate mu 36 C.E., enkizo yaweebwa n’ab’Amawanga. Nga tebannabatizibwa, Abasamaliya n’ab’Amawanga baalina okwewaayo eri Yakuwa okumuweereza ng’abayigirizwa b’Omwana we. Gano ge makulu g’okubatizibwa okw’Abakristaayo n’okutuusa mu kiseera kyaffe. Okunnyikibwa mu mazzi kabonero akatuukirawo akooleka okwewaayo okwo, okuva okubatizibwa bwe kugeraageranyizibwa ku kuziikibwa. Okunnyikibwa mu mazzi ng’obatizibwa kiba kiraga nti ofudde ku bikwata ku bulamu bwo obw’emabega. Okunnyululwa mu mazzi kiba kiraga nti ofuuliddwa omulamu okukola Katonda by’ayagala. Bonna abafuuka Abakristaayo beetaaga ‘okubatizibwa kuno.’ Bwe babatizibwa bafuuka Abajulirwa ba Yakuwa Abakristaayo, abaweereza be abatongozeddwa.—Abeefeso 4:5; 2 Abakkolinso 6:3, 4.
12. Okubatizibwa okw’Ekikristaayo kufaananyizibwa ku ki, era mu ngeri ki?
1 Peetero 3:21, NW) Eryato bwali bujulizi obw’enkukunala obulaga nti Nuuwa yali akoze omulimu Katonda gwe yamuwa. Oluvannyuma lw’okuzimba eryato, “ensi ey’edda amazzi kyegaava gagisaanyaawo n’ezikirira.” (2 Peetero 3:6) Naye Nuuwa n’ab’omu maka ge, ‘abantu munaana be baawonawo mu mazzi.’—1 Peetero 3:20.
12 Okubatizibwa ng’okwo kwa muwendo mu maaso ga Katonda. Ng’ekyokulabirako, oluvannyuma lw’okwogera ku lyato eryazimbibwa Nuuwa, ye n’ab’omu maka ge mwe baawonyezebwa mu Mataba, omutume Peetero yawandiika: “Ekyefaananyiriza ku ekyo kati ekitulokola, kwe kubatizibwa, (si okuggyawo ekko ly’omubiri, naye okusaba Katonda okufuna omuntu ow’omunda omulungi,) okuyitira mu kuzuukizibwa kwa Yesu Kristo.” (13. Omukristaayo alokolebwa kuva mu ki bw’abatizibwa mu mazzi?
13 Leero, abo abeewaayo eri Yakuwa olw’okukkiririza mu Kristo eyazuukizibwa, babatizibwa okulaga okwewaayo kwabwe mu lwatu. Bakola Katonda by’ayagala mu kiseera kyaffe era baba balokoleddwa okuva mu nsi eno Abaggalatiya 1:3, 4) Ate baba tebajja kuzikirizibwa ng’embeera y’ebintu eno embi ezikirizibwa, era Katonda abawa omuntu ow’omunda omulungi. Omutume Yokaana akakasa bw’ati abaweereza ba Katonda: “Ensi eggwaawo, n’okwegomba kwayo; naye akola Katonda by’ayagala abeerera emirembe egitaggwaawo.”—1 Yokaana 2:17.
embi. (Okutuukiriza Obuvunaanyizibwa Bwaffe
14. Lwaki okubatizibwa ku bwakwo tekaba kakalu nti omuntu ateekwa okufuna obulokozi?
14 Yandibadde nsobi okulowooza nti okubatizibwa ku bwakwo kaba kakalu nti omuntu ateekwa okufuna obulokozi. Okubatizibwa kuba n’amakulu singa omuntu yeeweerayo ddala mu bwesimbu eri Yakuwa okuyitira mu Yesu Kristo, ate oluvannyuma n’akola Katonda by’ayagala okutuukira ddala ku nkomerero. “Agumiikiriza okutuuka ku nkomerero, ye alirokolebwa.”—Matayo 24:13.
15. (a) Kiki Katonda ky’ayagala Abakristaayo ababatiziddwa okukola? (b) Okubeera abayigirizwa Abakristaayo kyandibadde kikulu kwenkana wa mu bulamu bwaffe?
15 Katonda bye yali ayagala Yesu akole bizingiramu engeri gye yandikozesezzaamu obulamu bwe ng’omuntu. Bwali bwa kuweebwayo nga ssaddaaka. Ffe, emibiri gyaffe girina okuweebwayo eri Katonda, era tulina okuba ne bye twerekereza mu bulamu bwaffe nga tukola Katonda by’ayagala. (Abaruumi 12:1, 2) Mazima ddala, twandibadde tetukola Katonda by’ayagala singa oluusi n’oluusi mu bugenderevu tweyisa ng’ensi etwetoolodde oba singa tuluubirira ebyaffe ku bwaffe, okuweereza Katonda ne kuba ng’okutuukiriza obutuukiriza omukolo. (1 Peetero 4:1-3; 1 Yokaana 2:15, 16) Omuyudaaya omu bwe yabuuza ky’ateekwa okukola okufuna obulamu obutaggwaawo, Yesu yalaga obukulu bw’okuba n’empisa ennungi. Naye era yayogera ne ku kintu ekisingawo n’obukulu: okubeera omuyigirizwa Omukristaayo, omugoberezi wa Yesu. Ekyo kye kintu ekisinga obukulu mu bulamu. Tekiteekwa kubeera mu kifo kya kubiri.—Matayo 19:16-21.
16. (a) Buvunaanyizibwa ki Abakristaayo bonna bwe balina ku bikwata ku Bwakabaka? (b) Nga bwe kiragiddwa ku lupapula 116 ne 117, ngeri ki ezimu ennungi ez’okubuuliramu Obwakabaka? (c) Bwe twenyigira mu kubuulira n’omutima gwaffe gwonna kiwa bujulizi ki?
16 Kiteekwa okuggumizibwa nate nti Katonda bye yali ayagala Yesu akole byali bizingiramu omulimu omukulu ogukwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Yesu kennyini yafukibwako amafuta okubeera Kabaka. Naye bwe yali ku nsi, yawa obujulirwa obw’amaanyi obukwata ku Bwakabaka. Tulina omulimu gwe gumu ogw’okukola, era tusaanidde okugwenyigiramu n’omutima gwonna. Bwe tukola bwe tutyo, tuba tulaga nti tusiima obufuzi bwa Yakuwa era nti twagala bantu bannaffe. (Matayo 22:36-40) Era tulaga nti tuli bumu ne basinza bannaffe abalangirira Obwakabaka okwetooloola ensi yonna. Ffenna awamu, nga tuli bumu mu nsi yonna, tufuba okutuuka ku kiruubirirwa eky’okufuna obulamu obutaggwaawo mu ttwale ery’oku nsi mu Bwakabaka obwo.
Eby’Okwejjukanya
• Kufaanagana ki okuliwo wakati w’okubatizibwa kwa Yesu n’okubatizibwa mu mazzi leero? Ate njawulo ki eziriwo?
• Kitegeeza ki okubatizibwa ‘mu linnya lya Kitaffe, n’Omwana n’omwoyo omutukuvu’?
• Okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwaffe obw’okubatizibwa mu mazzi okw’Ekikristaayo kizingiramu ki?
[Ebibuuzo]
Ebifaananyi ebiri ku lupapula 116, 117]
ENGERI EZIMU EZ’OKULANGIRIRAMU OBWAKABAKA
Eri ab’eŋŋanda
Eri b’okola nabo
Eri b’osoma nabo
Ku nguudo
Nnyumba ku nnyumba
Ng’oddayo eri abantu abasiimye obubaka
Ng’oyigiriza abantu Baibuli awaka