Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ekigendererwa kya Yakuwa Kituukirizibwa

Ekigendererwa kya Yakuwa Kituukirizibwa

Essuula Ey’abiri Mu Emu

Ekigendererwa kya Yakuwa Kituukirizibwa

1, 2. (a) Yakuwa alina kigendererwa ki eri ebitonde bye ebitegeera? (b) Baani abaali mu maka ga Katonda agaali obumu mu kumusinza?

EBITONDE byonna ebitegeera okubeera nga biri bumu mu kusinza Katonda omu ow’amazima era byonna okuba n’eddembe ery’ekitiibwa ky’abaana ba Katonda, kye kigendererwa kya Yakuwa eky’okwagala. Era abo abaagala obutuukirivu ekyo kye beegomba.

2 Yakuwa yatandika okutuukiriza ekigendererwa kino ekikulu bwe yatandika emirimu gye egy’obutonzi. Ekitonde kye ekyasooka yali Mwana we, era ng’okuva bwe yazuukizibwa abadde “ekifaananyi ky’ekitiibwa kye era alagira ddala [Katonda] bw’ali.” (Abaebbulaniya 1:1-3, NW) Omwana ono yali wa njawulo olw’okuba yatondebwa Katonda kennyini. Oluvannyuma, okuyitira mu Mwana ono, abalala bonna baatondebwa: okusooka bamalayika mu ggulu, ate oluvannyuma abantu ku nsi. (Yobu 38:7; Lukka 3:38) Abo bonna baali maka gamu. Era nga Yakuwa ye Katonda waabwe, Omufuzi w’Obutonde Bwonna era Kitaabwe omwagazi.

3. (a) Ffenna twasikira ki okuva ku bazadde baffe abaasooka? (b) Nteekateeka ki ey’okwagala Yakuwa gye yakolera ezzadde lya Adamu?

3 Bazadde baffe abaasooka bwe baasalirwa ogw’okufa olw’okwonoona mu bugenderevu, baagobebwa mu Adeni era Katonda n’abaabuulira. Baali tebakyali ba mu maka ge. (Olubereberye 3:22-24; Ekyamateeka 32:4, 5) Ffenna tuli bazzukulu baabwe, n’olwekyo twazaalibwa n’ekibi. Kyokka, Yakuwa yamanya nti abamu okuva mu bazzukulu ba Adamu ne Kaawa bandyagadde obutuukirivu. N’olwekyo, olw’okwagala yakola enteekateeka basobole ‘okufuna eddembe ly’ekitiibwa eky’abaana ba Katonda.’​—Abaruumi 8:20, 21.

Isiraeri Efiirwa Enkizo Yaayo

4. Nkizo ki Yakuwa gye yawa Isiraeri ey’edda?

4 Emyaka nga 2,500 oluvannyuma lw’okutondebwa kwa Adamu, Yakuwa yawa abantu abamu enkizo ey’okubeera n’enkolagana ennungi ennyo naye. Yalonda Isiraeri ey’edda okubeera abantu be era n’abawa Amateeka ge. (Olubereberye 12:1, 2) Yabategeka ne bafuuka eggwanga era n’abakozesa okutuukiriza ekigendererwa kye. (Ekyamateeka 14:1, 2; Isaaya 43:1) Kyokka, baali bakyali baddu ba kibi n’okufa, n’olwekyo tebaalina ddembe ery’ekitiibwa Adamu ne Kaawa lye baalina mu kusooka.

5. Abaisiraeri baafiirwa batya enkolagana yaabwe ey’enjawulo ne Katonda?

5 Wadde kyali kityo, Abaisiraeri baali basiimibwa Katonda. Era baalina obuvunaanyizibwa okussa ekitiibwa mu Yakuwa nga Kitaabwe era n’okutuukagana n’ekigendererwa kye. Yesu yaggumiza obukulu bw’okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo. (Matayo 5:43-48) Kyokka, eggwanga lya Isiraeri lyalemererwa okukola ekyo. Wadde nga Abayudaaya abo baagambanga nti “tulina Kitaffe omu, ye Katonda,” Yesu yagamba nti ebikolwa byabwe n’engeri zaabwe byalaga nti ekyo tekyali kituufu. (Yokaana 8:41, 44, 47) Mu 33 C.E., Amateeka Katonda yagaggyawo, era enkolagana ey’enjawulo gye yalina ne Isiraeri n’ekoma. Naye kino kyali kitegeeza nti abantu baali tebayinza kuddamu kubeera na nkolagana nnungi na Katonda?

Okukuŋŋaanya “Ebiri mu Ggulu”

6. “Enteekateeka” Pawulo gye yayogerako mu Abeefeso 1:9, 10 erina kigendererwa ki?

6 Omutume Pawulo yalaga nti abantu abamu bandibadde n’enkolagana ey’enjawulo ne Katonda. Ng’ekyokulabirako, ku bikwata ku nteekateeka ya Yakuwa abo abooleka okukkiriza mwe bandisoboledde okufuuka ab’omu maka Ge, Pawulo yawandiika: “[Katonda] yatutegeeza ekyama ekitukuvu ekikwata ku by’ayagala. Yakola enteekateeka mwe yandiyitidde, ng’ekiseera kituuse, okugatta awamu byonna mu Kristo, ebiri mu ggulu n’ebiri ku nsi.” (Abeefeso 1:9, 10, NW) “Enteekateeka” eyo yeesigamiziddwa ku Yesu Kristo. Okuyitira mu ye, abantu basobola okusiimibwa Katonda. Omuwendo omugereke balina essuubi ery’okugenda mu ggulu. Abalala bangi nnyo okusingawo bajja kubeera ku nsi emirembe gyonna.

7. “Ebiri mu ggulu” be baani?

7 Okusooka, okutandika ne Pentekoote 33 C.E., essira lyateekebwa ku ‘biri mu ggulu,’ kwe kugamba, abo ab’okufugira awamu ne Kristo mu Bwakabaka obw’omu ggulu. Olw’okukkiririza mu ssaddaaka ya Yesu, Katonda yabawa obutuukirivu. (Abaruumi 5:1, 2) Oluvannyuma, Abayudaaya abalala n’Ab’amawanga baagattibwako era omuwendo ‘gw’ebiri mu ggulu,’ mu nkomerero gwandibadde 144,000. (Abaggalatiya 3:26-29; Okubikkulirwa 14:1) Abamu ku abo bakyaliwo ku nsi.

Okukuŋŋaanya ‘Ebiri ku Nsi’

8. ‘Ebiri ku nsi’ be baani, era balina nkolagana ki ne Yakuwa?

8 Enteekateeka y’emu ekuŋŋaanya ‘ebiri ku nsi.’ Obukadde n’obukadde bw’abantu kati bakuŋŋaanyizibwa nga balina essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna. Nga bali bumu n’ensigalira y’abasika b’Obwakabaka, bagulumiza erinnya lya Yakuwa n’okusinza kwe. (Isaaya 2:2, 3; Zeffaniya 3:9) Era bayita Yakuwa ‘Kitaffe,’ kubanga bamanyi nti ye nsibuko y’obulamu bwabwe. Era basiimibwa mu maaso ge olw’okukkiririza mu musaayi gwa Yesu ogwayiibwa. (Okubikkulirwa 7:9, 14) Naye olw’okuba tebatuukiridde, bajja kufuuka abaana ba Katonda mu biseera eby’omu maaso.

9. Abaruumi 8:21, luwa abantu ssuubi ki?

9 Bano abalina essuubi ery’okubeera ku nsi kati balindirira ekiseera abantu bonna ‘lwe baliweebwa eddembe okuva ku kufugibwa okuvunda.’ (Abaruumi 8:21) Okununulibwa okwo kujja kutandika oluvannyuma lwa Kristo n’eggye lye ery’omu ggulu okukomekkereza ekibonyoobonyo ekinene ku lutalo lwa Kalumagedoni. Kino kijja kutegeeza okuzikirizibwa kw’enteekateeka ya Setaani yonna, oluvannyuma waddewo emikisa gy’Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi.​—Okubikkulirwa 19:17-21; 20:6.

10. Abaweereza ba Yakuwa baliyimba luyimba ki olw’okutendereza?

10 Nga kiriba kya ssanyu nnyo abaweereza ba Yakuwa ku nsi bwe balyegatta awamu ne baddamu ebigambo by’abaweereza be abali mu ggulu, aboogera n’essanyu nti: “Bikulu era bya kitalo ebikolwa byo, Mukama Katonda, Omuyinza w’ebintu byonna; ga butuukirivu era ga mazima amakubo go, ggwe Kabaka ow’emirembe n’emirembe. Ani atalitya, Mukama, n’ataliwa kitiibwa erinnya lyo? [K]ubanga ggwe wekka ggwe mutukuvu; kubanga amawanga gonna galijja era galisinziza mu maaso go; kubanga ebikolwa byo eby’obutuukirivu birabise.” (Okubikkulirwa 15:3, 4) Yee, abaweereza ba Yakuwa bonna bajja kwegatta wamu mu kusinza Katonda omu ow’amazima. N’abafu bajja kuzuukizibwa baweebwe omukisa okutendereza Yakuwa.​—Ebikolwa 24:15.

Eddembe ery’Ekitalo Eriri mu Biseera eby’Omu Maaso

11. Abaliwonawo ku kibonyoobonyo ekinene baliba na ddembe ki ery’ekitalo?

11 Oluvannyuma lwa Kalumagedoni okuggyawo obubi ku nsi, ku ntikko y’ekibonyoobonyo ekinene Setaani Omulyolyomi aliba takyali ‘katonda w’emirembe gino.’ Abasinza Yakuwa baliba tebakyayolekagana naye. (2 Abakkolinso 4:4; Okubikkulirwa 20:1, 2) Eddiini ez’obulimba teziribaawo okuwa ekifaananyi ekibi ku Yakuwa wamu n’okwawulayawula abantu. Abaweereza ba Katonda ow’amazima tebaliddamu kuyisibwa bubi bantu bannaabwe abaliba mu buyinza. Nga baliba n’eddembe lya kitalo!

12. Abantu bonna bannaggibwako batya ekibi?

12 ‘Ng’Omwana gw’endiga aggyawo ebibi by’ensi,’ Yesu ajja kukozesa ssaddaaka ye okuggyawo ebibi by’abantu. (Yokaana 1:29) Yesu bwe yali ku nsi, era n’asonyiwa ebibi by’omuntu, yamuwonyanga. (Matayo 9:1-7; 15:30, 31) Mu ngeri y’emu, Kristo Yesu, nga Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda obw’omu ggulu, ajja kuwonya abazibe b’amaaso, bakiggala, abalema, abalalu, n’abalina endwadde endala. (Okubikkulirwa 21:3, 4) Abawulize bonna bajja kusumululwa mu ‘tteeka ly’ekibi,’ mu ngeri eyo, ebirowoozo byabwe n’ebikolwa byabwe bibe nga bisanyusa bo bennyini awamu ne Katonda. (Abaruumi 7:21-23) Ku nkomerero y’Emyaka Olukumi, bajja kuba nga batuukiridde, nga bali mu ‘kifaananyi’ kya Katonda omu ow’amazima.​—Olubereberye 1:26.

13. Ku nkomerero y’Obufuzi bw’Emyaka Olukumi, kiki Kristo ky’alikola, era kiki ekirivaamu?

13 Kristo bw’alimala okufuula abantu abatuukirivu, ajja kuddiza Kitaawe obuyinza bwe yamuwa: “[A]liwaayo obwakabaka eri Katonda ye Kitaawe; bw’aliba ng’amaze okuggyawo okufuga kwonna n’amaanyi gonna n’obuyinza. Kubanga kimugwanira okufuganga okutuusa lw’alissa abalabe be bonna wansi w’ebigere bye.” (1 Abakkolinso 15:24, 25) Obufuzi bw’Obwakabaka obw’Emyaka Olukumi buliba bumaze okutuukiriza ekigendererwa kyabwo mu bujjuvu; n’olwekyo kiriba tekikyetaagisa gavumenti etabaganya Yakuwa n’abantu. Era okuva ekibi n’okufa bwe biriba biggiddwawo ddala era n’abantu nga banunuddwa, kiriba tekikyetaagisa Yesu kubeera Mununuzi. Baibuli ennyonnyola: “Omwana yennyini n’alyoka assibwa wansi w’oyo eyassa byonna wansi we, Katonda alyoke abeerenga byonna mu byonna.”​—1 Abakkolinso 15:28.

14. Abantu bonna abatuukiridde baliweebwa ki, era lwaki?

14 Oluvannyuma lw’ekyo, abantu abatuukiridde bajja kuweebwa omukisa okulaga nti baagala okuweereza Katonda omu ow’amazima emirembe gyonna. N’olwekyo, nga tannabakkiriza mu bujjuvu ng’abaana be, Yakuwa ajja kuwa abantu abo abatuukiridde ekigezo eky’enkomerero. Setaani ne balubaale be bajja kusumululwa okuva mu bunnya obutakoma. Kino tekijja kuba kya kabi eri abo abaagala Yakuwa. Naye abo bonna abalijeemera Yakuwa balizikirizibwa, awamu n’omujeemu eyasooka ne balubaale be.​—Okubikkulirwa 20:7-10.

15. Mbeera ki eriddamu okubaawo mu bitonde bya Yakuwa byonna ebitegeera?

15 Oluvannyuma lw’ekyo, abantu bonna abatuukiridde abalisigala nga beesigwa eri obufuzi bwa Katonda mu kigezo eky’enkomerero, Yakuwa ajja kubafuula abaana be mu bujjuvu. Okuva ku kiseera ekyo n’okweyongerayo, bajja kubeera n’eddembe ery’abaana ba Katonda mu bujjuvu ng’ab’omu maka ge ag’obutonde bwonna. Ebitonde byonna ebitegeera mu ggulu ne ku nsi biriddamu nate okuba obumu mu kusinza Katonda omu ow’amazima. Ekigendererwa kya Yakuwa kiriba kituukiriziddwa! Oyagala okubeera omu ku b’omu maka ago ag’obutonde bwonna, amasanyufu era ag’olubeerera? Bwe kiba bwe kityo, tukusaba okugoberera Baibuli ky’eyogera mu 1 Yokaana 2:17: “Ensi eggwaawo, n’okwegomba kwayo; naye akola Katonda by’ayagala abeerera emirembe egitaggwaawo.”

Eby’Okwejjukanya

• Ng’obujeemu tebunnabaawo mu Adeni, nkolagana ki abasinza ba Yakuwa gye baa- lina naye?

• Abaweereza ba Katonda balina buvunaanyizibwa ki?

• Baani abalala abalifuuka abaana ba Katonda, era kino kikwatagana kitya n’ekigendererwa kya Yakuwa eky’okubeera obumu mu kusinza?

[Ebibuuzo]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 190]

Abantu abawulize bajja kunyumirwa obulamu mu lusuku lwa Katonda ku nsi