Kkiriza Okubuulirirwa n’Okukangavvulwa
Essuula Ey’ekkumi N’etaano
Kkiriza Okubuulirirwa n’Okukangavvulwa
1. (a) Lwaki ffenna twetaaga okubuulirirwa n’okukangavvulwa? (b) Kibuuzo ki kye tulina okulowoozaako?
“MU BINGI ffenna tusobya,” bw’etyo Baibuli bw’eyogera mu Yakobo 3:2. Tuyinza okulowooza ku mirundi emingi lwe tulemereddwa okukola ekyo Ekigambo kya Katonda kye kitukubiriza. N’olwekyo, Baibuli eba ntuufu nnyo bw’egamba nti: “Kkiriza okubuulirirwa n’okukangavvulwa, olyoke obeere n’amagezi mu biseera eby’omu maaso.” (Engero 19:20, NW) Awatali kubuusabuusa tukoze enkyukakyuka mu bulamu bwaffe okusobola okutuukana n’enjigiriza za Baibuli. Naye tweyisa tutya singa Mukristaayo munnaffe atubuulirira ku nsonga emu?
2. Twandikoze ki singa tubuulirirwa?
2 Abamu bafuna kye beekwasa, oba ensonga gye bawabulwako bayinza okugitwala ng’etali nkulu nnyo, oba ensobi bagiteeka ku balala. Naye kyandisinzeeko obulungi okukkiriza okubuulirirwa n’okukugoberera. (Abaebbulaniya 12:11) Kya lwatu, tewali n’omu yandisuubidde balala kubeera batuukirivu, era kiba tekisaanira okubabuulirira olutatadde ku busonga obutonotono oba ku nsonga Baibuli z’erekera buli muntu okwesalirawo ku lulwe. Ate era, kyandiba nti oyo abuulirira teyeetegerezza nsonga zonna ezikwatibwako, n’olwekyo ayinza okutegeezebwa ensonga ezo mu ngeri ey’ekitiibwa. Naye, ka tugambe nti okubuulirira oba okukangavvula okuweereddwa kusaanira era nga kwesigamiziddwa ku Baibuli, olwo nno omuntu yandikozeewo ki?
Ebyokulabirako Bye Twandirowoozezzaako
3, 4. (a) Baibuli erimu biki ebiyinza okutuyamba okubeera n’endowooza entuufu ku kubuulirirwa n’okukangavvula? (b) Kabaka Sawulo yeeyisa atya ng’anenyezeddwa, era biki ebyavaamu?
3 Ekigambo kya Katonda kirimu ebyokulabirako ebiwerako eby’abantu abaabuulirirwa. Emirundi egimu, okubuulirirwa okwo kwagatibwangako n’okukangavvula. Omu ku bantu abo yali Kabaka Sawulo owa Isiraeri. Yalemererwa okugondera Yakuwa ku bikwata ku ggwanga ly’Abamaleki. Abamaleki baali bayisizza bubi abaweereza ba Katonda, era Yakuwa yasala omusango ogw’okuzikiriza Abamaleki bonna wamu n’ebisibo byabwe. Naye Kabaka Sawulo yawonyawo kabaka waabwe n’ebisolo byabwe ebimu ebyali bisingayo okulabika obulungi.—1 Samwiri 15:1-11.
4 Yakuwa yatuma nnabbi Samwiri okunenya Sawulo. Sawulo yeeyisa atya? Yagamba nti yali azikirizza Abamaleki, naye n’amala gawonyawo kabaka waabwe. Kyokka, ekyo Yakuwa si kye yali alagidde. (1 Samwiri 15:20) Sawulo ensobi ey’obutazikiriza bisibo yagezaako okugiteeka ku bantu ng’agamba: “N[n]atya abantu ne ŋŋondera eddoboozi lyabwe.” (1 Samwiri 15:24) Yali asinga kufaayo ku kitiibwa kye, era n’atuuka n’okusaba Samwiri amugulumize mu maaso g’abantu. (1 Samwiri 15:30) Mu nkomerero, Yakuwa yaggyako Sawulo obwakabaka.—1 Samwiri 16:1.
5. Kiki ekyatuuka ku Kabaka Uzziya bwe yagaana okubuulirirwa?
5 Kabaka Uzziya owa Yuda ‘yakola ekitali kituufu mu maaso ga Yakuwa Katonda n’ajja mu yeekaalu ya Yakuwa okwotereza obubaane.’ (2 Ebyomumirembe 26:16, NW) Kyokka, bakabona bokka be baali bakkirizibwa okwotereza obubaane. Kabona omukulu bwe yagezaako okuziyiza Uzziya, kabaka ono yasunguwala nnyo. Kiki ekyabaawo? Baibuli egamba: “Ebigenge ne bifuutuuka mu kyenyi kye . . . kubanga Mukama [yali] amulwazizza. Uzziya kabaka n’ab[a] omugenge okutuusa ku lunaku kwe yafiira.”—2 Ebyomumirembe 26:19-21.
6. (a) Lwaki Sawulo ne Uzziya baagaana okubuulirirwa? (b) Lwaki abantu bagaana okubuulirirwa?
6 Lwaki Sawulo ne Uzziya baakisanga nga kizibu okukkiriza okubuulirirwa? Okusingira ddala gaali malala, nga buli omu yeerowoozaako nnyo ekisukkiridde. Bangi beereetako ennaku olw’amalala. Baalowooza nti okukkiriza okubuulirirwa kiba kitegeeza nti balina ekibabulako, era nti kyonoona erinnya lyabwe. Amalala buba bunafu. Amalala galemesa omuntu okulowooza obulungi era bwe kityo n’agaana okukkiriza obuyambi obumuweebwa Yakuwa okuyitira mu Kigambo Kye n’entegeka Ye. Bwe kityo, Yakuwa alabula: “Amalala gakulembera okuzikirira, n’omwoyo ogwegulumiza gukulembera ekigwo.”—Engero 16:18; Abaruumi 12:3.
Twandikkirizza Okubuulirirwa
7. Kiki kye tuyinza okuyigira ku ngeri Musa gye yeeyisaamu ng’abuuliriddwa?
7 Ebyawandiikibwa birimu ebyokulabirako ebirungi eby’abantu abakkiriza okubuulirirwa, era tuyinza okubiyigirako. Lowooza ku Musa, eyabuulirirwa mukoddomi we ku ngeri y’okutuukirizaamu obuvunaanyizibwa bwe obw’amaanyi. Musa yakkiriza okubuulirirwa okwo era n’akukolerako amangu ago. (Okuva 18:13-24) Wadde nga Musa yalina obuyinza bungi, lwaki yakkiriza okubuulirirwa? Kubanga yali mwetoowaze. “Musa yali muwombeefu nnyo, okusinga abantu bonna abaali ku nsi yonna.” (Okubala 12:3) Obuwombeefu bukulu kwenkana wa? Zeffaniya lulaga nti obuwombeefu busobola okuwonya obulamu bwaffe. 2:3
8. (a) Bibi ki Dawudi bye yakola? (b) Dawudi yeeyisa atya nga Nasani amunenyezza? (c) Biki ebyava mu bibi bya Dawudi?
8 Kabaka Dawudi yayenda ku Basuseba era n’agezaako okukikweka ng’attisa bba wa Basuseba, Uliya. Yakuwa yasindika nnabbi Nasani okunenya Dawudi. Dawudi yeenenya era mangu ddala n’agamba: “Nnyonoonye [mu maaso ga] Mukama.” (2 Samwiri 12:13) Wadde nga Katonda yakkiriza okwenenya kwa Dawudi, Dawudi yali wa kubonaabona olw’ebyo ebyava mu kibi kye. Yakuwa yamugamba nti ekitala “tekiivenga mu nnyumba y[e],” era nti bakazi be bandiweereddwa ‘balirwana be,’ era nti n’omwana eyazaalibwa mu bwenzi bwe ‘yandifudde.’—2 Samwiri 12:10, 11, 14.
9. Kiki kye twandijjukiddenga nga tubuulirirwa oba nga tukangavvulwa?
9 Kabaka Dawudi yali amanyi emiganyulo egiri mu kukkiriza okubuulirirwa. Lumu, yeebaza Katonda olw’okubuulirirwa kwe yamuwa okuyitira mu muntu omulala. (1 Samwiri 25:32-35) Naffe tukola bwe tutyo? Singa tukola bwe tutyo, tetujja kwogera wadde okukola ebintu bye tuyinza okwejjusa. Naye kiba kitya singa twesanga mu mbeera ezituleetera okubuulirirwa oba okukangavvulwa? Tukijjukirenga nti obwo buba bujulizi obulaga nti Yakuwa atwagala era nti afaayo ku biseera byaffe eby’omu maaso.—Engero 3:11, 12; 4:13.
Engeri ez’Omuwendo Ze Tusaanidde Okukulaakulanya
10. Ngeri ki Yesu gye yagamba nti yeetaagisa okusobola okuyingira mu Bwakabaka?
10 Okusobola okubeera n’enkolagana ennungi ne Yakuwa era ne baganda baffe Abakristaayo, waliwo engeri ze Matayo 18:3, 4) Abayigirizwa ba Yesu baali beetaaga okukulaakulanya obwetoowaze, okuva bwe baali bawakana bokka na bokka ku ani asinga obukulu.—Lukka 22:24-27.
twetaaga okukulaakulanya. Yesu yalaga emu ku zo bwe yaleeta omwana omuto wakati mu bayigirizwa be n’agamba: “Bwe mutakyuka okufuuka ng’abaana abato, temuliyingira n’akatono mu bwakabaka obw’omu ggulu. Kale buli eyeewombeeka ng’omwana ono omuto, ye mukulu mu bwakabaka obw’omu ggulu.” (11. (a) Tulina kubeera beetoowaze eri baani, era lwaki? (b) Bwe tubeera abeetoowaze, tunaakola ki nga tubuuliriddwa?
11 Omutume Peetero yawandiika: “Mwenna mwesibenga obuwombeefu, okuweerezagananga mwekka na mwekka: kubanga Katonda aziyiza ab’amalala, naye abawombeefu abawa ekisa.” (1 Peetero 5:5) Tukimanyi nti twetaaga okubeera abeetoowaze mu maaso ga Katonda, naye ekyawandiikibwa kino kiraga nti era twetaaga okubeera abeetoowaze nga tukolagana ne bakkiriza bannaffe. Bwe tubeera abeetoowaze, tetujja kugaana magezi agatuweebwa abalala wabula tujja kugakolerako.—Engero 12:15.
12. (a) Ngeri ki enkulu ekwatagana n’obwetoowaze? (b) Lwaki twandifuddeyo nnyo ku ekyo enneeyisa yaffe ky’ekola ku balala?
12 Engeri ekwatagana n’obwetoowaze kwe kufaayo ku balala. Omutume Pawulo yawandiika: “Omuntu yenna tanoonyanga bibye yekka, wabula ebya munne. . . . Kale oba nga mulya, oba nga munywa, oba nga mukola ekigambo kyonna kyonna, mukolenga byonna olw’ekitiibwa kya Katonda. Temuleetanga ekyesittaza eri Abayudaaya, newakubadde eri Abayonaani, newakubadde eri ekkanisa ya Katonda.” (1 Abakkolinso 10:24-33) Pawulo yali tagamba nti tusuule muguluka bye twagala, naye yatukubiriza obutakola kintu kyonna ekyandireetedde omuntu omulala okukola ekyo omuntu we ow’omunda ky’amugamba nti kikyamu.
13. Kyakulabirako ki ekiyinza okulaga obanga tugoberera okubuulirira kw’omu Byawandiikibwa?
13 Okulembeza ebikwata ku balala mu kifo ky’ebibyo ku bubwo? Ffenna twandifubye okukola ekyo. Waliwo engeri nnyingi ez’okukikolamu. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku kwambala n’okwekolako. Bino bintu buli omu by’alina okwesalirawo ng’agoberera emitindo gy’omu Byawandiikibwa egikwata ku kweyisa mu ngeri esaanira era n’okubeera abayonjo. Naye singa okitegeera nti engeri gy’oyambalamu oba gye weekolako yeesittaza abantu abali mu kitundu kyo ne batawuliriza bubaka bw’Obwakabaka, onookola enkyukakyuka? Mazima ddala, okuyamba omuntu okufuna obulamu obutaggwaawo kikulu nnyo okusinga okwesanyusa.
14. Lwaki kikulu okukulaakulanya obwetoowaze n’okufaayo ku balala?
14 Mu kubeera omwetoowaze n’okufaayo ku balala, Yesu yassaawo ekyokulabirako, n’atuuka n’okunaaza ebigere by’abayigirizwa be. (Yokaana 13:12-15) Ekigambo kya Katonda kimwogerako bwe kiti: “Mubeerengamu okulowooza kuli, era okwali mu Kristo Yesu; oyo bwe yasooka okubeera mu kifaananyi kya Katonda, teyalowooza kintu ekyegombebwa okwenkanankana ne Katonda, naye yeggyako ekitiibwa, bwe yatwala engeri y’omuddu, n’abeera mu kifaananyi ky’abantu; era bwe yalabikira mu mutindo ogw’obuntu, ne yeetoowaza, nga muwulize okutuusa okufa.”—Abafiripi 2:5-8; Abaruumi 15:2, 3.
Togaana Kukangavvula kwa Yakuwa
15. (a) Nkyukakyuka ki ze tulina okukola okusobola okubeera n’engeri ezisanyusa Katonda? (b) Yakuwa akozesa ki okutubuulirira n’okutukangavvula?
15 Olw’okuba ffenna tuli boonoonyi, twetaaga okukola enkyukakyuka mu ndowooza yaffe n’enneeyisa bwe Abakkolosaayi 3:5-14) Okubuulirirwa n’okukangavvulwa bituyamba okumanya we twetaaga okukola enkyukakyuka era n’engeri ey’okuzikolamu. Baibuli y’ensibuko enkulu ey’okuyigiriza kwe twetaaga. (2 Timoseewo 3:16, 17) Ebitabo ebyesigamiziddwa ku Baibuli n’enkuŋŋaana ezitegekebwa ekibiina kya Yakuwa bituyamba okugoberera Ekigambo kya Katonda. Ne bwe kiba ng’okubuulirira okwo twakufunako dda, tunaakiraba nti tukwetaaga era ne tufuba okulongoosaamu?
tuba ab’okwoleka engeri za Katonda. Twetaaga okwambala “omuntu omuggya.” (16. Buyambi ki Yakuwa bw’atuwa kinnoomu?
16 Olw’okuba atufaako, Yakuwa atuyamba nga tulina ebizibu. Obukadde n’obukadde bayambiddwa nga bayigirizibwa Baibuli mu maka gaabwe. Abazadde babuulirira era ne bakangavvula abaana baabwe basobole okwewala enneeyisa eziyinza okubaviiramu ennaku. (Engero 6:20-23) Mu kibiina, abamu basaba ababuulizi abalina obumanyirivu okubawa amagezi ku ngeri y’okulongoosaamu obuweereza bwabwe. Emirundi egimu abakadde bayinza okwebuuza ku bakadde bannaabwe oba ku balala abalina obumanyirivu mu buweereza. Abo abalina ebisaanyizo eby’eby’omwoyo bakozesa Baibuli okuwa obuyambi abo ababwetaaga, nga bakikola mu buwombeefu. Bw’oba obuulirira abalala, jjukira ‘naawe okwekuuma olemenga okukemebwa.’ (Abaggalatiya 6:1, 2) Yee, ffenna twetaaga okubuulirirwa n’okukangavvulwa okusobola okusinza Katonda omu ow’amazima nga tuli bumu.
Eby’Okwejjukanya
• Yakuwa atuyamba atya okulaba we twetaaga okukola enkyukakyuka?
• Lwaki bangi bakisanga nga kizibu okukkiriza okubuulirirwa, era lwaki kya kabi?
• Ngeri ki ez’omuwendo ezijja okutuyamba okukki- riza okubuulirirwa, era Yesu yatuteerawo atya ekyokulabirako mu nsonga eno?
[Ebibuuzo]
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 142]
Uzziya yagaana okubuulirirwa era n’alwala ebigenge
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 142]
Musa yaganyulwa olw’okukkiriza okubuulirirwa Yesero