Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ekyo Kye Tuyigira ku Katonda Okuba nti Akyaleseewo Obubi

Ekyo Kye Tuyigira ku Katonda Okuba nti Akyaleseewo Obubi

Essuula Eyomusanvu

Ekyo Kye Tuyigira ku Katonda Okuba nti Akyaleseewo Obubi

1, 2. (a) Singa Yakuwa yazikiririzaawo abajeemu mu Adeni, twandikwatiddwako tutya? (b) Nteekateeka ki ez’okwagala Yakuwa z’atukoledde?

“ENNAKU ez’emyaka egy’obulamu bwange . . . ntono era mbi,” bw’atyo Yakobo omusajja ow’edda ennyo bwe yayogera. (Olubereberye 47:9) Mu ngeri y’emu, Yobu yagamba nti omuntu ‘tabeerawo nnaku nnyingi era obulamu bwe bujjudde obuyinike.’ (Yobu 14:1) Okubafaananako, abasinga obungi ku ffe tufunye ebizibu, tuyisiddwa mu ngeri etali ya bwenkanya oba tutuukiddwako obutyabaga. Wadde kiri bwe kityo, okuzaalibwa kwaffe tekutegeeza nti Katonda si mwenkanya. Kyo kituufu nti tetutuukiridde mu birowoozo ne mu mubiri era tetuli mu Lusuku lwa Katonda Adamu ne Kaawa lwe baalimu mu kusooka. Naye kyandibadde kitya singa Yakuwa yabazikiririzaawo nga bajeemye? Ng’oggyeko okuba nti tewandibaddewo kulwala, nnaku, oba okufa, naye era n’olulyo lw’omuntu terwandibaddewo. Kwe kugamba tetwandizaaliddwa. Naye olw’ekisa kye, Katonda yakkiriza Adamu ne Kaawa okuzaala abaana, wadde ng’abaana baasikira obutali butuukirivu. Era, okuyitira mu Kristo, Yakuwa yakola enteekateeka tusobole okufuna ekyo Adamu kye yatufiiriza: obulamu obutaggwaawo mu lusuku lwa Katonda ku nsi.​—Yokaana 10:10; Abaruumi 5:12.

2 Nga kituzzaamu nnyo amaanyi okuba n’essuubi ery’okubeerawo emirembe gyonna mu nsi empya, omutaliba kulwala, nnaku, bulumi, kufa wadde abantu ababi! (Engero 2:21, 22; Okubikkulirwa 21:4, 5) Okuva mu Baibuli tuyiga nti wadde okulokolebwa kwaffe kukulu nnyo gye tuli n’eri Yakuwa, waliwo ekintu ekisingawo n’obukulu ekizingirwamu.

Olw’Erinnya Lye Ekkulu

3. Kiki ekikwatibwako mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Yakuwa eri ensi n’abantu?

3 Erinnya lya Katonda likwatibwako mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kye ekikwata ku nsi n’abantu. Erinnya Yakuwa litegeeza, “Asobozesa Ebintu Okubaawo.” N’olwekyo, erinnya lye lyoleka obuyinza bwe ng’Omufuzi w’Obutonde Bwonna, oyo Ategeka era n’Atuukiriza ebigendererwa bye, era Katonda ow’amazima. Olw’ekifo kya Yakuwa ng’omufuzi ow’oku ntikko, ebitonde byonna birina okussa ekitiibwa mu linnya lye n’ekyo kye lizingiramu, era n’okumugondera bwe biba eby’okubeera mu mirembe era obulungi.

4. Ekigendererwa kya Yakuwa eri ensi kyali kizingiramu ki?

4 Oluvannyuma lw’okutonda Adamu ne Kaawa, Yakuwa yabawa omulimu ogw’okukola. Yakiraga bulungi nti ekigendererwa kye tekyali bo okugaziya obugaziya Olusuku lwe okubuna ensi yonna kyokka, naye era n’okugijjuza abaana baabwe. (Olubereberye 1:28) Ekigendererwa kino kyandigudde butaka olw’ekibi kyabwe? Nga kyandireese ekivume kya maanyi ku linnya lya Yakuwa omuyinza w’ebintu byonna singa yandiremereddwa okutuukiriza ekigendererwa kye ekikwata ku nsi eno n’abantu!

5. (a) Ddi abantu abaasooka lwe bandifudde nga balidde ku muti ogw’okumanya obulungi n’obubi? (b) Mu ngeri ki Yakuwa gye yatuukirizaamu bye yayogera mu Olubereberye 2:17 naye ate n’atusuula muguluka kigendererwa kye eri ensi?

5 Yakuwa yalabula Adamu ne Kaawa nti singa bandijeemye ne balya ku muti ogw’okumanya obulungi n’obubi, bandifudde ‘ku lunaku’ lwe bandiguliddeko. (Olubereberye 2:17) Ng’atuukiriza kye yayogera, yabasalira omusango ogw’okufa ku lunaku lwennyini lwe baayonoona. Okusinziira ku ndaba ya Katonda, Adamu ne Kaawa baafa ku lunaku olwo lwennyini. Kyokka, okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye ekikwata ku nsi, Yakuwa yabakkiriza okuzaala abaana nga tebannafa. Wadde kyali kityo, okuva emyaka 1,000 bwe giri ng’olunaku olumu mu maaso ga Katonda, Adamu bwe yafa ku myaka 930, yafiira mu ‘lunaku’ lumu. (2 Peetero 3:8; Olubereberye 5:3-5) Bwe kityo, Yakuwa kye yayogera ku kiseera mwe bandibonerezeddwa kyatuukirira, ate era n’ekigendererwa kye eri ensi tekyagwa butaka bwe baafa. Naye, abantu abatatuukiridde, nga mw’otwalidde n’ababi, bakyalekeddwawo nga balamu.

6, 7. (a) Okusinziira ku Okuva 9:15, 16, lwaki Yakuwa akyaleseewo obubi? (b) Ku bikwata ku Falaawo, amaanyi ga Yakuwa gaalagibwa gatya, era erinnya Lye lyamanyika litya? (c) Kiki ekinaabaawo ng’embeera zino embi ziggiddwawo?

6 Ekyo Yakuwa kye yagamba omufuzi wa Misiri mu kiseera kya Musa kyongera okulaga lwaki Katonda akyaleseewo obubi. Falaawo bw’atakkiriza baana ba Isiraeri kuva mu Misiri, Yakuwa teyamuzikiririzaawo. Yakuwa yaleeta Ebibonoobono kkumi ku ggwanga eryo, ne kiraga amaanyi ge mu ngeri ezeewuunyisa. Bwe yali anaatera okuleeta ekibonoobono eky’omusanvu, yategeeza Falaawo nti yandisobodde okumuzikiriza awamu n’abantu be okuva ku nsi. Bw’ati Yakuwa bwe yamugamba: “Naye ddala mazima kyenvudde [nkuleka ng’oli mulamu] okukulaga amaanyi gange ggwe, era [olw’]erinnya lyange okubuulirwa mu nsi zonna.”​—Okuva 9:15, 16.

7 Yakuwa bwe yanunula Abaisiraeri, mazima ddala erinnya lye lyamanyika nnyo. (Yoswa 2:1, 9-11) Leero, oluvannyuma lw’emyaka nga 3,500, kye yakola mu kiseera ekyo kikyajjukirwa bulungi. Ng’oggyeko erinnya lya Yakuwa okumanyika, n’amazima agamukwatako nago gaamanyika. Kino kyalaga nti Yakuwa ye Katonda atuukiriza ebisuubizo bye era abaako ky’akola ku lw’abaweereza be. (Yoswa 23:14) Kyalaga nti olw’amaanyi ge amangi ennyo, tewali kyonna kiyinza kuziyiza kigendererwa kye. (Isaaya 14:24, 27) N’olwekyo, tuyinza okuba abakakafu nti mangu ddala ajja kubaako ky’akola ku lw’abaweereza be abeesigwa ng’azikiriza enteekateeka ya Setaani yonna embi. Ekikolwa ekyo ekiryolesa amaanyi ga Yakuwa awamu n’ekitiibwa kye kirireeta ku linnya lye tebigenda kwerabirwa. Emiganyulo egirivaamu tegigenda kukoma.​—Ezeekyeri 38:23; Okubikkulirwa 19:1, 2.

‘Amagezi Ga Katonda nga Mangi Nnyo!’

8. Nsonga ki Pawulo gy’atukubiriza okulowoozaako?

8 Mu bbaluwa gye yawandiikira Abaruumi, omutume Pawulo abuuza ekibuuzo: “Obutali butuukirivu buli eri Katonda?” Addamu nti: ‘Tekiyinzika n’akamu.’ Awo n’ayogera ku busaasizi bwa Katonda era n’ensonga lwaki Yakuwa teyazikiririzaawo Falaawo. Era Pawulo agamba nti abantu balinga ebbumba mu mukono gw’omubumbi. Awo n’alyoka agattako: “Kiki, oba nga Katonda bwe yayagala okulaga obusungu bwe, n’okumanyisa obuyinza bwe, yagumiikiriza n’okulindirira ennyo ebibya eby’obusungu ebyateekerwateekerwa okuzikirira: alyoke amanyise obugagga obw’ekitiibwa kye ku bibya eby’okusaasirwa, bye yateekerateekera edda ekitiibwa, ye ffe, n’okuyita be yayita, si mu Bayudaaya bokka, era naye ne mu b’amawanga?”​—Abaruumi 9:14-24.

9. (a) ‘Ebibya eby’obusungu ebyateekerwateekerwa okuzikirizibwa’ bye biruwa? (b) Lwaki Yakuwa alaze obugumiikiriza obw’amaanyi eri abamuziyiza, era kino kinaaganyula kitya abo abamwagala?

9 Okuva obujeemu bwe bwaliwo mu Adeni, abo bonna abaze baziyiza Yakuwa n’amateeka ge babadde ‘bibya eby’obusungu ebyateekerwateekerwa okuzikirizibwa.’ Okuva ku olwo, Yakuwa alaze obugumiikiriza. Ababi banyoomye amakubo ge, bayigganyizza abaweereza be, era ne batta n’Omwana we. Olw’obugumiikiriza obw’amaanyi, Yakuwa aleseewo ekiseera ekimala obutonde bwonna bulabe bulungi ebibi ebivudde mu kumujeemera n’obufuzi bw’abantu obwa kyetwala. Mu kiseera kye kimu, okufa kwa Yesu kwateekawo enteekateeka ey’okununula abantu abawulize ‘n’okumenya ebikolwa bya Setaani.’​—1 Yokaana 3:8; Abaebbulaniya 2:14, 15.

10. Lwaki Yakuwa agumiikirizza ababi okumala emyaka 1,900 egiyise?

10 Mu myaka egisukka mu 1,900 egiyiseewo kasookedde Yesu azuukizibwa, Yakuwa yeeyongedde okugumiikiriza ‘ebibya eby’obusungu,’ n’atabizikiriza. Lwaki? Olw’okuba abadde ateekateeka abo abanaabeera awamu ne Yesu Kristo mu Bwakabaka obw’omu ggulu. Bano bali 144,000, era bye ‘bibya eby’okusaasirwa,’ omutume Pawulo bye yayogerako. Okusooka, abantu kinnoomu okuva mu ggwanga ly’Abayudaaya baayitibwa okuba mu kibiina kino eky’omu ggulu. Oluvannyuma, Katonda yayita ab’Amawanga. Ku bano tewali Yakuwa gwe yakaka kumuweereza. Abamu ku abo abaasiima enteekateeka ze ez’okwagala yabawa enkizo ey’okufugira awamu n’Omwana we mu Bwakabaka obw’omu ggulu. Okuteekebwateekebwa kw’ekibiina ekyo ekiribeera mu ggulu kumpi kati kuwedde.​—Lukka 22:29; Okubikkulirwa 14:1-4.

11. (a) Kibiina ki ekiganyulwa kati mu bugumiikiriza bwa Yakuwa? (b) Abafu banaaganyulwa batya?

11 Naye kiri kitya eri abo abanaabeera ku nsi? Obugumiikiriza bwa Yakuwa era busobozesezza okukuŋŋaanyizibwa ‘kw’ekibiina ekinene’ okuva mu mawanga gonna. Kati omuwendo gwabwe guli mu bukadde. Yakuwa asuubizza nti ekibiina kino ekinaabeera ku nsi kijja kuwonawo ku nkomerero y’embeera z’ebintu bino era kibe n’essuubi ery’okubeerawo emirembe gyonna mu lusuku lwe ku nsi. (Okubikkulirwa 7:9, 10; Zabbuli 37:29; Yokaana 10:16) Mu kiseera kya Katonda ekigereke, abafu bangi bajja kuzuukizibwa bafune omukisa ogw’okufugibwa Obwakabaka obw’omu ggulu. Ekigambo kya Katonda kyogera bwe kiti mu Ebikolwa 24:15: “Walibaawo okuzuukira kw’abatuukirivu era n’abatali batuukirivu.”​—Yokaana 5:28, 29.

12. (a) Kiki kye tuyize ku Yakuwa olw’okugumiikiriza obubi? (b) Olowooza otya ku ngeri Yakuwa gy’akuttemu ensonga zino?

12 Wabaddewo obutali bwenkanya mu bino byonna? Nedda, kubanga mu butazikiririzaawo babi oba ‘ebibya eby’obusungu,’ Katonda alaga abalala obusaasizi, nga kituukagana n’ekigendererwa kye. Kino kiraga bw’ali omusaasizi era bw’alina okwagala. Era, okulaba engeri ekigendererwa kye gye kituukirizibwamu, kituyigiriza bingi ebikwata ku Yakuwa kennyini. Twewuunya engeri ze ezitali zimu ezeeyoleka, gamba ng’obwenkanya, obusaasizi, obugumiikiriza n’amagezi. Engeri ey’amagezi Yakuwa gy’akuttemu ensonga y’obufuzi bw’obutonde bwonna, kwe kugamba obwannannyini bw’alina okufuga, eraga nti obufuzi bwe bwe businga obulungi. Awamu n’omutume Pawulo tugamba: “Obugagga bwa Katonda n’amagezi ge, n’okumanya kwe nga tebikoma! Emisango gye n’amakubo ge nga tebyenkanyizika!”​—Abaruumi 11:33, NW.

Omukisa Gwe Tulina Okulaga Obwesigwa Bwaffe

13. Okubonaabona kutuwa mukisa ki, era kiki ekijja okutuyamba okweyisa mu ngeri ey’amagezi?

13 Abaweereza ba Katonda bangi babonaabona. Bakyabonaabona kubanga Katonda tannazikiriza babi alyoke aleetere abantu embeera ennungi. Ekyo kyanditunyiizizza? Oba okubonaabona ng’okwo tukutwala ng’okutuwa omukisa okulaga nti Omulyolyomi mulimba? Tuyinza okukola ekyo singa tujjukira ebigambo bino: “Mwana wange, beeranga n’amagezi osanyusenga omutima gwange, ndyokenga nziremu oyo anvuma.” (Engero 27:11) Setaani, oyo avuma Yakuwa, yagamba nti singa abantu bafiirwa ebintu oba singa balwala, bandigambye nti Katonda yabibaleeseeko era ne bamukolimira. (Yobu 1:9-11; 2:4, 5) Tusanyusa omutima gwa Yakuwa bwe tukuuma obwesigwa nga twolekaganye n’ebizibu. Mu ngeri eyo tulaga nti Setaani bye yayogera bya bulimba.

14. Bwe twesiga Yakuwa nga tugezesebwa, tuyinza kufuna miganyulo ki?

14 Singa twesiga Yakuwa nga tugezesebwa, tuyinza okukulaakulanya engeri ez’omuwendo. Ng’ekyokulabirako, olw’okubonaabona Yesu kwe yayitamu, ‘yayiga obuwulize,’ mu ngeri gye yali tamanyangako. Naffe tuyinza okukulaakulanya obugumiikiriza, era ne tweyongera okusiima amakubo ga Yakuwa ag’obutuukirivu okuva mu bigezo ebitutuukako.​—Abaebbulaniya 5:8, 9; 12:11; Yakobo 1:2-4.

15. Bwe tugumira ebizibu, abalala bayinza kuganyulwa batya?

15 Abalala balaba bye tukola. Ebyo ebitutuukako olw’okwagala obutuukirivu, biyinza okuyamba abamu okutegeera Abakristaayo ab’amazima mu kiseera kyaffe. Era bwe batwegattako mu kusinza, baba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo. (Matayo 25:34-36, 40, 46) Yakuwa n’Omwana we baagala abantu okufuna omukisa ogwo.

16. Engeri gye tutunuuliramu ebizibu byaffe erina kakwate ki n’okuba obumu?

16 Nga kiba kirungi nnyo singa embeera enzibu tuzitunuulira ng’omukisa ogw’okulaga obwesigwa bwaffe eri Yakuwa awamu n’okukola by’ayagala! Bwe tukola bwe tutyo, tuwa obujulizi nti ddala twagala okuba obumu ne Katonda ne Kristo. Yesu yasaba Yakuwa ku lw’Abakristaayo bonna ab’amazima, ng’agamba: “Sibasabira bano bokka [abayigirizwa be ab’oku lusegere], naye n’abo abanzikiriza olw’ekigambo kyabwe; bonna babeerenga bumu; nga ggwe, Kitange, bw’oli mu nze, nange mu ggwe, era nabo babeerenga mu ffe.”​—Yokaana 17:20, 21.

17. Kiki kye twandisuubidde singa tubeera beesigwa eri Yakuwa?

17 Bwe tuba abeesigwa eri Yakuwa, ajja kutuwa empeera ey’amaanyi. Ekigambo kye kigamba: “Munywerenga obutasagaasagana, nga mweyongera bulijjo mu mulimu gwa Mukama waffe, kubanga mumanyi ng’okufuba kwammwe si kwa bwereere mu Mukama waffe.” (1 Abakkolinso 15:58) Era kigamba: “Kubanga Katonda mutuukirivu tayinza kwerabira mulimu gwammwe n’okwagala kwe mwalaga eri erinnya lye.” (Abaebbulaniya 6:10) Yakobo 5:11, (NW) lugamba: “Laba! Tubayita ba ssanyu abo abagumiikirizza. Mwawulira ku kugumiikiriza kwa Yobu era mwalaba Yakuwa kye yakola mu nkomerero, nti Yakuwa afaayo nnyo era musaasizi.” Yobu yafuna ki mu nkomerero? “Mukama n’awa omukisa enkomerero ya Yobu okukira entandikwa ye.” (Yobu 42:10-16) Yee, Yakuwa “ye mugabi w’empeera eri abo abamunoonya.” (Abaebbulaniya 11:6) Ng’empeera gy’atusuubiza ya kitalo​—obulamu obutaggwaawo mu lusuku lwe ku nsi!

18. Kiki ekirituuka ku bulumi obw’emabega bwe tulina mu birowoozo?

18 Obwakabaka bwa Katonda bujja kuggyawo ebibi byonna ebitawaanyizza olulyo lw’omuntu mu nkumi n’enkumi z’emyaka egiyise. Essanyu lye tulifuna mu kiseera ekyo lijja kutwerabiza okubonaabona kwonna kwe twolekaganye nakwo kati. Tetujja kujjukira kubonaabona okw’ebiseera ebyayita. Ebirowoozo ebizimba awamu n’emirimu emirungi bye tuliba nabyo mu nsi empya, bijja kutwerabiza obulumi bwonna obw’emabega. Yakuwa agamba: “Ntonda eggulu eriggya [gavumenti empya ey’omu ggulu eneefuga abantu], n’ensi empya [abantu abatuukirivu]: so ebintu ebyasooka tebirijjukirwa so tebiriyingira mu mwoyo. Naye musanyuke mujagulize ennaku zonna ekyo kye ntonda.” Yee, mu nsi ya Yakuwa empya, abatuukirivu bajja kugamba: “Ensi yonna ewumudde, era eteredde: [abantu] babaguka okuyimba.”​—Isaaya 14:7; 65:17, 18.

Eby’Okwejjukanya

• Ng’agumiikiriza obubi, Yakuwa awadde atya erinnya lye ekitiibwa?

• Katonda okugumiikiriza ‘ebibya eby’obusungu’ kimusobozesezza kitya okutulaga ekisa?

• Okubonaabona kwaffe ng’abantu kinnoomu twandikutunuulidde tutya?

[Ebibuuzo]

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 67]

Yakuwa ‘yawa omukisa enkomerero ya Yobu okukira entandikwa ye’