Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yakuwa Asuubiza Danyeri Empeera ey’Ekitalo

Yakuwa Asuubiza Danyeri Empeera ey’Ekitalo

Essuula ey’Ekkumi n’Omunaana

Yakuwa Asuubiza Danyeri Empeera ey’Ekitalo

1, 2. (a) Ngeri ki enkulu omuddusi gye yeetaaga okuba nayo okusobola okutuuka ku buwanguzi? (b) Obulamu obw’okuweereza Yakuwa n’obwesigwa, omutume Pawulo yabugeraageranya atya ku mbiro?

OMUDDUSI ayolekera akaguwa. Akooye nnyo, naye olw’okuba akalengera, akozesa otwanyi twonna tw’alina asobole okukatuukako. N’okufuba okw’amaanyi bwe kutyo, alwaddaaki n’akatuukako! Musanyufu nnyo. Okugumiikiriza okutuuka ku nkomerero kumusobozesezza okufuna obuwanguzi.

2 Ku nkomerero y’essuula 12 eya Danyeri, tulaba nnabbi oyo omwagalwa ng’anaatera okumaliriza “embiro” ze, nga buno bwe bulamu bwe obw’okuweereza Yakuwa. Oluvannyuma lw’okuwa ebyokulabirako ebiwerako eby’abaweereza ba Yakuwa abaalaga okukkiriza okw’amaanyi ng’Obukristaayo tebunnabaawo, omutume Pawulo yawandiika: “Kale naffe, [okuva] bwe tulina olufu lw’abajulirwa olwenkana awo olutwetoolodde, twambulenga buli ekizitowa n’ekibi ekyegatta naffe, tudduk[e]nga n’okugumiikiriza okuwakana [“embiro,” NW] okuteekeddwa mu maaso gaffe, nga tutunuulira Yesu yekka omukulu w’okukkiriza kwaffe era omutuukiriza waakwo, olw’essanyu eryateekebwa mu maaso ge eyagumiikiriza [omuti], ng’anyooma ensonyi, n’atuula ku mukono ogwa ddyo ogw’entebe ya Katonda.”—Abebbulaniya 12:1, 2

3. (a) Kiki ekyakubiriza Danyeri ‘okudduka n’obugumiikiriza’? (b) Bintu ki ebisatu malayika wa Yakuwa bye yagamba Danyeri?

3 Mu ‘lufu olwo olunene olw’abajulirwa’ mwalimu Danyeri. Mazima ddala, y’omu ku bantu ‘abadduka n’obugumiikiriza,’ era yakola ekyo olw’okwagala ennyo Katonda. Yakuwa yali abikkulidde Danyeri ebintu bingi ebikwata ku biseera eby’omu maaso ebya gavumenti z’ensi, naye kati Amutegeeza ebigambo bino ebizzaamu amaanyi: “Naye ggwe kwata ekkubo lyo okutuusa enkomerero lw’eribaawo: kubanga oliwummula, era oliyimirira mu mugabo gwo, ennaku bwe zirikoma.” (Danyeri 12:13) Malayika wa Yakuwa yagamba Danyeri ebintu bisatu ebikulu: (1) nti Danyeri ‘akwate ekkubo lye okutuusa enkomerero lw’eribaawo,’ (2) nti ‘aliwummula,’ era ne (3) nti ‘aliyimirira’ nate gye bujja. Leero, ebigambo bino bisobola bitya okuyamba Abakristaayo okugumiikiriza okutuuka ku nkomerero mu mbiro z’obulamu?

“KWATA EKKUBO LYO OKUTUUSA ENKOMERERO LW’ERIBAAWO”

4. Malayika wa Yakuwa yali ategeeza ki bwe yagamba nti “kwata ekkubo lyo okutuusa enkomerero,” era lwaki ekyo tekyandyanguyidde Danyeri?

4 Kiki malayika kye yali ategeeza bwe yagamba Danyeri nti: “Naye ggwe kwata ekkubo lyo okutuusa enkomerero lw’eribaawo”? Enkomerero ya ki? Okuva Danyeri bwe yalina emyaka nga 100, kirabika nti kino kyali kitegeeza nkomerero ya bulamu bwe, erabika nga yali esembedde. * Malayika yali akubiriza Danyeri okugumiikiriza okutuusa okufa ng’akyali mwesigwa. Naye ekyo tekyandibadde kyangu. Danyeri yalaba Babulooni nga kimaamulwa ku buyinza era ng’ensigalira y’Abayudaaya baddayo mu Yuda ne Yerusaalemi. Ekyo kiteekwa okuba kyawa nnabbi ono omukadde ennyo essanyu lingi. Kyokka, tewali buwandiike bwonna obulaga nti naye yaddayo ku butaka. Kyandiba nga yali mukadde nnyo mu kiseera ekyo oba nti Yakuwa yamulagira okusigala mu Babulooni. Ka kibeere ki ekyamulobera, oyinza okwebuuza obanga Danyeri teyasaalirwa nnyo nga banne baddayo e Yuda.

5. Kiki ekiraga nti Danyeri yagumiikiriza okutuuka ku nkomerero?

5 Awatali kubuusabuusa ebigambo bino ebya malayika byazzaamu nnyo Danyeri amaanyi: “Kwata ekkubo lyo okutuusa enkomerero.” Biyinza okutujjukiza ebigambo ebyayogerwa Yesu Kristo emyaka nga lukaaga oluvannyuma: “Agumiikiriza okutuuka ku nkomerero ye alirokolebwa.” (Matayo 24:13) Awatali kubuusabuusa Danyeri yakola bw’atyo. Yagumiikiriza okutuuka ku nkomerero; yadduka embiro z’obulamu okutuukira ddala ku nkomerero. Eyo yandiba nga y’emu ku nsonga lwaki ayogerwako bulungi oluvannyuma mu Kigambo kya Katonda. (Abebbulaniya 11:32, 33) Kiki ekyasobozesa Danyeri okugumiikiriza okutuuka ku nkomerero? Obuwandiike obukwata ku bulamu bwe butuyamba okufuna eky’okuddamu.

YAGUMIIKIRIZA OLW’OKUSOMANGA EKIGAMBO KYA KATONDA

6. Tumanya tutya nti Danyeri yali musomi munyiikivu ow’Ekigambo kya Katonda?

6 Eri Danyeri, okugumiikiriza okutuuka ku nkomerero kwazingiramu okusomanga n’okufumiitirizanga ku bisuubizo bya Katonda. Tumanyi nti Danyeri yali muyizi munyiikivu ow’Ekigambo kya Katonda. Ggwe ate singa teyali, yandisobodde atya okumanya ekisuubizo kya Yakuwa eri Yeremiya nti obuwaŋŋanguse bwanditutte emyaka 70? Danyeri kennyini yawandiika: “Ebitabo ne bintegeeza omuwendo gw’emyaka.” (Danyeri 9:2; Yeremiya 25:11, 12) Awatali kubuusabuusa, Danyeri yanoonyerezanga mu bitabo eby’Ekigambo kya Katonda ebyaliwo mu kiseera ekyo. Mazima ddala, Danyeri yanyumirwa nnyo okusoma n’okufumiitiriza ku ebyo Musa, Dawudi, Sulemaani, Isaaya, Yeremiya, ne Ezeekyeri bye baawandiika.

7. Bwe tugeraageranya ekiseera kyaffe n’ekya Danyeri, biki bye tumusinza ku bikwata ku Kigambo kya Katonda?

7 Leero okusobola okugumiikiriza, kitwetaagisa okunyiikirira okusoma Ekigambo kya Katonda. (Abaruumi 15:4-6; 1 Timoseewo 4:15) Era Baibuli tugirina mu bulambalamba, ng’eraga engeri obumu ku bunnabbi bwa Danyeri gye bwatuukirizibwamu oluvannyuma lw’emyaka mingi. Ate era, tulina omukisa okubeerawo mu ‘kiseera kino eky’enkomerero,’ ekyalagulwako mu Danyeri 12:4. Mu kiseera kyaffe, abaafukibwako amafuta baweereddwa ekitangaala eky’eby’omwoyo, ne baba nga bannyonnyola amazima mu nsi eno ey’ekizikiza. N’ekivuddemu, obunnabbi bungi obuli mu kitabo kya Danyeri, obumu ku bwo nga bwatabula nnyo Danyeri, bwa makulu nnyo gye tuli leero. N’olwekyo, ka tweyongere okusoma Ekigambo kya Katonda buli lunaku, tusobole okutwala ebintu ebyo nga bikulu. Ekyo kijja kutusobozesa okugumiikiriza.

DANYERI YANYIIKIRIRA OKUSABA

8. Kyakulabirako ki Danyeri kye yassaawo ku bikwata ku kusaba?

8 Okusaba nakwo kwayamba nnyo Danyeri okugumiikiriza okutuuka ku nkomerero. Yasabanga Yakuwa Katonda buli lunaku n’omutima ogujjudde okukkiriza n’obwesige. Yali akimanyi nti Yakuwa ye “[A]wulira okusaba.” (Zabbuli 65:2; geraageranya Abebbulaniya 11:6.) Danyeri bwe yanakuwala ennyo olw’obujeemu bwa Isiraeri, yategeeza Yakuwa ekyamuli ku mutima. (Danyeri 9:4-19) Daliyo ne bwe yayisa ekiragiro nti ye yekka y’alina okwolekezebwa essaala okumala ennaku 30, ekyo tekyalobera Danyeri kusaba Yakuwa Katonda. (Danyeri 6:10) Emitima gyaffe tegikwatibwako okulaba nti nnamukadde oyo omwesigwa yeewaayo waakiri okusuulibwa mu mpuku y’empologoma mu kifo ky’okuggibwako enkizo ye ey’okusaba? Awatali kubuusabuusa, Danyeri yatuuka ku nkomerero y’obulamu bwe, ng’asaba Yakuwa buli lunaku.

9. Lwaki tetusaanidde kulagajjalira nkizo ey’okusaba?

9 Kyangu nnyo okusaba. Tusobola okusaba ekiseera kyonna, mu kifo kyonna, mu ddoboozi eriwulikika oba mu kasirise. Kyokka, tetusaanidde kulagajjalira nkizo eno ey’omuwendo ennyo. Baibuli ekwataganya okusaba n’okugumiikiriza, obutalekulira, era n’okusigala nga tuli bazuukufu mu by’omwoyo. (Lukka 18:1; Abaruumi 12:12; Abeefeso 6:18; Abakkolosaayi 4:2) Si nkizo ya maanyi nnyo nti tuli ba ddembe okwogera n’omuntu asingirayo ddala obukulu, ate n’awuliriza? Jjukira Danyeri lwe yasaba, Yakuwa n’amutumira malayika. Malayika yatuuka nga Danyeri akyasaba! (Danyeri 9:20, 21) Wadde nga tetukyalirwa bamalayika mu ngeri ng’eyo mu kiseera kyaffe, naye Yakuwa takyukanga. (Malaki 3:6) Nga bwe yawulira okusaba kwa Danyeri, ajja kuwulira n’okusaba kwaffe. Era bwe tusaba, enkolagana yaffe ne Yakuwa ejja kweyongera okunywera, kitusobozese okugumiikiriza okutuuka ku nkomerero, nga Danyeri.

OKUGUMIIKIRIZA NG’OMUYIGIRIZA W’EKIGAMBO KYA KATONDA

10. Lwaki kyali kikulu eri Danyeri okuyigiriza amazima g’Ekigambo kya Katonda?

10 Danyeri yalina ‘okutuuka ku nkomerero’ mu ngeri endala. Yalina okugumiikiriza ng’omuyigiriza w’amazima. Teyeerabira nti yali omu ku bantu abalonde abaayogerwako mu Byawandiikibwa nti: “Muli bajulirwa bange, bw’ayogera Mukama; n’omuweereza wange gwe nnalonda.” (Isaaya 43:10) Danyeri yakola kyonna ky’asobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo. Oboolyawo omulimu ogwamuweebwa gwali guzingiramu okuyigiriza ab’eggwanga lye abaali mu buwaŋŋanguse e Babulooni. Tetumanyi bingi ku nkolagana gye yalina n’Abayudaaya abalala, ng’oggyeko abasatu bali, Kananiya, Misayeri, ne Azaliya, aboogerwako nga “banne.” (Danyeri 1:7; 2:13, 17, 18) Mazima ddala, enkolagana ey’oku lusegere gye baalina wakati waabwe yabasobozesa okugumiikiriza. (Engero 17:17) Olw’okuba Yakuwa yali awadde Danyeri okutegeera okw’enjawulo, yalina bingi bye yali asobola okuyigiriza mikwano gye. (Danyeri 1:17) Naye yalina n’abalala ab’okuyigiriza.

11. (a) Danyeri yakola ki eky’enjawulo? (b) Danyeri yatuukiriza atya omulimu gwe ogwamuweebwa?

11 Danyeri yabuulira Ab’amawanga aba waggulu bangi okusinga nnabbi omulala yenna. Newakubadde emirundi mingi yalina okubatuusaako obubaka obutaabasanyusa, abafuzi abo teyabatwala ng’ekitagasa wadde okubayisaamu amaaso. Yayogeranga nabo mu ngeri ey’amagezi era yabawanga ekitiibwa. Waaliwo abamu, gamba ng’ab’amasaza abaali ab’obuggya era ab’enkwe, abaayagala okutta Danyeri. Kyokka, abakungu abalala baawa Danyeri ekitiibwa. Olw’okuba Yakuwa yasobozesa nnabbi Danyeri okunnyonnyola ebyama ebyalema bakabaka n’abasajja abagezigezi okutegeera, yatutumuka nnyo. (Danyeri 2:47, 48; 5:29) Kituufu nti bwe yakaddiwa, yali takyasobola kukola nnyo nga bwe yakolanga ng’akyali muvubuka. Naye mazima ddala yatuuka ku nkomerero y’obulamu bwe ng’akyaweereza ng’omujulirwa Katonda gwe yali ayagala ennyo.

12. (a) Ng’Abakristaayo leero, ngeri ki gye tuyigirizaamu? (b) Tuyinza tutya okugoberera okubuulirira kwa Pawulo ‘okw’okutambuliranga mu magezi eri ab’ebweru’?

12 Mu kibiina Ekikristaayo leero, tuyinza okufunamu ab’omukwano abeesigwa abayinza okutuyamba okugumiikiriza, nga Danyeri ne banne abasatu bwe baayambagana. Era buli omu ku ffe abaako ky’ayigiriza munne, ‘ne tuzziŋŋanamu amaanyi.’ (Abaruumi 1:11, 12, NW) Okufaananako Danyeri, tulina omulimu gw’okubuulira abatannafuuka bakkiriza. (Matayo 24:14; 28:19, 20) N’olwekyo, tulina okweyongera okufuna obumanyirivu tusobole ‘okukwata ekigambo ky’amazima mu ngeri entuufu’ nga tubuulira abantu ku Yakuwa. (2 Timoseewo 2:15) Era kijja kuba kya muganyulo singa tugoberera okubuulirira kw’omutume Pawulo: “Mutambulirenga mu magezi eri abo ab’ebweru.” (Abakkolosaayi 4:5) Amagezi ng’ago gazingiramu obutaba na ndowooza egudde olubege ku bikwata ku abo abatannakkiriza. Tetubayisaamu maaso, nga twetwala nti tuli ba waggulu. (1 Peetero 3:15) Mu kifo ky’ekyo, tugezaako okubasikiriza eri amazima, nga tukozesa Ekigambo kya Katonda mu ngeri ey’amagezi okutuuka ku mitima gyabwe. Bwe tubaako gwe tuyigirizza amazima, nga kituwa essanyu lingi nnyo! Mazima ddala essanyu ng’eryo lituyamba okugumiikiriza okutuuka ku nkomerero, nga Danyeri bwe yakola.

“OLIWUMMULA”

13, 14. Lwaki okulowooza ku kufa kyatiisanga nnyo Abababulooni, era endowooza ya Danyeri yayawukana etya ku yaabwe?

13 Malayika yakakasa Danyeri nti: “Oliwummula.” (Danyeri 12:13) Ebigambo ebyo byali bitegeeza ki? Danyeri yali akimanyi nti yali wa kufa. Abantu bonna bazze bafa, okuviira ddala mu kiseera kya Adamu okutuuka mu kiseera kyaffe. Nga kituukirawo bulungi, Baibuli okufa ekuyita ‘mulabe.’ (1 Abakkolinso 15:26) Kyokka, ye, Danyeri, yalina endowooza ya njawulo ku kufa, okwawukana ku Bababulooni abaali bamwetoolodde. Mu kusinza kwabwe okwali kuzingiramu bakatonda abawerera ddala 4,000, kyabatiisanga nnyo bwe baalowoozanga ku kufa. Baali bakkiriza nti oluvannyuma lw’okufa, abantu abataali basanyufu mu bulamu oba abo abaatemulwa, baafuukanga emyoyo egy’ettima egyalumbanga abalamu. Era Abababulooni baali bakkiriza nti abafu bali mu kifo eky’entiisa, ekirimu agakulekule ag’entiisa ageefaananyirizaako abantu oba ensolo.

14 Danyeri okufa yali takutwala bw’atyo. Ebikumi n’ebikumi by’emyaka nga Danyeri tannabaawo, Katonda yaluŋŋamya Kabaka Sulemaani okugamba nti: “Abafu tebaliiko kye bamanyi.” (Omubuulizi 9:5) Ate ku bikwata ku oyo afa, omuwandiisi wa Zabbuli yayimba: “Omukka gwe gumuvaamu, n’adda mu ttaka lye; ku lunaku olwo ebirowoozo bye ne bibula.” (Zabbuli 146:4) N’olwekyo, Danyeri yali akimanyi nti ebyo malayika bye yamugamba byandituukiridde. Okufa kwali kutegeeza kuwummula. Mu kufa tebaayo kulowooza, kwejjusa oba kubonyaabonyezebwa, era mazima ddala tebaayo gakulekule agatiisa. Yesu Kristo yayogera ekintu kye kimu Lazaalo bwe yafa. Yagamba: “Mukwano gwaffe Lazaalo yeebase.”—Yokaana 11:11.

15. Olunaku olw’okufiiramu lusobola lutya okusinga olunaku olw’okuzaalibwa?

15 Lowooza ku nsonga endala lwaki Danyeri teyatya bwe yamanya nti yali agenda kufa. Ekigambo kya Katonda kigamba: “Erinnya eddungi lisinga amafuta ag’omugavu ag’omuwendo omungi; n’olunaku olw’okufiiramu lusinga olunaku olw’okuzaalirwamu.” (Omubuulizi 7:1) Olunaku olw’okufa, ekiseera ekibeera eky’okukungubaga, lusobola lutya okusinga olunaku olw’okuzaalibwa? Eky’okuddamu kyesigamye ku kigambo “erinnya.” “Amafuta ag’omugavu” ga bbeeyi nnyo. Lumu, Malyamu, mwannyina Lazaalo yasiiga ku bigere bya Yesu amafuta ag’omugavu agaali gagula ssente omuntu z’afuna mu mwaka omulamba! (Yokaana 12:1-7) Naye erinnya obunnya lisobola litya okubeera ery’omuwendo ennyo bwe lityo? Erinnya ku bwalyo si kye ky’omuwendo wabula ekyo kye likiikirira. Omuntu nga yaakazaalibwa, engeri ze oba ebikolwa bye biba tebinnamanyibwa. Naye ku nkomerero y’obulamu bwe, erinnya lye liba libyoleka bulungi. Era bwe liba erinnya eddungi mu maaso ga Katonda, liba lya muwendo nnyo okusinga eby’obugagga eby’engeri yonna.

16. (a) Danyeri yafuba atya okukola erinnya eddungi mu maaso ga Katonda? (b) Lwaki Danyeri yandisobodde okuwummula nga mumativu nti yali akoze erinnya eddungi mu maaso ga Yakuwa?

16 Mu bulamu bwe bwonna, Danyeri yakola kyonna ky’asobola okukola erinnya eddungi mu maaso ga Katonda, era byonna Yakuwa yabiraba. Yeetegereza Danyeri era n’akebera omutima gwe. Era bw’atyo Katonda bwe yakola eri Kabaka Dawudi, eyayimba nti: “Ai Mukama, wannoonya nze, wammanya. Omanyi bwe ntuula, era bwe ngolokoka, otegeera okulowooza kwange nga kukyali wala.” (Zabbuli 139:1, 2) Kyo kituufu nti Danyeri yali tatuukiridde. Yali muzzukulu w’omwonoonyi Adamu era nga wa mu ggwanga eryali eryonoonyi. (Abaruumi 3:23) Naye Danyeri yali yenenyezza ebibi bye era n’afuba okutambula ne Katonda we mu kkubo eggolokofu. N’olwekyo, nnabbi ono omwesigwa yali asobola okuba n’obwesige nti Yakuwa yandimusonyiye ebibi bye. (Zabbuli 103:10-14; Isaaya 1:18) Yakuwa ajjukira ebikolwa ebirungi eby’abaweereza be abeesigwa. (Abaebbulaniya 6:10) Bwe kityo, emirundi ebiri malayika wa Yakuwa yayita Danyeri ‘omwagalwa ennyo.’ (Danyeri 10:11, 19) Kino kyalaga nti Danyeri yali ayagalibwa Katonda. Danyeri yandisobodde okuwummula nga mumativu, ng’akimanyi nti akoze erinnya eddungi mu maaso ga Yakuwa.

17. Lwaki kikulu nnyo okukola erinnya eddungi mu maaso ga Yakuwa leero?

17 Buli omu ku ffe ayinza okwebuuza nti, ‘Nkoze erinnya eddungi mu maaso ga Yakuwa?’ Tuli mu biseera bizibu. Okwogera nti omuntu yenna ku ffe asobola okufa ekiseera kyonna gaba mazima, so si butiitiizi. (Omubuulizi 9:11) Nga kikulu nnyo nno, buli omu ku ffe okumalirira kaakati, awatali kulwa kwonna, okukola erinnya eddungi mu maaso ga Katonda. Bwe tukola bwe tutyo, tetujja kutya kufa. Okufa kubeera kuwummula buwummuzi, ng’okwebaka. Era okufaananako okwebaka, eriyo okuzuukuka!

“OLIYIMIRIRA”

18, 19. (a) Malayika yali ategeeza ki bwe yalagula nti Danyeri ‘aliyimirira’ mu biseera eby’omu maaso? (b) Lwaki Danyeri ateekwa okuba nga yali amanyi ebikwata ku ssuubi ery’okuzuukira?

18 Ekitabo kya Danyeri kifundikira n’ekimu ku bisuubizo bya Katonda ebisingirayo ddala obulungi eri omuntu. Malayika wa Yakuwa yagamba Danyeri: “Oliyimirira [okufuna] [o]mugabo gwo, ennaku bwe zirikoma.” Malayika yali ategeeza ki? Okuva ‘okuwummula’ kwe yali ayogeddeko bwe kwali kutegeeza okufa, ekisuubizo nti Danyeri ‘yandiyimiridde’ mu kiseera eky’omu maaso kyanditegeezezza ekintu kimu kyokka: kuzuukira! * Mu butuufu, abeekenneenya abamu bagamba nti mu Danyeri essuula 12, okuzuukira we kusooka okwogerebwako obutereevu mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya. (Danyeri 12:2) Kyokka, ku nsonga eno bakyamu. Danyeri yali amanyi bulungi ebikwata ku ssuubi ly’okuzuukira.

19 Ng’ekyokulabirako, Danyeri ateekwa okuba nga yali amanyi ebigambo bino Isaaya bye yawandiika ebyasa bibiri emabegako: “Abafu bo baliba balamu: emirambo gyange girizuukira. Muzuukuke muyimbe, mmwe ababeera mu nfuufu: kubanga . . . ettaka liriwandula abafu.” (Isaaya 26:19) Ate dda nnyo ng’ebyo tebinnayogerwa, Yakuwa yasobozesa Eriya n’Erisa okuzuukiza abantu. (1 Bassekabaka 17:17-24; 2 Bassekabaka 4:32-37) Era nga n’ebyo tebinnabaawo, Kaana, nnyina wa Samwiri, yakikkiriza nti Yakuwa asobola okuzuukiza abantu okuva emagombe. (1 Samwiri 2:6) Era n’ekyo nga tekinnabaawo, Yobu omwesigwa yayoleka essuubi lye yalina ng’ayogera bw’ati: “Omuntu bw’afa aliba mulamu nate? N[n]andiridiridde ne mmala ennaku zonna ez’olutabaalo lwange, okutuusa okuteebwa kwange bwe kwandizze. Wandimpise, nange n[n]andikuyitabye: wandibadde n’okwegomba eri omulimu gw’emikono gyo.”—Yobu 14:14, 15.

20, 21. (a) Danyeri alizuukizibwa mu ttuluba ki? (b) Okuzuukira okw’omu Lusuku lwa Katonda kunaabaawo mu ngeri ki?

20 Okufaananako Yobu, Danyeri yalina kw’asinziira okuba n’obwesige nti Yakuwa yali ajja kumuzuukiza mu biseera eby’omu maaso. Kyokka, kiteekwa okuba nga kyamuzzaamu nnyo amaanyi okuwulira ekitonde eky’omwoyo nga kimukakasa essuubi eryo. Yee, Danyeri aliyimirira “mu kuzuukira kw’abatuukirivu,” okujja okubaawo mu Bufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi. (Lukka 14:14) Ekyo kiritegeeza ki eri Danyeri? Ekigambo kya Katonda kitutegeeza bingi ku biseera ebyo.

21 Yakuwa si ‘Katonda wa kuyoogaana, naye Katonda wa mirembe.’ (1 Abakkolinso 14:33) N’olwekyo, kikakafu nti okuzuukira okwo okunaabaawo mu Lusuku lwa Katonda kujja kuba kutegeke bulungi. Oboolyawo waliba wayiseewo ekiseera ekiwerako oluvannyuma lwa Kalumagedoni. (Okubikkulirwa 16:14, 16) Embeera z’ebintu zino enkadde ziriba zimaze okuggibwawo ddala, era ng’enteekateeka zikoleddwa okwaniriza abafu. Ku bikwata ku mitendera abafu mwe balikomezebwawo, Baibuli etutegeeza bw’eti: “Buli muntu mu kifo kye.” (1 Abakkolinso 15:23) Kirabika nti mu ‘kuzuukira kw’abatuukirivu n’abatali batuukirivu,’ abatuukirivu be balisooka okukomezebwawo. (Ebikolwa 24:15) Mu ngeri eyo, abasajja abeesigwa ab’edda, gamba nga Danyeri, balisobola okuyamba mu kuddukanya emirimu egimu ku nsi, nga mw’otwalidde n’okuyigiriza nnamungi ‘w’abatali batuukirivu’ abalizuukizibwa.—Zabbuli 45:16.

22. Ebimu ku bintu Danyeri by’alyagala okumanya bye biruwa?

22 Nga Danyeri tannabakana na buvunaanyizibwa ng’obwo, awatali kubuusabuusa alibaako ebibuuzo by’abuuza. Kubanga bwe yali ayogera ku bumu ku bunnabbi obw’amaanyi ennyo bwe yaweebwa yagamba: “Ne mpulira, naye ne sitegeera.” (Danyeri 12:8) Ng’alisanyuka nnyo okutegeera ebyama bya Katonda ebyo! Awatali kubuusabuusa alyagala okumanya byonna ebikwata ku Masiya. Danyeri era alisanyuka okutegeera ebikwata ku bufuzi kirimaanyi obwaddiriŋŋana okuva mu biseera bye okutuuka mu biseera byaffe; ebikwata ku ‘batukuvu b’Oyo Ali waggulu ennyo’ abaagumira okuyigganyizibwa mu ‘kiseera eky’enkomerero,’ era ne ku ngeri obufuzi bw’abantu bwonna gye bwazikirizibwamu Obwakabaka bwa Katonda obukulemberwa Masiya.—Danyeri 2:44; 7:22; 12:4.

OMUGABO GWA DANYERI N’OGUGWO MU LUSUKU LWA KATONDA!

23, 24. (a) Ensi Danyeri mw’alizuukirira eryawukana etya ku eyo gye yali amanyi? (b) Danyeri aliba n’ekifo mu Lusuku lwa Katonda, era kino tukimanyira ku ki?

23 Danyeri alyagala okumanya ebikwata ku nsi gy’alyesangamu mu kiseera ekyo; ensi ey’enjawulo ennyo ku eyo gye yali amanyi mu kiseera kye. Waliba tewakyaliwo ntalo na kunyigirizibwa bye yalabanga. Tewalibaawo nnaku, bulwadde oba kufa. (Isaaya 25:8; 33:24) Naye walibaawo emmere nnyingi, amayumba ag’okusulamu, era n’emirimu egimatiza buli omu. (Zabbuli 72:16; Isaaya 65:21, 22) Olulyo lw’omuntu luliba bumu, nga luli mu ssanyu.

24 Mazima ddala Danyeri aliba n’ekifo mu nsi eyo! Malayika yamugamba nti: “Oliyimirira [okufuna] [o]mugabo gwo.” Ekigambo ky’Oluyonaani ekikyusiddwa wano nga ‘omugabo’ kye kimu n’ekyo ekikozesebwa okutegeeza ebibanja by’ettaka. * Danyeri yandiba nga yali amanyi obunnabbi bwa Ezeekyeri obwogera ku kugabanyizaamu Abaisiraeri ettaka nga bazzeeyo ku butaka. (Ezeekyeri 47:13–48:35) Ku bikwata ku kutuukirizibwa okw’omu Lusuku lwa Katonda, obunnabbi bwa Ezeekyeri butulaga ki? Butulaga nti abantu ba Katonda bajja kuweebwa ebifo mu Lusuku lwe, era nga n’ettaka lijja kugabibwa mu ngeri entegeke era ey’obwenkanya. Kya lwatu nti omugabo gwa Danyeri mu Lusuku lwa Katonda tegujja kukoma ku ttaka lyokka. Gujja kuzingiramu n’obuvunaanyizibwa bw’aliweebwa mu nteekateeka ya Katonda. Empeera eyasuubizibwa Danyeri nkakafu.

25. (a) Biki ebikusikiriza ku bulamu obw’omu Lusuku lwa Katonda? (b) Lwaki kiyinza okugambibwa nti Olusuku lwa Katonda ge maka g’abantu?

25 Ggwe oliba na mugabo ki? Ebisuubizo bye bimu ebyo bikukwatako. Yakuwa ayagala abantu abeesigwa ‘okuyimirira’ okufuna omugabo gwabwe mu Lusuku lwe. Kirowoozeeko! Kiriba kya ssanyu nnyo okusisinkana Danyeri, awamu n’abasajja n’abakazi abalala abeesigwa aboogerwako mu Baibuli. Era abantu abalala bangi nnyo abalikomawo okuva emagombe, abalyetaaga okuyigirizibwa basobole okumanya Yakuwa Katonda n’okumwagala. Kuba ekifaananyi ng’oyonja ensi eno kwe tuli era ng’oyamba okugifuula olusuku lwa Katonda olulabika obulungi ennyo. Lowooza ku kuyigirizibwa Yakuwa, okuyiga okubeera mu ngeri gye yayagaliza olulyo lw’omuntu okubeeramu. (Isaaya 11:9; Yokaana 6:45) Yee, osobola okubeera n’ekifo mu Lusuku lwa Katonda. Wadde ng’abamu bayinza okulowooza nti olusuku lwa Katonda teruyinza kubeerawo, jjukira nti Yakuwa yatonda abantu ku lubereberye okubeera mu kifo ekifaanana bwe kityo. (Olubereberye 2:7-9) Bwe kityo nno, Olusuku lwa Katonda kye kifo obuwumbi n’obuwumbi bw’abantu abali ku nsi mwe basaanidde okubeera. Ge maka gaabwe. Okulutuukamu kulibeera ng’okuddayo eka.

26. Yakuwa akiraga atya nti tekyanditubeeredde kyangu okulindirira enkomerero y’embeera zino?

26 Emitima gyaffe tegibugaana essanyu bwe tulowooza ku bintu bino byonna? Teweegomba okubeerayo? N’olwekyo, tekyewuunyisa nti Abajulirwa ba Yakuwa beesunga nnyo enkomerero y’embeera zino ez’ebintu! Si kyangu okulindirira. Ne Yakuwa kennyini akimanyi, kubanga atukubiriza ‘okugirindirira’ ‘ka kibe nti erwawo okutuuka.’ Ky’ategeeza nti ffe, tuyinza okugiraba ng’eruddewo, kubanga mu kyawandiikibwa kye kimu, tukakasibwa nti: ‘Terirwa.’ (Kaabakuuku 2:3; geraageranya Engero 13:12.) Yee, enkomerero ejja kujja mu kiseera kyayo kyennyini.

27. Kiki ky’oteekwa okukola okusobola okuyimirira mu maaso ga Katonda emirembe gyonna?

27 Osaanidde kukola ki ng’enkomerero egenda esembera? Okufaananako Danyeri, nnabbi wa Yakuwa omwagalwa, gumiikiriza n’obwesigwa. Nyiikirira okusoma Ekigambo kya Katonda. Ba munyiikivu mu kusaba. Kuŋŋaana wamu ne bakkiriza bano. Nyiikira okuyigiriza abalala amazima. Ng’enkomerero y’embeera zino egenda esembera buli lunaku oluyitawo, malirira okubeera omuweereza omwesigwa ow’Oyo Ali waggulu ennyo era omuwagizi lukulwe ow’Ekigambo kye. Fuba nnyo okussaayo omwoyo ku bunnabbi bwa Danyeri! Era Mukama Afuga Byonna Yakuwa k’akuwe enkizo ey’okuyimirira mu maaso ge emirembe gyonna mu ssanyu!

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 4 Danyeri yatwalibwa mu buwaŋŋanguse e Babulooni mu 617 B.C.E., oboolyawo ng’akyali mutiini. Yafuna okwolesebwa kuno mu mwaka ogw’okusatu ogwa Kuulo, oba 536 B.C.E.—Danyeri 10:1.

^ lup. 18 Okusinziira ku kitabo The Brown-Driver-Briggs Hebrew and English Lexicon, ekigambo ky’Olwebbulaniya ekivuunuddwa wano nga ‘okuyimirira’ kitegeeza “kuzuukira.”

^ lup. 24 Ekigambo ky’Olwebbulaniya kirina akakwate n’ekigambo ekivvuunulwa ‘akayinja akeekulungirivu,’ kubanga obuyinja obutono bwe bwakozesebwanga okukuba obululu. Oluusi ettaka lyagabanyizibwangamu mu ngeri eyo. (Okubala 26:55, 56) Ekitabo A Handbook on the Book of Daniel kigamba nti wano ekigambo ekyo kiba kitegeeza ‘ekyo (Katonda) ky’awadde omuntu.’

BIKI BY’OTEGEDDE?

Kiki ekyayamba Danyeri okugumiikiriza okutuuka ku nkomerero?

Lwaki Danyeri teyatya bwe yamanya nti yali ajja kufa?

Ekisuubizo kya malayika nti Danyeri ‘aliyimirira okufuna omugabo gwe’ kirituukirizibwa kitya?

Oganyuddwa otya mu kussaayo omwoyo ku bunnabbi bwa Danyeri?

[Ebibuuzo]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 307]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 318]

Okufaananako Danyeri, ossaayo omwoyo ku kigambo kya Katonda eky’obunnabbi?