Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yanunulwa mu Mannyo g’Empologoma!

Yanunulwa mu Mannyo g’Empologoma!

Essuula ey’Omunaana

Yanunulwa mu Mannyo g’Empologoma!

1, 2. (a) Daliyo Omumeedi yateekateeka atya obwakabaka bwe obwali bugaziye? (b) Nnyonnyola emirimu n’obuyinza ab’amasaza bye baalina.

BABULOONI kyali kigudde! Ekitiibwa kye kyalina okumala ekyasa kiramba ng’obufuzi kirimaanyi kyaggwawo mu ssaawa busaawa. Omulembe omuppya ogw’Abameedi n’Abaperusi gwatandika. Ng’omufuzi eyaddawo oluvannyuma lwa Berusazza, kati Daliyo Omumeedi yali abakanye n’omulimu omunene ogw’okuteekateeka obwakabaka bwe obwali bugaziye.

2 Ekimu ku ebyo Daliyo bye yasooka okukola kwali kulonda ab’amasaza 120. Kirowoozebwa nti abo abaaweebwanga obuvunaanyizibwa obwo oluusi baalondebwanga okuva mu b’eŋŋanda za kabaka. Buli wa ssaza yafuganga essaza oba ekitundu ekimu ekitonotono eky’obwakabaka. (Danyeri 6:1) Emirimu gye gyatwalirangamu okusolooza emisolo n’okugitwala mu lubiri lwa kabaka. Wadde ng’emirimu gye gyekebejjebwanga buli luvannyuma lw’akabanga omubaka atumiddwa kabaka, ow’essaza yalina obuyinza bungi. Amakulu g’ekitiibwa ky’ow’essaza gaali “omukuumi w’Obwakabaka.” Mu kitundu ky’afuga, ow’essaza yali atwalibwa nga kabaka akolera ku biragiro ebiva waggulu, ng’alina obuyinza bwonna okuggyako obufuzi obw’oku ntikko.

3, 4. Lwaki Daliyo yawa Danyeri enkizo, era yamuwa kifo ki?

3 Danyeri yandibadde na kifo ki mu nteekateeka eno empya? Daliyo Omumeedi yandiwummuzza nnabbi ono Omuyudaaya eyali akaddiye, kati eyali atemera mu myaka 90? N’akatono! Awatali kubuusabuusa, Daliyo yakitegeera nti Danyeri yali alagudde okugwa kwa Babulooni ne kubaawo, era nti okulagula okwo kwali kwetaagisa okutegeera okusinga okw’abantu. Okugatta ku ekyo, Danyeri yalina obumanyirivu bungi mu kukolagana n’abantu ab’ebika eby’enjawulo abaali mu buwambe e Babulooni. Daliyo yali ayagala okukolagana obulungi n’abantu be yali yaakawamba. N’olwekyo, yandyetaaze omuntu ow’amagezi n’obumanyirivu nga Danyeri okumubeera okumpi. Ng’alina kifo ki?

4 Singa Daliyo yandironze Danyeri Omuyudaaya eyali mu buwaŋŋanguse okuba ow’essaza, ekyo ku bwakyo kyandibadde kyewuunyisa nnyo. Kati nno, teeberezaamu oluvuuvuumo olwaliwo Daliyo bwe yalangirira nti asazeewo okufuula Danyeri omu ku bakungu aba waggulu abasatu ab’okukulira ab’amasaza! Si ekyo kyokka, naye era Danyeri ‘yeeyongera okugulumizibwa’ okusinga bakungu banne abalala. Mazima ddala, “omwoyo omulungi ennyo” gwali mu ye. Daliyo yali alowooza n’okumuwa obwakatikkiro.—Danyeri 6:2, 3.

5. Abakungu abalala n’ab’amasaza bateekwa okuba nga baawulira batya nga Danyeri alondeddwa mu kifo ekyo, era lwaki?

5 Abakungu abalala era n’ab’amasaza bateekwa okuba nga baasunguwala nnyo. Baali tebayinza kukigumira n’akatono okuba nti Danyeri, ataali Mumeedi oba Muperusi oba ow’omu lulyo lwa kabaka, aba n’obuyinza ku bo! Daliyo yandiwadde atya munnaggwanga ekifo ekya waggulu bwe kityo, n’abuusa amaaso ab’eggwanga lye, era n’ab’omu nju ye? Baakitwala nga si kya bwenkanya. Ate era, kirabika nga ab’amasaza baalowooza nti obwesigwa bwa Danyeri bwandibalemesezza okwenyigira mu bikolwa byabwe eby’obulyake n’obutali bwesigwa. Kyokka, abakungu abo aba waggulu n’ab’amasaza baatya okutuukirira Daliyo ku nsonga eyo. Anti, Daliyo yali assaamu nnyo Danyeri ekitiibwa.

6. Abakungu n’ab’amasaza baagezaako batya okusiiga erinnya lya Danyeri enziro, era lwaki okufuba kwabwe kwagwa butaka?

6 N’olwekyo bannabyabufuzi bano ab’obuggya beekobaana. Baagezaako ‘okunoonyayo ensonga ku Danyeri ekwata ku bwakabaka.’ Bandizuddeyo ekikyamu kyonna mu ngeri gye yali akolamu emirimu gye? Yali mukumpanya? Abakungu aba waggulu n’ab’amasaza tebaalaba bulagajjavu bwonna oba obukumpanya bwonna mu ngeri Danyeri gye yali addukanyamu emirimu gye. “Tetujja kufuna nsonga yonna ku Danyeri oyo,” bwe batyo bwe baagamba, “okuggyako tulina kugiggya mu mateeka ga Katonda we.” Era lwali olwo abasajja abo abakuusa ne bakola olukwe. Baalowooza nti lujja kusaanyaawo Danyeri.—Danyeri 6:4, 5, NW.

OLUKWE OLW’EKITEMU LUSSIBWA MU NKOLA

7. Kiteeso ki abakungu n’ab’amasaza kye baaleeta eri kabaka, era baakireeta mu ngeri ki?

7 Daliyo yatuukirirwa abakungu n’ab’amasaza ‘abajja gy’ali mu kibinja.’ Ebigambo by’Olulamayiki ebikozeseddwa wano biwa ekirowoozo eky’oluyoogaano. Kirabika nti abasajja bano bajja mu ngeri eraga nti baalina ensonga enkulu ennyo ey’okutegeeza Daliyo. Bayinza okuba nga baalowooza nti tajja kubuusabuusa kye bagamba singa bakyanjula nga beekakasa era ng’ekintu ekyetaaga okukolwako amangu ddala. N’olwekyo, baatuuka butereevu ku nsonga, ne bagamba: “Abakulu bonsatule [“abakungu bonna,” NW] ab’obwakabaka, abamyuka n’abaamasaza, abakungu n’abafuga, bateesezza wamu okuteeka etteeka lya kabaka, n’okulagira ekiragiro ekinywevu, nga buli anaasabanga katonda yenna oba [o]muntu yenna ennaku amakumi asatu, wabula ng’asabye ggwe, ai kabaka alisuulibwa mu mpuku ey’empologoma.” *Danyeri 6:6, 7.

8. (a) Lwaki etteeka eryo lyandisanyusizza Daliyo? (b) Ekiruubirirwa kyennyini eky’abakungu n’ab’amasaza kyali ki?

8 Ebyafaayo bikakasa nti kyalinga kya bulijjo bakabaka b’omu Mesopotamiya okutwalibwa nga bakatonda era n’okusinzibwa. Awatali kubuusabuusa ekiteeso ekyo kyasanyusa Daliyo. Era ayinza n’okuba nga yalowooza ku miganyulo egyandivuddemu. Jjukira nti Daliyo yali mugwira era muppya eri abantu b’omu Babulooni. Etteeka lino eppya lyandimusobozesezza okunyweza ekifo kye nga kabaka, era lyandikubirizza nnamungi w’abantu abaali mu Babulooni okubeera abeesigwa n’okuwagira obufuzi buno obuppya. Naye, mu kuleeta ekiteeso eky’etteeka lino eppya, abakungu aba waggulu n’ab’amasaza baali tebalowooza ku bulungi bwa kabaka n’akamu. Ekiruubirirwa kyabwe kwali kufuna we banaakwasiza Danyeri, kubanga baali bamanyi nti yasabanga Katonda emirundi esatu olunaku, ate ng’amadirisa g’ekisenge kye gaabanga maggule.

9. Lwaki etteeka eppya teryandikaluubiridde abataali Bayudaaya abasinga obungi?

9 Okukugira kuno okukwata ku kusaba kwandireeseewo obuzibu eri bannaddiini bonna abaali mu Babulooni? Nedda, naddala olw’ensonga nti okukugira okwo kwali kwa kumala mwezi gumu gwokka. Ate era, batono nnyo abataali Bayudaaya abandikitutte ng’okwekkiriranya bwe bandisinzizza omuntu okumala akaseera. Omwekenneenya omu owa Baibuli agamba: “Okusinza kabaka kyali kya bulijjo mu mawanga agasinga obungi agasinza ebifaananyi; n’olw’ensonga eyo Omubabulooni bwe yalagirwa okusinza omuwanguzi, Daliyo Omumeedi, yagondera mangu ekiragiro ekyo. Muyudaaya yekka ye yandikaluubiriddwa ekiragiro ng’ekyo.”

10. Abameedi n’Abaperusi baatwalanga batya etteeka eriyisiddwa kabaka waabwe?

10 Mu buli ngeri, abagenyi ba Daliyo baamukubiriza ‘ayise etteeka eryo era asse omukono ku kiwandiiko, kireme okukyusibwa, okusinziira ku mateeka g’Abameedi n’Abaperusi, agatajjululwa.’ (Danyeri 6:8, NW) Edda, mu nsi ez’Ebuvanjuba, kabaka kye yalagiranga kyatwalibwanga nti kiba kituufu bulijjo. Kino kyaleetawo endowooza nti ye yali takola nsobi yonna. N’etteeka eryandiviiriddeko obulamu bw’abatalina musango okutokomoka lyabanga lirina okusigalawo!

11. Danyeri yandikwatiddwako atya ekiragiro kya Daliyo?

11 Awatali kulowooza ku Danyeri, Daliyo yassa omukono ku kiragiro. (Danyeri 6:9) Bw’atyo, mu butali bugenderevu n’assa omukono ku kiwandiiko ekyandiviiriddeko okuttibwa kw’omukungu we gwe yali asinga okwagala. Awatali kubuusabuusa, Danyeri yali agenda kukwatibwako ekiragiro kino.

DALIYO AWALIRIZIBWA OKUWA EKIBONEREZO EKIKAKALI

12. (a) Danyeri yakola ki nga yaakategeera etteeka eppya? (b) Baani abaali baketta Danyeri, era lwaki?

12 Mu kabanga katono, Danyeri yamanya etteeka erikugira okusaba. Amangu ago, yayingira mu nnyumba ye n’agenda mu kisenge ekyali waggulu ekyalina amadirisa agatunudde e Yerusaalemi. * Ng’ali omwo, Danyeri yatandika okusaba Katonda “nga bwe yakolanga edda.” Danyeri ayinza okuba yalowooza nti ali yekka, naye bakalinkwe baali bamuketta. Amangu ago, “ne bajja kirindi,” awatali kubuusabuusa mu ngeri y’emu ey’ebbugumu gye bajjamu eri Daliyo. Baali bakirabye n’amaaso gaabwe, nga Danyeri “asaba era nga yeegayirira mu maaso ga Katonda we.” (Danyeri 6:10, 11, NW) Abakungu abo n’ab’amasaza baalina obujulizi bwonna bwe beetaaga okuvunaana Danyeri eri kabaka.

13. Kiki abalabe ba Danyeri kye baategeeza kabaka?

13 Abalabe ba Danyeri baabuuza Daliyo mu ngeri ey’amagezigezi: “Tewassa kabonero ko [“mukono,” NW] ku kiragiro, nga buli anaasabanga katonda yenna oba [o]muntu yenna ennaku amakumi asatu, wabula ng’asabye ggwe, ai kabaka, alisuulibwa mu mpuku ey’empologoma?” Daliyo yaddamu nti: “Ekigambo ekyo kya mazima, ng’amateeka g’Abameedi n’Abaperusi bwe gali agatajjulukuka.” Awo bakalinkwe ne balyoka batuuka ku nsonga. “Danyeri oyo, ow’omu baana ab’obunyage bwa Yuda, takulowooza, ai kabaka, newakubadde ekiragiro kye wassaako akabonero ko [“omukono,” NW], naye asaba emirundi esatu buli lunaku.”—Danyeri 6:12, 13.

14. Lwaki abakungu n’ab’amasaza baayogera ku Danyeri nga “ow’omu baana ab’obunyage bwa Yuda”?

14 Kisaana okwetegerezebwa nti abakungu bano n’ab’amasaza baayita Danyeri “ow’omu baana ab’obunyage bwa Yuda.” Kirabika baayagala okuggumiza nti Danyeri oyo Daliyo gwe yali agulumizizza bw’atyo, yali muddu buddu Omuyudaaya. N’olw’ensonga eyo, baalowooza nti yali alina okugondera etteeka eryo, ka kibeere nga kabaka yali amwagala nnyo!

15. (a) Daliyo yawulira atya olw’amawulire abakungu n’ab’amasaza ge baamuleetera? (b) Abakungu n’ab’amasaza beeyongera batya okulaga obukyayi bwe baalina eri Danyeri?

15 Oboolyawo abakungu bano n’ab’amasaza baali basuubira nti kabaka ajja kubasasula olw’omulimu gwabwe ogw’obukessi. Obanga bwe kyali, kyababuukako. Daliyo yawulira bubi nnyo olw’amawulire ago ge baamuleetera. Mu kifo ky’okusunguwalira Danyeri oba okulagira amangu ago nti asuulibwe mu mpuku y’empologoma, Daliyo yamala olunaku lulamba ng’anoonya engeri y’okumuwonyamu. Naye okufuba kwe kwonna kwali kwa bwereere. Oluvannyuma, bakalinkwe baakomawo, era nga tebalina nsonyi n’akamu, ne basaba Danyeri attibwe.—Danyeri 6:14, 15.

16. (a) Lwaki Daliyo yali assa ekitiibwa mu Katonda wa Danyeri? (b) Ssuubi ki Daliyo lye yalina ku bikwata ku Danyeri?

16 Daliyo yalaba nga takyalina kya kukola. Etteeka lyali teriyinza kujjululwa era ne “ekisobyo” kya Danyeri kyali tekiyinza kusonyiyibwa. Daliyo kye yasobola okugamba Danyeri kyokka kyali nti “Katonda wo gw’oweerez[a] bulijjo, oyo anaakuwonya.” Kirabika nga Daliyo yali assa ekitiibwa mu Katonda wa Danyeri. Yakuwa ye yali asobozesezza Danyeri okulagula okugwa kwa Babulooni. Katonda era yali awadde Danyeri “omwoyo omulungi ennyo,” ogwafuula Danyeri ow’enjawulo ku bakungu abalala. Oboolyawo Daliyo yali akimanyi nti amakumi g’emyaka emabega Katonda y’omu ono yali anunudde Abebbulaniya abasatu okuva mu kikoomi ky’omuliro. Kyandiba nga kabaka yasuubira nti Yakuwa yandinunudde Danyeri, okuva Daliyo bwe yali tasobola kujjulula tteeka lye yali amaze okussaako omukono. N’olwekyo, Danyeri yasuulibwa mu mpuku y’empologoma. * Oluvannyuma, “ne baleeta ejjinja, ne baliteeka ku mulyango gw’empuku: kabaka n’alissaako akabonero ke ye, era n’akabonero ak’abaami be: ekigambo kyonna kireme okuwaanyisibwa eri Danyeri.”—Danyeri 6:16, 17.

EBINTU BIKYUKA

17, 18. (a) Kiki ekiraga nti Daliyo yali munakuwavu olw’embeera ya Danyeri? (b) Kiki ekyaliwo kabaka bwe yaddayo ku mpuku y’empologoma enkeera?

17 Daliyo yaddayo mu lubiri lwe nga munakuwavu nnyo. Abakubi b’ebivuga tebaaleetebwa mu maaso ge, kubanga yali tayagala kusanyusibwa. Daliyo teyeebaka ekiro kyonna, era teyalya mmere. “Otulo ne tumubula.” Ng’obudde bwakakya, Daliyo yagenda bunnambiro ku mpuku y’empologoma. Yakoowoola mu ddoboozi ery’ennaku: “Ggwe Danyeri omuddu wa Katonda omulamu, Katonda wo, gw’oweerez[a] bulijjo ayinz[izza] okukuwonya eri empologoma?” (Danyeri 6:18-20) Ekyamuwuniikiriza ennyo era ne kimusanyusa nnyo, yayanukulwa!

18 “Ai kabaka, obenga omulamu emirembe gyonna.” N’okulamusa kuno okw’ekitiibwa, Danyeri yalaga nti teyalina nge yonna eri kabaka. Yakitegeera nti ensibuko y’okuyigganyizibwa kwe, teyali Daliyo, wabula abakungu n’ab’amasaza ab’obuggya. (Geraageranya Matayo 5:44; Ebikolwa 7:60.) Danyeri yagattako: “Katonda wange yatumye malayika we, n’aziba emimwa gy’empologoma, ne zitankola bubi: kubanga mu maaso ge [n]nalabika nga siriiko kabi: era ne mu maaso go, ai kabaka, sikolanga kabi.”—Danyeri 6:21, 22.

19. Abakungu n’ab’amasaza baalimba batya Daliyo era baamukozesa batya?

19 Ebigambo ebyo biteekwa okuba byalumya nnyo omuntu wa Daliyo ow’omunda! Yali akimanyi nti Danyeri yali talina kibi kyonna ky’akoze ekimugwanyiza okusuulibwa mu mpuku y’empologoma. Era Daliyo yali akimanyi bulungi nti abakungu n’ab’amasaza beekobaana okuleetera Danyeri okuttibwa era nti baali bakozesezza kabaka okutuukiriza ebigendererwa byabwe. Mu kugamba nti “abakungu bonna ab’obwakabaka” baali basembye okuyisa ekiragiro ekyo, baali bategeeza nti ne Danyeri yali yeebuuziddwako ku nsonga eyo. Abasajja bano ab’enkwe Daliyo yali ajja kubakolako oluvannyuma. Naye, okusooka, yawa ekiragiro Danyeri aggibweyo mu mpuku y’empologoma. Ekyewuunyisa ddala, Danyeri yali taliiko kamogo konna!—Danyeri 6:23.

20. Kiki ekyatuuka ku balabe ba Danyeri ab’ettima?

20 Ng’amaze okukakasa nti Danyeri ali bulungi, Daliyo yalina eky’okukola ekirala. “Kabaka n’alagira, ne baleeta abasajja abo, abaaloopa Danyeri ne babasuula mu mpuku ey’empologoma, bo, n’abaana baabwe, ne bakazi baabwe: empologoma ne zibayinza, ne zimenyaamenya amagumba gaabwe gonna, nga tebannatuuka wansi ddala mu mpuku.” *Danyeri 6:24.

21. Ku ngeri ab’omu maka g’omukozi w’obubi gye baayisibwangamu, njawulo ki eyaliwo wakati w’Amateeka ga Musa n’ag’amawanga agamu ag’edda?

21 Okuttira awamu bakalinkwe abo ne bakyala baabwe n’abaana baabwe kiyinza okulabika nga kyali kya bukambwe nnyo. Okwawukana ku ekyo, Etteeka Katonda lye yawa okuyitira mu nnabbi Musa lyagamba: “Bakitaabwe tebattibwanga okubalanga abaana baabwe, so n’abaana tebattibwanga okubalanga bakitaabwe: buli muntu bamulangenga ekibi kye ye okumutta.” (Ekyamateeka 24:16) Kyokka, mu mawanga agamu ag’edda, kyalinga kya bulijjo ab’omu maka okuttibwanga awamu n’omukozi w’obubi ng’azzizza omusango ogw’amaanyi ennyo. Oboolyawo kino kyakolebwanga waleme kubaawo n’omu ku b’omu maka ge awoolera eggwanga oluvannyuma. Kyokka, ekyo ekyatuuka ku b’omu maka g’abakungu abo tekyasibuka ku Danyeri. Kyandiba nga yanakuwala nnyo olw’akabi abasajja abo ke baaleetera ab’omu maka gaabwe.

22. Daliyo yayisa kirangiriro ki ekippya?

22 Abakungu abo n’ab’amasaza ab’enkwe baali baggiddwawo. Daliyo yayisa ekirangiriro, ekigamba nti: “Nteeka etteeka, mu matwale gonna ag’obwakabaka bwange abantu bakankanenga batyenga mu maaso ga Katonda wa Danyeri: kubanga oyo ye Katonda omulamu, era omunywevu emirembe gyonna, n’obwakabaka bwe bwe butalizikirizibwa n’okufuga kwe kulituukira ddala ku nkomerero: awonya era alokola, era akola obubonero n’eby’amagero mu ggulu ne mu nsi: eyawonya Danyeri eri amaanyi g’empologoma.”—Danyeri 6:25-27.

WEEREZA KATONDA AWATALI KUDDIRIRA

23. Kyakulabirako ki Danyeri kye yassaawo ku bikwata ku mulimu gwe, era tuyinza kumukoppa tutya?

23 Danyeri yateerawo abaweereza ba Katonda bonna ab’omu kiseera kino ekyokulabirako ekirungi. Enneeyisa ye teyaliiko kya kunenyezebwa kyonna. Ku mulimu gwe ogwa bulijjo, Danyeri “yali mwesigwa, so ne watalabika mu ye kwonoona kwonna newakubadde akabi.” (Danyeri 6:4) Mu ngeri y’emu, Omukristaayo asaanidde okubeera omunyiikivu ku mulimu gwe. Kino tekitegeeza kubeera muntu alulunkanira eby’obugagga oba atafaayo ku balala ng’anoonya okukulaakulana. (1 Timoseewo 6:10) Ebyawandiikibwa byetaagisa Omukristaayo okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe obwa bulijjo mu ngeri ey’amazima era n’emmeeme yonna, “ku bwa Yakuwa.”—Abakkolosaayi 3:22, 23, NW; Tito 2:7, 8; Abebbulaniya 13:18.

24. Danyeri yalaga atya obutekkiriranya ku bikwata ku kusinza?

24 Mu kusinza kwe, Danyeri teyekkiriranya. Empisa ye ey’okusaba yali emanyiddwa bonna. Ate era, abakungu n’ab’amasaza baali bakimanyi bulungi nti Danyeri yali atwala okusinza kwe nga kukulu nnyo. Mazima ddala, baali bakakafu nti yandinyweredde ku nkola ye wadde nga wateekeddwawo etteeka erigiwera. Nga kyakulabirako kirungi nnyo eri Abakristaayo leero! Nabo bamanyiddwa okuba nga bakulembeza okusinza Katonda. (Matayo 6:33) Kino kyandibadde kyeyoleka lwatu eri abatunuulizi, kubanga Yesu yalagira abagoberezi be: “Omusana gwammwe gwakenga bwe gutyo mu maaso g’abantu, balabenga ebigambo ebirungi bye mukola, balyoke bagulumizenga Kitammwe ali mu ggulu.”—Matayo 5:16.

25, 26. (a) Kiki abamu kye bayinza okugamba ku nneeyisa ya Danyeri? (b) Lwaki Danyeri yakitwala nti okukyusa mu nkola ye kwandibadde kwekkiriranya?

25 Abamu bayinza okugamba nti Danyeri yandyewaze okuyigganyizibwa ng’asaba Yakuwa mu kyama mu bbanga eryo ery’ennaku 30. N’okuba tewali kifo oba mbeera yonna omuntu gy’alina kubaamu okusobola okuwulirwa Katonda. Katonda asobola n’okumanya ebirowoozo by’omu mutima. (Zabbuli 19:14) Wadde kiri kityo, Danyeri yakitwala nti okukyusa mu nkola ye kwandibadde kwekkiriranya. Lwaki?

26 Okuva empisa ya Danyeri ey’okusaba bwe yali emanyiddwa ennyo, kyandiwadde kifaananyi ki bwe yandigirese embagirawo? Kyandiba ng’abatunuulizi bandigambye nti Danyeri yali atidde abantu era nti ekiragiro kya kabaka kyali kya maanyi okusinga etteeka lya Yakuwa. (Zabbuli 118:6) Naye ebikolwa bya Danyeri byalaga nti Yakuwa gwe yali yeemaliddeko. (Ekyamateeka 6:14, 15; Isaaya 42:8) Kya lwatu, mu kukola kino Danyeri yali tanyooma bunyoomi tteeka lya kabaka. Ate mu kiseera kye kimu teyekkiriranya. Danyeri yeeyongera okusabira mu kisenge kye ekya waggulu, “nga bwe yakolanga edda” nga kabaka tannayisa kiragiro.

27. Abaweereza ba Katonda leero bayinza batya okukoppa Danyeri (a) mu kugondera ab’obuyinza abafuga? (b) mu kugondera Katonda ng’omufuzi okusinga abantu? (c) mu kufuba okubeera mu mirembe n’abantu bonna?

27 Abaweereza ba Katonda leero bayinza okuyigira ku kyokulabirako kya Danyeri. Bawulira ‘ab’obuyinza abafuga,’ nga bagondera amateeka g’ensi mwe babeera. (Abaruumi 13:1, NW) Kyokka, amateeka g’abantu bwe gakontana n’aga Katonda, abantu ba Yakuwa bakola kye kimu ng’abatume ba Yesu, abaayogera n’obuvumu nti: “Kigwana okuwulira Katonda okusinga abantu.” (Ebikolwa 5:29) Nga bakola ekyo, Abakristaayo tebakubiriza bwegugungo oba bujeemu. Mu kifo ky’ekyo, ekiruubirirwa kyabwe kwe kubeera mu mirembe n’abantu bonna basobole okubeera “n’obulamu obutereevu obw’emirembe mu kutya Katonda kwonna ne mu kwegendereza.”—1 Timoseewo 2:1, 2; Abaruumi 12:18.

28. Danyeri yaweereza atya Yakuwa “awatali kuddirira”?

28 Emirundi ebiri Daliyo yagamba nti Danyeri yali aweereza Katonda “awatali kuddirira.” (Danyeri 6:16, 20, NW) Ekigambo ky’Olulamayiki ekyavaamu ekyo ekivvuunuddwa “awatali kuddirira” kitegeeza “okwetooloola.” Kiwa ekirowoozo eky’okweyongera mu maaso, oba ekintu ekikolebwa olutatadde. Bwe butyo obugolokofu bwa Danyeri bwe bwali. Bwali tebukyukako. Tewaaliwo kubuusabuusa kwonna ku ekyo Danyeri kye yandikoze ng’ayolekaganye n’ebigezo, ka bibe binene oba bitono. Yandyeyongedde okukola ekyo ky’abadde akola okumala amakumi n’amakumi g’emyaka—okubeera omunywevu era omwesigwa eri Yakuwa.

29. Abaweereza ba Yakuwa leero bayinza batya okuganyulwa mu kyokulabirako kya Danyeri eky’obwesigwa?

29 Abaweereza ba Katonda leero baagala okugoberera ekyokulabirako kya Danyeri. Mazima ddala, omutume Pawulo yakubiriza Abakristaayo bonna okulowooza ku kyokulabirako ky’abantu ab’edda abaatyanga Katonda. Olw’okukkiriza, ‘baakola eby’obutuukirivu, baafuna ebyasuubizibwa,’ era awatali kubuusabuusa nga kikwata ku Danyeri, “baabuniza obumwa bw’empologoma.” Ng’abaweereza ba Yakuwa leero, ka twoleke okukkiriza n’obutaddirira nga Danyeri era ‘tudduke embiro eziteekeddwa mu maaso gaffe.’—Abaebbulaniya 11:32, 33; 12:1.

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 7 Okuba nti waaliwo ‘empuku y’empologoma’ mu Babulooni kikakasibwa mu biwandiiko eby’edda ebiraga nti abafuzi mu nsi z’Ebuvanjuba baabanga n’amakuumiro g’ensolo enkambwe.

^ lup. 12 Ekisenge ekya waggulu kyali kisenge omuntu mwe yalinga asobola okuwummulira nga tayagala kutawaanyizibwa.

^ lup. 16 Empuku y’empologoma eyinza okuba yali wansi mu ttaka ng’eriko omulyango waggulu. Yandiba nga yaliko n’enzigi oba obuggi obw’emitayimbwa obwali busobola okuggulwawo ensolo okuyingira.

^ lup. 20 Ekigambo “abaaloopa” kivvuunulwa okuva mu kigambo ky’Olulamayiki ekiyinza era okukyusibwa nga “abaawaayiriza.” Kino kiraga ettima ly’abalabe ba Danyeri.

BIKI BY’OTEGEDDE?

• Lwaki Daliyo Omumeedi yasalawo okuteeka Danyeri mu kifo ekya waggulu?

• Lukwe ki abakungu n’ab’amasaza lwe baakola? Yakuwa yawonya atya Danyeri?

• Kiki ky’oyize ng’ossaayo omwoyo ku kyokulabirako kya Danyeri eky’obwesigwa?

[Ebibuuzo]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 114]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 121]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 127]

Danyeri yaweereza Yakuwa “awatali kuddirira.” Ate ggwe?