Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Eddiini z’Ensi Ziwa Obukulembeze Obutuufu?

Eddiini z’Ensi Ziwa Obukulembeze Obutuufu?

Essuula 3

Eddiini z’Ensi Ziwa Obukulembeze Obutuufu?

1. Bibuuzo ki ebikulu ebikwata ku ddiini z’ensi ebibuuzibwa wano?

“EDDIINI ebadde ekimu ku bintu eby’obuyinza ebisingiridde okuba eby’amaanyi mu byafaayo,”28 bwe kityo bwe kyategeeza ekitabo The World Book Encyclopedia. Naye eddiini z’ensi zibadde za buyinza obw’amazima mu kuwagira emirembe n’obutebenkevu? Ziyigirizza abagoberezi baazo nti okwagala kw’ab’oluganda kusaanidde okubuuka ensalo z’amawanga n’enjawukana olwa langi? Era amakanisa ga Kristendomu, ag’Ekikatuliki, Ekiprotestanti, n’Ekisodokisi, gabadde ga mazima mu kwegamba nti gagoberera Yesu Kristo nga “Omulangira w’Emirembe”? Oba mu butuufu gongedde bwongezi ku bukyayiganyi obutadde mu kabi ebiseera by’omuntu eby’omu maaso? Okutunuulira ebibaddewo kujja kuwa eky’okuddamu ekyewuunyisa.

2. Ensibuko ez’enjawulo zitubuulira ki ku by’omu byafaayo?

2 Ku nsonga eno, Parade Magazine kaagamba nti: “Ebyafaayo biyigiriza eky’okuyiga eri abo abaagala okuyiga. Ekimu ku by’okuyiga ebisinga obukulu kiri nti obukuubagano obubaawo olw’enjawulo z’eddiini n’ebibiina emirundi egisinga bwe busingiridde okuba obukambwe, obutazikira mangu era obuzibu okumalawo.”29 Era nga Chicago Tribune bwe kaategeeza nti: “Buli ddiini enkulu ebuulira mirembe na bwa luganda era n’okusaasira, kyokka ebimu ku bikolwa ebisingiridde okuba eby’obukambwe era ebinyigiriza bikoleddwa mu linnya lya Katonda.”30 Ng’alowoozezza ku bibaddewo mu byafaayo ng’ebyo, omukuŋŋaanya w’amawulire C. L. Sulzberger abuuza butuufu nti: “Wadde nga kino kiyinza okubaako okuwakana kungi, tekisaanidde kitegeerwe nti okugatta ku bintu ebirala—obunyuunyunsi, obusosoze mu langi, okulwanagana—eddiini efuukidde ddala eky’akabi akanene eri obulamu bw’omuntu?”31

3. Kikolwa ki eky’eddiini ekikwasa ensonyi ebyafaayo by’ekyasa kino eky’amakumi abiri kye biraga?

3 Yee, ebyafaayo bijjudde omusaayi gw’entalo eziwagiddwa eddiini. Mu kyasa kyaffe mwokka, mu biseera bya ssematalo ebbiri n’okweyongerayo, tulabye ekikolwa ekikwasa ensonyi ekya bannaddiini okuttiŋŋana—Omukatuliki ng’atta Omukatuliki, Omuprotestanti ng’atta Omuprotestanti, Omuyisiraamu ng’atta Omuyisiraamu, era n’abalala. Era abakadde b’ekkanisa ku njuuyi ezirwanagana, newakubadde nga ba ddiini y’emu, baawa omukisa abalwanyi oluvannyuma abaali bagenda okutta baganda baabwe mu ddiini.

4. (a) Lwaki amakanisa ga Kristendomu ge gasinga okunenyezebwa? (b) Ekitundu ky’omukuŋŋaanya ekimu kyogera ki ku ntalo?

4 Mu abo abasinga okunenyezebwa ennyo mu nsonga eno ge makanisa ga Kristendomu. Lwaki? Kubanga beegamba okuba nga bakiikirira Katonda wa Baibuli era n’Omwana we Yesu Kristo, eyagamba nti: “Bonna kwe banaategeereranga nga muli bayigirizwa bange, bwe munaabanga n’okwagalana mwekka na mwekka.” (Yokaana 13:35) Kyokka obussi obusingira ddala bwonna bubadde wakati wennyini mu Kristendomu. Ng’ekitundu ky’omukuŋŋaanya mu Waterloo Courier aka Iowa bwe kyategeeza nti: “Era Abakristaayo tebeesisiwalanga kya kulwanagananga n’Abakristaayo abalala. Singa kyali kibeesisiwazza, entalo ezisinga obungi ku ezo ezaali ez’amaanyi ennyo mu Bulaaya tezandibaddewo. . . . Ssematalo I ne II, ezaalimu emiwendo egyasinga obunene egya Abakristaayo okutta Abakristaayo, tezandibaddewo.”32

5. (a) Baibuli etegeeza ki mu lwatu abo abaweereza Katonda mu mazima? (b) Kibuuzo ki ab’ekkanisa kye bateekwa okwolekera ku bikwata ku kkanisa yaabwe yennyini?

5 Ku nsonga eno, Baibuli etegeerekeka bulungi: Abo abaweereza Katonda mu mazima bagambibwa ‘okunoonya emirembe bagigoberere,’ ‘okuweesa ebitala byabwe okubifuula enkumbi,’ era ‘obutayiga kulwana nate.’ (1 Peetero 3:11; Isaaya 2:2-4) “[Tusaanidde] okwagalananga: si nga Kayini bwe yali ow’omubi [Setaani Omulyolyomi] n’atta muganda we.” (1 Yokaana 3:10-12) Naye abagoberezi b’eddiini z’ensi beeyongera okutta baganda baabwe, nga Kayini bwe yakola, era abakadde b’ekkanisa zaabwe bawagidde abo abakutte ekkubo eryo. Bwe kityo, obanga olina eddiini gy’olimu, weebuuze: ‘Singa buli muntu ku nsi yali wa ddiini yange, entalo zandikomye era ensi eno kaakano yandibadde ekifo eky’emirembe egy’amazima?’

6. Embeera ey’okweyawulayawula n’okulwanagana ey’eddiini z’ensi ekakasa ki?

6 Embeera ey’okweyawulayawula n’okulwanagana ey’eddiini z’ensi ekakasa nti Katonda tali mabega waazo. Kino kiyinza okwewuunyisa abo abalowooza nti eddiini zonna ziteekwa okuba ennungi olw’okuba zeegamba nti zikiikirira Katonda. Kyokka Baibuli ekiraga bulungi nti “Katonda si wa kuyoogaana, naye wa mirembe.” (1 Abakkolinso 14:33) Era eraga nti waliwo eddiini ey’amazima n’eddiini ez’obulimba. Era etegeeza nti okusinza okwesigamye ku mazima, okutaliimu bunnanfuusi, kwe kwokka okusiimibwa Katonda.—Matayo 15:7-9; Yokaana 4:23, 24; Tito 1:16.

7. (a) Baibuli ekozesa kigambo ki okutegeeza eddiini z’ensi? (b) Musango ki oguzivunaanwa?

7 Olw’okuba eddiini z’ensi, mu butuufu, ziyenze olw’emiganyulo gy’eby’obufuzi, eby’obusuubuzi, n’okukkirizibwa abantu, Baibuli ezifaananyiriza nga omwenzi. Ng’ennyonnyola “omwenzi” ono, egamba nti: “Omusaayi gwa . . . bonna abattibwa ku nsi gwalabika mu ye.” (Okubikkulirwa 17:1-6; 18:24) Yee, eddiini z’ensi eno zivunaanyizibwa omusaayi mungi mu bikwata ku kuttibwa kwonna okubaddewo mu byafaayo by’ensi! Zijja kusalirwa omusango olwa kino.

8. Ebigambo bya Yesu ebyogera ku “basaale abatalaba” bitegeerwa bitya ennaku zino?

8 Kya lwatu, eddiini yonna erina ebikolwa ebitatuukagana na Baibuli tesobola kukulembera bantu kubatuusa ku mirembe n’obutebenkevu eby’amazima. Yesu kyeyava agamba abakulembeze b’eddiini ez’obulimba ab’omu kiseera kye nti: “Be basaale abatalaba. Naye omuzibe w’amaaso bw’akulembera muzibe munne, bombi baligwa mu bunnya.” (Matayo 15:14) Mu ngeri y’emu, eddiini z’ensi ennaku zino be “basaale abatalaba” mu bigambo by’entalo era ne mu nsonga endala enkulu ez’obulamu.

Eddiini z’Ensi Ziwagira Empisa Ennungi?

9, 10. (a) Lwaki okukuuma emitindo egy’amazima egy’empisa kikulu mu kuba n’emirembe n’obutebenkevu? (b) Nga bwe kiyigirizibwa mu Baibuli, kiki ekisobozesa empisa ennungi ng’ezo?

9 Omuntu yenna ayinza okuba n’emirembe ne baliraanwa be oba n’obutebenkevu obw’amazima singa emitindo gy’empisa ennungi tegikuumibwa? Awatali mitindo ng’egyo, okulimba, obubbi, obwenzi n’ebikolwa ebiri ng’ebyo bye bibaawo. Ku luuyi olulala, okwagala okw’amazima eri muliraanwa kwandikubirizza empisa ennungi.

10 Baibuli etegeeza engeri Katonda gy’alabamu empisa ennungi mu ngeri eno: “Ayagala muntu munne, ng’atuukirizza amateeka. Kubanga kino nti Toyendanga, tottanga, tobbanga, teweegombanga, n’etteeka eddala lyonna, ligattiddwa mu kino, nti Yagalanga muntu munno nga bwe weeyagala wekka. Okwagala tekukola bubi muntu munne.”—Abaruumi 13:8-10.

11, 12. (a) Omuntu atakuuma mitindo gya mpisa nnungi ayinza okusuubira okuba n’emirembe ne Katonda? (b) Ani asaanidde okussaawo emitindo egyo?

11 Kyokka, ekisinga kino obukulu, okkiriza nti omuntu ayinza okuba n’emirembe ne Katonda, nga mukakafu okufuna okusiimibwa Kwe n’obukuumi, singa aba tagoberera mitindo gya Katonda egy’empisa? Wandisobodde n’okussa ekitiibwa mu Katonda ateetaaga mitindo gya mpisa ng’egyo okuva ku abo abeegamba okuba nga bamuweereza?

12 Katonda okwetaaga okunywerera ku mitindo gye, yandibadde alina okutegeeza mu lwatu emitindo egyo bwe giri. Ekyo akikoze mu Kigambo kye, Baibuli. (2 Timoseewo 3:16, 17) Okugamba nti buli muntu asaanidde okweteekerawo emitindo gy’empisa egigye ku bubwe era agoberere egyo kyandibadde ng’okugamba nti buli muntu asaanidde okweteekerawo amateeka agafuga ebidduka agage ku bubwe era agoberere ago. Omanyi ekyandivuddemu. Mu mazima, Baibuli eraga nti waliwo ekkubo limu lyokka erireeta okusiimibwa kwa Katonda. Nga Yesu bwe yagamba, amakubo amalala gonna gatwala butwazi mu kuzikirira.—Matayo 7:13, 14; Lukka 13:24.

13-15. (a) Bibuuzo ki ebikwata ku mpisa ebyetaaga okubuuzibwa ku bikwata ku bantu ab’omu kkanisa y’omuntu? (b) Baibuli egamba ki ekisaanidde okukolebwa ow’omu kibiina agugubira mu kumenya amateeka ga Katonda? (c) Kino kikolebwa mu makanisa?

13 Amakanisa ga Kristendomu, naddala, gawagira emitindo gya Katonda egy’empisa ennungi era bwe kityo gasseewo ekyokulabirako eri abalala mu nsi? Obulamu bw’abantu bangi abali mu makanisa ago bulaga ki? Olina ekkanisa gy’olimu? Kale weebuuze: ‘Singa buli muntu ku nsi yeeyisa ng’abantu b’omu ddiini yange, ekyo kyandimazewo obumenyi bw’amateeka, ebikolwa eby’obukumpanya mu mirimu, ennyombo, n’obukaba?

14 Baibuli erabula nti “ekizimbulukusa ekitono kizimbulukusa ekitole kyonna” era nti “emikwano emibi gyonoona empisa ennungi.” (Abaggalatiya 5:9; 1 Abakkolinso 15:33, NW) Era kyeva eragira Abakristaayo “obuteegattanga naye, omuntu yenna ayitibwa ow’oluganda bw’aba nga mwenzi, oba mwegombi, oba asinza ebifaananyi, oba muvumi, oba mutamiivu, oba munyazi; ali bw’atyo n’okulya temulyanga naye. . . . Omubi oyo mumuggye mu mmwe.”—1 Abakkolinso 5:11-13.

15 Kya mazima, omuntu ayinza okugwa mu nsobi era ate n’atereera. Naye ate abo abeemanyiiza okukola ebintu ng’ebyo? Abantu bano bwe baba beegamba okuba nti baweereza Katonda, baba bannanfuusi. Awatali kubuusabuusa okyayira ddala obunnanfuusi, era ne Baibuli eraga nti ne Katonda abukyawa era n’abo ababutambuliramu. (Matayo 23:27, 28; Abaruumi 12:9) Naye ate kiri kitya ku ddiini yo? Egoberera ekiragiro kya Baibuli ‘okuggyamu’ abo abagugubira mu kumenya amateeka ga Katonda era abatalaga kwenenya kwa mazima? Oba ereka abali ng’abo okusigala nga bakyakkirizibwa ng’abalongoofu, bw’etyo n’eteeka abalala mu kabi? Eyogera bwogezi ku mpisa nnungi ate nga mu butuufu ezibira amaaso obubi, oba n’obutakitwala nga kibi?—Matayo 15:7, 8.

16. (a) Abakadde b’ekkanisa bangi kaakano boogera ki ku ky’okwetaba awamu? (b) Baibuli egamba ki ku mpisa ng’ezo?

16 Abakadde b’ekkanisa bagenda beeyongera obungi abagamba nti obukaba, obwenzi n’okulya ebisiyaga si bikyamu ku bwabyo. Naye tebakkiriziganya na ndowooza ya Katonda. Ekigambo Kye kitegeeza lwatu nti: “Temulimbibwanga: newakubadde abakaba, newakubadde abasinza ebifaananyi, newakubadde abenzi, newakubadde abafuuka abakazi, newakubadde abalya ebisiyaga, newakubadde ababbi, newakubadde abeegombi, newakubadde abatamiivu, newakubadde abavumi, newakubadde abanyazi, tebalisikira bwakabaka bwa Katonda.”—1 Abakkolinso 6:9, 10.

Ebivudde mu Kwesamba Ekigambo kya Katonda

17-19. (a) Omutume Pawulo Baibuli yagitwalanga atya? (b) Abakadde b’ekkanisa bangi ennaku zino Baibuli bagitwala batya?

17 Ensonga ereetedde eddiini z’ensi okuba mu mbeera ey’okweyawulayawula, era ey’omuvuyo eri nti basudde muguluka amateeka ga Katonda agasangibwa mu Kigambo kye, Baibuli. Mazima ddala, abakadde b’ekkanisa bangi bagaana Baibuli okuba nti kye Kigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa. Kyokka, omutume Pawulo eyaluŋŋamizibwa yategeeza nti: “Buli ekyawandiikibwa kirina okuluŋŋamya kwa Katonda.” (2 Timoseewo 3:16) Pawulo era yatukubiriza okukkiriza Baibuli si “nga kigambo kya bantu, naye nga bwe kiri amazima, ekigambo kya Katonda.” (1 Abasessalonika 2:13) Ddala ddala Yakuwa Katonda, Omutonzi Ayinza byonna ow’obutonde bwonna obw’ekitalo, yandisobodde okuwandiisa ekitabo era n’okulaba nti kikuumibwa mu bulongoofu bwakyo ebyasa n’ebyasa by’emyaka!

18 Kyokka nno, New Catholic Encyclopedia kigamba nti: “Ebiwandiiko bingi eby’omu Baibuli si bya mazima bw’oba obipimidde ku kutegeera okw’ennaku zino okwa sayansi n’ebyafaayo.”39 Ng’awandiika mu katabo U.S. Catholic, omusasseroddooti yategeeza nti okutondebwa kw’ensi tekuyinza kuba nga kwaliwo mu ngeri gye kunnyonnyolwa mu Lubereberye. Era ku ebyo ebikirimu ebikwata ku kutondebwa kw’omuntu, yategeeza nti: “Olulyo lw’abantu terwatandika mu ngeri eno.”40 Omulabirizi omu yagamba nti: “Baibuli erimu ensobi, ebitali bituufu n’ebikontana. Kale kitegeerekeka lwaki amakanisa amakulu ag’Ekikristaayo tegatwala Baibuli ng’ekitabo ekitalabikamu nsobi.”41 Mu Bungereza, omukadde w’ekkanisa yayogera ku kuzuukizibwa kwa Kristo nga “akakodyo ak’okufuusafuusa amagumba.”42

19 Bwe kityo, abakadde b’ekkanisa bangi bafeebya Baibuli oba tebayigiriza bagoberezi baabwe kugissaamu kitiibwa na kugoberera amateeka ga Katonda agagirimu. Eyo nsonga nkulu evuddeko obutamanya Kigambo kya Katonda obw’amaanyi obuli mu Kristendomu. Eyeekenneenya eby’eddiini M. J. McManus yawandiika bw’ati ku abo abagenda mu makanisa: “Ebintu bitono mu ddiini ebirabika nti bisekeeterera eddiini entegeke eziriwo mu myaka gya 80 ng’embeera eyeeraliikiriza ey’okumanya Baibuli.” Yagamba nti “Baibuli kiwandiiko ekisigadde nga tekisomebwa era ekigenyi” eri abasinga obungi ku bantu abagenda mu kkanisa.43

20, 21. Biki ebivudde mu kugaana enjigiriza za Baibuli?

20 Biki ebivudde mu bino byonna? Eddiini z’ensi zisobodde okulaga nti ziyinza okufeebya enjigiriza za Baibuli ne zisobola okuleetawo emirembe oba empisa ennungi mu abo abazigoberera? Si bwe kibadde, embeera zeeyongera kwonooneka mu nsi yonna. Amawanga ag’eddiini ezitali za Kikristaayo geeyongedde okubaamu obutabanguko, okweyawulamu, obukumpanya mu by’obufuzi, n’empisa okuddirira. Naye Kristendomu okusingira ddala kye kisinze okubaamu obumenyi bw’amateeka, obugwenyufu, okwekamirira amalagala, obukuubagano olwa langi, n’entalo. Kituukiridde ddala ng’Ekigambo kya Katonda ekyesigika bwe kyalagula: “Bagaanyi ekigambo kya [Yakuwa, NW]; magezi ki agali mu bo?”—Yeremiya 8:9.

21 Obujulizi bwa lwatu. Bulaga nti eddiini z’ensi eno si za buyinza obw’amazima obuwagira emirembe n’obutebenkevu. Era zirese abagoberezi baazo mu butamanya ku bikwata ku ssuubi ery’amazima—Obwakabaka bwa Katonda. Kale nno, bino byonna bitegeeza ki?

Enkomerero y’Eddiini z’Ensi Esembedde

22, 23. Kiki Baibuli ky’egamba ekijja okutuuka ku ddiini ez’obulimba ez’ensi eno?

22 Yesu Kristo yategeeza nti: “Buli kisimbe Kitange ow’omu ggulu ky’ataasimba, kirisimbulibwa.” (Matayo 15:13) Ebibala ebibi eddiini z’ensi eno bye zibala bikakasa nti tezaasimbibwawo Katonda. Bwe kityo, Baibuli etegeeza ku kuzikirizibwa okujja okw’ensinza zonna ez’obulimba.

23 Ng’ayogera ku ntegeka z’eddiini zino mu kifaananyi ky’omwenzi “Babulooni Ekinene,” Katonda agamba bino ku bikwata ku bwakabaka obw’ensi yonna obw’eddiini ez’obulimba: “Ebibi bye bituuse mu ggulu, era Katonda ajjukidde ebyonoono bye . . . kyebiriva bijja mu lunaku olumu ebibonyoobonyo bye, okufa, n’ennaku, n’enjala; era alyokerwa ddala omuliro; kubanga [Yakuwa, NW] Katonda wa maanyi eyamusalira omusango.”—Okubikkulirwa 18:2, 5-8.

24. Okuzikirizibwa okwo kunajja kutya, era kuva ku nsibuko ki?

24 Weetegereze nti okuzikirizibwa kuno kwa kujja mu ngeri ey’amangu eyeewuunyisa, nga “mu lunaku olumu.” Ekijja okwewuunyisa era n’okutiisa abantu bangi, eddiini ez’obulimba zijja kwonoonebwa, kuzikirizibwa, amawanga ag’eby’obufuzi ago gennyini g’abadde ayenda nago okumala ebbanga eddene.—Okubikkulirwa 18:10-17, 21; 17:12, 16.

25. (a) Mu Kubikkulirwa 18:4, abantu abaagala okusiimibwa kwa Katonda bakubirizibwa kukola ki? (b) Kiki ekisaanidde okusitula omuntu okukola ekyo?

25 N’olwekyo okukoowoola kwa Katonda kwe kuno nti: “Mukifulumenu, abantu bange, muleme okussa ekimu n’ebibi bye era muleme okuweebwa ku bibonyoobonyo bye.” (Okubikkulirwa 18:4) Okukola bw’atyo kiba kitegeeza nti omuntu alaba eddiini ez’obulimba nga Katonda bw’aziraba. Kitegeeza nti omuntu azikyaye olw’ebibala byazo ebivundu, obunnanfuusi bwazo, era n’obulombolombo bwazo. Okutamwa kwandiwuliddwa olw’engeri embi eddiini ez’obulimba gye zikiikiriddemu Katonda mu maaso g’abantu era n’olw’engeri gye zongedde ku kubonaabona n’okunyigirizibwa kw’abantu. (Abaruumi 2:24; Yeremiya 23:21, 22) Singa otegeera kino, ojja kuggyayo obuwagizi bwonna eri eddiini ng’ezo, bw’otyo olage obuwagizi bwo obujjuvu eri omusango Katonda gw’azisalidde.

26. (a) Okugatta ku ekyo, omuntu ateekwa kuzuula ki bw’aba ow’okufuna emirembe gya Katonda n’obukuumi? (b) Bantu ba ngeri ki omuntu b’asaanidde okunoonya bw’aba anoonya abo abali mu kusinza okw’amazima?

26 Kyokka, tekimala okuvaayo obuvi. Oteekwa okunoonya era n’okuzuula okusinza okw’amazima, okutaliimu bukuusa okunaakuleetera emirembe gya Katonda n’obukuumi bwe okuzikirizibwa okwalagulibwa bwe kunajja. Abo abeetaba mu kusinza okw’amazima ng’okwo bateekwa okuba abantu abamaze ‘okuweesa ebitala byabwe okubifuula enkumbi, obutayiga kulwana nate.’ (Isaaya 2:4) Bateekwa okuba abantu abakkiriza Ekigambo kya Katonda ne bakikolerako, ne bakikkiriza okuba amaanyi agaluŋŋamya obulamu bwabwe. (Zabbuli 119:105) Bateekwa okulaga okwagala okw’amazima, okutaliimu bukuusa eri bantu bannaabwe. (Yokaana 13:35; Abaruumi 13:8) Waliwo okusinza okw’engeri eyo ennaku zino? Abantu bukadde na bukadde bakusanze mu Bajulirwa ba Yakuwa. Bamanyiddwa okwetooloola ensi yonna olw’okunywerera ku mateeka ga Katonda agasangibwa mu Baibuli. Era emirembe n’obutebenkevu bye banyumirwa wadde kaakano bikakasa obutuufu n’amaanyi g’Ekigambo kya Katonda.

27. Kiki ky’onoosobola okwerabirako ku bubwo ng’ogenda mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa mu Kingdom Hall yaabwe?

27 Abajulirwa ba Yakuwa balumwa nnyo olw’embeera ey’akabi eddiini ez’obulimba gye zitaddemu abantu. Bafubira ddala okuwa Ekigambo kya Katonda ekifo ekisooka mu bulamu bwabwe. Oyanirizibwa okubaawo mu nkuŋŋaana zaabwe mu Kingdom Hall yaabwe eri mu kitundu kyo onoonyereze ku bubwo gye bakomya okulaga omwoyo gwa Katonda era n’okunyumirwa emirembe n’obutebenkevu ebikuvaamu. Era ojja kulaba engeri gye bayigamu era n’okussa mu nkola ebyo Katonda bye yeetaaga ku abo ab’okuwona okuzikirizibwa okugenda okujja babeere mu Mbeera ye Empya wansi w’obufuzi bw’Obwakabaka bwe obw’omu ggulu.

[Ebibuuzo]

[Akasanduuko akali ku lupapula 29]

Abakadde b’ekkanisa bagenda beeyongera obungi abakkiriza ebyo Baibuli by’evumirira ng’eby’obukaba, ng’emitwe gino n’ebitundu by’amawulire bino eby’okulabirako bwe biraga:

“Ekibi Bwe Kinaafuuka Ekirungi Abakadde b’Ekkanisa Bajja Kutubuulira.” “[Ekkanisa ya Bungereza] kaakano yeeyubulako ekifaananyi kyayo eky’edda. Okwetaba awamu ng’obufumbo tebunnaba, n’omuntu omu oba abasingawo, . . . okuva leero kijja kutwalibwanga ng’ekikkirizibwa.”—Alberta Report.33

“Abasumba Basirifu ku ky’Abatali Bafumbo Okwebaka Awamu.” “Abasumba b’omu Amereka basobezza okusirika okubuulira ku ky’abatali bafumbo okwebaka awamu . . . Batya nti bajja kufiirwa abamu ku ndiga zaabwe. Isaaya yali amanyi ku bakabona ng’abo. Mu Ssuula 1 ey’ekitabo kye, ajuliza Mukama nga bw’aboogerako nti, ‘Nnaabakwekanga amaaso gange; ne bwe munaasabanga essaala ennyingi, siiwulirenga; emikono gyammwe gijjudde omusaayi.’”—Telegraph, North Platte, Nebraska.34

“Obwenzi Butunuulirwa ng’Obutali Bubi Nnyo.” “Omubuulizi Omungereza . . . yakanga abantu bwe yateegeza endowooza y’Ekkanisa ekyuseeko ku Tteeka ery’Omusanvu. . . . ‘Endowooza yaffe kwe kuba abantu abalumirirwa sso ssi abasalira omusango,’ bw’atyo bwe yagamba.”—The Sunday Times, Perth, Australia.35

“Ab’enzikiriza y’Obumu Bakkiriza Obufumbo bw’Abali b’Ebisiyaga.”—The New York Times.36

“Akakiiko ak’obuvunaanyizibwa mu United Church eya Canada kawagidde okwawulibwa kw’abali b’ebisiyaga ng’abaweereza.”—The Toronto Star.37

“Mukkirize Obwamalaaya—Kye ky’Okukola Ekitukuvu.”—Ebigambo by’Omukuŋŋaanya ebyawandiikibwa kabona Omukatuliki mu Philadelphia Daily News.38

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 25]

Abakadde b’ekkanisa bamesse emikono gyabwe omusaayi nga bawagira bannaakyemalira