Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okuyimuka n’Okugwa kw’Ekifaananyi Ekinene

Okuyimuka n’Okugwa kw’Ekifaananyi Ekinene

Essuula ey’Okuna

Okuyimuka n’Okugwa kw’Ekifaananyi Ekinene

1. Lwaki twandyagadde okumanya ebyaliwo emyaka kkumi oluvannyuma lwa Kabaka Nebukadduneeza okutwala Danyeri n’abalala?

WAAKAYITAWO emyaka kkumi kasooka Kabaka Nebukadduneeza aleeta Danyeri ‘n’abakulu abalala ab’ensi’ ya Yuda mu Babulooni. (2 Bassekabaka 24:15) Omuvubuka Danyeri, ng’aweereza mu lubiri lwa kabaka wabaawo embeera eteeka obulamu bwe mu kabi. Lwaki twandyagadde okumanya ebikwata ku nsonga eno? Kubanga engeri Yakuwa Katonda gy’ayingira mu nsonga eno teviiramu bulamu bwa Danyeri n’obw’abalala okuwonyezebwa kyokka, naye era etusobozesa okumanya obufuzi kirimaanyi mu nsi obwogerwako mu bunnabbi bwa Baibuli obwandizze bubaawo okutuukira ddala mu biseera byaffe.

KABAKA AYOLEKAGANA N’EKIZIBU EKY’AMAANYI

2. Nebukadduneeza yafuna ddi ekirooto kye eky’obunnabbi ekyasooka?

2 Nnabbi Danyeri yawandiika: “Mu mwaka ogw’okubiri mu mirembe gya Nebukadduneeza[,] Nebukadduneeza n’aloota ebirooto: omwoyo gwe ne gweraliikirira, otulo twe ne tumubula.” (Danyeri 2:1) Nebukadduneeza, kabaka w’Obwakabaka bwa Babulooni ye yaloota ekirooto. Ddala yali afuuse omufuzi w’ensi yonna mu 607 B.C.E., Yakuwa Katonda bwe yamuleka okuzikiriza Yerusaalemi ne yeekaalu yaakyo. Mu mwaka ogw’okubiri ogw’obufuzi bwa Nebukadduneeza ng’omufuzi w’ensi yonna (606/605 B.C.E.), Katonda yamuloosa ekirooto ekitiisa.

3. Baani abaalemwa okutegeeza amakulu g’ekirooto kya kabaka, era Nebukadduneeza yakola ki?

3 Ekirooto ekyo kyeraliikiriza nnyo Nebukadduneeza n’alemwa n’okwebaka. Awatali kubuusabuusa, yayagala nnyo okumanya amakulu gaakyo. Naye kabaka ono ow’amaanyi yali yeerabidde ekirooto ekyo! Bwe kityo, yayita abafumu, abaganga n’abalogo ab’e Babulooni, n’abalagira bamutegeeze ekirooto kye n’amakulu gaakyo. Ekyo kyabalema. Nebukadduneeza yanyiiga nnyo bwe baalemwa era n’ayisa ekiragiro “okutta abagezigezi bonna ab’e Babulooni.” Ekiragiro kino kyanditadde obulamu bwa Danyeri mu kabi. Lwaki? Kubanga ye n’Abebbulaniya banne abasatu—Kananiya, Misayeri, ne Azaliya—baali babalirwa mu basajja abagezigezi ab’e Babulooni.—Danyeri 2:2-14.

DANYERI ABAWONYA AKABI

4. (a) Danyeri yasobola atya okutegeera ebyali mu kirooto kya Nebukadduneeza n’amakulu gaakyo? (b) Danyeri yayogera ki ng’asiima Yakuwa Katonda?

4 Ng’amaze okutegeera ekireetedde Nebukadduneeza okuyisa ekiragiro ekyo eky’obukambwe, ‘Danyeri yajja ne yeegayirira kabaka okumuwa ekiseera asobole okumutegeeza amakulu.’ Kye yasaba kyakkirizibwa. Danyeri yaddayo ewuwe, era ye n’Abebbulaniya banne abasatu baasaba “Katonda ow’omu ggulu okubasaasira olw’ekyama ekyo.” Ekiro ekyo kyennyini, Yakuwa, mu kwolesebwa yabikkulira Danyeri amakulu g’ekirooto. N’okusiima okungi, Danyeri yagamba: “Lyebazibwenga erinnya lya Katonda emirembe n’emirembe: kubanga amagezi n’amaanyi gage: era oyo ye awaanyisa ebiro n’ebiseera: aggyawo bakabaka, era assaawo bakabaka: awa amagezi abagezigezi, n’okumanya eri abo abamanyi okutegeera: abikkula ebigambo eby’obuziba eby’ekyama: ebiri mu kizikiza abimanyi, era omusana gubeera naye.” Danyeri yatendereza Yakuwa olw’okumuwa okumanya okwo.—Danyeri 2:15-23.

5. (a) Ng’ali mu maaso ga kabaka, Danyeri yatendereza atya Yakuwa? (b) Lwaki Danyeri by’annyonnyola bitukwatako leero?

5 Olunaku olwaddako, Danyeri yatuukirira Aliyooki, omukulu w’abakuumi, eyali alondeddwa okuzikiriza abagezigezi b’e Babulooni. Bwe yakitegeera nti Danyeri yali asobola okuwa amakulu g’ekirooto, Aliyooki yamutwala amangu ago eri kabaka. Awatali kwetendereza kwonna, Danyeri yagamba Nebukadduneeza nti: “Waliwo Katonda mu ggulu abikkula ebyama, era ategeezezza kabaka Nebukadduneeza ebiribaawo mu nnaku ez’enkomerero.” Danyeri yali tagenda kubikkula ebirituuka ku Bwakabaka bwa Babulooni byokka, wabula n’ebyo ebiribaawo mu nsi okuva mu kiseera kya Nebukadduneeza okutuuka mu kiseera kyaffe n’okweyongerayo.—Danyeri 2:24-30.

AJJUKIZIBWA EKIROOTO

6, 7. Ekirooto Danyeri kye yajjukiza kabaka kye kiruwa?

6 Nebukadduneeza yawuliriza bulungi nga Danyeri annyonnyola: “Ggwe, ai kabaka, watunula, era, laba, ekifaananyi ekinene. Ekifaananyi ekyo, eky’amaanyi, ekyamasamasa ennyo nnyini ne kiyimirira mu maaso go: ng’engeri yaakyo ya ntiisa. Ekifaananyi ekyo, omutwe gwakyo gwa zaabu nnungi, ekifuba kyakyo n’emikono gyakyo bya ffeeza, olubuto lwakyo n’ebisambi byakyo bya kikomo, amagulu gaakyo ga kyuma, ebigere byakyo ekitundu kya kyuma, n’ekitundu kya bbumba. Watunula okutuusa ejjinja bwe lyatemebwa awatali ngalo, ne likuba ekifaananyi ebigere eby’ekyuma n’ebbumba, ne libimenyaamenya. Ekyuma, n’ebbumba, n’ekikomo, ne ffeeza, ne zaabu ne biryoka bimenyekamenyekera wamu, ne bifuuka ng’ebisusunku eby’omu gguuliro ekyanda nga kituuse: empewo ne zibitwalira ddala bwe zityo n’okulaba ne bitalaba bbanga: n’ejjinja eryakuba ekifaananyi ne lifuuka olusozi olunene, ne lijjula ensi zonna.”—Danyeri 2:31-35.

7 Nga Nebukadduneeza ateekwa okuba nga yasanyuka nnyo okuwulira Danyeri ng’amubuulira ekirooto kye! Naye lindako! Abagezigezi ba Babulooni bandiwonyewo singa Danyeri yali asobola n’okuwa amakulu g’ekirooto. Ng’ayogera ku lulwe ne ku lw’Abebbulaniya banne abasatu, Danyeri yagamba: “Ekirooto kye kiikyo: era tunaayatula amakulu gaakyo mu maaso ga kabaka.”—Danyeri 2:36.

OBWAKABAKA OBUTUTUMUFU

8. (a) Danyeri yannyonnyola nti omutwe ogwa zaabu kye ki? (b) Omutwe gwa zaabu gwatandika ddi okubaawo?

8 “Ggwe, ai kabaka, oli kabaka wa bakabaka, Katonda ow’eggulu gwe yawa obwakabaka, n’obuyinza, n’amaanyi, n’ekitiibwa: era abaana b’abantu gye batuula yonna, yagaba ensolo ez’omu nsiko n’ennyonyi ez’omu ggulu mu mukono gwo, era yakubifuza ggwe byonna: ggwe oli mutwe gwa zaabu.” (Danyeri 2:37, 38) Ebigambo bino byali bikwata ku Nebukadduneeza oluvannyuma lwa Yakuwa okumukozesa okuzikiriza Yerusaalemi, mu 607 B.C.E. Kiri kityo kubanga bakabaka abaafugiranga mu Yerusaalemi baali ba mu lunyiriri lwa Dawudi, kabaka Yakuwa gwe yafukako amafuta. Yerusaalemi kye kyali ekibuga ekikulu ekya Yuda, obwakabaka bwa Katonda obw’akabonero obukiikirira obufuzi bwa Yakuwa ku nsi. Ekibuga ekyo bwe kyazikirizibwa mu 607 B.C.E., obwakabaka bwa Katonda buno obw’akabonero bwavaawo. (1 Ebyomumirembe 29:23; 2 Ebyomumirembe 36:17-21) Obufuzi kirimaanyi mu nsi obwajja buddiriŋŋana obukiikirirwa ebitundu ebitali bimu eby’ekifaananyi, kati bwali busobola okufuga ensi yonna nga tebukugirwa bwakabaka bwa Katonda obw’akabonero. Ng’omutwe ogwa zaabu, nga zaabu kye kintu ekyali kisingayo okuba eky’omuwendo mu biseera eby’edda, Nebukadduneeza yali afunye ettutumu ery’okuggyawo obwakabaka obwo ng’azikiriza Yerusaalemi.—Laba “Kabaka Omulwanyi Assaawo Obwakabaka,” ku  lupapula 63.

9. Omutwe ogwa zaabu gwali gukiikirira ki?

9 Nebukadduneeza, eyafugira emyaka 43, ye yali omutwe gw’olulyo olufuzi mu Bwakabaka bwa Babulooni. Lwalimu mukoddomi we Nabonidasi ne mutabani we omukulu, Evirumerodaki. Olulyo olwo lwafugira emyaka emirala 43, okutuusa ku kufa kwa Berusazza, mutabani wa Nabonidasi, mu 539 B.C.E. (2 Bassekabaka 25:27; Danyeri 5:30) N’olwekyo, omutwe ogwa zaabu mu kifaananyi ky’ekirooto tegukiikirira Nebukadduneeza yekka, wabula olulyo lwonna olw’abafuzi ba Babulooni.

10. (a) Ekirooto kya Nebukadduneeza kyalaga kitya nti Obufuzi Kirimaanyi Obwa Babulooni tebwali bwa kubaawo lubeerera? (b) Nnabbi Isaaya yalagula ki ku oyo eyandiwangudde Babulooni? (c) Mu ngeri ki Bumeedi ne Buperusi gye yali eya wansi ku Babulooni?

10 Danyeri yagamba Nebukadduneeza: “Walikuddirira obwakabaka obulala, bw’osinga ggwe.” (Danyeri 2:39) Obwakabaka obwali bukiikirirwa ekifuba n’emikono ebya ffeeza mu kifaananyi bwandisikidde olulyo olufuzi olwa Nebukadduneeza. Emyaka nga 200 emabegako, Isaaya yali alagudde ku bwakabaka buno, n’ayogera n’erinnya Kuulo erya kabaka waabwo omuwanguzi. (Isaaya 13:1-17; 21:2-9; 44:24–45:7, 13) Buno bwe Bwakabaka bwa Bumeedi ne Buperusi. Wadde Bumeedi ne Buperusi yaleetawo okukulaakulana okw’amaanyi mu mbeera z’obulamu okusinga Obwakabaka bwa Babulooni, obwakabaka bwa Bumeedi ne Buperusi bukiikirirwa ffeeza, atali wa muwendo nnyo nga zaabu. Bwali bwa wansi ku Bwakabaka Kirimaanyi Obwa Babulooni olw’okuba si bwe bwazikiriza Yuda, obwakabaka bwa Katonda obw’akabonero obwalina ekibuga kyabwo ekikulu mu Yerusaalemi.

11. Obufuzi bw’olulyo lwa Nebukadduneeza bwakoma ddi?

11 Emyaka nga 60 oluvannyuma lw’okunnyonnyola amakulu g’ekirooto, Danyeri yalaba obufuzi obw’omu lulyo lwa Nebukadduneeza nga bukoma. Danyeri yaliwo ekiro kya Okitobba 5/6, 539 B.C.E., eggye lya Bumeedi ne Buperusi we lyawangulira Babulooni eyali erabika ng’etayinza kuwangulwa era ne litta Kabaka Berusazza. Berusazza bwe yamala okuttibwa, omutwe gwa zaabu mu kifaananyi, nga bwe Bwakabaka bwa Babulooni, gwavaawo.

ABANTU ABAALI BAWAŊŊANGUSIDDWA BASUMULULWA OBWAKABAKA

12. Ekiragiro Kuulo kye yawa mu 537 B.C.E. kyaganyula kitya Abayudaaya abaali mu buwaŋŋanguse?

12 Bumeedi ne Buperusi yadda mu kifo ky’Obwakabaka bwa Babulooni ng’obufuzi kirimaanyi mu nsi yonna mu 539 B.C.E. Ng’alina emyaka 62 egy’obukulu, Daliyo Omumeedi ye yasooka okufuga ekibuga kya Babulooni ekiwambiddwa. (Danyeri 5:30, 31) Okumala akabanga, ye ne Kuulo Omuperusi baafugira wamu Obwakabaka bwa Bumeedi ne Buperusi. Daliyo bwe yafa, Kuulo yasigala nga ye mufuzi yekka ow’Obwakabaka bwa Buperusi. Obufuzi bwa Kuulo bwaviiramu Abayudaaya okusumululwa mu buwambe. Mu 537 B.C.E., Kuulo yawa ekiragiro ekyasobozesa Abayudaaya abaali mu buwaŋŋanguse e Babulooni okuddayo ku butaka baddemu okuzimba Yerusaalemi ne yeekaalu ya Yakuwa. Kyokka, obwakabaka bwa Katonda obw’akabonero tebwazzibwawo mu Yuda ne Yerusaalemi.—2 Ebyomumirembe 36:22, 23; Ezera 1:1–2:2a.

13. Ekifuba n’emikono ebya ffeeza eby’ekifaananyi Nebukadduneeza kye yaloota byali bikiikirira ki?

13 Ekifuba n’emikono ebya ffeeza eby’ekifaananyi byakiikirira olunyiriri lwa bakabaka ba Buperusi okutandikira ku Kuulo Omukulu. Olulyo olwo olw’abafuzi lwamala emyaka egisukka mu 200. Kirowoozebwa nti Kuulo yafiira mu lutalo mu 530 B.C.E. Ku bakabaka 12 abaamuddirira ku ntebe y’Obwakabaka bwa Buperusi, 2 bokka be baayisa obulungi abantu ba Yakuwa abalonde. Omu ku bano yali Daliyo I (Omuperusi), ate omulala yali Alutagizerugizi I.

14, 15. Buyambi ki Daliyo Omukulu ne Alutagizerugizi I bwe baawa Abayudaaya?

14 Daliyo I yali wa kusatu mu lunyiriri lwa bakabaka Abaperusi okuva ku Kuulo Omukulu. Abaamusookawo baali Kambisesi II ne muganda we Baridiya (oboolyawo ng’ono ye Gawumata omusajja eyeefuula okuba ow’omu lulyo lwa bakabona). Daliyo I, era amanyiddwa nga Daliyo Omukulu, we yatuulira ku nnamulondo mu 521 B.C.E., omulimu gw’okuddamu okuzimba yeekaalu mu Yerusaalemi gwali guwereddwa. Ekiwandiiko ekyalimu ekiragiro kya Kuulo bwe kyazuulibwa mu materekero g’e Ekibatana, Daliyo teyakoma ku kuggyawo buggya okuwerebwa mu 520 B.C.E., wabula yawaayo n’ensimbi okuva mu ggwanika ly’obwakabaka zikozesebwe okuddamu okuzimba yeekaalu.—Ezera 6:1-12.

15 Omufuzi Omuperusi eyaddako okuyamba Abayudaaya nga bazzeeyo yali Alutagizerugizi I, eyasikira kitaawe Akaswero (Zaakisisi I) mu 475 B.C.E. Alutagizerugizi yaweebwa erinnya Longimanusi olw’okuba omukono gwe ogwa ddyo gwali gusinga ogwa kkono obuwanvu. Mu mwaka ogwa 20 ogw’obufuzi bwe, mu 455 B.C.E., yalonda Nekkemiya, omusenero we Omuyudaaya, okubeera gavana wa Yuda era n’okuddamu okuzimba bbugwe wa Yerusaalemi. Kino kyalamba entandikwa ya ‘wiiki ensanvu ez’emyaka’ ezoogerwako mu ssuula 9 eya Danyeri era ne kisobozesa okubalirira ekiseera Masiya, oba Kristo, Yesu ow’e Nazaleesi, we yandirabikidde ne we yandifiiridde.—Danyeri 9:24-27; Nekkemiya 1:1; 2:1-18.

16. Obufuzi Kirimaanyi Obwa Bumeedi ne Buperusi bwakoma ddi, era kabaka waabwo eyasembayo y’ani?

16 Eyasembayo mu bakabaka omukaaga abaddirira Alutagizerugizi I ku ntebe y’Obwakabaka bwa Buperusi yali Daliyo III. Obufuzi bwe bwakoma mu 331 B.C.E., bwe yawangulwa Alekizanda Omukulu e Gawugamela, okumpi ne Nineeve eky’edda. Okuwangulwa okwo kwakomya Obufuzi Kirimaanyi Obwa Bumeedi ne Buperusi obwali bukiikirirwa ekitundu ekya ffeeza mu kifaananyi Nebukadduneeza kye yaloota. Obufuzi obwaddako bwali bwa maanyi okusingawo mu ngeri ezimu, naye ate era nga bunafu okusingawo mu ngeri endala. Kino kyeyoleka bulungi bwe tuwuliriza ebirala Danyeri by’ayogera ng’annyonnyola amakulu g’ekirooto kya Nebukadduneeza.

OBWAKABAKA BUGAZI NAYE BWA DDAALA LYA WANSI

17-19. (a) Olubuto n’ebisambi eby’ekikomo byakiikirira bufuzi ki kirimaanyi, era bwagaziwa kutuuka wa? (b) Alekizanda III yali ani? (c) Oluyonaani lwafuuka lutya olulimi olw’ensi yonna, era kiki kye lwasaanira obulungi ennyo?

17 Danyeri yagamba Nebukadduneeza nti olubuto n’ebisambi eby’ekifaananyi ekinene byali bikiikirira “obwakabaka obulala obw’okusatu obw’ekikomo obulifuga ensi yonna.” (Danyeri 2:32, 39) Obwakabaka buno obw’okusatu bwandiddiridde Babulooni ne Bumeedi ne Buperusi. Ng’ekikomo bwe kitali kya muwendo nnyo nga ffeeza, mu ngeri y’emu n’obufuzi buno kirimaanyi obuppya bwandibadde bwa ddaala lya wansi ku bwa Bumeedi ne Buperusi olw’ensonga nti tebwandifunye nkizo yonna, gamba ng’okununula abantu ba Yakuwa. Kyokka, obwakabaka obwo obufaananyizibwa ekikomo bwali bwa kufuga “ensi yonna,” nga kiraga nti bwandibadde bugazi okusinga Babulooni oba Bumeedi ne Buperusi. Ebyaliwo mu byafaayo biraga ki ku bufuzi buno kirimaanyi?

18 Amangu ddala nga yaakatuula ku nnamulondo ya Makedoni mu 336 B.C.E., ku myaka 20 egy’obukulu, Alekizanda III, eyali yeegwanyiza ettutumu, yatandika kaweefube ow’okuwamba ebitundu ebirala. Olw’obuwanguzi bwe yatuukako mu kulwana entalo, yatuuka okuyitibwa Alekizanda Omukulu. Ng’agenda awangula, yasensera ettwale lya Buperusi. Bwe yawangula Daliyo III mu lutalo olw’e Gawugamela mu 331 B.C.E., Obwakabaka bwa Buperusi bwatandika okusattulukuka era Alekizanda n’afuula Buyonaani okuba obufuzi kirimaanyi obuppya.

19 Ng’amaze okuwangula e Gawugamela, Alekizanda yawamba Babulooni, Susa, Perusepolisi, ne Ekibatana, ebibuga ebikulu ebya Buperusi. Ng’agenda awangula ebitundu ebirala eby’Obwakabaka bwa Buperusi, yatuuka n’ebugwanjuba bwa Buyindi. Obubinja bw’Abayonaani bwatandika okubeera mu nsi ezaali ziwanguddwa. Bwe kityo, olulimi n’empisa z’Ekiyonaani byabuna mu ttwale eryo lyonna. Mu butuufu, Obwakabaka bwa Buyonaani, bwamaamira ekitundu kinene nnyo okusinga obwakabaka obulala bwonna obwabusookawo. Nga Danyeri bwe yalagula, obwakabaka buno obufaananyizibwa ekikomo ‘bwafuga ensi yonna.’ Ekimu ku ebyo ebyavaamu kyali nti Oluyonaani (Olukoyine) lwafuuka olulimi olw’ensi yonna. Olw’okuba lwalina ebigambo ebisobozesa okunnyonnyolera ddala obulungi, lwali lusaanira ddala okukozesebwa mu kuwandiika Ebyawandiikibwa eby’Ekikristaayo mu Luyonaani era n’okubunyisa amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda.

20. Oluvannyuma lw’okufa kwa Alekizanda Omukulu kiki ekyatuuka ku Bwakabaka bwa Buyonaani?

20 Alekizanda Omukulu yabeerawo emyaka munaana gyokka ng’omufuzi w’ensi yonna. Wadde yali akyali muto, Alekizanda ow’emyaka 32 yalwala ng’avudde ku mbaga emu era n’afa oluvannyuma lw’akaseera katono, nga Jjuuni 13, 323 B.C.E. Oluvannyuma lw’ekiseera, obwakabaka bwe obunene bwayawulwamu ebitundu bina, buli kimu nga kifugibwa omu ku bagabe be. Bwe kityo, mu bwakabaka bumu obwali obunene ennyo mwavaamu obwakabaka buna oluvannyuma obwafuuka ekitundu ky’Obwakabaka bw’Abaruumi. Obufuzi buno kirimaanyi obufaananyizibwa ekikomo bwaggwaawo mu mwaka 30 B.C.E., ng’obwasembayo ku bwakabaka buno obuna, mu lunyiriri lwa Ttolemi e Misiri buwanguddwa Rooma.

OBWAKABAKA OBUBETENTA ERA OBUMENYAAMENYA

21. Danyeri yannyonnyola atya “obwakabaka obw’okuna”?

21 Danyeri yeeyongera okunnyonnyola ekifaananyi ekyalootebwa: “N’obwakabaka obw’okuna [oluvannyuma lwa Babulooni, Bumeedi ne Buperusi, era ne Buyonaani] buliba bwa maanyi ng’ekyuma: kubanga ekyuma kimenyaamenya ebintu byonna, era kibijeemulula: era ng’ekyuma ekibetenta ebyo byonna, bwe bulimenyaamenya bwe bulibetenta bwe butyo.” (Danyeri 2:40) Okusinziira ku maanyi gaabwo n’obusobozi bw’okubetenta, obwakabaka buno bwandibadde ng’ekyuma, nga bwa maanyi nnyo okusinga obwakabaka obwakiikirirwa zaabu, ffeeza, oba ekikomo. Obwakabaka bw’Abaruumi bwali bwa maanyi bwe butyo.

22. Mu ngeri ki Obwakabaka bw’Abaruumi gye bwali ng’ekyuma?

22 Rooma yabetenta era n’emenyaamenya Obwakabaka bwa Buyonaani n’etwala n’obutundutundu obwali bukyasigaddewo ku bufuzi bwa Bumeedi ne Buperusi awamu n’obwa Babulooni. Awatali kussa kitiibwa n’akamu mu Bwakabaka bwa Katonda Yesu Kristo bwe yalangirira, obufuzi obwo bwamuttira ku muti mu 33 C.E. Nga bagezaako okusaanyawo Obukristaayo obw’amazima, Abaruumi baayigganya abayigirizwa ba Yesu, ate era baazikiriza Yerusaalemi ne yeekaalu yaakyo mu 70 C.E.

23, 24. Ng’oggyeko Obwakabaka bw’Abaruumi, amagulu g’ekifaananyi ekyo gakiikirira ki?

23 Amagulu g’ekyuma ag’ekifaananyi Nebukadduneeza kye yaloota tegaakiikirira Bwakabaka bw’Abaruumi bwokka, wabula era n’obufuzi obulala obwabusibukamu. Lowooza ku bigambo bino ebiri mu Okubikkulirwa 17:10: “Be bakabaka omusanvu; abataano baagwa, omu w’ali, omulala tannaba kujja; era bw’alijja, kimugwanira okumalawo ebiro bitono.” Omutume Yokaana we yawandiikira ebigambo bino, yali awaŋŋangusiddwa Abaruumi ku kizinga ky’e Patumo. Bakabaka abataano oba obufuzi kirimaanyi obwali bumaze okugwa bwali Misiri, Bwasuli, Babulooni, Bumeedi ne Buperusi, era ne Buyonaani. Obw’omukaaga, nga bwe Bwakabaka bw’Abaruumi, bwali bukyali mu buyinza. Kyokka nabwo bwali bwa kugwa; era kabaka ow’omusanvu yandiyimuseewo okuva mu gamu ku gaali amatwale ga Rooma. Obufuzi obwo kirimaanyi obwandiyimuseewo bwe buluwa?

24 Bungereza yaliko ekitundu ky’Obwakabaka bw’Abaruumi eky’omu mambuka g’ebugwanjuba. Naye omwaka 1763 we gwatuukira, yali efuuse Bwakabaka bwa Bungereza—Obwakabaka obwafuga agayanja aganene omusanvu. Omwaka 1776 we gwatuukira amatwale gaayo 13 ag’omu Amereka gaali geetongodde nga gafuuse eggwanga lya Amereka. Kyokka, mu myaka egyaddirira, Bungereza ne Amereka baakolaganira wamu mu biseera eby’entalo n’eby’emirembe. Mu ngeri eyo, ekinywi kya Bungereza ne Amereka ne kitondebwawo ng’obufuzi kirimaanyi obw’omusanvu obw’obunnabbi bwa Baibuli. Okufaananako Obwakabaka bw’Abaruumi, kyeraze okuba ‘eky’amaanyi ng’ekyuma,’ nga kikozesa obuyinza bwakyo obw’ekyuma. Bwe kityo, amagulu g’ekyuma ag’ekifaananyi eky’omu kirooto gakiikirira Obwakabaka bw’Abaruumi era n’obufuzi kirimaanyi obwa Bungereza n’Amereka.

EBITAKWATAGANA

25. Danyeri yayogera ki ku bigere n’obugere by’ekifaananyi?

25 Ekyaddako, Danyeri yagamba Nebukadduneeza nti: “Kubanga walaba ebigere n’obugere, ekitundu kya bbumba ery’omubumbi, n’ekitundu kya kyuma, obwakabaka buliba bwawulemu: naye muliba mu bwo ku maanyi g’ekyuma, kubanga walaba ekyuma nga kitabuddwamu ebbumba ery’ettosi. Era ng’obugere bwe bwali ekitundu kya kyuma, n’ekitundu kya bbumba, era n’obwakabaka bwe buliba bwe butyo, ekitundu kya maanyi, n’ekitundu kimenyefu. Era kubanga walaba ekyuma nga kitabuddwamu ebbumba ery’ettosi, balyetabula n’ezzadde ly’abantu: naye tebaligattagana bokka na bokka, era ng’ekyuma bwe kiteetabula na bbumba.”—Danyeri 2:41-43.

26. Obufuzi obukiikirirwa ebigere n’obugere bweyoleka ddi?

26 Obufuzi kirimaanyi obwaddiriŋŋana obukiikirirwa ebitundu eby’enjawulo eby’ekifaananyi Nebukadduneeza kye yaloota bwatandikira ku mutwe ne butuuka ku bigere. Kya lwatu ng’ebigere n’obugere ‘eby’ekyuma nga kitabuddwamu ebbumba ery’ettosi’ byandikiikiridde obufuzi bw’abantu obusembayo obwandibaddewo mu ‘kiseera eky’enkomerero.’—Danyeri 12:4.

27. (a) Mbeera ki ebigere n’obugere eby’ekyuma ekitabuddwamu ebbumba gye bikiikirira? (b) Obugere ekkumi obw’ekifaananyi bukiikirira ki?

27 Ku ntandikwa y’ekyasa ekya 20, Obwakabaka bwa Bungereza bwali bufuga ekitundu kimu kya kuna eky’abantu abaali ku nsi. Obwakabaka obulala obw’omu Bulaaya bwafuga abantu abasingako n’awo obungi. Naye oluvannyuma lwa Ssematalo I waatandika okubaawo amawanga amaawufu mangi mu kifo ky’obwakabaka obunene. Oluvannyuma lwa Ssematalo II, kino kyeyongera mu maaso. Nga mwoyo gwa ggwanga gugenda gweyongera, omuwendo gw’amawanga gweyongera mu nsi. Obugere ekkumi obw’ekifaananyi bukiikirira obufuzi bwonna obuliwo, kubanga mu Baibuli, nnamba kkumi oluusi eba ekiikirira ekintu eky’oku nsi ekijjuvu.—Geraageranya Okuva 34:28; Matayo 25:1; Okubikkulirwa 2:10.

28, 29. (a) Okusinziira ku Danyeri, ebbumba likiikirira ki? (b) Kiki ekiyinza okwogerwa ku kyuma okwetabula n’ebbumba?

28 Kati nga tuli mu ‘kiseera eky’enkomerero,’ tutuuse ku bigere by’ekifaananyi. Ezimu ku gavumenti ezikiikirirwa ebigere n’obugere by’ekifaananyi eby’ekyuma nga kitabuddwamu ebbumba, ddala ziringa kyuma. Za nnaakyemalira oba zinyigiriza. Endala ziringa bbumba. Mu ngeri ki? Danyeri yakwataganya ebbumba ne “ezzadde ly’abantu.” (Danyeri 2:43) Wadde ng’ebbumba, olulyo lw’omuntu mwe lwakolebwa, kintu ekimenyeka amangu, obufuzi obufaananyizibwako ekyuma bugenze buwalirizibwa okuwuliriza abantu aba bulijjo, abaagala nabo okubaako kye boogera ku ngeri gye bafugibwamu. (Yobu 10:9) Naye nno, obufuzi obwa nnaakyemalira n’abantu aba bulijjo tebisobola kwegatta wamu, era nga n’ekyuma bwe kitayinza kwetabula na bbumba. Ekifaananyi we kirizikiririzibwa, ensi eriba yeeyawuddeyawuddemu nnyo mu by’obufuzi!

29 Obutakwatagana kw’ebigere n’obugere bwe bunaaviirako ekifaananyi okuzikirira? Kiki ekinaatuuka ku kifaananyi?

ENKOMERERO EY’EKYEWUUNYO!

30. Nnyonnyola ekituuka ku kifaananyi Nebukadduneeza kye yaloota.

30 Lowooza ku kituuka ku kifaananyi mu nkomerero. Danyeri yagamba kabaka: “Watunula okutuusa ejjinja lwe lyatemebwa awatali ngalo, ne likuba ekifaananyi ebigere eby’ekyuma n’ebbumba, ne libimenyaamenya. Ekyuma, n’ebbumba, n’ekikomo, ne ffeeza, ne zaabu ne biryoka bimenyekamenyekera wamu, ne bifuuka ng’ebisusunku eby’omu gguuliro ekyanda nga kituuse: empewo ne zibitwalira ddala bwe zityo n’okulaba ne bitalaba bbanga: n’ejjinja eryakuba ekifaananyi ne lifuuka olusozi olunene, ne lijjula ensi zonna.”—Danyeri 2:34, 35.

31, 32. Kiki ekyalagulwa ku bikwata ku kitundu ekisembayo eky’ekirooto kya Nebukadduneeza?

31 Nga bunnyonnyola ekyo, obunnabbi bugamba: “Mu mirembe gya bakabaka abo, Katonda ow’eggulu alissaawo obwakabaka, obutalizikirizibwa emirembe gyonna, so n’okufuga kwabwo tekulirekerwa ggwanga ddala: naye bulimenyaamenya era bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna, era bunaabeereranga emirembe gyonna. Kubanga walaba ejjinja nga lyatemebwa mu lusozi awatali ngalo, era nga lyamenyaamenya ekyuma, n’ekikomo, n’ebbumba, ne ffeeza, ne zaabu: Katonda omukulu ategeezezza kabaka ebiribaawo oluvannyuma: era ekirooto kya mazima ddala, n’amakulu gaakyo tegabuusibwabuusibwa.”—Danyeri 2:44, 45.

32 Ng’ategedde nti yali ajjukiziddwa era n’annyonnyolebwa amakulu g’ekirooto kye, Nebukadduneeza yakitegeera nti Katonda wa Danyeri yekka ye yali “Mukama wa bakabaka, era ye [M]ubikkuzi w’ebyama.” Era kabaka yawa Danyeri n’Abebbulaniya banne abasatu ebifo eby’obuvunaanyizibwa obw’amaanyi. (Danyeri 2:46-49) Naye, ‘amakulu agatabuusibwabuusibwa’ ag’obunnabbi bwa Danyeri mu kiseera kino ge galuwa?

‘OLUSOZI LUJJULA ENSI YONNA’

33. “Ejjinja” lyatemebwa kuva mu “lusozi” ki, ate ddi era mu ngeri ki kino gye kyabaawo?

33 “Ebiseera by’ab’amawanga” bwe byaggwaako mu Okitobba 1914, “Katonda ow’eggulu” yassaawo Obwakabaka obw’omu ggulu ng’atuuza ku ntebe Omwana we gwe yafukako amafuta, Yesu Kristo, nga ‘Kabaka wa bakabaka era Omwami w’abaami.’ * (Lukka 21:24, NW; Okubikkulirwa 12:1-5; 19:16) Bwe kityo, mu maanyi ga Katonda, so si mu maanyi g’abantu, “ejjinja” erikiikirira Obwakabaka bwa Masiya lyatemebwa okuva mu “lusozi” olukiikirira obufuzi bwa Yakuwa obw’obutonde bwonna. Gavumenti eno ey’omu ggulu eri mu mikono gya Yesu Kristo, Katonda gw’amaze okuwa obutafa. (Abaruumi 6:9; 1 Timoseewo 6:15, 16) N’olwekyo, “obwakabaka bwa Mukama waffe [Katonda] era [o]bwa Kristo we”, nga buno kitundu ky’obufuzi bwa Yakuwa obw’obutonde bwonna, tebujja kulekerwa muntu mulala yenna. Bujja kubaawo emirembe gyonna.—Okubikkulirwa 11:15, NW.

34. Obwakabaka bwa Katonda bwazaalibwa butya “mu mirembe gya bakabaka abo”?

34 Obwakabaka buno bwazaalibwa “mu mirembe gya bakabaka abo.” (Danyeri 2:44) Bano si be bakabaka abo bokka abakiikirirwa obugere ekkumi obw’omu kifaananyi naye era batwaliramu n’abo abakiikirirwa ebitundu eby’ekyuma, ekikomo, ffeeza ne zaabu. Wadde ng’Obwakabaka bw’Abababulooni, Abaperusi, Abayonaani, n’Abaruumi bwali bwavaawo dda ng’obufuzi kirimaanyi, waali wakyaliwo ensigalira yaabwo mu 1914. Mu kiseera ekyo Obwakabaka bwa Butuluki bwali bufuga ekitundu awaali Babulooni, era waaliwo gavumenti z’amawanga mu Buperusi (Iran), mu Buyonaani era ne mu Rooma, Itale.

35. “Ejjinja” lirikuba ddi ekifaananyi, era ekifaananyi kirisaanyizibwawo kitya?

35 Mangu Obwakabaka bwa Katonda obw’omu ggulu bujja kukuba ekifaananyi ekyo eky’akabonero ku bigere. Ekinaavaamu, obwakabaka bwonna obukiikirirwa ekifaananyi ekyo bujja kumenyaamenyebwa, buviirewo ddala. Mazima ddala, ku ‘lutalo olw’oku lunaku olukulu olwa Katonda Omuyinza w’ebintu byonna,’ “ejjinja” eryo lijja kukuba ekifaananyi ekyo likimemettule era embuyaga ya Katonda ekifuuwe ng’ebisusunku okuva mu gguuliro. (Okubikkulirwa 16:14, 16) Awo, okufaananako ejjinja eryagejja ne lifuuka olusozi olunene ne lujjuza ensi, Obwakabaka bwa Katonda bujja kufuuka gavumenti eringa olusozi ejja okufuga ‘ensi yonna.’—Danyeri 2:35.

36. Lwaki Obwakabaka bwa Masiya buyinza okuyitibwa gavumenti ennywevu?

36 Wadde Obwakabaka bwa Masiya bwa mu ggulu, bujja kwoleka amaanyi gaabwo mu nsi kiganyule abantu abawulize bonna abagituulamu. Gavumenti eno ennywevu ‘tegenda kuzikirizibwa’ era tegenda ‘kulekerwa ggwanga ddala lyonna.’ Obutafaananako bwakabaka obufugibwa abantu abasobola okufa, “bunaabeereranga emirembe gyonna.” (Danyeri 2:44) K’obe n’enkizo ey’okuba omu ku abo be bunaafuga emirembe gyonna.

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 33 Laba Essuula 6 ey’ekitabo kino.

BIKI BY’OTEGEDDE?

• Bufuzi ki kirimaanyi obukiikirirwa ebitundu eby’enjawulo eby’ekifaananyi ekinene Nebukadduneeza kye yaloota?

• Ebigere n’obugere eby’ekyuma ekitabuddwamu ebbumba bikiikirira mbeera ki mu nsi?

• Ddi era kuva mu “lusozi” ki “ejjinja” mwe lyatemebwa?

• “Ejjinja” linaakuba ddi ekifaananyi?

[Ebibuuzo]

[Akasanduuko/Ebifaananyi ebiri ku lupapula 63-67]

KABAKA OMULWANYI ASSAAWO OBWAKABAKA

OMULANGIRA ow’okusikira nnamulondo ya Babulooni n’eggye lye bafufuggaza amagye ga Misiri agakulemberwa Falaawo Neko e Kalukemisi, mu Busuuli. Abamisiri abawanguddwa baddukira mu maserengeta okwolekera Misiri, era Abababulooni babawondera. Naye obubaka obuva e Babulooni buwaliriza omulangira ono omuwanguzi obuteeyongera kuwondera balabe be. Obubaka buli nti kitaawe, Nabopolaasa, afudde. Nebukadduneeza alekera abagabe be obuvunaanyizibwa obw’okuleeta abasibe n’omunyago, n’addayo mangu eka era n’atwala nnamulondo kitaawe gy’alese.

Bw’atyo Nebukadduneeza yatuula ku nnamulondo ya Babulooni mu mwaka 624 B.C.E., era n’afuuka omufuzi ow’okubiri ow’Obwakabaka Obuppya obw’e Babulooni. Mu bufuzi bwe obwamala emyaka 43, yawamba amatwale agaali ag’Obufuzi Kirimaanyi Obwa Bwasuli era n’agaziya ettwale lye ne liba nga lizingiramu Busuuli mu mambuka, ne Palesitayini mu bugwanjuba, okutuukira ddala ku nsalo ya Misiri.​—⁠Laba mmaapu.

Mu mwaka ogw’okuna ogw’obufuzi bwe (620 B.C.E.), Nebukadduneeza yafuula Yuda obwakabaka obukolera ku biragiro bye. (2 Bassekabaka 24:⁠1) Nga wayiseewo emyaka esatu, okwewaggula kwa Yuda kwaleetera Yerusaalemi okuzingizibwa Abababulooni. Nebukadduneeza yatwala Yekoyakini, Danyeri, n’abalala mu buwambe e Babulooni. Kabaka ono era yatwala n’ebimu ku bintu ebyali bikozesebwa mu yeekaalu ya Yakuwa. Yafuula Zeddekiya, kitaawe wa Yekoyakini omuto, okuba kabaka wa Yuda akolera ku biragiro bye.​​—⁠2 Bassekabaka 24:​2-​17; Danyeri 1:​6, 7.

Nga wayiseewo ekiseera, ne Zeddekiya yeewaggula, n’akola omukago ne Misiri. Nebukadduneeza yaddamu okuzingiza Yerusaalemi, era mu 607 B.C.E., yamenya bbugwe waakyo, n’ayokya yeekaalu, era n’azikiriza ekibuga. Yatta batabani ba Zeddekiya bonna era n’aggyamu Zeddekiya amaaso n’amusiba enjegere n’amutwala ng’omusibe e Babulooni. Nebukadduneeza yawamba abantu abasinga obungi era n’atwala e Babulooni ebintu ebyali bikozesebwa mu yeekaalu ebyali bisigadde. “Bw’atyo Yuda n’atwalibwa [mu buwaŋŋanguse] ng’aggibwa mu nsi ye.”​​—⁠2 Bassekabaka 24:18-25:⁠21.

Nebukadduneeza era yawangula Ttuulo ng’akizingiza. Okuzingiza okwo kwamala emyaka 13. Mu kuzingiza okwo, emitwe gy’abaserikale ‘gyakutuka ebiwalaata’ olw’okunyigirizibwa enkufiira zaabwe ez’ekyuma, ate ebibegabega byabwe ‘byabambuka’ olw’okwetikkanga ebintu bye baakozesa okukizingiza. (Ezeekyeri 29:18) Mu nkomerero, Ttuulo kyewaayo mu mikono gy’eggye lya Babulooni.

Kirabika nga kabaka wa Babulooni yali mukugu nnyo mu by’ekijaasi. Ebitabo ebimu, naddala ebyo eby’omu Babulooni, era bimwogerako nga kabaka omwenkanya. Wadde ng’Ebyawandiikibwa tebikyogerako butereevu nti Nebukadduneeza yali mwenkanya, nnabbi Yeremiya yagamba nti wadde Zeddekiya yali ajeemye, yandibadde ayisibwa bulungi ‘bwe yandigenze eri abakungu ba kabaka w’e Babulooni.’ (Yeremiya 38:​17, 18) Ate era oluvannyuma lw’okuzikiriza Yerusaalemi, Nebukadduneeza yayisa bulungi Yeremiya. Ku bikwata ku Yeremiya, kabaka yalagira: “Mutwale omukuume nnyo, so tomukola kabi; naye omukolanga era nga ye bw’anaakugambanga.”​​—⁠Yeremiya 39:​11, 12; 40:​1-4.

Ng’omukulembeze, Nebukadduneeza yasobola mangu okulaba engeri ennungi n’obusobozi bwa Danyeri ne banne abasatu Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego mu Lwebbulaniya abaali bayitibwa Kananiya, Misayeri, ne Azaliya. N’olw’ensonga eyo kabaka yabakozesa mu bifo eby’obuvunaanyizibwa mu bwakabaka bwe.​—⁠Danyeri 1:​6, 7, 19-​21; 2:​49.

Nebukadduneeza yasinzanga Maruduki, katonda omukulu ow’e Babulooni. Kabaka ono yatenderezanga Maruduki olw’obuwanguzi bwonna bwe yatuukako. Mu Babulooni, yazimbayo era n’ayooyoota yeekaalu za Maruduki n’eza bakatonda abalala bangi ab’e Babulooni. Ekifaananyi ekya zaabu ekyateekebwawo mu lusenyi lwa Dduula kiyinza okuba nga kyaweebwayo eri Maruduki. Era kirabika nti Nebukadduneeza yeesigamanga nnyo ku by’obulaguzi nga yeeteekerateekera entalo.

Nebukadduneeza era yeenyumiriza nnyo olw’okuzza obuggya Babulooni, ekibuga ekyaliko bbugwe ekyali kisingayo obunene mu kiseera ekyo. Bwe yamaliriza okuzimba bbugwe w’ekibuga ow’emibiri ebiri kitaawe gwe yali atandiseeko, Nebukadduneeza yaleetera ekibuga ekyo okulabika ng’ekitayinza kuwangulwa. Kabaka ono yaddaabiriza olubiri olukadde olwali mu masekkati g’ekibuga era mayiro emu n’ekitundu mu mambuka g’ekibuga ekyo n’azimbayo olubiri olulala olw’okuwummuliramu mu biseera eby’ekyeya. Okusobola okusanyusa mukyala we Omumeedi, eyasaalirwanga obutalaba ku nsozi n’ebibira by’omu nsi ye, kigambibwa nti Nebukadduneeza yasimba ennimiro z’ebimuli ez’ekyewuunyo​—⁠ekimu ku byewuunyo omusanvu eby’omu nsi ey’edda.

Lumu kabaka ono bwe yali atambulatambula mu lubiri lwe, yeewaana nti: “Kino si Babulooni ekikulu, kye nnazimba okuba ennyumba ya bakabaka n’amaanyi ag’obuyinza bwange n’olw’ekitiibwa eky’obukulu bwange?” “Ekigambo [bwe] kyali nga kikyali mu kamwa ka kabaka,” n’agwa eddalu. Nga takyayinza kufuga okumala emyaka musanvu, yalyanga muddo, nga Danyeri bwe yali alagudde. Ng’ekiseera ekyo kiweddeko, obwakabaka bwaddizibwa Nebukadduneeza, n’afuga okutuusa lwe yafa mu 582 B.C.E.​​—⁠Danyeri 4:​30-​36.

BIKI BY’OTEGEDDE?

Kiki ekiyinza okwogerwa ku Nebukadduneeza nga

• omujaasi omukugu?

• omukulembeze?

• omusinza wa Maruduki?

• omuzimbi?

[Mmaapu]

(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu katabo)

OBWAKABAKA BWA BABULOONI

ENNYANJA EMMYUFU

Yerusaalemi

Omugga Fulaati

Omugga Tiguli

Nineeve

Susa

Babulooni

Uli

[Ekifaananyi]

Babulooni, ekibuga ekyaliko bbuggwe ekyali kisingayo obunene mu kiseera ekyo

[Ekifaananyi]

Ogusota kaali kabonero ka Maruduki

[Ekifaananyi]

Ennimiro z’ebimuli ez’ekyewuunyo ez’e Babulooni

[Ekipande/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 56]

(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu katabo)

OBUFUZI KIRIMAANYI OBW’OMU BUNNABBI BWA DANYERI

Ekifaananyi ekinene (Danyeri 2:31-45)

BABULOONI okuva mu 607 B.C.E.

BUMEEDI NE BUPERUSI okuva mu 539 B.C.E.

BUYONAANI okuva mu 331 B.C.E.

BURUUMI okuva mu 30 B.C.E.

OBUFUZI KIRIMAANYI OBWA BUNGEREZA N’AMEREKA okuva mu 1763 C.E.

ENSI ERIMU ENJAWUKANA MU BY’OBUFUZI mu kiseera ky’enkomerero

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 47]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 58]