Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Tendereza Yakuwa nga Katonda Omu Yekka ow’Amazima

Tendereza Yakuwa nga Katonda Omu Yekka ow’Amazima

Essuula Eyokubiri

Tendereza Yakuwa nga Katonda Omu Yekka ow’Amazima

1. Katonda omu yekka ow’amazima y’ani?

BAIBULI egamba nti wadde waliwo bangi abatwalibwa nga bakatonda, “gye tuli waliwo Katonda omu, Kitaffe.” (1 Abakkolinso 8:5, 6) ‘Katonda oyo omu’ ye Yakuwa, Omutonzi w’ebintu byonna. (Ekyamateeka 6:4; Okubikkulirwa 4:11) Yesu yamuyita “Katonda wange era Katonda wammwe.” (Yokaana 20:17) Yakkiriziganya ne Musa, emabegako eyagamba: ‘Yakuwa ye Katonda; tewali mulala wabula ye.’ (Ekyamateeka 4:35) Yakuwa asingira wala nnyo byonna ebisinzibwa, gamba ng’ebifaananyi ebyole, abantu abatwalibwa okuba bakatonda, oba omulabe we Setaani Omulyolyomi, “katonda ow’emirembe gino.” (2 Abakkolinso 4:3, 4) Okwawukana ku bino byonna, Yesu yagamba nti Yakuwa ye ‘Katonda omu ow’amazima.’​—Yokaana 17:3.

2. Nga tuyiga ebikwata ku Katonda, obulamu bwaffe bwandikwatiddwako butya?

2 Abantu abasiima bwe bayiga ku ngeri za Katonda ennungi awamu ne by’akoze era ne by’ajja okutukolera, batandika okumwagala. Okwagala kwabwe eri Yakuwa bwe kweyongera, kibaleetera okumutendereza. Batya? Engeri emu gye bakikolamu kwe kubuulira abalala ebimukwatako. Abaruumi 10:10 lugamba, ‘omuntu ayatula na kamwa okulokoka.’ Engeri endala kwe kumukoppa mu bigambo ne mu bikolwa. Abeefeso 5:1 (NW) lugamba: “Mukoppenga Katonda ng’abaana abaagalwa.” Okukola ekyo mu bujjuvu, twetaaga okumanya engeri za Yakuwa.

3. Engeri za Katonda enkulu ze ziruwa?

3 Engeri za Katonda ezisikiriza zoogerwako nnyo mu Baibuli yonna. Engeri ze enkulu ennya ziri, amagezi, obwenkanya, amaanyi n’okwagala. ‘Alina amagezi.’ (Yobu 12:13) ‘Amakubo ge gonna ga bwenkanya.’ (Ekyamateeka 32:4, NW) ‘Alina amaanyi mangi.’ (Isaaya 40:26, NW) ‘Katonda kwagala.’ (1 Yokaana 4:8) Kyokka, ku ngeri ze ennya enkulu, eruwa esinga obukulu era esingayo okulaga ddala ky’ali?

“Katonda Kwagala”

4. Okusingira ddala, ngeri ki eyakubiriza Katonda okutonda obwengula n’ebiramu byonna?

4 Lowooza ku kyakubiriza Yakuwa okutonda obwengula n’ebibulimu byonna awamu n’ebitonde eby’omwoyo n’eby’omubiri ebirina amagezi. Gaali magezi ge oba maanyi? Nedda. Wadde nga nabyo Katonda yabikozesa, si bye byamukubiriza okutonda. Era obwenkanya bwe bwali tebumwetaagisa kuwa bitonde bulamu. Wabula, okwagala kwa Katonda okungi kwamukubiriza okutonda ebitonde ebirala ebirina amagezi. Olw’okwagala, yalina ekigendererwa abantu babeere mu Lusuku lwe emirembe gyonna. (Olubereberye 1:28; 2:15) Okwagala kwamuleetera okukola enteekateeka okuggyawo embeera embi ekibi kya Adamu ze kyaleetera abantu.

5. Okusinziira ku Baibuli, Yakuwa asinga kwoleka ngeri ki, era lwaki?

5 N’olwekyo, mu ngeri za Katonda zonna, esinga obukulu kwe kwagala. Ye kennyini kwagala. Wadde amagezi, obwenkanya, n’amaanyi bikulu, Baibuli tegamba nti Yakuwa ali kimu ku bintu ebyo. Naye egamba nti ye kwagala. Yee, Yakuwa y’ayolekera ddala okwagala kye kuli. Kuno kwagala okwesigamye ku misingi so si ku nneewulira. Okwagala kwa Katonda kugoberera emisingi egy’amazima n’obutuukirivu. Kye kika ky’okwagala ekisingayo obukulu, ekyolesebwa Yakuwa Katonda kennyini. Okwagala ng’okwo tekubaamu kwerowoozaako era bulijjo kubaako ebikolwa ebikwoleka.

6. Kiki ekitusobozesa okukoppa Katonda wadde ng’atusingira wala?

6 Engeri eno ey’ekitalo ey’okwagala y’etusobozesa okukoppa Katonda ng’oyo. Kyokka, olw’okuba tuli bantu abatatuukiridde, abakola ensobi buli kiseera, tuyinza okulowooza nti tetuyinza kukoppa Katonda. Naye, lowooza ku kyokulabirako ekirala eky’okwagala kwa Yakuwa okungi: Amanyi ekkomo lyaffe era akimanyi nti tetutuukiridde. (Zabbuli 51:5) Eyo ye nsonga lwaki Zabbuli 130:3, 4 zigamba: “Bw’onoobalanga ebitali bya butuukirivu, Ai Mukama, aliyimirira aluwa? Naye waliwo okusonyiwa w’oli.” Yee, Yakuwa ye “Katonda ajjudde okusaasira era ow’ekisa, alwawo okusunguwala, era alina okusaasira okungi.” (Okuva 34:6) “Ggwe, Mukama, oli mulungi, oyanguwa okusonyiwa.” (Zabbuli 86:5) Ekyo nga kizzaamu nnyo amaanyi! Nga kizzaamu nnyo endasi okuweereza Katonda ono ow’ekitalo era n’okumanya nti atwagala era atulaga obusaasizi!

7. Okwagala kwa Yakuwa kuyinza kulabibwa kutya mu bye yatonda?

7 Okwagala kwa Yakuwa era kuyinza okulabibwa mu bye yatonda. Lowooza ku bintu ebingi Yakuwa by’atuwadde ebituleetera essanyu, gamba ng’ensozi ezifaanana obulungi, ebibira, ennyanja n’agayanja aganene. Atuwadde emmere ey’ebika eby’enjawulo ewooma ennyo era etubeesaawo. Era, Yakuwa atuwadde ebimuli eby’ebika eby’enjawulo ebirina akaloosa awamu n’ebisolo ebisanyusa. Yakola ebintu ebyandireetedde abantu essanyu newakubadde nga kyali tekimwetaagisa kukikola. Kyo kituufu nti nga tukyali mu mbeera yaffe ey’obutali butuukirivu mu nsi eno embi, tetuyinza kufuna ssanyu mu bujjuvu mu bitonde bye. (Abaruumi 8:22) Naye, lowooza ku ebyo Yakuwa by’anaatukolera mu Lusuku lwe! Omuwandiisi wa Zabbuli atukakasa: “Oyanjuluza engalo zo, n’okussa buli kintu [e]kiramu bye kyagala.”​—Zabbuli 145:16.

8. Ekikolwa ekisingirayo ddala obukulu eky’okwagala kwa Yakuwa gye tuli kye kiruwa?

8 Ekikolwa ekisingirayo ddala obukulu ekiraga okwagala kwa Yakuwa kye kiruwa? Baibuli egamba: “Katonda bwe yayagala ensi bw’ati, n’okuwaayo n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme okubula, naye abeere n’obulamu obutaggwaawo.” (Yokaana 3:16) Yakuwa yakola ekyo kubanga abantu baali balungi? Abaruumi 5:8, luddamu: “Katonda atenderezesa okwagala kwe ye gye tuli, kubanga bwe twali nga tukyalina ebibi Kristo n’atufiirira.” Mazima ddala, Katonda yasindika Omwana we atuukiridde ku nsi aweeyo obulamu bwe nga ssaddaaka ey’okutununula mu kibi n’okufa. (Matayo 20:28) Kino kyaggulirawo abantu abaagala Katonda, ekkubo ery’okufuna obulamu obutaggwaawo. Okwagala kwa Katonda kutuuka ku bantu bonna abaagala okukola by’ayagala, kubanga Baibuli egamba: “Katonda tasosola mu bantu: naye mu ggwanga lyonna amutya n’akola obutuukirivu amukkiriza.”​—Ebikolwa 10:34, 35.

9. Yakuwa okuwaayo Omwana we ng’ekinunulo ku lwaffe, kyandituleetedde kukola ki?

9 Okuva Yakuwa bwe yawaayo Omwana we ng’ekinunulo ku lwaffe tusobole okufuna obulamu obutaggwaawo, ekyo kyandituleetedde kukozesa tutya obulamu bwaffe? Kyandituleetedde okweyongera okwagala Yakuwa, Katonda ow’amazima. Era, kyandituleetedde okwagala okuwuliriza Yesu, akiikirira Katonda. “[Yesu] yafiirira bonna, abalamu balemenga okubeera abalamu nate ku bwabwe bokka, wabula ku bw’oyo eyabafiirira.” (2 Abakkolinso 5:15) Nga kya ssanyu nnyo okutambulira mu bigere bya Yesu, kubanga yassaawo ekyokulabirako ekirungi mu kukoppa okwagala kwa Yakuwa n’obusaasizi bwe! Kino kirabikira mu ebyo Yesu bye yategeeza abeetoowaze: “Mujje gye ndi, mmwe mwenna abakooye era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza. Mwetikke ekikoligo kyange, muyigire ku nze; kubanga ndi muteefu era omuwombeefu mu mutima: nammwe muliraba ekiwummulo eky’omu myoyo gyammwe. Kubanga ekikoligo kyange si kizibu, n’omugugu gwange mwangu.”​—Matayo 11:28-30.

Okulaga Abalala Okwagala

10. Ngeri ki ezimu mwe tuyinza okulagira Bakristaayo bannaffe okwagala?

10 Tuyinza tutya okulaga nti twagala Bakristaayo bannaffe nga Yakuwa ne Yesu bwe batwagala? Weetegereze engeri ezitali zimu gye tuyinza okukikolamu: “Okwagala kugumiikiriza, kulina ekisa; okwagala tekuba na buggya; okwagala tekwekulumbaza, tekwegulumiza. Tekukola bitasaana, tekunoonya byakwo, tekunyiiga, tekusiba bubi ku mwoyo; tekusanyukira bitali bya butuukirivu, naye kusanyukira wamu n’amazima; kugumiikiriza byonna, kukkiriza byonna, kusuubira byonna, kuzibiikiriza byonna. Okwagala tekuggwaawo emirembe gyonna.”​—1 Abakkolinso 13:4-8; 1 Yokaana 3:14-18; 4:7-12.

11. Baani abalala be twandiraze okwagala, era tutya?

11 Baani abalala be tusaanidde okulaga okwagala, era tukulaga tutya? Yesu yagamba: “Kale mugende, mufuule amawanga gonna abayigirizwa, nga mubabatiza okuyingira mu linnya lya Kitaffe n’Omwana n’[o]mwoyo [o]mutukuvu; nga mubayigiriza okukwata byonna bye nnabalagira mmwe.” (Matayo 28:19, 20) Kino kizingiramu okubuulira abatannafuuka Bakristaayo amawulire amalungi agakwata ku lusuku lwa Katonda. Yesu yakiraga bulungi nti tetusaanidde kwagala abo bokka bwe tuli obumu mu kukkiriza, kubanga yagamba: “Bwe munaayagalanga ababaagala, mulina mpeera ki? [N]’abawooza tebakola bwe batyo? Bwe munaalamusanga baganda bammwe bokka, munaabasinzangawo ki? [N]’ab’amawanga tebakola bwe batyo?”​—Matayo 5:46, 47; 24:14; Abaggalatiya 6:10.

‘Mutambulire mu Linnya lya Yakuwa’

12. Lwaki erinnya lya Katonda liyinza kuyitibwa ye yekka?

12 Engeri endala enkulu ey’okugulumiza Katonda ow’amazima, kwe kumanya erinnya lye Yakuwa, okulikozesa n’okuliyigiriza abalala. Omuwandiisi wa Zabbuli yayoleka endowooza eno: “Balyoke bategeerenga nga ggwe wekka, erinnya lyo YAKUWA, Oli waggulu nnyo ng’ofuga ensi yonna.” (Zabbuli 83:18) Erinnya Yakuwa litegeeza “Asobozesa Ebintu Okubaawo.” Y’Oyo Omukulu ennyo Ateekateeka era n’atuukiriza ebigendererwa bye bulijjo. Era Katonda ow’amazima yekka y’ayinza okuyitibwa erinnya eryo, kubanga abantu tebayinza kuba bakakafu obanga banaatuuka ku buwanguzi. (Yakobo 4:13, 14) Yakuwa yekka y’ayinza okugamba nti ekigambo kye ‘kiriraba omukisa’ mu ekyo kye yakituma. (Isaaya 55:11) Bangi baasanyuka nnyo lwe baasooka okulaba erinnya lya Katonda mu Baibuli zaabwe era ne bayiga ne kye litegeeza. (Okuva 6:3) Bajja kuganyulwa mu bye bayiga, singa ‘banaatambulira mu linnya lya Yakuwa emirembe gyonna.’​—Mikka 4:5.

13. Okumanya erinnya lya Yakuwa era n’okutambulira mu linnya lye bizingiramu ki?

13 Ku bikwata ku linnya lya Katonda, Zabbuli 9:10, lugamba: “N’abo abamanyi erinnya lyo baneesiganga ggwe.” Kino kisingawo ku kumanya obumanya erinnya Yakuwa, kuba okulimanya obumanya tekitegeeza nti omwesiga. Okumanya erinnya lya Katonda kitegeeza okutegeera n’okusiima engeri za Yakuwa, okussa ekitiibwa mu buyinza bwe, okugondera amateeka ge, n’okumwesiga mu buli kintu kyonna. (Engero 3:5, 6) Mu ngeri y’emu, okutambulira mu linnya lya Yakuwa kitegeeza okwewaayo gy’ali n’okumukiikirira ng’omu ku basinza be, ng’okola by’ayagala. (Lukka 10:27) Bw’otyo bw’okola?

14. Ng’oggyeko okukitwala nti buvunaanyizibwa bwaffe, kiki ekirala ekyetaagisa bwe tuba ab’okuweereza Yakuwa emirembe gyonna?

14 Bwe tuba ab’okuweereza Yakuwa emirembe gyonna, tetwandikikoze olw’okutuukiriza obutuukiriza omukolo. Omutume Pawulo yakubiriza bw’ati Timoseewo, eyali amaze emyaka mingi ng’aweereza Yakuwa: ‘Weemalire ku Katonda’ (1 Timoseewo 4:7, NW) Okusobola okwemalira ku muntu oteekwa okuba ng’omwagalira ddala okuva mu mutima. ‘Okwemalira ku Yakuwa’ kiba kiraga nti omussaamu nnyo ekitiibwa. Kiba kiraga nti omwagala nnyo kubanga omussaamu ekitiibwa awamu n’amakubo ge. Kutuleetera okwagala buli muntu asse ekitiibwa mu linnya lye. Tuteekwa okwemalira ku Katonda bwe tuba ab’okutambulira mu linnya lye Yakuwa, Katonda omu yekka ow’amazima, emirembe gyonna.​—Zabbuli 37:4; 2 Peetero 3:11.

15. Tuyinza tutya okwemalira ku Katonda?

15 Okusinza Katonda mu ngeri esiimibwa, tuteekwa okusinza ye yekka, okuva bw’ali ‘Katonda ow’obuggya.’ (Okuva 20:5) Tetuyinza kuba nga twagala Katonda ate mu kiseera kye kimu nga twagala ensi eno embi efugibwa Setaani. (Yakobo 4:4; 1 Yokaana 2:15-17) Yakuwa amanyi bulungi buli omu ku ffe ky’ali. (Yeremiya 17:10) Bwe tuba nga ddala twagala obutuukirivu, akiraba era ajja kutuyamba okugumira okugezesebwa kwe twolekagana nakwo buli lunaku. Ng’atuwagira n’omwoyo gwe omutukuvu ogw’amaanyi, ajja kutusobozesa okuwangula obubi obucaase ennyo mu nsi. (2 Abakkolinso 4:7) Era ajja kutuyamba okubeera n’essuubi ery’ekitalo ery’okufuna obulamu obutaggwaawo mu lusuku lwe ku nsi. Eryo nga ssuubi lya kitalo! Twandirisiimye, era ne tuweereza Katonda ow’amazima, Yakuwa, atuwadde essuubi eryo ery’obulamu obutaggwaawo.

16. Kiki kye wandyagadde okukolera awamu n’obukadde n’obukadde bw’abantu abalala?

16 Obukadde n’obukadde bw’abantu mu nsi yonna baanukudde omulanga gw’omuwandiisi wa Zabbuli eyagamba: “Mumukuze Mukama wamu nange, tugulumize erinnya lye fenna.” (Zabbuli 34:3) Yakuwa akuyita obeere omu ku bantu abakola bwe batyo, era abagenda nga beeyongera mu mawanga gonna.

Eby’Okwejjukanya

• Yakuwa muntu wa ngeri ki? Tuganyulwa tutya bwe tutegeera obulungi engeri ze?

• Tuyinza tutya okuyamba abalala okuyiga amazima agakwata ku Katonda?

• Okumanya erinnya lya Yakuwa n’okutambulira mu linnya lye bizingiramu ki?

[Ebibuuzo]

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 14]

Olw’okwagala kwe okungi, Yakuwa ajja ‘kwanjuluza engalo ze akkuse buli kiramu bye kyagala’