Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Oyo Bannabbi Bonna Gwe Baayogerako

Oyo Bannabbi Bonna Gwe Baayogerako

Essuula Eyokuna

Oyo Bannabbi Bonna Gwe Baayogerako

1. Ebikwata ku Yesu nga tannafuuka muntu biraga ki ku nkolagana ye ne Yakuwa?

“KITANGE ayagala Omwana, [era] amulaga byonna by’akola.” (Yokaana 5:20) Omwana nga yalina enkolagana ennungi ennyo ne Kitaawe, Yakuwa! Enkolagana eyo ey’oku lusegere yatandika lwe yatondebwa, ekiseera kiwanvu nnyo nga tannazaalibwa ng’omuntu. Oyo ye Mwana wa Katonda eyazaalibwa omu yekka, Yakuwa gwe yeetondera obutereevu. Ebintu ebirala byonna mu ggulu ne ku nsi byatondebwa okuyitira mu Mwana oyo omubereberye, omwagala. (Abakkolosaayi 1:15, 16) Era yaweereza nga Kigambo wa Katonda, oba Omwogezi we, Oyo Katonda gwe yayitiramu okutegeeza abalala by’ayagala. Omwana ono Katonda gwe yali ayagala ennyo, yafuuka omusajja ayitibwa Yesu Kristo.​—Engero 8:22-30; Yokaana 1:14, 18; 12:49, 50.

2. Obunnabbi bwa Baibuli bukoma wa okwogera ku Yesu?

2 Ng’Omwana wa Katonda omubereberye tannazaalibwa ng’omuntu mu ngeri ey’ekyamagero, obunnabbi bungi obumukwatako bwateekebwa mu buwandiike. Omutume Peetero yagamba Koluneeriyo: “Oyo bannabbi bonna bamulangako [“bamwogerako,” NW].” (Ebikolwa 10:43) Ekifo kya Yesu kyayogerwako nnyo mu Baibuli malayika n’atuuka n’okugamba omutume Yokaana: ‘Okuwa obujulirwa ku Yesu kye kiviirako obunnabbi.’ (Okubikkulirwa 19:10, NW) Obunnabbi obwo bwalaga bulungi nti ye Masiya. Bwalaga ebintu ebitali bimu bye yandikoze mu kutuukirizibwa kw’ebigendererwa bya Katonda. Bino byonna byanditukutteko nnyo leero.

Obunnabbi Kye Bwabikkula

3. (a) Mu bunnabbi obuli mu Olubereberye 3:15, kiki ekikiikirirwa omusota, “omukazi,” ne ‘ezzadde ly’omusota’? (b) Lwaki ‘okubetenta omutwe gw’omusota’ nsonga nkulu eri abaweereza ba Yakuwa?

3 Obumu ku bunnabbi obwo bwaweebwa oluvannyuma lw’obujeemu obwaliwo mu Adeni. Yakuwa yagamba omusota: “Obulabe n’abuteekanga wakati wo n’omukazi, era ne wakati w’ezzadde lyo n’ezzadde ly’omukazi: (ezzadde ly’omukazi) lirikubetenta omutwe, naawe oliribetenta ekisinziiro.” (Olubereberye 3:15) Ebigambo ebyo eby’obunnabbi byayolekezebwa eri Setaani, eyali akiikirirwa omusota. “Omukazi” ye ntegeka ya Yakuwa ey’omu ggulu, eringa omukyala omwesigwa gy’ali. ‘Ezzadde ly’omusota’ lizingiramu bamalayika n’abantu bonna abooleka omwoyo gwa Setaani, abo abaziyiza Yakuwa n’abantu Be. ‘Okubetenta omutwe gw’omusota’ kitegeeza okuzikirizibwa kwa Setaani, eyayogera eby’obulimba ku Yakuwa era n’aleetera olulyo lw’omuntu ennaku nnyingi. Naye ekitundu ekikulu ‘eky’ezzadde’ eryandibesense omusota kye kiruwa? Ekyo kyasigala nga ‘kyama’ okumala ebyasa n’ebyasa.​—Abaruumi 16:20, 25, 26.

4. Olunyiriri lwa Yesu olw’obuzaale lwayamba lutya okulaga nti ye yali Ezzadde eryasuubizibwa?

4 Ng’abantu baakabeera ku nsi emyaka nga 2,000, Yakuwa yamanyisa ebisingawo. Yagamba nti Ezzadde lyandiyitidde mu lunyiriri lwa Ibulayimu. (Olubereberye 22:15-18) Kyokka, abandibadde mu lunyiriri olwandituusizza ku Zzadde eryo bandibadde abo Katonda be yandironze nga tasinziira ku lunyiriri olw’obuzaale lwokka. Wadde nga Ibulayimu yali ayagala nnyo mutabani we Isimaeri gwe yazaala mu Kaggali, Yakuwa yagamba: “Endagaano yange n[n]aaginywezanga eri Isaaka, Saala gw’alikuzaalira.” (Olubereberye 17:18-21) Oluvannyuma, endagaano eyo yakakasibwa eri Yakobo, ebika 12 ebya Isiraeri mwe byasibuka, so si eri Esawu, omwana wa Isaaka omuggulanda. (Olubereberye 28:10-14) Oluvannyuma, kyamanyisibwa nti Ezzadde lyandiyitidde mu kika kya Yuda, mu lunyiriri lwa Dawudi.​—Olubereberye 49:10; 1 Ebyomumirembe 17:3, 4, 11-14.

5. Yesu bwe yatandika obuweereza bwe ku nsi, kiki ekyalaga nti ye yali Masiya?

5 Biki ebirala ebyandiyambye mu kwawulawo Ezzadde? Ng’ekyabulayo emyaka nga 700 Ezzadde eryasuubizibwa lizaalibwe, Baibuli yagamba nti lyandizaaliddwa mu Besirekemu. Era yabikkula nti Ezzadde eryo lyaliwo okuva ‘edda n’edda,’ okuva bwe lyatondebwa mu ggulu. (Mikka 5:2) Ekiseera kyennyini lwe yandirabise ku nsi nga Masiya nakyo kyalagulibwa, okuyitira mu nnabbi Danyeri. (Danyeri 9:24-26) Era Yesu bwe yafukibwako omwoyo omutukuvu, n’afuuka Oyo Yakuwa gwe Yafukako amafuta, eddoboozi lya Katonda kennyini okuva mu ggulu lyagamba nti oyo ye Mwana We. (Matayo 3:16, 17) Ezzadde lyamanyika! Bwe kityo, Firipo yali asobola okwogera nga yeekakasa nti: “Tulabye oyo Musa gwe yawandiikako mu [M]ateeka ne [B]annabbi, Yesu.”​—Yokaana 1:45.

6. (a) Okusinziira ku Lukka 24:27, abagoberezi ba Yesu baategeera ki? (b) Ekitundu ekikulu ‘eky’ezzadde ly’omukazi’ y’ani, era ye okubetenta omutwe gw’omusota kitegeeza ki?

6 Oluvannyuma lw’ekyo, abagoberezi ba Yesu baakitegeera nti obunnabbi bungi nnyo mu Byawandiikibwa ebyaluŋŋamizibwa bwali bumwogerako. (Lukka 24:27) Kyeyongera okweyoleka obulungi nti Yesu ye yali ekitundu ekikulu ekya “ezzadde ly’omukazi,” eryandibesense omutwe gw’omusota, n’azikiririza ddala Setaani. Okuyitira mu Yesu, ebisuubizo bya Katonda byonna eri abantu, ebintu byonna bye twegomba, bijja kutuukirizibwa.​—2 Abakkolinso 1:20.

7. Ng’oggyeko okutegeera Oyo ayogerwako mu bunnabbi, kiki ekirala ekyetaagisa?

7 Okumanya ekyo kyanditukutteko kitya? Baibuli eyogera ku Omuwesiyopya omulaawe eyasoma obumu ku bunnabbi obwo obukwata ku Mununuzi era Masiya eyali ow’okujja. Olw’okuba yali tabutegeera, yabuuza Firipo omubuulizi w’enjiri: ‘Nnabbi ayogera ku ani?’ Omulaawe teyakoma awo bwe yaddibwamu ekibuuzo kye. Oluvannyuma lwa Firipo okumunnyonnyola, omusajja oyo yakitegeera nti okulaga nti yali asiima obunnabbi obwo obwali butuukiriziddwa kyali kimwetaagisa okubaako ky’akolawo. Yakitegeera nti kyali kimwetaagisa okubatizibwa. (Ebikolwa 8:32-38; Isaaya 53:3-9) Naffe tukola kye kimu?

8. (a) Ibulayimu okugezaako okuwaayo Isaaka kyali kikiikirira ki? (b) Lwaki Yakuwa yagamba Ibulayimu nti amawanga gonna gandifunye omukisa okuyitira mu zzadde lye, era kino kitukwatako kitya leero?

8 Era lowooza ku kikolwa kya Ibulayimu eky’okugezaako okuwaayo Isaaka, omwana yekka gwe yazaala mu Saala. (Olubereberye 22:1-18) Ekyo kyalaga Yakuwa kye yandikoze, okuwaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka: “Katonda bwe yayagala ensi bw’ati, n’okuwaayo n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme okubula, naye abeere n’obulamu obutaggwaawo.” (Yokaana 3:16) Kino kitukakasa nti nga Yakuwa bwe yawaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka okutuukiriza ekigendererwa Kye, era ajja ‘kutugabira n’ebintu ebirala byonna.’ (Abaruumi 8:32) Kiki kye twetaaga okukola? Nga bwe kiri mu Olubereberye 22:18, Yakuwa yagamba Ibulayimu nti amawanga gonna gandifunye omukisa okuyitira mu Zzadde lye, ‘olw’okuba Ibulayimu yali awulirizza eddoboozi lya Katonda.’ Naffe twetaaga okuwuliriza Yakuwa n’Omwana we: “Akkiriza Omwana alina obulamu obutaggwaawo; naye atakkiriza Mwana, taliraba bulamu, naye obusungu bwa Katonda bubeera ku ye.”​—Yokaana 3:36.

9. Singa tusiima essuubi ery’obulamu obutaggwaawo bwe tunaafuna okuyitira mu ssaddaaka ya Yesu, kiki kye tunaakola?

9 Singa tusiima essuubi ery’obulamu obutaggwaawo bwe tunaafuna okuyitirira mu ssaddaaka ya Yesu, tujja kukola ebyo Yakuwa by’atutegeezezza okuyitira mu Yesu. Ebyo, by’atutegeezezza bikwatagana n’okwagala Katonda ne baliraanwa baffe. (Matayo 22:37-39) Yesu yalaga nti okwagala kwe tulina eri Yakuwa kwanditukubirizza okuyigiriza abalala ‘okukwata ebintu byonna Yesu bye yatulagira.’ (Matayo 28:19, 20) Era twagala okulaga okwagala eri abo bwe tuweereza awamu Yakuwa nga tetwosa ‘kukuŋŋaana wamu’ nabo. (Abaebbulaniya 10:25; Abaggalatiya 6:10) Era nga tuwuliriza Katonda n’Omwana we, tetwandirowoozezza nti batusuubira okubeera abantu abatuukiridde. Abaebbulaniya 4:15, lugamba nti Yesu, Kabona waffe Omukulu, ‘alumirwa wamu naffe mu bunafu bwaffe.’ Kino nga kizzaamu nnyo amaanyi, naddala bwe tutuukirira Katonda mu kusaba okuyitira mu Kristo okufuna obuyambi okuvvuunuka obunafu bwaffe!​—Matayo 6:12.

Kkiririza mu Kristo

10. Lwaki tewaliwo bulokozi mu muntu mulala yenna okuggyako Yesu Kristo?

10 Oluvannyuma lw’okutegeeza olukiiko lw’Abayudaaya mu Yerusaalemi nti obunnabbi bwa Baibuli bwali butuukiriziddwa mu Yesu, omutume Peetero yagamba: “So tewali mu [muntu] mulala bulokozi, kubanga tewali na linnya ddala wansi w’eggulu eryaweebwa abantu eritugwanira okutulokola.” (Ebikolwa 4:12) Okuva ezzadde lya Adamu bonna bwe bali aboonoonyi, obulamu bwabwe tebulina muwendo gwonna oguyinza okukozesebwa ng’ekinunulo ku lw’omuntu yenna. Naye Yesu yali atuukiridde, era obulamu bwe bwali busobola okuweebwayo nga ssaddaaka. (Zabbuli 49:6-9; Abaebbulaniya 2:9) Yawaayo eri Katonda ekinunulo ekyali kyenkanankana n’obulamu obutuukiridde Adamu bwe yabuza. (1 Timoseewo 2:5, 6) Kino kyatuggulirawo ekkubo ery’okufuna obulamu obutaggwaawo mu nsi ya Katonda empya.

11. Nnyonnyola engeri ssaddaaka ya Yesu gy’eyinza okutuganyulamu.

11 Ekinunulo kyatuggulirawo ekkubo okufuna emiganyulo emirala kati. Ng’ekyokulabirako, wadde tuli boonoonyi, ssaddaaka ya Yesu etusobozesa okufuna omuntu ow’omunda omulungi olw’okusonyiyibwa ekibi. Kino kisingira wala nnyo ekyo Abaisiraeri kye baafunanga okuyitira mu ssaddaaka z’ebisolo ezaali zeetaagisibwa mu Mateeka ga Musa. (Ebikolwa 13:38, 39; Abaebbulaniya 9:13, 14; 10:22) Kyokka, okusobola okufuna okusonyiyibwa ng’okwo, kitwetaagisa okukkiriza nti ddala twetaaga ssaddaaka ya Kristo: “Bwe twogera [nti] tetulina kibi, twekyamya fekka so nga n’amazima tegali mu ffe. Bwe twatula ebibi byaffe, ye wa mazima era omutuukirivu okutusonyiwa ebibi byaffe, n’okutunaazaako byonna ebitali bya butuukirivu.”​—1 Yokaana 1:8, 9.

12. Lwaki okubatizibwa mu mazzi kikulu nnyo okusobola okufuna omuntu ow’omunda omulungi mu maaso ga Katonda?

12 Aboonoonyi bayinza batya okwoleka okukkiriza mu Kristo ne ssaddaaka ye? Abantu mu kyasa ekyasooka bwe baafuuka abakkiriza, baakiraga mu lujjudde. Batya? Baabatizibwa. Lwaki? Kubanga Yesu yalagira nti abayigirizwa be bonna balina okubatizibwa. (Matayo 28:19, 20; Ebikolwa 8:12; 18:8) Omuntu tajja kulonzalonza ng’omutima gwe gukwatiddwako olw’ekikolwa kya Yakuwa eky’okwagala okuyitira mu Yesu. Ajja kukola enkyukakyuka zonna ezeetaagisa mu bulamu bwe, aweeyo obulamu bwe eri Katonda okuyitira mu kusaba, era alage nti yeewaddeyo ng’abatizibwa mu mazzi. Mu kulaga okukkiriza mu ngeri eno, aba ‘asaba Katonda amuwe omuntu ow’omunda omulungi.’​—1 Peetero 3:21, NW.

13. Singa tukitegeera nti tukoze ekibi, kiki kye twandikoze, era lwaki?

13 Kya lwatu, wadde oluvannyuma lw’okubatizibwa, tujja kusobya. Kati olwo twandikoze ki? Omutume Yokaana yagamba: “Mbawandiikidde ebyo mulemenga okukola ekibi. Era omuntu yenna bw’akola ekibi, tulina Omuwolereza eri Kitaffe, Yesu Kristo omutuukirivu: n’oyo gwe mutango olw’ebibi byaffe.” (1 Yokaana 2:1, 2) Kino kitegeeza nti ka tube nga tukoze ki, singa tusaba Katonda okutusonyiwa, ajja kutusonyiwa? Nedda. Ekisinziirwako okusonyiyibwa, kwe kwenenya mu bwesimbu. Era obuyambi buyinza okufunibwa okuva eri abo abakuze mu by’omwoyo, abalina obumanyirivu obusingawo mu kibiina Ekikristaayo. Tuteekwa okukkiriza ekibi kye tukoze era ne tukinakuwalira tusobole okwewala okukiddamu. (Ebikolwa 3:19; Yakobo 5:13-16) Singa tukola bwe tutyo, tuyinza okuba abakakafu nti Yesu ajja kutuyamba era nti tujja kuddamu okusiimibwa Yakuwa.

14. (a) Nnyonnyola engeri enkulu ssaddaaka ya Yesu gy’etuganyuddemu. (b) Singa ddala tuba n’okukkiriza, kiki kye tunaakola?

14 Ssaddaaka ya Yesu egguliddewo ‘ab’akasibo akatono,’ ekkubo ery’okufuna obulamu obutaggwaawo mu ggulu. Akasibo ako akatono, kye kitundu eky’okubiri eky’ezzadde eryogerwako mu Olubereberye 3:15. (Lukka 12:32; Abaggalatiya 3:26-29) Era egguliddewo obuwumbi n’obuwumbi bw’abantu ekkubo ery’okufuna obulamu obutaggwaawo mu lusuku lwa Katonda ku nsi. (Zabbuli 37:29; Okubikkulirwa 20:11, 12; 21:3, 4) Obulamu obutaggwaawo ‘kirabo Katonda ky’awa okuyitira mu Kristo Yesu, Mukama waffe.’ (Abaruumi 6:23; Abeefeso 2:8-10) Bwe tuba tukkiririza mu kirabo ekyo era ne tusiima engeri gye kyatuweebwamu, tujja kukyoleka mu bikolwa. Bwe tutegeera engeri Yakuwa gy’akozesezzaamu Yesu mu kutuukiriza by’Ayagala era n’engeri gye kiri ekikulu ffenna okutambulira mu bigere bya Yesu, tujja kufuula obuweereza bwaffe obw’Ekikristaayo ekintu ekisingayo obukulu mu bulamu bwaffe. Okukkiriza kwaffe kujja kweyoleka mu ngeri gye tubuuliramu abalala ebikwata ku kirabo ekyo eky’ekitalo ekyava eri Katonda.​—Ebikolwa 20:24.

15. Okukkiririza mu Yesu Kristo kutusobozesa kutya okuba obumu?

15 Ng’okukkiriza okwo kutusobozesa okuba obumu! Okuyitira mu kukkiriza okwo, enkolagana yaffe ne Yakuwa, Omwana we, n’abalala mu kibiina Ekikristaayo yeeyongera okunywera. (1 Yokaana 3:23, 24) Kutuleetera okusanyuka olw’okuba Yakuwa awadde Omwana we alina “erinnya liri erisinga amannya gonna [okuggyako erinnya lya Katonda]; buli vviivi lifukaamirirenga erinnya lya Yesu, ery’eby’omu ggulu n’eby’oku nsi n’ebya wansi w’ensi, era buli lulimi lwatulenga nga Yesu Kristo ye Mukama waffe, Katonda Kitaffe aweebwe ekitiibwa.”​—Abafiripi 2:9-11.

Eby’Okwejjukanya

• Masiya bwe yalabika, lwaki abo abaali bakkiririza mu Kigambo kya Katonda baasobola okumutegeera?

• Bintu ki bye twandikoze okulaga nti tusiima ssaddaaka ya Yesu?

• Ssaddaaka ya Yesu etuganyudde mu ngeri ki? Okumanya kino kituyamba kitya nga tusaba Yakuwa okutusonyiwa ebibi?

[Ebibuuzo]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 36]

Yesu yagamba abagoberezi be nti bateekwa okuyigiriza abalala okukwata ebiragiro bya Katonda