Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

“Musooke Munoonye Obwakabaka”

“Musooke Munoonye Obwakabaka”

Essuula Ey’ekkumi N’emu

“Musooke Munoonye Obwakabaka”

1. (a) Lwaki Yesu yakubiriza abamuwuliriza okusooka okunoonya Obwakabaka? (b) Kibuuzo ki kye twandyebuuzizza?

EMYAKA egisukka mu 1,900 egiyise, ng’ayogera eri olujjudde lw’abantu e Ggaliraaya, Yesu yakubiriza bw’ati abaali bamuwuliriza: “Musooke munoonye obwakabaka [bwa Katonda] n’obutuukirivu bwe.” Lwaki waaliwo obwetaavu obwo obw’amangu? Ekiseera Kristo we yandifunidde obuyinza bw’Obwakabaka tekyali wala nnyo mu biseera eby’omu maaso? Kyali wala, naye Obwakabaka bwa Masiya, bwebwo Yakuwa bwe yandikozesezza okulaga obutuufu bw’obufuzi bwe era n’okutuukiriza ekigendererwa kye ekikwata ku nsi. Buli omu eyanditegedde obukulu bw’ebintu ebyo yandikulembezza Obwakabaka mu bulamu bwe. Bwe kiba nti bwalina okukulembezebwa mu kyasa ekyasooka, tebwandikulembezeddwa nnyo n’okusingawo mu kiseera kyaffe, okuva kati Kristo bw’amaze okutuuzibwa ku ntebe y’Obwakabaka? N’olwekyo, ekibuuzo kiri nti, Engeri gye nneeyisaamu eraga nti nsoose kunoonya Bwakabaka bwa Katonda?​—Matayo 6:33.

2. Bintu ki abantu bye batera okwemalirako?

2 Mu butuufu, waliwo obukadde n’obukadde bw’abantu mu nsi yonna, abasoose okunoonya Obwakabaka. Bawagira obufuzi bw’Obwakabaka nga beemalira ku kukola Yakuwa by’ayagala, oluvannyuma lw’okwewaayo gy’ali. Ku luuyi olulala, abantu abasinga obungi baluubirira bintu bya mu nsi. Abantu beemalidde ku kunoonya ssente, eby’obugagga n’amasanyu, oba amaanyi gaabwe bagamalira ku kutuukiriza ebiruubirirwa byabwe. Engeri gye batambuzaamu obulamu bwabwe eraga nti beefaako bokka, era nti baagala bya bugagga na masanyu. Katonda bamuteeka mu kifo kya kubiri.​—Matayo 6:31, 32.

3. (a) Bya bugagga ki Yesu bye yakubiriza abayigirizwa be okunoonya, era lwaki? (b) Lwaki tekitwetaagisa kweraliikirira kisukkiridde ku bikwata ku byetaago byaffe eby’omubiri?

3 Kyokka, Yesu yabuulirira bw’ati abayigirizwa be: “Temweterekeranga bintu ku nsi,” okuva ebintu ebyo bwe bitabeerawo bbanga lyonna. “Naye,” yabagamba, “mweterekeranga ebintu mu ggulu” nga muweereza Yakuwa. Yesu yakubiriza abagoberezi be okuba n’eriiso ‘eriraba awamu,’ nga beemalira ku kukola Katonda by’ayagala. Yabagamba nti, “temuyinza kuweereza Katonda na [bya bugagga].” Naye ate kiri kitya eri ebyetaago by’omubiri gamba ng’emmere, eby’okwambala, n’aw’okusula? Yesu yabagamba nti: “Temweraliikiriranga.” Yabagamba balowooze ku binyonyi​—Katonda abiriisa. Era yabakubiriza okuyigira ku bimuli​—Katonda abyambaza. Abaweereza ba Yakuwa si ba muwendo nnyo okusinga ebyo? “Naye musooke munoonye obwakabaka bwe n’obutuukirivu bwe; era ebyo byonna [ebyetaagisa] mulibyongerwako.” (Matayo 6:19-34) Ebikolwa byo biraga nti okkiriza ebigambo ebyo?

Tokkiriza Kufiirwa Mazima ga Bwakabaka

4. Singa omuntu yeemalira ku by’obugagga, kiki ekiyinza okuvaamu?

4 Kyetaagisa okufuba, okusobola okukola ku byetaago byo n’eby’ab’omu maka go. Kyokka, omuntu bwe yeemalira ennyo ku by’obugagga, ebivaamu biyinza obutaba birungi. Wadde nga ayinza okugamba nti akkiririza mu Bwakabaka, singa akulembeza ebintu ebirala, ajja kufiirwa amazima g’Obwakabaka. (Matayo 13:18-22) Ng’ekyokulabirako, lumu omufuzi omuto omugagga yabuuza Yesu: “Nnaakola ntya okusikira obulamu obutaggwaawo?” Yali wa mpisa nnungi era ng’ayisa bulungi abalala, naye yali ayagala nnyo eby’obugagga bye. Yali tayinza kubireka asobole okufuuka omugoberezi wa Kristo. Bwe kityo, yafiirwa enkizo eyandimusobozesezza okufugira awamu ne Kristo mu Bwakabaka obw’omu ggulu. Yesu yagamba bw’ati ku olwo: “Nga kizibu abagagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda!”​—Makko 10:17-23.

5. (a) Pawulo yakubiriza Timoseewo abe mumativu na bintu ki, era lwaki? (b) Setaani akozesa atya ‘okwagala ssente’ ng’omutego?

5 Nga wayiseewo emyaka, omutume Pawulo yawandiikira Timoseewo eyali mu Efeso, ekibuga ekyali kikolerwamu ennyo eby’obusuubuzi. Pawulo yamujjukiza: “Tetwaleeta kintu mu nsi, . . .  era tetuyinza kuggyamu kintu; naye bwe tuba n’emmere n’ebyokwambala, ebyo binaatumalanga.” Omuntu kimwetaagisa okukola okusobola okufuna “emmere n’eby’okwambala.” Naye Pawulo yalabula: “Abaagala okugaggawala bagwa mu kukemebwa ne mu mutego n’okwegomba okungi okw’obusirusiru okwonoona, okunnyika abantu mu kubula n’okuzikirira.” Setaani wa nkwe. Okusooka ayinza okusendasenda omuntu ng’akozesa ebintu ebitonotono. Oluvannyuma ayinza okuleeta okupikirizibwa okusingawo, oboolyawo omukisa gw’okukuzibwa ku mulimu oba okufuna omulimu ogusasula okusingawo, naye nga gukwetaagisa okufiirwa ebiseera bye wandikozesezza ku bintu eby’omwoyo. Bwe tutabeera bulindaala, ‘okwagala ssente’ kuyinza okutulemesa okukulembeza ebintu ebikulu ebikwata ku Bwakabaka. Pawulo yakiteeka bw’ati: “Waliwo abantu abayaayaanira ebyo, ne bakyamizibwa okuva mu kukkiriza, ne beefumitira ddala n’ennaku ennyingi.”​—1 Timoseewo 6:7-10.

6. (a) Kiki kye tuteekwa okukola tuleme okutwalirizibwa omwoyo ogw’okululunkanira eby’obugagga? (b) Embeera y’eby’enfuna k’ebeere ng’eri etya mu nsi, twandibadde na bwesige ki?

6 Olw’okuba yali ayagala nnyo muganda we Omukristaayo Timoseewo, Pawulo yamukubiriza: “Ddukanga ebyo,” era “Lwananga okulwana okulungi okw’okukkiriza.” (1 Timoseewo 6:11, 12) Okufuba kwetaagisa bwe tuba ab’okwewala okutwalirizibwa omwoyo gw’ensi ogw’okwagala ennyo ebintu. Singa tubeera n’okukkiriza okunywevu, Yakuwa tajja kutwabulira. Ka kibe ng’emiwendo gy’ebintu giri waggulu era nga waliwo n’ebbula ly’emirimu, ajja kutuyamba okufuna bye twetaaga. Pawulo yawandiika: “Mubeerenga n’empisa ey’obutaagalanga bintu; bye mulina bibamalenga: kubanga ye yennyini agamba nti Sirikuleka n’akatono, so sirikwabulira n’akatono. N’okwaŋŋanga ne twaŋŋanga okwogera nti Mukama ye mubeezi wange; ssiritya: [o]muntu alinkola ki?” (Abaebbulaniya 13:5, 6) Era Kabaka Dawudi yawandiika nti: “N[n]ali muto, kaakano nkaddiye; naye sirabanga mutuukirivu ng’alekeddwa, newakubadde ezzadde lye nga basaba emmere.”​—Zabbuli 37:25.

Abayigirizwa Abaasooka Bassaawo Ekyokulabirako

7. Biragiro ki ebikwata ku kubuulira Yesu bye yawa abayigirizwa be, era lwaki byali bisaanira?

7 Yesu bwe yamala okutendeka abatume be, yabatuma mu Isiraeri okubuulira amawulire amalungi era n’okugamba nti: “Obwakabaka obw’omu ggulu bunaatera okutuuka.” Ng’obwo bwali bubaka obubuguumiriza! Yesu Kristo, Kabaka, yali wakati mu bo. Okuva abatume bwe baali baweereza Katonda, Yesu yabakubiriza okuba n’obwesige nti Katonda yandibalabiridde. N’olwekyo yabagamba: “Temutwala kintu kya mu kkubo, newakubadde omuggo, newakubadde olukoba, newakubadde emmere, newakubadde effeeza; so temuba na kkanzu bbiri. Na buli nnyumba mwe muyingiranga, mubeerenga omwo, era mwe muba muvanga.” (Matayo 10:5-10; Lukka 9:1-6) Yakuwa yandikakasizza nti ebyetaago byabwe bikolebwako Baisiraeri bannaabwe, abaalina empisa ey’okusembeza abagenyi.

8. (a) Ng’anaatera okuttibwa, lwaki Yesu yawa ebiragiro ebippya ebikwata ku mulimu gw’okubuulira? (b) Naye era kiki abagoberezi ba Yesu kye baalina okweyongera okukulembeza mu bulamu bwabwe?

8 Oluvannyuma, ng’anaatera okuttibwa, Yesu yategeeza abatume be nti mu biseera eby’omu maaso bandikoze omulimu gw’okubuulira mu mbeera za njawulo. Olw’okuba omulimu gwabwe gwali gwa kuziyizibwa mu butongole, tekyandibadde kyangu kusembezebwa mu Isiraeri. Era mu bbanga ttono bandibadde batwala obubaka bw’Obwakabaka eri ab’Amawanga. N’olwekyo, baalina okutwala ‘ensawo’ ne ‘emmere.’ Wadde kyali kityo, baalina okweyongera okusooka okunoonya Obwakabaka bwa Yakuwa n’obutuukirivu bwe, nga bagumu nti Katonda ajja kubawa omukisa bafune emmere n’eby’okwambala.​—Lukka 22:35-37.

9. Pawulo yakulembeza atya Obwakabaka mu bulamu bwe ng’eno bw’akola ku byetaago bye eby’omubiri, era kubuulirira ki kwe yawa ku nsonga eno?

9 Omutume Pawulo yali kyakulabirako kirungi eky’omuntu eyagoberera okubuulirira kwa Yesu. Pawulo yakulembeza obuweereza mu bulamu bwe. (Ebikolwa 20:24, 25) Bwe yagendanga mu kitundu okubuulira, yakolanga weema asobole okukola ku byetaago bye eby’omubiri. Teyasuubira balala kumulabirira. (Ebikolwa 18:1-4; 1 Abasessalonika 2:9) Kyokka, yakkirizanga ebirabo ebyamuweebwanga abalala nga bamulaga okwagala. (Ebikolwa 16:15, 34; Abafiripi 4:15-17) Pawulo teyakubiriza Bakristaayo kulagajjalira buvunaanyizibwa bwabwe mu maka basobole okubuulira, wabula yabakubiriza obutagwa lubege nga batuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe obw’enjawulo. Yabakubiriza okukola emirimu, okwagala ab’omu maka gaabwe, n’okugabira abalala ebintu. (Abeefeso 4:28; 2 Abasessalonika 3:7-12) Yabakubiriza okussa obwesige mu Katonda, so si mu by’obugagga, era n’okukozesa obulamu bwabwe mu ngeri eraga nti ddala baali bategeera ebintu ebisinga obukulu. Nga kituukagana n’okuyigiriza kwa Yesu, ekyo kyali kitegeeza okusooka okunoonya Obwakabaka bwa Katonda n’obutuukirivu bwe.​—Abafiripi 1:9-11.

Weeyongere Okukulembeza Obwakabaka mu Bulamu Bwo

10. Kitegeeza ki ‘okusooka okunoonya Obwakabaka’?

10 Tukoma wa okwenyigira mu kubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka? Ekyo kisinziira ku mbeera zaffe n’okusiima kwe tulina eri ebintu eby’omwoyo. Kijjukire nti Yesu teyagamba nti, ‘Noonya Obwakabaka bw’oba tolina kirala kya kukola.’ Ng’amanyi obukulu bw’Obwakabaka, yalaga Kitaawe by’ayagala ng’agamba: “Munoonye[nga] obwakabaka bwe.” (Lukka 12:31) Wadde ng’abasinga obungi ku ffe twetaaga okukola emirimu okusobola okukola ku byetaago byaffe n’ebya ab’omu maka gaffe, singa tuba n’okukkiriza, tujja kukulembeza omulimu gw’Obwakabaka Katonda gw’atukwasizza. Mu kiseera kye kimu, tujja kutuukiriza obuvunaanyizibwa bwaffe obw’omu maka.​—1 Timoseewo 5:8.

11. (a) Yesu yalaga atya nti abantu bonna tebandisobodde kukola kye kimu mu kubuulira obubaka bw’Obwakabaka? (b) Mbeera ki ezirina akakwate n’ekyo kye tusobola okukola?

11 Abamu ku ffe tusobola okuwaayo ebiseera bingi okusinga abalala mu kubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka. Naye mu lugero lwe olukwata ku bika by’ettaka eby’enjawulo, Yesu yalaga nti bonna abalina emitima egiringa ettaka eddungi bajja kubala ebibala. Byenkana wa? Embeera z’abantu kinnoomu za njawulo. Emyaka gy’omuntu, embeera y’obulamu bwe, n’obuvunaanyizibwa bw’alina mu maka ze zimu ku mbeera ez’enjawulo. Naye singa omuntu ddala asiima amawulire amalungi, bingi ebiyinza okukolebwa.​—Matayo 13:23.

12. Kiruubirirwa ki eky’eby’omwoyo abato kye bakubirizibwa okulowoozaako?

12 Kya magezi okuba n’ebiruubirirwa ebinaatuyamba okugaziya obuweereza bwaffe obw’Obwakabaka. Abavubuka balina okufumiitiriza ku kyokulabirako ekirungi eky’omuvubuka Omukristaayo Timoseewo eyali omunyiikivu ennyo. (Abafiripi 2:19-22) Kiki ekyandibadde eky’omuganyulo ennyo gye bali okusinga okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna nga bamalirizza emisomo gyabwe? Abakulu mu myaka nabo bajja kuganyulwa nnyo singa bassaawo ebiruubirirwa ebirungi eby’omwoyo.

13. (a) Ani asalawo ekyo kye tusobola okukola mu buweereza bw’Obwakabaka? (b) Bwe tusooka okunoonya Obwakabaka, tuba tulaga ki?

13 Mu kifo ky’okuvumirira abo be tulowooza nti bandikoze ekisingawo, twandifubye okulongoosa obuweereza bwaffe tusobole okuweereza Katonda nga bwe tusobola okusinziira ku mbeera zaffe. (Abaruumi 14:10-12; Abaggalatiya 6:4, 5) Nga bwe kyali ku bikwata ku Yobu, Setaani agamba nti kye tusinga okufaako kwe kubeera n’eby’obugagga, okwejjalabya n’obulamu obulungi, era nti tuweereza Katonda olw’okuba twenoonyeza ebyaffe ku bwaffe. Naye bwe tuba nga ddala tusoose kunoonya Bwakabaka, tulaga nti Omulyolyomi mulimba. Tuwa obujulizi obulaga nti tukulembeza Obwakabaka bwa Katonda mu bulamu bwaffe. Mu ngeri eyo, tuba tulaga mu bigambo ne mu bikolwa nti twagala nnyo Yakuwa, nti tuwagira obufuzi bwe, era nti twagala bantu bannaffe.​—Yobu 1:9-11; 2:4, 5; Engero 27:11.

14. (a) Lwaki kya muganyulo okuba n’enteekateeka ennungi mu buweereza obw’omu nnimiro? (b) Abajulirwa bangi benyigira mu buweereza bw’omu nnimiro kwenkana wa?

14 Enteekateeka ennungi eyinza okutuyamba okukola ekisingawo. Yakuwa kennyini alina ‘ekiseera ekigereke’ eky’okutuukiririzaako ebigendererwa bye. (Okuva 9:5, NW; Makko 1:15, NW) Bwe kiba kisoboka, kiba kirungi okwenyigira mu buweereza omulundi gumu oba n’okusingawo buli wiiki. Emitwalo n’emitwalo gy’Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi yonna baweereza nga bapayoniya abawagizi, nga babuulira amawulire amalungi okumala essaawa nga bbiri buli lunaku. Ate n’abalala mitwalo na mitwalo nabo baweereza nga bapayoniya aba bulijjo, nga babuulira obubaka bw’Obwakabaka okumala essaawa nga bbiri n’ekitundu buli lunaku. Bapayoniya ab’enjawulo n’abaminsani bawaayo ebiseera ebisingawo mu buweereza bw’Obwakabaka. Era tuyinza okubuulira embagirawo essuubi ly’Obwakabaka eri yenna ayagala okuwuliriza. (Yokaana 4:7-15) Ekiruubirirwa kyaffe kyandibadde okwenyigira mu mulimu ogwo ng’embeera zaffe bwe zitusobozesa, kubanga Yesu yalagula nti: “Amawulire gano amalungi ag’obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna etuuliddwamu okuba obujulirwa eri amawanga gonna; awo enkomerero n’eryoka ejja.”​—Matayo 24:14, NW; Abeefeso 5:15-17.

15. Ku bikwata ku buweereza bwaffe, lwaki olowooza nti okubuulirira okuli mu 1 Abakkolinso 15:58 kutuukirawo?

15 Ka babe mu ggwanga ki, mu bitundu byonna eby’ensi, Abajulirwa ba Yakuwa bali bumu nga benyigira mu buweereza buno. Bagoberera okubuulirira kuno okw’omu Baibuli okwaluŋŋamizibwa: “Munywerenga obutasagaasagana, nga mweyongera bulijjo mu mulimu gwa Mukama waffe, kubanga mumanyi ng’okufuba kwammwe si kwa bwereere mu Mukama waffe.”​—1 Abakkolinso 15:58.

Eby’Okwejjukanya

• Yesu bwe yagamba nti “musooke munoonye Obwakabaka,” kiki kye yalaga ekyandibadde mu kifo eky’okubiri?

• Twandibadde na ndowooza ki ku bikwata ku kukola ku byetaago byaffe n’eby’ab’omu maka gaffe? Katonda anaatuwa buyambi ki?

• Ngeri ki ez’obuweereza bw’Obwakabaka ze tuyinza okwenyigiramu?

[Ebibuuzo]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 107]

Mu buli nsi, Abajulirwa ba Yakuwa babuulira amawulire amalungi ng’enkomerero tennajja