Emirembe n’Obutebenkevu eby’Amazima Biri Kumpi!
Esuula 1
Emirembe n’Obutebenkevu eby’Amazima Biri Kumpi!
1. Mbeera ki ezifuula emirembe n’obutebenkevu okuba ebyegombebwa ennyo?
AWATALI kubuusabuusa, ggwe, okufaananako abantu abasinga obungi, weegomba emirembe n’obutebenkevu. Buli wamu abantu benyiyiddwa obumenyi bw’amateeka, ettemu, entalo, n’entiisa y’akatyabaga k’ebya nnamuzisa. Era bangi tebalina mirimu gitegeerekeka, wa kusula walungi oba mmere emala. Nga kyandibadde kya ssanyu nnyo singa ebizibu ng’ebyo byandigonjooleddwa era ensi eno n’efuuka amaka agasanyusa era amatebenkevu ag’abo bonna abatuulamu!
2, 3. (a) Bwe kiba nti emirembe n’obutebenkevu biri kumpi, bibuuzo ki ebyetaaga okubuuzibwa? (b) Ekikolwa ekyakolebwa ekibiina ky’Amawanga Amagatte kifaanana kitya okuba nti kituukagana n’obwetaavu obw’emirembe n’obutebenkevu?
2 Ekyewuunyisa, waliwo ensonga ennywevu okukkiriza nti okuteewulizibwa okubadde kwettanirwa kuli kumpi ddala, nti emirembe n’obutebenkevu mu nsi yonna binaatera okubaawo! Naye ani anaaleetawo kino? Amawanga g’ensi eno ganassa ku bbali enjawukana zaago okusobola okukituukiriza?
3 Obunnabbi obumu obw’omu Baibuli obwewuunyisa bwategeeza nti ekiseera kya kujja abakulembeze b’ensi mu butuufu we balirangirira nti ‘mirembe na butebenkevu!’ * Mu butuufu, ekibiina ky’Amawanga Amagatte bwe kyalangirira 1986 okuba “Omwaka ogw’Emirembe mu Nsi Yonna” kyasaba ebibiina buli wamu okukola kaweefube ow’enjawulo okuva ku mwaka ogwo okweyongerayo okutwala mu maaso ekiruubirirwa ekya “emirembe, obutebenkevu obw’ensi yonna n’okukolera awamu.”1
4. Singa enteekateeka yonna ey’emirembe n’obutebenkevu eba ya kukuganyula, bizibu ki by’eteekwa okugonjoola?
4 Naye kino kiyinza okuba ‘emirembe n’obutebenkevu’ eby’amazima? Kya kutuuka mu kifo w’obeera ne mu maka go era ne kikola ku bizibu ebikukwatako ggwe? Kya kugonjoola ebizibu eby’obumenyi bw’amateeka obweyongera n’okwekamirira amalagala, emiwendo gy’emmere okulinnya, emisolo emikakali, okwonoonebwa kw’embeera okweyongera, n’amaka okweyongera okusasika? Bwe kiba ng’ezimu ku mbeera ng’ezo zikyaliwo, tezikukkirizisa kubeera mu mirembe na butebenkevu.
5, 6. Okusinziira ku by’olabye mu bulamu, okkiriza nti abantu bagenda kugonjoola ebizibu ebyo?
5 Kya mazima, abantu basuubira nti bayinza okuvvuunuka ebizibu bino. Bagamba nti, nga bawewuddwako omugugu ogw’amaanyi ogw’ensimbi ezigenda mu ntalo, bandisobodde okuzza obugagga obwo bwonna, okunoonyereza, n’amaanyi gonna mu kugonjoola ebizibu ng’ebyo.
6 Ddala ggwe ekyo okikkiriza? Waliwo obujulizi bwonna obunywevu obuyinza okulaga nti abantu basobola okubimalirawo ddala? Ebyafaayo biraga ki? Ddala, ebyo by’olabyeko mu bulamu bwo ggwe kennyini bikutegeeza ki?
7, 8. (a) Wa awalala we tuyinza okunoonya eky’okuddamu? (b) Baibuli kitabo kimanyise kutuuka wa?
7 ‘Naye obanga abantu tebasobola, kiki ekisigadde?’ oyinza okubuuza bw’otyo. Naye, waliwo obujulizi obw’amaanyi ddala obulaga nti ensi n’ebiramu byonna ebigiriko byategekebwa n’amagezi. (Abaebbulaniya 3:4) Kiyinzika okuba nti Oyo eyategeka ebintu bino ayingira mu nsonga eno? Anaayingira mu nsonga z’abantu? Baibuli yokka y’ewa eby’okuddamu eri ebibuuzo bino.
8 Kale, bw’olowooza ku ebyo ebiriwo, tekyandikugwanidde
weekenneenye Baibuli ky’eyogera ku nsonga eno? Oyinza okuba ng’okimanyi nti kye kitabo ekisinze okukyusibwa era n’okubunyizibwa ennyo mu nsi. Mu bulamba bwayo oba ekitundu kyayo, bitabo bukadde na bukadde bibunyisiddwa mu nnimi ezisukka mu 1,800.2 Naye wali okimanyi nti ekitabo kino eky’edda kyogera ku nsonga ezitukwatirako ddala ennyo mu kyasa kino eky’amakumi abiri?9, 10. (a) Baibuli eyogera ki ku biseera eby’omu maaso, era ne ku gavumenti z’abantu? (b) Obwakabaka bwa Katonda kye ki, era bunaggya ddi obuyinza ku gavumenti eziriwo zonna ennaku zino?
9 Bangi bakimanyi nti Baibuli etegeeza ku ‘nkomerero y’ensi.’ Naye batono abamanyi ky’eyogera ku bikwata ku ddi lw’enejja, oba obulamu ku nsi bwe buliba bufaanana oluvannyuma. (Matayo 24:21, 22; 2 Peetero 3:11-13) Bayinza n’okuba nga basaba Essaala ya Mukama waffe, mwe basabira ‘obwakabaka bwa Katonda bujje.’ (Matayo 6:9, 10) Naye batono abakitegeera nti Obwakabaka bwa Katonda gavumenti yennyini ejja okudda mu kifo ky’enteekateeka z’eby’obufuzi eziriwo zonna. Nga nnabbi Danyeri bwe yategeeza: “Mu mirembe gya bakabaka abo, Katonda ow’eggulu alissaawo obwakabaka, obutalizikirizibwa emirembe gyonna . . . bulimenyaamenya era bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna, era bunaabeereranga emirembe gyonna.”—Danyeri 2:44.
10 Era nno, obunnabbi bwa Baibuli obukwata ku ‘mirembe n’obutebenkevu’ bwe twakoonyeko emabega bulimu ebintu bino: “Bwe baliba nga boogera nti Mirembe, siwali kabi, okuzikiriza okw’amangu ne kulyoka kubajjira.” (1 Abasessalonika 5:3) Bwe kityo emirembe n’obutebenkevu abakulembeze b’abantu bye bajja okulangirira kya lwatu nga bijja kuba bya kaseera katono nnyo. Kuba obunnabbi bulaga nti amangwago ng’ekyo kyakabaawo obufuzi bw’abantu bwonna bujja kumenyaamenyebwa okuviirawo ddala, mu kifo kyabwo waddewo gavumenti emu ey’ensi yonna—Obwakabaka bwa Katonda.
11, 12. Njawulo ki ezimu eziriwo wakati w’ebyo Baibuli by’egamba Obwakabaka bwa Katonda bye bunaakola n’ebyo abakulembeze b’abantu bye bagezaako okukola?
Zabbuli 46:9; Isaaya 2:2-4) Ate obutebenkevu Katonda bw’asuubiza si kwe kuba nti tewakyali ntalo wakati w’amawanga kyokka. Kwe kuba nti tewakyali balabe ab’engeri zonna, kibe nti tewaliba muntu n’omu aliddamu okubeera mu kutya—misana oba kiro. (Mikka 4:3, 4) Era, abantu kaakano bafuba okuziyiza obumenyi bw’amateeka, naye Katonda ekigendererwa kye kwe kusangulirawo ddala wadde endowooza n’embeera ezireeta obumenyi bw’amateeka.—Zabbuli 37:8-11; Abaggalatiya 5:19-21.
11 Ate era, Baibuli eraga enjawulo nnyingi eziriwo wakati w’emirembe n’obutebenkevu Obwakabaka bwa Katonda bye bujja okuleeta era n’ebyo abakulembeze b’abantu bye basuubiza. Ennaku zino abantu boogerera mu kukendeeza bya kulwanyisa nga bayitira mu ndagaano. Baibuli, yo ku luuyi olulala, etegeeza nti mangu Katonda ajja kumalirawo ddala eby’okulwanyisa byonna era ajja kuggyawo ebivaako entalo. (12 Amawanga era genyumiririza mu kugenda mu maaso mu by’okunoonyereza okw’eby’eddagala era ne mu kweyongera okulabirira obulungi abalwadde ne bannamukadde. Naye Baibuli ennyonnyola nga gavumenti ya Katonda bw’eneereeta obulamu obutuukiridde era obw’olubeerera, n’okumalawo okukaddiwa n’okufa! (Okubikkulirwa 21:3, 4) Okugatta ku ebyo, wansi w’Obwakabaka bwa Katonda omulimu gw’omuntu ddala gujja kuba gwa makulu, nga guleeta okumatira kwennyini. Kuba oyinza otya okuba omusanyufu singa omulimu gwo teguwa maanyi oba singa tegukuleetera kumatira okw’amazima?—Isaaya 65:21-23; Abaruumi 8:19-21.
13. Bibuuzo ki ebyandibadde nti kya mugaso okubyekenneenya?
13 Biruwa by’okkiriza ebiyinza okuleetawo emirembe n’obutebenkevu ebijja okulongoosa buli kitundu ky’obulamu bwo—ebisuubizo by’abantu, oba ebisuubizo bya Katonda nga biteekebwa mu nkola ne gavumenti ye ey’Obwakabaka?
Mu kugendera awamu n’ebyo ensi mu kutwalira awamu by’esuubiza, ddala ozudde ky’oyagala mu bulamu? Kiba kitya singa weewaayo okutwalibwa ekyo ekiyinza okuba ekiganzi mu kiseera kino, naye ate n’okizuula nti obadde obuzaabuziddwa n’ebisuubizo ebikyamu, ne kikuleka nga tolina mirembe na butebenkevu eby’amazima? Ku luuyi olulala, osobola okuba omukakafu nti ebyo Baibuli by’esuubiza bikkirizikika, biteekeka mu nkola, era nti bisobola okubaawo? Ddala ddala, eby’okuddamu eri ebibuuzo ng’ebyo bigwana okwekenneenyezebwa n’obwegendereza.[Obugambo obuli wansi]
^ lup. 3 1 Abasessalonika 5:3.
[Ebibuuzo]
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]
Tewali muntu n’omu aliddamu kubera mu kutwa—misana oba kiro