Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Baani Abanaawona?

Baani Abanaawona?

Essuula 8

Baani Abanaawona?

1. (a) Okuwonawo kw’omuntu okuyingira mu Nteekateeka ya Katonda Empya ey’emirembe kuneesigama ku ki? (b) Okubikkulirwa essuula 7 kwogera kutya ku abo ab’okuwonawo okubeera mu Lusuku lwa Katonda ku nsi?

OKUWONAWO ku kuzikirizibwa kw’ensi okugenda okujja tekujja kuba mukisa bukisa, nga bwe kitera okubeera mu ntalo ez’abantu. Tekujja kwesigama ku kifo omuntu ky’abeeramu, wadde omuntu okweyuna aweewogomerwa bbomu oba obuddukiro obulala ng’akagombe akalabula kavuze. Okuwonawo kujja kwesigama ku kisa kya Katonda awamu n’okusalawo kwa buli omu kw’aba akoze nga “ekibonyoobonyo ekinene” tekinnatandika. Oyinza otya okutuuka ku kusalawo okunaakuteeka mu abo abanaawonawo okubeera ku nsi mu Nteekateeka Empya ey’emirembe ey’olusuku lwa Katonda?—Okubikkulirwa 7:9, 10, 14, 15.

2. Ani assaawo ebisaanyizo ebikwata ku kuwonyezebwa, era bino bisangibwa wa?

2 Baibuli tekoma ku kulagula nti wanaabaawo abanaawona ku kuzikirizibwa kw’ensi okugenda okujja. Era etuwa ebyokulabirako okutuyamba okumanya banaaba bantu ba ngeri ki. Okuva Katonda bw’ali nti y’asobozesa okuwona, mu butuufu ye y’ateekawo ebisaanyizo.

3. Emirembe n’obutebenkevu okubaawo, lwaki kyetaagisa abakola obubi okuzikirizibwa?

3 Katonda mu magezi ge era mu bwenkanya ajja kulaba nti abanaawona be bantu abanaaba ab’omugaso mu Nteekateeka ye Empya, sso ssi abo abandigyonoonye. Singa aleka abatali batuukirivu ne bawona, tewandibaddewo mirembe na butebenkevu eri abatuukirivu. Amaka gaabwe n’obutebenkevu bwabwe byandibadde bikyali mu kabi. Naye Baibuli esuubiza nti: “Abakola obubi balizikirizibwa, naye abo abalindirira [Yakuwa, NW] be balisikira ensi.” Lwa Katonda kukolera ku mutindo ogwo, nga bwe guli mu Zabbuli 37:9-11, abanaawonawo lwe banaasobola ‘okusanyukiranga emirembe emingi.’ Engeri Katonda gy’anaakolamu kino kirabikira mu ebyo ebyaliwo emabega obubi bw’abantu bwe bwawalirizanga Katonda okuleeta okuzikirizibwa.

Ebyokulabirako Ebyayita eby’Okuwonawo

4-6. (a) Kiki ekiwa obujulirwa obulaga nti okuzikirizibwa kwa Yerusaalemi mu 70 C.E. kintu kikakafu mu byafaayo? (b) Lwaki okuzikirizibwa okwo kwajja? (c) Kiki ekyasobozesa abayigirizwa ba Yesu okuwona?

4 Mu kibuga ky’e Rooma ennaku zino mukyalimu ekiyitirirwa eky’ekijjukizo okuva mu kyasa ekyasooka eky’Embala y’emyaka eno gye tulimu, Kiyitirirwa kya Tito. Ku kyo kuliko ebifaananyi ebiraga ebintu nga bitwalibwa okuva mu yeekaalu mu Yerusaalemi oluvannyuma lw’okuzikirizibwa kw’omu 70 C.E. Bwe kityo okuzikirizibwa okwo kintu kikakafu mu byafaayo. N’ekirala ekikakafu mu byafaayo kye kino nti emyaka mingi ng’okuzikirizibwa okwo tekunnabaawo Yesu Kristo yali alagudde ku kujja kwakwo era n’engeri abantu gye bandisobodde okuwonawo.

5 Abayudaaya baali bavudde ku Katonda ne badda ku kugoberera abantu n’obulombolombo bw’eddiini obukoleddwa abantu. (Matayo 15:3-9) Bassa obwesige bwabwe mu bantu ab’eby’obufuzi mu kifo ky’Obwakabaka bwa Katonda obwasuubizibwa. (Yokaana 19:15) Baagenda wala n’okutuuka okugaana era ne balwanyisa amazima agaali galangirirwa Omwana wa Katonda n’abatume be. Yesu yalabula ku ebyo ebyandivudde mu kkubo bwe lityo.—Matayo 23:37, 38; 24:1, 2.

6 Ebyavaamu byali ddala nga bwe byalagulibwa. Mu mwaka 66 C.E., Abayudaaya baajeemera Ruumi. Okulumba Yerusaalemi okwasooka okw’Abaruumi ekyakuddirira kyali bo okudda ennyuma ekyali kitasuubirwa. Kano ke kaali akabonero era n’omukisa eri abo abaali bakkirizza Yesu okukola kye yali agambye: Mudduke—muve mu kibuga ekisaliddwa omusango ne mu ssaza lyonna erya Buyudaaya, ka kibeere nga waliwo bye mulina okuleka emabega. Abayigirizwa ba Yesu ab’amazima ekyo kyennyini kye baakola. Awo nno, mu mwaka 70 C.E., Abaruumi baakomawo era, oluvannyuma lw’okukizingiza, baazikiriza Yerusaalemi era n’abo abaagaana okuwuliriza. Eyalabako n’amaaso ge, munnabyafaayo by’Abayudaaya Josephus, agamba nti abantu 1,100,000 mu Yerusaalemi baafa olw’enjala, endwadde, okutabuka kw’abantu, oba olw’ekitala ky’Abaruumi. Naye Abakristaayo abaakola ekituufu baawona.—Lukka 19:28, 41-44; 21:20-24; Matayo 24:15-18.

7. Kiki abantu kye baali beetaaga okukola okuwonawo Babulooni bwe kyamenyaamenya eggwanga lya Isiraeri?

7 Embeera eri ng’eyo yali ebaddewo kumpi ebyasa nga musanvu emabegako Katonda bwe yakkiriza amagye g’Abababulooni wansi wa Kabaka Nebukadduneeza (II) okumenyaamenya eggwanga lya Isiraeri. Okuzikirizibwa okwo, nakwo, kumanyiddwa mu byafaayo. Okumala emyaka egiwerako emabega, Katonda ng’ayitira mu bannabbi be yali alabudde abantu abaamujeemera nti ekkubo lyabwe lyali libatwala mu kuzikirira. “Mukyuke, mukyuke okuva mu makubo gammwe amabi; kubanga mwagalira ki okufa?” bw’atyo Katonda bwe yabakoowoola. (Ezeekyeri 33:11) Abasinga obungi tebakkiriza kulabula okwo, era n’amagye ga Babulooni ne bwe gaazingiza Yerusaalemi, Abaisiraeri abo era beeyongera okusuubira nti tewali kuzikirizibwa kwandibaddewo. Naye kwaliwo nga bwe kwalagulibwa. Kyokka Katonda yakakasa nti abo abaalaga okukkiriza kwabwe olw’obuwulize bawonyezebwa.—Yeremiya 39:15-18; Zeffaniya 2:2, 3.

8-10. (a) Lwaki Yakuwa yaleeta okuzikirizibwa kw’ensi mu nnaku za Nuuwa? (b) Lwaki Nuuwa n’ab’omu maka ge baawonyezebwa?

8 Okweyongerayo emabega mu byafaayo tulaba ekikolwa ekisooka eky’enkola ya Katonda ey’okuwonyezebwa. Kyali kikwata si ku kuzikirizibwa kwa ggwanga buwanga naye okw’ensi yonna. Era nakwo kumanyiddwa nga kwaliwo mu byafaayo, nga kwali mu Mataba g’ensi yonna agaaliwo wakati w’emyaka 2370/2369 B.C.E., mu nnaku za Nuuwa. Ku mbeera ezaaliwo ng’okuzikirizibwa kw’ensi okwo tekunnabaawo, Baibuli egamba nti: “[Yakuwa, NW] n’alaba obubi bw’omuntu nga bungi mu nsi, na buli kufumiitiriza kw’ebirowoozo eby’omu mutima gwe nga kubi kwereere bulijjo. Ensi n’eyonooneka mu maaso ga Katonda, ensi n’ejjula [ettemu, NW].”—Olubereberye 6:5, 11.

9 Obubi n’ettemu byawaliriza Katonda okubaako ky’akola. Nuuwa n’ab’omu maka ge be bokka abaalaga okukkiriza n’obuwulize. Olw’ekisa gye bali, era n’okukuuma obwenkanya n’obutuukirivu ku nsi, Yakuwa Katonda ‘teyasonyiwa nsi ey’edda . . . ey’abatatya Katonda.’ Ekyavaamu kyali nti ‘ensi ey’edda amazzi ne gagisaanyawo n’ezikirira.’—2 Peetero 2:5; 3:5-7.

10 Naye Nuuwa n’ab’omu maka ge baawona. Lwaki? Okusooka, tebeetaba wamu na “nsi ey’abatatya Katonda” mu butali butuukirivu bwabwe. Tebeemalira nnyo ku bintu ebya bulijjo mu bulamu, okulya, okunywa, n’okufumbiriganwa, okuba nti tebafaayo ku Katonda by’ayagala oba okuziba amatu eri okulabula kwe. Nuuwa ‘yatambula ne Katonda’ mu butuukirivu. Kino tekitegeeza nti ye n’ab’omu maka ge beewala bwewazi okukola obubi. Wabula, baafaayo okukola ekituufu. Bakkiririza ddala Katonda bye yali ayogedde, era ne bakiraga nga bazimba eryato eddene erya kalinaasatu eryali lisukka ffuuti 400 obuwanvu. Nuuwa era yeesowolayo mu kubeera “omubuulizi ow’obutuukirivu,” ng’abuulira abalala ku bigendererwa bya Katonda, ng’alangirira ekkubo ery’obutuukirivu.—Oluberyeberye 6:9, 13-16; Matayo 24:37-39; Abaebbulaniya 11:7.

11. Nga bwe kiragibwa ebyokulabirako bino ebirabula, kiki kye tuteekwa okukola bwe tuba ab’okuwona okuzikirizibwa kw’ensi okugenda okujja?

11 Abantu bano omunaana baawona olw’okukkiriza kwabwe n’ebikolwa byabwe ebisibuka mu kukkiriza. Yesu n’abatume be baayogera ku kuzikirizibwa kw’ensi okwo ng’okw’obunnabbi ku ekyo ekyolekedde abantu mu ‘kiseera kino eky’enkomerero,’ Bwe kityo kitegeerekekera ddala bulungi nti naffe tuteekwa okweyawula ku nsi eyolekedde okuzikirizibwa, nga Nuuwa n’ab’omu maka ge bwe baakola. Naffe tuteekwa okubeera nga tutuukagana ne Katonda by’ayagala. Tetusobola kukulemberwa mitindo egyaffe ku bwaffe gyokka ne tusuubira okuwona. Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Waliwo ekkubo omuntu ly’ayita eddungi, naye enkomerero yaalyo makubo ga kufa.” (Engero 16:25) Wadde okwefaananya obwefaananya ng’abatuukirivu tekujja kuvaamu kuwonyezebwa. Kubanga Yakuwa Katonda alaba ekiri mu mutima.—Engero 24:12; Lukka 16:15.

Yakuwa ky’Anoonya mu Mitima gy’Abantu

12, 13. (a) Mbeera ki ezireetera abantu bangi okwagala enkyukakyuka? (b) Lwaki kino tekimala okubakakasa okuwonawo okuyingira mu Nteekateeka ya Katonda Empya? (c) Okubeera mu abo abanaawona, kiki ekiteekwa okutuleetera okunakuwalira embeera embi eziriwo?

12 Bangi tebasanyukira mbeera eziriwo, era bakiraga mu kwemulugunya, mu kwekalakaasa, era mu nsi ezimu mu kujeema n’eryanyi. Bangi banyiigira emisolo egiyitiridde n’embeera y’eby’enfuna mu bulamu okweyongera okuzibuwala. Banakuwalira akabi k’obumenyi bw’amateeka. Okutya kubaleetera okwagala enkyukakyuka. Naye, kino kimala okubakakasa okuwonawo okuyingira mu Nteekateeka Empya eya Katonda? Nedda, tekimala. Lwaki nedda?

13 Kubanga omuntu ayinza okunakuwalira embeera zino naye era n’abeera nga yeerowoozaako yekka. Ayinza n’okusanyukira obukuusa obw’engeri ezimu era n’obugwenyufu—kasita kiba nti ye tekimukosa. Kyokka nno, abantu ab’emitima emyesigwa ebintu babiraba mu ngeri ndala. Bwe basoma Baibuli balaba nti embeera embi bwe bujulizi obulabika obulaga endwadde yennyini ey’ensi. Bakitegeera nti ekiri emabega w’obubonero buno bwe butafaayo kumanya na kukola Yakuwa by’ayagala era n’okugoberera emitindo gye egy’obutuukirivu mu bulamu bwabwe. N’olwekyo, ekisinga okubanakuwaza si bwe butali bwekanya mu bantu, obumenyi bw’amateeka, okwonoonebwa kw’embeera, oba entiisa y’olutalo. Wabula, abantu ab’emitima emyesigwa ng’abo okusingira ddala banakuwazibwa olw’okulaba erinnya lya Katonda nga liweebuulwa olw’enneeyisa y’abantu embi. Era banakuwala olw’okuba nti abalala, si bo bokka, babonaabona nnyo olw’ekyo.

14. Baani ‘abaateekebwako akabonero’ ak’okuwonawo mu kiseera eky’okuzikirizibwa kwa Yerusaalemi Abababulooni?

14 Okuwona okuzikirizibwa okugenda okujja, tuteekwa okuba ng’abo abaawonyezebwa Babulooni bwe kyazikiriza Yerusaalemi mu 607 B.C.E., abantu abaayogerwako nga “abassa ebikkowe era abakaabira emizizo gyonna” egyali gikolerwa mu kibuga ekyo. (Ezeekyeri 9:4) Embeera zaali za ‘muzizo’ mu ngeri nnyingi. Ng’ekyokulabirako, abaavu baali banyigirizibwa, abamu nga bakuumirwa ne mu buddu mu ngeri emenya amateeka abantu ab’omu nsi yaabwe bennyini. (Yeremiya 34:13-16) Embeera mu by’empisa ey’obwakabaka bwa Yuda yali efuuse mbi nnyo n’okusinga eyo ey’obwakabaka obw’omu mambuka obwa Isiraeri, emabegako obwali bwogeddwako nnabbi Koseya nti: “Tewali kintu wabula okulayira n’okumenya endagaano n’okutta n’okubba . . . n’omusaayi gukoma ku musaayi.” (Koseya 4:2; Ezeekyeri 16:2, 51) Abo bokka abanakuwala mu mitima gyabwe olw’obutali butuukirivu ng’obwo era n’olw’obutassaamu Katonda kitiibwa kye kwalaga be ‘baateekebwako akabonero’ ak’okuwonyezebwa.—Ezeekyeri 9:3-6.

15. Kiki ekirobera abantu abamu okukola enkyukakyuka ezeetaagibwa okuwona okuzikirizibwa kw’ensi okugenda okujja?

15 Newakubadde abantu bangi ennaku zino bandyagadde okunyumirwa obulamu ku nsi emirembe gyonna mu mirembe, mu kweyagala era nga balina byonna, tebaagala kukola nkyukakyuka mu bulamu bwabwe ezo okuyiga era n’okugoberera emitindo gya Baibuli egy’enneeyisa entuufu ze kwandireese. Munda waabwe, ddala tebalina kwagala kwa bya butuukirivu oba okufaayo okw’amazima eri bantu bannaabwe. Okuva Enteekateeka Empya eya Katonda bw’ejja okuleetawo ekibiina ekiggya ‘obutuukirivu mwe bunaatuula,’ amawulire amalungi gasikiriza abo bokka abaagala obutuukirivu. Abalala bawulira nti gabasalira omusango.—2 Peetero 3:13; 2 Abakkolinso 2:14-17.

Ky’Osobola Okukola Kaakano

16-18. (a) Omuntu afuuka atya ‘ateekeddwako akabonero’ ak’okuwonawo? (b) Kiki ky’ateekwa okukola, ku bikwata ku kusinza okw’obulimba, ate ku bikwata ku kusinza okw’amazima? (c) Entegeka ez’eby’obufuzi ng’ekibiima ky’Amawanga Amagatte ateekwa kuziraba atya?

16 Yakuwa ajja kulokola abo bokka mu bwesimbu abaagala okubeera wansi w’obufuzi bwe obutuukirivu. Talina b’ajja kuwaliriza kubeera olwo mu mbeera bo ze bataagala. N’olwekyo, abo abanaawonyezebwa balina okulagira ddala mu mazima nga bwe bakkiriza obufuzi bwa Katonda kaakano. Bafuuka ‘abateekeddwako akabonero’ ak’okuwonawo olw’okwambala “omuntu omuggya” ow’Ekikristaayo, nga batuukanya obulamu bwabwe n’amakubo ga Katonda era nga balaga obujulizi nti bayigirizwa b’Omwana wa Katonda. Mu ngeri eyo ‘balondawo obulamu’ n’emikisa, sso ssi okufa. (Abakkolosaayi 3:5-10; Ekyamateeka 30:15, 16, 19) Onoolondawo ki?

17 Okulondawo kwo kutwaliramu okwewaayo eri Katonda mu kusinza. Yesu yagamba nti: “Ekiseera kijja, era kituuse, abasinza amazima lwe banaasinzanga Kitaffe mu mwoyo n’amazima: kubanga Kitaffe anoonya abali ng’abo okubeera ab’okumusinzanga.” (Yokaana 4:23) N’olwekyo okuwonawo ku kuzikirizibwa kw’ensi okugenda okujja kyetaaga omuntu ave mu kusinza kwonna okw’obulimba era yeetabe mu kusinza okw’amazima. Era, abanaawonawo tebajja kusangibwa mu abo abatadde obwesige bwabwe mu kibiina ky’Amawanga Amagatte oba mu ntegeka endala ez’eby’obufuzi, okuva zino bwe ziri ekitundu ky’ensi ejja okuzikirizibwa.—Okubikkulirwa 17:11; 18:17-21.

18 Emikisa egitaggwaawo girindiridde abo abakwata ekkubo erituuka mu kuwonyezebwa. Weekenneenye kaakano ebimu ku bintu eby’ekitalo Katonda by’asuubiza eri abo abateeka okukkiriza mu Kigambo kye era ne bakakasa okukkiriza okwo n’ebikolwa.

[Ebibuuzo]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 87]

“Ekibiina ekinene” kijja kuwona ku kuzikirizibwa kw’ensi okubeera ku nsi mu Nteekateeka ya Katonda Empya