Buuka ogende ku bubaka obulimu

Olwasa Oluppya Osuubira Ki mu Biseera eby’Omu Maaso?

Olwasa Oluppya Osuubira Ki mu Biseera eby’Omu Maaso?

Amawulire g’Obwakabaka Na. 36

Olwasa Oluppya Osuubira Ki mu Biseera eby’Omu Maaso?

Olwasa Oluppya Ntandikwa y’Omulembe Omuggya?

E KIRO mu ttumbi nga Ddesemba 31, 1999, ekyasa ekya 20 kyaggwaako. * Kyali kyasa ekyalimu ebizibu ebingi. Naye era kyalimu tekinologiya omuppya mungi, okukulaakulana mu by’ekisawo, okutumbuka kw’eby’empuliziganya, n’okukulaakulana mu by’enfuna mu nsi yonna. N’olwekyo, olwasa oluppya abantu bangi balusanyukidde ng’akabonero ak’essuubi n’enkyukakyuka. Kyandiba nti mu lwo, entalo, obwavu, okwonoonebwa kw’embeera y’ensi, n’obulwadde binaakoma?

Abantu bangi bwe batyo bwe basuubira. Naye ddala kinaasoboka nti olwasa oluppya lunaaleetawo enkyukakyuka ezinaakuganyula​—ezinaakusobozesa okufuna obukuumi n’obutebenkevu mu bulamu bwo era n’obw’ab’omu maka go? Lowooza ku bizibu ebingi ennyo bye twolekaganye nabyo.

Okwonoona Obutonde bw’Ensi

Ensi omuli amakolero amangi “ziviiriddeko okwonoonebwa kw’obutonde bw’ensi ku kigero ky’ensi yonna.” Singa embeera eno yeeyongera mu maaso, “obutonde bw’ensi bujja kweyongera okwonoonebwa.”​—“Global Environment Outlook​—2000,” United Nations Environment Programme.

Obulwadde

“Omwaka 2020 we gunaatuukira, endwadde ezitasaasaanyizibwa zisuubirwa okuviirako abantu musanvu ku buli bantu kkumi okufa mu nsi ezikyakula, bw’ogeraageranya n’abatawera bataano ku buli bantu kkumi leero.”​—“The Global Burden of Disease,” Harvard University Press, 1996.

Abakugu abamu bagamba nti “omwaka 2010 we gunaatuukira, abantu obukadde 66 [bajja kuba nga bafudde] mu nsi 23 ezikoseddwa ennyo endwadde ya [AIDS].”​—“Confronting AIDS: Evidence From the Developing World, a report of the European Commission and the World Bank.

Obwavu

“Kumpi abantu akawumbi 1.3 bayimiriziddwawo ssente ezitawera doola emu buli lunaku, era kumpi abantu akawumbi 1 tebasobola kufuna eby’okulya ebikulu bye beetaaga.”​—“Human Development Report 1999,” United Nations Development Programme.

Entalo

“Ettemu [mu nsi nnyingi] liyinza okutuuka ku kigero ekitabangawo. Nga lireetebwa [enjawukana] mu mawanga, ebika ne mu madiini, . . . ettemu ng’eryo lijja kuleetawo . . . entalo ez’amaanyi mu myaka amakumi abiri mu etaano egijja . . . , nga emitwalo n’emitalwo battibwa buli mwaka.”​—“New World Coming: American Security in the 21st Century,” U.S. Commission on National Security/21st Century.

N’olwekyo, essanyu n’akabuguumiriro olw’olwasa oluppya biba bibuusa amaaso ekiriwo nti okwonoonebwa kw’empewo, obulwadde, obwavu, n’entalo byeyongedde nnyo n’okusinga bwe kyali kibadde. Ensibuko y’ebizibu bino byonna, gwe mululu, obuteesigaŋŋana, n’okwerowoozaako​—emize egitayinza kumalibwawo kunoonyereza kwa sayansi, tekinologiya, oba eby’obufuzi.

Olwasa Olunaaleetera Olulyo lw’Omuntu Emikisa

OMUWANDIISI omu ow’edda yagamba nti: “Ekkubo [l]y’omuntu teriri mu ye yennyini: tekiri mu muntu atambula okuluŋŋamyanga ebigere bye.” (Yeremiya 10:23) Omuntu takoma ku butabeera na busobozi kyokka naye era talina bwannannyini okufuga ensi. Omutonzi waffe, Yakuwa Katonda, ye yekka alina obwannannyini obwo era ye yekka amanyi engeri y’okugonjoolamu ebizibu by’abantu.​—Abaruumi 11:33-36; Okubikkulirwa 4:11.

Naye ddi, era mu ngeri ki? Obujulizi obulaga nti tusemberedde enkomerero ‘y’ennaku ez’oluvannyuma’ weebuli bungi. Bikkula Baibuli yo, osome 2 Timoseewo 3:1-5. Woogera ku mpisa abantu ze bandibadde nazo mu biseera bino ‘ebizibu ennyo.’ Matayo 24:3-14 ne Lukka 21:10, 11 nawo woogera ku “nnaku ez’oluvanyuma.” Awo essira lissibwa ku mbeera ezirabika ezibaddewo okuva mu 1914, gamba ng’entalo mu nsi yonna, endwadde, n’ebbulwa ly’emmere.

Mangu ddala ‘ennaku ez’oluvannyuma’ zijja kukoma. Danyeri 2:44 lugamba: “Katonda ow’eggulu alissaawo obwakabaka obutalizikirizibwa emirembe gyonna. . . . Bulimenyaamenya era bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna [obw’oku nsi], era bunaabeereranga emirembe gyonna.” Bwe kityo, kyalagulwa nti Katonda yanditaddewo Obwakabaka oba gavumenti, eneefuga ensi. Okusinziira ku Okubikkulirwa 20:4, gavumenti eno ejja kufuga okumala emyaka lukumi​—olwasa! Weetegereze engeri ezimu embeera y’abantu bonna gy’eneerongookamu mu Myaka egyo Olukumi:

Eby’Enfuna. “Balizimba ennyumba ne basulamu; era balisimba ensuku ez’emizabbibu ne balya ebibala byamu. Tebalizimba omulala n’asulamu; tebalisimba omulala n’alya.” ​—Isaaya 65:21, 22.

Eby’Obulamu. “Awo amaaso g’omuzibe w’amaaso ne galyoka gazibuka, n’amatu g’omuggavu w’amatu galigguka. Awo awenyera n’alyoka abuuka ng’ennangaazi, n’olulimi lw’akasiru luliyimba.” “N’oyo atuulamu talyogera nti Ndi mulwadde.”​—Isaaya 33:24; 35:5, 6.

Obutonde bw’Ensi. ‘Katonda alizikiriza abo aboonoona ensi.’​—Okubikkulirwa 11:18.

Enkolagana y’Abantu. ‘Tebalikola kabi konna newakubadde okuzikiriza ku lusozi lwange olutukuvu kubanga ensi erijjula okumanya Yakuwa.’​—Isaaya 11:9.

Obukadde n’obukadde bw’abantu bakkiririza mu bisuubizo bino eby’omu Baibuli era batunuulira ebiseera eby’omu maaso n’obwesige. N’ekivuddemu, basobola okwaŋŋanga okunyigirizibwa era n’ebizibu ebibaawo mu bulamu. Baibuli esobola etya okukuwa obulagirizi mu bulamu?

Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu!

SAYANSI ne tekinologiya oluusi biyinza okuwuniikiriza! Wadde kiri kityo, okumanya okw’obuntu tekuleetedde bantu abasinga obungi obutebenkevu n’essanyu mu bulamu. Okumanya kwokka okuyinza okutuukiriza kino kwogerwako mu Baibuli mu Yokaana 17:3 (New World Translation), olugamba: “Kino kitegeeza obulamu obutaggwaawo, okukumanya ggwe Katonda omu ow’amazima, n’oyo gwe watuma, Yesu Kristo.”

Okumanya ng’okwo kusangibwa mu Baibuli. Newakubadde bangi balina endowooza ezeekubidde olubege ku bikwata ku kitabo ekyo ekitukuvu, batono ddala abaali bakisomyeko bo bennyini. Kiri kitya gy’oli? Kyo kituufu nti, okusoma Baibuli kyetaagisa okufuba okw’amaanyi. Naye tekuba kwa bwereere. Baibuli kye kitabo kyokka ‘ekyaluŋŋamizibwa Katonda, era ekigasa olw’okuyigirizanga, olw’okunenyanga, olw’okutereezanga, olw’okubuulirira okuli mu butuukirivu.’​—2 Timoseewo 3:16.

Kati olwo, onootandika otya okuyiga ebiri mu Baibuli? Lwaki tokkiriza obuyambi bw’Abajulirwa ba Yakuwa? Bayigiriza obukadde n’obukadde bw’abantu mu maka gaabwe awatali kusasula. Okusobola okukuyamba mu nsonga eno, bakozesa ebitabo eby’enjawulo ebyesigamiziddwa ku Baibuli, gamba nga brocuwa eyitibwa Katonda Atwetaagisa Ki? Ewa eby’okuddamu mu bibuuzo bingi by’oyinza okubeera nabyo ebikwata ku Baibuli, gamba nga: Katonda y’Ani? Ekigendererwa kya Katonda eri ensi kye kiruwa? Obwakabaka bwa Katonda kye ki? Baibuli eyinza etya okulongoosa obulamu bw’amaka go?

Bw’oba nga wandyagadde omu ku Bajulirwa ba Yakuwa akukyalire ewuwo, tukusaba ojjuze akapapula ako akasalwako wammanga. Bajja kusanyuka okukutegeeza ebisingawo ebikwata ku Bufuzi bw’Obwakabaka bwa Katonda obw’ekitibwa obw’Emyaka Olukumi!

□ Nnandyagadde okufuna brocuwa Katonda Atwetaagisa Ki?

Laga olulimi lw’oyagala

□ Nsaba muntuukirire ku bikwata ku kuyigirizibwa Baibuli awaka awatali kusasula

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 4 Wano twogera ekyo nga tusinziira ku ndowooza y’abantu b’omu nsi z’Ebugwanjuba ku bikwata ku lwasa oluppya. Ekituufu kiri nti olwasa oluppya lujja kutandika nga Jjanwali 1, 2001.