Emirembe n’Obutebenkevu mu Nsi Yonna—Ssuubi Eryesigika
Essuula 9
Emirembe n’Obutebenkevu mu Nsi Yonna—Ssuubi Eryesigika
1, 2. Mbeera ki, ezaalagulibwa mu Baibuli, eziyinza okufuula ensi eno ekifo ekirungi ennyo eky’okubeeramu?
ENSI eno yandisobodde okuba ekifo ekirungi ennyo era ekisanyusa okubeeramu singa embeera ez’emirembe egy’amazima n’obutebenkevu zaali we ziri mu nsi yonna. Newakubadde nga kaakano si bwe kiri, Baibuli eragula nti ensi ejja kusobola okuba amaka amalungi ennyo olulyo lw’abantu mwe lunaasobolera okunyumirwa obulamu mu bujjuvu.
2 Ddala kiki Baibuli ky’esuubiza? Tuyinza tutya okuba abakakafu nti kijja kutuukirizibwa?
Omusingi Omunywevu Okuba n’Obwesige
3, 4. (a) Kiki kye tuyiga olw’amateeka amasinziivu ageesigika agafuga obutonde bwonna? (b) Ani Eyakola amateeka ago, bwe kityo mu ki ekirala mwe tubeera abatuufu okussa obwesige bwaffe?
3 Waliwo amateeka amasinziivu agafuga obutonde bwonna. Mangi, ku go tugeerabira okugalowoozako. Enjuba okuvaayo, enjuba okugwa, okutambula kw’omwezi, n’enkyukakyuka z’ebiseera eby’obudde bijja era ne bigenda mu ngeri ebeera ewagira okubeerawo kw’abantu okulungi. Abantu bakola kalenda era ne bategeka eby’okukola mu myaka egy’omu maaso. Bamanyi nti okutambula kw’enjuba, omwezi, n’emmunyeenye kwesigibwa. Tuyinza kuyiga ki okuva mu kino?
4 Omukozi w’amateeka ago yeesigikira ddala. Tuyinza okwesigama ku ky’agamba ne ky’akola. Mu linnya lye, ng’Omutonzi w’eggulu n’ensi, Baibuli esuubiza enteekateeka empya entuukirivu. (Isaaya 45:18, 19) Mu mbeera zaffe eza bulijjo ez’obulamu, tutera okwesigama ku bantu abalala mu ngeri ezimu—abo abaleeta emmere mu katale, abo abaleeta ebbaluwa, n’ab’emikwano ab’oku lusegere. Olwo, si kye kyandibadde eky’amagezi okussa obwesige obw’amaanyi obusingawo mu Katonda ne mu bukakafu obw’okutuukirizibwa kw’ebisuubizo bye?—Isaaya 55:10, 11.
5. Okuba nti tewaliwo mwoyo gwa kwefunira n’akamu mu ebyo Katonda by’asuubizza kituwa kitya okukkiriza?
5 Wadde ng’ebisuubizo by’abantu emirundi mingi tebyesigika, ebisuubizo bya Katonda byesigikira ddala era nga bya kuganyula ffe, si ye. Newakubadde Katonda talina kye yeetaaga okuva ku ffe, asanyukira abo abamukkiririzaamu kubanga bamwagala era n’amakubo ge ag’obutuukirivu.—Zabbuli 50:10-12, 14.
6. Kukkiriza kwa ngeri ki Baibuli kw’etuyamba okufuna?
6 Era, nate, Baibuli ekubiriza okukozesa obusobozi bwaffe obw’okukubaganya ensonga. Teragira kukkiriza bukkiriza oba kumala gakkiriza. Mu butuufu, ennyonnyola okukkiriza okw’amazima nga “kye kinyweza ebisuubirwa, kye kitegeereza ddala ebigambo ebitalabika.” (Abaebbulaniya 11:1) Mu Baibuli, Katonda atuwa omusingi omunywevu okuba n’okukkiriza. Obunywevu bw’omusingi ogwo bweyongera okweyoleka bwe tweyongera okutegeera Ekigambo kya Katonda era n’okulaba amazima gaakyo nga gakolera mu bulamu bwaffe era n’okutuukirizibwa kw’obunnabbi bwakyo.—Zabbuli 34:8-10.
7. Nga twekkenneenya ebisuubizo bya Baibuli eby’omu biseera eby’omu maaso kiki kye tutasaanidde kusuubira kukkiriza mu byo kye kutwetaagako?
7 Ebisuubizo bya Baibuli eby’emikisa egy’omu biseera eby’omu maaso bisukkira ddala ebyo abantu bye beesowolayo okusuubiza. Naye ebisuubizo ebyo tebitwetaaga tukkirize ebintu ebitabangawo eri abantu n’akamu. Wadde okukontana n’okwegomba kw’abantu okwa bulijjo. Weekenneenye egimu ku mikisa gino egy’ekitalo olabe kino bwe kiri eky’amazima.
Ensi Okufuuka Amaka ag’omu Lusuku
8, 9. (a) Kirowoozo ki kye twandifunye mu birowoozo byaffe okuva mu kigambo “paradaizi”? (b) Ekintu ng’ekyo kyali kibaddewo ku nsi? (c) Kiki ekiraga nti kye kigendererwa kya Katonda okuba n’Olusuku lwe mu nsi yonna?
8 Ekigambo “paradaizi” oba olusuku lwa Katonda kiva mu bigambo ebifaananako ebyakozesebwanga mu biseera eby’edda (Olwebbulaniya, par·desʹ; Oluperusi, pai·ri·daeʹza; Oluyonaani, pa·raʹdei·sos), ebigambo ebyakozesebwanga okunnyonnyola ebintu ebyaliwo ddala mu kiseera ekyo ku nsi. Ebigambo bino byonna biwa ekirowoozo kya ppaaka esanyukirwamu ennungi oba olusuku olulinga ppaaka. Nga mu biseera eby’edda, era n’ennaku zino waliwo ebifo bingi ebifaanana bwe bityo, ebimu ku byo ppaaka nnene nnyo. Era omuntu mu buzaale yeegomba obulungi bwazo. Baibuli esuubiza nti olunaku lujja kutuuka ensi eno yonna lw’eneebera olusuku olulinga ppaaka oba olusuku lwa Katonda!
9 Katonda bwe yatonda abantu ababiri abaasooka yabawa ng’amaka olusuku olwa Adeni, erinnya eritegeeza “Olusuku olw’Okwesiima.” Naye Olusuku lwa Katonda olwo terwali lwa kukoma mu kifo kimu ekyo. Katonda yabagamba nti: “Mweyongerenga mwalenga mujjuze ensi mugirye.” (Olubereberye 1:28; 2:8, 9) Kino kyanditwaliddemu okwongerayo ensalo z’Olusuku lwa Katonda okutuuka ku nkomerero y’ensi, ekigendererwa ekyava eri Katonda era ekitaavaawo olw’obujeemu bwa Adamu ne Kaawa. Yesu Kristo yennyini yalaga obwesige mu kigendererwa kino bwe yasuubiza omusajja eyafiira awamu naye nti yandibadde n’omukisa okubeera mu Lusuku lwa Katonda ku nsi olufaanana bwe lutyo. (Lukka 23:39-43) Kino kinaabaawo kitya?
10. Okusinziira ku Kubikkulirwa 11:18, nkonge ki eziriwo eri Olusuku lwa Katonda, Katonda z’asuubiza okuggyawo?
10 Mu ‘kibonyoobonyo ekinene’ ekijja, Katonda ajja kuggyawo enkonge zonna eziriwo eri Olusuku lwe olw’oku nsi olujja nga ‘azikiriza abo aboonoona ensi.’ (Okubikkulirwa ) Bw’atyo Katonda ajja kukola ekyo gavumenti z’abantu kye zitandisobodde kukola. Ajja kumalawo abo bonna aboonoona embeera y’ensi olw’omulugube ogw’okufuna, abo bonna abalwana entalo ezizikiriza, era n’abo bonna abakozesa obubi ensi olw’obutassa kitiibwa mu birabo ebiyitirivu Katonda by’atuwadde. 11:18
11. (a) Kiki ekyaliwo mu byafaayo ekiraga nti okuzzaawo Olusuku lwa Katonda mu nsi si kye kintu ekitabangawo eri abantu? (b) Kino kinyweza okukkiriza kwaffe mu mukisa ki ogwasuubizibwa?
11 Ensi yonna eryanya obulungi. Obuggya era n’obuyonjo olwo biriddawo eri empewo yaayo, amazzi, n’ettaka. Okuzzibwawo kw’Olusuku lwa Katonda kuno si kye kintu ekitayinza kukkirizibwa, oba ekitabangawo eri abantu. Ebyasa by’emyaka bingi ebiyiseewo, eggwanga lya Isiraeri bwe lyava mu buwaŋŋanguse e Babulooni, Yakuwa Katonda yabazzayo mu nsi yaabwe, mu kiseera ekyo eyali ensiko enjereere. Naye, olw’omukisa gwa Katonda ku bo era ne ku mulimu gwabwe, ensi mu bbanga ttono yafuuka nnungi nnyo bwe kityo abantu abaliraanyewo ne basobola okwewuunya nti: “Efuuse ng’olusuku Adeni.” Era yabala nnyo emmere, ne kimalawo omutawaana gw’enjala. (Ezeekyeri 36:29, 30, 35; Isaaya 35:1, 2; 55:13) Ekyo Katonda kye yakola mu kiseera ekyo kyayolesa ku kigero ekitono ekyo ky’agenda okukola ku kigero eky’ensi yonna okutuukiriza ebisuubizo bye. Abantu bonna abanaabalwa nga basaanidde okubeerawo mu kiseera ekyo bajja kunyumirwa ebisanyusa obulamu ebibaweereddwa Katonda mu lusuku lwa Katonda.—Zabbuli 67:6, 7; Isaaya 25:6.
Enkomerero y’Obwavu n’Obuddu obw’Eby’enfuna
12. Mbeera ki ey’eby’enfuna n’ey’eby’emirimu eteekwa okugonjoolebwa singa tuli ba kubeera n’essanyu lyennyini mu bulamu?
12 Obwavu n’obusibe eri entegeka z’ensi ez’eby’enfuna bicaakanye mu nsi yonna. Tewandisobodde kubaawo
kunyumirwa kwennyini okw’Olusuku lwa Katonda singa obukadde bw’abantu beeyongera okukuluusanira ebyetaagibwa okubeerawo obubeezi mu bulamu oba okukola emirimu egikooya egitakyukako egifuula omuntu okuba ng’erinnyo lya nnamuziga mu kyuma ekinene.13-15. (a) Wa we tusanga ekyokulabirako eky’omu byafaayo ekitulaga Katonda ky’ayagaliza omuntu bwe kiri mu nsonga eno? (b) Enteekateeka eyo yaweesa etya obutebenkevu n’essanyu mu bulamu eri buli muntu kinnoomu era n’amaka?
13 Katonda ky’ayagaliza abantu mu nsonga eno kirabikira mu ngeri gye yalagira ebintu okukolebwanga mu Isiraeri ow’edda. Eyo, buli maka gaafuna ettaka ery’ensikirano. (Ekyabalamuzi 2:6) Newakubadde lino lyandibadde lisobola okutundibwa, era nga n’abantu kinnoomu baali basobola okwetunda mu buddu nga bagudde mu bbanja, Yakuwa era yakolawo enteekateeka erobera obutatuuma bwanannyini bwa bibanja oba okukuuma abantu mu buddu ebbanga eddene. Atya?
14 Ng’ayitira mu biragiro ebikwata ku by’enfuna ebyali mu Mateeka ge yawa abantu be. Omwaka ogw’omusanvu ogw’obuddu gwali ‘mwaka gwa kuteebwa’ Omuisiraeri yenna mu buddu bwe yali ateekwa okuteebwa. Era, buli mwaka ogw’amakumi ataano gwali gwa “jjubiri” eri eggwanga lyonna, omwaka ‘ogw’okulangirira eddembe’ eri abatuulamu bonna. (Ekyamateeka 15:12; Eby’Abaleevi 25:10) Awo eky’obusika kyonna kyonna ekyali kitundiddwa kyazzibwa eri nnyini kyo omubereberye. Bonna abaali mu buddu baateebwa, newakubadde ng’emyaka omusanvu giyinza okuba nga gyali teginnaggwaako. Kyali kiseera kya ssanyu ab’eŋŋanda okuddamu okubeera awamu era ntandikwa mpya mu bulamu mu ngeri y’eby’enfuna. Bwe kityo, tewali ttaka lyandiyinzizza kutundibwa lubeerera. Okutundibwa kwalyo, mu butuufu, kwali bubeezi bwesengeze obwandiweddewo, obutasukka mwaka gwa Jjubiri.—Eby’Abaleevi 25:8-24.
1 Bassekabaka 4:25) Ennaku zino abantu bangi tebayinza kukozesa bitone byabwe byonna n’obusobozi olw’okuba basibiddwa mu nteekateeka z’eby’enfuna ezibawaliriza okukkusa ebiruubirirwa by’abantu abatonotono oba n’omuntu omu obumu. Wansi w’amateeka ga Katonda omuntu omunyiikivu yayambibwanga okukozesa obusobozi bwe bwonna ku lw’obulungi n’okusanyuka kwa bonna. Kino kitulaga eddembe ly’omuntu n’ekitiibwa abo abanaafuna obulamu mu Nteekateeka Empya bye bajja okunyumirwa.
15 Bino byonna byayamba mu kubaawo obutebenkevu obw’eby’enfuna mu ggwanga eryo era n’obutebenkevu n’emirembe mu buli maka. Amateeka gano bwe gaakuumibwanga, eggwanga lyakuumibwa obutagwa mu mbeera embi gye tulaba ennaku zino mu nsi nnyingi nnyo omuli abagagga ennyo ku luuyi olumu n’abaavu ennyo ku luuyi olulala. Emiganyulo eri buli muntu kinnoomu gyanyweza eggwanga, kubanga tewali yandibadde tafunye nkizo oba ng’anyigiriziddwa embeera embi ez’eby’enfuna. Nga bwe kyategeezebwa mu kiseera ky’obufuzi bwa Kabaka Sulemaani, “Yuda ne Isiraeri yenna ne batuula mirembe, buli muntu wansi w’omuzabbibu gwe n’omutiini gwe.” (16. Ku bikwata ku mbeera y’eby’ensula n’embeera y’eby’enfuna eri buli muntu, Obwakabaka bwa Katonda bunaakolera ki abo bonna be bufuga?
16 Mu nsi yonna obunnabbi bwa Mikka 4:3, 4 bujja kutuukirizibwa mu ngeri ey’ekitalo. Abantu abaagala emirembe nga bali wansi w’obufuzi obutuukirivu obwa Katonda “balituula buli muntu mu muzabbibu gwe ne mu mutiini gwe; so tewalibaawo abakanga; kubanga akamwa ka [Yakuwa, NW] ke kakyogedde.” Tewali n’omu ku bafugibwa Obwakabaka bwa Katonda alibeera mu buyuyuyu obucaafu oba mu nzigotta mu bizimbe ebisuulwamu. Baliba n’ettaka era n’amaka ebyabwe ku bwabwe. (Isaaya 65:21, 22) Kabaka, Kristo Yesu, edda ennyo yasuubiza nti ‘abateefu balisikira ensi,’ era alina ‘obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi’ okulaba nti kino kibaawo.—Matayo 5:5; 28:18.
Obulamu Obulungi era Obuwangaazi
17-19. (a) Kiki ekiraga nti obulamu obulungi era obuwangaazi bye byegombebwa abantu mu buzaale? (b) Biki ebikwata ku bulamu bw’omuntu era n’ebimera ebifuula obulamu bw’omuntu obumpi okuba ekyewuunyisa? (c) Kiki ekikwata ku bwongo bw’omuntu ekiraga nti kya nsonga okukkiriza nti omuntu yatondebwa okuba omulamu emirembe gyonna?
17 Naye nno, ku mbeera ezo ennungi ennyo, tewali yandisobodde kufuula bulamu obw’emirembe gyennyini era obutebenkevu nga obulwadde, okukaddiwa, n’okufa bikyezinze mu biseera eby’omu maaso. Kibeera kya butalowooza oba ekikontana n’ebyo ebyali bibaddewo eri abantu okusuubira okuwewulwako ebintu bino ebinakuwaza? Ddala tekikonagana na buzaale bw’omuntu okwagala kino, kubanga abantu bakozesezza ebiseera by’obulamu bwabwe era n’omuwendo gw’ensimbi ezitagambika nga bagezaako okukituukiriza.
18 Bwe kityo essuubi ly’obulamu obulungi era obw’olubeerera si kye kintu ekyandibadde kitalowoozebwa. Mu mazima, ekyandibadde kitalowoozebwa kye kino: Abantu bwe baba baakatuuka ku myaka we batandikira okuba n’okutegeera, obumanyirivu, n’obusobozi okukola ebintu eby’omugaso, batandika okukaddiwa era oluvannyuma ne bafa. Kyokka, waliwo emiti egiwangaala emyaka nkumi na nkumi! Lwaki omuntu, eyakolebwa mu kifaananyi kya Katonda, yandibaddewo katundu butundu ak’ekiseera ebimera ebimu ebitalina magezi kye bimala? Mu kulabira ddala, teyandiwangadde nnyo, nnyo okusinga awo?
19 Eri bannakinku abasoma ebikwata ku kukaddiwa, bingi ddala ebitategeerwa. Ekirala ekitategeerekeka, kwe kuba nti obwongo bw’omuntu bwakolebwa okuyingiza ebintu okutaliiko kkomo. Nga omuwandiisi wa sayansi bwe yagamba nti,
obwongo “busobolera ddala bulungi omugugu gwonna ogw’okuyiga n’eby’okujjukira omuntu gw’ayinza okubuteekako—era emirundi bukadde na bukadde okusukkawo awo.”55 Ekyo kitegeeza nti obwongo bwo busobola si mugugu ogwo gwokka gw’oyinza okubutikka mu kiseera eky’emyaka 70 oba 80 egy’obulamu naye emirundi obukadde lukumi okubaza mu ekyo! Tekyewuunyisa nno okuba nti omuntu alina ennyonta ya maanyi bw’etyo ey’okwagala okumanya, ey’okwegomba okuyiga okukola n’okutuukiriza ebintu. Naye akugirwa olw’obumpi bw’obulamu bwe. Kirabika nga kya nsonga nti obusobozi obwenkanidde awo obw’obwongo bw’omuntu bwandibaddewo naye ng’ate katundu katini nnyo ak’obusobozi bwabwo ke kakozesebwa? Si kya nsonga okusingawo okusalawo, nga Baibuli bw’ekola, nti Yakuwa yakola omuntu okuba omulamu emirembe gyonna ku nsi era n’amuwa obwongo obutuukana obulungi n’ekigendererwa ekyo?20. Kiki Baibuli ky’egamba Katonda ky’asuubizizza okukolera abantu ku bikwata ku biva mu kibi, ng’otwaliddemu n’okufa kwennyini?
20 Baibuli eraga nti olubereberye omuntu yalina omukisa okuba omulamu emirembe gyonna naye yagufiirwa olw’obujeemu: “Ku bw’omuntu omu [Adamu] ekibi bwe kyayingira mu nsi okufa ne kubuna ku bantu bonna, kubanga bonna baayonoona.” (Abaruumi 5:12) Naye Baibuli era erimu ekisuubizo kya Katonda nti mu Lusuku lwa Katonda oluzziddwawo, “okufa tekulibaawo nate; so tewaabengawo nate nnaku newakubadde okukaaba newakubadde okulumwa.” (Okubikkulirwa 21:3, 4; geraageranya 7:16, 17.) Etegeeza nti obulamu obutaggwaawo, obutaliimu mitawaana gya kibi, kye kigendererwa kya Katonda eri abantu. (Abaruumi 5:21; 6:23) Okwongera ku kino, esuubiza nti emikisa gy’Enteekateeka ya Katonda Empya gijja kuggulirwawo eri obukadde n’obukadde bw’abantu abaafa mu biseera ebyayita. Mu ngeri ki? Olw’okuzuukizibwa okufufunkula entaana y’abantu eya bulijjo. Yesu n’obwesige yalagula nti: “Ekiseera kijja bonna abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi lye, ne bavaamu.”—Yokaana 5:28, 29.
21, 22. Lwaki essuubi ery’okuzzibwa mu bulamu obulungi si kye kintu ekiyitiridde okusuubira?
21 Ennaku zino sayansi ow’ekisawo asobola okukola “amalagala ag’ekyewuunyo” era n’okulongoosa mu ngeri ey’ekitalo eyandirabise ng’etesoboka wadde emyaka mitono egiyiseewo. Twandibuusabuusizza nti Oyo eyatonda abantu tayinza kukola bikolwa bisingirawo ddala okwewuunyisa eby’okuwonya? Awatali kubuusabuusa Omutonzi alina obusobozi okuzzaawo abantu ab’emitima emituukirivu eri obulamu obulungi, era n’okumalawo enkola ey’okukaddiwa. Era bino asobola okubikola awatali kweyambisa malagala, kulongoosa, oba ebitundu by’omubiri ebigingirire. Olw’okubeera nti afaayo, Katonda awadde obujulizi obulaga nti emikisa egyo si gye giyitiridde ennyo okuba nti giyinza okusuubirwa.
22 Katonda yawa obuyinza Omwana we ng’ali ku nsi okukola ebikolwa eby’amaanyi eby’okuwonya. Ebikolwa bino bitukakasa nti tewali bunafu, bulema bwonna oba ndwadde ebisukkiridde amaanyi ga Katonda ag’okuwonya. Omusajja eyalina omubiri ogujjudde ebigenge bwe yeegayirira Yesu okumuwonya, Yesu mu kisa ekingi yakwata ku musajja n’agamba nti: “Longooka.” Era, ng’ebyawandiikibwa eby’ebyafaayo bwe bigamba, “Amangu ago ebigenge bye ne birongooka.” (Matayo 8:2, 3) Yesu yakola ebintu nga bino mu maaso g’abajulirwa bangi, ng’omuwandiisi w’ebyafaayo Matayo bw’ategeeza nti: “Ebibiina bingi ne bijja gy’ali, nga birina abawenyera, n’abazibe b’amaaso, ne bakasiru, n’abalema, n’abalala bangi, ne babassa awali ebigere bye; n’abawonya: ekibiina n’okwewuunya ne beewuunya . . . ne bagulumiza Katonda wa Isiraeri.” (Matayo 15:30, 31) Weesomere ku bubwo ebyawandiikibwa mu Yokaana 9:1-21 okulaba nga bwe biri nti byaliwo era nga bya mazima ddala ebitegeezebwa eby’ebyafaayo ebikwata ku kuwonya ng’okwo. Amazima nti ebintu bino byaliwo gajulirwako abajulirwa bangi, nga mulimu n’omusawo, Lukka.—Makko 7:32-37; Lukka 5:12-14, 17-25; 6:6-11; Abakkolosaayi 4:14.
23, 24. Lwaki si kye kitali kya nsonga okukkiriza nti abafu bajja kuzzibwa mu bulamu wansi w’Obwakabaka bwa Katonda?
23 Olw’ensonga ze zimu tetwetaaga kukitwala ng’ekitasoboka kukkirizibwa ekisuubizo kya Baibuli nti “walibaawo okuzuukira” kw’abafu. (Ebikolwa 24:15) Wadde nga wayiseewo emyaka oluvannyuma lw’okufa, eddoboozi lw’omuntu, endabika ye, n’ebikolwa biyinza okulabibwa ku lutambi lwa filimu oba olwa viddiyo. Oyo eyatonda omuntu, amanyidde ddala obutundu obutonotono obukola omuntu, ye atandisobodde kukola ekisingawo ku ekyo? Kompyuta ezikoleddwa omuntu zisobola okutereka n’okukwataganya obukadde n’obukadde bw’ebintu ebizitegeezeddwa. Naye Katonda eyatonda obutonde bwonna obw’ekitalo awamu n’enkumi z’obukadde bwa galaxy ezirimu, nga buli galaxy erimu enkumi z’obukadde bw’emmunyeenye. Zonna awamu olwo ziba emitwalo gy’obukadde, obukadde bw’obukadde, era n’okusingawo! Kyokka, Zabbuli 147:4 lugamba nti: “Abala emmunyeenye omuwendo gwazo; azituuma zonna amannya gaazo”! Awatali kubuusabuusa kyandibadde kyangu nnyo eri Katonda, alina obusobozi obwenkanidde awo obw’okujjukira, okujjukira enfaanana z’abantu kinnoomu okusobola okubazzaawo mu bulamu.—Yobu 14:13.
24 Nate, Yakuwa yawa ebyokulabirako mu byafaayo okunyweza okukkiriza kwaffe mu ssuubi eryo ery’ekitalo. Yawa Omwana we obuyinza okwoleka mu kigero ekitono ekyo ky’ajja okukola mu kigero ekinene mu kiseera eky’obufuzi bwe obw’obutuukirivu ku nsi. Yesu yazuukiza abafu abawerako, emirundi mingi ng’alabibwa abatunuulizi. Lazaalo, oyo gwe yazuukiza okumpi ne Yerusaalemi, yali mufu okumala ebbanga eriwerako okuba nti omubiri gwe gwali gutandise Lukka 7:11-17; 8:40-42, 49-56; Yokaana 11:38-44.
okuvunda. Ddala ddala essuubi ery’okuzuukizibwa lirina omusingi omunywevu.—Obusobozi bw’Ensi Okubaamu Obungi bw’Abantu Bwe Butyo
25, 26. Abafu nga bazuukiziddwa, ekifo kinaabeera wa eky’okubeeramu buli muntu?
25 Ensi eno eyinza okubaamu ekifo okubeeramu obulungi abantu abangi bwe batyo ab’okuva mu kuzuukizibwa kw’abafu? Kyatwala emyaka egisukka 5,000 obungi bw’abantu ku nsi okuwera obukadde olukumi mu matandika g’emyaka gya 1800. Kaakano, buli nga obukadde enkumi ttaano.
26 N’olwekyo, abo abalamu leero baweramu ekitundu ekiwerako eky’omuwendo gwonna ogw’abantu abaali babaddewo. Abamu bateebereza nti abantu bonna awamu abaali babaddewo mu byafaayo by’omuntu bali nga abantu 15,000,000,000. Obunene bw’ettaka ku nsi busukka mu yiika 36,000,000,000 (15,000,000,000 ha). Ekyo kyandiwadde buli muntu yiika ezisukka mu bbiri (1 ha). Kino tekyandiwadde bbanga wa kulimira mmere kyokka naye era wandibaddewo ebbanga ery’ebibira, ensozi, n’ebifo ebirala ebifaanana obulungi—ne watabaawo kubeera mu nzigotta mu Lusuku lwa Katonda. Ate era, Baibuli eraga nti si bonna abaliwo kaakano be banaawona okubeera mu Nteekateeka eyo Empya. Ddala, Yesu yagamba nti, “Omulyango mugazi, n’ekkubo eridda mu kuzikirira ddene, n’abo abayitamu bangi.” Era yategeeza nti okuzikirizibwa kw’ensi bwe kunaatuuka, abo abatakola Yakuwa by’ayagala ba ‘kugenda mu kuzikirizibwa okutaggwaawo.’—Matayo 7:13; 25:46, NW.
27. Ensi esobola okubala emmere emala abantu abo bonna?
27 Naye ensi yandisobodde okubala emmere emala abantu abangi bwe batyo? Abasayansi bagamba nti yandisobodde, wadde wansi w’embeera eziriwo. Lipoota eyali mu Toronto Zabbuli 72:16 etukakasa nti: “Wanaabangawo emmere enkalu nnyingi mu nsi ku ntikko y’ensozi.”
Star yategeeza nti: “Okusinziira ku Kibiina ky’eby’Emmere n’eby’Obulimi eky’Amawanga Amagatte (FAO) waliwo emmere enkalu nnyingi erimibwa mu nsi yonna emala obulungi okuliisa buli muntu ku nsi ne calory 3,000 buli lunaku, nga kino . . . kiri ebitundu ataano ku buli kikumi waggulu w’omutindo ogusembayo ogukkirizibwa.”56 Ku bikwata ku biseera eby’omu maaso, kyannyonnyola nti wadde wansi w’embeera eziriwo leero, wasobola okubaawo emmere emala okukkusa obwetaavu bw’abantu abaliwo mu nsi ng’obabazizzamu emirundi ebiri. Era, tuteekwa okujjukira nti Yakuwa ajja kulagirira abantu be engeri y’okusozesaamu obusobozi bw’ensi obw’eby’obulimi mu ngeri entuufu, kubanga28. Lwaki tewaliwo mutawaana nti ng’abantu bawangaala emirembe gyonna, ensi ekiseera kyandituuse n’ejjula okuyitirira?
28 Tusaanidde okwetegereza ekigendererwa kya Katonda bwe kiri, nga bwe kyategeezebwa olubereberye eri abantu ababiri abaasooka. Baagambibwa ‘okujjuza ensi era bagirye,’ boongereyo ensalo za Adeni okutuuka ku nkomerero y’ensi. (Olubereberye 1:28) Kya lwatu, kino kitegeeza okujjuza ensi ekimala obulungi, sso ssi okugijjuza ekisukkiridde n’abantu. Ekyo era kyandisobozesezza ensi ‘eriiriddwa’ okuba ppaaka ey’ensi yonna okufaanana amaka g’omuntu ag’olubereberye agaali nga ppaaka. Bwe kityo, ekiragiro kya Katonda kino kiraga nti mu kiseera kya Katonda ekitegeke era mu ngeri ye, okweyongera obungi mu bantu kujja kuba nga kukomebwako.
Omusingi Omunywevu ogw’Essanyu ery’Olubeerera
29. Enkolagana n’abantu abalala zirina ki kye zikola ku ssanyu ly’omuntu?
29 Kyokka, wadde ekifo ekirungi, eby’obugagga, omulimu ogusanyusa, n’obulamu obulungi tebyandikuwadde bukakafu
bwa ssanyu ery’olubeerera. Bangi ennaku zino abalina ebintu bino naye nga si basanyufu. Lwaki? Olw’abantu ababeetoolodde abayinza okuba abeerowoozako bokka, abayombi, bannanfuusi, oba abakyayi. Essanyu ery’olubeerera mu Nteekateeka Empya eya Katonda lijja kubaawo mu kigero ekinene olw’enkyukakyuka okubuna ensi yonna mu ndowooza y’abantu. Okwagala kwabwe eri Katonda n’okumussaamu ekitiibwa era n’okwegomba kwabwe okutuukiriza ebigendererwa bye kujja kuleeta obugagga obw’eby’omwoyo. Awatali ekyo, obugagga obw’ebintu bubeera tebumatiza era obutaliimu.30. Tumanyi tutya nti abo abanaabeera mu Nteekateeka ya Katonda Empya bajja kubeera abantu abo bokka abawagira emirembe n’obutebenkevu eby’abalala?
30 Yee, kya ssanyu ddala okuba awamu n’abantu ab’ekisa, abawombeefu, ab’omukwano—abantu b’osobolera ddala okwagala era okwesiga, abakutwala mu ngeri y’emu bw’etyo. (Zabbuli 133:1; Engero 15:17) Okwagala Katonda kye kikakasa okwagala okw’amazima eri muliraanwa, okujja okufuula obulamu okuba obw’essanyu ennyo mu Nteekateeka ye Empya ey’obutuukirivu. Abo bonna Katonda b’ajja okuwa ekirabo eky’obulamu obutaggwawo bajja kuba nga bamaze okulagira ddala okwagala kwabwe gy’ali era n’eri muntu munnaabwe. Ng’oli ne baliraanwa ng’abo, ab’emikwano, era b’okola nabo, ojja kusobola okunyumirwa emirembe n’obutebenkevu eby’amazima awamu n’essanyu ery’olubeerera.—1 Yokaana 4:7, 8, 20, 21.
31. Singa ddala twagala obulamu mu Nteekateeka ya Katonda Empya, tusaanidde kukola ki kaakano?
31 Mazima ddala, nga ssuubi lya kitalo ddala erigguddwaawo gy’oli! Bwe kityo eky’okukola eky’amagezi kwe kuzuula ekyetaagibwa okulituukako. Kaakano kye kiseera okutuukanya obulamu bwo n’ebyo Katonda bye yeetaaga mu abo abajja okuwonyezebwa okuyita mu ‘kibonyoobonyo ekinene’ ekijja.—2 Peetero 3:11-13.
[Ebibuuzo]
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 98]
Olunaku lujja kutuuka ensi yonna lw’ejja okufuulibwa olusuku lwa Katonda