Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Engeri gy’Olabamu eby’Okwetaba Awamu—Kireetawo Njawulo Ki?

Engeri gy’Olabamu eby’Okwetaba Awamu—Kireetawo Njawulo Ki?

Essuula 13

Engeri gy’Olabamu eby’Okwetaba Awamu—Kireetawo Njawulo Ki?

1-3. (a) Baibuli eraga etya nti okwetaba awamu kw’omusajja n’omukazi kulina okusiimibwa kwa Katonda? (b) Kyandibadde kiganyula omuntu okwevuluga mu kukozesa obuyinza bwe obw’eby’okwetaba awamu awatali kwefuga?

ABANTU abamu balina endowooza nti Baibuli enyinyimbwa ekintu kyonna ekikwata ku by’okwetaba awamu kw’omusajja n’omukazi. Kyokka, okwekkaanya Baibuli yennyini kulaga nti kino si kya mazima. Oluvannyuma lw’okwogera ku kutonda kwa Katonda okw’omusajja n’omukazi ababereberye, yeeyongera okutegeeza nti: “Katonda n’abawa omukisa: Katonda n’abagamba nti Mweyongerenga mwalenga mujjuze ensi.”​—⁠Olubereberye 1:​27, 28.

2 Kale nno, okwetaba awamu kw’omusajja n’omukazi ddala kulina okusiimibwa kwa Katonda. Naye Katonda asiima okwetaba awamu okutaliiko kwefuga? Kino kyandireesewo essanyu erisingiridde mu bulamu? Kyandituviiriddemu emirembe n’obutebenkevu eby’amazima era n’eri abatwetoolodde?

3 Okwetaba awamu kw’omusajja n’omukazi kusobola okukozesebwa obubi era nga ebintu ebirala abantu bye beetabamu. Okulya kulungi era kwetaagisa eri obulamu. Naye obuluvu buyinza okwonoona embeera y’obulamu era n’okuyimpaya obulamu bw’omuntu. Okwebaka, nakwo, kukulu. Naye bwe kuyitirira kugaana obulamu okubaako kye butuukiriza era kuyinza n’okunafuya omubiri. Era ng’okunyumirwa kwennyini okw’obulamu bwe kutasibuka mu buluvu, obutamiivu, n’obugayaavu, bwe kutyo era tekusibuka mu kukozesebwa kw’obuyinza obw’eby’okwetaba awamu okutaliiko kwefuga. Omuntu by’ayiseemu mu nkumi n’enkumi z’emyaka biwa obujulirwa ku kino. Kino tuteekwa kukitegeera luvannyuma lwa kutuukibwako kabi ffe ffennyini? Waliwo engeri esingako.

4. Kiki ekyanditukubiriza okukuuma emitindo gya Katonda ku bikwata ku by’okwetaba awamu?

4 Ekigambo kya Katonda kiwa endowooza entuufu eteekubidde lubege ku by’okwetaba awamu ejja okukuuma essanyu lyaffe kaakano ne mu biseera eby’omu maaso. Naye, si lwa mirembe na butebenkevu ebyaffe ku bwaffe kyokka kye twandivudde tuyiga era n’okukuuma emitindo gya Katonda egikwata ku nkozesa y’ebitundu bino. Ekisingawo ku ekyo obukulu, twandikikoze olw’okussaamu ekitiibwa Omutonzi waffe. Singa ddala tudda ku ludda lwe ku bikwata ku nsonga enkulu ey’obufuzi, ne mu nsonga eno tujja kugondera n’essanyu amagezi ge aga waggulu era n’obuyinza bwe ng’omufuzi.​—⁠Yeremiya 10:​10, 23.

Okukuuma Obufumbo nga bwa Kitiibwa Eri Bonna

5. Baibuli eyogera ki ku bikwata ku kwetaba awamu ebweru w’obufumbo?

5 Baibuli ebuulirira nti: “Okufumbiriganwa [kube, NW] kwa kitiibwa eri bonna, n’ekitanda kirongoofu; kubanga abakaba n’abenzi Katonda alibasalira omusango.” (Abaebbulaniya 13:⁠4) Bwe kityo, Katonda takkiriza kwetaba wamu ebweru w’obufumbo. Kino nga kituukagana n’ekyaliwo nti bwe yali awa omusajja omubereberye munneewe, Katonda yalaga nti ky’ayagala kyali bombi okufuuka “omubiri gumu,” mu nnyingo ey’olubeerera. Nga wayiseewo emyaka ng’enkumi nnya, Omwana wa Katonda yalaga nti Kitaawe yali tajjululanga mutindo guno. (Olubereberye 2:​22-24; Matayo 19:​4-6) Naye omutindo nga guno gukugira ekiteetaagisa? Gutufiiriza ekintu ekirungi?

6. Kiki ekiraga nti etteeka lya Katonda erigaana obwenzi liriwo ku lwa bulungi bwaffe?

6 Obwenzi bumenya omutindo gwa Katonda, era Yakuwa asuubiza okuba ‘omujulirwa omwangu’ mu kusalira abenzi omusango. (Malaki 3:⁠5) Ebibala ebibi ebiva mu kwetaba n’abalala ebweru w’obufumbo biggumiza amagezi agali mu tteeka lya Katonda. Obwenzi buleetawo obutali bunywevu n’obuteesigaŋŋana. Buleetawo obutali butebenkevu era ne bumalawo emirembe mu maka. Obusungu n’okumenyeka omwoyo ebivaamu bitera okuleeta okusattulukuka mu bufumbo. Abaana babonaabona nga balaba amaka ge balimu nga gayabulizibwamu. Kya lwatu ddala, Katonda okugaana obwenzi kuliwo ku lwa bulungi bwaffe. Ekigambo kye kiraga nti omuntu yenna alina okwagala okw’amazima eri muliraanwa we tajja kwenda.​—⁠Abaruumi 13:​8-10.

7. Nnyonnyola obukaba kye kitegeeza, nga bwe kyogerwako mu Baibuli.

7 Nga bwe tulabye, Baibuli era etegeeza omusango Katonda gw’alisalira abakaba. Obukaba kye ki? Newakubadde ng’okukozesebwa kw’ekigambo kino mu Baibuli kuyinza okutwaliramu okwetaba awamu kw’abantu abatali bafumbo era n’obwenzi, kitera okuba n’amakulu agasingako obugazi. Ekigambo ‘obukaba’ ekyakozesebwa mu kuwandiika ebigambo bya Yesu n’abayigirizwa be kye kigambo ky’Oluyonaani por·neiʹa. Kiva mu kikolo kye kimu ng’ekigambo ky’Olungereza eky’ennaku zino “pornography.” Mu biseera bya Baibuli por·neiʹa kyakozesebwanga mu kwogera ku ngeri ezitali zimu ez’okwetaba awamu ebweru w’obufumbo ezitakkirizibwa. Por·neiʹa kitwaliramu okukozesa okw’obugwenyufu obw’amaanyi ennyo ekitundu oba ebitundu ­eby’ekyama eby’omuntu omu oba okusingawo (mu ngeri ey’obuzaaliranwa oba etali ya buzaaliranwa). Era, wateekwa okubaawo omulala eyeetabye mu bugwenyufu obwo​—⁠omuntu mukazi oba musajja oba ensolo.

8. Lwa nsonga ki ez’amaanyi omutume Pawulo kyeyava akubiriza Abakristaayo ‘okwewala obukaba’?

8 Ng’akubiriza Abakristaayo ‘okwewalanga obukaba,’ omutume Pawulo yawa ensonga ez’amaanyi, ng’agamba nti: “Alemenga okuyingirira muganda we newakubadde okumusobyako mu kigambo ekyo: kubanga [Yakuwa, NW] awalana eggwanga ery’ebyo byonna . . . Kubanga Katonda teyatuyitira bugwagwa . . . Kale agaana tagaana muntu, wabula Katonda.”​—⁠1 Abasessalonika 4:​3-8.

9, 10. (a) Lwaki abantu abamu balonzaalonza okukola obufumbo obukkirizibwa mu mateeka, newakubadde nga babeera wamu n’omuntu bwe batafaananya kikula? (b) Newakubadde ng’obukaba bukolebwa mu kukkiriziganya, ‘okuyingirira eddembe ly’abalala n’okubasobyako’ kubaawo kutya?

9 Oyo eyeetaba mu bukaba mu mazima ‘aba ayingiridde eddembe ly’omulala era ng’amusobezzako.’ Ng’ekyokulabirako, kino bwe kiri eri abasajja n’abakazi ababeera awamu nga tebali mu bufumbo obukkirizibwa mu mateeka. Lwaki bakikola? Emirundi egisinga bakikola batyo kibe nti basobola okwawukana wonna we baba baagalidde. Tebawa munnaabwe butebenkevu obufumbo obw’amazima bwe bwandireesewo. Naye singa abantu bombi bayingira enkolagana eyo kyeyagalire, era baba ‘bayingiridde eddembe ly’abalala n’okubasobyako’? Yee, ddala ddala bwe kiba.

10 Wabaawo bingi ddala ebiva mu bikolwa by’abakaba ‘abayingirira eddembe ly’abalala.’ Okusooka, omuntu yenna eyennyigira mu bukaba yeetaba mu kwonoona omuntu ow’omunda ow’omuntu omulala era n’obulongoofu omuntu oyo bw’ayinza okuba nga yalina mu maaso ga Katonda. Omukaba ayoonoonera omuntu omulala omukisa gw’okuyingira obufumbo n’entandikwa ennyonjo. Ayinza okuleeta obunyoomi, ekivume, n’obuyinike ku b’omu maka g’oyo, era ne ku b’omu maka ge. Era ayinza okuteeka mu kabi ebirowoozo, endowooza ey’omunda, n’obulamu obw’omubiri obw’omuntu oyo. Endwadde ez’akabi ezisaasaanira mu by’okwetaba awamu ng’eya siliimu oba AIDS (Acquired Immune Deficiency Syndrome) zitera okukwataganyizibwa n’obukaba.

11. Lwaki tewaliwo nsonga omuntu yenna okukkiriza nti Katonda anaalemwa okubaako ky’akola eri obwenzi?

11 Abantu bangi basalawo okuziba amaaso gaabwe eri obubi buno. Naye okkiriza nti Katonda, mu butuukirivu bwe, anaabulwako ky’akola ku kuyingirira kw’eddembe ly’abalala ng’okwo? Ekigambo kya Katonda kikubiriza ‘okussaamu ekitiibwa,’ so si kufeebya oba okwesambajja, enteekateeka ye entukuvu ey’obufumbo.​—⁠Abaebbulaniya 13:4; Matayo 22:39.

12. (a) Endowooza ya Katonda ku bikwata ku bulyi bw’ebisiyaga y’eruwa? (b) Etteeka lya Katonda erigaana obulyi bw’ebisiyaga lituukuma kuva ku ki?

12 Ate okulya ebisiyaga? Nga bwe tuva okulaba, empisa eno etwalirwamu mu kigambo por·neiʹa (‘obukaba’), ekyakozesebwa Yesu n’abayigirizwa be. Omuyigirizwa Yuda yakozesa ekigambo ekyo ng’ayogera ku bikolwa eby’okwetaba awamu eby’obugwenyufu eby’abantu b’omu Sodomu ne Ggomola. (Yuda 7) Obuli bw’ebisiyaga obwaliyo bwaleeta obwonoonefu obwavaako “okukaaba” okunene okw’okwemulugunya. Era bwaleetera Katonda okuzikiriza ebibuga ebyo n’ababituulamu. (Olubereberye 18:20; 19:​23, 24) Endowooza ya Katonda ekyuseko okuva olwo? Nedda. Ng’ekyokulabirako, 1 Abakkolinso 6:​9, 10, zimenya “abalya ebisiyaga” mu abo abatalisikira Bwakabaka bwa Katonda singa bongera mu maaso empisa ng’eyo. Era, ng’ennyonnyola ebivaamu eri abantu ‘aboonoona ekitiibwa ky’emibiri gyabwe mu bugwagwa,’ nga bagoberera ‘omubiri mu bikolwa ebitali bya buzaaliranwa,’ Baibuli egamba nti “baakanga mu kwegomba kwabwe bokka na bokka, abasajja n’abasajja nga bakolagana ebitasaana, era nga baweebwanga mu bo bokka empeera eyo eyasaanira okwonoona kwabwe.” (Abaruumi 1:​24, 27) Abantu ng’abo tebagwa mu kusalirwa Katonda omusango kyokka, naye era bafuna “empeera” ey’okwonoonebwa kw’ebirowoozo n’omubiri. Ekyokulabirako, ennaku zino waliwo kabootongo, Siriimu, n’endwadde endala ezisaasaanira mu bukaba za maanyi nnyo ddala mu balyi b’ebisiyaga. Emitindo gy’empisa egya waggulu egy’omu Kigambo kya Katonda gitukuuma okuva ku bubi ng’obwo, si kutukugira kintu ekirungi.

Okukkiriza Endowooza ya Katonda ku Bikwata ku Kugattululwa

13. Ekigambo ky’obwesigwa eri ebyeyamo by’omuntu eby’obufumbo kikulu kwenkana wa?

13 “Nkyawa okugoba.” Bw’atyo Yakuwa Katonda bwe yategeeza bwe yali ng’anenya abo ‘abaakuusakuusanga’ banaabwe be baafumbiriganwa. (Malaki 2:​14-16) Ekigambo kye kiwa okubuulirira kungi ddala okuyamba abafumbo okuba n’obufumbo obulungi era okwewala emitawaana egiva mu kugattululwa. Era kiraga bulungi nti Katonda atwala obwesigwa eri ebyeyamo by’omuntu eby’obufumbo ng’obuvunaanyizibwa obutukuvu.

14, 15. (a) Kiki kyokka ekisaanidde okusinziirwako okugattululwa? (b) Kya tteeka obwenzi okumenyawo obufumbo? (c) Mu mbeera ki okuddamu okuwasa oba okufumbirwa we kukkirizibwa?

14 Kino kiggumizibwa n’ekiriwo nti akkiriza ekintu kimu nga kye kyokka ekisaanidde okusinziirwako okugattululwa. Yesu yalaga ekyo bwe kiri: “Buli anaagobanga mukazi we, wabula okumulanga ogw’obwenzi [por·neiʹa], n’awasa omulala, ng’ayenze.” (Matayo 19:9; 5:32) Por·neiʹa, nga bwe twalabye, kikwata ku kwetaba awamu okutali kwa mu bufumbo, ka kube okw’obuzaaliranwa oba okutali kwa buzaaliranwa.

15 Singa munne mu bufumbo azza ogw’obwenzi, kino kimenyawo amangu ago obufumbo bwabwe? Nedda, si bwe kiba. Munne atali mu nsobi ayinza okusalawo obanga anaamusonyiwa oba nedda. Okugattululwa bwe kiba nti kye kisaliddwawo, obuwulize bw’Omukristaayo eri obufuzi bw’ensi bujja kumuleetera okugattulula obufumbo mu ngeri egoberera amateeka, ng’akikola mu ngeri ey’amazima. (Abaruumi 13:​1, 2) Byonna bwe biba nga biwedde, okuddamu okuwasa oba okufumbirwa kikkirizibwa. Naye Ebyawandiikibwa bibuulirira nti obufumbo bwonna ng’obwo busaanidde kukolebwa wamu n’Omukristaayo omulala yekka, oyo ddala ali “mu Mukama waffe.”​—⁠1 Abakkolinso 7:39.

16. Mu nsi amateeka mwe gatakkiriza kugattululwa wadde ki oba ki, Abajulirwa ba Yakuwa balaga batya bwe bassa ekitiibwa mu tteeka lya Katonda mu nsonga eno?

16 Kiba kitya singa amateeka g’ensi tegakkiriza kugattululwa kwonna, wadde wabaddewo obwenzi? Bwe kiba bwe kityo, oyo atali mu nsobi ayinza okufuna okugattululwa mu nsi okugattululwa gye kukkirizibwa. Kyo kituufu, embeera ziyinza obutamusobozesa. Naye wayinza okubaawo engeri y’okwawukana okukkirizibwa mu mateeka mu nsi gy’alimu era nga kwandisobose okufunibwa. Mu buli ngeri eba eriwo, oyo atalina nsobi ayinza okwawukana ku oyo azizza omusango n’awa obukakafu ddala obusinziirwako mu Byawandiikibwa obw’okugattululwa eri abakadde mu kibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa ekiri mu kitundu ky’alimu. Kiba kitya ate singa omuntu oyo oluvannyuma asalawo okufunayo munne omulala? Ekibiina tekijja kumugoba mu kibiina ng’omwenzi singa awa ekibiina obuwandiike obulimu obweyamo obw’obwesigwa eri munne gw’ali naye kaakano era n’endagaano okufuna ebbaluwa y’obufumbo obukkirizibwa mu mateeka singa obufumbo obubereberye bunaaba busattuluddwa mu mateeka oba n’okufa. Kyokka, omuntu oyo ajja kuba ng’alina okwolekera byonna byonna ebiyinza okumuviiramu okusinziira ku nsi ebweru w’ekibiina bw’ekitwala. Kubanga mu kutwalira awamu ensi tekkiriza nti etteeka lya Katonda lya waggulu okusinga amateeka g’abantu era nti amateeka g’abantu obuyinza bwago bubaako we bukoma.​—⁠Geraageranya Ebikolwa 5:29.

Okwewala okw’Amagezi Obugwagwa Bwonna n’Omululu gw’Okwetaba Awamu

17. Okusinziira mu Byawandiikibwa, nnyonnyola ekifo ekituufu eky’okwetaba awamu mu bulamu bw’abafumbo.

17 Okwetaba awamu ddala kulina ekifo ekituufu mu bulamu bw’abafumbo. Katonda yakissaawo nga lye kkubo ery’okuzaaliramu abaana, era ng’ensibuko y’okusanyuka eri abazadde. (Olubereberye 9:1; Engero 5:​18, 19; 1 Abakkolinso 7:​3-5) Kyokka, yalabula ku butajaajaamya kirabo kino.​—⁠Abaefeso 5:⁠5.

18, 19. (a) Lwaki omuze ogw’okuzannyisa ebitundu eby’ekyama, oba okweyendako, si mutuufu eri Omukristaayo? (b) Kiki ekiyinza okuyamba omuntu okwewala omuze ogwo?

18 Olw’essira eriteekeddwa ku by’okwetaba awamu ennaku zino, abavubuka bangi beesanga nti okwegomba kwabwe okw’okufuna okumatizibwa mu by’okwetaba awamu kugolokosebwa wadde nga tebannatuusa kuwasa oba kufumbirwa. Ekivaamu, abamu ku bo banoonya essanyu nga bayitira mu kutogaatoga ebitundu byabwe eby’ekyama. Kuno kwe kuzannyisa ebitundu eby’ekyama, oba okweyendako wekka. Kikolwa kisaanidde oba kya magezi?

19 Ebyawandiikibwa bibuulirira nti: “Kale mufiise ebitundu byammwe ebiri ku nsi; obwenzi, obugwagwa, okwegomba okw’ensonyi, omululu omubi, n’okuyaayaana.” (Abakkolosaayi 3:⁠5) Oyo atogaatoga ebitundu bye eby’ekyama aba ‘afiisa ebitundu bye mu bikwata ku kwegomba okw’ensonyi’? Mu kifo ky’ekyo, abeera akubiriza okwegomba okw’ensonyi. Baibuli ekubiriza omuntu yeewale endowooza n’empisa ebituusa ku bizibu ng’ebyo, mu kifo ky’ebyo yeetabe mu bikolwa ebisaanidde, era akulaakulanye okwefuga. (Abafiripi 4:8; Abaggalatiya 5:​22, 23) Bwe wabeerawo okufuba okw’obwesimbu okukola bino, okweyendako wekka kuyinza okwewalibwa, n’ekivaamu emiganyulo egy’omu birowoozo, egy’endowooza ey’omunda, n’egy’eby’omwoyo.

20. Kiki ekiraga nti si kituufu eri omwami n’omukyala obutabaako kwefuga kwonna mu kwetaba kwabwe awamu?

20 Baibuli ky’eyogera ku bikwata ku ‘bugwagwa, okwegomba okw’ensonyi, omululu omubi’ kikwata ku Bakristaayo bonna, abali obwannamunigina n’abo abafumbo. Kya mazima nti omwami n’omukyala balina eddembe okusinziira ku Byawandiikibwa ery’okwetaba awamu. Naye kino kitegeeza nti tebabaako kwefuga kwa ngeri yonna? Okuba nti Ekigambo kya Katonda kikubiriza Abakristaayo bonna okukulaakulanya okwefuga tekisemba ndowooza ng’eyo. (2 Peetero 1:​5-8) Omuwandiisi wa Baibuli eyaluŋŋamizibwa teyateekwa kunnyonnyola ngeri ya buzaaliranwa ebitundu by’omwami n’omukyala eby’okuzaala gye birina okukolaganamu. Kya lwatu ng’okwetaba awamu okw’obulyi bw’ebisiyaga tekuyinza kugoberera ngeri eno ey’obuzaaliranwa. Bwe kityo, abasajja n’abakazi abalyi b’ebisiyaga bakozesa amakubo amalala ag’okwetaba awamu mu kukola omutume by’ayogerako nga ‘okwegomba okw’ensonyi okugwenyufu’ era ebikolwa “ebitasaana.” (Abaruumi 1:​24-32) Abafumbo bandisobodde okukopa engeri ng’ezo ez’okwetaba awamu okw’obulyi bw’ebisiyaga mu bufumbo bwabwe ne babeera nga mu maaso ga Katonda tebalaze ‘okwegomba okw’ensonyi okugwenyufu’ oba “omululu omubi”?

21. Ka kibe ng’embeera y’obulamu bw’omuntu ey’emabega yali efaanana etya, mukisa ki gw’alina kaakano?

21 Mu kwekenneenya Ebyawandiikibwa kye bigamba, omuntu ayinza okulaba nti endowooza ye ey’edda ku nsonga zino yakyusibwa abo, nga Baibuli bw’egamba, ‘abatakyalina magezi gonna mu bya mpisa.’ Naye, awamu n’obuyambi bwa Katonda, omuntu ayinza “okwambala omuntu omuggya,” oyo atuukana n’emitindo gya Katonda egy’obutuukirivu. (Abaefeso 4:​17-24, NW) Mu ngeri eno omuntu alaga nti ddala akitegeeza bw’agamba nti ayagala okukola Katonda by’ayagala.

Endowooza Yo Ekwatira Ddala ku Mirembe Gyo n’Obutebenkevu

22. Miganyulo ki kaakano egijja eri abo abassa mu nkola okubuulirira kw’Ekigambo kya Katonda ku bikwata ku mpisa ez’okwetaba awamu?

22 Okussa mu nkola okubuulirira kw’Ekigambo kya Katonda ku bikwata ku mpisa ez’okwetaba awamu si mugugu munene. Geraageranya ebibala by’ekkubo Baibuli ly’ekubiriza n’okusattululwa kw’obufumbo okungi, okusasika kw’amaka, abaana abajeemu, obwamalaaya, endwadde, era n’ettemu n’obussi ebikolebwa olw’omulugube gw’eby’obukaba obw’ensi. (Engero 7:​10, 25-27) Nga amagezi g’Ekigambo kya Katonda geeyolekera ddala bulungi! Bw’ogaana endowooza y’ensi eyeesigamye ku kwegomba okw’okwerowoozako era n’otuukanya endowooza yo n’okubuulirira kwa Yakuwa, omutima gwo gunywezebwa ddala mu kwegomba okutuufu. Mu kifo ky’amasanyu ag’ekiseera obuseera ag’obukaba, osanyukira mu kuba n’omuntu ow’omunda omulungi era n’emirembe emiwangaazi egy’omu birowoozo. Obufumbo n’enkolagana ez’omu maka binywezebwa olw’okweyongera kw’okwesigaŋŋana wakati mu bafumbo era n’olw’okussibwamu ekitiibwa okuva eri abaana.

23. Engeri omuntu gy’alabamu eby’okwetaba awamu ekwata etya ku kuba nti ‘ateekeddwako akabonero’ olw’okuwonyezebwa okuyingira mu ‘nsi empya’ eya Katonda?

23 Era teweerabira kino nti essuubi lyo lyennyini ery’obulamu obutaggwaawo likwatibwako. Bwe kityo empisa ennungi ez’omu Byawandiikibwa tezijja kukoma ku kuganyula obulamu bwo obwa kaakati bwokka. (Engero 5:​3-11) Kijja kuba obumu ku bujulirwa obulaga nti ddala okyawa eby’omuzizo ebikolebwa abantu abatafaayo n’akatono eri Katonda era nti ‘oteekeddwako akabonero’ olw’okuwonyezebwa okuyingira mu ‘nsi empya’ eya Katonda, eyo obutuukirivu, so si obukaba mwe bunaatuulanga. Kale nno, nga kikulu ‘ofube kaakano okusangibwa mu mirembe nga tolina bbala newakubadde omusango mu maaso ge.’​—⁠Ezeekyeri 9:​4-6; 2 Peetero 3:​11-14.

[Ebibuuzo]