Abantu Basobola Okuleeta Emirembe n’Obutebenkevu eby’Enkalakkalira?
Essuula 2
Abantu Basobola Okuleeta Emirembe n’Obutebenkevu eby’Enkalakkalira?
1. Bibuuzo ki bye twetaaga okubuuza, era lwaki?
ESSUUBI okuba n’amakulu, liteekwa okuba nga liri ku musingi ogw’ebiriwo, ogw’amazima. Essuubi ery’obulimba liziba buzibi bantu maaso obutalaba biriwo. N’olwekyo, twetaaga okubuuza: Tutegeerera ddala bulungi obunene bw’ebizibu bwe buli ebiteekwa okugonjoolebwa okusobola okuleeta emirembe n’obutebenkevu eby’amazima? Tutegeera ng’embeera bw’etuuse ku kanaanyokya ani? Waliwo obujulizi bwonna obulaga nti abantu bye bateekateeka okukola bituukana n’obunene bw’emitawaana?
2, 3. (a) Lwaki okunoonya emirembe n’obutebenkevu kufuuse ekyetaagibwa amangu ennyo ennaku zino? (b) Bintu ki ebirala ebireese obulamu ku nsi mu kabi?
2 Okumala emyaka nkumi na nkumi abantu banoonyezza emirembe n’obutebenkevu eby’enkalakkalira, naye kibalemye okutuukako. Naye kaakano embeera etuuse awazibu ennyo olw’entiisa y’olutalo nnamuzisa. Lipoota eyava mu Canada yalabula nti: “Tewaliwo kintu ng’okuwangula mu lutalo nnamuzisa kubanga ebivaamu byandibadde bya ntiisa nnyo era nga abawonyewo bandyesiimisizza abafudde.”3 Ng’alaga ensonga lwaki, omukugu mu kwekebejja eby’omu bbanga Carl Sagan yategeeza nti: “Kaakano waliwo eby’okulwanyisa nnamuzisa ebisukka mu 50,000, . . . ebimalira ddala okusangulawo Hiroshima kakadde kamu.” Yagattako nti: “Tewali kubuusabuusa nti obugunjufu bwaffe obw’ensi yonna bwandizikiriziddwa.”4
3 Okugatta ku ebyo, ebintu ebirala eby’omutawaana bitadde
obulamu ku nsi mu kabi. Ekimu ku byo kwe kwonoonebwa mu nsi yonna okw’ettaka, empewo, n’amazzi. Ekirala kwe kweyongera okunene okw’abantu mu nsi awamu n’ebyo ebijjiddeko: enjala, endwadde, n’obwegugungo.4. Embeera y’abantu ennaku zino ennyonnyoddwako etya?
4 Nga kyogera ku mitawaana egy’enjawulo abantu gye boolekedde ennaku zino, ekibiina ky’emirembe mu Norway kyagamba nti: “Embeera y’ensi yonna leero eyolesebwa obuzibu obw’amaanyi obubunye kumpi mu buli kitundu eky’emirimu gy’abantu: eby’enfuna n’eby’embeera z’abantu, eby’obufuzi n’eby’ekijaasi, eby’omwoyo n’eby’empisa.” Kyagattako nti: “Ettemu ligenda lyeyongera era n’okukozesa eryanyi mu kutuukiriza ebiruubirirwa era ne mu nkolagana z’amawanga byeyongedde okubuna. . . . Olusalosalo oluliwo wakati w’emirembe n’olutalo lweyongera okuba olw’akabi.”5 Kino kitutwala wa? Ssabawandiisi w’ekibiina ky’Amawanga Amagatte yalabula nti: “Tuli kumpi nnyo ddala n’okweggyako amateeka gonna mu nsi okuggya.”6
Ensi Etaliimu Ntalo olw’Okufuba kw’Abantu?
5. Ebyafaayo biraga ki ku bikwata ku busobozi bw’omuntu obw’okukomya entalo?
5 Waliwo ensonga yonna okukkiriza nti abantu bayinza okumalawo entalo? Mu byafaayo, wabaddewo emyaka mitono nnyo egyesuddesudde ensi eno bwe yali nti teriimu lutalo na lumu. Mu kyasa kino eky’amakumi abiri kyokka, abantu nga obukadde 100 battiddwa mu ntalo! Wadde Ekinywi ky’Amawanga ekyaliwo luli oba Ekibiina ky’Amawanga Amagatte ekiriwo leero tebisobodde kukomya kutirimbula kuno.
6. Okutya olutalo nnamuzisa musingi munywevu ogw’okussaawo emirembe?
6 Naye okutya okuzikirizibwa eby’okulwanyisa nnamuzisa tekuukyuse kino? Entiisa emala ey’eby’okulwanyisa nnamuzisa teyaliwo emabega eri mu 1945, bbomu nnamuzisa bwe zaazikiriza ebibuga bibiri eby’omu Japaani? Kyokka, okuva olwo entuumo y’eby’okulwanyisa nnamuzisa ebisingirawo ddala
amaanyi yeeyongedde emirundi lukumi. Era okuva mu 1945 abantu abateeberezebwa okuba nga 35,000,000 battiddwa mu ntalo n’obwegugungo ebitwaliddemu ensi ezisukka mu 100. Mu mwaka gumu emabega awo amawanga 45 gaali mu kulwanagana!7 Nedda, entiisa y’eby’okulwanyisa nnamuzisa tekomezza ntalo.7. Okussa emikono ku ndagaano ezikomya eby’okulwanyisa oba ez’okuleetawo emirembe kikakasa emirembe egy’enkalakkalira?
7 Weewaawo, amawanga gakola era oboolyawo gajja kweyongera okussa emikono ku ndagaano ezikomya eby’okulwanyisa oba ez’okuleetawo emirembe. Mu byasa by’emyaka egiyiseewo mu butuufu nkumi na nkumi eziteekeddwako emikono. Kyokka, buli omwoyo gw’okulwana bwe gwatikkanga, endagaano ezo zaafuukanga bipapula bupapula ebitaliimu mugaso. Ekibiina ky’Amawanga Amagatte nakyo kiremeddwa okukomya entalo, kubanga newakubadde kumpi ensi zonna leero ziri mu kibiina ekyo, zikijeemera bwe ziba zaagadde. Kale kya magezi okusuubira nti abakulembeze b’ensi ab’omu biseera eby’omu maaso banaakuuma ekigambo kyabwe okusinga abo ab’omu biseera ebyayita?
8. Baibuli eyogedde etya amazima ku bikwata ku kulemwa kw’abantu okuleetawo emirembe egy’enkalakkalira?
8 Ku luuyi olulala, Baibuli ky’eyogera kituukagana n’eby’okuyiga eby’omu byafaayo. Tetukubiriza kuteeka ssuubi lyaffe mu kaweefube w’abantu ow’okuleeta emirembe. Ku luuyi olulala, yalagula dda nnyo nti kaweefube w’abantu teyandireese mirembe gya nkalakkalira. Yalabula nti ng’enkomerero y’embeera zino ez’ebintu eneetera okutuuka, entalo n’obutabanguko byandyeyongedde okubuna ensi yonna, nga ‘eggwanga lirumba eggwanga n’obwakabaka nga bulumba obwakabaka.’ (Lukka 21:9, 10, 31; Okubikkulirwa 6:1-4) Ebibaddewo mu nsi okuva mu 1914 bituukirizza obunnabbi obwo. Kale mu kifo ky’okukubiriza okusuubira okw’obulimba, Baibuli mu mazima etegeeza nti: “Ekkubo ery’omuntu teriri mu ye yennyini: tekiri mu muntu atambula okuluŋŋamyanga ebigere bye.”—Yeremiya 10:23.
Abantu Bayinza Okwaŋŋanga Obuzibu bw’Omuwendo gw’Abantu?
9-11. (a) Omuwendo gw’abantu ku nsi gweyongera mangu gutya? (b) Mbeera ki erumya abantu abawerako?
9 Omuwendo gw’abantu ku nsi gwatuuka obukadde lukumi mu kyasa eky’ekkumi n’omwenda. Kaakano guli nga obukadde enkumi ttaano,8 nga buli bukadde olukumi buwera mangu nnyo okusingawo. Buli mwaka, abantu nga obukadde 90 beeyongerako! Ate nga okweyongera kuno emirundi egisinga kwongera kugatta bugassi ku kubonaabona okuli mu bifo obwavu, enjala, n’endwadde gye byakajjala edda. Okweyongera kuno okw’omuwendo gw’abantu kuyitiddwa bbomu ya nnamungi w’omuntu lwa nsonga nnungi. The New York Times kaayogera nti: “Kisobokera ddala nti ebitundu binene eby’ensi bijja kufuulibwa ddungu olw’obuzibu bw’omuwendo gw’abantu ogutasoboka n’obwavu nga bwe kiyinza okuba olw’olutalo nnamuzisa.”9
10 Nga koogera ku bungi bw’enjala mu nsi, akatabo ka Time kaagamba nti: “Ekizibu ky’enjala ennaku zino kya njawulo nnyo okuva ku bwe kyali edda . . . Kaakano waliwo emmere ntono nnyo mu bitundu bingi eby’ensi, buli mwaka oguddawo, ne kiba nti abantu 25 ku buli bantu 100 abali mu nsi balumwa enjala oba tebalya kimala.”10 Ensibuko emu eteebereza nti buli mwaka abaana obukadde 11 bafa nga tebannatuuka ku mazaalibwa gaabwe ag’olubereberye olw’obutalya bulungi n’olw’endwadde.
11 Lipoota y’emu etegeeza nti: “Waakiri omuntu omu ku buli bantu bataano mwavu lunkupe, embeera y’obwavu obw’amaanyi ddala ennyo ne kiba nti kuzikirira mu kasirise.”11 Ate nga kino, The Toronto Star bwe yeetegereza, kyaliwo oluvannyuma lw’olukuŋŋaana olw’eby’emmere olw’ensi yonna olwali mu Rooma emyaka egisukka mu kkumi egiyiseewo bwe “lweyama nti, mu myaka kkumi, tewali mwana alyebaka njala, tewali maka galyeraliikirira kye ganaalya enkeera era tewali bulamu bw’omuntu obw’omu maaso obunaayimirizibwa olw’obutalya bulungi,”12 Ng’ebisuubizo ebyo byali bya busa!
Ebiriwo biri nga Guardian aka Bungereza bwe keetegeereza nti: “Ensi eri ku njegoyego y’akatyabaga akanene eri abantu. . . . Enkalu z’ensi nnamba zirabye okusuubira kwazo okw’ebiseera eby’omu maaso nga kuggwaawo.”1312. Okusala ku nsimbi ezisaasaanyizibwa ku by’okulwanyisa ddala kisobola okugonjoola ekizibu kino?
12 Omutawaana ogusinga obunene teguvudde ku nsi, naye ku bafuzi n’abantu era n’endowooza zaabwe. Ekyokulabirako, amawanga kaakano gakozesa ddoola obukadde akakadde kamu ku by’okulwanyisa buli mwaka ssonga abantu bukadde na bukadde balumwa enjala. Naye okwongera okutuuma eby’okulwanyisa kuno ne bwe kulekerwa awo, enteekateeka y’ensi ey’eby’enfuna erimu obutakwatagana yandireesewo kiremya mu kugonjoola ekizibu kino mu ngeri yonna ey’amazima. Emirundi mingi, emmere bw’ebeerawo okwegomba amagoba amanene kulemesa okugigabanya eri abo abali mu bwetaavu. Mu bifo ebimu, gavumenti zisasudde abalimi baleme kusimba bintu ebimu kubanga bwe bibeera ebingi ennyo kiyinza okukendeeza ennyo ebbeeyi. Emmere nnyingi nnyo bagizikiriza n’okugizikiriza olw’okuyitirira obungi.
13. Baibuli yali ntuufu bwe yalagula embeera ez’okubeerawo ku nkomerero y’ensi?
13 Bwe kityo, wadde nga babaddewo n’okukulaakulana mu bya sayansi, abantu ab’omu kiseera kino tebasobodde kwewala embeera ezo zennyini Baibuli ze yalagula. Yalagula butuufu okubeerawo kwa “enjala” ey’amaanyi mu kiseera kino ekya “amavannyuma g’embeera z’ebintu.”—Matayo 24:3, 7, NW; Okubikkulirwa 6:5-8.
Abantu Basobola Okutuuka Okuba n’Emirembe n’Ensi?
14-16. Okwonoonebwa kw’embeera kizibu kya kabi kwenkana wa?
14 Okumala emyaka egiwera abantu babadde balwana n’ensi kwe babeera. Baleetedde ebintu eby’obutwa okwetuuma mu mazzi, mu mpewo, ne mu ttaka. Omutwe ogwali mu Toronto
Star gwategeeza nti: “Okwonoonebwa kw’Embeera Kutadde Ensi mu Kabi.” Ekitundu ekyo kyagamba nti: “Ensi erumbiddwa mu ngeri ey’akabi. Era omulumbi ye muntu.” Keetegereza nti “obutwa bw’okukulaakulana kwe” kaakano bubuusisabuusisa okubeerawo kwe kwennyini, era ne kagamba nti: “Bannasayansi bakitwala nti okwonoonebwa kw’embeera y’ensi kya mutawaana ddala ng’entiisa y’olutalo nnamuzisa.”1415 Ekyokulabirako, nga koogera ku Amereka, akatabo Discover kagamba nti: “Ebintu eby’akabi ebisensera mu ttaka bitadde mu kabi amaterekero g’amazzi agali wansi mu ttaka ag’eggwanga. Abakugu mu by’amazzi beeraliikirira nti kiyinza okuba nti kaakano ekiseera kiyise okusobola okuwonyako kimu kya kuna ku go.”15 Mu Bungereza The Observer kaagamba nti ebintu eby’obutwa bimaze okwonoona “amazzi aganywebwa agasinga obungi aga Bungereza.”16 Era New Scientist kaawa lipoota nti: “Ekibiina ky’Eby’obulamu eky’Ensi yonna kigamba nti endwadde eziva mu mazzi amacaafu zitta abantu 50,000 buli lunaku.”17
16 Mu Amereka okunoonyereza okwakolebwa abakungu ab’enjawulo kwalaga nti waliwo ebintu eby’obutwa bingi mu mpewo. The New York Times kaategeeza nti: “Ttani nkumi na nkumi ez’ebintu ebireeta kookolo era n’ebirala eby’akabi ennyo bigenda bifujjibwa mu bbanga okuva mu makolero nkumi na nkumi.”18 Okugatta ku kino bye bintu eby’akabi ebiteekebwa mu ttaka, ng’ekyokulabirako, eddagala ly’obuwuka, era ne mu by’okulya ng’emmere y’ebisolo.
17. Kiyinzika okuba nti okuyiiyizibwa kw’eby’amagezi ga sayansi kunaagonjoola ekizibu kino?
17 Okuyiiyizibwa kw’eby’amagezi ga sayansi kuyinza okuyamba? Ekyo kiyinzika, okuva bwe kwaleetawo ebizibu ebisinga obungi? Ekitabo Environmental Ethics kyetegereza nti: “Okuyiiyizibwa kw’eby’amagezi ga sayansi muweereza alina obusobozi obuliko we bukoma, era ateesigikira ddala. Bwe kugonjoola ekizibu, emirundi egisinga kutondawo ebirala bibiri ebiggya—era ng’obubi bwabyo butera okuba obuzibu okulengera amangu.”19
18. Mu kulwanagana n’okwonoonebwa kw’embeera, kutegeera ki okukulu abantu kwe batalina, naye ani akulina?
18 Nate, Baibuli yalagula ku ky’omuntu obutabeera wa magezi mu kukozesa eby’obugagga bw’ensi. Obunnabbi obuli mu Kubikkulirwa 11:18 bwayogera ku kiseera Katonda bw’anaakozesa obuyinza ‘okwonoona abo aboonoona ensi.’ Abantu mu butuufu tebategeera mu bujjuvu enkolagana eya waggulu ennyo ebiramu ku nsi gye bikolaganamu. Naye Katonda amanyi, okuva lwe yabitonda. Ssi kye kyandibadde eky’amagezi okukyukira Ensibuko eno okumanya ekinaagonjoola ebizibu bino?
Obutebenkevu olw’Okuggibwawo kw’Obumenyi bw’Amateeka
19. Kutya ki abantu bangi kwe balina ennaku zino, era lwaki?
19 Okwonoonebwa kw’embeera kuteeka mu kabi ebintu byennyini ebyetaagibwa olw’okubeerawo kw’omuntu. Naye okweyongera kw’obumenyi bw’amateeka kwe kuleetera abantu abasinga obungi okubeera mu kutya. Obumenyi bw’amateeka bweyongera okunyaga ku bantu bangi obutebenkevu bwabwe kinnoomu si mu bibuga ebinene byokka naye ne bubuga obutono era ne mu byalo. Si bintu buntu byokka naye emirundi mingi omubiri gw’omuntu n’obulamu bwe biba mu kabi.
20, 21. (a) Lwaki okuteekebwawo kw’amateeka amaggya tekuyinza kumalawo bumenyi bw’amateeka? (b) Okweyongera okuba n’embeera y’eby’enfuna ennungi oba engeri empya ez’okulwanyisa obumenyi bw’amateeka binaagonjoola ekizibu kino?
20 Abantu basobola okuleeta obutebenkevu obw’amazima okuva mu bubi buno, oboolyawo mu kuteekawo amateeka amaggya? Waliwo amateeka nkumi na nkumi mu bitabo by’amateeka eby’ensi. Naye, gano tegakomezza bumenyi bwa mateeka. Era, obulyi bw’enguzi obw’amaanyi emirundi mingi bubeera mu abo abakwasisa b’amateeka bennyini. Obutali bwesigwa mu bifo ebya waggulu buyinza okulemesa kaweefube w’abakwasisa b’amateeka abeesigwa.
21 Kinaasoboka olw’engeri empya ez’okuketta n’okuziyiza obumenyi bw’amateeka? Buli ngeri empya ereetebwawo, abamenyi b’amateeka bafunawo amakubo amalala ag’okugivvuunukamu. Olwo okweyongera okuba n’embeera y’eby’enfuna ennungi kunaagonjoola ekizibu kino? Kyandibadde kikyamu okulowooza nti obumenyi bw’amateeka bukolebwa abo bokka abalina enfuna entono. Obumenyi bw’amateeka obukolebwa abantu ab’emirimu egya waggulu nabwo bweyongera. Ekyokulabirako, mu Amereka buli mwaka ddoola obukadde nga 80,000 zibula olw’obumenyi bw’amateeka ng’obwo. Kumpi nga 30 ku buli bbizineesi 100 ezigwa, zigwa lw’ekyo. South Africa ewa lipoota nti obubbi bw’abakozi bwasuula bbizineesi nga 1,500 mu mwaka gumu.20
22. Bujulizi ki obulaga nti kaweefube w’abantu yekka tasobola kumalawo bumenyi bw’amateeka?
22 Obumenyi bw’amateeka obweyongera tebukomye mu mawanga gamu. Buli buli wamu. Weetegereze egimu ku mitwe gy’amawulire gino okwetooloola ensi. Brazil: “Obumenyi bw’Amateeka Butumbiira.” Canada: “Obumenyi bw’Amateeka obw’Abakazi Butumbiira.” Bungereza: “Obumenyi bw’Amateeka obw’Abaana Obweyongera Buli Kiseera.” India: “Obumenyi bw’Amateeka Obutegeke Kkolero Erikulaakulana.” Lassia: “Lassia Yeekanze Obumenyi bw’Amateeka Obweyongera.”21 Akatabo Maclean’s kaategeeza nti: “Obumenyi bw’amateeka obw’ekitemu mu Detroit buyitiridde nnyo ne kiba nti n’obussi oluusi bwogerwako katono ku mpapula ez’emabega ez’empapula z’amawulire.”22 Bwe kityo, obumenyi bw’amateeka obweyongera kizibu ekibunye ensi yonna, era kaweefube w’abantu yekka tayinza kukigonjoola. Singa abantu baali basobola okukigonjoola, oluvannyuma lw’ebbanga lino lyonna era n’okufuba, obumenyi bw’amateeka bwandibadde tebukyali kizibu.
23. Baibuli bye yalagula ebikwata ku mbeera mu kiseera kyaffe bituukiridde?
23 Ebiriwo biri nga ddala Baibuli bwe yalagula edda ennyo 2 Timoseewo 3:1-4) Yesu era yalagula nti “okweyongera kw’obumenyi bw’amateeka” kwandibaddewo nnyo mu kiseera ekyo ng’Obwakabaka bwa Katonda bunaatera okufuula ensi ekifo eky’okubeeramu ‘abantu abawombeefu’ bokka. “Okweyongera kw’obumenyi bw’amateeka” okwo kye kintu ekiriwo mu bulamu mu kiseera kyaffe.—Matayo 24:12; 5:5, NW; Zabbuli 37:29.
nti: “Mu nnaku ez’oluvannyuma ebiro eby’okulaba ennaku birijja. Kubanga abantu baliba nga beeyagala bokka, . . . abateegendereza, abakambwe, abatayagala bulungi, . . . abaagala essanyu okusinga Katonda.” (Ebizibu Ebisingiridde Byonna
24. Abantu ne bwe bandisobodde okugonjoola ebizibu ebyo byonna ebyakoogerwako, balabe ki ab’amaanyi abandisigaddewo?
24 Ka tugambe nti abantu baali basobola okumalawo ebizibu by’entalo, obwavu, enjala, okwonoonebwa kw’embeera, n’obumenyi bw’amateeka. Kino kyandikuleetedde emirembe n’obutebenkevu ebijjuvu? Nedda, era wandibaddewo ekibulawo. Obulwadde n’okufa era byandibadde bikyaliwo ng’abalabe abatannawangulwa. Mazima, okuwewulwako ebizibu ebirala kutegeeza ki ng’olaba omwagalwa ng’alwala era n’afa, oba singa weesanga ng’omubiri gwo gwennyini gulumbiddwa obulwadde obutta?
25, 26. Kusuubira ki abanoonyereza eby’eddagala kwe balina ku bikwata ku kuwangula endwadde?
25 Wadde wabaddewo okweyongera mu maaso mu by’ekisawo, kino kituleetedde eddembe okuva mu kulwala n’okufa? Abakugu mu by’ekisawo baddamu nti: “Endwadde ezisiigika tezinnaba kufufuggazibwa. Ze zikyakulembedde mu kuleeta okufa mu nsi yonna, era wano [mu Amereka], ze zikulembedde mu kuvaako obulwadde.”23 Mu Afirika lipoota egamba nti obulwadde bucaakanye nnyo “okuba nti ku baana 1,000 abazaalibwa nga 500 bafa nga tebannaweza myaka 5.”24 Okwetooloola ensi abantu bukadde na bukadde abalwadde b’omusujja, mmongoota, kkolera, ebigenge n’endwadde endala. Mu nsi
ezimu ezaakulaakulana, ku bantu abafa bonna nga kimu kya kubiri ku bo bafa bulwadde bwa mutima, era kookolo atta omuntu omu ku buli bantu bataano abafa. Era The Lancet, akatabo k’Abangereza ak’eby’ekisawo, kategeeza nti: “Okwetooloola ensi, buli mwaka wabaawo abantu nga obukadde 250 abakwatibwa enziku era n’abalala nga obukadde 50 abakwatibwa kabootongo. Endwadde endala ezikwatibwa mu bukaba ziyinza okuba nga zitaamye n’okusingako awo.”2526 Munnasayansi omu yategeeza nti singa bazuula ekiwonya kookolo, obulwadde bw’omutima, n’obulwadde bw’ensigo, obulwadde obulala bujja kufuuka bussi lukulwe. Yagamba nti: “Waliwo okusuubira kutono ddala nti tujja kwongerako kinene ku buwangaazi bw’obulamu bw’omuntu oba okulwisaawo okukaddiwa mu biseera ebitali by’ewala.”26 Era abasawo mu Lassia bagamba nti: “Wadde nga wabaddewo obuwanguzi mu by’eddagala, mu byafaayo byonna ebiri mu buwandiike obuwangaazi bw’obulamu bw’omuntu busigadde buli kye kimu.”27
27. (a) Bigambo ki mu Baibuli ebyogera ku buwangaazi bw’obulamu bw’omuntu eby’amazima n’okutuusa leero? (b) Tuyinza kuyiga kuva ludda wa ensonga lwaki obulamu bw’omuntu bumpi nnyo era bujjudde ebizibu?
27 Nga bya mazima nnyo ebigambo bya Baibuli ebiri mu Yobu 14:1, 2 okutuusa leero: “Omuntu azaalibwa omukazi wa nnaku si nnyingi, era ajjudde obuyinike. Amulisa ng’ekimuli n’atemebwa: era adduka ng’ekisiikirize so tabeerera.” Baibuli era eraga ensonga evaako kino, era n’eraga ekireesewo ebizibu by’abantu byonna, nga bwe tunaalaba oluvannyuma.
Ggwe Onossa mu Ki Essuubi?
28-30. Okugonjoola ebizibu ebyolekedde abantu, lwaki kisingako okuba eky’amagezi okwesiga obuyinza bwa Katonda okugonjoola ebizibu okusinga obw’abantu?
28 Ddala, kirimu amagezi okwesiga abantu okugonjoola ebizibu ebyolekedde abantu? Oba kisingako okuba eky’amagezi okussa obwesige mu ekyo Baibuli ky’esongako nti kye kinaagonjoola ebizibu, kwe kugamba, ekikolwa kya Katonda yennyini
ng’ayitira mu gavumenti ey’omu ggulu ey’obutuukirivu?29 Edda ennyo omuwandiisi wa zabbuli eyaluŋŋamizibwa yawandiika ebigambo bino: “Temwesiganga balangira, newakubadde omwana w’omuntu, omutali buyambi bwonna. Omukka gwe gumuvaamu, n’adda mu ttaka lye; ku lunaku olwo ebirowoozo bye ne bibula. Alina omukisa oyo alina Katonda wa Yakobo okuba omubeezi we, asuubira [Yakuwa, NW] Katonda we: Eyakola eggulu n’ensi.”—Zabbuli 146:3-6.
30 Teweerabira nti abantu ka babe beesimbu batya, oba abakulembeze b’ensi ka babe ba buyinza oba ba maanyi batya, bonna bitonde ebifa. Okuva bwe batasobola kwerokola bokka, bayinza batya okulokola abalala? Tebayinza. Katonda yekka y’ayinza, ng’ayitira mu gavumenti ye ey’Obwakabaka.
[Ebibuuzo]
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 13]
Mu byafaayo byonna abantu babadde batagala okuva mu mutawaana ogumu okudda mu mulala—entalo, okweyongera kw’obumenyi bw’amateeka, okwonoonebwa kw’embeera, obwavu, n’emirala mingi. Nga Baibuli bw’etegeeza mu mazima: “Tekiri mu muntu atambula okuluŋŋamyanga ebigere bye”
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 21]
“Temwesiganga . . . omwana w’omuntu, omutali buyambi bwonna”