Ani Ayinza Okwaŋŋanga Omulangira w’Abalangira?
Essuula ey’Ekkumi
Ani Ayinza Okwaŋŋanga Omulangira w’Abalangira?
1, 2. Lwaki okwolesebwa Danyeri kwe yafuna mu mwaka ogw’okusatu ogw’obufuzi bwa Berusazza kukulu gye tuli?
WAAKAYITAWO emyaka 57 kasookedde yeekaalu ya Yakuwa ey’omu Yerusaalemi ezikirizibwa. Berusazza ne kitaawe, Nabonidasi, bafugira wamu Obwakabaka bwa Babulooni, obufuzi kirimaanyi obw’okusatu mu bunnabbi bwa Baibuli. * Danyeri, nnabbi wa Katonda, ali mu buwaŋŋanguse e Babulooni. Era “mu mwaka ogw’okusatu mu mirembe gya Berusazza kabaka,” Yakuwa ayolesa Danyeri ebintu ebimu ebikwata ku kuzzibwawo kw’okusinza okw’amazima.—Danyeri 8:1.
2 Okwolesebwa okw’obunnabbi Danyeri kwe yafuna kulina kinene kye kwamukolako era ffe abaliwo mu ‘kiseera eky’enkomerero’ kutukwatako nnyo. Malayika Gabulyeri agamba Danyeri: “N[n]aakutegeeza ebiribaawo mu kiseera eky’enkomerero eky’okunyiigiramu: kubanga bya kiseera kya nkomerero ekyateekebwawo.” (Danyeri 8:16, 17, 19, 27) Nga tussizaayo ddala omwoyo, ka twekenneenye Danyeri bye yalaba ne kye bitegeeza gye tuli leero.
ENDIGA ENSAJJA EY’AMAYEMBE ABIRI
3, 4. Nsolo ki Danyeri gye yalaba ng’eyimiridde ku mugga, era ekiikirira ki?
3 Danyeri yawandiika: “Ne ndaba mu ebyo ebyanjolesebwa: ne kiba bwe kiti; bwe nnalaba n[n]ali mu lubiri lw’e Susani, oluli mu ssaza Eramu: ne ndaba mu ebyo ebyanjolesebwa, era nnali ku mugga Ulaayi.” (Danyeri 8:2) Tetutegeezebwa obanga Danyeri yaliyo ddala mu Susani (Susa), ekibuga ekikulu ekya Eramu, ekyali mayiro nga 220 ebuvanjuba bwa Babulooni oba yaliyo mu ngeri ya kwolesebwa.
4 Danyeri yeeyongera okugamba: “Ne ndyoka nnyimusa amaaso gange, ne ndaba, era, laba, endiga ensajja eyalina amayembe abiri n’eyimirira ku mabbali g’omugga.” (Danyeri 8:3a) Danyeri ategeezebwa endiga ensajja ky’ekiikirira. Malayika Gabulyeri oluvannyuma amugamba: “Endiga ensajja gy’olabye ebadde n’amayembe abiri, be bakabaka ab’Obumeedi n’Obuperusi.” (Danyeri 8:20) Abameedi baasibuka mu nsozi eziri ebuvanjuba bwa Bwasuli, ate Abaperusi baalinga basengukasenguka okuva mu kifo ekimu okudda mu kirala eyo ebukiika kkono w’Ekyondo kya Buperusi. Kyokka, Obwakabaka bwa Bumeedi ne Buperusi bwe bweyongera okugaziwa, abatuuze baamu baatandika okwagala ennyo eby’okwejalabya.
5. Ejjembe ‘eryamera oluvannyuma’ lyawanvuwa litya okusinga linnaalyo?
5 Danyeri agamba: “Amayembe ago abiri gaali mawanvu: naye erimu lyasinga linnaalyo, era eryasinga lye lyaddirira okumera [“lyamera oluvannyuma,” NW].” (Danyeri 8:3b) Ejjembe erisingako obuwanvu eryamera oluvannyuma likiikirira Abaperusi, ate ejjembe liri eddala likiikirira Abameedi. Okusooka, Abameedi be baali basinga obuyinza. Naye mu 550 B.C.E., Kuulo omufuzi wa Buperusi yawangula Kabaka Asitayagesi owa Bumeedi mu bwangu ennyo. Kuulo yagatta wamu empisa n’amateeka eby’amawanga gombi, n’agatta obwakabaka bwago, era n’agaziya obufuzi bwago okuyitira mu buwanguzi. Okuva olwo n’okweyongerayo, bwali bwakabaka obulimu amawanga abiri.
ENDIGA ENSAJJA YEEGULUMIZA
6, 7. Mu ngeri ki gye kyali nti ‘tewaali nsolo ndala ezaayinza okuyimirira mu maaso’ g’endiga ensajja?
6 Nga yeeyongera okunnyonnyola endiga ensajja, Danyeri agamba: “Ne ndaba endiga ensajja ng’esindika eri ebugwanjuba, n’eri obukiika obwa kkono, n’eri obukiika obwa ddyo: so mpaawo nsolo ezaayinza okuyimirira mu maaso gaayo, era mpaawo eyayinza okuwonya mu mukono gwayo: naye yakolanga nga bwe yayagalanga, ne yeegulumiza.”—Danyeri 8:4.
7 Mu kwolesebwa okwali kuweereddwa Danyeri emabegako, Babulooni kyakiikirirwa ensolo eyava mu nnyanja era eyalinga empologoma ng’erina ebiwaawaatiro by’empungu. (Danyeri 7:4, 17) Ensolo eno ey’akabonero teyasobola kuyimirira mu maaso ga “endiga ensajja” ey’omu kwolesebwa kuno okuppya. Kuulo Omukulu yawangula Babulooni mu 539 B.C.E. Okumala emyaka nga 50 oluvannyuma lw’ekyo, ‘tewaali nsolo,’ oba gavumenti, ezaasobola okuyimirira mu maaso g’Obwakabaka bwa Bumeedi ne Buperusi, obufuzi kirimaanyi obw’okuna mu bunnabbi bwa Baibuli.
8, 9. (a) Mu ngeri ki “endiga ensajja” gye “[ya]sindika eri ebugwanjuba, n’eri obukiika obwa kkono, n’eri obukiika obwa ddyo”? (b) Ekitabo kya Eseza kyogera ki ku yasikira Kabaka Daliyo I owa Buperusi?
8 Nga buva “ebuvanjuba,” Obufuzi Kirimaanyi Obwa Bumeedi ne Buperusi bwakola nga bwe bwagala, ne “[bu]sindika eri ebugwanjuba, n’eri obukiika obwa kkono, n’eri obukiika obwa ddyo.” (Isaaya 46:11) Kabaka Kambisesi II, eyasikira Kuulo Omukulu, yawamba Misiri. Eyamuddira mu bigere yali Kabaka Daliyo I Omuperusi, eyatabaala ng’adda ebugwanjuba okuyitira e Bosiporasi mu 513 B.C.E., era n’azinda ekitundu ky’omu Bulaaya ekiyitibwa Tulasi, ekyalina ekibuga ekikulu Bayizantiyamu (kati ekiyitibwa Istanbul). Mu 508 B.C.E., yawamba Tulasi, era n’awangula ne Makedoni mu 496 B.C.E. Bwe kityo, ekiseera kya Daliyo we kyatuukira, “endiga ensajja” Bumeedi ne Buperusi yali ewambye ebitundu ku njuyi ssatu enkulu: amambuka mu Babulooni ne Bwasuli, ebugwanjuba okusukka Asiya Omutono, n’amaserengeta okutuuka e Misiri.
9 Nga kikakasa obunene bw’Obwakabaka bwa Bumeedi ne Buperusi, Baibuli eyogera ku yadda mu bigere bya Daliyo, Zaakisisi I, nga “Akaswero oyo eyafuga okuva e Buyindi okutuuka e Buwesiyopya, amasaza kikumi mu amakumi abiri mu musanvu.” (Eseza 1:1) Naye obwakabaka buno obunene bwali bujja kuwangulwa obulala, era ku nsonga eno okwolesebwa kwa Danyeri kubikkula ebintu ebyandinywezezza okukkiriza kwaffe mu kigambo kya Katonda eky’obunnabbi.
EMBUZI ENSAJJA ETOMERA ENDIGA ENSAJJA
10. Mu kwolesebwa kwa Danyeri, nsolo ki eyatomera “endiga ensajja”?
10 Teebereza engeri Danyeri gye yeewuunyamu olw’ebyo by’alaba kati! Ebyawandiikibwa bigamba: “Bwe nnali nkebera, laba, embuzi ensajja n’eva ebugwanjuba n’ejja ng’eyita kungulu ku nsi yonna, n’etetuuka ku ttaka: era embuzi yalina ejjembe eryalabika ennyo wakati w’amaaso gaayo. N’ejjira endiga ensajja eyalina amayembe abiri, gye nnalaba ng’eyimiridde ku mabbali g’omugga, n’egifubutukira amaanyi gaayo nga gagiralusizza. Ne ngiraba ng’esemberedde endiga ensajja, n’egisunguwalira, n’ekuba [“n’etomera,” NW] endiga ensajja, n’emenya amayembe gaayo abiri: so n’endiga ensajja teyaliimu maanyi okuyimirira mu maaso gaayo: naye n’egimegga wansi, n’egisambirira, era mpaawo eyayinza okuwonya endiga ensajja mu mukono gwayo.” (Danyeri 8:5-7) Bino byonna bitegeeza ki?
11. (a) Malayika Gabulyeri yannyonnyola atya “embuzi ey’ekikuzzi” ‘n’ejjembe lyayo eddene’? (b) Ani eyakiikirirwa ejjembe erirabika amangu?
11 Danyeri yali teyeetaaga kuteebereza makulu g’okwolesebwa kuno era naffe bwe tutyo. Malayika Gabulyeri yagamba Danyeri: “Embuzi ensajja ey’ekikuzzi ye kabaka w’e Buyonaani: n’ejjembe eddene eriri wakati w’amaaso gaayo ye kabaka Danyeri 8:21) Mu 336 B.C.E., kabaka eyasembayo owa Buperusi, Daliyo III (Kodomanusi), yatikkirwa engule. Mu mwaka gwe gumu, Alekizanda yafuuka kabaka mu Makedoni. Ebyafaayo biraga nti Alekizanda Omukulu ye yali “kabaka w’e Buyonaani” ow’olubereberye eyalagulwa. Ng’ava “ebugwanjuba,” mu mwaka 334 B.C.E., Alekizanda yayanguwa mangu. Ng’alinga ‘atatuuka ku ttaka,’ yawamba ebitundu era n’awangula “endiga ensajja.” Mu ngeri eyo, Buyonaani yafuuka obufuzi kirimaanyi obw’okutaano mu Baibuli, n’ekomya obufuzi bwa Bumeedi ne Buperusi obwamala ebyasa nga bibiri. Nga kwali kutuukirizibwa kwa nkukunala okw’obunnabbi bwa Katonda!
ow’olubereberye.” (12. “Ejjembe eddene” ery’embuzi ey’akabonero ‘lyamenyebwa’ litya, era amayembe ana agadda mu kifo kyalyo ge galuwa?
12 Naye obufuzi bwa Alekizanda tebwanditutte bbanga ddene. Okwolesebwa kweyongera okulaga: “Embuzi ensajja ne yeegulumiza nnyo: era mu maanyi gaayo ago, ejjembe lyayo ekkulu mwe lyamenyekera: ne mu kifo kyalyo ne mumera ana agaalabika ennyo agaatunuulira empewo ennya ez’omu ggulu.” (Danyeri 8:8) Ng’annyonnyola obunnabbi obwo, Gabulyeri yagamba: “N’eryo erimenyese ne mu kifo kyalyo ne muyimirira ana, obwakabaka buna buliva mu ggwanga, buliyimirira, naye nga tebulina buyinza bw’oyo.” (Danyeri 8:22) Nga bwe kyalagulwa, ng’ali ku ntikko ddala ey’obuwanguzi bwe, Alekizanda ‘yamenyeka,’ oba yafa, ng’alina emyaka 32 gyokka. Era oluvannyuma obwakabaka bwe obunene bwayawulwamu ebitundu bina ne bifugibwa abagabe be.
EJJEMBE ETTONO ERY’EKYEWUUNYO
13. Kiki ekyava mu limu ku mayembe ana, era kyeyisa kitya?
13 Ekitundu ekiddako eky’okwolesebwa kizingiramu emyaka egisukka mu 2,200, era okutuukirizibwa kwakyo kutuukira ddala mu biseera byaffe. Danyeri awandiika: “Ne mu limu mu ago [amayembe ana] ne muva ejjembe ettono, eryafuuka eddene ennyo, nga lyolekedde obukiika obwa ddyo, n’eri [e]buvanjuba, n’eri ensi ey’ekitiibwa. Ne lifuuka eddene, n’okutuuka eri eggye ery’omu ggulu: n’eby’omu ggye ebimu n’emmunyeenye ezimu ne libisuula wansi, ne libisambirira. Weewaawo, lyekuza lyokka, era n’okutuuka eri omukulu w’eggye: ne limuggyako ekiweebwayo ekyokebwa eky’ennaku zonna, n’ekifo eky’awatukuvu we ne kisuulibwa. N’eggye ne liweebwayo eri eryo awamu n’ekiweebwayo ekyokebwa eky’ennaku zonna olw’okwonoona: ne lisuula amazima wansi: ne likola nga bwe lyagala ne liraba omukisa.”—Danyeri 8:9-12.
14. Malayika Gabulyeri yayogera ki ku bikolwa by’ejjembe ettono ery’akabonero, era kiki ekyali kijja okulituukako?
14 Nga tetunnategeera makulu g’ebigambo ebyo ebijuliziddwa waggulu, tuteekwa okussaayo omwoyo eri malayika wa Katonda. Oluvannyuma lw’okwogera ku bwakabaka obuna obusibuka mu bwakabaka bwa Alekizanda, malayika Gabulyeri agamba: “Mu kiseera eky’enkomerero eky’obwakabaka bwabwe, aboonoonyi nga batuukiridde, kabaka ow’amaaso amakambwe, era ategeera ebigambo eby’ekyama, aliyimirira. N’obuyinza bwe buliba bungi, naye si lwa buyinza bwe ye: era alizikiriza kitalo, era aliraba omukisa, era alikola by’alyagala: era alizikiriza ab’amaanyi n’abantu abatukuvu. Era olw’amagezi ge alyeza enkwe mu mukono gwe: era alyegulumiza mu mutima gwe, era alizikiriza bangi nga balowooza nga mirembe: era aliyimirira okulwanyisa omulangira w’abalangira: naye alimenyeka awatali ngalo.”—Danyeri 8:23-25.
15. Kiki malayika kye yagamba Danyeri okukola ku bikwata ku kwolesebwa kuno?
15 Malayika agamba Danyeri: “Naye ggwe bikka ku bikwolesebwa: Danyeri 8:26) Okutuukirizibwa kw’ekitundu kino eky’okwolesebwa kwali kwa kubaawo mu “nnaku eziri ewala” era Danyeri yali wa ‘kubikka ku kwolesebwa.’ Kirabika nga Danyeri teyategeera makulu g’okwolesebwa okwo. Kyokka, we twogerera ‘ennaku ezo ezaali ewala’ ziteekwa okuba nga zaggwaako. N’olwekyo tubuuza: ‘Ebyafaayo by’ensi biraga ki ku bikwata ku kutuukirizibwa kw’okwolesebwa kuno okw’obunnabbi?’
kubanga bya nnaku eziri ewala.” (EJJEMBE ETTONO LIFUNA AMAANYI MANGI
16. (a) Ejjembe ettono lyamera kuva mu jjembe ki ery’akabonero? (b) Rooma yafuuka etya obufuzi kirimaanyi obw’omukaaga mu bunnabbi bwa Baibuli, naye lwaki si ye yali ejjembe ettono ery’akabonero?
16 Okusinziira ku byafaayo, ejjembe ettono lyamera mu limu ku mayembe ana ag’akabonero; lyamera okuva mu eryo eryali likomererayo ebugwanjuba. Buno bwe bwali obwakabaka bw’Ekiyonaani obw’Omugabe Kasanda obwali bufuga Makedoni ne Buyonaani. Oluvannyuma, obwakabaka buno bwagattibwa ku bwakabaka bw’Omugabe Liisimaka, kabaka wa Tulasi ne Asiya Omutono. Mu kyasa eky’okubiri ng’Embala Yaffe Tennaba, ebitundu bino eby’ebugwanjuba eby’obwakabaka bw’Abayonaani byawangulwa Rooma. Era omwaka 30 B.C.E., we gwatuukira, Rooma yali emaze okuwamba obwakabaka bwonna obwa Buyonaani, n’efuuka obufuzi kirimaanyi obw’omukaaga mu bunnabbi bwa Baibuli. Naye Obwakabaka bw’Abaruumi si bwe bwali ejjembe ettono ery’omu kwolesebwa kwa Danyeri, kubanga obwakabaka obwo tebwatuuka mu “kiseera kya nkomerero.”—Danyeri 8:19.
17. (a) Kakwate ki Bungereza ke yalina n’Obwakabaka bw’Abaruumi? (b) Obwakabaka bwa Bungereza bulina kakwate ki n’obwakabaka bw’Abayonaani obwafuga Makedoni ne Buyonaani?
17 Kati, olwo ebyafaayo biraga nga “kabaka ow’amaaso amakambwe” y’ani? Mu butuufu Bungereza yameruka okuva mu kitundu eky’amambuka g’ebugwanjuba bw’Obwakabaka bw’Abaruumi. Okutuuka mu matandika g’ekyasa eky’okutaano C.E., waaliyo amasaza g’Abaruumi ataano mu nsi kati emanyiddwa nga Bungereza. Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo,
Obwakabaka bw’Abaruumi bwagenda busereba, naye enkola y’Ekiyonaani n’Ekiruumi yeeyongera mu maaso mu Bungereza era n’ebitundu ebirala ebya Bulaaya ebyali bifugiddwako Abaruumi. Octavio Paz, omuwandiisi w’ebitontome ow’omu Mexico eyawangula Ekirabo kya Nobel, yawandiika: “Obwakabaka bw’Abaruumi bwe bwagwa, Ekkanisa yadda mu kifo kyabwo.” Yagattako: “Abakulembeze b’Ekkanisa, era n’abayivu ab’oluvannyuma, baagattika obufirosoofo bw’Ekiyonaani n’enjigiriza z’Ekikristaayo.” Era Bertrand Russell, omufirosoofo ow’omu kyasa ekya 20 ate nga nnakinku mu kubala, yagamba: “Obugunjufu bw’Ebugwanjuba obwasibuka mu Buyonaani, bwesigamiziddwa ku ndowooza z’ekifirosoofo n’eza sayansi ezaatandikira mu Mireto [ekibuga kya Buyonaani mu Asiya Omutono] emyaka enkumi bbiri n’ekitundu egiyise.” Bwe kityo, kisobola okugambibwa nti Obwakabaka bwa Bungereza bwalina ensibuko ey’eby’obuwangwa mu bwakabaka bw’Abayonaani obwali bufuga Makedoni ne Buyonaani.18. Ejjembe ettono eryafuuka “kabaka ow’amaaso amakambwe” mu ‘kiseera ky’enkomerero’ lye liruwa? Nnyonnyola.
18 Omwaka 1763 we gwatuukira Obwakabaka bwa Bungereza bwali bumaze okuwangula abalabe baabwo ab’amaanyi, Sipeyini ne Bufalansa. Okuva olwo bweraga nti bwe bwali nnantameggwa ku gayanja aganene era obufuzi kirimaanyi obw’omusanvu mu bunnabbi bwa Baibuli. Wadde oluvannyuma
lw’amatwale 13 ag’omu Amereka okwekutula ku Bungereza mu 1776 ne gakola eggwanga ery’awamu erya Amereka, Obwakabaka bwa Bungereza bweyongera okugaziwa ne bufuga ekitundu kimu kya kuna eky’ensi yonna era ne kimu kya kuna eky’omuwendo gw’abantu abaali mu nsi. Obufuzi kirimaanyi obw’omusanvu bweyongera n’amaanyi okusingawo Amereka bwe yeegatta ku Bungereza okukola ekinywi ky’obufuzi kirimaanyi obwa Bungereza n’Amereka. Mu by’enfuna era n’eby’ekijaasi, mazima ddala obufuzi buno bwali bufuuse “kabaka ow’amaaso amakambwe.” N’olwekyo, ejjembe ettono eryafuuka obufuzi obukambwe mu ‘kiseera eky’enkomerero,’ bwe Bufuzi Kirimaanyi Obwa Bungereza n’Amereka.19. “Ensi ey’ekitiibwa” eyogerwako mu kwolesebwa y’eruwa?
19 Danyeri yalaba ejjembe ettono “eryafuuka eddene ennyo” nga lyolekera “ensi ey’ekitiibwa.” (Danyeri 8:9) Ensi Ensuubize, Yakuwa gye yawa abantu be abalonde, yali nnungi nnyo ne kiba nti yayitibwa “[e]kitiibwa ky’ensi zonna,” kwe kugamba, eky’ensi yonna. (Ezeekyeri 20:6, 15) Kituufu nti Bungereza yawamba Yerusaalemi nga Ddesemba 9, 1917, era mu mwaka gwa 1920, Ekinywi ky’Amawanga kyawa Bungereza obuyinza ku Palesitayini okutuusa nga Maayi 14, 1948. Naye okwolesebwa kuno kwali kwa bunnabbi, nga kulimu obubonero bungi. Ate “ensi ey’ekitiibwa” eyogerwako mu kwolesebwa kuno tekiikirira Yerusaalemi, wabula embeera ey’oku nsi ey’abantu Katonda b’atwala okuba abatukuvu mu kiseera ky’obufuzi kirimaanyi obw’omusanvu. Ka tulabe engeri Obufuzi Kirimaanyi Obwa Bungereza ne Amereka gye bugezaako okutiisatiisa abatukuvu.
“EKIFO EKY’AWATUKUVU WE” KISUULIBWA
20. “Eggye ery’omu ggulu” ne “emmunyeenye” ejjembe ettono bye ligezaako okusuula bye biruwa?
20 Ejjembe ettono “ne lifuuka eddene, n’okutuuka eri eggye ery’omu ggulu: n’eby’omu ggye ebimu n’emmunyeenye ezimu ne libisuula wansi.” Okusinziira ku nnyinnyonnyola ya malayika, “eggye ery’omu ggulu” ne “emmunyeenye” ejjembe ettono bye lyagezaako okusuula wansi be ‘bantu abatukuvu.’ (Danyeri 8:10, 24) “Abatukuvu” bano be Bakristaayo abaafukibwako amafuta. Olw’okuba baafuna enkolagana ne Katonda okuyitira mu ndagaano empya, eyateekebwa mu nkola olw’omusaayi gwa Yesu Kristo ogwayiibwa, baatukuzibwa, baalongoosebwa, era ne baawulibwawo okwenyigira mu buweereza bwa Katonda. (Abebbulaniya 10:10; 13:20) Ng’abalonze okuba abasika n’Omwana we mu busika obw’omu ggulu, Yakuwa abatwala nga batukuvu. (Abeefeso 1:3, 11, 18-20) Bwe kityo nno, mu kwolesebwa kwa Danyeri, “eggye ery’omu ggulu” litegeeza abakyasigaddewo ku nsi ku ‘batukuvu’ 144,000, abajja okufuga n’Omwana gw’Endiga mu ggulu.—Okubikkulirwa 14:1-5.
21. Baani abali mu ‘kifo ekitukuvu’ obufuzi kirimaanyi obw’omusanvu kye bugezaako okwonoona?
21 Leero abakyasigaddewo ku 144,000 be bakiikirira ku nsi “Yerusaalemi eky’omu ggulu,” Obwakabaka bwa Katonda obufaananyizibwa ekibuga, era n’enteekateeka yaabwo eya yeekaalu. (Abebbulaniya 12:22, 28; 13:14) Mu ngeri eno bali mu ‘kifo ekitukuvu’ obufuzi kirimaanyi obw’omusanvu kye bugezaako okusambirira n’okwonoona. (Danyeri 8:13) Ng’ayogera ku kifo ekyo ekitukuvu nga “ekifo eky’awatukuvu [wa Yakuwa],” Danyeri agamba: “Ne limuggyako [Yakuwa] ekiweebwayo ekyokebwa eky’ennaku zonna, n’ekifo eky’awatukuvu we ne kisuulibwa. N’eggye ne liweebwayo eri eryo awamu n’ekiweebwayo ekyokebwa eky’ennaku zonna olw’okwonoona: ne lisuula amazima wansi: ne likola nga bwe lyagala ne liraba omukisa.” (Danyeri 8:11, 12) Bino byatuukirizibwa bitya?
22. Mu Ssematalo II, obufuzi kirimaanyi obw’omusanvu bwakola butya ‘ekyonoono’ ekinene?
22 Biki ebyatuuka ku Bajulirwa ba Yakuwa mu Ssematalo II? Makko 13:10, NW) Amawanga gano bwe gaalinga gakaka abantu okuyingira mu magye, gaagaana okutaliza Abajulirwa ba Yakuwa, nga tegassa kitiibwa mu kutongozebwa kwabwe ng’abaweereza ba Katonda. Abaweereza ba Yakuwa abeesigwa mu Amereka baakubibwa era ne bakolebwako ebikolobero ebitali bimu. Bwe butyo, obufuzi kirimaanyi obw’omusanvu bwagezaako okubaggyako ssaddaaka ey’ettendo—“[e]kibala eky’emimwa”—eweebwa Yakuwa bulijjo okuva eri abantu be nga “ekiweebwayo ekyokebwa eky’ennaku zonna” mu kusinza kwabwe. (Abebbulaniya 13:15) Mu ngeri eyo obufuzi obwo kirimaanyi bwakola ‘ekyonoono’ eky’okuzinda ettwale lya Katonda Ali Waggulu Ennyo—“ekifo eky’awatukuvu we.”
Baayigganyizibwa nnyo! Kyatandikira mu nsi ez’Abanazi n’ensi endala ez’obwannakyemalira. Naye mu bbanga ttono ‘amazima gaali gasuulibwa’ okwetooloola ettwale lyonna eddene ‘ery’ejjembe ettono eryali lifuuse ery’amaanyi.’ “Eggye” ly’abalangirizi b’Obwakabaka n’omulimu gwabwe ogw’okubuulira “amawulire amalungi” byawerebwa kumpi wonna mu mawanga ag’Oluganda ne Bungereza. (23. (a) Mu Ssematalo II, Obufuzi Kirimaanyi Obwa Bungereza n’Amereka bwalwanyisa butya “[O]mulangira w’abalangira”? (b) “Omulangira w’abalangira” y’ani?
23 Nga liyigganya “abatukuvu” mu Ssematalo II, ejjembe ettono lyekuza nnyo “okutuuka eri omukulu w’eggye.” Oba, nga malayika Gabulyeri bw’agamba, lyayimirira “okulwanyisa [O]mulangira w’abalangira.” (Danyeri 8:11, 25) Ekitiibwa “[O]mulangira w’abalangira” kikwata ku Yakuwa Katonda yekka. Ekigambo ky’Olwebbulaniya sar, ekivuunuddwa “omulangira,” kirina akakwate n’ekigambo ekitegeeza “okufuga.” Ng’oggyeko okutegeeza omwana wa kabaka oba omuntu ow’olulyo olulangira, ekigambo ekyo kitegeeza omukulembeze oba omukulu. Ekitabo kya Danyeri kyogera ku balangira abalala, ng’ekyokulabirako, Mikayiri. Katonda ye Mulangira Omukulu ow’abalangira abo bonna. (Danyeri 10:13, 21; geraageranya Zabbuli 83:18.) Tuyinza okukiteebereza nti omuntu yenna ayinza okwaŋŋanga Yakuwa, Omulangira w’abalangira?
“AWATUKUVU” WALONGOOSEBWA
24. Danyeri 8:14 lutukakasa ki?
24 Tewali ayinza kwaŋŋanga Omulangira w’abalangira, ne bw’abeera kabaka “ow’amaaso amakambwe” ng’Obufuzi Kirimaanyi Obwa Bungereza n’Amereka! Okufuba kwa kabaka ono okuzikiriza awatukuvu wa Katonda kugwa butaka. Oluvannyuma lwa “amakya n’amawungeera enkumi bbiri mu bisatu,” bw’atyo malayika eyatumibwa bw’ayogera, “awatukuvu ne walyoka walongoosebwa,” oba “ne wawangula.”—Danyeri 8:13, 14; The New English Bible.
25. Ekiseera eky’obunnabbi eky’ennaku 2,300 kyenkana wa obuwanvu, era kikwataganyizibwa naki ekyaliwo?
25 Ennaku 2,300 kiseera kya bunnabbi. Bwe kityo, omwaka ogw’obunnabbi ogw’ennaku 360 gukwatibwako. (Okubikkulirwa 11:2, 3; 12:6, 14) N’olwekyo, ennaku zino 2,300 ziba ziweramu emyaka 6, emyezi 4, n’ennaku 20. Ekiseera kino kyaliwo ddi? Mu myaka gya 1930, abantu ba Katonda baatandika okuyigganyizibwa ennyo mu nsi ezitali zimu. Era mu Ssematalo II, Abajulirwa ba Yakuwa baayigganyizibwa nnyo mu nsi eziri wansi w’obufuzi kirimaanyi obwa Bungereza n’Amereka. Lwaki? Olw’okunywerera ku ‘kugondera Katonda okusinga abantu.’ (Ebikolwa 5:29) N’olwekyo, ennaku ezo 2,300 ziteekwa okuba nga zikwataganyizibwa n’olutalo olwo. * Naye kiki ekiyinza okwogerwa ku ntandikwa era n’enkomerero y’ekiseera ekyo eky’obunnabbi?
26. (a) Kuva ddi, ennaku 2,300 lwe ziyinza okutandika okubalwa? (b) Ekiseera eky’ennaku 2,300 kyaggwaako ddi?
26 ‘Awatukuvu okusobola okulongoosebwa,’ oba okuzzibwa mu mbeera entuufu, ennaku ezo 2,300 ziteekwa okuba nga zaatandika wakyali ‘walongoofu’ mu maaso ga Katonda. Ekiseera ekisingayo okuba eky’emabega we ziyinza okuba nga we zaatandikira kyali Jjuuni 1, 1938, The Watchtower bwe kaafulumya ennyingo 1 ey’ekitundu ekyogera ku “Ntegeka.”
Ennyingo 2 yali mu katabo aka Jjuuni 15, 1938. Okubala ennaku 2,300 (emyaka 6, emyezi 4, n’ennaku 20 ku kalenda y’Ekyebbulaniya) okuva nga Jjuuni 1 oba 15, 1938, kitutuusa nga Okitobba 8 oba 22, 1944. Ku lunaku olwasooka olw’olukuŋŋaana olw’enjawulo olwali e Pittsburgh, Pennsylvania, Amereka, nga Ssebutemba 30 ne Okitobba 1, 1944, prezidenti wa Watch Tower Society yayogera ku mutwe ogugamba nti “Enkola y’Obufuzi bwa Katonda Leero.” Ku lukuŋŋaana olwa buli mwaka olwaliwo nga Okitobba 2, ekiwandiiko ekikulu ekya Sosayate kyalongoosebwamu okusobola okukituukaganya n’enkola y’obufuzi bwa Katonda ng’amateeka bwe gandikisobozesezza. Oluvannyuma lw’okutangaaza ku bisaanyizo by’omu Baibuli, mangu enkola y’obufuzi bwa Katonda yanywezebwa mu bibiina by’Abajulirwa ba Yakuwa.27. Bujulizi ki obulaga nti “ekiweebwayo ekyokebwa eky’ennaku zonna” kyakugirwa mu myaka gya Ssematalo II egyalimu okuyigganyizibwa?
27 Ng’ennaku 2,300 zigenda mu maaso mu kiseera kya Ssematalo II, eyatandika mu 1939, okuwangayo “ekiweebwayo ekyokebwa eky’ennaku zonna” mu watukuvu wa Katonda kwakugirwa nnyo olw’okuyigganyizibwa. Mu 1938 Watch Tower Society yali erina amatabi 39 agalabirira omulimu gw’Abajulirwa mu nsi yonna, naye mu 1943 gaali 21 gokka. Omuwendo gw’abalangirizi b’Obwakabaka nagwo tegweyongera nnyo mu kiseera ekyo.
28, 29. (a) Nga Ssematalo II anaatera okuggwaako, kiki ekyaliwo mu ntegeka ya Yakuwa? (b) Kiki ekiyinza okwogerwa ku kufuba kw’omulabe okwonoona n’okuzikiriza “awatukuvu”?
28 Nga bwe tulabye, mu myezi egyakomererayo mu Ssematalo II, Abajulirwa ba Yakuwa baalaga nga bwe baali bamaliridde okugulumiza obufuzi bwa Katonda nga bamuweereza ng’ekibiina ekigoberera obulagirizi bwe. N’olw’ensonga eyo, kyebaava baddamu okutegeka buto omulimu gwabwe era n’enteekateeka y’obukulembeze mu 1944. Mu butuufu, The Watchtower aka Okitobba 15, 1944, kaalimu ekitundu ekirina omutwe “Tutegekeddwa olw’Omulimu Ogusembayo.” Ekitundu kino n’ebirala ebyakubiriza obuweereza mu kiseera ekyo
byalaga nti ennaku 2,300 zaali ziweddeko era nga “awatukuvu” waali ‘walongooseddwa.’29 Okufuba kw’omulabe okwonoona n’okuzikiriza “awatukuvu” kwali kugudde butaka. Mazima ddala, “abatukuvu” abakyasigaddewo ku nsi, awamu ne bannaabwe ‘ab’ekibiina ekinene,’ baali batuuse ku buwanguzi. (Okubikkulirwa 7:9) Ate awatukuvu, nga kati wali mu mbeera entuufu esiimibwa Katonda, weeyongera okwenyigira mu buweereza obutukuvu eri Yakuwa.
30. Kiki ekijja okutuuka ku “kabaka ow’amaaso amakambwe”?
30 Obufuzi Kirimaanyi Obwa Bungereza n’Amereka bukyaliwo. “Naye [bu]limenyeka awatali ngalo,” bw’atyo malayika Gabulyeri bwe yayogera. (Danyeri 8:25) Mangu ddala, obufuzi buno kirimaanyi obw’omusanvu mu bunnabbi bwa Baibuli, nga ye ‘kabaka ono ow’amaaso amakambwe,’ bujja kumenyebwa, si na ngalo z’abantu, wabula n’amaanyi agasinga ag’obuntu ku Kalumagedoni. (Danyeri 2:44; Okubikkulirwa 16:14, 16) Nga kizzaamu nnyo amaanyi okumanya nti obufuzi bwa Yakuwa Katonda, Omulangira w’abalangira, bujja kugulumizibwa!
[Obugambo obuli wansi]
^ lup. 1 Obufuzi kirimaanyi omusanvu obw’amakulu ag’enjawulo mu Baibuli ye Misiri, Bwasuli, Babulooni, Bumeedi ne Buperusi, Buyonaani, Rooma, ne Bungereza n’Amereka. Buno bwonna bugwana okulowoozebwako kubanga bubadde n’akakwate n’abantu ba Yakuwa.
^ lup. 25 Danyeri 7:25 era woogera ku kiseera ‘abatukuvu b’Oyo Ali waggulu ennyo lwe baliteganyizibwa.’ Nga bwe kyannyonnyoddwa mu ssuula evuddeko, kino kyakwataganyizibwa ne ssematalo eyasooka.
BIKI BY’OTEGEDDE?
• Kiki ekikiikirirwa
“endiga ensajja” eya “amayembe abiri”?
“embuzi ensajja ey’ekikuzzi” ne “ejjembe eddene”?
amayembe ana agadda mu kifo awaali “ejjembe eddene”?
ejjembe ettono eryava mu limu ku mayembe ana?
• Mu Ssematalo II, Obufuzi Kirimaanyi Obwa Bungereza n’Amereka bwagezaako butya okwonoona “awatukuvu,” era bwatuuka ku buwanguzi?
[Ebibuuzo]
[Mmaapu/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 166]
(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu katabo)
Obwakabaka bwa Bumeedi ne Buperusi
MAKEDONI
MISIRI
Menfisi
BUWESIYOPYA
Yerusaalemi
Babulooni
Ekibatana
Susa
Perusepolisi
MISIRI
BUYINDI
[Mmaapu/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 169]
(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu katabo)
Obwakabaka bwa Buyonaani
MAKEDONI
MISIRI
Babulooni
Omugga Indus
[Mmaapu eri ku lupapula 172]
(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu katabo)
Obwakabaka bw’Abaruumi
BUNGEREZA
ITALE
Rooma
Yerusaalemi
MISIRI
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 164]
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 174]
Abamu ku bafuzi abatutumufu mu Bufuzi Kirimaanyi Obwa Bungereza n’Amereka:
1. George Washington, prezidenti wa Amereka eyasooka (1789-97)
2. Kwiini Victoria owa Bungereza (1837-1901)
3. Woodrow Wilson, prezidenti wa Amereka (1913-21)
4. David Lloyd George, katikkiro wa Bungereza (1916-22)
5. Winston Churchill, katikkiro wa Bungereza (1940-45, 1951-55)
6. Franklin D. Roosevelt, prezidenti wa Amereka (1933-45)[35]