Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

“Mwagalanenga Mwekka na Mwekka”

“Mwagalanenga Mwekka na Mwekka”

Essuula Ey’ekkumi N’omukaaga

“Mwagalanenga Mwekka na Mwekka”

1. Kiki ekitera okuwuniikiriza abappya abajja mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa?

ABANTU bwe bajja mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa omulundi ogusooka, bawuniikirira olw’okwagala kwe balabayo. Bakulaba mu ngeri gye baanirizibwamu era ne mu ngeri Abajulirwa gye bakolaganamu bokka na bokka. Abagenyi abajja mu nkuŋŋaana zaffe ennene nabo balaba okwagala kuno. Omusasi w’amawulire yawandiika bw’ati ku byaliwo ku lukuŋŋaana olumu olunene: ‘Tewaali yeekamiridde malagala oba omwenge. Tewaali kuleekaana. Tewaali kusindikagana. Tewaali njogera mbi. Tewaali mukka gwa sigala. Tewaali kubba. Tewaali kusuula kasasiro buli wamu. Mazima ddala tekyali kya bulijjo.’ Obwo bwonna bujulizi obulaga okwagala, ‘okutakola bitasaana, okutanoonya byakwo.’​—1 Abakkolinso 13:4-8.

2. (a) Ekiseera bwe kigenda kiyitawo, kiki ekyandyeyolese ku ngeri gye tulagamu okwagala? (b) Nga tukoppa Kristo, kwagala kwa ngeri ki kwe twetaaga okukulaakulanya?

2 Okwagala ke kabonero akaawulawo Abakristaayo ab’amazima. (Yokaana 13:35) Bwe tweyongera okukula mu by’omwoyo, tuyiga okwoleka okwagala mu bujjuvu. Omutume Pawulo yasaba nti okwagala kwa Bakristaayo banne ‘kweyongerenga kusukkirirenga.’ (Abafiripi 1:9) Omutume Yokaana yalaga nti okwagala kwaffe kwandibaddemu okwerekereza. Yawandiika: “Ku kino kwe tutegeerera okwagala, kubanga [Omwana wa Katonda] yawaayo obulamu bwe ku lwaffe: naffe kitugwanira okuwangayo obulamu bwaffe ku lw’ab’oluganda.” (1 Yokaana 3:16; Yokaana 15:12, 13) Mazima ddala tuyinza okuwaayo obulamu bwaffe ku lwa baganda baffe? Wadde ng’embeera ezisinga obungi tezitwetaagisa kukola ekyo, tufuba kwenkana wa okubayamba kaakano, wadde nga kiyinza obutatubeerera kyangu?

3. (a) Tuyinza tutya okwoleka okwagala mu ngeri esingawo? (b) Lwaki kikulu nnyo okwagalana ffekka na ffekka kati?

3 Okugatta ku bikolwa ebyoleka omwoyo ogw’okwerekereza, twetaaga okulaga baganda baffe okwagala. Ekigambo kya Katonda kitukubiriza: “Mu kwagala kw’ab’oluganda mwagalanenga mwekka na mwekka.” (Abaruumi 12:10) Ffenna tulina abantu abamu be twagala mu ngeri eyo. Naye n’abalala tetwandibalaze okwagala mu ngeri y’emu? Ng’enkomerero y’enteekateeka eno enkadde egenda esembera, tuteekwa okweyongera okwagala Bakristaayo bannaffe. Baibuli egamba: “Enkomerero ya byonna eri kumpi . . . Okusinga byonna, mwagalanenga, kubanga okwagala kubikka ku bibi bingi.”​—1 Peetero 4:7, 8, NW.

Ebizibu Bwe Bibalukawo

4. (a) Lwaki ebizibu biyinza okubalukawo mu abo abali mu kibiina? (b) Wadde oluusi tuyinza obutayagala kugoberera kubuulirira kwa Baibuli, birungi ki ebiyinza okuvaamu singa tukugoberera?

4 Kya lwatu nti, olw’okuba tetuukiridde, ebiseera ebimu tujja kukola ebintu ebinyiiza abalala. Baganda baffe nabo bayinza okutukola ekibi mu ngeri ezitali zimu. (1 Yokaana 1:8) Bwe weesanga mu mbeera ng’eyo, wandikoze ki? Ebyawandiikibwa bituwa obulagirizi obwetaagibwa. Naye kye byogera kiyinza obutakwatagana n’ekyo ffe abantu abatatuukiridde kye twagala okukola. (Abaruumi 7:21-23) Wadde kiri kityo, bwe tufuba okugoberera okubuulirira okuli mu Baibuli, kijja kulaga nti twagalira ddala okusanyusa Yakuwa. Era kijja kutusobozesa okweyongera okulaga abalala okwagala.

5. Singa omuntu atunyiiza, lwaki tetwandyesasuzza?

5 Abantu bwe bayisibwa obubi, emirundi egimu banoonya engeri y’okwesasuzaamu. Naye ekyo kyongera kuleeta bizibu. Bwe kiba kyetaagisa okubonereza atuyisizza obubi, ekyo twandikirekedde Katonda. (Engero 24:29; Abaruumi 12:17-21) Abalala bayinza okusalawo okwewala abanyiizizza. Naye tetwandiyisizza tutyo basinza bannaffe, kubanga okusinza kwaffe okusobola okukkirizibwa, tulina okwagala baganda baffe. (1 Yokaana 4:20) Bwe kityo, Pawulo yawandiika: “Muzibiikirizaganenga, [era] musonyiwagananga mwekka na mwekka, omuntu yenna bw’abeeranga n’ensonga ku muntu munne; era nga Mukama waffe bwe yabasonyiwa mmwe, era nammwe [musonyiwaganenga] bwe mutyo.” (Abakkolosaayi 3:13) Ekyo osobola okukikola?

6. (a) Twanditaddewo ekkomo ku bikwata ku kusonyiwa baganda baffe? (b) Kiki kye tusaanidde okutegeera ekinaatuyamba okumanya eky’okukola nga batukoze ekibi?

6 Naye kiba kitya singa omuntu atukola ekibi enfunda n’enfunda kyokka ng’ekibi ekyo si kya maanyi okumugobesa mu kibiina? Ku bikwata ku bibi ng’ebyo ebitonotono, ye omutume Peetero yali alowooza okusonyiwa ‘okutuuka emirundi musanvu.’ Naye Yesu yamugamba: “Si kutuusa emirundi musanvu, wabula Okutuusa emirundi nsanvu mu musanvu.” Yalaga nti Katonda ky’atubanja kinene nnyo bw’okigeraageranya n’ekyo kye tubanja omuntu yenna. (Matayo 18:21-35, NW) Mu ngeri nnyingi twonoona mu maaso ga Katonda buli lunaku​—emirundi egimu olw’okwerowoozaako, olw’ebyo bye twogera oba bye tulowooza, oba olw’ebyo bye tulemererwa okukola, ate ne tutamanya na kumanya nti tukoze ekibi. (Abaruumi 3:23) Kyokka, Katonda yeeyongera okutulaga ekisa. (Zabbuli 103:10-14; 130:3, 4) Ayagala tulage abalala ekisa mu ngeri y’emu. (Matayo 6:14, 15; Abeefeso 4:1-3) Bwe tunaakola bwe tutyo, tujja kuba tulaga okwagala ‘okutasiba bubi ku mwoyo.’​—1 Abakkolinso 13:4, 5; 1 Peetero 3:8, 9.

7. Twandikoze ki singa muganda waffe aba atulinako ekkonda?

7 Emirundi egimu tuyinza okukitegeera nti muganda waffe atulinako ekkonda wadde nga ffe tetulina kibi kye tumukoze. Wadde kiba bwe kityo, twandirese ‘okwagala okubikka’ ku mbeera eyo, nga 1 Peetero 4:8 bwe lugamba. Oba tuyinza okumutuukirira ne twogera naye ne tugezaako okuzzaawo emirembe.​—Matayo 5:23, 24.

8. Singa mukkiriza munnaffe akola ekintu ekitunyiiza, twandikoze ki?

8 Kiyinzika n’okuba nti mukkiriza munno alina ky’akola ekitanyiiza ggwe wekka naye n’abalala. Kyandibadde kirungi okwogerako naye? Oboolyawo. Singa omunnyonnyola ensonga mu ngeri ey’okwagala, kiyinza okuvaamu ebirungi. Naye olina okusooka okwebuuza: ‘Ddala ky’akola kikontana n’ebyawandiikibwa? Oba waliwo ekizibu olw’okuba engeri gye twakuzibwamu ya njawulo?’ Weegendereze obutateekawo mitindo egigyo ku bubwo ate n’osalira abalala omusango okusinziira ku mitindo egyo. (Yakobo 4:11, 12) Yakuwa akkiriza abantu aba buli kika era abagumiikiriza nga beeyongera okukula mu by’omwoyo.

9. (a) Baani abakola ku bibi eby’amaanyi mu kibiina? (b) Ddi lwe bubeera obuvunaanyizibwa bw’oyo akoleddwako ekibi okusooka okubaako ky’akolawo, era aba na kigendererwa ki?

9 Singa omuntu mu kibiina akola ekibi eky’amaanyi, gamba ng’obwenzi, ensonga eyo yandikoleddwako amangu ddala. Baani abandigikozeeko? Abakadde. (Yakobo 5:14, 15) Kyokka, singa omuntu akolebwa ekibi, oboolyawo mu by’obusuubuzi oba nga ayogerwako ebya sswakaba, oyo akoleddwako ekibi yandifubye okutuukirira oyo amukoze ekibi ng’ali yekka. (Matayo 18:15) Singa ensonga tegonjoolwa oluvannyuma lw’ekyo, yandigoberedde emitendera emirala nga bwe kiri mu Matayo 18:16, 17. Okwagala kwe tulina eri muganda waffe asobezza awamu n’okwagala ‘okumufuna’ bijja kutuyamba okukikola mu ngeri eneetusobozesa okutuuka ku mutima gwe.​—Engero 16:23.

10. Bwe wajjawo ekizibu, kiki ekinaatuyamba okulaba ensonga mu ngeri entuufu?

10 Bwe wajjawo ekizibu, ka kibe kinene oba kitono, tujja kuganyulwa singa tutegeera engeri Yakuwa gy’akitunuuliramu. Tasiima kibi kya ngeri yonna, era ekiseera kituuka abakola ebibi eby’amaanyi abateenenya ne bagobebwa mu kibiina kye. Kyokka, tetwerabiranga nti ffenna twonoona mu ngeri entonotono era nga twetaaga Yakuwa okutugumiikiriza n’okutulaga ekisa. N’olwekyo, Yakuwa atuteekeddewo ekyokulabirako eky’okugoberera ng’abalala batukoze ebibi. Bwe tulaga ekisa, tuba twoleka okwagala kwe.​—Abeefeso 5:1, 2.

Noonya Engeri ‘y’Okugaziyamu’ Okwagala Kwo

11. Lwaki Pawulo yakubiriza Abakkolinso ‘okugaziya’ okwagala kwabwe?

11 Pawulo yamala emyezi egiwera ng’azimba ab’oluganda mu kibiina ky’e Kkolinso, ekiri mu Buyonaani. Yafuba nnyo okuyamba ab’oluganda abaaliyo era yabaagala nnyo. Naye abamu tebaamulaga mukwano. Baamuvumirira nnyo. N’olwekyo yabakubiriza ‘okugaziya’ okwagala kwabwe. (2 Abakkolinso 6:11-13; 12:15) Ffenna tulina okwetegereza engeri gye tulagamu abalala okwagala era ne tunoonya engeri y’okukugaziyamu.​—1 Yokaana 3:14.

12. Tuyinza tutya okweyongera okwagala abalala mu kibiina?

12 Tulina abamu mu kibiina abatuzibuwalira okulaga okwagala? Singa tufuba okubikka ku kibi kye batukoze​—nga naffe bwe twandyagadde babikke ku kye tuba tubakoze​—kino kiyinza okuyamba okutereeza enkolagana yaffe nabo. Engeri gye tubatwalamu eyinza okulongooka singa tutunuulira engeri zaabwe ennungi. Mazima ddala kino kijja kutuyamba okweyongera okubaagala.​—Lukka 6:32, 33, 36.

13. Tuyinza tutya okugaziya okwagala kwe tulaga abali mu kibiina?

13 Kyo kituufu, tubaako we tukoma ku bye tuyinza okukolera abalala. Tuyinza obutasobola kubuuza buli omu mu nkuŋŋaana. Kiyinza obutasoboka okuyita buli omu nga tuyise mikwano gyaffe ku kijjulo. Naye tuyinza okugaziya okwagala kwaffe nga tuwaayo eddakiika ntono okumanya obulungi omuntu omu mu kibiina kyaffe? Tuyinza okukola entegeka okubuulira n’omuntu gwe tutamanyi bulungi mu buweereza bw’ennimiro?

14. Nga tuli wamu ne Bakristaayo bannaffe be tutalabangako, tuyinza tutya okulagaŋŋana okwagala okw’amaanyi ffekka na ffekka?

14 Enkuŋŋaana ennene ez’Ekikristaayo zituwa emikisa mingi okugaziya okwagala kwaffe. Ziyinza okubaamu enkumi n’enkumi z’abantu. Bonna tuyinza obutoogera nabo, naye tuyinza okweyisa mu ngeri eraga nti tubafaako. Mu biseera eby’okuwummulamu, tuyinza okufaayo ku balala nga tubuuza abo abatuliraanye. Ekiseera kijja kutuuka nga bonna abali ku nsi baluganda, nga bali bumu mu kusinza Katonda omu ow’amazima era Kitaawe wa bonna. Nga kiriba kya ssanyu okumanyagana! Okwagala okw’amaanyi kujja kutusobozesa okukola ekyo. Lwaki totandikirawo kati?

Eby’Okwejjukanya

• Ebizibu bwe bijjawo mu Bakristaayo, byandigonjoddwa bitya, era lwaki?

• Nga tugenda tukula mu by’omwoyo, okwagala kwaffe nakwo kwandikuze mu ngeri ki?

• Osobola otya okulaga okwagala okw’amaanyi abantu abatali mikwano gyo egy’oku lusegere?

[Ebibuuzo]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 148]

Okwagala kw’Ekikristaayo kweyoleka mu ngeri nnyingi, gamba nga mu nkuŋŋaana z’ekibiina