Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Mutye Katonda mu Maka Gammwe

Mutye Katonda mu Maka Gammwe

Essuula Ey’ekkumi N’omusanvu

Mutye Katonda mu Maka Gammwe

1. Okugoberera obulagirizi obuli mu Kigambo kya Katonda kikoze ki ku bufumbo?

YAKUWA ye Yatandikawo obufumbo, era Ekigambo kye kituwa obulagirizi obusingayo obulungi obukwata ku maka. Olw’okugoberera obulagirizi obwo, abantu bangi basobodde okubeera n’obufumbo obulungi mu maka. Kya ssanyu nti, abamu abaali babeera obubeezi awamu basazeewo okuwandiisa obufumbo bwabwe mu mateeka. Abalala baleseeyo obwenzi. Abasajja abakambwe abaayisanga obubi bakyala baabwe n’abaana bayize okulaga ekisa n’omukwano.

2. Kiki ekizingirwa mu bulamu bw’amaka obw’Ekikristaayo?

2 Obulamu bw’amaka obw’Ekikristaayo buzingiramu ebintu bingi, gamba ng’engeri gye tutunuuliramu obufumbo, kye tukola okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwaffe mu maka, era n’engeri gye tuyisaamu ab’omu maka gaffe. (Abeefeso 5:33–6:4) Tekimala okumanya obumanya Baibuli ky’eyogera ku bulamu bw’amaka, tulina n’okugoberera ky’eyogera. Tewali n’omu ku ffe ayagala okubeera ng’abo Yesu be yavumirira olw’okubuusa amaaso ebiragiro bya Katonda. Baalina endowooza enkyamu nti okuba abanyiikivu mu ddiini kyokka kimala. (Matayo 15:4-9) Tetwagala kubeera bubeezi na kifaananyi eky’okutya Katonda naye ne tulemererwa okugoberera ky’agamba mu maka gaffe. Wabula, twagala okulagira ddala nti tumutya, ekintu ‘eky’omuganyulo ennyo.’​—1 Timoseewo 5:4; 6:6; 2 Timoseewo 3:5.

Obufumbo Bwandimaze Bbanga Ki?

3. (a) Kiki ekituuse ku bufumbo bungi leero, naye ffe twandibadde bamalirivu kukola ki? (b) Ng’okozesa Baibuli yo, ddamu ebibuuzo ebiri wansi w’akatundu kano.

3 Obufumbo bweyongedde okunafuwa. Abamu, ababadde abafumbo okumala emyaka mingi basalawo okugattululwa ne bafumbiriganwa n’omuntu omulala. Era tekikyewuunyisa okuwulira nti abafumbo baawukanye oluvannyuma lw’okubeera awamu ekiseera kitono. Ka kibe nti abalala bakola ki, ffe twandyagadde okusanyusa Yakuwa. N’olwekyo, ka twekenneenye ebibuuzo n’ebyawandiikibwa ebiddirira okulaba ekyo Ekigambo kya Katonda kye kyogera ku bufumbo.

Omusajja n’omukazi bwe bafumbiriganwa, bandisuubidde okubeera awamu kumala bbanga ki? (Makko 10:6-9; Abaruumi 7:2, 3)

Mu maaso ga Katonda, kiki kyokka ekiyinza okusinziirwako okugattulula obufumbo n’oba ng’osobola okufumbiriganwa n’omuntu omulala? (Matayo 5:31, 32; 19:3-9)

Yakuwa alina ndowooza ki ku kugattulula obufumbo okutakkirizibwa mu Kigambo kye? (Malaki 2:13-16)

Baibuli ewagira okwawukana ng’engeri y’okugonjoola ebizibu mu maka? (1 Abakkolinso 7:10-13)

Ddi lwe kiyinza okwetaagisa okwawukana? (Zabbuli 11:5; Lukka 4:8; 1 Timoseewo 5:8)

4. Lwaki obufumbo obumu buwangaala?

4 Obufumbo obumu buba bulungi era ne buwangaala. Lwaki? Ensonga emu eri nti, abafumbiriganwa bombi baba bakuze ekimala. Naye era kikulu okufumbiriganwa n’omuntu bwe mufaananya ebiruubirirwa, era nga muyinza okukubaganya naye ebirowoozo ku nsonga. Kyokka, ekisingawo n’obukulu, kwe kufumbiriganwa n’omuntu ayagala Yakuwa era akozesa Ekigambo kye okugonjoola ebizibu. (Zabbuli 119:97, 104; 2 Timoseewo 3:16, 17) Omuntu bw’atyo tajja kuba na ndowooza nti singa obufumbo bukaluba, asobola okwawukana ne munne oba okugattululwa mu bufumbo. Tajja kulagajjalira buvunaanyizibwa bwe nga yeekwasa obunafu bwa munne mu bufumbo. Mu kifo ky’ekyo, ajja kwaŋŋanga ebizibu ebyo era anoonye engeri y’okubigonjoolamu.

5. (a) Okunywerera ku Yakuwa kulina kifo ki mu bufumbo? (b) Wadde nga tuziyizibwa, tufuna miganyulo ki bwe tunywerera ku mitindo gya Yakuwa?

5 Setaani agamba nti bwe tubonaabona, twabulira amakubo ga Yakuwa. (Yobu 2:4, 5; Engero 27:11) Kyokka, Abajulirwa ba Yakuwa abasinga obungi ababonyeebonye olw’okuziyizibwa banaabwe mu bufumbo, tebagattuludde bufumbo bwabwe. Bakyanyweredde ku Yakuwa n’amateeka ge. (Matayo 5:37) Abamu aboolese obugumiikiriza, bafunye essanyu ppitirivu bannaabwe mu bufumbo bw’abeegasseeko mu kuweereza Yakuwa​—wadde ng’ayinza okuba ng’amaze emyaka mingi ng’abaziyiza! (1 Peetero 3:1, 2) Wadde nga bannaabwe mu bufumbo bagaanyi okukyusaako oba nga babaabulidde olw’okuweereza Yakuwa, bo Abakristaayo bakimanyi nti bajja kufuna omukisa olw’okutya Katonda mu maka gaabwe.​—Zabbuli 55:22; 145:16.

Buli Omu ng’Atuukiriza Obuvunaanyizibwa Bwe

6. Okusobola okubeera n’obufumbo obulungi, nteekateeka ki eteekwa okussibwamu ekitiibwa?

6 Kya lwatu nti okubeera n’obufumbo obulungi kyetaagisa ekisingawo ku kubeera obubeezi awamu. Kikulu nnyo buli omu mu bufumbo okussa ekitiibwa mu nteekateeka ya Yakuwa ey’obukulembeze. Ekyo kireetawo emirembe n’obutebenkevu mu maka. Mu 1 Abakkolinso 11:3, tusoma nti: “Omutwe gwa buli musajja ye Kristo; n’omutwe gw’omukazi ye musajja; n’omutwe gwa Kristo ye Katonda.”

7. Obukulembeze mu maka bwandibadde butya?

7 Weetegerezza olunyiriri kye lusoose okwogerako? Yee, lugambye nti buli musajja alina amukulembera gw’ateekwa okugondera, nga ye Kristo. Kino kitegeeza nti omwami asaanidde okukulembera amaka ge ng’ayoleka engeri za Yesu. Kristo agondera Yakuwa, ayagala nnyo ekibiina, era akirabirira. (1 Timoseewo 3:15) Yatuuka ‘n’okwewaayo ku lwakyo.’ Yesu si muntu wa malala atafaayo ku balala, naye “muteefu era muwombeefu mu mutima.” Abo abali wansi w’obukulembeze bwe ‘bafuna ekiwummulo.’ Omwami bw’ayisa ab’omu maka ge mu ngeri eno, alaga nti agondera Kristo kennyini. Omukyala Omukristaayo aganyulwa era afuna obuweerero bw’akolaganira awamu n’omwami we era n’akkiriza obukulembeze bwe.​—Abeefeso 5:25-33; Matayo 11:28, 29; Engero 31:10, 28.

8. (a) Lwaki kiyinza okulabika nti okugoberera emitindo gy’Ekikristaayo mu maka agamu tekivaamu bibala? (b) Twandikoze ki singa tuba twolekaganye n’embeera ng’eyo?

8 Kyokka, ebizibu bijja kubalukawo. Abamu bayinza okuba nga baali tebagambwako nga tebannatandika kugoberera misingi gya Baibuli mu maka. Okubasaba mu ngeri ennungi okubaako kye bakola n’okubayisa mu ngeri ey’okwagala kiyinza obutavaamu bibala. Tukimanyi nti Baibuli etugamba okulekayo “obusungu n’obukambwe n’okukaayana n’okuvuma.” (Abeefeso 4:31) Naye, kiki ekyandikoleddwa singa abamu mu maka tebawulira okuggyako ng’omuntu abalaze busungu na bukambwe? Yesu, teyatiisatiisa wadde okuvuma abo abaamuyisanga bwe batyo, wabula yeesiga Kitaawe. (1 Peetero 2:22, 23) N’olwekyo, embeera enzibu bwe zijjawo mu maka, mukirage nti mutya Katonda nga musaba Yakuwa okubayamba mu kifo ky’okugoberera amakubo g’ensi.​—Engero 3:5-7.

9. Mu kifo ky’okwerondalonda, abaami bangi Abakristaayo bayize kukola ki?

9 Enkyukakyuka ziyinza obutabaawo mangu, naye okubuulirira kwa Baibuli ddala kukola bwe tuba abagumiikiriza era ne tunyiikira okukugoberera. Abaami bangi bagamba nti obufumbo bwabwe bwalongooka bwe baategeera engeri Kristo gy’ayisaamu ekibiina. Ekibiina kye tekiriimu bantu batuukiridde. Kyokka, Yesu akyagala, akiteerawo ekyokulabirako ekirungi, era akozesa Ebyawandiikibwa okukiyamba. Yawaayo obulamu bwe ku lwakyo. (1 Peetero 2:21) Ekyokulabirako kye kiyambye abaami bangi Abakristaayo okubeera emitwe gy’amaka abalungi era obufumbo bwabwe ne bulongooka. Kino kivaamu ebibala ebirungi okusinga okwerondalonda oba okugaana okwogera.

10. (a) Mu ngeri ki omwami oba omukyala, wadde oyo eyeeyita Omukristaayo gy’ayinza okufuula obulamu bw’abalala obuzibu mu maka? (b) Kiki ekiyinza okukolebwa okulongoosa embeera?

10 Kiba kitya singa omwami tafaayo ku nneewulira ez’omunda ez’ab’omu maka ge oba nga takola nteekateeka ez’okuyiga Baibuli ng’amaka oba ez’ebintu ebirala ebikwata ku maka? Oba kiba kitya singa omukyala takolagana na mwami we oba nga si muwulize? Abamu baganyulwa bwe bakubaganya ebirowoozo ku bizibu ebiriwo ng’amaka nga buli omu awa munne ekitiibwa. (Olubereberye 21:10-12; Engero 15:22) Naye ne bwe kiba nti kye babadde basuubira si kye kibaawo, buli omu ku ffe ayinza okubaako ky’akola okulongoosa embeera eri mu maka ng’ayoleka ebibala by’omwoyo gwa Katonda mu bulamu bwe, era ng’afaayo ku balala mu maka. (Abaggalatiya 5:22, 23) Embeera ejja kulongooka, si nga tulinda omulala okubaako ky’akolawo, naye nga tutuukiriza ekitundu kyaffe, bwe kityo ne tulaga nti tutya Katonda.​—Abakkolosaayi 3:18-21.

Aw’Okufuna Eby’Okuddamu

11, 12. Kiki Yakuwa ky’atuwadde okutuyamba okuba n’obulamu bw’amaka obulungi?

11 Abantu banoonya mu nsonda ezitali zimu amagezi agakwata ku nsonga z’amaka gaabwe. Naye tukimanyi nti Ekigambo kya Katonda kirimu amagezi agasingayo obulungi, era tuli basanyufu nti okuyitira mu kibiina kye, Katonda atuyamba okugagoberera. Oganyulwa mu bujjuvu mu buyambi obwo?​—Zabbuli 119:129, 130; Mikka 4:2.

12 Ng’oggyeko okubaawo mu nkuŋŋaana, okoze enteekateeka ey’okuyiga Baibuli n’ab’omu maka go obutayosa? Amaka agakola ekyo, gayinza okuba obumu mu kusinza. Obulamu bwabwe obw’omu maka bulongooka bwe bagoberera ebiri mu Kigambo kya Katonda.​—Ekyamateeka 11:18-21.

13. (a) Bwe tuba n’ebibuuzo ebikwata ku nsonga z’amaka, wa we tuyinza okufuna obuyambi obwetaagisa? (b) Kiki ekyandyeyolese mu byonna bye tusalawo?

13 Oyinza okuba n’ebibuuzo ebikwata ku maka. Ng’ekyokulabirako, twanditunuulidde tutya okwegema okuzaala? Waliwo lwe kiyinza okuba ekituufu okuggyamu olubuto? Singa omwana tayagala bya mwoyo, yandikubiriziddwa kwenkana wa okwenyigira mu kusinza kw’amaka? Ebibuuzo ng’ebyo bingi byogeddwako mu bitabo ebikubiddwa Abajulirwa ba Yakuwa. Yiga okukozesa ebitabo ebyeyambisibwa okuyiga Baibuli, nga mw’otwalidde ne index, okuzuula eby’okuddamu. Bw’oba tolina bitabo bijuliziddwa mu index, kebera mu tterekero ly’ebitabo mu Kizimbe ky’Obwakabaka ekiri mu kitundu kyo. Oba oyinza okukebera ebitabo bino ku kompyuta. Era oyinza okukubaganya ebirowoozo ku bibuuzo bino n’Abakristaayo abakulu mu by’omwoyo. Naye tosuubira nti buli kiseera eky’okuddamu kijja kukulaga ky’osaanidde oba ky’otosaanidde kukola. Emirundi mingi ggwe kennyini oteekwa okusalawo ng’omuntu kinnoomu oba muteekwa okusalawo mmwembi ng’abafumbo. Musaleewo mu ngeri eraga nti mutya Katonda si mu lujjudde mwokka naye era ne mu maka gammwe.​—Abaruumi 14:19; Abeefeso 5:10.

Eby’Okwejjukanya

• Okunywerera ku Yakuwa kulina kakwate ki n’obwesigwa eri munno mu bufumbo?

• Bwe tuba n’ebizibu mu maka, kiki ekijja okutuyamba okukola ekisanyusa Katonda?

• Wadde abalala mu maka tebatuukiriza buvunaanyizibwa bwabwe, kiki kye tuyinza okukola okulongoosa embeera?

[Ebibuuzo]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 155]

Obukulembeze bw’omwami bwandyolese engeri za Yesu

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 157]

Okuyiga Baibuli ng’amaka obutayosa kiyamba okugagatta awamu