Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Bakabaka Abakontana Basemberera Enkomerero Yaabwe

Bakabaka Abakontana Basemberera Enkomerero Yaabwe

Essuula ey’Ekkumi n’Omukaagaa

Bakabaka Abakontana Basemberera Enkomerero Yaabwe

1, 2. Kabaka ow’obukiika kkono yakyuka atya oluvannyuma lwa ssematalo ow’okubiri?

NG’AYOGERA ku mbeera ey’eby’obufuzi eyaliwo wakati w’eggwanga lya Amereka n’erya Russia, omufirosoofo era munnabyafaayo Omufalansa ayitibwa Alexis de Tocqueville yawandiika bw’ati mu 1835: “Erimu liwa eddembe; ate, lyo, linnaalyo lifuga bumbula. Engeri zaago . . . tezifaanana; wadde kiri kityo buli limu lirabika nti lyateekebwawo Katonda okuba n’obuyinza bungi mu nsi.” Ebigambo bino byali bituufu kwenkana wa bw’obigeraageranya n’ebyaliwo oluvannyuma lwa Ssematalo II? Munnabyafaayo J. M. Roberts yawandiika: ‘Ku nkomerero ya Ssematalo ow’Okubiri, kyalabika ng’ensi yonna yali egenda kukulemberwa amawanga abiri amakulu agaalina enkola ezitafaanana, ng’erimu lye lya Russia ate eddala Amereka.’

2 Mu ssematalo ebbiri ezaaliwo, Bugirimaani ye yali kabaka owa bukiika kkono era omulabe lukulwe owa Bungereza n’Amereka, kabaka owa bukiika ddyo. Kyokka, oluvannyuma lwa Ssematalo II, eggwanga eryo lyayawulwamu. Bugirimaani ow’Ebugwanjuba yatta omukago ne kabaka ow’obukiika ddyo, ate Bugirimaani ow’Ebuvanjuba n’etta omukago n’ekinywi ky’amawanga ag’Ekikominisiti ekyali kikulemberwa Soviet Union. Ekinywi ekyo eky’eby’obufuzi, kye kyafuuka kabaka ow’obukiika kkono, nga kikontana n’omukago gwa Bungereza n’Amereka. Akakuubagano ako wakati wa bakabaka abo ababiri lwe Lutalo olw’Ekimugunyu olwaliwo okuva mu 1948 okutuukira ddala mu 1989. Mu biseera eby’emabega, kabaka Omugirimaani ow’obukiika kkono yali alaze ‘obukyayi eri endagaano entukuvu.’ (Danyeri 11:28, 30) Amawanga ag’ekikomunisiti gandyeyisizza gatya ku bikwata ku ndagaano?

ABAKRISTAAYO AB’AMAZIMA BAGWA NAYE BAWANGULA

3, 4. Abo ‘abakola obubi endagaano’ be baani, era nkolagana ki gye baalina ne kabaka ow’obukiika kkono?

3 Malayika wa Katonda yagamba: “N’abo abalikola obubi nga baleka endagaano [kabaka ow’obukiika kkono] alibakyamyakyamya n’okwegonza.” Era malayika yagattako nti: “Naye abantu abamanyi Katonda waabwe baliba n’amaanyi, balikola eby’obuzira. N’abo abalina amagezi mu bantu baliyigiriza bangi: naye ekitala n’omuliro okusibibwa n’okunyagibwa, biribagwisa ennaku nnyingi.”—Danyeri 11:32, 33.

4 Mazima ddala ‘abo abakola obubi endagaano’ be bakulembeze ba Kristendomu, abagamba nti Bakristaayo naye ng’ebikolwa byabwe bityoboolera ddala Obukristaayo. Mu kitabo kye Religion in the Soviet Union, Walter Kolarz agamba: “[Mu ssematalo ow’okubiri] Gavumenti y’Abasoviyeti yagezaako nnyo okufuna obuwagizi bw’Amakanisa mu by’okwerinda kw’eggwanga lyabwe.” Oluvannyuma lw’olutalo olwo, abakulembeze b’ekkanisa baagezaako okukuuma omukwano ogwo, wadde ng’eyali kabaka w’obukiika kkono mu kiseera ekyo yali takkiririza mu Katonda. Bwe kityo, Kristendomu yeeyongera okubeera ekitundu ky’ensi eno, ekikolwa eky’obwewagguzi mu maaso ga Yakuwa.—Yokaana 17:16; Yakobo 4:4.

5, 6. “Abantu abamanyi Katonda waabwe” baali baani, era baali mu mbeera ki wansi wa kabaka w’obukiika kkono?

5 Ate bo, Abakristaayo ab’amazima—“abantu abamanyi Katonda waabwe” era “abalina okutegeera”? Newakubadde nga baali ‘bagondera abakulu abafuga,’ Abakristaayo abaali wansi w’obufuzi bwa kabaka ow’obukiika kkono tebaali kitundu kya nsi eno. (Abaruumi 13:1; Yokaana 18:36) Nga basasula “Kayisaali ebya Kayisaali,” era baawa “Katonda ebya Katonda.” (Matayo 22:21) Kino kyaviirako obugolokofu bwabwe okugezesebwa.—2 Timoseewo 3:12.

6 Ekyavaamu, Abakristaayo ab’amazima ‘baagwa’ ate ne ‘bawangula.’ Baagwa mu ngeri nti baayigganyizibwa nnyo, era abamu ne battibwa. Naye baawangula olw’okuba abasinga obungi ku bo baasigala nga beesigwa. Baawangula ensi nga Yesu bwe yakola. (Yokaana 16:33) Ate era, tebaalekera awo kubuulira, wadde nga basibiddwa mu makomera oba mu nkambi omwabonyaabonyezebwanga abantu. Mu kukola bwe batyo, ‘baayigiriza bangi.’ Wadde nga mu mawanga mangi agaali gafugibwa kabaka ow’obukiika kkono waaliyo okuyigganyizibwa kungi, omuwendo gw’Abajulirwa ba Yakuwa gweyongera. Olw’obwesigwa bw’abo ‘abalina okutegeera,’ ‘ekibiina ekinene’ ekigenda kyeyongerayongera kirabise mu mawanga ago.—Okubikkulirwa 7:9-14.

ABANTU BA YAKUWA BATUKUZIBWA

7. Abakristaayo abaafukibwako amafuta abaali mu bitundu ebifugibwa kabaka ow’obukiika kkono baafuna ‘buyambi’ ki?

7 Malayika yagamba nti: “Bwe baligwa, balibeerwa n’okubeerwa okutono.” (Danyeri 11:34a) Obuwanguzi bwa kabaka ow’obukiika ddyo mu ssematalo ow’okubiri bwasobozesa Abakristaayo abaali mu bitundu ebifugibwa kabaka ow’obukiika kkono okufuna ku buweerero. (Geraageranya Okubikkulirwa 12:15, 16.) Mu ngeri y’emu, abo abaayigganyizibwa kabaka eyaddawo nabo baafunanga obuweerero ebiseera ebimu. Ng’Olutalo olw’Ekimugunyu wakati wa bakabaka abo lunaatera okuggwa, abakulembeze bangi baakitegeera nti Abakristaayo abeesigwa tebaalina kabi konna era ne bakkiriza omulimu gwabwe mu butongole. Obuyambi obulala bwafunibwa okuva mu b’ekibiina ekinene, abaasiima obubaka obwababuulirwa abaafukibwako amafuta.—Matayo 25:34-40.

8. Abamu beegatta batya ku bantu ba Katonda “n’okwegonza”?

8 Tekiri nti bonna abaali bagamba nti baweereza Katonda mu biseera eby’Olutalo olw’Ekimugunyu baalina ebiruubirirwa ebirungi. Malayika yali alabudde: “Naye bangi abalyegatta nabo n’okwegonza.” (Danyeri 11:34b) Abantu abawerako baalaga nti baagala amazima, kyokka tebaali beetegefu okwewaayo eri Katonda. Ate abalala abaalabika ng’abakkirizza amazima, mu butuufu, baali bambega. Mu ggwanga limu waavaayo lipoota egamba bw’eti: “Abamu ku bano baali bakominisiti lukulwe abeerimbika mu kibiina kya Mukama waffe, ne booleka obunyiikivu obw’ekitalo, era ne batuuka n’okulondebwa mu bifo eby’obuvunaanyizibwa mu kibiina.”

9. Lwaki Yakuwa yakkiriza Abakristaayo abamu abeesigwa ‘okugwa’ olwa bannanfuusi?

9 Malayika yagattako: “N’abamu ku abo abalina amagezi baligwa okubawoomya, n’okubalongoosa, n’okubatukuza, okutuusa ku kiseera eky’enkomerero: kubanga kya kiseera ekyalagirwa ekitannatuuka.” (Danyeri 11:35) Bannanfuusi bano baawaayo abeesigwa abamu mu b’obuyinza. Yakuwa yakkiriza ebintu bino okubaawo kisobozese abantu be okulongoosebwa n’okutukuzibwa. Nga Yesu bwe “yayiga okugonda olw’ebyo bye yabonaabona,” n’abeesigwa bano baayiga obugumiikiriza ng’okukkiriza kwabwe kugezesebwa. (Abebbulaniya 5:8; Yakobo 1:2, 3; geraageranya Malaki 3:3.) Mu ngeri eyo ‘baalongoosebwa, era ne batukuzibwa.’

10. Ebigambo ‘okutuusa ku kiseera eky’enkomerero’ bitegeeza ki?

10 Abantu ba Yakuwa baali ba kugezesebwa n’okulongoosebwa “okutuusa ku kiseera eky’enkomerero.” Kya lwatu, basuubira okuyigganyizibwa okutuukira ddala ku nkomerero y’embeera z’ebintu bino embi. Kyokka, okulongoosebwa n’okutukuzibwa kw’abantu ba Katonda okwandibaddewo olw’okuyigganyizibwa kabaka w’obukiika kkono kwali kwa kumala “kiseera ekyalagirwa.” N’olwekyo, mu Danyeri 11:35, ebigambo ‘ekiseera eky’enkomerero’ biteekwa okuba bikwata ku nkomerero y’ekiseera ekyetaagibwa abantu ba Katonda okusobola okulongoosebwa nga bayigganyizibwa kabaka w’obukiika kkono. Kirabika nti okugwa kwakoma ng’ekiseera Yakuwa kye yagereka kiweddeko.

KABAKA YEEGULUMIZA

11. Kiki malayika kye yayogera ku ndowooza ya kabaka w’obukiika kkono eri obufuzi bwa Yakuwa?

11 Ku bikwata ku kabaka ow’obukiika kkono, malayika yagattako: “Ne kabaka alikola nga bw’alyagala: era alyegulumiza, alyekuza okusinga katonda yenna, era [ng’agaanye okukkiriza obufuzi bwa Yakuwa] alyogera eby’ekitalo ku Katonda wa bakatonda: era aliraba omukisa okutuusa obusungu lwe bulituukirira: kubanga ebyateesebwa birikolebwa. So talirowooza bakatonda ba bajjajjaabe, newakubadde abakazi kye baagala, so talirowooza katonda yenna: kubanga alyekuza okusinga bonna.”—Danyeri 11:36, 37.

12, 13. (a) Mu ngeri ki kabaka ow’obukiika kkono gye yeesamba “bakatonda ba bajjajjaabe”? (b) “Abakazi” kabaka ow’obukiika kkono b’ataalowooleza ku “kye baagala” be baluwa? (c) “Katonda” ki kabaka ow’obukiika kkono gwe yawa ekitiibwa?

12 Nga kituukiriza ebigambo bino eby’obunnabbi, kabaka ow’obukiika kkono yeesamba “bakatonda ba bajjajjaabe,” gamba nga katonda ow’obusatu ow’omu Kristendomu. Amawanga ag’ekinywi ky’abakominisiti gaatumbula endowooza ey’obutakkiriza nti eriyo Katonda. Bwe kityo kabaka ow’obukiika kkono yeefuula katonda, ‘ne yeegulumiza okusinga abalala.’ Nga tafaayo n’akamu ku ekyo “abakazi kye baagala,” abakazi bano nga bategeeza amawanga nga North Vietnam agaaweerezanga obufuzi bwe; kabaka ono ‘yakola nga bw’ayagala.’

13 Nga yeeyongera okuwa obunnabbi, malayika yagamba: “Naye mu kifo kye aliwa ekitiibwa katonda w’ebigo: era katonda bajjajjaabe gwe bataamanya alimuwa ekitiibwa ne zaabu, ne ffeeza, n’amayinja ag’omuwendo omungi, n’ebintu ebisanyusa.” (Danyeri 11:38) Mu butuufu, kabaka ow’obukiika kkono yateeka obwesige bwe mu by’okulwanyisa eby’omulembe, “katonda ow’ebigo.” Obulokozi yabunoonyeza mu “katonda” ono, n’amumalirako obutitimbe bw’ensimbi.

14. Kabaka ow’obukiika kkono ‘yalaga atya obuyinza obungi’?

14 “Aliyinza ebigo eby’amaanyi amangi katonda omugenyi ng’amuyamba: buli alimukkiriza alimwongerako ekitiibwa: era alibawa [“alibasobozesa,” NW] okufuga bangi, era aligaba ensi olw’omuwendo.” (Danyeri 11:39) Nga yeesiga ‘katonda omugenyi’ ow’eby’okulwanyisa, kabaka ow’obukiika kkono ‘yalaga obuyinza,’ ne yeeraga bw’ali obufuzi obw’amaanyi ennyo mu ‘nnaku ez’oluvannyuma.’ (2 Timoseewo 3:1) Abo abaawagiranga endowooza ze yabayambanga mu by’obufuzi, mu by’ensimbi, era oluusi ne mu by’ekijaasi.

‘OKUSINDIKA’ MU BISEERA EBY’ENKOMERERO

15. Kabaka ow’obukiika ddyo ‘yasindika’ atya kabaka ow’obukiika kkono?

15 Malayika yagamba Danyeri nti: “Mu kiseera eky’enkomerero kabaka ow’obukiika obwa ddyo alimusindika.” (Danyeri 11:40a) Kabaka ow’obukiika ddyo ‘asindise’ kabaka ow’obukiika kkono ‘mu kiseera eky’enkomerero’? (Danyeri 12:4, 9) Yee, kibadde bwe kityo. Oluvannyuma lwa ssematalo eyasooka, endagaano ey’emirembe eyakakibwa ku Bugirimaani mu kiseera ekyo eyali kabaka ow’obukiika kkono, kwalinga ‘okusindika,’ oba okusosonkereza. Oluvannyuma lw’obuwanguzi bwe yatuukako mu ssematalo ow’okubiri, kabaka ow’obukiika ddyo yatunuuliza kabaka ow’obukiika kkono eby’okulwanyisa nnamuzisa era n’ateekawo omukago ogw’amaanyi ogw’okumulwanyisa, nga guyitibwa North Atlantic Treaty Organization (NATO). Ku bikwata ku kigendererwa ky’omukago ogwo, munnabyafaayo Omungereza yagamba: “Gwali mukulu nnyo mu ‘kutangira’ eggwanga lya USSR, eryali litwalibwa mu kiseera ekyo okubeera ery’akabi ennyo eri emirembe gya Bulaaya. Omukago ogwo gwakola omulimu guno okumala emyaka 40, era ne gutuukirizibwa bulungi nnyo.” Ng’Olutalo olw’Ekimugunyu lugenda mu maaso, ‘okusindika’ kwa kabaka ow’obukiika ddyo kwazingiramu obukessi obwa tekinologiya ow’ekika ekya waggulu awamu n’okulumbagana mu ngeri ezitali zimu.

16. Kabaka ow’obukiika kkono yakolawo ki nga kabaka ow’obukiika ddyo amusindise?

16 Kabaka ow’obukiika kkono yakolawo ki? “Ne kabaka ow’obukiika obwa kkono alijja okumulumba nga kibuyaga, ng’alina amagaali, n’abeebagala embalaasi, n’ebyombo ebingi: era aliyingira mu matwale alyanjaala, n’agayitamu.” (Danyeri 11:40b) Ebibaddewo mu nnaku zino ez’oluvannyuma biraga nga kabaka ow’obukiika kkono yalumba amawanga amalala mangi. Mu ssematalo ow’okubiri, ‘kabaka’ Omunazi yabuuka ensalo ze n’ayingira mu mawanga agamwetoolodde. Ku nkomerero y’olutalo olwo, ‘kabaka’ eyamuddira mu bigere yassaawo obwakabaka obw’amaanyi ennyo. Mu lutalo olw’Ekimugunyu, kabaka ow’obukiika kkono ne kabaka ow’obukiika ddyo baabangako enjuyi ez’enjawulo ze bawagira mu ntalo ezaali mu Afirika, Asiya ne Latini Amereka. Yayigganya Abakristaayo ab’amazima, n’aziyiza omulimu gwabwe, weewaawo teyasobola kuguyimiriza. Era obulumbaganyi bwe yakola bwamusobozesa okussa amawanga mangi wansi w’obuyinza bwe. Kino kyennyini malayika kye yali alagudde: “Era aliyingira ne mu nsi ey’ekitiibwa [embeera ey’eby’omwoyo ey’abantu ba Yakuwa], n’amatwale mangi agalisuulibwa.”—Danyeri 11:41a.

17. Okugaziwa kwa kabaka ow’obukiika kkono kwatuuka wa?

17 Wadde kyali kityo, kabaka ow’obukiika kkono teyasobola kuwamba nsi yonna. Malayika yalagula: “Bano baliwonyezebwa mu mukono gwe, Edomu ne Mowaabu, n’abakulu ab’omu baana ba Amoni.” (Danyeri 11:41b) Mu biseera eby’edda, Edomu, Mowaabu, ne Amoni byali wakati w’ettwale lya kabaka wa bukiika ddyo Omumisiri n’ettwale lya kabaka wa bukiika kkono Omusuuli. Mu biseera bino, Edomu, Mowaabu, ne Amoni bikiikirira amawanga n’ebibiina kabaka owa bukiika kkono bye yagezaako okuteeka wansi w’obuyinza bwe naye n’alemererwa.

MISIRI TEMUSIMATTUKA

18, 19. Kabaka ow’obukiika kkono ayolesezza atya obuyinza bwe ku kabaka ow’ebukiika ddyo?

18 Malayika wa Yakuwa yeeyongera n’agamba: “[Kabaka ow’obukiika kkono] aligolola omukono gwe ne ku matwale: n’ensi y’e Misiri teriwona. Naye aliyinza [“aliba n’obuyinza ku,” NW] ebintu ebitereke ebya zaabu n’ebya ffeeza, n’ebintu byonna eby’omuwendo omungi eby’omu Misiri: n’Abalibya n’Abaesiyopya balimugoberera.” (Danyeri 11:42, 43) Ne “Misiri,” kabaka ow’obukiika ddyo, teyasimattuka bulumbi bwa kabaka ow’obukiika kkono nga yeegaziya. Ng’ekyokulabirako, kabaka ow’obukiika ddyo yawangulwa mu ngeri ey’enkukunala e Vietnam. Ate “Abalibya n’Abaesiyopya” aboogerwako awo? Baliraanwa bano aba Misiri ey’edda bayinza okuba bakiikirira amawanga ag’omuliraano ne “Misiri” (kabaka ow’obukiika ddyo) ow’omu kiseera kino. Ebiseera ebimu amawanga ago gabadde gatambulira ku ntoli ya kabaka ow’obukiika kkono.

19 Kabaka ow’obukiika kkono abadde n’obuyinza ku ‘bintu eby’omuwendo omungi eby’omu Misiri’? Mazima ddala alina kinene ky’akoze ku ngeri kabaka ow’obukiika ddyo gy’akozesaamu eby’obugagga bye. Olw’okutya kabaka w’obukiika kkono gw’avuganya naye, kabaka ow’obukiika ddyo akozesezza obutitimbe bw’ensimbi okukola eggye ery’amaanyi ennyo. Mu ngeri eno, kabaka ow’obukiika kkono ‘abadde n’obuyinza’ ku ngeri kabaka ow’obukiika ddyo gy’akozesaamu obugagga bwe.

OLUTABAALO OLUSEMBAYO

20. Malayika annyonnyola atya olutabaalo olusembayo olwa kabaka ow’obukiika kkono?

20 Akakuubagano wakati wa kabaka ow’obukiika kkono ne kabaka ow’obukiika ddyo, ka kibeere mu by’ekijaasi, mu by’enfuna, oba engeri endala, kanaatera okukoma. Ng’ayogera ku kakuubagano wakati waabwe mu biseera ebijja, malayika wa Yakuwa yagamba: “Ebigambo ebiriva mu buvanjuba ne mu bukiika obwa kkono birimweraliikiriza: era alivaayo nga yeejuumudde nnyo okuzikiriza n’okumalirawo ddala abangi. Era alisimba eweema z’olubiri lwe wakati w’ennyanja [ennene] n’olusozi olw’ekitiibwa olutukuvu: era naye alijja [“alituuka,” NW] ku nkomerero ye, so tewaliba amuyamba.”—Danyeri 11:44, 45.

21. Kiki kye tulindirira okutegeera ku bikwata ku kabaka ow’obukiika kkono?

21 Eggwanga lya Soviet Union bwe lyasattulukuka mu Ddesemba 1991, kabaka ow’obukiika kkono yaddirira nnyo. Kabaka ono alibeera ani nga Danyeri 11:44, 45 lutuukirizibwa? Aliba emu ku nsi ezaali zikola Soviet Union? Oba alikyukira ddala, nga bw’azze akyukakyuka emabega? Amawanga amalala okuweesa eby’okulwanyisa eby’amaanyi ga nukiriya kinaaleetawo okuvuganya okuppya era ne kisobola okwoleka kabaka oyo? Tujja kufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebiseera bwe binaagenda biyitawo. Tekiba kya magezi okuteebereza. Kabaka ow’obukiika kkono bw’anaakola olutabaalo lwe olusembayo, abo bonna abalina okutegeera okwesigamiziddwa ku Baibuli bajja kumanya nti obunnabbi obwo butuukiriziddwa.—Laba “Bakabaka b’Omu Danyeri Essuula 11,” ku lupapula 284.

22. Bibuuzo ki ebijjawo ku bikwata ku lulumba olusembayo olwa kabaka ow’obukiika kkono?

22 Kyokka, tumanyi ebyo kabaka ow’obukiika kkono by’anaatera okukola. Olw’ebigambo by’anaawulira ‘okuva mu buvanjuba ne mu bukiika obwa kkono,’ ajja kukola olutabaalo ng’alina ekigendererwa ‘eky’okumalirawo ddala abangi.’ Baani b’alitabaala bw’atyo? Era ‘bigambo’ ki ebirimuleetera okukola olulumba luno?

AWULIRA EBIGAMBO EBIMWERALIIKIRIZA

23. (a) Kintu ki ekikulu ekijja okubaawo nga Kalumagedoni tannatuuka? (b) ‘Bakabaka abava ebuvanjuba’ be baani?

23 Lowooza ku ebyo ekitabo ky’Okubikkulirwa bye kyogera ku kuzikirizibwa kwa Babulooni Ekinene, obwakabaka obw’ensi yonna obw’eddiini ez’obulimba. Nga Kalumagedoni, “olutalo olw’oku lunaku olukulu olwa Katonda Omuyinza w’ebintu byonna,” terunnatuuka, omulabe ono lukulwe ow’okusinza okw’amazima “alyokerwa ddala omuliro.” (Okubikkulirwa 16:14, 16; 18: 2-8) Okuzikirizibwa kuno kukiikirirwa okufukibwa kw’ekibya eky’omukaaga eky’obusungu bwa Katonda mu mugga Fulaati ogw’akabonero. Omugga gukalira ne kiba nti ‘ekkubo lya bakabaka abava ebuvanjuba liteekebwateekebwa.’ (Okubikkulirwa 16:12) Bakabaka bano be baani? Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo!—Geraageranya Isaaya 41:2; 46:10, 11.

24. Kikolwa ki ekya Yakuwa ekiyinza okweraliikiriza kabaka ow’obukiika kkono?

24 Okuzikirizibwa kwa Babulooni Ekinene kunnyonnyolwa bulungi mu kitabo ky’Okubikkulirwa, ekigamba nti: “Amayembe ekkumi ge walabye [bakabaka abafuga mu kiseera eky’enkomerero], n’ensolo [ekibiina ky’Amawanga Amagatte], bano balikyawa omwenzi, balimulekesaawo, balimufuula omwereere, balirya ennyama ye, era balimwokera ddala omuliro.” (Okubikkulirwa 17:16) Lwaki abafuzi balizikiriza Babulooni Ekinene? Kubanga ‘Katonda akiteeka mu mitima gyabwe okukola kye yateesa.’ (Okubikkulirwa 17:17) Mu bafuzi abo mwe muliba ne kabaka ow’obukiika kkono. By’anaawulira ‘okuva ebuvanjuba’ biyinza okuba nga bitegeeza ekikolwa kino ekya Yakuwa okuteeka mu mitima gy’abafuzi ekirowoozo eky’okuzikiriza omwenzi ono omukulu ow’eby’eddiini.

25. (a) Baani okusingira ddala kabaka ow’obukiika kkono b’alyagala okwolekeza obusungu bwe? (b) Wa kabaka ow’obukiika kkono ‘w’asimba weema ze’?

25 Naye, waliwo abo kabaka ono ow’obukiika kkono b’alyagala okwolekeza obusungu bwe okusingira ddala. Malayika agamba nti “alisimba eweema z’olubiri lwe wakati w’ennyanja [ennene] n’olusozi olw’ekitiibwa olutukuvu.” Mu biseera bya Danyeri ennyanja ennene yali Meditereniyani ate olusozi olutukuvu lwali Sayuuni, okwabanga yeekaalu ya Katonda. N’olwekyo, mu kutuukirizibwa kw’obunnabbi, kabaka ono omusunguwavu atabaala abantu ba Katonda. Mu ngeri ey’eby’omwoyo, ekifo ekiri “wakati w’ennyanja [ennene] n’olusozi olutukuvu” kikiikirira embeera ey’eby’omwoyo ey’abaweereza ba Yakuwa abaafukibwako amafuta. Bavudde mu “nnyanja” ekiikirira olulyo lw’omuntu olweyawudde ku Katonda, era balina essuubi ery’okufugira awamu ne Yesu Kristo ku Lusozi Sayuuni olw’omu ggulu.—Isaaya 57:20; Abaebbulaniya 12:22; Okubikkulirwa 14:1.

26. Nga bwe kiragibwa mu bunnabbi bwa Ezeekyeri, amawulire agawulirwa ‘okuva mu bukiika obwa kkono’ gayinza kusibuka eri ani?

26 Ezeekyeri, eyaliwo mu kiseera kye kimu ne Danyeri, naye yalagula ku bulumbi obulikolebwa ku bantu ba Katonda ‘mu kiseera eky’enkomerero.’ Yagamba nti obulumbi buno bulikubirizibwa Googi ow’e Magoogi, ng’ono ye Setaani Omulyolyomi. (Ezeekyeri 38:14, 16) Mu ngeri ey’akabonero, Googi ava luuyi ki? “Mu njuyi ez’obukiika obwa kkono ezikomererayo,” bw’atyo Yakuwa bw’addamu okuyitira mu Ezeekyeri. (Ezeekyeri 38:15) Kyokka, ka kibe nti olulumba luno luliba lwa bukambwe kwenkana wa, terulisaanyaawo bantu ba Yakuwa, kubanga Yakuwa aliba awendula buwenduzi amagye ga Googi alyoke agazikirize. Bwe kityo, Yakuwa agamba Setaani: ‘Nditeeka amalobo mu mba zo, era ndikufulumya.’ ‘Ndikulinnyisa okuva mu njuyi ez’obukiika obwa kkono ezikomererayo, ne nkutuusa ku nsozi za Isiraeri.’ (Ezeekyeri 38:4; 39:2) N’olwekyo, amawulire “okuva mu njuyi ez’obukiika obwa kkono” agasunguwaza kabaka ow’obukiika kkono, gateekwa okuba gava eri Yakuwa. Naye Katonda yekka y’amanyi ebiribeera mu bubaka ‘obuliva mu buvanjuba ne mu bukiika obwa kkono,’ era birimanyika mu kiseera kyabyo ekigereke.

27. (a) Lwaki Googi ajja kukunga amawanga, nga mw’otwalidde ne kabaka ow’obukiika kkono, okulumba abantu ba Yakuwa? (b) Biki ebinaava mu bulumbi bwa Googi?

27 Googi, ategeka olulumba ssinziggu olw’okuba alaba nga “Isiraeri wa Katonda” ne ‘ekibiina ekinene’ ekya “endiga endala” bali mu mbeera nnungi, ate nga si ba nsi eno. (Abaggalatiya 6:16; Okubikkulirwa 7:9; Yokaana 10:16; 17:15, 16; 1 Yokaana 5:19) Googi awulira bubi okulaba “abantu abakuŋŋaanyiziddwa okuva mu mawanga, era abafunye eby’obugagga [eby’omwoyo].” (Ezeekyeri 38:12, NW) Ng’atwala embeera ey’eby’omwoyo Abakristaayo gye balimu nga “[e]nsi ey’ebyalo ebitaliiko nkomera” ennyangu okusaanyaawo, Googi agezaako okuggyawo embeera eyo emukugidde okufuga abantu bonna. Naye alemwa. (Ezeekyeri 38:11, 18; 39:4) Bakabaka b’ensi, nga mw’otwalidde ne kabaka ow’obukiika kkono, bwe banaalumba abantu ba Yakuwa, bajja ‘kutuuka ku nkomerero yaabwe.’

‘KABAKA ATUUKA KU NKOMERERO YE’

28. Biki bye tumanyi ebirituuka ku kabaka ow’obukiika kkono ne kabaka ow’obukiika ddyo?

28 Olutabaalo olusembayo olwa kabaka ow’obukiika kkono terwolekezebwa kabaka ow’obukiika ddyo. N’olwekyo, kabaka ow’obukiika ddyo si y’asaanyaawo kabaka ow’obukiika kkono. Mu ngeri y’emu, kabaka ow’obukiika kkono si y’azikiriza kabaka ow’obukiika ddyo. Kabaka ow’obukiika ddyo tazikirizibwa na “ngalo [ya muntu],” wabula Obwakabaka bwa Katonda. * (Danyeri 8:25) Mu butuufu, ku lutalo lwa Kalumagedoni, bakabaka bonna ab’oku nsi bajja kuzikirizibwa Obwakabaka bwa Katonda, era ekyo kye kituuka ku kabaka ow’obukiika kkono. (Danyeri 2:44) Danyeri 11:44, 45 walaga ebintu ebiviirako olutalo olwo olusembayo. Tekyewuunyisa nti kabaka oyo bw’alituuka ku nkomerero ye ‘tewaliba amuyamba’!

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 28 Laba Essuula 10 ey’ekitabo kino.

BIKI BY’OTEGEDDE?

• Kabaka ow’obukiika kkono yakyuka atya oluvannyuma lwa ssematalo ow’okubiri?

• Mu nkomerero, kiki ekijja okutuuka ku kabaka ow’obukiika kkono ne kabaka ow’obukiika ddyo?

• Oganyuddwa otya olw’okussaayo omwoyo ku bunnabbi bwa Danyeri obukwata ku kakuubagano akali wakati wa bakabaka bano ababiri?

[Ebibuuzo]

[Ekipande/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 284]

BAKABAKA B’OMU DANYERI ESSUULA 11

Kabaka w’Ebukiika Kabaka w’Ebukiika

Kkono Ddyo

Danyeri 11:5 Niketa Serewuko I Ttolemi I

Danyeri 11:6 Antiyokasi II Ptolemy II

(mukyala we Lawodiisi) (muwala we Bereniisi)

Danyeri 11:7-9 Serewuko II Ttolemi III

Danyeri 11:10-12 Antiyokasi III Ttolemi Ow’Okuna

Danyeri 11:13-19 Antiyokasi III Ttolemi Ow’Okutaano

(muwala we Kirewopatula I) Eyamusikira: Ttolemi Ow’Omukaaga

baddawo:

Serewuko Ow’Okuna ne

Antiyokasi Ow’Okuna

Danyeri 11:20 Agusito

Danyeri 11:21-24 Tiberiyo

Danyeri 11:25, 26 Awuleriya Kkwini Zenobiya

Obwakabaka bw’Abaruumi

busasika

Danyeri 11:27-30a Obwakabaka bwa Bungereza, era

Bugirimaani n’oluvannyuma

(Ssematalo I) Obufuzi Kirimaanyi Obwa

Bungereza n’Amereka

Danyeri 11:30b, 31 Obwakabaka bwa Hitler Obufuzi Kirimaanyi

obw’Okusatu Obwa Bungereza n’Amereka

(Ssematalo II)

Danyeri 11:32-43 Amawanga ag’Ekikoministi Obufuzi Kirimaanyi

(Olutalo olw’Ekimugunyu) Obwa Bungereza

n’Amereka

Danyeri 11:44, 45 Tebunnamanyika * Obufuzi Kirimaanyi

Obwa n’Amereka

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 83 Obunnabbi obuli mu Danyeri essuula 11 tebulaga mannya g’obufuzi obubeera kabaka ow’obukiika kkono oba ow’obukiika ddyo mu biseera eby’enjawulo. Butegeerekeka ng’obunnabbi butandise okutuukirira. Ate era, okuva akakuubagano bwe kasirikasirikamu, wabaawo ekiseera kabaka omu bw’abeera nga y’ali ku ntikko ate munne nga talina buyinza bwonna.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 271]

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 279]

‘Okusindika’ kwa kabaka ow’obukiika ddyo kubaddemu obukessi obw’ekika ekya waggulu ennyo era n’okutiisatiisa okulumba