Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ensonga Ffenna Gye Tulina Okwolekagana Nayo

Ensonga Ffenna Gye Tulina Okwolekagana Nayo

Essuula Ey’omukaaga

Ensonga Ffenna Gye Tulina Okwolekagana Nayo

1, 2. (a) Nsonga ki Setaani gye yaleetawo mu Adeni? (b) Ensonga eyo yeeyoleka etya okuva mu ebyo bye yayogera?

OKWATIBWAKO ensonga esingirayo ddala obukulu abantu gye baali boolekaganye nayo. Ebiseera byo eby’omu maaso eby’olubeerera byesigamye ku ngeri gy’ogitunuuliramu. Ensonga eyo yajjawo obujeemu bwe bwabalukawo mu Adeni. Mu kiseera ekyo, Setaani yabuuza Kaawa: “Bw’atyo bwe yayogera Katonda nti Temulyanga ku miti gyonna egy’omu lusuku?” Kaawa yaddamu nti ku bikwata ku muti ogumu Katonda yagamba: “Temugulyangako . . . muleme okufa.” Awo Setaani n’agamba nti Yakuwa yali alimba kubanga obulamu bwa Kaawa wadde obwa Adamu, bwali tebwesigamye ku buwulize bwabwe eri Katonda. Setaani yagamba nti waaliwo ekintu ekirungi Katonda kye yali akwese ebitonde bye​—obusobozi bw’okweteerawo emitindo egy’okugoberera mu bulamu bwabwe. Setaani yagamba: “Katonda amanyi nti olunaku lwe muligulyako mmwe, amaaso gammwe lwe galizibuka, nammwe muliba nga Katonda okumanyanga obulungi n’obubi.”​—Olubereberye 3:1-5.

2 Mu ngeri endala, Setaani yali agamba nti abantu bandibadde bulungi okusingawo nga beesalirawo bokka mu kifo ky’okugondera amateeka ga Katonda. Bwe kityo yawakanya engeri Katonda gy’afugamu. Kino kyaleetawo ensonga enkulu ennyo ekwata ku bufuzi bwa Katonda obw’obutonde bwonna, kwe kugamba, obanga y’alina obuyinza okufuga. Ekibuuzo kino kyajjawo: Kiki ekyandisinzeeko obulungi, obufuzi bwa Yakuwa oba obw’abantu? Yakuwa yandisobodde okuzikiriza Adamu ne Kaawa embagirawo, naye ekyo tekyandigonjodde nsonga ya bufuzi bwe mu ngeri ematiza. Ng’aleka abantu okwefuga okumala ekiseera kiwanvu, Katonda yandiraze ekyandivudde mu kwewaggula ku bufuzi bwe n’amateeka ge.

3. Nsonga ki ey’okubiri Setaani gye yaleetawo?

3 Setaani okuwakanya obufuzi bwa Yakuwa tekwakoma ku ekyo ekyaliwo mu Adeni. Era yabuusabuusa obwesigwa abalala bwe baalina eri Yakuwa. Eno ye nsonga ey’okubiri gye yaleetawo. Yali ezingiramu ezzadde lya Adamu ne Kaawa awamu n’abaana ba Katonda ab’omwoyo, nga mw’otwalidde n’Omwana wa Yakuwa omubereberye gw’ayagala ennyo. Ng’ekyokulabirako, mu nnaku za Yobu, Setaani yagamba nti abo abaweereza Yakuwa, bakikola nga beenoonyeza byabwe so si olw’okuba bamwagala awamu n’engeri gy’afugamu. Yagamba nti bwe bandifunye ebizibu, bonna bandikoze ekyo omutima gwabwe kye gwagala.​—Yobu 2:1-6; Okubikkulirwa 12:10.

Ebyafaayo Kye Biraze

4, 5. Ebyafaayo bikakasizza ki ku bikwata ku bantu okuluŋŋamya ebigere byabwe?

4 Ekintu ekikulu ennyo mu nsonga y’obufuzi kiri nti: Katonda teyatonda bantu nga balina obusobozi bw’okwefuga bokka. Baakolebwa nga balina okugoberera amateeka ge ag’obutuukirivu. Nnabbi Yeremiya yagamba: “Ai Mukama, mmanyi ng’ekkubo ery’omuntu teriri mu ye yennyini: tekiri mu muntu atambula okuluŋŋamyanga ebigere bye. Ai Mukama, ombuulir[ir]e.” (Yeremiya 10:23, 24) N’olwekyo, Ekigambo kya Katonda kikubiriza: “Weesigenga Mukama n’omutima gwo gwonna. So teweesigamanga ku kutegeera kwo ggwe.” (Engero 3:5) Nga Katonda bwe yatonda abantu nga beetaaga okugoberera amateeka ag’omu butonde okusobola okubeera abalamu, era yassaawo n’amateeka agakwata ku mpisa, agandisobozeseza abantu okubeera obumu nga bagagoberedde.

5 Kya lwatu, Katonda yamanya nti abantu baali tebasobola kwefuga bokka. Nga bagezaako okwewaggula ku bufuzi bwa Katonda, abantu bataddewo enteekateeka ez’enjawulo ez’eby’obufuzi, ez’eby’enfuna, n’ez’eby’eddiini. Enteekateeka ezo ez’enjawulo zireetedde abantu enkaayana, ekiviiriddeko ebikolwa eby’obukambwe, entalo, n’okufa. ‘Omuntu abadde n’obuyinza ku mulala olw’okumukola obubi.’ (Omubuulizi 8:9) Ekyo kyennyini kye kibaddewo mu byafaayo by’omuntu. Nga bwe kyalagulwa mu Kigambo kya Katonda, abantu ababi n’abalimba ‘beeyongedde obubi.’ (2 Timoseewo 3:13) Ate mu kyasa 20, abantu mwe bakoledde ebintu eby’ekitalo mu sayansi n’eby’amakolero, mwe mubadde ebizibu ebisingiddeyo ddala okuba eby’amaanyi. Ebigambo ebiri mu Yeremiya 10:23 bikakasiddwa ddala. Abantu tebaatondebwa nga basobola okuluŋŋamya ebigere byabwe.

6. Mangu ddala Katonda anaakomya atya obufuzi bw’abantu?

6 Ebizibu eby’amaanyi abantu bye bafunye olw’okwewaggula ku Katonda, biraze bulungi nti abantu tebasobola kwefuga bokka ne baba bulungi. Obufuzi bwa Katonda bwe bwokka obuyinza okuleeta essanyu, obumu, n’obulamu obulungi. Era Ekigambo kya Katonda kiraga nti Yakuwa anaatera okukomya obufuzi bw’abantu. (Matayo 24:3-14; 2 Timoseewo 3:1-5) Mangu ddala, ajja kuyingira mu nsonga z’abantu ateekewo obufuzi bwe ku nsi. Obunnabbi bwa Baibuli bugamba: “Mu mirembe gya bakabaka abo [obufuzi bw’abantu obuliwo kati], Katonda ow’eggulu alissaawo obwakabaka [mu ggulu], obutalizikirizibwa emirembe gyonna, so n’okufuga kwabwo tekulirekerwa ggwanga ddala [abantu tebaliddamu kufuga nsi]: naye bulimenyaamenya era bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna [obuliwo leero], era bunaabeereranga emirembe gyonna.”​—Danyeri 2:44.

Okuwonawo Okuyingira mu Nsi Empya

7. Obufuzi bwa Katonda bwe buliggyawo obw’abantu, baani abaliwonawo?

7 Obufuzi bwa Katonda bwe buliggyawo obw’abantu, baani abaliwonawo? Baibuli eddamu: “Abagolokofu [abo abawagira obufuzi bwa Katonda] banaabeeranga mu nsi, n’abo aba[a]tuukirira balisigala omwo. Naye ababi [abatawagira bufuzi bwa Katonda] balimalibwawo okuva mu nsi, n’abo abasala enkwe balisimbulirwamu ddala.” (Engero 2:21, 22) Mu ngeri y’emu omuwandiisi wa Zabbuli yagamba: “Waliba akaseera katono, n’omubi talibeerawo. . . . Abatuukirivu balisikira ensi, banaagibeerangamu emirembe gyonna.”​—Zabbuli 37:10, 29.

8. Katonda anaalaga atya nti y’agwanidde okufuga?

8 Oluvannyuma lw’okuzikiriza enteekateeka ya Setaani, Katonda ajja kuleeta ensi empya, ejja okumalirawo ddala ebikolwa eby’obukambwe, entalo, obwavu, okubonaabona, obulwadde, n’okufa, ebibonyaabonyezza ennyo abantu okumala enkumi n’enkumi z’emyaka. Baibuli ennyonnyola bulungi ebintu ebirungi abantu abawulize bye balindirira: “[Katonda] alisangula buli zziga mu maaso gaabwe; era okufa tekulibaawo nate; so tewaabengawo nate nnaku newakubadde okukaaba newakubadde okulumwa: eby’olubereberye biweddewo.” (Okubikkulirwa 21:3, 4) Okuyitira mu Bwakabaka bwe obukulemberwa Kristo, Katonda ajja kukiraga nti y’alina okuba Omufuzi waffe.​—Abaruumi 16:20; 2 Peetero 3:10-13; Okubikkulirwa 20:1-6.

Engeri Gye Baalagamu Oludda Lwe Baaliko mu Nsonga y’Obufuzi

9. (a) Abo ababadde abeesigwa eri Yakuwa batutte batya ekigambo kye? (b) Nuuwa yalaga atya nti yali mwesigwa, era tuyinza tutya okuganyulwa mu kyokulabirako kye?

9 Mu byafaayo byonna, wabaddewo abasajja n’abakazi ababadde abeesigwa eri Yakuwa era abamututte okuba Omufuzi waabwe. Baakimanya nti obulamu bwabwe bwali bwesigamye ku kumuwuliriza n’okumugondera. Nuuwa y’omu ku abo. Katonda yagamba Nuuwa: “Enkomerero ya buli ekirina omubiri etuuse mu maaso gange. . . . Weekolere eryato.” Nuuwa yagondera ekiragiro kya Yakuwa. Wadde nga baalabulwa, abantu abalala abaaliwo mu kiseera ekyo beeyisa ng’abatamanyi kyali kigenda kubaawo. Kyokka, Nuuwa yazimba eryato eddene ennyo era n’anyiikirira omulimu gw’okubuulira abalala ku makubo ga Yakuwa ag’obutuukirivu. Ebyawandiikibwa bigamba: “Nuuwa n’akola bw’atyo; nga byonna Katonda bye yamulagira bw’atyo bwe yakola.”​—Olubereberye 6:13-22; Abaebbulaniya 11:7; 2 Peetero 2:5.

10. (a) Ibulayimu ne Saala baawagira batya obufuzi bwa Yakuwa? (b) Tuyinza tutya okuganyulwa mu kyokulabirako kya Ibulayimu ne Saala?

10 Ibulayimu ne Saala nabo baateekawo ekyokulabirako ekirungi eky’okuwagira obufuzi bwa Yakuwa, nga bakola byonna bye yabalagira. Baali babeera mu Uli eky’Abakaludaaya, ekibuga ekyalimu eby’obugagga obungi. Naye Yakuwa bwe yagamba Ibulayimu okugenda mu nsi endala gye yali tamanyi, Ibulayimu ‘yagenda nga Yakuwa bwe yamugamba.’ Awatali kubuusabuusa embeera y’obulamu Saala gye yalimu yali nnungi: yalina amaka ge, mikwano gye, n’ab’eŋŋanda ze. Kyokka, yagondera Yakuwa n’omwami we, n’agenda mu nsi ya Kanani, wadde nga yali tamanyi mbeera gye yali agenda kusangayo.​—Olubereberye 11:31–12:4; Ebikolwa 7:2-4.

11. (a) Musa yawagira obufuzi bwa Yakuwa ng’ali mu mbeera ki? (b) Ekyokulabirako kya Musa kiyinza kitya okutuganyula?

11 Musa ye muntu omulala eyawagira obufuzi bwa Yakuwa. Era ekyo yakikola mu mbeera enzibu ennyo, ng’ayolekagana ne Falaawo mu Misiri maaso ku maaso. Musa teyali muntu eyeekakasa ennyo. Mu butuufu, yali abuusabuusa oba nga asobola okwogera obulungi. Naye yagondera Yakuwa. Ng’awagirwa Yakuwa era ng’ayambibwako muganda we Alooni, enfunda n’enfunda Musa yategeeza Falaawo ow’amawaggali ekigambo kya Yakuwa. N’abamu ku baana ba Isiraeri baavumirira nnyo Musa. Kyokka, Musa yakola byonna Yakuwa bye yamulagira, era okuyitira mu ye, Isiraeri yanunulwa okuva mu Misiri.​—Okuva 7:6; 12:50, 51; Abaebbulaniya 11:24-27.

12. (a) Kiki ekiraga nti obwesigwa eri Yakuwa tebukoma ku kukola ekyo kyokka kye yateeka mu buwandiike? (b) Okutegeera obwesigwa obw’ekika kino kituyamba kitya okugoberera 1 Yokaana 2:15?

12 Abo abaali abeesigwa eri Yakuwa tebaakitwala nti Yakuwa yali abeetaaza kugondera ebyo byokka bye yali atadde mu buwandiike. Mukyala wa Potifali bwe yagezaako okusendasenda Yusufu okwetaba naye, tewaaliwo kiragiro kyonna mu buwandiike okuva eri Katonda ekyali kigaana obwenzi. Kyokka, Yusufu yali amanyi ku nteekateeka y’obufumbo Yakuwa gye yatandikawo mu Adeni. Yali akimanyi nti okwetaba ne muka musajja tekyandisanyusizza Katonda. Yusufu yali tayagala kugezesa Katonda alabe wa gye yandikomye okumuleka okubeera ng’Abamisiri. Yanywerera ku makubo ga Yakuwa ng’afumiitiriza ku ngeri gye yakolaganamu n’abantu ate oluvannyuma n’akola ekyo Katonda kye yali ayagala.​—Olubereberye 39:7-12; Zabbuli 77:11, 12.

13. Omulyolyomi yalagibwa atya okubeera omulimba ku bikwata (a) ku Yobu? (b) ku Bebbulaniya abasatu?

13 Ne bwe bafuna okugezesebwa okw’amaanyi ennyo, abo abamanyi Yakuwa tebamuvaako. Setaani yagamba nti singa Yobu yafiirwa eby’obugagga bingi bye yalina, oba singa yafuna obulwadde obw’amaanyi, naye yandyabulidde Katonda, wadde nga Katonda yali amwogeddeko bulungi. Kyokka Yobu yalaga nti Omulyolyomi yali mulimba, wadde nga Yobu kennyini teyamanya lwaki ebizibu byamujjira. (Yobu 2:9, 10) Nga wayiseewo ebyasa by’emyaka, ng’akyagezaako okukakasa ekyo kye yagamba, Setaani yaleetera kabaka wa Babulooni okutiisatiisa okutta abavubuka basatu Abebbulaniya singa tebaasinza kifaananyi kyole kye yateekawo. Baakiraga nti baali baweereza Yakuwa era nti ye yali Omufuzi waabwe ow’Oku Ntikko bwe baalondawo okugondera etteeka lye erigaana okusinza ebifaananyi, mu kifo ky’ekiragiro kya Kabaka. Okubeera abeesigwa eri Katonda baakitwala nga kya muwendo nnyo okusinga obulamu bwabwe!​—Danyeri 3:14-18.

14. Kisoboka kitya ffe abantu abatatuukiridde okulaga nti ddala tuli beesigwa eri Yakuwa?

14 Okusinziira ku byokulabirako ebyo, tuyinza okugamba nti okubeera omwesigwa eri Yakuwa omuntu alina kubeera ng’atuukiridde, era nti oyo akola ensobi aba alemereddwa ddala? N’akatono! Baibuli etutegeeza nti emirundi egimu Musa yakola ensobi. Wadde ng’ekyo Yakuwa tekyamusanyusa, teyayabulira Musa. Abatume ba Yesu Kristo nabo baalina obunafu bwabwe. Olw’okuba akimanyi nti twasikira obutali butuukirivu, Yakuwa asanyuka bwe tutabuusa maaso ekyo ky’ayagala mu bugenderevu. Singa olw’obunafu tukola ensobi, kikulu nnyo okwenenya mu bwesimbu era ne tutaddamu nsobi eyo. Mu ngeri eno tulaga nti twagalira ddala ekyo Yakuwa ky’agamba nti kirungi era ne tukyawa ekibi. Olw’okukkiririza mu ssaddaaka ya Yesu etangira ebibi, tuyinza okusiimibwa mu maaso ga Katonda.​—Amosi 5:15; Ebikolwa 3:19; Abaebbulaniya 9:14.

15. (a) Ani mu bantu bonna eyakuuma obugolokofu eri Katonda mu ngeri etuukiridde, era ekyo kyakakasa ki? (b) Tuganyulwa tutya mu ebyo Yesu bye yakola?

15 Wadde nga kiri kityo, kyandiba nti abantu tebayinza kuba bawulize eri obufuzi bwa Yakuwa mu ngeri etuukiridde? Eky’okuddamu, kyali nga ‘ekyama ekitukuvu’ okumala emyaka nga 4,000. (1 Timoseewo 3:16) Wadde Adamu yatondebwa ng’atuukiridde, teyassaawo kyakulabirako kituukiridde mu kwemalira ku Katonda. Kati olwo ani yandikikoze? Kya lwatu tewali n’omu ku zzadde lye eryonoonyi. Omuntu yekka eyasobola okukikola yali Yesu Kristo. (Abaebbulaniya 4:15) Ekyo Yesu kye yakola kyakakasa nti ne Adamu, yandisobodde okusigala nga mwesigwa singa yali ayagadde. Ensobi teyali mu mulimu gwa Yakuwa ogw’okutonda. N’olwekyo, Yesu Kristo kye kyokulabirako kye tuteekwa okukoppa mu kugondera amateeka ga Katonda era n’okwemalira ku Yakuwa, Omufuzi w’Obutonde Bwonna.​—Ekyamateeka 32:4, 5.

Ffe Tuli ku Ludda Ki?

16. Lwaki buli kiseera twandibadde bulindaala ku bikwata ku ndowooza gye tulina ku bufuzi bwa Yakuwa?

16 Buli omu ku ffe leero ayolekaganye n’ensonga y’obufuzi bw’obutonde bwonna. Bwe tukiraga mu lujjudde nti tuli ku ludda lwa Yakuwa, Setaani atulumba. Atunyigiriza okuva mu buli nsonda era ajja kweyongera okukola bw’atyo okutuukira ddala ku nkomerero y’embeera z’ebintu zino embi. Tuteekwa okubeera obulindaala buli kiseera. (1 Peetero 5:8) Engeri gye tweyisaamu eraga wa we tuyimiridde ku nsonga enkulu ey’obufuzi bwa Yakuwa n’ey’okubiri ekwata ku bwesigwa bwaffe eri Katonda nga tugezesebwa. Kyandibadde kya kabi singa tutwala obutali bwesigwa ng’ekintu ekitali kikulu kubanga bucaase mu nsi. Okusobola okubeera abagolokofu, kitwetaagisa okufuba okugoberera amakubo ga Yakuwa ag’obutuukirivu mu nsonga zonna ez’obulamu bwaffe.

17. Kiki ekimanyiddwa ku nsibuko y’obulimba n’obubbi ekyandituleetedde okubyesamba?

17 Ng’ekyokulabirako, tetusaanidde kukoppa Setaani, ‘kitaawe w’obulimba.’ (Yokaana 8:44) Tuteekwa okuba ab’amazima mu buli kintu. Mu nsi ya Setaani, abavubuka tebatera kwogera mazima eri bazadde baabwe. Naye abavubuka Abakristaayo ekyo bakyewala, era mu ngeri eyo ne balaga nti Setaani yalimba bwe yagamba nti abantu ba Katonda tebandikuumye bwesigwa nga bagezesebwa. (Yobu 1:9-11; Engero 6:16-19) Ate waliwo ebikolwa ebimu mu bizineesi ebiyinza okukwataganya omuntu ne ‘kitaawe w’obulimba’ mu kifo kya Katonda ow’amazima. Ebikolwa ng’ebyo tubyesamba. (Mikka 6:11, 12) Era, n’obubbi tebukkirizibwa, wadde ng’omuntu ali mu bwetaavu, oba nga gw’abbyeko ebintu mugagga. (Engero 6:30, 31; 1 Peetero 4:15) Ka kibe ng’abantu abasinga obungi bakikola, oba ng’ekitwaliddwa kitono nnyo, okubba kumenya amateeka ga Katonda.​—Lukka 16:10; Abaruumi 12:2; Abeefeso 4:28.

18. (a) Ku nkomerero y’Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi, abantu bonna balyolekagana na kigezo ki? (b) Kiki kye twandikoze kati?

18 Mu Myaka Olukumi egy’Obufuzi bwa Kristo, Setaani ne balubaale be bajja kuba mu bunnya obutakoma, nga tebasobola kubuzaabuza bantu. Ng’obwo bulibeera buweerero bwa maanyi! Naye, oluvannyuma lw’emyaka olukumi, bajja kusumululwa okumala akaseera katono. Setaani n’abo abamugoberera bajja kusendasenda abantu abanaaba basigadde nga beesigwa eri Katonda. (Okubikkulirwa 20:7-10) Bwe tunaaba abalamu mu kiseera ekyo, tunaasalawo kubeera ku ludda ki ku bikwata ku nsonga y’obufuzi bw’obutonde bwonna? Okuva abantu bonna bwe baliba nga batuukiridde mu kiseera ekyo, ekikolwa kyonna eky’obutali bwesigwa kiriba kikoleddwa mu bugenderevu era kiriviirako omuntu oyo ayonoonye okuzikiririzibwa ddala. Nga kikulu nnyo okugoberera obulagirizi bwonna Yakuwa bw’atuwa kati okuyitira mu Kigambo kye oba mu kibiina kye! Bwe tukola bwe tutyo, tulaga nti tumwemaliddeko ddala ng’Omufuzi w’Obutonde Bwonna.

Eby’Okwejjukanya

• Nsonga ki enkulu ffenna gye tulina okwoleka- gana nayo? Twajja tutya okukwatibwako ensonga eno?

• Mu ngeri ki abasajja n’abakazi ab’edda gye baala- gamu obwesigwa bwabwe eri Yakuwa?

• Lwaki kikulu nnyo ffe okugulumiza Yakuwa mu ngeri gye tweyisaamu buli lunaku?

[Ebibuuzo]